اقْرَأْ بِاسْمِ رَبِّكَ الَّذِي خَلَقَ (1) Soma ng'otandika ne linnya lya mukamawo oyo eyatonda (buli kintu) |
خَلَقَ الْإِنسَانَ مِنْ عَلَقٍ (2) Yatonda omuntu nga amuggya mu kisaayisaayi |
اقْرَأْ وَرَبُّكَ الْأَكْرَمُ (3) Soma, kuba Omulezi wo (Katonda) ye mugabi asinga |
الَّذِي عَلَّمَ بِالْقَلَمِ (4) Oyo eyayigiriza omuntu okuwandiika n'ekkalaamu |
عَلَّمَ الْإِنسَانَ مَا لَمْ يَعْلَمْ (5) Yayigiriza omuntu ebyo (omuntu) bye yali tamanyi |
كَلَّا إِنَّ الْإِنسَانَ لَيَطْغَىٰ (6) Nedda, mazima omuntu agenda neyewaggula |
أَن رَّآهُ اسْتَغْنَىٰ (7) Olw’okweraba nti yeemalirira (olw’ebyo by’aba alina) |
إِنَّ إِلَىٰ رَبِّكَ الرُّجْعَىٰ (8) Ng’ate Mazima ddala eri Omuleziwo (Katonda) y’eri obuddo |
أَرَأَيْتَ الَّذِي يَنْهَىٰ (9) Olabye omuntu agaana |
عَبْدًا إِذَا صَلَّىٰ (10) (Agaana) omuddu wa Katonda bw’aba ng'asaala |
أَرَأَيْتَ إِن كَانَ عَلَى الْهُدَىٰ (11) Tolaba nti gwebagaana ky'akola kya bulungamu |
أَوْ أَمَرَ بِالتَّقْوَىٰ (12) Oba bwaba alagidde abantu okutya Katonda |
أَرَأَيْتَ إِن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰ (13) Olaba oyo (agaana asaala) bw'alimbisa n'akyuka okuva ku mazima |
أَلَمْ يَعْلَم بِأَنَّ اللَّهَ يَرَىٰ (14) Abaffe tamanyi (oyo alimbisa) nti Mazima Katonda alaba ebyo (by’akola) |
كَلَّا لَئِن لَّمْ يَنتَهِ لَنَسْفَعًا بِالنَّاصِيَةِ (15) Nedda bw’anaaba teyeekomyeko (ku bikolwa ebyo) tujja kumuwalula nga tumukutte ku kawompo |
نَاصِيَةٍ كَاذِبَةٍ خَاطِئَةٍ (16) Akawompo ako akajjudde obulimba n’obusobya |
فَلْيَدْعُ نَادِيَهُ (17) Kale ayitanga abali mu kinywi kye (eky’obujeemu bamutaase) |
سَنَدْعُ الزَّبَانِيَةَ (18) Naffe tujja kukoowoola ba Malayika abakambwe abakuumi b’omuliro (abatuusa ebibonerezo ku bajeemu) |
كَلَّا لَا تُطِعْهُ وَاسْجُدْ وَاقْتَرِب ۩ (19) Nedda (Owange Nabbi Muhammad) togonderanga omuntu ng’oyo. Vunnama (ng'osinza) Katonda era weeyongere okusembera gy'ali |