حم (1) Ha Miim |
تَنزِيلُ الْكِتَابِ مِنَ اللَّهِ الْعَزِيزِ الْعَلِيمِ (2) Okussa ekitabo (kino Kur’ani) kuva wa Katonda nantakubwa ku mukono, omumanyi ennyo |
غَافِرِ الذَّنبِ وَقَابِلِ التَّوْبِ شَدِيدِ الْعِقَابِ ذِي الطَّوْلِ ۖ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۖ إِلَيْهِ الْمَصِيرُ (3) Omusonyiyi we byonoono, era akkiriza okwenenya, nannyini bibonerezo ebikakali, nannyini kugaba, tewali kisinzibwa okugyako yye, obuddo buli gyali |
مَا يُجَادِلُ فِي آيَاتِ اللَّهِ إِلَّا الَّذِينَ كَفَرُوا فَلَا يَغْرُرْكَ تَقَلُّبُهُمْ فِي الْبِلَادِ (4) Tewali awakana ku bigambo bya Katonda okugyako abo abaakafuwala, kale okwejalabattira kwabwe mu nsi tekukuyigula ttama |
كَذَّبَتْ قَبْلَهُمْ قَوْمُ نُوحٍ وَالْأَحْزَابُ مِن بَعْدِهِمْ ۖ وَهَمَّتْ كُلُّ أُمَّةٍ بِرَسُولِهِمْ لِيَأْخُذُوهُ ۖ وَجَادَلُوا بِالْبَاطِلِ لِيُدْحِضُوا بِهِ الْحَقَّ فَأَخَذْتُهُمْ ۖ فَكَيْفَ كَانَ عِقَابِ (5) Oluberyeberye lwabwe abantu ba Nuhu baalimbisa, n'ebibinja ebyajja oluvanyuma lwabwe (nabyo byalimbisa), buli bantu baayagala okutuusa ku mubaka waabwe akabi, baakozesa obukyamu mu kuwakana, bamenyewo amazima, awo nno nembakwata naye okubonereza kwange (olaba) kwali kutya |
وَكَذَٰلِكَ حَقَّتْ كَلِمَتُ رَبِّكَ عَلَى الَّذِينَ كَفَرُوا أَنَّهُمْ أَصْحَابُ النَّارِ (6) Nabwekityo, kyakakata ekigambo kya Mukama omulabirizi wo kwabo abaakafuwala nti mazima bo bantu ba mu muliro |
الَّذِينَ يَحْمِلُونَ الْعَرْشَ وَمَنْ حَوْلَهُ يُسَبِّحُونَ بِحَمْدِ رَبِّهِمْ وَيُؤْمِنُونَ بِهِ وَيَسْتَغْفِرُونَ لِلَّذِينَ آمَنُوا رَبَّنَا وَسِعْتَ كُلَّ شَيْءٍ رَّحْمَةً وَعِلْمًا فَاغْفِرْ لِلَّذِينَ تَابُوا وَاتَّبَعُوا سَبِيلَكَ وَقِهِمْ عَذَابَ الْجَحِيمِ (7) (Ba Malayika) abo abasitudde Arish, naabo abagibugiriza, batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era ba mukkiriza era basaba (Katonda) ekisonyiwo eri abo abakkiriza (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe mu kusaasira ne mukumanya wamalayo buli kintu kyonna, kale sonyiwa abo abeenenya nebagoberera ekkubo lyo era obawonye ebibonerezo by'omuliro Jahiim |
رَبَّنَا وَأَدْخِلْهُمْ جَنَّاتِ عَدْنٍ الَّتِي وَعَدتَّهُمْ وَمَن صَلَحَ مِنْ آبَائِهِمْ وَأَزْوَاجِهِمْ وَذُرِّيَّاتِهِمْ ۚ إِنَّكَ أَنتَ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (8) Ayi Mukama omulabirizi waffe era bayingize e jjana ez’emirembe zewabalagaanyisa (era zewalagaanyisa) abo abaalongooka mu bakadde baabwe ne be bafumbiriganwa nabo ne zadde lyabwe. Mazima ggwe nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga |
وَقِهِمُ السَّيِّئَاتِ ۚ وَمَن تَقِ السَّيِّئَاتِ يَوْمَئِذٍ فَقَدْ رَحِمْتَهُ ۚ وَذَٰلِكَ هُوَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (9) Era obesambye ebyonoono era oyo yenna gw'olyesambya ebibi ku lunaku olwo mazima oliba omusaasidde, era ekyo kwo, kwe kwesiima okusuffu |
إِنَّ الَّذِينَ كَفَرُوا يُنَادَوْنَ لَمَقْتُ اللَّهِ أَكْبَرُ مِن مَّقْتِكُمْ أَنفُسَكُمْ إِذْ تُدْعَوْنَ إِلَى الْإِيمَانِ فَتَكْفُرُونَ (10) Mazima abo abaakafuwala balikowoolwa (nga bali mu muliro nti) mazima obusungu bwa Katonda busuffu okusinga okwesunguwalira kwa mmwe, bwe mwakowolwanga okujja eri obukkiriza (wabula ate mmwe) nemuwakanya |
