وَالسَّمَاءِ وَالطَّارِقِ (1) Ndayira e ggulu ne munyeenye ezirabika e kiro |
وَمَا أَدْرَاكَ مَا الطَّارِقُ (2) Naye omanyi e munyeenye ezirabika ekiro kye ki |
النَّجْمُ الثَّاقِبُ (3) Z’emunyeenye ezaaka ennyo ekitangaala kyazo ne kiyita mu nzikiza ne kituuka ku nsi |
إِن كُلُّ نَفْسٍ لَّمَّا عَلَيْهَا حَافِظٌ (4) Buli muntu yenna aliko abakuumi (Ba Malayika) |
فَلْيَنظُرِ الْإِنسَانُ مِمَّ خُلِقَ (5) Kale nno omuntu yalibadde atunuulira kye yatondebwamu |
خُلِقَ مِن مَّاءٍ دَافِقٍ (6) Yatondebwa ng’aggyibwa mu mazzi agasambattuka |
يَخْرُجُ مِن بَيْنِ الصُّلْبِ وَالتَّرَائِبِ (7) Nga gava wakati w’omugongo gw'omusajja n’amasaabiro g'omukazi |
إِنَّهُ عَلَىٰ رَجْعِهِ لَقَادِرٌ (8) Mazima ddala oyo (Katonda) asobolera ddala okumuzzaawo |
يَوْمَ تُبْلَى السَّرَائِرُ (9) Ku lunaku ebyama byonna lwe biribikkulwa |
فَمَا لَهُ مِن قُوَّةٍ وَلَا نَاصِرٍ (10) Omuntu tagenda kuba na maanyi gonna yadde omutaasa |
وَالسَّمَاءِ ذَاتِ الرَّجْعِ (11) Era ndayira e ggulu ewava e nkuba etonnya nga e ddingana |
وَالْأَرْضِ ذَاتِ الصَّدْعِ (12) Ne ndayira n’ettaka eryeyasa olw’okumeza e bimera |
إِنَّهُ لَقَوْلٌ فَصْلٌ (13) Mazima ddala yo (Kur'ani) kigambo ekyawula wakati w’amazima n’obulimba |
وَمَا هُوَ بِالْهَزْلِ (14) Kur'ani si ya lusaago |
إِنَّهُمْ يَكِيدُونَ كَيْدًا (15) Mazima abatakkiriza basala e nkwe |
وَأَكِيدُ كَيْدًا (16) Nange nenkola enteekateeka (zange) |
فَمَهِّلِ الْكَافِرِينَ أَمْهِلْهُمْ رُوَيْدًا (17) Abatakkiriza balindirize, nange mbawadde akaseera katono |