الرَّحْمَٰنُ (1) (Katonda) omusaasizi ennyo |
عَلَّمَ الْقُرْآنَ (2) Yayigiriza (omuntu) Kur’ani |
خَلَقَ الْإِنسَانَ (3) Yatonda omuntu |
عَلَّمَهُ الْبَيَانَ (4) Yamuyizigiriza okunnyonnyola |
الشَّمْسُ وَالْقَمَرُ بِحُسْبَانٍ (5) Enjuba n’omwezi bitambulira ku nteekateeka (eyabiweebwa) |
وَالنَّجْمُ وَالشَّجَرُ يَسْجُدَانِ (6) Ebiddo n’emiti (bivunnama nga bisinza Katonda) |
وَالسَّمَاءَ رَفَعَهَا وَوَضَعَ الْمِيزَانَ (7) Era eggulu yalisitula era nassaawo obwenkanya |
أَلَّا تَطْغَوْا فِي الْمِيزَانِ (8) Mube nga temusukka ebipimo (mu kutuukiriza obwenkanya) |
وَأَقِيمُوا الْوَزْنَ بِالْقِسْطِ وَلَا تُخْسِرُوا الْمِيزَانَ (9) Era muyirizeewo ebipimo mu bwenkanya era temukendezanga minzane |
وَالْأَرْضَ وَضَعَهَا لِلْأَنَامِ (10) N'ensi yagiteerawo ebitonde |
فِيهَا فَاكِهَةٌ وَالنَّخْلُ ذَاتُ الْأَكْمَامِ (11) Nga erimu ebibalo n’emitende egirina ebirimba |
وَالْحَبُّ ذُو الْعَصْفِ وَالرَّيْحَانُ (12) N'ebimera ebye mpeke eziri mu bikuta n’ebimera ebya kawoowo |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (13) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
خَلَقَ الْإِنسَانَ مِن صَلْصَالٍ كَالْفَخَّارِ (14) Yatonda omuntu mu bumba eggumu eriringa ejjokye |
وَخَلَقَ الْجَانَّ مِن مَّارِجٍ مِّن نَّارٍ (15) Ate naatonda amajinni mu bitawuliro by’omuliro |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (16) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
رَبُّ الْمَشْرِقَيْنِ وَرَبُّ الْمَغْرِبَيْنِ (17) Mukama omulabirizi w’o buvanjuba bwombi, era Mukama omulabirizi w'obugwanjuba bwombi |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (18) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
مَرَجَ الْبَحْرَيْنِ يَلْتَقِيَانِ (19) Yagatta enyanja ebbiri (ez’amazzi agenjawulo aganyweka na gatanyweka) zesisinkana |
بَيْنَهُمَا بَرْزَخٌ لَّا يَبْغِيَانِ (20) Wakati wa zombi waliwo ekyawula, tezigenda kwetabula |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (21) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
يَخْرُجُ مِنْهُمَا اللُّؤْلُؤُ وَالْمَرْجَانُ (22) Ate nga mu zombi mwe muva Luulu ne Marijaani (amayinja ag’omuwendo) |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (23) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
وَلَهُ الْجَوَارِ الْمُنشَآتُ فِي الْبَحْرِ كَالْأَعْلَامِ (24) Era gatambula ku lwo buyinza bwe amaato agakolwa ku lwo kutambulira ku nyanja nga galinga ensozi |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (25) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
كُلُّ مَنْ عَلَيْهَا فَانٍ (26) Buli kyonna ekigiriko (ensi) kya kuggwawo |
وَيَبْقَىٰ وَجْهُ رَبِّكَ ذُو الْجَلَالِ وَالْإِكْرَامِ (27) Olwo nno wasigalewo obwennyini bwa Mukama omulabirizi wo, nannyini kugulumizibwa era nannyini kitiibwa |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (28) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
يَسْأَلُهُ مَن فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ كُلَّ يَوْمٍ هُوَ فِي شَأْنٍ (29) Bimusaba ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi (naye nga) buli lunaku aba ku ngeri ndala (mu kugera kwe) |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (30) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
سَنَفْرُغُ لَكُمْ أَيُّهَ الثَّقَلَانِ (31) Tujja kubateerawo ekiseera abange mmwe ebitonde ebizito ebibiri (amajinni n’abantu, ekiseera ekyo mwe tulibalira buli omu) |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (32) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
يَا مَعْشَرَ الْجِنِّ وَالْإِنسِ إِنِ اسْتَطَعْتُمْ أَن تَنفُذُوا مِنْ أَقْطَارِ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ فَانفُذُوا ۚ لَا تَنفُذُونَ إِلَّا بِسُلْطَانٍ (33) Abange mmwe ab'oluse lwa majinni n’oluse lwa bantu, bwe muba musobola okuyita mu bitundu bye ggulu omusanvu n'ensi (mube nga mudduka ku Katonda) kale muyitemu (naye) temuyinza kuyitamu okugyako nga mulina obusobozi |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (34) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
يُرْسَلُ عَلَيْكُمَا شُوَاظٌ مِّن نَّارٍ وَنُحَاسٌ فَلَا تَنتَصِرَانِ (35) Musindikirwa mwe ab'emirundi ebiri (amajinni n’abantu) ebitawuliro byomuliro, n’ekikomo ekisaanuuse (naye temusobola kwetaasa) |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (36) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
فَإِذَا انشَقَّتِ السَّمَاءُ فَكَانَتْ وَرْدَةً كَالدِّهَانِ (37) Olwo nno eggulu bwe liribajjuka nerirabika nga ekimuli ekimyufu (olwamaanyi g’omuliro) neriba nga omuzigo omusanuuse |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (38) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
فَيَوْمَئِذٍ لَّا يُسْأَلُ عَن ذَنبِهِ إِنسٌ وَلَا جَانٌّ (39) Ku lunaku olwo ekibi omuntu (kye yakola) tekigenda kubuuzibwa muntu mulala oba ejinni |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (40) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