قَالُوا رَبَّنَا أَمَتَّنَا اثْنَتَيْنِ وَأَحْيَيْتَنَا اثْنَتَيْنِ فَاعْتَرَفْنَا بِذُنُوبِنَا فَهَلْ إِلَىٰ خُرُوجٍ مِّن سَبِيلٍ (11) Baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe watutta emirundi ebiri notuwa obulamu emirundi ebiri, kaakano tukkirizza ebyonoono byaffe (bitusaanidde), abaffe waliwo ekkubo lyonna eritufulumya mu muliro |
ذَٰلِكُم بِأَنَّهُ إِذَا دُعِيَ اللَّهُ وَحْدَهُ كَفَرْتُمْ ۖ وَإِن يُشْرَكْ بِهِ تُؤْمِنُوا ۚ فَالْحُكْمُ لِلَّهِ الْعَلِيِّ الْكَبِيرِ (12) (Baligambwa nti) ekyo mmwe (kye mulimu) buli Katonda lweyasabwanga yekka nga muwakanya, ate buli lwe yagattibwangako ekintu ekirala olwo nga mukkiriza, kale nno okulamula (olwaleero) kwa Katonda (yekka) owa waggulu owekitiibwa |
هُوَ الَّذِي يُرِيكُمْ آيَاتِهِ وَيُنَزِّلُ لَكُم مِّنَ السَّمَاءِ رِزْقًا ۚ وَمَا يَتَذَكَّرُ إِلَّا مَن يُنِيبُ (13) Yye yooyo abalaga obubonero bwe era abassiza amazzi okuva waggulu nga riziki (gye muli) naye teyebulirira (nabyo) okugyako oyo adda eri (Katonda) |
فَادْعُوا اللَّهَ مُخْلِصِينَ لَهُ الدِّينَ وَلَوْ كَرِهَ الْكَافِرُونَ (14) Kale musabe Katonda ng’eddiini mugikola ku lulwe yekka newakubadde nga abakafiiri bakitamwa |
رَفِيعُ الدَّرَجَاتِ ذُو الْعَرْشِ يُلْقِي الرُّوحَ مِنْ أَمْرِهِ عَلَىٰ مَن يَشَاءُ مِنْ عِبَادِهِ لِيُنذِرَ يَوْمَ التَّلَاقِ (15) (Katonda oyo) ow'ebitiibwa ebya waggulu nannyini Arish, assa obubaka okusinziira ku kiragiro kye kwoyo gwaba ayagadde mu baddu be, abe nga atiisa (abantu ebiribaawo ku) lunaku lw'okusisinkana |
يَوْمَ هُم بَارِزُونَ ۖ لَا يَخْفَىٰ عَلَى اللَّهِ مِنْهُمْ شَيْءٌ ۚ لِّمَنِ الْمُلْكُ الْيَوْمَ ۖ لِلَّهِ الْوَاحِدِ الْقَهَّارِ (16) Olunaku bo (abantu) bonna lwe balyeyoleka )mu maaso ga Katonda) tewali kintu kyonna kyava mu bo kiryekweka Katonda, (balibuuzibwa nti) obufuzi bwani olwaleero? (olwo nno nebategezebwa nti) bwa Katonda ali omu nantalemwa |
الْيَوْمَ تُجْزَىٰ كُلُّ نَفْسٍ بِمَا كَسَبَتْ ۚ لَا ظُلْمَ الْيَوْمَ ۚ إِنَّ اللَّهَ سَرِيعُ الْحِسَابِ (17) Olwaleero buli mwoyo gugenda kusasulwa olwebyo bye gwakola tewali kulyazamanya olwaleero, mazima Katonda mwangu wa kubala |
وَأَنذِرْهُمْ يَوْمَ الْآزِفَةِ إِذِ الْقُلُوبُ لَدَى الْحَنَاجِرِ كَاظِمِينَ ۚ مَا لِلظَّالِمِينَ مِنْ حَمِيمٍ وَلَا شَفِيعٍ يُطَاعُ (18) Batiise (gwe nabbi Muhammad) olunaku olusembedde, ekiseera emitima lwegiribeera mu malokooli (olw'entiisa) nga banyikaavu, abeeyisa obubi tebagenda kuba na ffa nfe, wadde muwolereza ayinza okuwulirizibwa |
يَعْلَمُ خَائِنَةَ الْأَعْيُنِ وَمَا تُخْفِي الصُّدُورُ (19) (Anti) Katonda amanyi amaaso agatali meesimbu era nga bwamanyi ebyo ebifuba bye bikweka |
وَاللَّهُ يَقْضِي بِالْحَقِّ ۖ وَالَّذِينَ يَدْعُونَ مِن دُونِهِ لَا يَقْضُونَ بِشَيْءٍ ۗ إِنَّ اللَّهَ هُوَ السَّمِيعُ الْبَصِيرُ (20) Era Katonda alamula mazima, bo abo abasaba ebintu ebirala nebaleka Katonda, tebalina kintu kyonna kye balamula (nekiba kyo). Mazima Katonda ye yaawulira ennyo alaba |
۞ أَوَلَمْ يَسِيرُوا فِي الْأَرْضِ فَيَنظُرُوا كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الَّذِينَ كَانُوا مِن قَبْلِهِمْ ۚ كَانُوا هُمْ أَشَدَّ مِنْهُمْ قُوَّةً وَآثَارًا فِي الْأَرْضِ فَأَخَذَهُمُ اللَّهُ بِذُنُوبِهِمْ وَمَا كَانَ لَهُم مِّنَ اللَّهِ مِن وَاقٍ (21) Abaffe tebatambulako mu nsi ne balala enkomerero yaabo ababasooka nga bwe yali, bo be baali babasinga amaanyi n'ebintu bye baaleka mu nsi Katonda yabakwata olwebyonoono byabwe tewaaliwo abawonya ku Katonda |
ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمْ كَانَت تَّأْتِيهِمْ رُسُلُهُم بِالْبَيِّنَاتِ فَكَفَرُوا فَأَخَذَهُمُ اللَّهُ ۚ إِنَّهُ قَوِيٌّ شَدِيدُ الْعِقَابِ (22) Ekyo (kyali bwekityo) lwakuba nti mazima bo ababaka baabwe babajjiranga n'obunnyonnyofu nebajeema, olwo nno Katonda nabakwata, mazima ye wamaanyi muyitirivu wa kubonereza |
وَلَقَدْ أَرْسَلْنَا مُوسَىٰ بِآيَاتِنَا وَسُلْطَانٍ مُّبِينٍ (23) Era Mazima twatuma Musa ne bya magero byaffe n’obusobozi bwokulambika ensonga |
إِلَىٰ فِرْعَوْنَ وَهَامَانَ وَقَارُونَ فَقَالُوا سَاحِرٌ كَذَّابٌ (24) Eri Falawo ne Hamaana ne Karuna nebagamba nti (Musa) mulogo mulimba |
فَلَمَّا جَاءَهُم بِالْحَقِّ مِنْ عِندِنَا قَالُوا اقْتُلُوا أَبْنَاءَ الَّذِينَ آمَنُوا مَعَهُ وَاسْتَحْيُوا نِسَاءَهُمْ ۚ وَمَا كَيْدُ الْكَافِرِينَ إِلَّا فِي ضَلَالٍ (25) Bweyabaleetera amazima okuva gyetuli baagamba nti mutte abaana abalenzi abaabo abakkiriza abali naye, naye bawala baabwe mubaleke nga balamu, bulijjo enkwe za bakafiiri teziba okugyako mu bubuze |
وَقَالَ فِرْعَوْنُ ذَرُونِي أَقْتُلْ مُوسَىٰ وَلْيَدْعُ رَبَّهُ ۖ إِنِّي أَخَافُ أَن يُبَدِّلَ دِينَكُمْ أَوْ أَن يُظْهِرَ فِي الْأَرْضِ الْفَسَادَ (26) Filaawo naagamba nti mundeke nzite Musa kale ayite Mukama omulabirizi we (anti) mazima nze ntidde nti ayinza okukyusa eddiini yammwe, oba ssi ekyo, ayinza okussa mu nsi obwononefu |
وَقَالَ مُوسَىٰ إِنِّي عُذْتُ بِرَبِّي وَرَبِّكُم مِّن كُلِّ مُتَكَبِّرٍ لَّا يُؤْمِنُ بِيَوْمِ الْحِسَابِ (27) Musa naagamba nti mazima nze nsaba Mukama omulabirizi wange era omulabirizi wa mmwe amponye (obubi) bwa buli mwekuza atakkiriza lunaku lwa kubalibwa |
وَقَالَ رَجُلٌ مُّؤْمِنٌ مِّنْ آلِ فِرْعَوْنَ يَكْتُمُ إِيمَانَهُ أَتَقْتُلُونَ رَجُلًا أَن يَقُولَ رَبِّيَ اللَّهُ وَقَدْ جَاءَكُم بِالْبَيِّنَاتِ مِن رَّبِّكُمْ ۖ وَإِن يَكُ كَاذِبًا فَعَلَيْهِ كَذِبُهُ ۖ وَإِن يَكُ صَادِقًا يُصِبْكُم بَعْضُ الَّذِي يَعِدُكُمْ ۖ إِنَّ اللَّهَ لَا يَهْدِي مَنْ هُوَ مُسْرِفٌ كَذَّابٌ (28) Omusajja omukkiriza mu bantu ba Filaawo (naye nga) yali akweka obukkiriza bwe, yagamba nti mutta omusajja olwokuba agamba nti Katonda ye Mukama omulabirizi wange, ate nga abaleetedde obujulizi obuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, bwaba nga alimba okulimba kwe kuli gyali, naye bwaba nga ayogera mazima ebimu ku byabalaganyisa bijja kubatuukako mazima Katonda talungamya oyo ye eyegalabanja, omulimba |
يَا قَوْمِ لَكُمُ الْمُلْكُ الْيَوْمَ ظَاهِرِينَ فِي الْأَرْضِ فَمَن يَنصُرُنَا مِن بَأْسِ اللَّهِ إِن جَاءَنَا ۚ قَالَ فِرْعَوْنُ مَا أُرِيكُمْ إِلَّا مَا أَرَىٰ وَمَا أَهْدِيكُمْ إِلَّا سَبِيلَ الرَّشَادِ (29) Abange mmwe bantu bange olwaleero mmwe mulina obufuzi era nga mumanyiddwa mu nsi, olwo ani anatutaasa ku bibonerezo bya Katonda singa bituggira (olw'obutakkiriza Musa byagamba) Falawo nagamba nti siraba nti mwandisazeewo okugyako kye ndaba (ekyo kutta Musa), ate si balagirira okugyako ekkubo ettuufu |
وَقَالَ الَّذِي آمَنَ يَا قَوْمِ إِنِّي أَخَافُ عَلَيْكُم مِّثْلَ يَوْمِ الْأَحْزَابِ (30) Oyo eyakkiriza naagamba nti abange bantu bange (mwegendereze) mazima nze ntya mmwe okutuukibwako nga ebyo ebyatuuka ku bibiina ebyakulembera (ebyekobaana okuyisa obubi ba Nabbi babyo) |
مِثْلَ دَأْبِ قَوْمِ نُوحٍ وَعَادٍ وَثَمُودَ وَالَّذِينَ مِن بَعْدِهِمْ ۚ وَمَا اللَّهُ يُرِيدُ ظُلْمًا لِّلْعِبَادِ (31) Okugeza ng'enkola y'abantu ba Nuhu ne A-adi ne Thamud naabo abaaliwo oluvanyuma lwabwe, era bulijjo Katonda tayagaliza baddu be kuyisibwa bubi |
وَيَا قَوْمِ إِنِّي أَخَافُ عَلَيْكُمْ يَوْمَ التَّنَادِ (32) Era abange mmwe bantu bange, mazima nze mbatiisa olunaku lw’enduulu |
يَوْمَ تُوَلُّونَ مُدْبِرِينَ مَا لَكُم مِّنَ اللَّهِ مِنْ عَاصِمٍ ۗ وَمَن يُضْلِلِ اللَّهُ فَمَا لَهُ مِنْ هَادٍ (33) Olunaku lwe mulikyuka mudduke naye nga temuliba n’abawonya yenna ku Katonda, oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kufuna mulungamya |
وَلَقَدْ جَاءَكُمْ يُوسُفُ مِن قَبْلُ بِالْبَيِّنَاتِ فَمَا زِلْتُمْ فِي شَكٍّ مِّمَّا جَاءَكُم بِهِ ۖ حَتَّىٰ إِذَا هَلَكَ قُلْتُمْ لَن يَبْعَثَ اللَّهُ مِن بَعْدِهِ رَسُولًا ۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ اللَّهُ مَنْ هُوَ مُسْرِفٌ مُّرْتَابٌ (34) Era mazima Yusuf yabajjira oluberyeberye n’obujulizi kyokka mwasigala muli mu kubuusabuusa kwebyo bye yabaleetera, okutuusa nga amaze okufa olwo nno nemugamba nti Katonda tagenda kutuma mubaka yenna luvannyuma lwe, bwatyo nno Katonda bwabuza buli oyo yenna yye eyegalabanja abuusabuusa |
الَّذِينَ يُجَادِلُونَ فِي آيَاتِ اللَّهِ بِغَيْرِ سُلْطَانٍ أَتَاهُمْ ۖ كَبُرَ مَقْتًا عِندَ اللَّهِ وَعِندَ الَّذِينَ آمَنُوا ۚ كَذَٰلِكَ يَطْبَعُ اللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ قَلْبِ مُتَكَبِّرٍ جَبَّارٍ (35) Abo abawakana ku bikwata ku bigambo bya Katonda awatali bujulizi bubajjidde (ekikolwa ekyo) kibi, kinene nnyo ewa Katonda, newaabo abakkiriza, bwatyo Katonda bwazibikira ku buli mutima gwo mwekuza, kiwagi |
وَقَالَ فِرْعَوْنُ يَا هَامَانُ ابْنِ لِي صَرْحًا لَّعَلِّي أَبْلُغُ الْأَسْبَابَ (36) Firawo nagamba nti owange Hamaana (katikkiro we) nzimbira omunaala oba olyawo naatuka ku makubo |
أَسْبَابَ السَّمَاوَاتِ فَأَطَّلِعَ إِلَىٰ إِلَٰهِ مُوسَىٰ وَإِنِّي لَأَظُنُّهُ كَاذِبًا ۚ وَكَذَٰلِكَ زُيِّنَ لِفِرْعَوْنَ سُوءُ عَمَلِهِ وَصُدَّ عَنِ السَّبِيلِ ۚ وَمَا كَيْدُ فِرْعَوْنَ إِلَّا فِي تَبَابٍ (37) Amakubo g'eggulu omusanvu olwo nno mbe nga ndaba Katonda wa Musa, wabula mazima mmulowooza okuba nti mulimba, bwatyo Firawo emirimu gye emibi gyamulabisibwa nga mirungi, olwo nno naggibwa ku kkubo, era enkwe za Firawo tezaali okugyako mu kugootaana |
وَقَالَ الَّذِي آمَنَ يَا قَوْمِ اتَّبِعُونِ أَهْدِكُمْ سَبِيلَ الرَّشَادِ (38) Era oyo eyakkiriza yagamba nti mungoberere mbalagirire ekkubo lyo bulungamu |
يَا قَوْمِ إِنَّمَا هَٰذِهِ الْحَيَاةُ الدُّنْيَا مَتَاعٌ وَإِنَّ الْآخِرَةَ هِيَ دَارُ الْقَرَارِ (39) Abange bantu bange mazima obulamu bwe nsi buno bwakiyita mu lujja, era mazima enkomerero, y’enyumba eyolubereera |
مَنْ عَمِلَ سَيِّئَةً فَلَا يُجْزَىٰ إِلَّا مِثْلَهَا ۖ وَمَنْ عَمِلَ صَالِحًا مِّن ذَكَرٍ أَوْ أُنثَىٰ وَهُوَ مُؤْمِنٌ فَأُولَٰئِكَ يَدْخُلُونَ الْجَنَّةَ يُرْزَقُونَ فِيهَا بِغَيْرِ حِسَابٍ (40) Oyo yenna akola omulimu omubi tasasulwa okugyako ekigwenkana, ate oyo akola omulimu omulongoofu kaabe musajja oba mukazi (naagukola) nga mukkiriza, abo nno baliyingira e jjana baligabirirwa mu yo awatali kubalirira |
۞ وَيَا قَوْمِ مَا لِي أَدْعُوكُمْ إِلَى النَّجَاةِ وَتَدْعُونَنِي إِلَى النَّارِ (41) Abange bantu bange lwaki mbayita okujja eri okuwona nga mmwe mumpita kudda eri muliro |
تَدْعُونَنِي لِأَكْفُرَ بِاللَّهِ وَأُشْرِكَ بِهِ مَا لَيْسَ لِي بِهِ عِلْمٌ وَأَنَا أَدْعُوكُمْ إِلَى الْعَزِيزِ الْغَفَّارِ (42) Mumpita mpakanye Katonda era mugatteko ebyo bye ssirinaako kumanya! ate nga nze mbayita kudda eri Nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo |
لَا جَرَمَ أَنَّمَا تَدْعُونَنِي إِلَيْهِ لَيْسَ لَهُ دَعْوَةٌ فِي الدُّنْيَا وَلَا فِي الْآخِرَةِ وَأَنَّ مَرَدَّنَا إِلَى اللَّهِ وَأَنَّ الْمُسْرِفِينَ هُمْ أَصْحَابُ النَّارِ (43) Tewali kubuusabuusa mazima ekyo kye mumpitira tekirina buyinza ku nsi wadde ku nkomerero, ate nga mazima obuddo bwaffe buli eri Katonda era nga mazima abegalabanja bo be bantu bo mu muliro |
فَسَتَذْكُرُونَ مَا أَقُولُ لَكُمْ ۚ وَأُفَوِّضُ أَمْرِي إِلَى اللَّهِ ۚ إِنَّ اللَّهَ بَصِيرٌ بِالْعِبَادِ (44) Lumu mulijjukira bye mbagamba era ensonga yange ngikwasa Katonda, mazima Katonda alabira ddala ebifa ku baddu |
فَوَقَاهُ اللَّهُ سَيِّئَاتِ مَا مَكَرُوا ۖ وَحَاقَ بِآلِ فِرْعَوْنَ سُوءُ الْعَذَابِ (45) Katonda naamuwonya obubi bwe nkwe zebasala, obubi bwe bibonorezo ne byetoloola abantu ba Falaawo |
النَّارُ يُعْرَضُونَ عَلَيْهَا غُدُوًّا وَعَشِيًّا ۖ وَيَوْمَ تَقُومُ السَّاعَةُ أَدْخِلُوا آلَ فِرْعَوْنَ أَشَدَّ الْعَذَابِ (46) Omuliro banjulwa gye guli (mu bufu bwabwe) enkya ne ggulo, ate olunaku lw’enkomerero lwe lulituuka walirangirirwa (nti) muyingize abantu ba Firaawo mu bibonerezo ebisinga obukakali |
وَإِذْ يَتَحَاجُّونَ فِي النَّارِ فَيَقُولُ الضُّعَفَاءُ لِلَّذِينَ اسْتَكْبَرُوا إِنَّا كُنَّا لَكُمْ تَبَعًا فَهَلْ أَنتُم مُّغْنُونَ عَنَّا نَصِيبًا مِّنَ النَّارِ (47) Jjukira ekiseera lwe balikayana mu muliro, abanafu (abakulemberwa) bwe baligamba abo abeekuza (abaali abakulembeze nti) mazima ffe twali bagoberezi ba mmwe abaffe mmwe musobola okutukolera ekitundu (kye kibonerezo) kyo muliro |
قَالَ الَّذِينَ اسْتَكْبَرُوا إِنَّا كُلٌّ فِيهَا إِنَّ اللَّهَ قَدْ حَكَمَ بَيْنَ الْعِبَادِ (48) Abo abeekuza baligamba nti, mazima ffe tugulimu fenna wamu, mazima Katonda yamaze okulamula wakati w'abaddu |
وَقَالَ الَّذِينَ فِي النَّارِ لِخَزَنَةِ جَهَنَّمَ ادْعُوا رَبَّكُمْ يُخَفِّفْ عَنَّا يَوْمًا مِّنَ الْعَذَابِ (49) Abaliba mu muliro baligamba abakuumi ba Jahannama nti musabe Mukama omulabirizi wa mmwe atukendeereze ku bibonerezo (waakiri) olunaku lumu |
قَالُوا أَوَلَمْ تَكُ تَأْتِيكُمْ رُسُلُكُم بِالْبَيِّنَاتِ ۖ قَالُوا بَلَىٰ ۚ قَالُوا فَادْعُوا ۗ وَمَا دُعَاءُ الْكَافِرِينَ إِلَّا فِي ضَلَالٍ (50) (Abakuumi bo muliro) baligamba nti abaffe ababaka ba mmwe tebabajjira n’obujulizi obwenkukunala, baligamba nti kituufu (baatujjira), bali bagambe nti kale musabe, wabula okusaba kwa bakafiiri tekuba okugyako mu bubuze |
إِنَّا لَنَنصُرُ رُسُلَنَا وَالَّذِينَ آمَنُوا فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَيَوْمَ يَقُومُ الْأَشْهَادُ (51) Mazima ffe ddala tutaasa ababaka baffe naabo abakkiriza mu bulamu obw'ensi ne ku lunaku abajulizi lwe baliyimirira (okuwa obujulizi nti ddala obubaka bwatusibwa ku bantu) |
يَوْمَ لَا يَنفَعُ الظَّالِمِينَ مَعْذِرَتُهُمْ ۖ وَلَهُمُ اللَّعْنَةُ وَلَهُمْ سُوءُ الدَّارِ (52) Olunaku abeeyisa obubi okwetonda kwabwe lwe kutalibagasa, era balina ekikolimo nga bwebalina obutuulo obubi (omuliro) |
وَلَقَدْ آتَيْنَا مُوسَى الْهُدَىٰ وَأَوْرَثْنَا بَنِي إِسْرَائِيلَ الْكِتَابَ (53) Mazima twawa Musa obulungamu era netusikiza abaana ba Israil ekitabo (ekyo) |
هُدًى وَذِكْرَىٰ لِأُولِي الْأَلْبَابِ (54) Nga bulungamu era nga kya kujjukiza eri abo abalina amagezi |
فَاصْبِرْ إِنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ وَاسْتَغْفِرْ لِذَنبِكَ وَسَبِّحْ بِحَمْدِ رَبِّكَ بِالْعَشِيِّ وَالْإِبْكَارِ (55) Kale gumikiriza (ggwe Nabbi Muhammad) mazima endagaano ya Katonda ya mazima era saba ekisonyiwo olw'ekibi kyo, era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo olweggulo ne kumakya |
إِنَّ الَّذِينَ يُجَادِلُونَ فِي آيَاتِ اللَّهِ بِغَيْرِ سُلْطَانٍ أَتَاهُمْ ۙ إِن فِي صُدُورِهِمْ إِلَّا كِبْرٌ مَّا هُم بِبَالِغِيهِ ۚ فَاسْتَعِذْ بِاللَّهِ ۖ إِنَّهُ هُوَ السَّمِيعُ الْبَصِيرُ (56) Mazima abo abawalaaza empaka ku bubonero bwa Katonda awatali bujulizi bubajjidde, mu bifuba byabwe temuli okugyako okwekuza ate nga tekuyinza kukibatuusaako (ekye kitiibwa n'obulungi Katonda bya gonnomola ku Nabbi we) kale nno saba obukuumi ewa Katonda (anti) mazima yye yemuwulizi omulabi enyo |
لَخَلْقُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ أَكْبَرُ مِنْ خَلْقِ النَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَ النَّاسِ لَا يَعْلَمُونَ (57) Ddala, okutonda eggulu omusanvu n'ensi kinene okusinga okutonda abantu, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi |
وَمَا يَسْتَوِي الْأَعْمَىٰ وَالْبَصِيرُ وَالَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ وَلَا الْمُسِيءُ ۚ قَلِيلًا مَّا تَتَذَكَّرُونَ (58) Era muzibe n'alaba tebenkana nga bwe batenkana abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu nomwonoonyi (wabula) mujjukira kitono nnyo |
إِنَّ السَّاعَةَ لَآتِيَةٌ لَّا رَيْبَ فِيهَا وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَ النَّاسِ لَا يُؤْمِنُونَ (59) Mazima olunaku lw’enkomerero lwa kutuuka teruliimu kubuusabuusa, naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza |
وَقَالَ رَبُّكُمُ ادْعُونِي أَسْتَجِبْ لَكُمْ ۚ إِنَّ الَّذِينَ يَسْتَكْبِرُونَ عَنْ عِبَادَتِي سَيَدْخُلُونَ جَهَنَّمَ دَاخِرِينَ (60) Mukama omulabirizi wa mmwe yagamba nti munsabe nja kubaanukula ,mazima abo abeekuza nebatansinza bagenda kuyingira omuliro Jahannama nga baswavu |
اللَّهُ الَّذِي جَعَلَ لَكُمُ اللَّيْلَ لِتَسْكُنُوا فِيهِ وَالنَّهَارَ مُبْصِرًا ۚ إِنَّ اللَّهَ لَذُو فَضْلٍ عَلَى النَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَ النَّاسِ لَا يَشْكُرُونَ (61) Katonda yooyo eyabateerawo obudde obwekiro muwummuliremu nabateerawo obudde obwemisana nga butangaala (musobole okukoleramu emirimu gya mmwe). Mazima Katonda akolera abantu ebirungi bingi, naye ddala abantu abasinga obungi tebeebaza |
ذَٰلِكُمُ اللَّهُ رَبُّكُمْ خَالِقُ كُلِّ شَيْءٍ لَّا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۖ فَأَنَّىٰ تُؤْفَكُونَ (62) Oyo nno mwe ye Katonda omulabirizi wa mmwe, omutonzi wa buli kintu, tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye ate muwugulwa mutya |
كَذَٰلِكَ يُؤْفَكُ الَّذِينَ كَانُوا بِآيَاتِ اللَّهِ يَجْحَدُونَ (63) (Nga bwe muwugulwa) bwe batyo bwe bwe baawugulwanga abo abaalinga bawakanya ebigambo bya Katonda |
اللَّهُ الَّذِي جَعَلَ لَكُمُ الْأَرْضَ قَرَارًا وَالسَّمَاءَ بِنَاءً وَصَوَّرَكُمْ فَأَحْسَنَ صُوَرَكُمْ وَرَزَقَكُم مِّنَ الطَّيِّبَاتِ ۚ ذَٰلِكُمُ اللَّهُ رَبُّكُمْ ۖ فَتَبَارَكَ اللَّهُ رَبُّ الْعَالَمِينَ (64) Katonda yooyo eyabateerawo ensi nga ntebenkevu, nabaterawo eggulu nga kasolya, era nabawa endabika ya mmwe, olwo nno nanyiriza endabika ya mmwe era nabagabirira ebintu ebirungi, oyo nno mmwe ye Katonda omulabirizi wa mmwe, kale nno musukkulumu Katonda, Mukama, omulabirizi w'ebitonde |
