وَالشَّمْسِ وَضُحَاهَا (1) Ndayira e njuba n’okwaka kwayo |
وَالْقَمَرِ إِذَا تَلَاهَا (2) Era ndayira o mwezi bweguba nga gugoberedde e njuba (ng’egudde) |
وَالنَّهَارِ إِذَا جَلَّاهَا (3) Era ndayira obudde obw’emisana nga bwerudde enjuba |
وَاللَّيْلِ إِذَا يَغْشَاهَا (4) Era ndayira ekiro bwe kiba nga kigibisse |
وَالسَّمَاءِ وَمَا بَنَاهَا (5) Era ndayira e ggulu n’eyalitonda |
وَالْأَرْضِ وَمَا طَحَاهَا (6) Era ndayira e nsi n’oyo eyajaaliira |
وَنَفْسٍ وَمَا سَوَّاهَا (7) Era ndayira omuntu n’eyamutonda |
فَأَلْهَمَهَا فُجُورَهَا وَتَقْوَاهَا (8) N’amuwa okwawula wakati w’ekibi n’ekirungi |
قَدْ أَفْلَحَ مَن زَكَّاهَا (9) Yeesiimye alongoosa omwoyogwe okuguggya mu bibi |
وَقَدْ خَابَ مَن دَسَّاهَا (10) Aviiriddemu awo oyo agunnyika mu bibi |
كَذَّبَتْ ثَمُودُ بِطَغْوَاهَا (11) Abantu ba Thamuud, olw'obwonoonefu bwabwe baalimbisa (omubaka waabwe) |
إِذِ انبَعَثَ أَشْقَاهَا (12) Asinga obwonoonefu mu bo bwe yeesowolayo (naafumita engamiya) |
فَقَالَ لَهُمْ رَسُولُ اللَّهِ نَاقَةَ اللَّهِ وَسُقْيَاهَا (13) Omubaka wa Katonda n’abagamba “muleke e ngamiya ya Katonda n’okunywa kwayo” |
فَكَذَّبُوهُ فَعَقَرُوهَا فَدَمْدَمَ عَلَيْهِمْ رَبُّهُم بِذَنبِهِمْ فَسَوَّاهَا (14) Kyokka ne bamulimbisa ne bagifumita. Katonda omulabirizi waabwe kwe kubabuutikira olw’obwonoonefu bwabwe awatali n’omu kuwona |
وَلَا يَخَافُ عُقْبَاهَا (15) Era tatya nkomerero y'ekyo (eky'okubazikiriza) |