حم (1) Ha Mim |
تَنزِيلُ الْكِتَابِ مِنَ اللَّهِ الْعَزِيزِ الْحَكِيمِ (2) Okussa kwe kitabo (Kur’ani) kyava wa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga |
إِنَّ فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ لَآيَاتٍ لِّلْمُؤْمِنِينَ (3) Mazima mu (ggulu omusanvu n'ensi mulimu obubonero obwenkukunala (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri abakkiriza |
وَفِي خَلْقِكُمْ وَمَا يَبُثُّ مِن دَابَّةٍ آيَاتٌ لِّقَوْمٍ يُوقِنُونَ (4) Era ne mu kutondebwa kwa mmwe, neebyo byasasaanya mu bitambulira (ku nsi) bubonero eri abantu abakakasa (okubeerawo kwa Katonda n’obuyinza bwe) |
وَاخْتِلَافِ اللَّيْلِ وَالنَّهَارِ وَمَا أَنزَلَ اللَّهُ مِنَ السَّمَاءِ مِن رِّزْقٍ فَأَحْيَا بِهِ الْأَرْضَ بَعْدَ مَوْتِهَا وَتَصْرِيفِ الرِّيَاحِ آيَاتٌ لِّقَوْمٍ يَعْقِلُونَ (5) N’okwawukana kw'ekiro n’emisana nebyo Katonda byassa okuva waggulu (enkuba) mu bigabwabye naalamusa nabyo ensi olubvannyuma lw'okufa kwayo, n'okutambuza empewo bubonero eri abantu abategeera |
تِلْكَ آيَاتُ اللَّهِ نَتْلُوهَا عَلَيْكَ بِالْحَقِّ ۖ فَبِأَيِّ حَدِيثٍ بَعْدَ اللَّهِ وَآيَاتِهِ يُؤْمِنُونَ (6) Ebigambo bya Katonda ebyo (ebiraga obubonero bwe) tubikusomera mu butuufu, olwo bigambo ki oluvanyuma lwo kuwakanya Katonda n’ebigambo bye bye balikkiriza |
وَيْلٌ لِّكُلِّ أَفَّاكٍ أَثِيمٍ (7) Okubonabona kuli ku buli omuyitirivu w’okulimba omwonoonyi |
يَسْمَعُ آيَاتِ اللَّهِ تُتْلَىٰ عَلَيْهِ ثُمَّ يُصِرُّ مُسْتَكْبِرًا كَأَن لَّمْ يَسْمَعْهَا ۖ فَبَشِّرْهُ بِعَذَابٍ أَلِيمٍ (8) Awulira ebigambo bya Katonda nga bimusomerwa oluvanyuma naakalambira nga yeekuluntaza ng'alinga atabiwulidde, kale musanyuse nga (omuwa amawulire) g’ebibonerezo ebiruma ennyo |
وَإِذَا عَلِمَ مِنْ آيَاتِنَا شَيْئًا اتَّخَذَهَا هُزُوًا ۚ أُولَٰئِكَ لَهُمْ عَذَابٌ مُّهِينٌ (9) Bwamanya ekintu kyonna mu bigambo byaffe akifuula kya kujeeja, abo balina ebibonerezo ebinyoomesa |
مِّن وَرَائِهِمْ جَهَنَّمُ ۖ وَلَا يُغْنِي عَنْهُم مَّا كَسَبُوا شَيْئًا وَلَا مَا اتَّخَذُوا مِن دُونِ اللَّهِ أَوْلِيَاءَ ۖ وَلَهُمْ عَذَابٌ عَظِيمٌ (10) Mumaaso gaabwe omuliro Jahannama gubalinze era bye bakola tebigenda kubagasa kintu kyonna wadde ab’emikwano bebeteerawo nebava ku Katonda era balina ebibonerezo ebisuffu |
هَٰذَا هُدًى ۖ وَالَّذِينَ كَفَرُوا بِآيَاتِ رَبِّهِمْ لَهُمْ عَذَابٌ مِّن رِّجْزٍ أَلِيمٌ (11) (Kur’ani) eno, kyakulungamya. era abo abawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe balina ebibonerezo ebimu kwebyo ebikambwe ebiruma ennyo |
۞ اللَّهُ الَّذِي سَخَّرَ لَكُمُ الْبَحْرَ لِتَجْرِيَ الْفُلْكُ فِيهِ بِأَمْرِهِ وَلِتَبْتَغُوا مِن فَضْلِهِ وَلَعَلَّكُمْ تَشْكُرُونَ (12) Katonda yooyo eyabagondeza ennyanja, amaato gabe nga gatambulira ku yo olwekiragiro kye, era mube nga musobola okunoonya mu bigabwa bye, era musobole okwebaza |
