الم (1) Alif Laam Miim |
تَنزِيلُ الْكِتَابِ لَا رَيْبَ فِيهِ مِن رَّبِّ الْعَالَمِينَ (2) Okussibwa kw'ekitabo kino (Kur'ani) tekuliimu kubuusabuusa (okuba nti) kyava ewa Mukama omulabirizi w'ebitonde |
أَمْ يَقُولُونَ افْتَرَاهُ ۚ بَلْ هُوَ الْحَقُّ مِن رَّبِّكَ لِتُنذِرَ قَوْمًا مَّا أَتَاهُم مِّن نَّذِيرٍ مِّن قَبْلِكَ لَعَلَّهُمْ يَهْتَدُونَ (3) Oba bagamba nti (Muhammad) yakyegunjirawo, si bwe kiri, kyo g'emazima agava ewa Mukama omulabiriziwo, obe nga otiisa abantu abatajjirwa mutiisa oluberyeberyelwo olwo nno babe nga balungama |
اللَّهُ الَّذِي خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ وَمَا بَيْنَهُمَا فِي سِتَّةِ أَيَّامٍ ثُمَّ اسْتَوَىٰ عَلَى الْعَرْشِ ۖ مَا لَكُم مِّن دُونِهِ مِن وَلِيٍّ وَلَا شَفِيعٍ ۚ أَفَلَا تَتَذَكَّرُونَ (4) Katonda y'oyo eyatonda mu nnaku mukaaga eggulu omusanvu n'ensi, na byonna ebiri wakati wa byombi bwe yamala naatebenkera ku Arishi, okugyako yye temulina mukuumi wadde omuwolereza. abaffe temwebuulirira |
يُدَبِّرُ الْأَمْرَ مِنَ السَّمَاءِ إِلَى الْأَرْضِ ثُمَّ يَعْرُجُ إِلَيْهِ فِي يَوْمٍ كَانَ مِقْدَارُهُ أَلْفَ سَنَةٍ مِّمَّا تَعُدُّونَ (5) (Katonda) atambuza e bintu byonna (nga ebiragiro) biva mu ggulu ne bijja ku nsi, oluvanyuma (ebikwata ku bikoleddwa) birinnya ne byambuka gyali mu lunaku nga e kigero kyalwo kyenkana emyaka lukumi mu egyo gye mubala |
ذَٰلِكَ عَالِمُ الْغَيْبِ وَالشَّهَادَةِ الْعَزِيزُ الرَّحِيمُ (6) Oyo nno ye mumanyi w'ebikusike n'ebirabwako, nantakubwa ku mukono omusaasizi |
الَّذِي أَحْسَنَ كُلَّ شَيْءٍ خَلَقَهُ ۖ وَبَدَأَ خَلْقَ الْإِنسَانِ مِن طِينٍ (7) Oyo eyalungiya buli kintu kye yatonda, nga era yatandika okutonda omuntu nga amuggya mu ttaka |
ثُمَّ جَعَلَ نَسْلَهُ مِن سُلَالَةٍ مِّن مَّاءٍ مَّهِينٍ (8) Ate ezaddelye (omuntu) n'aba nga alisibimbula mu mazzi aganyoomebwa |
ثُمَّ سَوَّاهُ وَنَفَخَ فِيهِ مِن رُّوحِهِ ۖ وَجَعَلَ لَكُمُ السَّمْعَ وَالْأَبْصَارَ وَالْأَفْئِدَةَ ۚ قَلِيلًا مَّا تَشْكُرُونَ (9) Bwe yamala yamussa mu kifaananyi e kimusaanira, naamufuwamu ogumu ku myoyogye (gye yatonda edda) naabassaako amatu, n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono |
وَقَالُوا أَإِذَا ضَلَلْنَا فِي الْأَرْضِ أَإِنَّا لَفِي خَلْقٍ جَدِيدٍ ۚ بَلْ هُم بِلِقَاءِ رَبِّهِمْ كَافِرُونَ (10) Era (abatakkiriza) baagamba nti bwe tulimala okusaanirawo mu ttaka, abaffe walibaayo okutonda okupya (ne tuddawo), ekiboogeza ekyo si kirala wabula lwa kuba nti bawakanya okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe |
۞ قُلْ يَتَوَفَّاكُم مَّلَكُ الْمَوْتِ الَّذِي وُكِّلَ بِكُمْ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّكُمْ تُرْجَعُونَ (11) Bagambe nti Malayika walumbe oyo eyaweebwa obuyinza ku mmwe agenda kubatta, oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe gye mulizzibwa |