يُعْرَفُ الْمُجْرِمُونَ بِسِيمَاهُمْ فَيُؤْخَذُ بِالنَّوَاصِي وَالْأَقْدَامِ (41) Abonoonyi balimanyibwa olwobubonero bwabwe, olwo nno nebakwatibwa ku nviiri z’o mu buwompo n’ebigere (nebamenyebwamu nebakasukwa mu muliro) |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (42) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
هَٰذِهِ جَهَنَّمُ الَّتِي يُكَذِّبُ بِهَا الْمُجْرِمُونَ (43) Baligamba nti guno gwe muliro Jahannama abonoonyi gwe baali balimbisa |
يَطُوفُونَ بَيْنَهَا وَبَيْنَ حَمِيمٍ آنٍ (44) Bagenda kwetoloolera wakati waagwo ne wakati w'olwegye oluyitirivu lwokwokya |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (45) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
وَلِمَنْ خَافَ مَقَامَ رَبِّهِ جَنَّتَانِ (46) Era oyo eyatya okuyimirira mu kifo kya Mukama omulabirizi we alina e jjana bbiri |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (47) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
ذَوَاتَا أَفْنَانٍ (48) Ezirimu amatabi agalanda |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (49) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
فِيهِمَا عَيْنَانِ تَجْرِيَانِ (50) Mu zombi (e jjana) mulimu ensulo bbiri ezikulukuta |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (51) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
فِيهِمَا مِن كُلِّ فَاكِهَةٍ زَوْجَانِ (52) Mu zombi mulimu ku buli kika kya kibala emitindo ebiri ebiri |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (53) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
مُتَّكِئِينَ عَلَىٰ فُرُشٍ بَطَائِنُهَا مِنْ إِسْتَبْرَقٍ ۚ وَجَنَى الْجَنَّتَيْنِ دَانٍ (54) (Abalibeeramu) baliba bagalamidde ku byaliiro, nga munda mwabyo mulimu Liiri omuzito, nga ne nimiro za jjana zombi ebibala byamwo bireebeeta (byangu bya kulaba era byangu bya kunoga) |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (55) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
فِيهِنَّ قَاصِرَاتُ الطَّرْفِ لَمْ يَطْمِثْهُنَّ إِنسٌ قَبْلَهُمْ وَلَا جَانٌّ (56) Mu zo (e jjana) mulimu abakyala abamaaso amakkakkamu (embeerera) nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe (abo abaliba babaweereddwa mu jjana) |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (57) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
كَأَنَّهُنَّ الْيَاقُوتُ وَالْمَرْجَانُ (58) (Olwo bulungi bwabwe) baliba nga Yaakut ne Marijaan (amayinja ag’omuwendo) |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (59) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
هَلْ جَزَاءُ الْإِحْسَانِ إِلَّا الْإِحْسَانُ (60) Abaffe empera y’okukola obulungi (eyinza okuba ekintu ekirala kyonna) okugyako okusasulwa obulungi |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (61) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
وَمِن دُونِهِمَا جَنَّتَانِ (62) Nga oggyeko ezo ebbiri baakufuna ate e jjana endala bbiri |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (63) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
مُدْهَامَّتَانِ (64) Eza kiragala omukwafu |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (65) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
فِيهِمَا عَيْنَانِ نَضَّاخَتَانِ (66) Mu zombi mulimu ensulo bbiri ezifukumuka amazzi |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (67) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
فِيهِمَا فَاكِهَةٌ وَنَخْلٌ وَرُمَّانٌ (68) Mu zombi mulimu ebibala n’emitende ne nkoma mawanga |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (69) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
فِيهِنَّ خَيْرَاتٌ حِسَانٌ (70) Muzonna awamu zirimu abakyala abalungi be mpisa era abalungi mu ndabika |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (71) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
حُورٌ مَّقْصُورَاتٌ فِي الْخِيَامِ (72) Ba nalulungi abatafulumafuluma mu weema |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (73) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
لَمْ يَطْمِثْهُنَّ إِنسٌ قَبْلَهُمْ وَلَا جَانٌّ (74) Nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe, (abo abaliba babaweereddwa mu jjana) |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (75) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
مُتَّكِئِينَ عَلَىٰ رَفْرَفٍ خُضْرٍ وَعَبْقَرِيٍّ حِسَانٍ (76) Baliba besigamye ku mitto egiriko ebibikka ebya kiragala ne byaliiro ebirungi ennyo |
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ (77) Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) |
تَبَارَكَ اسْمُ رَبِّكَ ذِي الْجَلَالِ وَالْإِكْرَامِ (78) Sukkulumu erinnya lya Mukama omulabirizi wo nannyini kugulumizibwa n’okuweebwa ekitiibwa |