الر ۚ تِلْكَ آيَاتُ الْكِتَابِ وَقُرْآنٍ مُّبِينٍ (1) Alif Laam Raa, zino ze zimu ku Aya z'ekitabo, era nga ye Kur’ani ennyinyonnyofu |
رُّبَمَا يَوَدُّ الَّذِينَ كَفَرُوا لَوْ كَانُوا مُسْلِمِينَ (2) Lumu, abo abaakaafuwala balyegomba okuba nti singa baali basiraamu |
ذَرْهُمْ يَأْكُلُوا وَيَتَمَتَّعُوا وَيُلْهِهِمُ الْأَمَلُ ۖ فَسَوْفَ يَعْلَمُونَ (3) Baleke balye, era beeyagale era essuubi (mu kuwangaala) libalabankanye, kyaddaaki balimanya |
وَمَا أَهْلَكْنَا مِن قَرْيَةٍ إِلَّا وَلَهَا كِتَابٌ مَّعْلُومٌ (4) Tetwazikiriza kitundu kyonna okugyako nga kyalina ekiseera ekimanyiddwa |
مَّا تَسْبِقُ مِنْ أُمَّةٍ أَجَلَهَا وَمَا يَسْتَأْخِرُونَ (5) Tewali bantu bakulembera ntuuko yaabwe era tebayinza kusaba kwongerwayo (okusaba kwa bwe ne kuyitamu) |
وَقَالُوا يَا أَيُّهَا الَّذِي نُزِّلَ عَلَيْهِ الذِّكْرُ إِنَّكَ لَمَجْنُونٌ (6) Nebagamba (abakaafiiri) nti owange ggwe eyassibwako ekijjukiza (Kur’ani) mazima ddala ggwe oli mulalu |
لَّوْ مَا تَأْتِينَا بِالْمَلَائِكَةِ إِن كُنتَ مِنَ الصَّادِقِينَ (7) Waakiri singa otuleetera ba Malayika bwoba nga oli mu boogera amazima |
مَا نُنَزِّلُ الْمَلَائِكَةَ إِلَّا بِالْحَقِّ وَمَا كَانُوا إِذًا مُّنظَرِينَ (8) (Katonda naagamba) nti: tetussa ba Malayika okugyako lwa nsonga n'olwekyo (singa twabaweereza ba Malayika) tebandibadde balindirizibwa |
إِنَّا نَحْنُ نَزَّلْنَا الذِّكْرَ وَإِنَّا لَهُ لَحَافِظُونَ (9) Mazima ffe, ffe twassa ekijjukiza (Kur’ani) era mazima ffe tujja kugikuuma |
وَلَقَدْ أَرْسَلْنَا مِن قَبْلِكَ فِي شِيَعِ الْأَوَّلِينَ (10) Mazima nga tonnajja twatumira ebibiina ebyakulembera |
وَمَا يَأْتِيهِم مِّن رَّسُولٍ إِلَّا كَانُوا بِهِ يَسْتَهْزِئُونَ (11) Era tewali mubaka yenna eyabajjira okugyako baamujeejanga |
كَذَٰلِكَ نَسْلُكُهُ فِي قُلُوبِ الْمُجْرِمِينَ (12) (Nga bwe twayingiza obukaafiiri mu mitima gya bakaafiiri abaakulembera) bwe tutyo bwe tubuyingiza mu mitima gy'aboonoonyi (abo mu bantubo) |
لَا يُؤْمِنُونَ بِهِ ۖ وَقَدْ خَلَتْ سُنَّةُ الْأَوَّلِينَ (13) (Obubaka bwo) tebabukkiriza ate nga ekyatuuka ku baabakulembera kimanyiddwa |
وَلَوْ فَتَحْنَا عَلَيْهِم بَابًا مِّنَ السَّمَاءِ فَظَلُّوا فِيهِ يَعْرُجُونَ (14) Era singa twabaggulirawo omulyango mu ggulu nebaba nga balinnyira mu gwo (nga bwe bakka) |
لَقَالُوا إِنَّمَا سُكِّرَتْ أَبْصَارُنَا بَلْ نَحْنُ قَوْمٌ مَّسْحُورُونَ (15) Baaligambye nti mazima amaaso gaffe gatamiiziddwa si nakindi ffe tuli bantu abaloge |
وَلَقَدْ جَعَلْنَا فِي السَّمَاءِ بُرُوجًا وَزَيَّنَّاهَا لِلنَّاظِرِينَ (16) Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi |
وَحَفِظْنَاهَا مِن كُلِّ شَيْطَانٍ رَّجِيمٍ (17) Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda |
إِلَّا مَنِ اسْتَرَقَ السَّمْعَ فَأَتْبَعَهُ شِهَابٌ مُّبِينٌ (18) Wabula oyo Sitane aba awulirizza mu bubba olwo nno ekitawuliro ekyeyolefu nekimufubutula emisinde |
وَالْأَرْضَ مَدَدْنَاهَا وَأَلْقَيْنَا فِيهَا رَوَاسِيَ وَأَنبَتْنَا فِيهَا مِن كُلِّ شَيْءٍ مَّوْزُونٍ (19) N’ensi twagigaziya, netugisimbamu enkondo (ensozi), netumeza mu yo buli kintu nga kya kigero |
وَجَعَلْنَا لَكُمْ فِيهَا مَعَايِشَ وَمَن لَّسْتُمْ لَهُ بِرَازِقِينَ (20) Netubateera (mmwe) mu yo ebiyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'ebiyimirizaawo obulamu bw'ebyo bye mutaliisa |
وَإِن مِّن شَيْءٍ إِلَّا عِندَنَا خَزَائِنُهُ وَمَا نُنَزِّلُهُ إِلَّا بِقَدَرٍ مَّعْلُومٍ (21) Tewali kintu kyonna okugyako nga ffe tulina amawanika g'akyo ate tetubissa okugyako nga kigero ekisaliddwawo |
وَأَرْسَلْنَا الرِّيَاحَ لَوَاقِحَ فَأَنزَلْنَا مِنَ السَّمَاءِ مَاءً فَأَسْقَيْنَاكُمُوهُ وَمَا أَنتُمْ لَهُ بِخَازِنِينَ (22) Era tusindika empewo eyamba ebire okubaamu amazzi, olwo nno netussa enkuba okuva waggulu, netubanywekereza nayo mmwe, so nga si mmwe muba mugaterese |
وَإِنَّا لَنَحْنُ نُحْيِي وَنُمِيتُ وَنَحْنُ الْوَارِثُونَ (23) Era mazima ffe tuwa obulamu, era netutta era ffe tugenda okusigalawo |
وَلَقَدْ عَلِمْنَا الْمُسْتَقْدِمِينَ مِنكُمْ وَلَقَدْ عَلِمْنَا الْمُسْتَأْخِرِينَ (24) Era mazima ddala twamanya abalisooka mu mmwe (okufa) era mazima twamanya abalisembayo |
وَإِنَّ رَبَّكَ هُوَ يَحْشُرُهُمْ ۚ إِنَّهُ حَكِيمٌ عَلِيمٌ (25) Era mazima Mukama omulabiriziwo yaali bakunganya (ku lunaku lw'enkomerero) anti mazima yye mugoba nsonga, muyitirivu wa kumanya |
وَلَقَدْ خَلَقْنَا الْإِنسَانَ مِن صَلْصَالٍ مِّنْ حَمَإٍ مَّسْنُونٍ (26) Mazima twakola omuntu (Adam) mu bbumba ettabule nga liddugavu |
وَالْجَانَّ خَلَقْنَاهُ مِن قَبْلُ مِن نَّارِ السَّمُومِ (27) N'amajjini twagatonda oluberyeberye mu muliro omuyitirivu ogwokya ennyo |
وَإِذْ قَالَ رَبُّكَ لِلْمَلَائِكَةِ إِنِّي خَالِقٌ بَشَرًا مِّن صَلْصَالٍ مِّنْ حَمَإٍ مَّسْنُونٍ (28) Jjukira ggwe (Nabbi Muhammad) Mukama omulabiriziwo bwe yagamba ba Malayika nti: mazima nja kutonda omuntu nga muggya mu bbumba ekkaze |
فَإِذَا سَوَّيْتُهُ وَنَفَخْتُ فِيهِ مِن رُّوحِي فَقَعُوا لَهُ سَاجِدِينَ (29) Olwo nno bwe nnamala okumwenkanyankanya, nenfuuwa mu ye omwoyo oguva gyendi kale nno mugwe wansi nga mumuvunnamira |