وَلَوْ تَرَىٰ إِذِ الْمُجْرِمُونَ نَاكِسُو رُءُوسِهِمْ عِندَ رَبِّهِمْ رَبَّنَا أَبْصَرْنَا وَسَمِعْنَا فَارْجِعْنَا نَعْمَلْ صَالِحًا إِنَّا مُوقِنُونَ (12) Singa olisobola okulaba aboonoonyi webalikutamiza emitwe gyabwe, mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, nga bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulabye era tuwulidde, n'olwekyo tuzzeeyo tukole e mirimu e mirungi mazima ffe tumaze okukakasa |
وَلَوْ شِئْنَا لَآتَيْنَا كُلَّ نَفْسٍ هُدَاهَا وَلَٰكِنْ حَقَّ الْقَوْلُ مِنِّي لَأَمْلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنَ الْجِنَّةِ وَالنَّاسِ أَجْمَعِينَ (13) Era singa twayagala buli mwoyo twaliguwadde obulungamu bwago, naye mazima kyakakata e kigambo okuva mu nze nti: nja kujjuliza ddala omuliro Jahannama okuva mu Majinni n'abantu bonna awamu |
فَذُوقُوا بِمَا نَسِيتُمْ لِقَاءَ يَوْمِكُمْ هَٰذَا إِنَّا نَسِينَاكُمْ ۖ وَذُوقُوا عَذَابَ الْخُلْدِ بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (14) (Baligambibwa nti) kale mukombe (ku bibonerezo) ku lw'okwerabira kwa mmwe okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, mazima ffe tubeerabidde era mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera olw'ebyo bye mwali mukola |
إِنَّمَا يُؤْمِنُ بِآيَاتِنَا الَّذِينَ إِذَا ذُكِّرُوا بِهَا خَرُّوا سُجَّدًا وَسَبَّحُوا بِحَمْدِ رَبِّهِمْ وَهُمْ لَا يَسْتَكْبِرُونَ ۩ (15) Mazima abakkiriza e bigambo byaffe, beebo buli lwe baba babuuliriddwa nabyo nga babutama wansi ne bavunnama era nebatendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era bulijjo bbo tebeekuza |
تَتَجَافَىٰ جُنُوبُهُمْ عَنِ الْمَضَاجِعِ يَدْعُونَ رَبَّهُمْ خَوْفًا وَطَمَعًا وَمِمَّا رَزَقْنَاهُمْ يُنفِقُونَ (16) Nga e mbiriizi zaabwe ziva ku buliri (e kiro) ne baba mu kusaba Mukama omulabirizi waabwe olw'okutya (ebibonerezo bye) n'olwokululunkana (okufuna ebirungi bye), era bulijjo bawaayo nga baggya Mu ebyo bye tubagabirira |
فَلَا تَعْلَمُ نَفْسٌ مَّا أُخْفِيَ لَهُم مِّن قُرَّةِ أَعْيُنٍ جَزَاءً بِمَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (17) Tewali muntu amanyi ebyo ebyabateerekerwa mu kyama mu bitebenkeza amaaso (ebyabaweebwa) nga mpeera olw'ebyo bye baali bakola |
أَفَمَن كَانَ مُؤْمِنًا كَمَن كَانَ فَاسِقًا ۚ لَّا يَسْتَوُونَ (18) Abaffe oyo abeera nga mukkiriza ayinza okuba nga oyo omwonoonyi! (e kituufu kiri nti) tebenkana |
أَمَّا الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ فَلَهُمْ جَنَّاتُ الْمَأْوَىٰ نُزُلًا بِمَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (19) Bo abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina e jjana ezeeyagaza okubeeramu, nga bugenyi (obulibaweebwa) olw'ebyo bye baakolanga |
وَأَمَّا الَّذِينَ فَسَقُوا فَمَأْوَاهُمُ النَّارُ ۖ كُلَّمَا أَرَادُوا أَن يَخْرُجُوا مِنْهَا أُعِيدُوا فِيهَا وَقِيلَ لَهُمْ ذُوقُوا عَذَابَ النَّارِ الَّذِي كُنتُم بِهِ تُكَذِّبُونَ (20) Bo abo abaayonoona obuddo bwabwe muliro, lwonna lwe baliyagalanga okugufuluma nga bazzibwamu era ne bagambibwa nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa |
وَلَنُذِيقَنَّهُم مِّنَ الْعَذَابِ الْأَدْنَىٰ دُونَ الْعَذَابِ الْأَكْبَرِ لَعَلَّهُمْ يَرْجِعُونَ (21) Era ddala tugenda kubakombesa ku bibonerezo ebinafu (mu bulamu obw'ensi) nga tebannatuuka ku bibonerezo ebinene (ku lunaku lw'enkomerero), oba oli awo ne badda (eri obutuufu) |
وَمَنْ أَظْلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِآيَاتِ رَبِّهِ ثُمَّ أَعْرَضَ عَنْهَا ۚ إِنَّا مِنَ الْمُجْرِمِينَ مُنتَقِمُونَ (22) Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo abuulirirwa ne bigambo bya Mukama omulabiriziwe ate naabivaako! Mazima ffe tugenda kubonereza aboonoonyi |
وَلَقَدْ آتَيْنَا مُوسَى الْكِتَابَ فَلَا تَكُن فِي مِرْيَةٍ مِّن لِّقَائِهِ ۖ وَجَعَلْنَاهُ هُدًى لِّبَنِي إِسْرَائِيلَ (23) Era mazima twawa Musa e kitabo (nga Taurat n'olwekyo naawe) tobeeramu kubuusabuusa mu ku kifuna (nga Kur'ani) era twakifuula bulungamu eri abaana ba Israil |
وَجَعَلْنَا مِنْهُمْ أَئِمَّةً يَهْدُونَ بِأَمْرِنَا لَمَّا صَبَرُوا ۖ وَكَانُوا بِآيَاتِنَا يُوقِنُونَ (24) Era twassaawo nga tuggya mu bo abakulembeze abalungamya (abantu) nga bakolera ku kiragiro kyaffe, kavuna bagumiikiriza era ne baba nga bakakasa obubonero bwaffe |
إِنَّ رَبَّكَ هُوَ يَفْصِلُ بَيْنَهُمْ يَوْمَ الْقِيَامَةِ فِيمَا كَانُوا فِيهِ يَخْتَلِفُونَ (25) Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ajja kusalawo wakati waabwe ku lunaku lw'enkomerero mu ebyo bye baayawukanangamu |
أَوَلَمْ يَهْدِ لَهُمْ كَمْ أَهْلَكْنَا مِن قَبْلِهِم مِّنَ الْقُرُونِ يَمْشُونَ فِي مَسَاكِنِهِمْ ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ ۖ أَفَلَا يَسْمَعُونَ (26) Abaffe tebakimanyanga mu bulambulukufu nti e mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, ate nga batambulira mu bitundu gye baabeeranga, mazima mu ekyo mulimu obubonero bwaffe. Abaffe tebawulira |
أَوَلَمْ يَرَوْا أَنَّا نَسُوقُ الْمَاءَ إِلَى الْأَرْضِ الْجُرُزِ فَنُخْرِجُ بِهِ زَرْعًا تَأْكُلُ مِنْهُ أَنْعَامُهُمْ وَأَنفُسُهُمْ ۖ أَفَلَا يُبْصِرُونَ (27) Abaffe tebalaba nti mazima ffe tusundika amazzi eri ettaka ekkalu ne tumeza nago ebirimwa, e bisolo bya bwe kwe birya nabo bennyini, abaffe tebalaba |
وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا الْفَتْحُ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (28) Era bagamba nti okuwangula (okwo kwe mwogerako) kulibaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima |
قُلْ يَوْمَ الْفَتْحِ لَا يَنفَعُ الَّذِينَ كَفَرُوا إِيمَانُهُمْ وَلَا هُمْ يُنظَرُونَ (29) Bagambe nti olunaku lw'okuwangula (bwe lulituuka) abo abaakaafuwala obukkiriza bwa bwe, (bwe baliyagala okukola mu kiseera ekyo) tebulibagasa, era tebagenda kulindirizibwa |
فَأَعْرِضْ عَنْهُمْ وَانتَظِرْ إِنَّهُم مُّنتَظِرُونَ (30) Kale nno baveeko era ggwe olindirire, mazima bbo bali mu kulindirira |