وَاللَّيْلِ إِذَا يَغْشَىٰ (1) Ndayira ekiro bwe kiba kibisse (e nsi) |
وَالنَّهَارِ إِذَا تَجَلَّىٰ (2) Ndayira n'obudde bwemisana bwe buba nga bwetadde |
وَمَا خَلَقَ الذَّكَرَ وَالْأُنثَىٰ (3) Ndayira oyo eyatonda ekisajja n’ekikazi |
إِنَّ سَعْيَكُمْ لَشَتَّىٰ (4) Mazima ddala okulafuubana kwa mmwe si kwe kumu |
فَأَمَّا مَنْ أَعْطَىٰ وَاتَّقَىٰ (5) N'olwekyo, omuntu awaayo ekintu kyonna ng’atya Katonda |
وَصَدَّقَ بِالْحُسْنَىٰ (6) Nakkiriza e birungi. (ebiva mu kukkiriza Katonda) |
فَسَنُيَسِّرُهُ لِلْيُسْرَىٰ (7) Tujja kumwanguyiza e kkubo erimutuusa eri obwangu |
وَأَمَّا مَن بَخِلَ وَاسْتَغْنَىٰ (8) Ate oyo akodowala ne yeegaggasa (ng’alowooza nti ebiri ewa Katonda tabyetaaga) |
وَكَذَّبَ بِالْحُسْنَىٰ (9) N’alimbisa obubaka obwakkira ku Nabbi Muhammad |
فَسَنُيَسِّرُهُ لِلْعُسْرَىٰ (10) Tujja kumwanguyiza okutuuka eri obuzibu |
وَمَا يُغْنِي عَنْهُ مَالُهُ إِذَا تَرَدَّىٰ (11) N’obugaggabwe tebugenda kumugasa ng’ayingidde okuzikirira (olw’ebikolwa bye ebibi) |
إِنَّ عَلَيْنَا لَلْهُدَىٰ (12) Mazima kuli ku ffe okulungamya |
وَإِنَّ لَنَا لَلْآخِرَةَ وَالْأُولَىٰ (13) Era mazima ebikwata ku nkomerero ne nsi biri mu buyinza bwaffe |
فَأَنذَرْتُكُمْ نَارًا تَلَظَّىٰ (14) Mbeekesa omuliro ogubumbujja |
لَا يَصْلَاهَا إِلَّا الْأَشْقَى (15) Taliguyingira okugyako oyo omwonoonefu ennyo |
الَّذِي كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰ (16) Oyo alimbisa (e bigambo bya Katonda) n'ayawukana (ku kugondera n'okukkiriza Katonda) |
وَسَيُجَنَّبُهَا الْأَتْقَى (17) So nga oyo asinga okutya Katonda, ajja kugwesambisibwa |
الَّذِي يُؤْتِي مَالَهُ يَتَزَكَّىٰ (18) Oyo awaayo ku by'alina ng’anoonya okwetukuza eri Katonda (so si bandabe oba okwatiikirira) |
وَمَا لِأَحَدٍ عِندَهُ مِن نِّعْمَةٍ تُجْزَىٰ (19) Nga tewali n'omu alina kiyinza ku musasulwa |
إِلَّا ابْتِغَاءَ وَجْهِ رَبِّهِ الْأَعْلَىٰ (20) Wabula okunoonya okusiimwa ewa mukamaawe owa waggulu ennyo |
وَلَسَوْفَ يَرْضَىٰ (21) Mazima ddala ajja kusiima (ky’anaasasulwa) |