يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تُقَدِّمُوا بَيْنَ يَدَيِ اللَّهِ وَرَسُولِهِ ۖ وَاتَّقُوا اللَّهَ ۚ إِنَّ اللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٌ (1) Abange mmwe abakkiriza temwetumikirizanga mu maaso ga Katonda n’omubaka we (nemwogera ku kintu nga omubaka tannakyogerako) era mutye Katonda mazima Katonda muwulizi nnyo mumanyi |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تَرْفَعُوا أَصْوَاتَكُمْ فَوْقَ صَوْتِ النَّبِيِّ وَلَا تَجْهَرُوا لَهُ بِالْقَوْلِ كَجَهْرِ بَعْضِكُمْ لِبَعْضٍ أَن تَحْبَطَ أَعْمَالُكُمْ وَأَنتُمْ لَا تَشْعُرُونَ (2) Abange mmwe abakkiriza temusitulanga amaloboozi ga mmwe okusinga ku ddoboozi lya Nabbi, era temumwatuliranga ebigambo nga abamu mu mmwe bwe batuulira bannabwe, emirimu gya mmwe gireme kwononeka nga temugenderedde |
إِنَّ الَّذِينَ يَغُضُّونَ أَصْوَاتَهُمْ عِندَ رَسُولِ اللَّهِ أُولَٰئِكَ الَّذِينَ امْتَحَنَ اللَّهُ قُلُوبَهُمْ لِلتَّقْوَىٰ ۚ لَهُم مَّغْفِرَةٌ وَأَجْرٌ عَظِيمٌ (3) Mazima abo abakkakkanya amaloboozi gaabwe awali omubaka wa Katonda, abo beebo Katonda beyatukuza emitima gyabwe babe nga bamutya. Balina ekisonyiwo ne mpeera ensukkulumu |
إِنَّ الَّذِينَ يُنَادُونَكَ مِن وَرَاءِ الْحُجُرَاتِ أَكْثَرُهُمْ لَا يَعْقِلُونَ (4) Mazima abo abakukowoolera emabega w’ebisenge abasinga obungi mu bo tebategeera |
وَلَوْ أَنَّهُمْ صَبَرُوا حَتَّىٰ تَخْرُجَ إِلَيْهِمْ لَكَانَ خَيْرًا لَّهُمْ ۚ وَاللَّهُ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (5) Singa mazima bo bagumikiriza okutuusa lwofuluma n'ogenda gye bali, kyandibadde kirungi gye bali, era Katonda musonyiyi waakisa nnyo |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِن جَاءَكُمْ فَاسِقٌ بِنَبَإٍ فَتَبَيَّنُوا أَن تُصِيبُوا قَوْمًا بِجَهَالَةٍ فَتُصْبِحُوا عَلَىٰ مَا فَعَلْتُمْ نَادِمِينَ (6) Abange mmwe abakkiriza singa omwononefu abaleetera amawulire muteekwa okwetegereza, mube nga temutuusa kabi ku bantu mu butamanya, olwo nno nemukeesa nga mwejjusa olwekyo kye mwakoze |
وَاعْلَمُوا أَنَّ فِيكُمْ رَسُولَ اللَّهِ ۚ لَوْ يُطِيعُكُمْ فِي كَثِيرٍ مِّنَ الْأَمْرِ لَعَنِتُّمْ وَلَٰكِنَّ اللَّهَ حَبَّبَ إِلَيْكُمُ الْإِيمَانَ وَزَيَّنَهُ فِي قُلُوبِكُمْ وَكَرَّهَ إِلَيْكُمُ الْكُفْرَ وَالْفُسُوقَ وَالْعِصْيَانَ ۚ أُولَٰئِكَ هُمُ الرَّاشِدُونَ (7) Era mumanye nti mazima omubaka wa Katonda ali mu mmwe, singa abagondera mu bigambo ebisinga obungi (nga bwe mubiraba), mwandifunye obuzibu, naye ddala Katonda yabaagazisa obukkiriza nabulabisa bulungi eri emitima gya mmwe, na bakyayisa obukafiiri n’obwononefu n’obugyemu, (abo abataliimu mize egimenyeddwa waggulu) bo be balungamu |
