المص (1) Alif Laam Miim Swad |
كِتَابٌ أُنزِلَ إِلَيْكَ فَلَا يَكُن فِي صَدْرِكَ حَرَجٌ مِّنْهُ لِتُنذِرَ بِهِ وَذِكْرَىٰ لِلْمُؤْمِنِينَ (2) Kino kitabo e kyassibwa gyoli, tekisaanye kukuleetera nkeka, batiise nakyo era nga kya kwebuulirira eri abakkiriza |
اتَّبِعُوا مَا أُنزِلَ إِلَيْكُم مِّن رَّبِّكُمْ وَلَا تَتَّبِعُوا مِن دُونِهِ أَوْلِيَاءَ ۗ قَلِيلًا مَّا تَذَكَّرُونَ (3) Mugoberere ebyo ebyassibwa gye muli nga biva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, temumulekangawo nemugoberera abalala, (ekibi) mujjukira kitono |
وَكَم مِّن قَرْيَةٍ أَهْلَكْنَاهَا فَجَاءَهَا بَأْسُنَا بَيَاتًا أَوْ هُمْ قَائِلُونَ (4) E bitundu bimeka bye twazikiriza! E bibonerezo byaffe ne bibatuukako e kiro, nga beebase oba ne bibatuukako e misana nga bawumuddeko |
فَمَا كَانَ دَعْوَاهُمْ إِذْ جَاءَهُم بَأْسُنَا إِلَّا أَن قَالُوا إِنَّا كُنَّا ظَالِمِينَ (5) Ebibonerezo byaffe bwe byabajjira tebaalina kyakwogera okugyako okugamba nti, mazima ddala tubadde tweyisa bubi |
فَلَنَسْأَلَنَّ الَّذِينَ أُرْسِلَ إِلَيْهِمْ وَلَنَسْأَلَنَّ الْمُرْسَلِينَ (6) Tugenda kubuuliza ddala abo abaatumirwa era nga bwe tugenda okubuuliza ddala abaatumwa |
فَلَنَقُصَّنَّ عَلَيْهِم بِعِلْمٍ ۖ وَمَا كُنَّا غَائِبِينَ (7) Tugenda kubatottolera ddala olw'okumanya (kwaffe), anti tetubulangako (webakolera kintu kyonna) |
وَالْوَزْنُ يَوْمَئِذٍ الْحَقُّ ۚ فَمَن ثَقُلَتْ مَوَازِينُهُ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الْمُفْلِحُونَ (8) Okupima ku lunaku olwo kugenda kubeera kwa bwenkanya. Oyo yenna e birizitowa e bipimwa bye, abo nno be bagenda okubalibwa nti batuuse ku buwanguzi |
وَمَنْ خَفَّتْ مَوَازِينُهُ فَأُولَٰئِكَ الَّذِينَ خَسِرُوا أَنفُسَهُم بِمَا كَانُوا بِآيَاتِنَا يَظْلِمُونَ (9) Oyo yenna e biriwewuka e bipimwa bye, abo nno beebo abafaafaaganirwa e myooyo gyabwe okusinziira ku ngeri gye beeyisangamu obubi ku bikwata ku bigambo byaffe |
وَلَقَدْ مَكَّنَّاكُمْ فِي الْأَرْضِ وَجَعَلْنَا لَكُمْ فِيهَا مَعَايِشَ ۗ قَلِيلًا مَّا تَشْكُرُونَ (10) Mazima twabawa obuyinza ku nsi ne tugibateeramu e bibabeezaawo (wabula) musiima kitono |
وَلَقَدْ خَلَقْنَاكُمْ ثُمَّ صَوَّرْنَاكُمْ ثُمَّ قُلْنَا لِلْمَلَائِكَةِ اسْجُدُوا لِآدَمَ فَسَجَدُوا إِلَّا إِبْلِيسَ لَمْ يَكُن مِّنَ السَّاجِدِينَ (11) Era mazima twabatonda mmwe, oluvanyuma twabawa e bifaananyi bya mmwe oluvanyuma ne tugamba ba malayika muvunnamire Adam ne bavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) ataali mu baavunnama |
قَالَ مَا مَنَعَكَ أَلَّا تَسْجُدَ إِذْ أَمَرْتُكَ ۖ قَالَ أَنَا خَيْرٌ مِّنْهُ خَلَقْتَنِي مِن نَّارٍ وَخَلَقْتَهُ مِن طِينٍ (12) Katonda naagamba nti: kiki ekikugaanye okuvunnama bwe nkulagidde, (Sitane) naagamba nti nze mulungi okusinga yye, wantonda mu muliro, ate yye n'omutonda mu ttaka |
قَالَ فَاهْبِطْ مِنْهَا فَمَا يَكُونُ لَكَ أَن تَتَكَبَّرَ فِيهَا فَاخْرُجْ إِنَّكَ مِنَ الصَّاغِرِينَ (13) Katonda naagamba nti gifulume (e jjana), tolina lukusa kuwaganyaliramu, kale fuluma mazima ggwe oli mu bakkakkanyiziddwa |
قَالَ أَنظِرْنِي إِلَىٰ يَوْمِ يُبْعَثُونَ (14) (Sitane) naagamba nti nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa |
قَالَ إِنَّكَ مِنَ الْمُنظَرِينَ (15) (Katonda), naagamba nti, mazima ggwe okkiriziddwa okubeera mu balindirizibwa |
قَالَ فَبِمَا أَغْوَيْتَنِي لَأَقْعُدَنَّ لَهُمْ صِرَاطَكَ الْمُسْتَقِيمَ (16) (Sitane) naagamba nti, nga bwombuzizza nja kubateeganga ku kkubo lyo e ggolokofu |
ثُمَّ لَآتِيَنَّهُم مِّن بَيْنِ أَيْدِيهِمْ وَمِنْ خَلْفِهِمْ وَعَنْ أَيْمَانِهِمْ وَعَن شَمَائِلِهِمْ ۖ وَلَا تَجِدُ أَكْثَرَهُمْ شَاكِرِينَ (17) Olwo nno ndyoke mbalumbire ddala nga mbava mu maaso ne mabega waabwe ne ku ddyo waabwe ne kkono, era togenda kusanga abasinga obungi mu bo nga beebaza |
قَالَ اخْرُجْ مِنْهَا مَذْءُومًا مَّدْحُورًا ۖ لَّمَن تَبِعَكَ مِنْهُمْ لَأَمْلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنكُمْ أَجْمَعِينَ (18) (Katonda) naagamba nti gifulume ng’ovumirirwa ng’ogobeddwa, oyo yenna alikugoberera mu bo ggwe nabo mwenna ngenda kubajjuza mu muliro |
وَيَا آدَمُ اسْكُنْ أَنتَ وَزَوْجُكَ الْجَنَّةَ فَكُلَا مِنْ حَيْثُ شِئْتُمَا وَلَا تَقْرَبَا هَٰذِهِ الشَّجَرَةَ فَتَكُونَا مِنَ الظَّالِمِينَ (19) Era netugamba Adam nti ggwe ne Mukyalawo mubeere mu jjana mwembi mulye wonna wemwagala, naye temusemberera omuti guno ne kibatuusa mwembiriri okubalibwa mu beeyisa obubi |
فَوَسْوَسَ لَهُمَا الشَّيْطَانُ لِيُبْدِيَ لَهُمَا مَا وُورِيَ عَنْهُمَا مِن سَوْآتِهِمَا وَقَالَ مَا نَهَاكُمَا رَبُّكُمَا عَنْ هَٰذِهِ الشَّجَرَةِ إِلَّا أَن تَكُونَا مَلَكَيْنِ أَوْ تَكُونَا مِنَ الْخَالِدِينَ (20) Sitane naababuzaabuza neeba e nsonga gye yayitamu okubalaga obwereere bwabwe obwo obwali butabamanyisiddwa. (Sitane) naagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe mwembiriri teyabagaana muti guno okugyako lwakuba nti mwembiriri mwandibadde ba Malayika oba mwembiriri okubeera abalamu olubeerera |
وَقَاسَمَهُمَا إِنِّي لَكُمَا لَمِنَ النَّاصِحِينَ (21) (Sitane) naabalayirira nti mazima ddala nze era ku mmwe mwembiriri ndi omu kubawi ba magezi |
فَدَلَّاهُمَا بِغُرُورٍ ۚ فَلَمَّا ذَاقَا الشَّجَرَةَ بَدَتْ لَهُمَا سَوْآتُهُمَا وَطَفِقَا يَخْصِفَانِ عَلَيْهِمَا مِن وَرَقِ الْجَنَّةِ ۖ وَنَادَاهُمَا رَبُّهُمَا أَلَمْ أَنْهَكُمَا عَن تِلْكُمَا الشَّجَرَةِ وَأَقُل لَّكُمَا إِنَّ الشَّيْطَانَ لَكُمَا عَدُوٌّ مُّبِينٌ (22) Naababuza bombi ng’ayita mu kubakwenyakwenya, bwe baamala okukomba ku buwoomu bw’omuti, obwereere bwabwe bwa beeyoleka, olwo nno ne batandika okunoga nga bwe beebikkako e bikoola byo mu jjana Mukama omulabirizi waabwe naabakoowoola (mu ddoboozi eryomwanguka) nti, ssaabagaana mwembiriri omuti ogwo era mwembiriri nembagamba nti mazima ddala Sitane mulabe ow'olwatu ku mmwe mwembiriri |
قَالَا رَبَّنَا ظَلَمْنَا أَنفُسَنَا وَإِن لَّمْ تَغْفِرْ لَنَا وَتَرْحَمْنَا لَنَكُونَنَّ مِنَ الْخَاسِرِينَ (23) Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tweyisizza bubi, bwonooba totusonyiwe n’otusaasira tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa |
قَالَ اهْبِطُوا بَعْضُكُمْ لِبَعْضٍ عَدُوٌّ ۖ وَلَكُمْ فِي الْأَرْضِ مُسْتَقَرٌّ وَمَتَاعٌ إِلَىٰ حِينٍ (24) (Katonda) naagamba nti mugende, abamu mu mmwe nga muli balabe ba bannaabwe, mujja kutuulanga ku nsi n'okweyagala okutuusa e kiseera e kigere |
قَالَ فِيهَا تَحْيَوْنَ وَفِيهَا تَمُوتُونَ وَمِنْهَا تُخْرَجُونَ (25) (Katonda) naagamba nti mu yo mwemujja okuwangaaliranga, mu yo mwemulifiira, era nga mu yo mwemugenda okujjibwa (muzuukire) |
يَا بَنِي آدَمَ قَدْ أَنزَلْنَا عَلَيْكُمْ لِبَاسًا يُوَارِي سَوْآتِكُمْ وَرِيشًا ۖ وَلِبَاسُ التَّقْوَىٰ ذَٰلِكَ خَيْرٌ ۚ ذَٰلِكَ مِنْ آيَاتِ اللَّهِ لَعَلَّهُمْ يَذَّكَّرُونَ (26) Abange mmwe abaana ba Adam mazima twabawae byambalo e bibikka obwereere bwa mmwe, netubawa ne byambalo bye mwewunda nabyo, wabula e kyambalo ky’okutya Katonda kyo kye kisinga obulungi. Bino bye bimu ku bigambo bya Katonda (bya batumira babe nga beebuulirira) |
يَا بَنِي آدَمَ لَا يَفْتِنَنَّكُمُ الشَّيْطَانُ كَمَا أَخْرَجَ أَبَوَيْكُم مِّنَ الْجَنَّةِ يَنزِعُ عَنْهُمَا لِبَاسَهُمَا لِيُرِيَهُمَا سَوْآتِهِمَا ۗ إِنَّهُ يَرَاكُمْ هُوَ وَقَبِيلُهُ مِنْ حَيْثُ لَا تَرَوْنَهُمْ ۗ إِنَّا جَعَلْنَا الشَّيَاطِينَ أَوْلِيَاءَ لِلَّذِينَ لَا يُؤْمِنُونَ (27) Abange mmwe abaana ba Adam, Sitane tababuzaabuzanga, nga bweyajja bakadde ba mmwe mu jjana n'aba nga abajjako e byambalo bya bwe olwo nno abenga abalaga nti bali bwereere, anti mazima yye (Sitane) ne banne babalaba mmwe wemutabalabira, anti twafuula zi Sitane okuba mikwano ffa nfe eri abo abatakkiriza |
وَإِذَا فَعَلُوا فَاحِشَةً قَالُوا وَجَدْنَا عَلَيْهَا آبَاءَنَا وَاللَّهُ أَمَرَنَا بِهَا ۗ قُلْ إِنَّ اللَّهَ لَا يَأْمُرُ بِالْفَحْشَاءِ ۖ أَتَقُولُونَ عَلَى اللَّهِ مَا لَا تَعْلَمُونَ (28) Bwe baba bakoze e kyobuwemu bagamba nti twasanga bakadde baffe bwe bakola, era nga Katonda ye yakitulagira, gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima Katonda talagira bya buwemu, mutuuka okwogera ku Katonda e byo bye mutamanyi |
قُلْ أَمَرَ رَبِّي بِالْقِسْطِ ۖ وَأَقِيمُوا وُجُوهَكُمْ عِندَ كُلِّ مَسْجِدٍ وَادْعُوهُ مُخْلِصِينَ لَهُ الدِّينَ ۚ كَمَا بَدَأَكُمْ تَعُودُونَ (29) Ggwe (Nabbi Muhammad) gamba nti Mukama omulabirizi wange yalagira okukola obwenkanya, era mubeerenga beesimbu mu kusinza mu buli Ibaada, (okusingira ddala) buli lwemugenda mu Mizikiti, era bwe muba nga musaba musabe ye yekka, olwo nno mube nga e ddiini mugikolera ye yekka, anti nga bwe yabatandika (mu ku batonda) mugenda kuddawo (oluvanyuma lw'okufa) |
فَرِيقًا هَدَىٰ وَفَرِيقًا حَقَّ عَلَيْهِمُ الضَّلَالَةُ ۗ إِنَّهُمُ اتَّخَذُوا الشَّيَاطِينَ أَوْلِيَاءَ مِن دُونِ اللَّهِ وَيَحْسَبُونَ أَنَّهُم مُّهْتَدُونَ (30) E kibinja e kimu yakilungamya ate nga e kibinja e kirala baakakatwako obubuze, anti mazima bo Sitane baazifuula mikwano gyabwe ffa nfe ne baleka Katonda, ate ne beebala nti mazima bo balungamu |
۞ يَا بَنِي آدَمَ خُذُوا زِينَتَكُمْ عِندَ كُلِّ مَسْجِدٍ وَكُلُوا وَاشْرَبُوا وَلَا تُسْرِفُوا ۚ إِنَّهُ لَا يُحِبُّ الْمُسْرِفِينَ (31) Abange abaana ba Adam mwambalenga bulungi buli lwe mugenda okusaala, era mulye munywe naye temudiibudanga. Mazima Katonda tayagala badiibuuzi |