وَسَخَّرَ لَكُم مَّا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ جَمِيعًا مِّنْهُ ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ لِّقَوْمٍ يَتَفَكَّرُونَ (13) Era yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi, nga byonna biva gyali. Mazima mwekyo mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Katonda n’obuyinza bwe) eri abantu abafumitiriza |
قُل لِّلَّذِينَ آمَنُوا يَغْفِرُوا لِلَّذِينَ لَا يَرْجُونَ أَيَّامَ اللَّهِ لِيَجْزِيَ قَوْمًا بِمَا كَانُوا يَكْسِبُونَ (14) Gamba abo abakkiriza basonyiwe abo abatasuubira (kusisinkana) naku za Katonda, alyoke asasule abantu olwebyo bye bakola |
مَنْ عَمِلَ صَالِحًا فَلِنَفْسِهِ ۖ وَمَنْ أَسَاءَ فَعَلَيْهَا ۖ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّكُمْ تُرْجَعُونَ (15) Oyo akola emirimu emirungi akolera mwoyo gwe, ate oyo ayonoona (akabi k'okwonoona kwe) kadda eri mwoyo gwe, oluvanyuma eri Mukama omulabiririz wa mmwe gye mulizzibwa |
وَلَقَدْ آتَيْنَا بَنِي إِسْرَائِيلَ الْكِتَابَ وَالْحُكْمَ وَالنُّبُوَّةَ وَرَزَقْنَاهُم مِّنَ الطَّيِّبَاتِ وَفَضَّلْنَاهُمْ عَلَى الْعَالَمِينَ (16) Mazima twawa abaana ba Israil ekitabo n’okulamula wakati wa bantu n’obwa Nabbi netubagabirira ebirungi era netubasukkulumya ku bantu abalala (abaaliwo ku mulembe gwabwe) |
وَآتَيْنَاهُم بَيِّنَاتٍ مِّنَ الْأَمْرِ ۖ فَمَا اخْتَلَفُوا إِلَّا مِن بَعْدِ مَا جَاءَهُمُ الْعِلْمُ بَغْيًا بَيْنَهُمْ ۚ إِنَّ رَبَّكَ يَقْضِي بَيْنَهُمْ يَوْمَ الْقِيَامَةِ فِيمَا كَانُوا فِيهِ يَخْتَلِفُونَ (17) Era twabawa obunnyonnyofu bwe kigambo (ekikwata ku kutumwa kwa Nabbi Muhammad) olwo nno tebayawukana okugyako luvannyuma lwa kumanya kubajjira (nga ekyo baakikola) olwo bukyayi obwali wakati waabwe, mazima Mukama omulabirizi wo agenda kulamula wakati waabwe ku lunaku lw’enkomerero mwebyo bye bayawukanangamu |
ثُمَّ جَعَلْنَاكَ عَلَىٰ شَرِيعَةٍ مِّنَ الْأَمْرِ فَاتَّبِعْهَا وَلَا تَتَّبِعْ أَهْوَاءَ الَّذِينَ لَا يَعْلَمُونَ (18) Oluvanyuma twakussa (ggwe Muhammad) ku nkola ennambulukufu ku kigambo kye (ddiini) kale gigoberere, era togoberera okwagala kwabo abatamanyi |
إِنَّهُمْ لَن يُغْنُوا عَنكَ مِنَ اللَّهِ شَيْئًا ۚ وَإِنَّ الظَّالِمِينَ بَعْضُهُمْ أَوْلِيَاءُ بَعْضٍ ۖ وَاللَّهُ وَلِيُّ الْمُتَّقِينَ (19) Anti mazima bo tebayinza kukuyamba kintu kyonna kukutaasa Katonda, era mazima abeeyisa obubi abamu mu bo banywanyi ba bannaabwe, naye Katonda ye munywanyi w'abamutya |
هَٰذَا بَصَائِرُ لِلنَّاسِ وَهُدًى وَرَحْمَةٌ لِّقَوْمٍ يُوقِنُونَ (20) Eno (Kur’ani) mumuli eri abantu, era bulungamu na kusaasira eri abantu abatya Katonda abannamaddala |
أَمْ حَسِبَ الَّذِينَ اجْتَرَحُوا السَّيِّئَاتِ أَن نَّجْعَلَهُمْ كَالَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ سَوَاءً مَّحْيَاهُمْ وَمَمَاتُهُمْ ۚ سَاءَ مَا يَحْكُمُونَ (21) Abaffe oba abo abeewerebye ebibi basuubira nti tuyinza okubafuula nga abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu nga obulamu bwabwe n’okufa kwabwe bifaanana (nedda) okulamula kwabwe kubi |