فَضْلًا مِّنَ اللَّهِ وَنِعْمَةً ۚ وَاللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (8) (Ng’ebyo byonna) birungi era nga byengera ebiva ewa Katonda, era bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga |
وَإِن طَائِفَتَانِ مِنَ الْمُؤْمِنِينَ اقْتَتَلُوا فَأَصْلِحُوا بَيْنَهُمَا ۖ فَإِن بَغَتْ إِحْدَاهُمَا عَلَى الْأُخْرَىٰ فَقَاتِلُوا الَّتِي تَبْغِي حَتَّىٰ تَفِيءَ إِلَىٰ أَمْرِ اللَّهِ ۚ فَإِن فَاءَتْ فَأَصْلِحُوا بَيْنَهُمَا بِالْعَدْلِ وَأَقْسِطُوا ۖ إِنَّ اللَّهَ يُحِبُّ الْمُقْسِطِينَ (9) Ebibinja bibiri mu bakkiriza bwe birwanagananga muteekwa mulongoose wakati wa byombi (mu bitabaganye) ekimu bwekirumba ekirala olwo nno mulwanyise ekyo ekiba kirumbye okutuusa lwekidda eri ekigambo kya Katonda bwekiba kizze kale mutabaganye wakati wa byombi mu bwesimbu, era mukole obwenkanya mazima Katonda ayagala abakola obwenkanya |
إِنَّمَا الْمُؤْمِنُونَ إِخْوَةٌ فَأَصْلِحُوا بَيْنَ أَخَوَيْكُمْ ۚ وَاتَّقُوا اللَّهَ لَعَلَّكُمْ تُرْحَمُونَ (10) Ddala abakkiriza ba luganda n’olwekyo mulongoose (mutabaganye) wakati wa baganda ba mmwe, era mutye Katonda mube nga musaasirwa |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا يَسْخَرْ قَوْمٌ مِّن قَوْمٍ عَسَىٰ أَن يَكُونُوا خَيْرًا مِّنْهُمْ وَلَا نِسَاءٌ مِّن نِّسَاءٍ عَسَىٰ أَن يَكُنَّ خَيْرًا مِّنْهُنَّ ۖ وَلَا تَلْمِزُوا أَنفُسَكُمْ وَلَا تَنَابَزُوا بِالْأَلْقَابِ ۖ بِئْسَ الِاسْمُ الْفُسُوقُ بَعْدَ الْإِيمَانِ ۚ وَمَن لَّمْ يَتُبْ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الظَّالِمُونَ (11) Abange mmwe abakkiriza abantu (abamu) mu mmwe tebanyomanga bantu bannabwe, anti oluusi bayinza okuba nga be balungi okusinga bo, wadde abakyala okunyoma bakyala bannabwe, anti oluusi bayinza okuba nga be balungi okusinga bo, era temwerengezzanga, era temweyitanga amannya ageemize, erinnya erisinga obubi lyeryo erikakkanya omuntu oluvanyuma lwokuba nti mukkiriza. Omuntu (akola ekyo) bwatenenya, abo bo be beeyisa obubi |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا اجْتَنِبُوا كَثِيرًا مِّنَ الظَّنِّ إِنَّ بَعْضَ الظَّنِّ إِثْمٌ ۖ وَلَا تَجَسَّسُوا وَلَا يَغْتَب بَّعْضُكُم بَعْضًا ۚ أَيُحِبُّ أَحَدُكُمْ أَن يَأْكُلَ لَحْمَ أَخِيهِ مَيْتًا فَكَرِهْتُمُوهُ ۚ وَاتَّقُوا اللَّهَ ۚ إِنَّ اللَّهَ تَوَّابٌ رَّحِيمٌ (12) Abange mmwe abakkiriza mwewale okuteebereza okusinga obungi, anti okuteebereza okumu kiba kyonoono, era temwekettanga, era abamu mu mmwe tebageyanga bannabwe, abaffe omu ku mmwe yandiyagadde okulya ennyama ya muganda we nga mufu! Ate nga mwakitamwa dda, era mutye Katonda mazima Katonda akkiriza okwenenya musaasizi nnyo |