فَسَجَدَ الْمَلَائِكَةُ كُلُّهُمْ أَجْمَعُونَ (30) Olwo ba Malayika bonna nebavunnama |
إِلَّا إِبْلِيسَ أَبَىٰ أَن يَكُونَ مَعَ السَّاجِدِينَ (31) Okugyako Ibuliisu yagaana okubeera mu bavunnama |
قَالَ يَا إِبْلِيسُ مَا لَكَ أَلَّا تَكُونَ مَعَ السَّاجِدِينَ (32) (Katonda) kwe kugamba nti: owange ggwe Ibuliisu ki ekikugaanye okuvunnama n'abavunnami |
قَالَ لَمْ أَكُن لِّأَسْجُدَ لِبَشَرٍ خَلَقْتَهُ مِن صَلْصَالٍ مِّنْ حَمَإٍ مَّسْنُونٍ (33) (Ibuliisu) nti: sandibadde avunnamira omuntu, gwotonze nga omuggya mu bbumba ekkaze eriddugavu |
قَالَ فَاخْرُجْ مِنْهَا فَإِنَّكَ رَجِيمٌ (34) (Katonda) kwe kumugamba nti gifulume (e jjana) anti ggwe ogobeddwa okuva mu kusaasira kwa Katonda |
وَإِنَّ عَلَيْكَ اللَّعْنَةَ إِلَىٰ يَوْمِ الدِّينِ (35) Era mazima ekikolimo kibeere ku ggwe okutuusiza ddala olunaku lw'okubalibwa |
قَالَ رَبِّ فَأَنظِرْنِي إِلَىٰ يَوْمِ يُبْعَثُونَ (36) (Ibuliisu) naagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi wange, nnindiriza okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa |
قَالَ فَإِنَّكَ مِنَ الْمُنظَرِينَ (37) (Katonda) naagamba nti kale oli mubalindiriziddwa |
إِلَىٰ يَوْمِ الْوَقْتِ الْمَعْلُومِ (38) Okutuusa ku lunaku lw'ekiseera ekimanyiddwa (ebitonde byonna lwe birizikirira) |
قَالَ رَبِّ بِمَا أَغْوَيْتَنِي لَأُزَيِّنَنَّ لَهُمْ فِي الْأَرْضِ وَلَأُغْوِيَنَّهُمْ أَجْمَعِينَ (39) (Ibuliisu) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nga bwombuzizza, mazima nja kubawundira kuno ku nsi (obujeemu n'ebibi bibe nga by'ebirungi mu maaso gaabwe) era nja kubabuliza ddala bonna |
إِلَّا عِبَادَكَ مِنْهُمُ الْمُخْلَصِينَ (40) Okugyako abaddubo mu bo abalondobemu |
قَالَ هَٰذَا صِرَاطٌ عَلَيَّ مُسْتَقِيمٌ (41) (Katonda) naagamba nti lino kkubo ggolokofu |
إِنَّ عِبَادِي لَيْسَ لَكَ عَلَيْهِمْ سُلْطَانٌ إِلَّا مَنِ اتَّبَعَكَ مِنَ الْغَاوِينَ (42) Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza, mpozzi abo abakugoberera mu babuze |
وَإِنَّ جَهَنَّمَ لَمَوْعِدُهُمْ أَجْمَعِينَ (43) Era mazima omuliro Jahannama gwabalagaanyisibwa bonna |
لَهَا سَبْعَةُ أَبْوَابٍ لِّكُلِّ بَابٍ مِّنْهُمْ جُزْءٌ مَّقْسُومٌ (44) Gulina emiryango musanvu, buli mulyango gulina mu bo omuteeko ogwagugerekerwa |
إِنَّ الْمُتَّقِينَ فِي جَنَّاتٍ وَعُيُونٍ (45) Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n'ensulo nga zikulukuta |
ادْخُلُوهَا بِسَلَامٍ آمِنِينَ (46) (Baligambibwa) nti mugiyingire nga muli mirembe nga temulina kutya kwonna |
وَنَزَعْنَا مَا فِي صُدُورِهِم مِّنْ غِلٍّ إِخْوَانًا عَلَىٰ سُرُرٍ مُّتَقَابِلِينَ (47) Netujjawo buli kakuku akali mu bifuba bya bwe nebaba ab'oluganda. Olwo nno nga bali ku bitanda nga batunuuliganye (banyumya) |
لَا يَمَسُّهُمْ فِيهَا نَصَبٌ وَمَا هُم مِّنْهَا بِمُخْرَجِينَ (48) Tebagenda kutuukibwako kukoowa era nga bwe batagenda kufulumizibwamu |
۞ نَبِّئْ عِبَادِي أَنِّي أَنَا الْغَفُورُ الرَّحِيمُ (49) Tegeeza abaddu bange nti nze musonyiyi ennyo omusaasizi |
وَأَنَّ عَذَابِي هُوَ الْعَذَابُ الْأَلِيمُ (50) Era nti mazima ebibonerezo byange by'ebibonerezo ebiruma ennyo |
وَنَبِّئْهُمْ عَن ضَيْفِ إِبْرَاهِيمَ (51) Era bategeeze ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim |
إِذْ دَخَلُوا عَلَيْهِ فَقَالُوا سَلَامًا قَالَ إِنَّا مِنكُمْ وَجِلُونَ (52) Mu kiseera bwe baayingira we yali nebagamba nti mirembe (Salaamu) naagamba (Ibrahim) mazima ffe tubatidde |
قَالُوا لَا تَوْجَلْ إِنَّا نُبَشِّرُكَ بِغُلَامٍ عَلِيمٍ (53) Nebagamba nti totya, mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala) omwana omulenzi omumanyi ennyo |
قَالَ أَبَشَّرْتُمُونِي عَلَىٰ أَن مَّسَّنِيَ الْكِبَرُ فَبِمَ تُبَشِّرُونَ (54) (Ibrahim) naagamba nti: mumpa amawulire ag'essanyu nga n'obukadde bumaze okunzingiza olwo mawulire ga ssanyu nnabaki |
قَالُوا بَشَّرْنَاكَ بِالْحَقِّ فَلَا تَكُن مِّنَ الْقَانِطِينَ (55) Nebagamba nti, tukuwadde amawulire ag'essanyu mu bwesimbu, tobeeranga mu bakutuka n'okusuubira |
قَالَ وَمَن يَقْنَطُ مِن رَّحْمَةِ رَبِّهِ إِلَّا الضَّالُّونَ (56) Naagamba nti nga ani akutuka n'okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe mpozzi ababuze |
قَالَ فَمَا خَطْبُكُمْ أَيُّهَا الْمُرْسَلُونَ (57) Naagamba nti kiki ekibaleese abange mmwe abatumiddwa |
قَالُوا إِنَّا أُرْسِلْنَا إِلَىٰ قَوْمٍ مُّجْرِمِينَ (58) Nebagamba nti: mazima ffe tusindikiddwa eri abantu aboonoonyi |
إِلَّا آلَ لُوطٍ إِنَّا لَمُنَجُّوهُمْ أَجْمَعِينَ (59) Ng'oggyeko abenju ya Luutu mazima ddala ffe bonna tujja kubawonya |
إِلَّا امْرَأَتَهُ قَدَّرْنَا ۙ إِنَّهَا لَمِنَ الْغَابِرِينَ (60) Okugyako mukyalawe, twakisalawo nti mazima yye waakubeera mu abo abataligenda (naye) |
فَلَمَّا جَاءَ آلَ لُوطٍ الْمُرْسَلُونَ (61) Ababaka bwe baatuuka awali abantu ba (Nabbi) Luutu |
قَالَ إِنَّكُمْ قَوْمٌ مُّنكَرُونَ (62) (Luutu) naagamba nti mazima mmwe muli abantu abatamanyidddwa |
قَالُوا بَلْ جِئْنَاكَ بِمَا كَانُوا فِيهِ يَمْتَرُونَ (63) Nebagamba nti: ssi ekyo kyokka wabula tukujjidde n'ekyo kye baali babuusabuusa |
وَأَتَيْنَاكَ بِالْحَقِّ وَإِنَّا لَصَادِقُونَ (64) Era tukuleetedde amazima, era ddala ffe bye twogera bituufu |