وَخَلَقَ اللَّهُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ بِالْحَقِّ وَلِتُجْزَىٰ كُلُّ نَفْسٍ بِمَا كَسَبَتْ وَهُمْ لَا يُظْلَمُونَ (22) Era Katonda yakola eggulu ne nsi mu butuufu era buli mwoyo gulyoke gube nga gusasulwa olwebyo, bye gwakola era bo si bakulyazamanyizibwa |
أَفَرَأَيْتَ مَنِ اتَّخَذَ إِلَٰهَهُ هَوَاهُ وَأَضَلَّهُ اللَّهُ عَلَىٰ عِلْمٍ وَخَتَمَ عَلَىٰ سَمْعِهِ وَقَلْبِهِ وَجَعَلَ عَلَىٰ بَصَرِهِ غِشَاوَةً فَمَن يَهْدِيهِ مِن بَعْدِ اللَّهِ ۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ (23) Abaffe olabye oyo okwagalakwe nga kwafuula Katonda we, Katonda naamubuza awamu n’okuba nti (omuntu oyo) amanyi ekituufu era naazibikira amatuuge n'omutimagwe, era nassa ku maasoge ekibikka, olwo nno ate ani ayinza okumulungamya oluvanyuma lwa Katonda (okumutusa awo), abaffe temwebulirira |
وَقَالُوا مَا هِيَ إِلَّا حَيَاتُنَا الدُّنْيَا نَمُوتُ وَنَحْيَا وَمَا يُهْلِكُنَا إِلَّا الدَّهْرُ ۚ وَمَا لَهُم بِذَٰلِكَ مِنْ عِلْمٍ ۖ إِنْ هُمْ إِلَّا يَظُنُّونَ (24) Era (abakafiiri) bagamba nti (obulamu) tebuli okugyako obulamu bwaffe obw'okunsi, tufa era netuba balamu, tewali kituggya mu bulamu okugyako myaka (gya muntu) kuggwako, naye nga tebalina kumanya kwonna ku kikwatako, tebali bo okugyako bateebereza buteebereza |
وَإِذَا تُتْلَىٰ عَلَيْهِمْ آيَاتُنَا بَيِّنَاتٍ مَّا كَانَ حُجَّتَهُمْ إِلَّا أَن قَالُوا ائْتُوا بِآبَائِنَا إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (25) Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa mu bunnyonnyofu (bwabyo), ekyekwaso kyabwe tekiba okugyako bagamba (bweba nga eriyo okuzuukira kale) mukomyewo bakadde baffe (abaafa) mwemuba mwogera mazima |
قُلِ اللَّهُ يُحْيِيكُمْ ثُمَّ يُمِيتُكُمْ ثُمَّ يَجْمَعُكُمْ إِلَىٰ يَوْمِ الْقِيَامَةِ لَا رَيْبَ فِيهِ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَ النَّاسِ لَا يَعْلَمُونَ (26) Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti Katonda y'abawa obulamu oluvanyuma nabatta ate oluvanyuma agenda kubakungaanya nga batwala eri olunaku lw’enkomerero teruliimu kubuusabuusa naye abantu abasinga obungi tebamanyi |
وَلِلَّهِ مُلْكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ وَيَوْمَ تَقُومُ السَّاعَةُ يَوْمَئِذٍ يَخْسَرُ الْمُبْطِلُونَ (27) Bwa Katonda yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi, era era bubwe olunaku lw’enkomerero lwelituuka, olunaku olwo abonoonyi balifafaganirwa |
وَتَرَىٰ كُلَّ أُمَّةٍ جَاثِيَةً ۚ كُلُّ أُمَّةٍ تُدْعَىٰ إِلَىٰ كِتَابِهَا الْيَوْمَ تُجْزَوْنَ مَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (28) (Kwolwo) oliraba buli kibiina nga kifukamidde (olwokutya). Buli kibiina kiriyitibwa okugenda awali ekitabo kyakyo (ekyo ekirimu emirimu gyabwe era baligambibwa nti) olwaleero muli ba kusasulwa ebyo bye mwali mukola |