يَا أَيُّهَا النَّاسُ إِنَّا خَلَقْنَاكُم مِّن ذَكَرٍ وَأُنثَىٰ وَجَعَلْنَاكُمْ شُعُوبًا وَقَبَائِلَ لِتَعَارَفُوا ۚ إِنَّ أَكْرَمَكُمْ عِندَ اللَّهِ أَتْقَاكُمْ ۚ إِنَّ اللَّهَ عَلِيمٌ خَبِيرٌ (13) Abange mmwe abantu mazima ffe twabatonda nga tubaggya mu musajja n’omukazi, era ne tubafuula amawanga neebika mulyoke mumanyagane, mazima abasinga ekitiibwa ewa Katonda yooyo abasinga okumutya, mazima Katonda mumanyi nnyo amanyidde ddala ebintu okuva ku nsibuko yaabyo |
۞ قَالَتِ الْأَعْرَابُ آمَنَّا ۖ قُل لَّمْ تُؤْمِنُوا وَلَٰكِن قُولُوا أَسْلَمْنَا وَلَمَّا يَدْخُلِ الْإِيمَانُ فِي قُلُوبِكُمْ ۖ وَإِن تُطِيعُوا اللَّهَ وَرَسُولَهُ لَا يَلِتْكُم مِّنْ أَعْمَالِكُمْ شَيْئًا ۚ إِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (14) Ba nnamalungu baagamba nti tukkirizza, bagambe nti temunnakkiriza, wabula mugambe nti twewaddeyo eri abasiraamu (netuwona okuttibwa oba okuwambibwa) era obukkiriza tebunnayingira mu mitima gya mmwe naye singa mugondera Katonda n’omubakawe tagenda kukendeeza ku mpeera ya mirimu gya mmwe kintu kyonna. Mazima Katonda musonyiyi musaasizi nnyo |
إِنَّمَا الْمُؤْمِنُونَ الَّذِينَ آمَنُوا بِاللَّهِ وَرَسُولِهِ ثُمَّ لَمْ يَرْتَابُوا وَجَاهَدُوا بِأَمْوَالِهِمْ وَأَنفُسِهِمْ فِي سَبِيلِ اللَّهِ ۚ أُولَٰئِكَ هُمُ الصَّادِقُونَ (15) Mazima abakkiriza abannamaddala beebo abakkiriza Katonda n’omubaka we, ate nebatabuusabuusa (ebyo bye bakkiriza) era nebalafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa emmaali yaabwe ne myooyo gyabwe, abonno, bo, be bakkiriza ab’amazima |
قُلْ أَتُعَلِّمُونَ اللَّهَ بِدِينِكُمْ وَاللَّهُ يَعْلَمُ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ ۚ وَاللَّهُ بِكُلِّ شَيْءٍ عَلِيمٌ (16) Bagambe nti mumanyisa Katonda eddiini ya mmwe ng’ate Katonda amanyi ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, era bulijjo Katonda amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu |
يَمُنُّونَ عَلَيْكَ أَنْ أَسْلَمُوا ۖ قُل لَّا تَمُنُّوا عَلَيَّ إِسْلَامَكُم ۖ بَلِ اللَّهُ يَمُنُّ عَلَيْكُمْ أَنْ هَدَاكُمْ لِلْإِيمَانِ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (17) Bakweralaasizaako nti baasiramuka, bagambe nti temundalaasizaako busiraamu bwa mmwe, wabula Katonda abenyumiririzaako okuba nti yabalungamya eri obukkiriza bwe muba nga muli ba mazima |
إِنَّ اللَّهَ يَعْلَمُ غَيْبَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ وَاللَّهُ بَصِيرٌ بِمَا تَعْمَلُونَ (18) Mazima Katonda amanyi ebyekusifu byo mu ggulu omusanvu n'ensi, era Katonda alabira ddala ebyo bye mukola |