فَأَسْرِ بِأَهْلِكَ بِقِطْعٍ مِّنَ اللَّيْلِ وَاتَّبِعْ أَدْبَارَهُمْ وَلَا يَلْتَفِتْ مِنكُمْ أَحَدٌ وَامْضُوا حَيْثُ تُؤْمَرُونَ (65) Kale tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro era (ggwe) baveeko emabega tewaba omu ku mmwe akyuka, era mugende eyo gye mulagiddwa |
وَقَضَيْنَا إِلَيْهِ ذَٰلِكَ الْأَمْرَ أَنَّ دَابِرَ هَٰؤُلَاءِ مَقْطُوعٌ مُّصْبِحِينَ (66) Netumuwa ekiragiro nti abasembayo ku bo baakuggwawo nga busaasaana |
وَجَاءَ أَهْلُ الْمَدِينَةِ يَسْتَبْشِرُونَ (67) Abantu bo mu kibuga nebajja (ewa Luutu) nga bafa essanyu (olw'abagenyi abavubuka abaali bakyaddeyo) |
قَالَ إِنَّ هَٰؤُلَاءِ ضَيْفِي فَلَا تَفْضَحُونِ (68) (Luutu) naagamba nti mazima abo bemulaba bagenyi bange temunsonyiwaza |
وَاتَّقُوا اللَّهَ وَلَا تُخْزُونِ (69) Era mutye Katonda temunswaza |
قَالُوا أَوَلَمْ نَنْهَكَ عَنِ الْعَالَمِينَ (70) Nebagamba nti: abaffe tetwakugaana (okuleeta wano) abantu |
قَالَ هَٰؤُلَاءِ بَنَاتِي إِن كُنتُمْ فَاعِلِينَ (71) Naabagamba nti bawala bange baabo bwe muba nga mulina kukikola |
لَعَمْرُكَ إِنَّهُمْ لَفِي سَكْرَتِهِمْ يَعْمَهُونَ (72) (Katonda agamba nti) ndayidde obulamu bwo (ggwe Muhammad) mazima bo mu kukola ebyo byonna, baali babuyaanira mu butamiivu bwabwe |
فَأَخَذَتْهُمُ الصَّيْحَةُ مُشْرِقِينَ (73) Okubwatuka (okwamaanyi) nekubatuukako nga enjuba evaayo |
فَجَعَلْنَا عَالِيَهَا سَافِلَهَا وَأَمْطَرْنَا عَلَيْهِمْ حِجَارَةً مِّن سِجِّيلٍ (74) (Netuvuunika ebyalo byabwe) netuzza waggulu waabyo wansi, netubafukirira amayinja ag'o mu bbumba eryokye |
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ لِّلْمُتَوَسِّمِينَ (75) Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abo abalondoozi b'obubonero |
وَإِنَّهَا لَبِسَبِيلٍ مُّقِيمٍ (76) Era mazima ebyalo ebyo (ebyazikirizibwa) biri ku kkubo erikyaliwo (agendayo asobola okubiraba) |
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَةً لِّلْمُؤْمِنِينَ (77) Mazima mu ebyo mulimu akabonero (akalaga obusobozi bwa Katonda) eri abakkiriza |
وَإِن كَانَ أَصْحَابُ الْأَيْكَةِ لَظَالِمِينَ (78) Era mazima n'abantu b'omukibira baali beeyisa bubi |
فَانتَقَمْنَا مِنْهُمْ وَإِنَّهُمَا لَبِإِمَامٍ مُّبِينٍ (79) Netubazikiriza era mazima abantu ab'emirundi ebiri (aba Luutu ne Swaibu) baali ku kkubo erimanyiddwa (buli ayitawo alabawo) |
وَلَقَدْ كَذَّبَ أَصْحَابُ الْحِجْرِ الْمُرْسَلِينَ (80) Mazima abantu be Hijiri baalimbisa ababaka (bwe baalimbisa Nabbi Swaleh) |
وَآتَيْنَاهُمْ آيَاتِنَا فَكَانُوا عَنْهَا مُعْرِضِينَ (81) Era netubaleetera obubonero bwaffe naye nebabwawukanako |