هَٰذَا كِتَابُنَا يَنطِقُ عَلَيْكُم بِالْحَقِّ ۚ إِنَّا كُنَّا نَسْتَنسِخُ مَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (29) (Era baligambibwa nti) ekitabo kyaffe kino kiboogerako mu mazima (anti) mazima ffe twawandikanga buli kye mwakolanga |
فَأَمَّا الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ فَيُدْخِلُهُمْ رَبُّهُمْ فِي رَحْمَتِهِ ۚ ذَٰلِكَ هُوَ الْفَوْزُ الْمُبِينُ (30) Olwo nno abaakola emirimu emirongoofu Mukama omulabirizi waabwe ali bayingiza mu kusaasira kwe (era) ekyo kwe kwesiima okweyolefu |
وَأَمَّا الَّذِينَ كَفَرُوا أَفَلَمْ تَكُنْ آيَاتِي تُتْلَىٰ عَلَيْكُمْ فَاسْتَكْبَرْتُمْ وَكُنتُمْ قَوْمًا مُّجْرِمِينَ (31) Ate abo abakafuwala (Katonda alibagamba nti) abaffe ebigambo byange tebyabasomerwa ne mwekuluntaza ne mubeera abantu abonoonyi |
وَإِذَا قِيلَ إِنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ وَالسَّاعَةُ لَا رَيْبَ فِيهَا قُلْتُم مَّا نَدْرِي مَا السَّاعَةُ إِن نَّظُنُّ إِلَّا ظَنًّا وَمَا نَحْنُ بِمُسْتَيْقِنِينَ (32) Era bwe mwagambwanga nti ddala endagaano ya Katonda ya mazima era nti ekiseera ekyenkomerero tekiriimu kubuusabuusa, mwagamba nti ekiseera ekyenkomerero tetumanyi kye ki. (Ebikikwatako) tuwammanta biwammante, era ffe tetukirinaako bukakafu |
وَبَدَا لَهُمْ سَيِّئَاتُ مَا عَمِلُوا وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُوا بِهِ يَسْتَهْزِئُونَ (33) Era (awo) obubi bwebyo bye bakola buli beeyoleka era biribebungulula ebibonerezo byebyo bye baali bajeeja |
وَقِيلَ الْيَوْمَ نَنسَاكُمْ كَمَا نَسِيتُمْ لِقَاءَ يَوْمِكُمْ هَٰذَا وَمَأْوَاكُمُ النَّارُ وَمَا لَكُم مِّن نَّاصِرِينَ (34) Era baligambibwa nti olwaleero tubeerabidde nga bwe mwerabira okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, era omuliro bwe butuulo bwa mmwe era temugenda kufuna badduukirize |
ذَٰلِكُم بِأَنَّكُمُ اتَّخَذْتُمْ آيَاتِ اللَّهِ هُزُوًا وَغَرَّتْكُمُ الْحَيَاةُ الدُّنْيَا ۚ فَالْيَوْمَ لَا يُخْرَجُونَ مِنْهَا وَلَا هُمْ يُسْتَعْتَبُونَ (35) Ekyo nno mmwe (ekibatuusaako) lwakuba nti mazima mmwe ebigambo bya Katonda mwabifuula bya kujeeja era obulamu bwe nsi ne bubagayaaza, n’olwekyo olwaleero si bakugujjibwamu (omuliro) era tebagenda kugambibwa kwetonda |
فَلِلَّهِ الْحَمْدُ رَبِّ السَّمَاوَاتِ وَرَبِّ الْأَرْضِ رَبِّ الْعَالَمِينَ (36) Ebitendo byonna bya Katonda Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu, era Mukama omulabirizi we nsi, Mukama omulabirizi w’ebitonde byonna |
وَلَهُ الْكِبْرِيَاءُ فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۖ وَهُوَ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (37) Ebitiibwa byonna mu ggulu omusanvu ne nsi bibye yekka, era yye, ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga |