وَالْفَجْرِ (1) Ndayira e mambya |
وَلَيَالٍ عَشْرٍ (2) N’ebiro e kkumi |
وَالشَّفْعِ وَالْوَتْرِ (3) N’ebibiri bibiri n’ebyensusuuba |
وَاللَّيْلِ إِذَا يَسْرِ (4) N’ekiro bwekiba nga kitambula (nga kijja oba nga kivaawo) |
هَلْ فِي ذَٰلِكَ قَسَمٌ لِّذِي حِجْرٍ (5) Abaffe mu kulayira kuno temuliimu kwebuulirira eri oyo alina amagezi |
أَلَمْ تَرَ كَيْفَ فَعَلَ رَبُّكَ بِعَادٍ (6) Tewamanya ebyo Omuleziwo (Katonda) bye yatuusa ku bantu b'ekika kya A'adi |
إِرَمَ ذَاتِ الْعِمَادِ (7) Aba-Irama abawagguufu |
الَّتِي لَمْ يُخْلَقْ مِثْلُهَا فِي الْبِلَادِ (8) Tewatondebwangayo babafaanana mu nsi |
وَثَمُودَ الَّذِينَ جَابُوا الصَّخْرَ بِالْوَادِ (9) N’ebyo bye yatuusa ku ba Thamuud abaawukuulanga e njazi mu lusenyi |
وَفِرْعَوْنَ ذِي الْأَوْتَادِ (10) N'ebyo bye yatuusa ku Firaawo nannyini nkondo |
الَّذِينَ طَغَوْا فِي الْبِلَادِ (11) Abo bonna (aboogeddwako) beewaggula kuno ku nsi |
فَأَكْثَرُوا فِيهَا الْفَسَادَ (12) Ne bayitiriza nnyo obwonoonefu |
فَصَبَّ عَلَيْهِمْ رَبُّكَ سَوْطَ عَذَابٍ (13) Omuleziwo (Katonda) kye yava abafukirira e bibonerezo e by'enjawulo |
إِنَّ رَبَّكَ لَبِالْمِرْصَادِ (14) Mazima ddala Omuleziwo (Katonda) abalindiridde |
فَأَمَّا الْإِنسَانُ إِذَا مَا ابْتَلَاهُ رَبُّهُ فَأَكْرَمَهُ وَنَعَّمَهُ فَيَقُولُ رَبِّي أَكْرَمَنِ (15) Wabula omuntu, Omuleziwe (Katonda) bw'amugezesa n'amugabira e birungi, omuntu oyo agamba nti Katonda wange ampadde |
وَأَمَّا إِذَا مَا ابْتَلَاهُ فَقَدَرَ عَلَيْهِ رِزْقَهُ فَيَقُولُ رَبِّي أَهَانَنِ (16) Ku ludda olulala bw'aba amugezesezza n'amufundiza ebyenfunaye agamba nti omulezi wange (Katonda) anzikakkanyiza |
كَلَّا ۖ بَل لَّا تُكْرِمُونَ الْيَتِيمَ (17) Nedda, wabula temuyisa bulungi ba Mulekwa |
وَلَا تَحَاضُّونَ عَلَىٰ طَعَامِ الْمِسْكِينِ (18) Era temwekubiriza kuliisa banaku |
وَتَأْكُلُونَ التُّرَاثَ أَكْلًا لَّمًّا (19) Ate nga mulya emmaali ya ba Mulekwa, olulya olugimalawo |
وَتُحِبُّونَ الْمَالَ حُبًّا جَمًّا (20) Era nga mwagala eby'enfuna okwagala okuyitiridde |
كَلَّا إِذَا دُكَّتِ الْأَرْضُ دَكًّا دَكًّا (21) Nedda eyo si y'endaba e ntuufu ey’ebintu, e nsi bwe ribeera nga ebetenteddwa |
وَجَاءَ رَبُّكَ وَالْمَلَكُ صَفًّا صَفًّا (22) Omuleziwo n'ajja nga ne Ba Malayika basimbye ennyiriri |
وَجِيءَ يَوْمَئِذٍ بِجَهَنَّمَ ۚ يَوْمَئِذٍ يَتَذَكَّرُ الْإِنسَانُ وَأَنَّىٰ لَهُ الذِّكْرَىٰ (23) Era kwolwo o muliro Jahannama gulireetebwa, kwolwo nno omuntu alijjukira (bye yakola ku nsi) naye okujjukira kuno kugenda ku mugasaaki |
يَقُولُ يَا لَيْتَنِي قَدَّمْتُ لِحَيَاتِي (24) Agenda kugamba: zinsanze nze. Singa nategekera obulamu bwange buno |
فَيَوْمَئِذٍ لَّا يُعَذِّبُ عَذَابَهُ أَحَدٌ (25) Olunaku olwo (Katonda) e bibonerezo by'agenda okubonereza nabyo tewali n'omu yali abibonerezzaako |
وَلَا يُوثِقُ وَثَاقَهُ أَحَدٌ (26) Era ensiba gyalisiba ku lunaku olwo tewali yali agisibyeko |
يَا أَيَّتُهَا النَّفْسُ الْمُطْمَئِنَّةُ (27) Owange ggwe omwoyo omutebenkevu (omuntu) |
ارْجِعِي إِلَىٰ رَبِّكِ رَاضِيَةً مَّرْضِيَّةً (28) Dda eri Omuleziwo ng'oli musanyufu era asiimiddwa |
فَادْخُلِي فِي عِبَادِي (29) Olwo nno oyingire mu baddu bange (abalongoofu) |
وَادْخُلِي جَنَّتِي (30) Era oyingire mu jjana yange |