قُلْ مَنْ حَرَّمَ زِينَةَ اللَّهِ الَّتِي أَخْرَجَ لِعِبَادِهِ وَالطَّيِّبَاتِ مِنَ الرِّزْقِ ۚ قُلْ هِيَ لِلَّذِينَ آمَنُوا فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا خَالِصَةً يَوْمَ الْقِيَامَةِ ۗ كَذَٰلِكَ نُفَصِّلُ الْآيَاتِ لِقَوْمٍ يَعْلَمُونَ (32) Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti ani yaziza e by’okwewunda bya Katonda e byo bye yawa abaddu be ne Riziki ng’ebadde nnungi, gamba nti byo n'abasiraamu bakkirizibwa okubikozesa mu bulamu obwensi, naye bigenda kubeera byabwe bokka ku lunaku lwe nkomerero, bwe tutyo nno bwe tutottola e bigambo eri abantu abamanyi |
قُلْ إِنَّمَا حَرَّمَ رَبِّيَ الْفَوَاحِشَ مَا ظَهَرَ مِنْهَا وَمَا بَطَنَ وَالْإِثْمَ وَالْبَغْيَ بِغَيْرِ الْحَقِّ وَأَن تُشْرِكُوا بِاللَّهِ مَا لَمْ يُنَزِّلْ بِهِ سُلْطَانًا وَأَن تَقُولُوا عَلَى اللَّهِ مَا لَا تَعْلَمُونَ (33) Gamba ggwe Muhammad nti Mukama omulabirizi wange yaziza e by'obuwemu eby'olwaatu n’ebyenkiso era yaziza obwonoonyi n’okulumbagana abantu awatali nsonga ntuufu, era naaziza okuba nga mugatta ku Katonda e bintu e birala e kintu kyatassaako bujulizi era naaziza okuba nga mwogera ku Katonda bye mutamanyi |
وَلِكُلِّ أُمَّةٍ أَجَلٌ ۖ فَإِذَا جَاءَ أَجَلُهُمْ لَا يَسْتَأْخِرُونَ سَاعَةً ۖ وَلَا يَسْتَقْدِمُونَ (34) Buli bantu balina e bbanga e lyabagererwa, Katonda bwasalawo e ntuuko yaabwe neetuuka, tebayinza kusaba kaseera kubongozebwayo wadde okukendezebwako (nebakifuna) |
يَا بَنِي آدَمَ إِمَّا يَأْتِيَنَّكُمْ رُسُلٌ مِّنكُمْ يَقُصُّونَ عَلَيْكُمْ آيَاتِي ۙ فَمَنِ اتَّقَىٰ وَأَصْلَحَ فَلَا خَوْفٌ عَلَيْهِمْ وَلَا هُمْ يَحْزَنُونَ (35) Abange mmwe abaana ba Adam ababaka bwe balibaggyira , nga bava mu mmwe, nga babatottolera e bigambo byange, oyo yenna alitya Katonda naakola e mirimu e mirungi abo nno tebalibaako kutya era tebagenda kunakuwala |
وَالَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا وَاسْتَكْبَرُوا عَنْهَا أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ النَّارِ ۖ هُمْ فِيهَا خَالِدُونَ (36) Naabo abalimbisa e bigambo byaffe ne beekuluntaza, ne babireka abo nno be bantu bo muliro bo baakutuula bugenderevu mu gwo |
فَمَنْ أَظْلَمُ مِمَّنِ افْتَرَىٰ عَلَى اللَّهِ كَذِبًا أَوْ كَذَّبَ بِآيَاتِهِ ۚ أُولَٰئِكَ يَنَالُهُمْ نَصِيبُهُم مِّنَ الْكِتَابِ ۖ حَتَّىٰ إِذَا جَاءَتْهُمْ رُسُلُنَا يَتَوَفَّوْنَهُمْ قَالُوا أَيْنَ مَا كُنتُمْ تَدْعُونَ مِن دُونِ اللَّهِ ۖ قَالُوا ضَلُّوا عَنَّا وَشَهِدُوا عَلَىٰ أَنفُسِهِمْ أَنَّهُمْ كَانُوا كَافِرِينَ (37) Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajweteka e bigambo ku Katonda, oba naalimbisa e bigambo bye, abo nno omutemwa gwabwe ogwabagererwa gubatuukako, olwo nno ababaka baffe bwe babajjira (ba Malayika) okubajjamu e myoyo bagamba nti baluwa abo be mwasinzanga nemuleka Katonda nebagamba batubuzeeko nebeewaako obujulizi nti mazima ddala baali bakaafiiri |
قَالَ ادْخُلُوا فِي أُمَمٍ قَدْ خَلَتْ مِن قَبْلِكُم مِّنَ الْجِنِّ وَالْإِنسِ فِي النَّارِ ۖ كُلَّمَا دَخَلَتْ أُمَّةٌ لَّعَنَتْ أُخْتَهَا ۖ حَتَّىٰ إِذَا ادَّارَكُوا فِيهَا جَمِيعًا قَالَتْ أُخْرَاهُمْ لِأُولَاهُمْ رَبَّنَا هَٰؤُلَاءِ أَضَلُّونَا فَآتِهِمْ عَذَابًا ضِعْفًا مِّنَ النَّارِ ۖ قَالَ لِكُلٍّ ضِعْفٌ وَلَٰكِن لَّا تَعْلَمُونَ (38) Katonda aligamba nti muyingire omuliro nga muyingirira mu bibinja e byabo be mufaanana, abaabakulembera mu majinni ne mu bantu, buli kibinja ekiriyingira nga kikolimira kinnaakyo okutuusa nga bonna bamaze okusisinkana mu gwo, e kibinja e kyenkomerero kiryogera ku kyolubereberye nekigamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe abo baatubuza bawe e bibonerezo by'omuliro nga obikubisizzaamu, Katonda naagamba nti buli bamu bongezeddwamu naye temumanyi |
وَقَالَتْ أُولَاهُمْ لِأُخْرَاهُمْ فَمَا كَانَ لَكُمْ عَلَيْنَا مِن فَضْلٍ فَذُوقُوا الْعَذَابَ بِمَا كُنتُمْ تَكْسِبُونَ (39) Ab'olubereberye baligamba ab’enkomerero (nti ekyo kyemwogera) tekibawa nkizo yonna ku ffe, kale mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo olw'ebyo bye mwakolanga |
إِنَّ الَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا وَاسْتَكْبَرُوا عَنْهَا لَا تُفَتَّحُ لَهُمْ أَبْوَابُ السَّمَاءِ وَلَا يَدْخُلُونَ الْجَنَّةَ حَتَّىٰ يَلِجَ الْجَمَلُ فِي سَمِّ الْخِيَاطِ ۚ وَكَذَٰلِكَ نَجْزِي الْمُجْرِمِينَ (40) Mazima abo abaalimbisa e bigambo byaffe ne babyekuluntalizaako, e miryango gye ggulu tegigenda kubaggulirwa, era tebagenda kuyingira jjana be ppo nga e ngamiya eyise mu kituli ky'empiso, bwe tutyo nno bwetusasula aboonoonyi |
لَهُم مِّن جَهَنَّمَ مِهَادٌ وَمِن فَوْقِهِمْ غَوَاشٍ ۚ وَكَذَٰلِكَ نَجْزِي الظَّالِمِينَ (41) Balina obuliri mu muliro Jahannama nga ne byokwebikka waggulu waabwe muliro, era bwe tutyo bwe tusasula abeeyisa obubi |
وَالَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ لَا نُكَلِّفُ نَفْسًا إِلَّا وُسْعَهَا أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ الْجَنَّةِ ۖ هُمْ فِيهَا خَالِدُونَ (42) Bo abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirungi tetuwaliriza muntu yenna okugyako kyasobola, abo nno be bantu be jjana bo baakutuula bugenderevu mu yo |
وَنَزَعْنَا مَا فِي صُدُورِهِم مِّنْ غِلٍّ تَجْرِي مِن تَحْتِهِمُ الْأَنْهَارُ ۖ وَقَالُوا الْحَمْدُ لِلَّهِ الَّذِي هَدَانَا لِهَٰذَا وَمَا كُنَّا لِنَهْتَدِيَ لَوْلَا أَنْ هَدَانَا اللَّهُ ۖ لَقَدْ جَاءَتْ رُسُلُ رَبِّنَا بِالْحَقِّ ۖ وَنُودُوا أَن تِلْكُمُ الْجَنَّةُ أُورِثْتُمُوهَا بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (43) Era tugenda kujja mu bifuba byabwe obukukuuzi bwonna, (balibeera mu jjana) nga ekulukutiramu e migga, era baligamba nti amatendo gonna ga Katonda oyo eyatulungamya eri e kkubo erituuka eri kino, tetwali baakulungama singa Katonda teyatulungamya mazima ababaka ba Mukama omulabirizi waffe bye baaleeta mazima meereere, era balikowoolwa nti eyo e jjana mugifunye olw'ebyo bye mwaali mukola |
وَنَادَىٰ أَصْحَابُ الْجَنَّةِ أَصْحَابَ النَّارِ أَن قَدْ وَجَدْنَا مَا وَعَدَنَا رَبُّنَا حَقًّا فَهَلْ وَجَدتُّم مَّا وَعَدَ رَبُّكُمْ حَقًّا ۖ قَالُوا نَعَمْ ۚ فَأَذَّنَ مُؤَذِّنٌ بَيْنَهُمْ أَن لَّعْنَةُ اللَّهِ عَلَى الظَّالِمِينَ (44) Abantu bo Mu jjana balikowoola abantu b’o mu muliro nga bagamba nti mazima Mukama omulabirizi waffe bye yatulagaanyisa tusanze nga bituufu, nammwe Mukama omulabirizi wa mmwe bye yabalagaanyisa mubisanze nga bye byo, baligamba nti yye olwo nno omulanzi alirangirira wakati waabwe, nti e kikolimo kya Katonda kibeere ku beeyisa obubi (abantu abo abeeyisa obubi) |
الَّذِينَ يَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ اللَّهِ وَيَبْغُونَهَا عِوَجًا وَهُم بِالْآخِرَةِ كَافِرُونَ (45) Beebo abaziyiza abantu okuweereza mu kkubo lya Katonda, era nebalivumirira. Anti bo bawakanya olunaku lw’enkomerero |
وَبَيْنَهُمَا حِجَابٌ ۚ وَعَلَى الْأَعْرَافِ رِجَالٌ يَعْرِفُونَ كُلًّا بِسِيمَاهُمْ ۚ وَنَادَوْا أَصْحَابَ الْجَنَّةِ أَن سَلَامٌ عَلَيْكُمْ ۚ لَمْ يَدْخُلُوهَا وَهُمْ يَطْمَعُونَ (46) Era wakati w’a bantu b’o mu muliro n’a bo mu jjana wagenda kubaawo e kikomera, nga waggulu ku kikomera waliyo abasajja abaawula buli muntu okusinziira ku bulambebwe, (abantu abo) balikoowoola abantu b’o mu jjana, nebabagamba nti e mirembe gibeere ku mmwe, anti (abalibeera mu kifo e kyo), baliba tebannayingira jjana era nga amaddu gabatta |
۞ وَإِذَا صُرِفَتْ أَبْصَارُهُمْ تِلْقَاءَ أَصْحَابِ النَّارِ قَالُوا رَبَّنَا لَا تَجْعَلْنَا مَعَ الْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (47) Ate amaaso gaabwe bwe galikyusibwa negoolekera abantu b’o mu muliro baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe totuteeka wamu n’abantu abeeyisa obubi |
وَنَادَىٰ أَصْحَابُ الْأَعْرَافِ رِجَالًا يَعْرِفُونَهُم بِسِيمَاهُمْ قَالُوا مَا أَغْنَىٰ عَنكُمْ جَمْعُكُمْ وَمَا كُنتُمْ تَسْتَكْبِرُونَ (48) Era abalibeera ku kikomera balikoowoola abantu be balimanya olw'obulambe bwabwe ne bagamba nti bye mwakunganya tebibayambye, wadde okwekuza kwe mwalimu |
أَهَٰؤُلَاءِ الَّذِينَ أَقْسَمْتُمْ لَا يَنَالُهُمُ اللَّهُ بِرَحْمَةٍ ۚ ادْخُلُوا الْجَنَّةَ لَا خَوْفٌ عَلَيْكُمْ وَلَا أَنتُمْ تَحْزَنُونَ (49) Abo beebo be mwalayirirako nti Katonda tagenda kubasaasira (mwe wamma) muyingire e jjana, temugenda kutuukibwako kutya era temugenda kunakuwala |
وَنَادَىٰ أَصْحَابُ النَّارِ أَصْحَابَ الْجَنَّةِ أَنْ أَفِيضُوا عَلَيْنَا مِنَ الْمَاءِ أَوْ مِمَّا رَزَقَكُمُ اللَّهُ ۚ قَالُوا إِنَّ اللَّهَ حَرَّمَهُمَا عَلَى الْكَافِرِينَ (50) Era abantu bo mu muliro balikoowoola abo mu jjana nebagamba nti, mutuwe ku mazzi oba n'ekirala kyonna Katonda kyabagabidde, baligamba nti mazima byombi Katonda yabiziza ku bakaafiiri |
الَّذِينَ اتَّخَذُوا دِينَهُمْ لَهْوًا وَلَعِبًا وَغَرَّتْهُمُ الْحَيَاةُ الدُّنْيَا ۚ فَالْيَوْمَ نَنسَاهُمْ كَمَا نَسُوا لِقَاءَ يَوْمِهِمْ هَٰذَا وَمَا كَانُوا بِآيَاتِنَا يَجْحَدُونَ (51) Abo abaafuula e ddiini yaabwe e kinyumu n'omuzannyo obulamu bwe nsi nebubagayaaza kale nno olwaleero tujja kubeerabira nga nabo bwe beerabira nti walibaayo okutuuka ku lunaku luno, era n’okuba nti baali bawakanya e bigambo byaffe |
وَلَقَدْ جِئْنَاهُم بِكِتَابٍ فَصَّلْنَاهُ عَلَىٰ عِلْمٍ هُدًى وَرَحْمَةً لِّقَوْمٍ يُؤْمِنُونَ (52) Era mazima ddala twabawa e kitabo mwe twannyonnyolera buli kintu nga tusinziira ku kumanya, (e kitabo e kyo) bulungamu era kusaasira eri abantu abakkiriza |
هَلْ يَنظُرُونَ إِلَّا تَأْوِيلَهُ ۚ يَوْمَ يَأْتِي تَأْوِيلُهُ يَقُولُ الَّذِينَ نَسُوهُ مِن قَبْلُ قَدْ جَاءَتْ رُسُلُ رَبِّنَا بِالْحَقِّ فَهَل لَّنَا مِن شُفَعَاءَ فَيَشْفَعُوا لَنَا أَوْ نُرَدُّ فَنَعْمَلَ غَيْرَ الَّذِي كُنَّا نَعْمَلُ ۚ قَدْ خَسِرُوا أَنفُسَهُمْ وَضَلَّ عَنْهُم مَّا كَانُوا يَفْتَرُونَ (53) Abaffe balindirira okugyako Kur’ani by'eyogerako gye biriggwera, olunaku bwe lulituuka okulaga e bintu gye biriggwera, abo abaagireka oluberyeberye baligamba nti, ababaka ba Mukama omulabirizi waffe baaleeta amazima, naye abaffe tusobola okufuna abawolereza batuwolereze, oba tuyinza okuzzibwayo (ku nsi), netukola (e mirimu e mirungi) egitali e gyo gye twali tukola, mazima bafaafaaganirwa e myoyo gyabwe n’ebyo bye baali beegunjirawo ne bibabulako |
إِنَّ رَبَّكُمُ اللَّهُ الَّذِي خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٍ ثُمَّ اسْتَوَىٰ عَلَى الْعَرْشِ يُغْشِي اللَّيْلَ النَّهَارَ يَطْلُبُهُ حَثِيثًا وَالشَّمْسَ وَالْقَمَرَ وَالنُّجُومَ مُسَخَّرَاتٍ بِأَمْرِهِ ۗ أَلَا لَهُ الْخَلْقُ وَالْأَمْرُ ۗ تَبَارَكَ اللَّهُ رَبُّ الْعَالَمِينَ (54) Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe Katonda, yooyo eyatonda e ggulu omusanvu ne nsi mu nnaku mukaaga, olwo nno naatuula ku Arish, e kiro akibikka omusana, nga kigunoonya mu bwangu obuyitirivu, era yatonda e njuba n’omwezi ne munyenye nga byonna bitambulira ku kiragiro kye, abange mukimanye nti okutonda n’ebiragiro bibye. Yayawukana Katonda omulabirizi w’ebitonde |
ادْعُوا رَبَّكُمْ تَضَرُّعًا وَخُفْيَةً ۚ إِنَّهُ لَا يُحِبُّ الْمُعْتَدِينَ (55) (kale nno) musabe Mukama omulabirizi wa mmwe nga muli bakkakkamu ( mu lwatu) ne mu kyama, anti mazima yye tayagala basukka nsalo |
وَلَا تُفْسِدُوا فِي الْأَرْضِ بَعْدَ إِصْلَاحِهَا وَادْعُوهُ خَوْفًا وَطَمَعًا ۚ إِنَّ رَحْمَتَ اللَّهِ قَرِيبٌ مِّنَ الْمُحْسِنِينَ (56) Era temwonoonanga mu nsi oluvanyuma lwokugirongoosa, era Katonda mumusabenga olw'okutya e bibonerezobye, oba olw'okululunkanira e birungi bye, anti mazima okusaasira kwa Katonda kuba kumpi n’abalongoosa (e mirimu gyabwe) |
وَهُوَ الَّذِي يُرْسِلُ الرِّيَاحَ بُشْرًا بَيْنَ يَدَيْ رَحْمَتِهِ ۖ حَتَّىٰ إِذَا أَقَلَّتْ سَحَابًا ثِقَالًا سُقْنَاهُ لِبَلَدٍ مَّيِّتٍ فَأَنزَلْنَا بِهِ الْمَاءَ فَأَخْرَجْنَا بِهِ مِن كُلِّ الثَّمَرَاتِ ۚ كَذَٰلِكَ نُخْرِجُ الْمَوْتَىٰ لَعَلَّكُمْ تَذَكَّرُونَ (57) Era Katonda yooyo asindika e mpewo, nga zireeta amawulire agessanyu okuva mu kusaasirakwe, olwo nno bwezisindika e bire e bizito, e birimu amazzi tubiweereza eri e kitundu e kikalu, ne tukitonnyesaamu e nkuba, olwo nno netumeza nayo e bimera, era bwe tutyo nno naabafu bwetugenda okubazuukiza,mulyoke mwebuulirire (nakyo) |
وَالْبَلَدُ الطَّيِّبُ يَخْرُجُ نَبَاتُهُ بِإِذْنِ رَبِّهِ ۖ وَالَّذِي خَبُثَ لَا يَخْرُجُ إِلَّا نَكِدًا ۚ كَذَٰلِكَ نُصَرِّفُ الْآيَاتِ لِقَوْمٍ يَشْكُرُونَ (58) E kitundu kye nsi e kirungi ebisigwamu bimera bulungi olw'obuyinza bwa Mukama omulabirizi w'akyo, kyo e kibi tebimera okugyako nga bibi, bwe tutyo nno bwe tunnyonnyola e bigambo abantu abeebaza |
لَقَدْ أَرْسَلْنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوْمِهِ فَقَالَ يَا قَوْمِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ إِنِّي أَخَافُ عَلَيْكُمْ عَذَابَ يَوْمٍ عَظِيمٍ (59) Mazima twatuma Nuhu eri abantu be, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda yekka, tewali kirala kyonna kisaana kusinzibwa mazima nze mbatiisa e bibonerezo by'olunaku oluzito |
قَالَ الْمَلَأُ مِن قَوْمِهِ إِنَّا لَنَرَاكَ فِي ضَلَالٍ مُّبِينٍ (60) Abakungu mu bantu be ne bagamba nti, mazima ffe tukulaba ng’oli mu bubuze obweyolefu |
قَالَ يَا قَوْمِ لَيْسَ بِي ضَلَالَةٌ وَلَٰكِنِّي رَسُولٌ مِّن رَّبِّ الْعَالَمِينَ (61) Naagamba nti bantu bange siriiko bubuze bwonna naye mazima nze ndi Mubaka okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde |
أُبَلِّغُكُمْ رِسَالَاتِ رَبِّي وَأَنصَحُ لَكُمْ وَأَعْلَمُ مِنَ اللَّهِ مَا لَا تَعْلَمُونَ (62) Nga mbatusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nga mbabuulirira, era nga mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi |
أَوَعَجِبْتُمْ أَن جَاءَكُمْ ذِكْرٌ مِّن رَّبِّكُمْ عَلَىٰ رَجُلٍ مِّنكُمْ لِيُنذِرَكُمْ وَلِتَتَّقُوا وَلَعَلَّكُمْ تُرْحَمُونَ (63) Mwewuunya okulaba nti obubaka bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe! nga bukkira ku Musajja ava mu mmwe, n'aba nga abeekesa, era kibafuule abatya Katonda mube nga musaasirwa |
فَكَذَّبُوهُ فَأَنجَيْنَاهُ وَالَّذِينَ مَعَهُ فِي الْفُلْكِ وَأَغْرَقْنَا الَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا ۚ إِنَّهُمْ كَانُوا قَوْمًا عَمِينَ (64) Ne bamulimbisa ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato, era ne tuzikiriza abo abaalimbisa e bigambo byaffe, anti mazima bo baali ba muzibe |
۞ وَإِلَىٰ عَادٍ أَخَاهُمْ هُودًا ۗ قَالَ يَا قَوْمِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ ۚ أَفَلَا تَتَّقُونَ (65) N’abeekika kya Aadi twabaatumamu muganda waabwe Huud, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda yekka, temulinaayo kirala kitali yye kisaana kusinzibwa, abaffe temutya |
قَالَ الْمَلَأُ الَّذِينَ كَفَرُوا مِن قَوْمِهِ إِنَّا لَنَرَاكَ فِي سَفَاهَةٍ وَإِنَّا لَنَظُنُّكَ مِنَ الْكَاذِبِينَ (66) Abakungu abo abaakaafuwala mu bantu be nebagamba nti mazima ffe tukulaba ng’oli mu bya butaliimu, era mazima ffe tukulaba, ng’omu ku balimba |
قَالَ يَا قَوْمِ لَيْسَ بِي سَفَاهَةٌ وَلَٰكِنِّي رَسُولٌ مِّن رَّبِّ الْعَالَمِينَ (67) Naagamba nti bantu bange siri mu bya bwe wussa, wabula mazima ddala nze ndi Mubaka atumiddwa Mukama omulabirizi w’ebitonde |
أُبَلِّغُكُمْ رِسَالَاتِ رَبِّي وَأَنَا لَكُمْ نَاصِحٌ أَمِينٌ (68) Mbatuusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange nga nange gyemuli ndi mubuulirizi omwesimbu |
أَوَعَجِبْتُمْ أَن جَاءَكُمْ ذِكْرٌ مِّن رَّبِّكُمْ عَلَىٰ رَجُلٍ مِّنكُمْ لِيُنذِرَكُمْ ۚ وَاذْكُرُوا إِذْ جَعَلَكُمْ خُلَفَاءَ مِن بَعْدِ قَوْمِ نُوحٍ وَزَادَكُمْ فِي الْخَلْقِ بَسْطَةً ۖ فَاذْكُرُوا آلَاءَ اللَّهِ لَعَلَّكُمْ تُفْلِحُونَ (69) Mwewuunya okuba nti obubaka bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe! Nga bukkira ku musajja ava mu mmwe, naaba nga abeekesa!. Era mwandibadde mujjukira bweyabafuula abasigire oluvanyuma lwa bantu ba Nuhu, n'abongera obugimu mu butonde, kale nno mujjukire ebigabwa bya Katonda kibasobozesa okutuuka ku buwanguzi |
قَالُوا أَجِئْتَنَا لِنَعْبُدَ اللَّهَ وَحْدَهُ وَنَذَرَ مَا كَانَ يَعْبُدُ آبَاؤُنَا ۖ فَأْتِنَا بِمَا تَعِدُنَا إِن كُنتَ مِنَ الصَّادِقِينَ (70) Nebagamba nti, abaffe e kikuleese gye tuli lwa kusinza Katonda yekka! tuleke e byo ba jajja ffe bye baali basinza, bwe kiba bwe kityo tutuuseeko e kyo ky’otulagaanyisa, bwoba nga oli mu boogera amazima |
قَالَ قَدْ وَقَعَ عَلَيْكُم مِّن رَّبِّكُمْ رِجْسٌ وَغَضَبٌ ۖ أَتُجَادِلُونَنِي فِي أَسْمَاءٍ سَمَّيْتُمُوهَا أَنتُمْ وَآبَاؤُكُم مَّا نَزَّلَ اللَّهُ بِهَا مِن سُلْطَانٍ ۚ فَانتَظِرُوا إِنِّي مَعَكُم مِّنَ الْمُنتَظِرِينَ (71) (Hudu) naagamba nti e bibonerezo n’obusungu bya Mukama omulabirizi wa mmwe bibakakaseeko, muyinza mutya okumpakanya ku mannya gemwetuumira mmwe, ne bakadde ba mmwe, nga Katonda tabissangako bujulizi bwonna, kale nno mulindirire, mazima nze nindirira wamu na mmwe |
فَأَنجَيْنَاهُ وَالَّذِينَ مَعَهُ بِرَحْمَةٍ مِّنَّا وَقَطَعْنَا دَابِرَ الَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا ۖ وَمَا كَانُوا مُؤْمِنِينَ (72) Netumuwonya n'abo abaali naye olw'okusaasira kwaffe, twaggyirawo ddala e mirandira gyabo abaalimbisa e bigambo byaffe, era tebabeerangako mu bakkiriza |
وَإِلَىٰ ثَمُودَ أَخَاهُمْ صَالِحًا ۗ قَالَ يَا قَوْمِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ ۖ قَدْ جَاءَتْكُم بَيِّنَةٌ مِّن رَّبِّكُمْ ۖ هَٰذِهِ نَاقَةُ اللَّهِ لَكُمْ آيَةً ۖ فَذَرُوهَا تَأْكُلْ فِي أَرْضِ اللَّهِ ۖ وَلَا تَمَسُّوهَا بِسُوءٍ فَيَأْخُذَكُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (73) Era aba Thamudu twabatumira muganda waabwe Swaleh naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda yekka temurinaayo kirala kyemulina kusinza ekitali yye, obujulizi bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe (eno) Ngamiya ya Katonda, nga kya magero gye muli, kale nno mugireke erye mu nsi ya Katonda wonna weeyagala, temugituusaako akabi nemutuukwaako e bibonerezo e biruma ennyo |
وَاذْكُرُوا إِذْ جَعَلَكُمْ خُلَفَاءَ مِن بَعْدِ عَادٍ وَبَوَّأَكُمْ فِي الْأَرْضِ تَتَّخِذُونَ مِن سُهُولِهَا قُصُورًا وَتَنْحِتُونَ الْجِبَالَ بُيُوتًا ۖ فَاذْكُرُوا آلَاءَ اللَّهِ وَلَا تَعْثَوْا فِي الْأَرْضِ مُفْسِدِينَ (74) Era mujjukire Katonda bwe yabazza mu bigere byaba Aadi, naabatebenkeza mu nsi, nga mu bifo ebya wansi mu yo, muzimbamu amayumba amatiribona, ng’ate e nsozi muzisima nezifuuka amayumba, kale nno mujjukire e byengera bya Katonda, era temugufuula omulimu okugenda nga mwonoona ku nsi |
قَالَ الْمَلَأُ الَّذِينَ اسْتَكْبَرُوا مِن قَوْمِهِ لِلَّذِينَ اسْتُضْعِفُوا لِمَنْ آمَنَ مِنْهُمْ أَتَعْلَمُونَ أَنَّ صَالِحًا مُّرْسَلٌ مِّن رَّبِّهِ ۚ قَالُوا إِنَّا بِمَا أُرْسِلَ بِهِ مُؤْمِنُونَ (75) Abakungu abo abeekuluntaza mu bantu be kibiina kye, nebagamba eri abo abaatwalibwanga okuba aba wansi mu bo, nga bagamba abo abaali bakkiriza mu bo, nti mukakasa nti ddala Swaleh Mubaka okuva eri Mukama omulabirizi we, nebagamba nti yye, mazima ddala ffe tukkiriza byonna ebyamutumwa |
قَالَ الَّذِينَ اسْتَكْبَرُوا إِنَّا بِالَّذِي آمَنتُم بِهِ كَافِرُونَ (76) (Olwo nno) abo abeekuza nebagamba nti, mazima ffe tuwakanyizza ddala e byo bye mukkirizza |
فَعَقَرُوا النَّاقَةَ وَعَتَوْا عَنْ أَمْرِ رَبِّهِمْ وَقَالُوا يَا صَالِحُ ائْتِنَا بِمَا تَعِدُنَا إِن كُنتَ مِنَ الْمُرْسَلِينَ (77) E ngamiya n ebagifumita ne bava ku kiragiro kya Mukama omulabirizi waabwe, era nebagamba owange Swaleh bwoba nga oli mu luse lwa babaka twanguyize e byo byo tulagaanyisa |
فَأَخَذَتْهُمُ الرَّجْفَةُ فَأَصْبَحُوا فِي دَارِهِمْ جَاثِمِينَ (78) Okukankana okwamaanyi (Musisi) nekubajjira nebakeesa e nkya nga mirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe |
فَتَوَلَّىٰ عَنْهُمْ وَقَالَ يَا قَوْمِ لَقَدْ أَبْلَغْتُكُمْ رِسَالَةَ رَبِّي وَنَصَحْتُ لَكُمْ وَلَٰكِن لَّا تُحِبُّونَ النَّاصِحِينَ (79) Awo nno (Swaleh) kwekubavaako nga bwabagamba nti, yye mmwe bantu bange mazima nabatuusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nababuulirira naye (ekituufu) temwagala babuulirira |
وَلُوطًا إِذْ قَالَ لِقَوْمِهِ أَتَأْتُونَ الْفَاحِشَةَ مَا سَبَقَكُم بِهَا مِنْ أَحَدٍ مِّنَ الْعَالَمِينَ (80) Era (jjukira ggwe Nabbi Muhammad) Luutu nga bwe yagamba abantu be nti abaffe mukola eby'obuwemu, nga mu nsi yonna tewali muntu yali abikoze |
إِنَّكُمْ لَتَأْتُونَ الرِّجَالَ شَهْوَةً مِّن دُونِ النِّسَاءِ ۚ بَلْ أَنتُمْ قَوْمٌ مُّسْرِفُونَ (81) Mazima mmwe obwagazi bwa mmwe mu bukola ku basajja nemulekawo abakazi wabula bantu mmwe, kyemukola muli badiibuuzi |
وَمَا كَانَ جَوَابَ قَوْمِهِ إِلَّا أَن قَالُوا أَخْرِجُوهُم مِّن قَرْيَتِكُمْ ۖ إِنَّهُمْ أُنَاسٌ يَتَطَهَّرُونَ (82) Tekwali okwanukula kw’a bantube okugyako, okuba nga baagamba nti, (abo) mubafulumye mu nsi ya mmwe, anti bo bantu abeetwala okuba nti bayonjo |
فَأَنجَيْنَاهُ وَأَهْلَهُ إِلَّا امْرَأَتَهُ كَانَتْ مِنَ الْغَابِرِينَ (83) Wabula twamutaasa n’abantube okugyako mukyala we, yasigala nabaatuukibwako e bibonerezo |
وَأَمْطَرْنَا عَلَيْهِم مَّطَرًا ۖ فَانظُرْ كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الْمُجْرِمِينَ (84) Netubasindikira e nkuba (nga y’amayinja) kale fumiitiriza e nkomerero ya bajeemu bwe yali |
وَإِلَىٰ مَدْيَنَ أَخَاهُمْ شُعَيْبًا ۗ قَالَ يَا قَوْمِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ ۖ قَدْ جَاءَتْكُم بَيِّنَةٌ مِّن رَّبِّكُمْ ۖ فَأَوْفُوا الْكَيْلَ وَالْمِيزَانَ وَلَا تَبْخَسُوا النَّاسَ أَشْيَاءَهُمْ وَلَا تُفْسِدُوا فِي الْأَرْضِ بَعْدَ إِصْلَاحِهَا ۚ ذَٰلِكُمْ خَيْرٌ لَّكُمْ إِن كُنتُم مُّؤْمِنِينَ (85) Ate abe Madyana twabatumira muganda waabwe Swaibu, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda, ng’oggyeko yye tewali kirala kyemusaanidde kusinza, obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe bubajjidde, kale nno mutuukirize ebirengwa n’ebipimwa, temugaananga okutuukiririza abantu ebintu byaabwe, era temwonoonanga mu nsi oluvanyuma lwokugikola nga nungi, ekyo nno mmwe kye kirungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza |
وَلَا تَقْعُدُوا بِكُلِّ صِرَاطٍ تُوعِدُونَ وَتَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ اللَّهِ مَنْ آمَنَ بِهِ وَتَبْغُونَهَا عِوَجًا ۚ وَاذْكُرُوا إِذْ كُنتُمْ قَلِيلًا فَكَثَّرَكُمْ ۖ وَانظُرُوا كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الْمُفْسِدِينَ (86) Era temuteeganga abantu mu kkubo lyonna nemubatiisa (olw'okwagala okubanyaga) nemuziyiza abantu abakkiriza Katonda okuweereza mu kkubo lye, ne mulifuula ebbi eri abantu, era mujjukire nga bwe mwali abatono naabayingiwaza, era mulabe e nkomerero y’abonoonyi nga bwe yali |
وَإِن كَانَ طَائِفَةٌ مِّنكُمْ آمَنُوا بِالَّذِي أُرْسِلْتُ بِهِ وَطَائِفَةٌ لَّمْ يُؤْمِنُوا فَاصْبِرُوا حَتَّىٰ يَحْكُمَ اللَّهُ بَيْنَنَا ۚ وَهُوَ خَيْرُ الْحَاكِمِينَ (87) Era bwekiba nga e kitundu ku mmwe bakkiriza ekyo kye nnatumwa nakyo, ng’ate e kitundu e kirala tebakkiriza, kale mulinde okutuusa Katonda lwanaatulamula, anti nga bulijjo yaasinga abalamuzi |
۞ قَالَ الْمَلَأُ الَّذِينَ اسْتَكْبَرُوا مِن قَوْمِهِ لَنُخْرِجَنَّكَ يَا شُعَيْبُ وَالَّذِينَ آمَنُوا مَعَكَ مِن قَرْيَتِنَا أَوْ لَتَعُودُنَّ فِي مِلَّتِنَا ۚ قَالَ أَوَلَوْ كُنَّا كَارِهِينَ (88) Abakungu abo abeekuluntaza mu bantube, baagamba nti owange Swaibu tujja kukugoba mu kitundu kyaffe n’abo abakkiriza abali naawe, oba ssi ekyo, oteekeddwa okudda mu ddiini yaffe. Naagamba nti ne bwetuba nga e kyo si kyetwagala |
قَدِ افْتَرَيْنَا عَلَى اللَّهِ كَذِبًا إِنْ عُدْنَا فِي مِلَّتِكُم بَعْدَ إِذْ نَجَّانَا اللَّهُ مِنْهَا ۚ وَمَا يَكُونُ لَنَا أَن نَّعُودَ فِيهَا إِلَّا أَن يَشَاءَ اللَّهُ رَبُّنَا ۚ وَسِعَ رَبُّنَا كُلَّ شَيْءٍ عِلْمًا ۚ عَلَى اللَّهِ تَوَكَّلْنَا ۚ رَبَّنَا افْتَحْ بَيْنَنَا وَبَيْنَ قَوْمِنَا بِالْحَقِّ وَأَنتَ خَيْرُ الْفَاتِحِينَ (89) (Ne tumala tukikola) mazima tunaaba tugunjizza ku Katonda e bigambo e byobulimba singa tudda mu ddiini ya mmwe, oluvanyuma lwa Katonda okugituwonya, era tewali nsonga egituddisaamu, beppo nga Mukama omulabirizi waffe yaayagadde, Mukama omulabirizi waffe okumanyakwe kubuna buli kintu, ku Katonda kwe twekutte, ayi Mukama omulabirizi waffe salawo wakati waffe n’abantu baffe mu mazima, anti ggwe osinga abasalawo bonna |
وَقَالَ الْمَلَأُ الَّذِينَ كَفَرُوا مِن قَوْمِهِ لَئِنِ اتَّبَعْتُمْ شُعَيْبًا إِنَّكُمْ إِذًا لَّخَاسِرُونَ (90) Abakungu abo abaakaafuwala mu bantu be ne bagamba nti, singa mugoberera Swaibu, olwo nno mazima mmwe, mujja kubeera mu bafaafaaganiddwa |
فَأَخَذَتْهُمُ الرَّجْفَةُ فَأَصْبَحُوا فِي دَارِهِمْ جَاثِمِينَ (91) Okukankana okw'amaanyi (Musisi) ne kubajjira ne bakeesa nga mirambo e gigangalamye mu mayumba gaabwe |
الَّذِينَ كَذَّبُوا شُعَيْبًا كَأَن لَّمْ يَغْنَوْا فِيهَا ۚ الَّذِينَ كَذَّبُوا شُعَيْبًا كَانُوا هُمُ الْخَاسِرِينَ (92) Abo abaalimbisa Swaibu ne baba nga abateeyagalirangako mu mayumba gaabwe, abo abaalimbisa Swaibu bo be bafaafaaganirwa |
فَتَوَلَّىٰ عَنْهُمْ وَقَالَ يَا قَوْمِ لَقَدْ أَبْلَغْتُكُمْ رِسَالَاتِ رَبِّي وَنَصَحْتُ لَكُمْ ۖ فَكَيْفَ آسَىٰ عَلَىٰ قَوْمٍ كَافِرِينَ (93) Olwo nno Swaibu n’abavaako (nga takyalina kya ku bakolera) naagamba nti abange bantu bange, mazima nabatusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nembabuulirira. Butya bwennyinza okunyolwa olw’abantu abakaafiiri |
وَمَا أَرْسَلْنَا فِي قَرْيَةٍ مِّن نَّبِيٍّ إِلَّا أَخَذْنَا أَهْلَهَا بِالْبَأْسَاءِ وَالضَّرَّاءِ لَعَلَّهُمْ يَضَّرَّعُونَ (94) Tewali Nabbi gwe twatuma mu kitundu kyonna okugyako ng’abantu b’omukintu e kyo, (bwe bamulimbisa) tubatuusaako obubenje n’obuzibu, olwo nno balyoke bagonde |
ثُمَّ بَدَّلْنَا مَكَانَ السَّيِّئَةِ الْحَسَنَةَ حَتَّىٰ عَفَوا وَّقَالُوا قَدْ مَسَّ آبَاءَنَا الضَّرَّاءُ وَالسَّرَّاءُ فَأَخَذْنَاهُم بَغْتَةً وَهُمْ لَا يَشْعُرُونَ (95) Oluvanyuma mu kifo kye kibi ne tuwaanyisaamu e kirungi, okutuusa lwe baayala e mbeera yaabwe neetereera, ne bagamba nti, (si ffe tusoose) ne bakadde baffe baatuukibwako obuzibu, ate oluvanyuma ne batuukibwako obwangu. (awamu n'ekyo Katonda agamba) ne tubakwata (ne tubatta) nga nabo tebategeera |
وَلَوْ أَنَّ أَهْلَ الْقُرَىٰ آمَنُوا وَاتَّقَوْا لَفَتَحْنَا عَلَيْهِم بَرَكَاتٍ مِّنَ السَّمَاءِ وَالْأَرْضِ وَلَٰكِن كَذَّبُوا فَأَخَذْنَاهُم بِمَا كَانُوا يَكْسِبُونَ (96) Singa abantu b’o mu bitundu e byo bakkiriza ne batya Katonda, twandibagguliddewo e mikisa okuva mu ggulu ne mu nsi, naye baalimbisa, olwo nno netubabonereza olw’ebyo bye baakola |
أَفَأَمِنَ أَهْلُ الْقُرَىٰ أَن يَأْتِيَهُم بَأْسُنَا بَيَاتًا وَهُمْ نَائِمُونَ (97) Abaffe abantu b’omu bitundu e byo baalina obukakafu nti e bibonerezo byaffe tebiyinza kubatuukako kiro, nga nabo beebase |
أَوَأَمِنَ أَهْلُ الْقُرَىٰ أَن يَأْتِيَهُم بَأْسُنَا ضُحًى وَهُمْ يَلْعَبُونَ (98) Oba abantu b’omu bitundu e byo baalina obukakafu nti e bibonerezo byaffe tebiyinza ku batuukako misana, nga nabo bali mu kutiguka |
أَفَأَمِنُوا مَكْرَ اللَّهِ ۚ فَلَا يَأْمَنُ مَكْرَ اللَّهِ إِلَّا الْقَوْمُ الْخَاسِرُونَ (99) Abaffe baawona okusalawo kw’a Katonda, (e kituufu kiri nti) tewali ayinza kulowooza nti ayinza okuwona okusalawo kw’a Katonda okugyako abantu abafaafaaganirwa |
أَوَلَمْ يَهْدِ لِلَّذِينَ يَرِثُونَ الْأَرْضَ مِن بَعْدِ أَهْلِهَا أَن لَّوْ نَشَاءُ أَصَبْنَاهُم بِذُنُوبِهِمْ ۚ وَنَطْبَعُ عَلَىٰ قُلُوبِهِمْ فَهُمْ لَا يَسْمَعُونَ (100) Abaffe tekitegeerekeka eri abo abasikira e nsi oluvanyuma lw’abagibaddemu okufa nti, singa twayagala twalibavunaanye olw’e byonoono bya bwe, ne tuteeka e nvumbo ku mitima gyabwe nebaba nga tebawulira |
تِلْكَ الْقُرَىٰ نَقُصُّ عَلَيْكَ مِنْ أَنبَائِهَا ۚ وَلَقَدْ جَاءَتْهُمْ رُسُلُهُم بِالْبَيِّنَاتِ فَمَا كَانُوا لِيُؤْمِنُوا بِمَا كَذَّبُوا مِن قَبْلُ ۚ كَذَٰلِكَ يَطْبَعُ اللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِ الْكَافِرِينَ (101) E bitundu e byo tukutegeeza e bimu ku byafaayo byabyo, era mazima ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baali tebayinza kukkiriza ebyo bye baalimbisa mu kusooka, bulijjo bwatyo Katonda bwazibikira e mitima gy’a bakafiiri |
وَمَا وَجَدْنَا لِأَكْثَرِهِم مِّنْ عَهْدٍ ۖ وَإِن وَجَدْنَا أَكْثَرَهُمْ لَفَاسِقِينَ (102) Era abasinga obungi mu bo tetwabasanga na ndagaano yonna (gye baatuukiriza), wabula twasanga abasinga obungi mu bo nga boonoonyi |
ثُمَّ بَعَثْنَا مِن بَعْدِهِم مُّوسَىٰ بِآيَاتِنَا إِلَىٰ فِرْعَوْنَ وَمَلَئِهِ فَظَلَمُوا بِهَا ۖ فَانظُرْ كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الْمُفْسِدِينَ (103) Ate oluvanyuma lwabwe, twatuma Musa ewa Firawo n’abakungube, nga tumuwadde eby’amagero byaffe nebabiwakanya, kale nno, fumiitiriza olabe e nkomerero y’aboonoonyi nga bwe yali |
وَقَالَ مُوسَىٰ يَا فِرْعَوْنُ إِنِّي رَسُولٌ مِّن رَّبِّ الْعَالَمِينَ (104) Musa naagamba nti, owange Firawo mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Katonda omulabirizi w’ebitonde |
حَقِيقٌ عَلَىٰ أَن لَّا أَقُولَ عَلَى اللَّهِ إِلَّا الْحَقَّ ۚ قَدْ جِئْتُكُم بِبَيِّنَةٍ مِّن رَّبِّكُمْ فَأَرْسِلْ مَعِيَ بَنِي إِسْرَائِيلَ (105) Kikakafu okuba nga soogera ku Katonda okugyako amazima, mazima mbaleetedde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe obujulizi, n’olwekyo mpa abaana ba Israil (ngende nabo) |
قَالَ إِن كُنتَ جِئْتَ بِآيَةٍ فَأْتِ بِهَا إِن كُنتَ مِنَ الصَّادِقِينَ (106) (Firawo) naagamba nti oba olina obujulizi bwozze nabwo buleete, bwoba nga ddala oli mu boogera amazima |
فَأَلْقَىٰ عَصَاهُ فَإِذَا هِيَ ثُعْبَانٌ مُّبِينٌ (107) Awo Musa n’asuula omuggogwe, okugenda okwekanga nga gwo, musota ogwannamaddala |
وَنَزَعَ يَدَهُ فَإِذَا هِيَ بَيْضَاءُ لِلنَّاظِرِينَ (108) Era naggyayo omukonogwe, okugenda okulaba nga mweru eri buli atunula |
قَالَ الْمَلَأُ مِن قَوْمِ فِرْعَوْنَ إِنَّ هَٰذَا لَسَاحِرٌ عَلِيمٌ (109) Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti mazima ono, mulogo kakensa |
يُرِيدُ أَن يُخْرِجَكُم مِّنْ أَرْضِكُمْ ۖ فَمَاذَا تَأْمُرُونَ (110) Ayagala ku baggya mu nsi ya mmwe, kati mmwe kiki kye mugamba |
قَالُوا أَرْجِهْ وَأَخَاهُ وَأَرْسِلْ فِي الْمَدَائِنِ حَاشِرِينَ (111) Nebagamba nti, mugambe ne mugandawe balindeko, otume mu bitundu byonna abakunga (abalogo) |
يَأْتُوكَ بِكُلِّ سَاحِرٍ عَلِيمٍ (112) Bajja kukuleetera buli mulogo omukugu |
وَجَاءَ السَّحَرَةُ فِرْعَوْنَ قَالُوا إِنَّ لَنَا لَأَجْرًا إِن كُنَّا نَحْنُ الْغَالِبِينَ (113) Era abalogo bajja ewa Firawo ne bagamba nti, mazima tuteekwa okusasulwa, kavuna tuba nga ffe tuwangudde |
قَالَ نَعَمْ وَإِنَّكُمْ لَمِنَ الْمُقَرَّبِينَ (114) Naagamba nti weewaawo, era mazima ddala mujja kubeera mu abo abambeera ku lusegere |
قَالُوا يَا مُوسَىٰ إِمَّا أَن تُلْقِيَ وَإِمَّا أَن نَّكُونَ نَحْنُ الْمُلْقِينَ (115) Nebagamba nti owange Musa ggwe osooka okwanja, oba ffe tusooka okussaawo |
قَالَ أَلْقُوا ۖ فَلَمَّا أَلْقَوْا سَحَرُوا أَعْيُنَ النَّاسِ وَاسْتَرْهَبُوهُمْ وَجَاءُوا بِسِحْرٍ عَظِيمٍ (116) Naagamba nti musseewo, bwe bassaawo baaloga amaaso g’abantu, era nebabatiisa nnyo, anti baaleeta e ddogo e pitirivu |
۞ وَأَوْحَيْنَا إِلَىٰ مُوسَىٰ أَنْ أَلْقِ عَصَاكَ ۖ فَإِذَا هِيَ تَلْقَفُ مَا يَأْفِكُونَ (117) Netutumira Musa nti, suula omuggogwo, negutandika okumira byonna, ebyo bye baali bajingiridde |
فَوَقَعَ الْحَقُّ وَبَطَلَ مَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (118) Amazima negalabika, byonna bye baali bakola nebifa |
فَغُلِبُوا هُنَالِكَ وَانقَلَبُوا صَاغِرِينَ (119) Bwe batyo nebawangulirwa awo wennyini, nebafuuka abakkakanyiziddwa |
وَأُلْقِيَ السَّحَرَةُ سَاجِدِينَ (120) Bbo abalogo beesanga nga bateekwa kuvunnama |
قَالُوا آمَنَّا بِرَبِّ الْعَالَمِينَ (121) Nebagamba nti tukkirizza Mukama Katonda omulabirizi w’ebitonde |
رَبِّ مُوسَىٰ وَهَارُونَ (122) Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna |
قَالَ فِرْعَوْنُ آمَنتُم بِهِ قَبْلَ أَنْ آذَنَ لَكُمْ ۖ إِنَّ هَٰذَا لَمَكْرٌ مَّكَرْتُمُوهُ فِي الْمَدِينَةِ لِتُخْرِجُوا مِنْهَا أَهْلَهَا ۖ فَسَوْفَ تَعْلَمُونَ (123) Firawo naagamba nti mumukkirizza nga sibawadde lukusa, (kirabika nti mazima ddala) luno lukwe lwe mwakoledde mu kitundu kino olw'ekigendererwa ky’okugobamu abantu baamu, naye muggya ku kimanya |
لَأُقَطِّعَنَّ أَيْدِيَكُمْ وَأَرْجُلَكُم مِّنْ خِلَافٍ ثُمَّ لَأُصَلِّبَنَّكُمْ أَجْمَعِينَ (124) Nja kubatemako e mikono n’amagulu gammwe mu mpuyi ez’enjawulo (Nga bwetutema omukono ogwa ddyo, okugulu tutema kwa kkono) ate oluvanyuma mwenna nja kubakomerera ku misaalaba |
قَالُوا إِنَّا إِلَىٰ رَبِّنَا مُنقَلِبُونَ (125) Nebagamba nti (ekyo temuli), anti mazima ddala ffe olwo tunaaba tudda eri Mukama omulabirizi waffe |
وَمَا تَنقِمُ مِنَّا إِلَّا أَنْ آمَنَّا بِآيَاتِ رَبِّنَا لَمَّا جَاءَتْنَا ۚ رَبَّنَا أَفْرِغْ عَلَيْنَا صَبْرًا وَتَوَفَّنَا مُسْلِمِينَ (126) Tolina kyotuvunaana okugyako okuba nti tukkirizza e bigambo by’a Mukama omulabirizi waffe e bitujjidde, ayi Mukama omulabirizi waffe tugonnomoleko obugumiikiriza, era otuuse e ntuuko yaffe nga tuli basiraamu |
وَقَالَ الْمَلَأُ مِن قَوْمِ فِرْعَوْنَ أَتَذَرُ مُوسَىٰ وَقَوْمَهُ لِيُفْسِدُوا فِي الْأَرْضِ وَيَذَرَكَ وَآلِهَتَكَ ۚ قَالَ سَنُقَتِّلُ أَبْنَاءَهُمْ وَنَسْتَحْيِي نِسَاءَهُمْ وَإِنَّا فَوْقَهُمْ قَاهِرُونَ (127) Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti, ogenda kuleka Musa n’abantube babe nga boonoona mu nsi, (era osuubire nti Musa an’akuleka) neba Katondabo, (Firawo) kwe kugamba nti, abaana baabwe ab’obulenzi tujja kubatta, tulekewo bawala baabwe, mazima ffe, nga bulijjo tubali waggulu, era tubasukkulumye mu maanyi |
قَالَ مُوسَىٰ لِقَوْمِهِ اسْتَعِينُوا بِاللَّهِ وَاصْبِرُوا ۖ إِنَّ الْأَرْضَ لِلَّهِ يُورِثُهَا مَن يَشَاءُ مِنْ عِبَادِهِ ۖ وَالْعَاقِبَةُ لِلْمُتَّقِينَ (128) Musa naagamba abantube nti, mwekwate ku Katonda era mugumiikirize, mazima ddala ensi y’aKatonda, agisikiza abo b’aba ayagadde mu baddube, era e nkomerero (e nnungi), y'abo abatya Katonda |
قَالُوا أُوذِينَا مِن قَبْلِ أَن تَأْتِيَنَا وَمِن بَعْدِ مَا جِئْتَنَا ۚ قَالَ عَسَىٰ رَبُّكُمْ أَن يُهْلِكَ عَدُوَّكُمْ وَيَسْتَخْلِفَكُمْ فِي الْأَرْضِ فَيَنظُرَ كَيْفَ تَعْمَلُونَ (129) Nebagamba nti, mazima twabonyabonyezebwa nga tonnatujjira, n’oluvanyuma lw’okutujjira! (Musa) naagamba nti, Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kuzikiriza omulabe wa mmwe, mu kifo kya bwe azzeewo mmwe, nga abasigire mu nsi, olwo nno atunuulire alabe bwe mukola |
وَلَقَدْ أَخَذْنَا آلَ فِرْعَوْنَ بِالسِّنِينَ وَنَقْصٍ مِّنَ الثَّمَرَاتِ لَعَلَّهُمْ يَذَّكَّرُونَ (130) Mazima twabonereza abantu ba Firawo n’emyaka gy’enjala, n’ekkekwa ly’ebibala, babe nga bajjukira |
فَإِذَا جَاءَتْهُمُ الْحَسَنَةُ قَالُوا لَنَا هَٰذِهِ ۖ وَإِن تُصِبْهُمْ سَيِّئَةٌ يَطَّيَّرُوا بِمُوسَىٰ وَمَن مَّعَهُ ۗ أَلَا إِنَّمَا طَائِرُهُمْ عِندَ اللَّهِ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (131) Bwe kyabajjira nga e kirungi baagambanga nti, kino kyaffe, (ffe tukikoze) buli lwe baatukwangako e kibi, nga beekwasa Musa n’abo abaali naye, naye nga ddala e kikwa kyabwe kiri wa Katonda, wabula mazima abasinga obungi mu bo tebamanyi |
وَقَالُوا مَهْمَا تَأْتِنَا بِهِ مِنْ آيَةٍ لِّتَسْحَرَنَا بِهَا فَمَا نَحْنُ لَكَ بِمُؤْمِنِينَ (132) Era nebagamba nti, buli kabonero konna k’onootuleetera obe nga otuloga nako, tetugenda kukukkiriza |
فَأَرْسَلْنَا عَلَيْهِمُ الطُّوفَانَ وَالْجَرَادَ وَالْقُمَّلَ وَالضَّفَادِعَ وَالدَّمَ آيَاتٍ مُّفَصَّلَاتٍ فَاسْتَكْبَرُوا وَكَانُوا قَوْمًا مُّجْرِمِينَ (133) Olwo nno netubasindikira amataba, n’enzige, n’ensekere, n’ebikere n’omusaayi nga bubonero obulagiddwa obulungi, wabula ne beekuluntaza, anti era bulijjo baali bantu aboonoonyi |
وَلَمَّا وَقَعَ عَلَيْهِمُ الرِّجْزُ قَالُوا يَا مُوسَى ادْعُ لَنَا رَبَّكَ بِمَا عَهِدَ عِندَكَ ۖ لَئِن كَشَفْتَ عَنَّا الرِّجْزَ لَنُؤْمِنَنَّ لَكَ وَلَنُرْسِلَنَّ مَعَكَ بَنِي إِسْرَائِيلَ (134) Ekibonerezo bwe kyamala okubatuukako nebagamba nti, owange Musa tusabire Mukama omulabiriziwo, ng’osinziira ku ebyo bye yakuwa, singa otuggyako e kibonerezo kino, ddala tujja kukukkiriza era tugenda kukuweera ddala abaana ba Israil (obatwale) |
فَلَمَّا كَشَفْنَا عَنْهُمُ الرِّجْزَ إِلَىٰ أَجَلٍ هُم بَالِغُوهُ إِذَا هُمْ يَنكُثُونَ (135) Bwe twamala okubaggyako e kibonerezo nga e bbanga eryali libagereddwa liweddeko, ekyaddirira bo kumenya ndagaano |
فَانتَقَمْنَا مِنْهُمْ فَأَغْرَقْنَاهُمْ فِي الْيَمِّ بِأَنَّهُمْ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا وَكَانُوا عَنْهَا غَافِلِينَ (136) Olwo nno netubalaga obusungu bwaffe, netubazikiriza mu nnyanja olw'okuba nti, mazima bo baalimbisa e bigambo byaffe, era nga ku byo baali bagayaavu |
وَأَوْرَثْنَا الْقَوْمَ الَّذِينَ كَانُوا يُسْتَضْعَفُونَ مَشَارِقَ الْأَرْضِ وَمَغَارِبَهَا الَّتِي بَارَكْنَا فِيهَا ۖ وَتَمَّتْ كَلِمَتُ رَبِّكَ الْحُسْنَىٰ عَلَىٰ بَنِي إِسْرَائِيلَ بِمَا صَبَرُوا ۖ وَدَمَّرْنَا مَا كَانَ يَصْنَعُ فِرْعَوْنُ وَقَوْمُهُ وَمَا كَانُوا يَعْرِشُونَ (137) Era abantu abo abaali batwalibwa okuba nti ba wansi netubasikiza obuvanjuba n’obugwanjuba bwensi, eyo gye twassaamu e mikisa, nekituukirira e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, e kirungi ku baana ba Israil ku lw'ebyo bye baagumiikiriza, netusaanyaawo byonna Firawo n’abantube bye baali bakola ne bye baali bazimba |
وَجَاوَزْنَا بِبَنِي إِسْرَائِيلَ الْبَحْرَ فَأَتَوْا عَلَىٰ قَوْمٍ يَعْكُفُونَ عَلَىٰ أَصْنَامٍ لَّهُمْ ۚ قَالُوا يَا مُوسَى اجْعَل لَّنَا إِلَٰهًا كَمَا لَهُمْ آلِهَةٌ ۚ قَالَ إِنَّكُمْ قَوْمٌ تَجْهَلُونَ (138) Netusomosa abaana ba Israil e nnyanja, nebayita ku bantu abaali beefunyiridde ku kusinza amasanamu gaabwe, nebagamba nti owange (Musa) tuteerewo e kisinzibwa nga nabo bwe balina e bisinzibwa, (Musa) naagamba nti mazima ddala mmwe, muli bantu abatategeera |
إِنَّ هَٰؤُلَاءِ مُتَبَّرٌ مَّا هُمْ فِيهِ وَبَاطِلٌ مَّا كَانُوا يَعْمَلُونَ (139) Mazima abo bye balimu bya kuzikirizibwa, era ebyo bye bakola bifu |
قَالَ أَغَيْرَ اللَّهِ أَبْغِيكُمْ إِلَٰهًا وَهُوَ فَضَّلَكُمْ عَلَى الْعَالَمِينَ (140) Naagamba nti, ekitali Katonda omu omutuufu kyemba mbateerawo musinze! ate nga yye yabasukkulumya ku bitonde byonna |
وَإِذْ أَنجَيْنَاكُم مِّنْ آلِ فِرْعَوْنَ يَسُومُونَكُمْ سُوءَ الْعَذَابِ ۖ يُقَتِّلُونَ أَبْنَاءَكُمْ وَيَسْتَحْيُونَ نِسَاءَكُمْ ۚ وَفِي ذَٰلِكُم بَلَاءٌ مِّن رَّبِّكُمْ عَظِيمٌ (141) (Ebyogeddwa byonna mu aya ezikulembedde okubaawo kyagoberera e kyafaayo e kiddirira e kigamba nti), mujjukire bwe twabataasa ku bantu ba Firawo bwe baali babakombesa ku bukaawu bwe bibonyobonyo, nga batemula abaana ba mmwe abalenzi nebalekawo bawala ba mmwe, mu ekyo mwalimu okugezesa kunene nnyo okuva eri Mukama omulabirizi wa mmwe |
۞ وَوَاعَدْنَا مُوسَىٰ ثَلَاثِينَ لَيْلَةً وَأَتْمَمْنَاهَا بِعَشْرٍ فَتَمَّ مِيقَاتُ رَبِّهِ أَرْبَعِينَ لَيْلَةً ۚ وَقَالَ مُوسَىٰ لِأَخِيهِ هَارُونَ اخْلُفْنِي فِي قَوْمِي وَأَصْلِحْ وَلَا تَتَّبِعْ سَبِيلَ الْمُفْسِدِينَ (142) Twalagira Musa amale e biro makumi asatu nga yeetegekera okusisinkana Mukama omulabiriziwe, ate netubijjuza n’ekkumi, olwo nno Mukama omulabiriziwe kye yamugerera nekituukirira, nga z’ennaku amakumi ana, awo Musa naagamba mugandawe, Haruna nti, nsigalira mu bantu bange, era kola bulungi, togoberera n’omulundi n’ogumu e kkubo ly’aboonoonyi |
وَلَمَّا جَاءَ مُوسَىٰ لِمِيقَاتِنَا وَكَلَّمَهُ رَبُّهُ قَالَ رَبِّ أَرِنِي أَنظُرْ إِلَيْكَ ۚ قَالَ لَن تَرَانِي وَلَٰكِنِ انظُرْ إِلَى الْجَبَلِ فَإِنِ اسْتَقَرَّ مَكَانَهُ فَسَوْفَ تَرَانِي ۚ فَلَمَّا تَجَلَّىٰ رَبُّهُ لِلْجَبَلِ جَعَلَهُ دَكًّا وَخَرَّ مُوسَىٰ صَعِقًا ۚ فَلَمَّا أَفَاقَ قَالَ سُبْحَانَكَ تُبْتُ إِلَيْكَ وَأَنَا أَوَّلُ الْمُؤْمِنِينَ (143) Musa bwe yajja mu kifo kye twamulagira, Mukama omulabiriziwe n’ayogera naye, (Musa) yagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, nzikiriza nkutunuleko, n’amugamba nti tosobola kundaba, naye tunula ku lusozi olwo, bwe lunaasobola okusigala mu kifo kyalwo, olwo nno ojja kundaba, wabula Mukama omulabiriziwe bwe yeeyoleka eri olusozi, yalufuula e nsaano, era Musa n’agwa ku ttaka nga azirise, bwe yadda e ngulu yagamba nti, oli musukkulumu, nkwenenyerezza, era nkwata kisooka mu bakkiriza |
قَالَ يَا مُوسَىٰ إِنِّي اصْطَفَيْتُكَ عَلَى النَّاسِ بِرِسَالَاتِي وَبِكَلَامِي فَخُذْ مَا آتَيْتُكَ وَكُن مِّنَ الشَّاكِرِينَ (144) (Katonda) naagamba nti, owange Musa mazima nze nkuwadde e nkizo ku bantu, olw’obubaka bwange, n’okwogera kwange naawe, kale twala bye nkuwadde, era obeere mu beebaza |
وَكَتَبْنَا لَهُ فِي الْأَلْوَاحِ مِن كُلِّ شَيْءٍ مَّوْعِظَةً وَتَفْصِيلًا لِّكُلِّ شَيْءٍ فَخُذْهَا بِقُوَّةٍ وَأْمُرْ قَوْمَكَ يَأْخُذُوا بِأَحْسَنِهَا ۚ سَأُرِيكُمْ دَارَ الْفَاسِقِينَ (145) Era twamuwandiikira ku mbaawo buli kintu, kibe ekyokubuulirira, era nga kunnyonnyola mu bujjuvu, ku buli kintu, kale nno bikuume butiribiri, era olagire abantubo babikwate mu ngeri esinga okuba e nnungi, oluvanyuma ngenda ku balaga e kifo ky’aboonoonyi |
سَأَصْرِفُ عَنْ آيَاتِيَ الَّذِينَ يَتَكَبَّرُونَ فِي الْأَرْضِ بِغَيْرِ الْحَقِّ وَإِن يَرَوْا كُلَّ آيَةٍ لَّا يُؤْمِنُوا بِهَا وَإِن يَرَوْا سَبِيلَ الرُّشْدِ لَا يَتَّخِذُوهُ سَبِيلًا وَإِن يَرَوْا سَبِيلَ الْغَيِّ يَتَّخِذُوهُ سَبِيلًا ۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمْ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا وَكَانُوا عَنْهَا غَافِلِينَ (146) Abo abeekuza mu nsi awatali nsonga ntuufu, ngenda kubeesambya e bigambo byange, buli lwe banaalabanga, akabonero konna, tebajja ku kakkirizanga, era bwe banaalabanga e kkubo ly’o bu lungamu, tebagendanga kulifuula kkubo gye bali (kulikwata), naye bwe banaalabanga e kkubo ly’obwonoonefu lye banaatwalanga okuba e kkubo, ekyonno lwa kuba nti mazima ddala bo, baalimbisa e bigambo byaffe, nebaba nga ku byo, beesuulirayo gwa naggamba |
وَالَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا وَلِقَاءِ الْآخِرَةِ حَبِطَتْ أَعْمَالُهُمْ ۚ هَلْ يُجْزَوْنَ إِلَّا مَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (147) Naabo abaalimbisa e bigambo byaffe, n’okusisinkana olunaku lw’enkomerero, e mirimu gyabwe gyonna gyafaafaagana, (ate olwo) abaffe balisasulwa okugyako ebyo bye baakolanga |
وَاتَّخَذَ قَوْمُ مُوسَىٰ مِن بَعْدِهِ مِنْ حُلِيِّهِمْ عِجْلًا جَسَدًا لَّهُ خُوَارٌ ۚ أَلَمْ يَرَوْا أَنَّهُ لَا يُكَلِّمُهُمْ وَلَا يَهْدِيهِمْ سَبِيلًا ۘ اتَّخَذُوهُ وَكَانُوا ظَالِمِينَ (148) Musa bwe yagenda, abantube, baabumba e nnyana okuva mu by'okwewunda byabwe, nga erabikira ddala nga erina omubiri, n’okungonga engonga, abaffe tebaakiraba nti mazima ddala yyo tesobola kw’ogera nabo! era nga tesobola kubalungamya ku kkubo, b’agyeteerawo, era olwekikolwa ekyo nebabeera ab’omu bantu abeeyisa obubi |
وَلَمَّا سُقِطَ فِي أَيْدِيهِمْ وَرَأَوْا أَنَّهُمْ قَدْ ضَلُّوا قَالُوا لَئِن لَّمْ يَرْحَمْنَا رَبُّنَا وَيَغْفِرْ لَنَا لَنَكُونَنَّ مِنَ الْخَاسِرِينَ (149) Bwe beefumiitiriza, nebalaba nti ddala mazima baabula olw’ekikolwa kyabwe ekyo, (beenenya) nebagamba nti, singa Mukama omulabirizi waffe tatusaasira, naatusonyiwa, tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa |
وَلَمَّا رَجَعَ مُوسَىٰ إِلَىٰ قَوْمِهِ غَضْبَانَ أَسِفًا قَالَ بِئْسَمَا خَلَفْتُمُونِي مِن بَعْدِي ۖ أَعَجِلْتُمْ أَمْرَ رَبِّكُمْ ۖ وَأَلْقَى الْأَلْوَاحَ وَأَخَذَ بِرَأْسِ أَخِيهِ يَجُرُّهُ إِلَيْهِ ۚ قَالَ ابْنَ أُمَّ إِنَّ الْقَوْمَ اسْتَضْعَفُونِي وَكَادُوا يَقْتُلُونَنِي فَلَا تُشْمِتْ بِيَ الْأَعْدَاءَ وَلَا تَجْعَلْنِي مَعَ الْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (150) Musa bwe yamala okudda eri abantube, nga musunguwavu, era nga asaaliddwa, yagamba nti, kibi nnyo kye mwakoze nga siriiwo, mwayaanguyirizza e kigambo ky’a Mukama omulabirizi wa mmwe! olwo nno kwe kukasuka e mbaawo, n’akwata omutwe gw’a mugandawe, nga amusika amuzza gyali, (Haruna) naagamba nti mwana wa nnyabo, mazima abantu bansinzizza amaanyi, era kumpi banzite, tontusaako kino olw'okusanyusa abalabe, era tonzisa mu bantu abeeyisa obubi |
قَالَ رَبِّ اغْفِرْ لِي وَلِأَخِي وَأَدْخِلْنَا فِي رَحْمَتِكَ ۖ وَأَنتَ أَرْحَمُ الرَّاحِمِينَ (151) Musa naagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, nsonyiwa ne muganda wange, era otuyingize mu kusaasirakwo, anti bulijjo ggwe musaasizi asinga abasaasizi bonna |
إِنَّ الَّذِينَ اتَّخَذُوا الْعِجْلَ سَيَنَالُهُمْ غَضَبٌ مِّن رَّبِّهِمْ وَذِلَّةٌ فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا ۚ وَكَذَٰلِكَ نَجْزِي الْمُفْتَرِينَ (152) Mazima abo abeeteerawo e nnyana (bagisinze), bajja kutuukwako obusungu n’okukkakkannyizibwa ebiva ewa Mukama omulabirizi waabwe, mu bulamu obwe nsi, era bwe tutyo bwe tusasula abo abatemerera e bigambo |
وَالَّذِينَ عَمِلُوا السَّيِّئَاتِ ثُمَّ تَابُوا مِن بَعْدِهَا وَآمَنُوا إِنَّ رَبَّكَ مِن بَعْدِهَا لَغَفُورٌ رَّحِيمٌ (153) Naabo abakola ebibi, ate nebeenenya oluvanyuma lwabyo, era nebakkiriza, mazima ddala Mukama omulabiriziwo, oluvanyuma lwabyo, musonyiyi, musaasizi |
وَلَمَّا سَكَتَ عَن مُّوسَى الْغَضَبُ أَخَذَ الْأَلْوَاحَ ۖ وَفِي نُسْخَتِهَا هُدًى وَرَحْمَةٌ لِّلَّذِينَ هُمْ لِرَبِّهِمْ يَرْهَبُونَ (154) Obusungu bwe bwaggwa ku Musa, yasitula e mbawo, nga ne mu biwandiikiddwa ku zo, mulimu obulungamu, n’okusaasira eri abo, bo abatya Mukama omulabirizi waabwe |
وَاخْتَارَ مُوسَىٰ قَوْمَهُ سَبْعِينَ رَجُلًا لِّمِيقَاتِنَا ۖ فَلَمَّا أَخَذَتْهُمُ الرَّجْفَةُ قَالَ رَبِّ لَوْ شِئْتَ أَهْلَكْتَهُم مِّن قَبْلُ وَإِيَّايَ ۖ أَتُهْلِكُنَا بِمَا فَعَلَ السُّفَهَاءُ مِنَّا ۖ إِنْ هِيَ إِلَّا فِتْنَتُكَ تُضِلُّ بِهَا مَن تَشَاءُ وَتَهْدِي مَن تَشَاءُ ۖ أَنتَ وَلِيُّنَا فَاغْفِرْ لَنَا وَارْحَمْنَا ۖ وَأَنتَ خَيْرُ الْغَافِرِينَ (155) Musa yalonda mu bantube, abasajja nsanvu, bagende mu kifo kye twamuteerawo, wabula musisi bwe yabajjira, (Musa) yagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, singa kino kye wali oyagala, wandibadde wabazikiriza olubereberye wamu nange, oyagala kutuzikiriza olw'ekyo ababuyabuya mu ffe kye baakola! kino si kintu kirala kyonna okugyako okugezesakwo, obuza nakwo oyo gwoba oyagadde, ate n’olungamya nakwo, oyo gwoba oyagadde, otulinako obuyinza, n’olwekyo tusonyiwe, era otusaasire, bulijjo ggwe asinga abasaasizi bonna |
۞ وَاكْتُبْ لَنَا فِي هَٰذِهِ الدُّنْيَا حَسَنَةً وَفِي الْآخِرَةِ إِنَّا هُدْنَا إِلَيْكَ ۚ قَالَ عَذَابِي أُصِيبُ بِهِ مَنْ أَشَاءُ ۖ وَرَحْمَتِي وَسِعَتْ كُلَّ شَيْءٍ ۚ فَسَأَكْتُبُهَا لِلَّذِينَ يَتَّقُونَ وَيُؤْتُونَ الزَّكَاةَ وَالَّذِينَ هُم بِآيَاتِنَا يُؤْمِنُونَ (156) Tuwandiikeko birungi kuno ku nsi, era ne ku nkomerero, (anti) tukwemenyedde, (Katonda) naagamba nti, e bibonerezo byange mbituusa kw’oyo gwemba njagadde, ate okusaasira kwange kwamalayo buli kintu, ngenda ku kukuwa abo abatya Katonda, nebatoola zzaka, era abo abakkiriza e bigambo byaffe |
الَّذِينَ يَتَّبِعُونَ الرَّسُولَ النَّبِيَّ الْأُمِّيَّ الَّذِي يَجِدُونَهُ مَكْتُوبًا عِندَهُمْ فِي التَّوْرَاةِ وَالْإِنجِيلِ يَأْمُرُهُم بِالْمَعْرُوفِ وَيَنْهَاهُمْ عَنِ الْمُنكَرِ وَيُحِلُّ لَهُمُ الطَّيِّبَاتِ وَيُحَرِّمُ عَلَيْهِمُ الْخَبَائِثَ وَيَضَعُ عَنْهُمْ إِصْرَهُمْ وَالْأَغْلَالَ الَّتِي كَانَتْ عَلَيْهِمْ ۚ فَالَّذِينَ آمَنُوا بِهِ وَعَزَّرُوهُ وَنَصَرُوهُ وَاتَّبَعُوا النُّورَ الَّذِي أُنزِلَ مَعَهُ ۙ أُولَٰئِكَ هُمُ الْمُفْلِحُونَ (157) Abo abagoberera omubaka, Nabbi, atasoma biwandiiko, oyo gwe basanga nga muwandiike ewaabwe mu Taurat ne enjili, nga abalagira e mpisa e nnungi, era n’abagaana e mpisa e mbi, era nga abakkiriza e birungi (mu biriibwa n’ebinywebwa), era naabaziyiza e bibi, era naabaggyako obuzito n’amakoligo, ebyo e byabaliko, kale nno abo abamukkiriza, nebamuwagira, ne bamutaasa, era ne bagoberera e kitangaala ekyo e kyamuweebwa, abo nno bo, be balituuka ku buwanguzi |
قُلْ يَا أَيُّهَا النَّاسُ إِنِّي رَسُولُ اللَّهِ إِلَيْكُمْ جَمِيعًا الَّذِي لَهُ مُلْكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۖ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ يُحْيِي وَيُمِيتُ ۖ فَآمِنُوا بِاللَّهِ وَرَسُولِهِ النَّبِيِّ الْأُمِّيِّ الَّذِي يُؤْمِنُ بِاللَّهِ وَكَلِمَاتِهِ وَاتَّبِعُوهُ لَعَلَّكُمْ تَهْتَدُونَ (158) Gamba (ggwe Nabbi Muhammad), nti abange abantu, mazima nze ndi mubaka w’a Katonda, eri mmwe mwenna, (Katonda) oyo bubwe obufuzi bw'eggulu omusanvu ne nsi, tewali kintu kyonna kisinzibwa okugyako yye, awa obulamu, era natta, kale nno mukkirize Katonda n’omubakawe, Nabbi ataasoma biwandiiko, oyo akkiriza Katonda n’ebigambobye, era mu mugoberere, olwo nno mube nga mulungamye |
وَمِن قَوْمِ مُوسَىٰ أُمَّةٌ يَهْدُونَ بِالْحَقِّ وَبِهِ يَعْدِلُونَ (159) Mu bantu ba Musa, mulimu e kibiina nga bakozesa amazima, era nga gebakozesa okukola obwenkanya |
وَقَطَّعْنَاهُمُ اثْنَتَيْ عَشْرَةَ أَسْبَاطًا أُمَمًا ۚ وَأَوْحَيْنَا إِلَىٰ مُوسَىٰ إِذِ اسْتَسْقَاهُ قَوْمُهُ أَنِ اضْرِب بِّعَصَاكَ الْحَجَرَ ۖ فَانبَجَسَتْ مِنْهُ اثْنَتَا عَشْرَةَ عَيْنًا ۖ قَدْ عَلِمَ كُلُّ أُنَاسٍ مَّشْرَبَهُمْ ۚ وَظَلَّلْنَا عَلَيْهِمُ الْغَمَامَ وَأَنزَلْنَا عَلَيْهِمُ الْمَنَّ وَالسَّلْوَىٰ ۖ كُلُوا مِن طَيِّبَاتِ مَا رَزَقْنَاكُمْ ۚ وَمَا ظَلَمُونَا وَلَٰكِن كَانُوا أَنفُسَهُمْ يَظْلِمُونَ (160) Era twabakutulamu e nnyiriri kkumi na bbiri nga bika, era twatumira Musa, abantube bwe baamusaba okubafunira amazzi, ne tumugamba nti, kuba omuggo gwo ku jjinja, olwo nno nemufubutukamu e nsulo kkumi na bbiri, buli bantu baamanya webalina okunywa, ekirala twabasiikiriza n’ekire, era twabassiza Manna, ne Saluwa (nga bwe tubagamba nti) mulye e birungi mu ebyo bye tubagabira, si ffe bebaayisa obubi, wabula beeyisa bokka obubi |
وَإِذْ قِيلَ لَهُمُ اسْكُنُوا هَٰذِهِ الْقَرْيَةَ وَكُلُوا مِنْهَا حَيْثُ شِئْتُمْ وَقُولُوا حِطَّةٌ وَادْخُلُوا الْبَابَ سُجَّدًا نَّغْفِرْ لَكُمْ خَطِيئَاتِكُمْ ۚ سَنَزِيدُ الْمُحْسِنِينَ (161) Era jjukira bwe baalagirwa nti, mutuule mu kitundu kino, mulye nga muli mu kyo, wonna wemwagala, era mugambe nti, Hittwa (tuggyeko e bibi), era muyingire omulyango gw’ekibuga nga muvunnamye, olwo nno tujja kubasonyiwa e byonoono bya mmwe, tujja kwongeza abakozi b’obulungi |
فَبَدَّلَ الَّذِينَ ظَلَمُوا مِنْهُمْ قَوْلًا غَيْرَ الَّذِي قِيلَ لَهُمْ فَأَرْسَلْنَا عَلَيْهِمْ رِجْزًا مِّنَ السَّمَاءِ بِمَا كَانُوا يَظْلِمُونَ (162) Abo abeeyisa obubi, baakyusa e kigambo ekyabagambwa, olwo nno ne tubasindikira e bibonerezo okuva mu ggulu olw'ebyo bye beeyisangamu obubi |
وَاسْأَلْهُمْ عَنِ الْقَرْيَةِ الَّتِي كَانَتْ حَاضِرَةَ الْبَحْرِ إِذْ يَعْدُونَ فِي السَّبْتِ إِذْ تَأْتِيهِمْ حِيتَانُهُمْ يَوْمَ سَبْتِهِمْ شُرَّعًا وَيَوْمَ لَا يَسْبِتُونَ ۙ لَا تَأْتِيهِمْ ۚ كَذَٰلِكَ نَبْلُوهُم بِمَا كَانُوا يَفْسُقُونَ (163) Babuuze ebikwata ku kitundu e kyali ku lubalama lwe nyanja, bwe baamenya e tteeka erikwata ku lunaku lw’omukaaga, olw'okuba e byennyanja byabwe bya bajjiranga, mu bungi ate nga ku lunaku olutali lw’amukaaga nga tebibajjira, bwe tutyo bwe tubakema olw'ebyo bye baakola mu bwonoonyi |
وَإِذْ قَالَتْ أُمَّةٌ مِّنْهُمْ لِمَ تَعِظُونَ قَوْمًا ۙ اللَّهُ مُهْلِكُهُمْ أَوْ مُعَذِّبُهُمْ عَذَابًا شَدِيدًا ۖ قَالُوا مَعْذِرَةً إِلَىٰ رَبِّكُمْ وَلَعَلَّهُمْ يَتَّقُونَ (164) Era jjukira e kibiina mu bo bwe kyagamba nti, lwaki mubuulirira e kibiina kya bantu nga Katonda ajja kubazikiriza, oba ajja kubabonereza n’ebibonerezo e bisuffu, bo nebagamba nti tukikola lwa kweggyako musango ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, ate sinakindi nabo bayinza okutya Katonda |
فَلَمَّا نَسُوا مَا ذُكِّرُوا بِهِ أَنجَيْنَا الَّذِينَ يَنْهَوْنَ عَنِ السُّوءِ وَأَخَذْنَا الَّذِينَ ظَلَمُوا بِعَذَابٍ بَئِيسٍ بِمَا كَانُوا يَفْسُقُونَ (165) Kebaamala nebeerabira e byababuulirwa, twawonya abo abakoma ku bannaabwe okukola e bibi, ate abo abeeyisa obubi netubassaako e bibonerezo e bikambwe olw'obwonoonyi bwe baakolanga |
فَلَمَّا عَتَوْا عَن مَّا نُهُوا عَنْهُ قُلْنَا لَهُمْ كُونُوا قِرَدَةً خَاسِئِينَ (166) Bwe baalemera kw'ebyo e byabagaanibwa twabagamba nti, mubeere enkobe kibafuule abanyoomebwa |
وَإِذْ تَأَذَّنَ رَبُّكَ لَيَبْعَثَنَّ عَلَيْهِمْ إِلَىٰ يَوْمِ الْقِيَامَةِ مَن يَسُومُهُمْ سُوءَ الْعَذَابِ ۗ إِنَّ رَبَّكَ لَسَرِيعُ الْعِقَابِ ۖ وَإِنَّهُ لَغَفُورٌ رَّحِيمٌ (167) Era jjukira Mukama omulabiriziwo bwe yalangirira nti (abayudaaya) ajja kubateerawo ddala abantu abanaabakombesanga ku bukaawu bwe bibonerezo, okutuusa ku lunaku lw’enkomerero, mazima Mukama omulabiriziwo mwangu mu kubonereza, era mazima yye. Musonyiyi nnyo wa kisa |
وَقَطَّعْنَاهُمْ فِي الْأَرْضِ أُمَمًا ۖ مِّنْهُمُ الصَّالِحُونَ وَمِنْهُمْ دُونَ ذَٰلِكَ ۖ وَبَلَوْنَاهُم بِالْحَسَنَاتِ وَالسَّيِّئَاتِ لَعَلَّهُمْ يَرْجِعُونَ (168) Era twabagabanya mu nsi, nebaba e bibiina e byenjawulo, mu bo mulimu abalongoofu, era mu bo mulimu abatali ekyo, era twabagezesa n’ebirungi n’ebibi kibayambe okudda (eri Katonda) |
فَخَلَفَ مِن بَعْدِهِمْ خَلْفٌ وَرِثُوا الْكِتَابَ يَأْخُذُونَ عَرَضَ هَٰذَا الْأَدْنَىٰ وَيَقُولُونَ سَيُغْفَرُ لَنَا وَإِن يَأْتِهِمْ عَرَضٌ مِّثْلُهُ يَأْخُذُوهُ ۚ أَلَمْ يُؤْخَذْ عَلَيْهِم مِّيثَاقُ الْكِتَابِ أَن لَّا يَقُولُوا عَلَى اللَّهِ إِلَّا الْحَقَّ وَدَرَسُوا مَا فِيهِ ۗ وَالدَّارُ الْآخِرَةُ خَيْرٌ لِّلَّذِينَ يَتَّقُونَ ۗ أَفَلَا تَعْقِلُونَ (169) Newajja oluvanyuma lwabwe abaabaddira mu bigere, abaasikira e kitabo nebaba nga bakulembeza by’akufuna bya nsi ebitaliimu, era nebagamba nti tulisonyiyibwa, era singa bajjirwa e birala e bibifaanana, nabyo bandibitutte, abaffe tebaakozesebwa ndagaano y’ekitabo okuba nga teboogera ku Katonda okugyako amazima, era nga basoma ebyo ebiri mu kitabo, ate nga ekituufu kiri nti, obutuulo obw'enkomerero bwe bulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera |
وَالَّذِينَ يُمَسِّكُونَ بِالْكِتَابِ وَأَقَامُوا الصَّلَاةَ إِنَّا لَا نُضِيعُ أَجْرَ الْمُصْلِحِينَ (170) Ate abo abeekwata ku kitabo nebayimirizaawo e sswala, mazima ffe tetugenda kwonoona mpeera y’abalongoofu |
۞ وَإِذْ نَتَقْنَا الْجَبَلَ فَوْقَهُمْ كَأَنَّهُ ظُلَّةٌ وَظَنُّوا أَنَّهُ وَاقِعٌ بِهِمْ خُذُوا مَا آتَيْنَاكُم بِقُوَّةٍ وَاذْكُرُوا مَا فِيهِ لَعَلَّكُمْ تَتَّقُونَ (171) Era jjukira bwe twatengeesa olusozi waggulu waabwe, neruba nga manvuli, nebatuuka okulowooza nti mazima ddala lugenda kubagwako (awonno netubagamba nti) bye tubawadde mubikwate butiribiri, era mujjukire ebibirimu, olwo nno mube abatya Katonda |
وَإِذْ أَخَذَ رَبُّكَ مِن بَنِي آدَمَ مِن ظُهُورِهِمْ ذُرِّيَّتَهُمْ وَأَشْهَدَهُمْ عَلَىٰ أَنفُسِهِمْ أَلَسْتُ بِرَبِّكُمْ ۖ قَالُوا بَلَىٰ ۛ شَهِدْنَا ۛ أَن تَقُولُوا يَوْمَ الْقِيَامَةِ إِنَّا كُنَّا عَنْ هَٰذَا غَافِلِينَ (172) Era jjukira Mukama omulabiriziwo bwe yajja ku migongo gy’abaana ba Adam ezzadde lyabwe, n’abalagira beeweeko obujulizi, (naagamba nti) Sinze Mukama omulabirizi wa mmwe, nebagamba nti, bwe guli, era tukiwaako obujulizi, olwo nno muleme kugamba ku lunaku lw'enkomerero nti, mazima ddala ffe, kino twali tetukimanyi |
أَوْ تَقُولُوا إِنَّمَا أَشْرَكَ آبَاؤُنَا مِن قَبْلُ وَكُنَّا ذُرِّيَّةً مِّن بَعْدِهِمْ ۖ أَفَتُهْلِكُنَا بِمَا فَعَلَ الْمُبْطِلُونَ (173) Oba muleme kugamba nti, bakadde baffe beebaakola shiriki ffe nga tetunajja, era ffe twali zzadde eryajja oluvanyuma lwabwe. Otuzikiriza otya olw'ebyo ebyakolebwa aboonoonyi |
وَكَذَٰلِكَ نُفَصِّلُ الْآيَاتِ وَلَعَلَّهُمْ يَرْجِعُونَ (174) Era nno bwe tutyo bwe tunnyonnyola e bigambo, babe nga badda (eri okusinza Katonda yekka) |
وَاتْلُ عَلَيْهِمْ نَبَأَ الَّذِي آتَيْنَاهُ آيَاتِنَا فَانسَلَخَ مِنْهَا فَأَتْبَعَهُ الشَّيْطَانُ فَكَانَ مِنَ الْغَاوِينَ (175) Era basomere ebikwata ku oyo gwe twawa obubonero bwaffe n'abwesamba, ne Sitane naamunoonya (n'amufuula munne) olwo nno naabeera ow'omu babuze |
وَلَوْ شِئْنَا لَرَفَعْنَاهُ بِهَا وَلَٰكِنَّهُ أَخْلَدَ إِلَى الْأَرْضِ وَاتَّبَعَ هَوَاهُ ۚ فَمَثَلُهُ كَمَثَلِ الْكَلْبِ إِن تَحْمِلْ عَلَيْهِ يَلْهَثْ أَوْ تَتْرُكْهُ يَلْهَث ۚ ذَّٰلِكَ مَثَلُ الْقَوْمِ الَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا ۚ فَاقْصُصِ الْقَصَصَ لَعَلَّهُمْ يَتَفَكَّرُونَ (176) Singa twayagala twandimusitudde e ddaala olw'obubonero obwo, naye mazima ddala yye yeemalira ku nsi, era n’agoberera okwagalakwe, olwo nno e kifaananyi kye alinga e mbwa bwogigoba e misinde ewejjawejja, ate nebwogireka eba ewejjawejja, ekyo nno kye kifaananyi kyabo abaalimbisa e bigambo byaffe, bategeeze ebyafaayo kibayambe ku bigambo byaffe, bategeeze ebyafaayo, kibayambe okwefumiitiriza |
سَاءَ مَثَلًا الْقَوْمُ الَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا وَأَنفُسَهُمْ كَانُوا يَظْلِمُونَ (177) Kifaananyi kibi eky’a bantu abaalimbisa e bigambo byaffe, ate nga ekituufu kiri nti emyoyo gyabwe gye baayisanga obubi |
مَن يَهْدِ اللَّهُ فَهُوَ الْمُهْتَدِي ۖ وَمَن يُضْلِلْ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الْخَاسِرُونَ (178) Oyo yenna Katonda gw'aba alungamizza ye y’abeera omulungamu, ate gwabuza, abo nno be baafaafaaganirwa |
وَلَقَدْ ذَرَأْنَا لِجَهَنَّمَ كَثِيرًا مِّنَ الْجِنِّ وَالْإِنسِ ۖ لَهُمْ قُلُوبٌ لَّا يَفْقَهُونَ بِهَا وَلَهُمْ أَعْيُنٌ لَّا يُبْصِرُونَ بِهَا وَلَهُمْ آذَانٌ لَّا يَسْمَعُونَ بِهَا ۚ أُولَٰئِكَ كَالْأَنْعَامِ بَلْ هُمْ أَضَلُّ ۚ أُولَٰئِكَ هُمُ الْغَافِلُونَ (179) Omuliro Jahannama twagutegekera bangi mu majinni ne mu Bantu, (kyova olaba) nti, balina e mitima naye tebagikozesa kutegeera, era balina amaaso gebatalabisa, era balina amatu gebatawuliza, abo nno balinga e bisolo, sinakindi bo b’e babuze okusinga e bisolo, abo nno be beesuulirayo ogwa nnagamba (ku bigambo bye ddiini) |
وَلِلَّهِ الْأَسْمَاءُ الْحُسْنَىٰ فَادْعُوهُ بِهَا ۖ وَذَرُوا الَّذِينَ يُلْحِدُونَ فِي أَسْمَائِهِ ۚ سَيُجْزَوْنَ مَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (180) Era Katonda alina amannya amalungi, kale mugamusabise, era muve kw’abo abakyusakyusa amannyage, balisasulwa ebyo bye baakola |
وَمِمَّنْ خَلَقْنَا أُمَّةٌ يَهْدُونَ بِالْحَقِّ وَبِهِ يَعْدِلُونَ (181) Mu bantu betwatonda, mulimu e kibiina nga bo bakolera ku mazima, era gebakozesa okukola obwenkanya wakati w’abantu |
وَالَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا سَنَسْتَدْرِجُهُم مِّنْ حَيْثُ لَا يَعْلَمُونَ (182) Naabo abaalimbisa tujja kubatwaliriza mpola, naye tubakwate nga tebamanyi |
وَأُمْلِي لَهُمْ ۚ إِنَّ كَيْدِي مَتِينٌ (183) Era mbalindiriza nebeeyagalira (mu byengera) naye nga mazima entegeka yange nnyweevu |
أَوَلَمْ يَتَفَكَّرُوا ۗ مَا بِصَاحِبِهِم مِّن جِنَّةٍ ۚ إِنْ هُوَ إِلَّا نَذِيرٌ مُّبِينٌ (184) Abaffe tebaalowoozaako (n’omulundo n'ogumu) nti munnaabwe ono si mugwi wa ddalu, (e kituufu kiri nti) tali kintu kyonna okugyako okuba nti mutiisa ow’olwatu |
أَوَلَمْ يَنظُرُوا فِي مَلَكُوتِ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَمَا خَلَقَ اللَّهُ مِن شَيْءٍ وَأَنْ عَسَىٰ أَن يَكُونَ قَدِ اقْتَرَبَ أَجَلُهُمْ ۖ فَبِأَيِّ حَدِيثٍ بَعْدَهُ يُؤْمِنُونَ (185) Abaffe tebaatunulako mu bufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi! na buli kyonna Katonda kyeyatonda! n’okuba nti kirabika nti e nkomerero yaabwe mazima yali etuuse! kaakano oluvanyuma lwa kino bigambo ki bye bayinza okukkiriza |
مَن يُضْلِلِ اللَّهُ فَلَا هَادِيَ لَهُ ۚ وَيَذَرُهُمْ فِي طُغْيَانِهِمْ يَعْمَهُونَ (186) Oyo yenna Katonda gwabuza tewali ayinza ku mulungamya, era abaleka mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta |
يَسْأَلُونَكَ عَنِ السَّاعَةِ أَيَّانَ مُرْسَاهَا ۖ قُلْ إِنَّمَا عِلْمُهَا عِندَ رَبِّي ۖ لَا يُجَلِّيهَا لِوَقْتِهَا إِلَّا هُوَ ۚ ثَقُلَتْ فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ لَا تَأْتِيكُمْ إِلَّا بَغْتَةً ۗ يَسْأَلُونَكَ كَأَنَّكَ حَفِيٌّ عَنْهَا ۖ قُلْ إِنَّمَا عِلْمُهَا عِندَ اللَّهِ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَ النَّاسِ لَا يَعْلَمُونَ (187) Bakubuuza ku lunaku lw'enkomerero nti lulituuka ddi, gamba nti, mazima ebirukwatako Mukama omulabirizi wange y'abimanyi, tewali ayinza ku kubuulira mu butuufu nti lulituuka ddi? okugyako yye, ebilukwatako bizito mu ggulu omusanvu, ne ku nsi, terugenda kubajjira okugyako kibwatukira, balukubuuza ng’olinga alumanyiiko ennyo, gamba nti, mazima ebyokumanya olunaku olwo biri wa Katonda, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi |
قُل لَّا أَمْلِكُ لِنَفْسِي نَفْعًا وَلَا ضَرًّا إِلَّا مَا شَاءَ اللَّهُ ۚ وَلَوْ كُنتُ أَعْلَمُ الْغَيْبَ لَاسْتَكْثَرْتُ مِنَ الْخَيْرِ وَمَا مَسَّنِيَ السُّوءُ ۚ إِنْ أَنَا إِلَّا نَذِيرٌ وَبَشِيرٌ لِّقَوْمٍ يُؤْمِنُونَ (188) Gamba nti si nze neesalirawo e kirungi oba e kibi, okugyako Katonda kyaba ayagadde, era singa nnali mmanyi e byekusifu, nandiyitirizza okukola e birungi, mu ngeri y'emu tewandibadde kabi kantuukako, nze siri kintu kyonna okugyako okuba omutiisa, omusanyusa eri abo abatya Katonda |
۞ هُوَ الَّذِي خَلَقَكُم مِّن نَّفْسٍ وَاحِدَةٍ وَجَعَلَ مِنْهَا زَوْجَهَا لِيَسْكُنَ إِلَيْهَا ۖ فَلَمَّا تَغَشَّاهَا حَمَلَتْ حَمْلًا خَفِيفًا فَمَرَّتْ بِهِ ۖ فَلَمَّا أَثْقَلَت دَّعَوَا اللَّهَ رَبَّهُمَا لَئِنْ آتَيْتَنَا صَالِحًا لَّنَكُونَنَّ مِنَ الشَّاكِرِينَ (189) Katonda yye yooyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, ng’ate mu ye mwe yaggya mukyalawe, abeere ng’adda gyali olw'okufuna obutebenkevu, bwe yamala okulabagana naye, naafuna olubuto olwangu, n’ayita nalwo mu mitendera (olubuto mweruyita) olw’amala okukula, baasaba Mukama omulabirizi waabwe, nebagamba nti, singa otuwa omwana omulongoofu, tujja kubeerera ddala mu beebaza |
فَلَمَّا آتَاهُمَا صَالِحًا جَعَلَا لَهُ شُرَكَاءَ فِيمَا آتَاهُمَا ۚ فَتَعَالَى اللَّهُ عَمَّا يُشْرِكُونَ (190) (Naye ate abantu abaddirira) Katonda bwe yabawa omwana omulongoofu, baamugattako e bintu e birala mu ekyo kye yabawala, Katonda w'anjawulo nnyo, kw'ebyo bye bamugattako |
أَيُشْرِكُونَ مَا لَا يَخْلُقُ شَيْئًا وَهُمْ يُخْلَقُونَ (191) Abaffe bagatta ku Katonda ebyo ebitasobola kutonda kintu kyonna, ng’ate byo byatondebwa |
وَلَا يَسْتَطِيعُونَ لَهُمْ نَصْرًا وَلَا أَنفُسَهُمْ يَنصُرُونَ (192) Era tebiyinza kubafunira kutaasa wadde bo bennyini okwetaasa |
وَإِن تَدْعُوهُمْ إِلَى الْهُدَىٰ لَا يَتَّبِعُوكُمْ ۚ سَوَاءٌ عَلَيْكُمْ أَدَعَوْتُمُوهُمْ أَمْ أَنتُمْ صَامِتُونَ (193) Bwe mubakoowoola okujja eri obulungamu tebabagoberera, kye kimu kamube nga mubayise, oba nga musirise |
إِنَّ الَّذِينَ تَدْعُونَ مِن دُونِ اللَّهِ عِبَادٌ أَمْثَالُكُمْ ۖ فَادْعُوهُمْ فَلْيَسْتَجِيبُوا لَكُمْ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (194) Mazima abo bemusaba nemuva ku Katonda, baddu nga mmwe, kale mubasabe babaanukule bwe muba nga mwogera mazima |
أَلَهُمْ أَرْجُلٌ يَمْشُونَ بِهَا ۖ أَمْ لَهُمْ أَيْدٍ يَبْطِشُونَ بِهَا ۖ أَمْ لَهُمْ أَعْيُنٌ يُبْصِرُونَ بِهَا ۖ أَمْ لَهُمْ آذَانٌ يَسْمَعُونَ بِهَا ۗ قُلِ ادْعُوا شُرَكَاءَكُمْ ثُمَّ كِيدُونِ فَلَا تُنظِرُونِ (195) Abaffe balina amagulu nti gebatambuza, oba balina e mikono gye bakwasa, oba balina amaaso gebalabisa, oba balina amatu gebawuliza, gamba nti muyite bye musinza ne mubigatta ku Katonda, olwo nno munneekobaanire temunnindiriza |
إِنَّ وَلِيِّيَ اللَّهُ الَّذِي نَزَّلَ الْكِتَابَ ۖ وَهُوَ يَتَوَلَّى الصَّالِحِينَ (196) Mazima omukuumi wange ye Katonda, oyo eyassa e kitabo, era bulijjo yye, ye mukuumi w’abalongoofu |
وَالَّذِينَ تَدْعُونَ مِن دُونِهِ لَا يَسْتَطِيعُونَ نَصْرَكُمْ وَلَا أَنفُسَهُمْ يَنصُرُونَ (197) Era mazima ddala be musaba ne mumulekawo, tebasobola kubataasa, era nga bwe batasobola kwetaasa |
وَإِن تَدْعُوهُمْ إِلَى الْهُدَىٰ لَا يَسْمَعُوا ۖ وَتَرَاهُمْ يَنظُرُونَ إِلَيْكَ وَهُمْ لَا يُبْصِرُونَ (198) Bwe mubakoowoola okujja eri obulungamu tebawulira, obalaba nga bakutunuulidde kyokka nga tebalaba |
خُذِ الْعَفْوَ وَأْمُرْ بِالْعُرْفِ وَأَعْرِضْ عَنِ الْجَاهِلِينَ (199) Nywerera ku kusonyiwa, era olagire abantu okweyisa obulungi, era ove ku batategeera |
وَإِمَّا يَنزَغَنَّكَ مِنَ الشَّيْطَانِ نَزْغٌ فَاسْتَعِذْ بِاللَّهِ ۚ إِنَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ (200) Buli wonna wootuukirwangako okulabankanya kwa Sitane, saba obukuumi bwa Katonda, mazima yye Katonda awulira nnyo, mumanyi |
إِنَّ الَّذِينَ اتَّقَوْا إِذَا مَسَّهُمْ طَائِفٌ مِّنَ الشَّيْطَانِ تَذَكَّرُوا فَإِذَا هُم مُّبْصِرُونَ (201) Mazima abo abatya Katonda, bwe baba baggyiddwa okubuzibwabuzibwa okuva eri Sitane, bajjukira Katonda, olwo nno nebalaba e kituufu |
وَإِخْوَانُهُمْ يَمُدُّونَهُمْ فِي الْغَيِّ ثُمَّ لَا يُقْصِرُونَ (202) Naye nga bannaabwe bongera kubasindika mu bwonoonefu, era nga tebaweera |
وَإِذَا لَمْ تَأْتِهِم بِآيَةٍ قَالُوا لَوْلَا اجْتَبَيْتَهَا ۚ قُلْ إِنَّمَا أَتَّبِعُ مَا يُوحَىٰ إِلَيَّ مِن رَّبِّي ۚ هَٰذَا بَصَائِرُ مِن رَّبِّكُمْ وَهُدًى وَرَحْمَةٌ لِّقَوْمٍ يُؤْمِنُونَ (203) Bwotabaleetera kya magero, bagamba nti, waakiri waalikyeyiiyirizza, gamba nti, mazima ngoberera ebyo ebiba bimpereddwa okuva ewa Mukama omulabirizi wange. (Kur’ani) eno, mumuli oguvudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, era bulungamu na kusaasira eri abo abakkiriza |
وَإِذَا قُرِئَ الْقُرْآنُ فَاسْتَمِعُوا لَهُ وَأَنصِتُوا لَعَلَّكُمْ تُرْحَمُونَ (204) Buli Kur’ani lwesomwanga mugiwulirize, era mugisseeko omulaka, olwo nno mulyoke musaasirwe |
وَاذْكُر رَّبَّكَ فِي نَفْسِكَ تَضَرُّعًا وَخِيفَةً وَدُونَ الْجَهْرِ مِنَ الْقَوْلِ بِالْغُدُوِّ وَالْآصَالِ وَلَا تَكُن مِّنَ الْغَافِلِينَ (205) Bulijjo jjukira Mukama omulabiriziwo, mu mwoyogwo, nga olaga obugonvu n’okutya, awatali kusitula ddoboozi mu bigambo (nga ekyo okikola), enkya n’eggulo, era tobeeranga mu bagayaavu |
إِنَّ الَّذِينَ عِندَ رَبِّكَ لَا يَسْتَكْبِرُونَ عَنْ عِبَادَتِهِ وَيُسَبِّحُونَهُ وَلَهُ يَسْجُدُونَ ۩ (206) Mazima abo abali ewa Mukama omulabiriziwo, tebeekuluntaza nebatamusinza, era ba mutendereza, era nga yye yekka, gwebavunnamira |