هُوَ الْحَيُّ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ فَادْعُوهُ مُخْلِصِينَ لَهُ الدِّينَ ۗ الْحَمْدُ لِلَّهِ رَبِّ الْعَالَمِينَ (65) Yye ye mulamu tewali kisinzibwa okugyako yye, kale mumusabe ng'eddiini yonna mugikolera yye yekka, (anti) ebitendo byonna bya Katonda omulabirizi webitonde |
۞ قُلْ إِنِّي نُهِيتُ أَنْ أَعْبُدَ الَّذِينَ تَدْعُونَ مِن دُونِ اللَّهِ لَمَّا جَاءَنِيَ الْبَيِّنَاتُ مِن رَّبِّي وَأُمِرْتُ أَنْ أُسْلِمَ لِرَبِّ الْعَالَمِينَ (66) Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti mazima nze bwe nnamala okufuna obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wange) nagaanibwa okusinza ebyo bye musaba ne muleka Katonda, obunnyonnyofu bwe bwanzijira nga buva ewa Mukama omulabirizi wange, era nalagirwa okwewa ewa Mukama omulabirizi w'ebitonde |
هُوَ الَّذِي خَلَقَكُم مِّن تُرَابٍ ثُمَّ مِن نُّطْفَةٍ ثُمَّ مِنْ عَلَقَةٍ ثُمَّ يُخْرِجُكُمْ طِفْلًا ثُمَّ لِتَبْلُغُوا أَشُدَّكُمْ ثُمَّ لِتَكُونُوا شُيُوخًا ۚ وَمِنكُم مَّن يُتَوَفَّىٰ مِن قَبْلُ ۖ وَلِتَبْلُغُوا أَجَلًا مُّسَمًّى وَلَعَلَّكُمْ تَعْقِلُونَ (67) (Anti) ye yooyo eyabatonda nga abaggya mu ttaka (omulundi ogwasooka nga atonda Adam), oluvanyuma (abatonda nga) abajja mu mazzzi agazaala, oluvanyuma abafuula ekisaayisaayi, oluvanyuma abafulumya nga muli baana, oluvanyuma (abalekawo) nemutuuka okubeera abajjuvu (mu mibiri ne mu kutegeera), oluvanyuma (abalekawo) nemutuuka okubeera abakadde, ate mu mmwe mulimu afa ng'akyali (naatamalaayo emitendera esatu egyogeddwa, (bwe kitaba ekyo abalekawo) mube nga mutuuka ekiseera ekigere (ekya buli omu) mube nga mutegeera (ebyo byonna ebibannyonnyoddwa) |
هُوَ الَّذِي يُحْيِي وَيُمِيتُ ۖ فَإِذَا قَضَىٰ أَمْرًا فَإِنَّمَا يَقُولُ لَهُ كُن فَيَكُونُ (68) (Katonda) yye yooyo awa obulamu era yatta, kale nno bwaba asazeewo ekintu akigamba nti beera nekibeera |
أَلَمْ تَرَ إِلَى الَّذِينَ يُجَادِلُونَ فِي آيَاتِ اللَّهِ أَنَّىٰ يُصْرَفُونَ (69) Abaffe tolaba abo abawalaaza empaka ku bigambo bya Katonda engeri gye bakyusibwamu (nebaleka amazima) |
الَّذِينَ كَذَّبُوا بِالْكِتَابِ وَبِمَا أَرْسَلْنَا بِهِ رُسُلَنَا ۖ فَسَوْفَ يَعْلَمُونَ (70) Abo abaalimbisa ekitabo (Kur’ani) n'ebyo byetwatuma nabyo ababaka baffe kyaddaaki balimanya |
إِذِ الْأَغْلَالُ فِي أَعْنَاقِهِمْ وَالسَّلَاسِلُ يُسْحَبُونَ (71) (Balimanya) mu kiseera enkoligo bwezirissibwa mu nsingo zaabwe era nga basibiddwa ne njegere nga bawalulwa |
فِي الْحَمِيمِ ثُمَّ فِي النَّارِ يُسْجَرُونَ (72) Mu lweje oluvanyuma balisibirwa mu muliro |
ثُمَّ قِيلَ لَهُمْ أَيْنَ مَا كُنتُمْ تُشْرِكُونَ (73) Oluvanyuma baligambwa nti biriwa bye mwagattanga (ku Katonda) |
مِن دُونِ اللَّهِ ۖ قَالُوا ضَلُّوا عَنَّا بَل لَّمْ نَكُن نَّدْعُو مِن قَبْلُ شَيْئًا ۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ اللَّهُ الْكَافِرِينَ (74) Nemuleka Katonda, baligamba nti batubuzeeko wabula (mu butuufu) bye twasabanga oluberyeberye temwali kantu. Bwatyo Katonda bwabuza abakafiiri |
ذَٰلِكُم بِمَا كُنتُمْ تَفْرَحُونَ فِي الْأَرْضِ بِغَيْرِ الْحَقِّ وَبِمَا كُنتُمْ تَمْرَحُونَ (75) Ebyo nno mmwe (eby'omuliro gwe muyingidde) lwansonga lwebyo bye mwasanyuka nga mu nsi mu butali butuufu, era n'engeri y’obujeemu gye mweyisangamu |