وَكَانُوا يَنْحِتُونَ مِنَ الْجِبَالِ بُيُوتًا آمِنِينَ (82) Baasimanga ensozi, nebakolamu amayumba mwe baawangaaliranga mu ddembe |
فَأَخَذَتْهُمُ الصَّيْحَةُ مُصْبِحِينَ (83) Okubwatuka nekubakwata nga bukya |
فَمَا أَغْنَىٰ عَنْهُم مَّا كَانُوا يَكْسِبُونَ (84) Ebyo bye baakolanga tebyabayamba |
وَمَا خَلَقْنَا السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ وَمَا بَيْنَهُمَا إِلَّا بِالْحَقِّ ۗ وَإِنَّ السَّاعَةَ لَآتِيَةٌ ۖ فَاصْفَحِ الصَّفْحَ الْجَمِيلَ (85) Era tetwatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi okugyako ku lwakigendererwa, era nti mazima essaawa esembayo ejja kutuuka, kale nno lekera olulekera olulungi |
إِنَّ رَبَّكَ هُوَ الْخَلَّاقُ الْعَلِيمُ (86) Mazima Mukama omulabiriziwo yye ye mutonzi amanyi ennyo |
وَلَقَدْ آتَيْنَاكَ سَبْعًا مِّنَ الْمَثَانِي وَالْقُرْآنَ الْعَظِيمَ (87) Era mazima twakuwa ayaa omusanvu eziddinganwa (Surat Al Fatiha) ne Kur’ani ey'ekitiibwa (yonna) |
لَا تَمُدَّنَّ عَيْنَيْكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعْنَا بِهِ أَزْوَاجًا مِّنْهُمْ وَلَا تَحْزَنْ عَلَيْهِمْ وَاخْفِضْ جَنَاحَكَ لِلْمُؤْمِنِينَ (88) Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza |
وَقُلْ إِنِّي أَنَا النَّذِيرُ الْمُبِينُ (89) Era bagambe nti mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu |
كَمَا أَنزَلْنَا عَلَى الْمُقْتَسِمِينَ (90) Nga bwe twassa ku abo abagabanya (mu bubaka bwa Katonda) |
الَّذِينَ جَعَلُوا الْقُرْآنَ عِضِينَ (91) Abo abafuula Kur’ani ebiwayi |
فَوَرَبِّكَ لَنَسْأَلَنَّهُمْ أَجْمَعِينَ (92) Ndayira Mukama omulabiriziwo nti mazima bonna tugenda kubabuuliza ddala |
عَمَّا كَانُوا يَعْمَلُونَ (93) Ku ebyo bye baakolanga |
فَاصْدَعْ بِمَا تُؤْمَرُ وَأَعْرِضْ عَنِ الْمُشْرِكِينَ (94) Kale yogera mu lwatu ekyo ekikulagirwa, era oyawukane ku bagatta ku Katonda ebintu ebirala |
إِنَّا كَفَيْنَاكَ الْمُسْتَهْزِئِينَ (95) Mazima ffe twakumalira abajeeja |
الَّذِينَ يَجْعَلُونَ مَعَ اللَّهِ إِلَٰهًا آخَرَ ۚ فَسَوْفَ يَعْلَمُونَ (96) Abo abassa ku Katonda ba katonda abalala, nebwebuliba ddi balimanya |
وَلَقَدْ نَعْلَمُ أَنَّكَ يَضِيقُ صَدْرُكَ بِمَا يَقُولُونَ (97) Tumanyidde ddala nti mazima ggwe ekifuba kyo kifunda olw'ebyo bye boogera |
فَسَبِّحْ بِحَمْدِ رَبِّكَ وَكُن مِّنَ السَّاجِدِينَ (98) (Ggwe kyoba okola) tendereza ebitendo bya Mukama omulabiriziwo era obeere mu bavunnama |
وَاعْبُدْ رَبَّكَ حَتَّىٰ يَأْتِيَكَ الْيَقِينُ (99) Era sinza Mukama omulabiriziwo okutuusa obukakafu (okufa) lwe bulikujjira |