ادْخُلُوا أَبْوَابَ جَهَنَّمَ خَالِدِينَ فِيهَا ۖ فَبِئْسَ مَثْوَى الْمُتَكَبِّرِينَ (76) Muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli ba kutuula mu gwo bugenderevu, bubi nnyo obutuulo bwa beekuza |
فَاصْبِرْ إِنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ ۚ فَإِمَّا نُرِيَنَّكَ بَعْضَ الَّذِي نَعِدُهُمْ أَوْ نَتَوَفَّيَنَّكَ فَإِلَيْنَا يُرْجَعُونَ (77) Kale gumikiriza (ggwe Nabbi Muhammad) mazima endagaano ya Katonda ya mazima, kakibe nga ddala tukulaze ebimu kwebyo bye tubalaganyisa oba netukussaako okufa (nga tetubikulaze mu buli ngeri) bagenda kuzzibwa gyetuli |
وَلَقَدْ أَرْسَلْنَا رُسُلًا مِّن قَبْلِكَ مِنْهُم مَّن قَصَصْنَا عَلَيْكَ وَمِنْهُم مَّن لَّمْ نَقْصُصْ عَلَيْكَ ۗ وَمَا كَانَ لِرَسُولٍ أَن يَأْتِيَ بِآيَةٍ إِلَّا بِإِذْنِ اللَّهِ ۚ فَإِذَا جَاءَ أَمْرُ اللَّهِ قُضِيَ بِالْحَقِّ وَخَسِرَ هُنَالِكَ الْمُبْطِلُونَ (78) Mazima twatuma ababaka oluberyeberye lwo, mu bo mulimu betwakunyumizaako, era mu bo mulimu betutakunyumizaako, era Nabbi yenna yali tayinza kuleeta kya magero okugyako nga Katonda yasazeewo, kale nno ekigambo kya Katonda bwekirijja ensonga zirilamulwa mu mazima, era awo abonoonyi webalifafaganirwa |
اللَّهُ الَّذِي جَعَلَ لَكُمُ الْأَنْعَامَ لِتَرْكَبُوا مِنْهَا وَمِنْهَا تَأْكُلُونَ (79) Katonda ye yooyo eyabassizaawo ensolo ez’omumaka ezimu ku zo muzebagale era nga neezimu kwemulya |
وَلَكُمْ فِيهَا مَنَافِعُ وَلِتَبْلُغُوا عَلَيْهَا حَاجَةً فِي صُدُورِكُمْ وَعَلَيْهَا وَعَلَى الْفُلْكِ تُحْمَلُونَ (80) Era mulina mu zo emigaso (emirala ng’ate mingi olwokuzikozesa), mutuukiriza ekyetaago kye mulina mu bifuba bya mmwe (ekyo kujjulula emigugu gya mmwe okuva ebunaayira), era nga musitulirwa ku zo ne ku maato |
وَيُرِيكُمْ آيَاتِهِ فَأَيَّ آيَاتِ اللَّهِ تُنكِرُونَ (81) Era (bulijjo Katonda) abalaga obubonero bwe, kaakano bubonero ki obwa Katonda bwe muwakanya |
أَفَلَمْ يَسِيرُوا فِي الْأَرْضِ فَيَنظُرُوا كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ ۚ كَانُوا أَكْثَرَ مِنْهُمْ وَأَشَدَّ قُوَّةً وَآثَارًا فِي الْأَرْضِ فَمَا أَغْنَىٰ عَنْهُم مَّا كَانُوا يَكْسِبُونَ (82) Abaffe tebatambulako mu nsi nebalala yali etya enkomerero yaabo ababakulembera, (abo) abaali babasinga obungi, nga babasinga amaanyi era nga be babasinza ne bye baaleka mu nsi, naye wabula tebyabagasa ebyo bye baakola |
فَلَمَّا جَاءَتْهُمْ رُسُلُهُم بِالْبَيِّنَاتِ فَرِحُوا بِمَا عِندَهُم مِّنَ الْعِلْمِ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُوا بِهِ يَسْتَهْزِئُونَ (83) Anti ababaka baabwe bwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baasigala basanyuka n’okumanya kwe baali balina ne bazingwako ebyo bye baali bajeeja |
فَلَمَّا رَأَوْا بَأْسَنَا قَالُوا آمَنَّا بِاللَّهِ وَحْدَهُ وَكَفَرْنَا بِمَا كُنَّا بِهِ مُشْرِكِينَ (84) Bwe baalaba obukambwe bwe bibonerezo byaffe nebagamba nti tukkiriza Katonda yekka era netuwakanya ebyo byonna bye twali tumugattako |
فَلَمْ يَكُ يَنفَعُهُمْ إِيمَانُهُمْ لَمَّا رَأَوْا بَأْسَنَا ۖ سُنَّتَ اللَّهِ الَّتِي قَدْ خَلَتْ فِي عِبَادِهِ ۖ وَخَسِرَ هُنَالِكَ الْكَافِرُونَ (85) Okukkiriza kwabwe tekwali kwa kubagasa (okwo kwe balangirira), bwe baamala okulaba obukambwe bwe bibonerezo byaffe (era nga eyo) yenkola ya Katonda eyo ezze ekola mu baddu be, era (ebibonerezo bya Katonda bwe bitandika okussibwa mu nkola) abakafiiri awo wennyini baba bamaze okufafaaganirwa (ne bwekuba kwenenya kuba tekukyakkirizibwa) |