الم (1) Alif Laam Miim |
تِلْكَ آيَاتُ الْكِتَابِ الْحَكِيمِ (2) Ebyo bigambo eby'ekitabo ekijjudde amagezi |
هُدًى وَرَحْمَةً لِّلْمُحْسِنِينَ (3) Nga bulungamu era kusaasira eri abalongoosa |
الَّذِينَ يُقِيمُونَ الصَّلَاةَ وَيُؤْتُونَ الزَّكَاةَ وَهُم بِالْآخِرَةِ هُمْ يُوقِنُونَ (4) Abo abayimirizaawo e sswala ne batoola Zakka, nabo nga bakakasa olunaku lw'enkomerero |
أُولَٰئِكَ عَلَىٰ هُدًى مِّن رَّبِّهِمْ ۖ وَأُولَٰئِكَ هُمُ الْمُفْلِحُونَ (5) Abo bali ku bulungamu okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe era abo bbo be b'okwesiima |
وَمِنَ النَّاسِ مَن يَشْتَرِي لَهْوَ الْحَدِيثِ لِيُضِلَّ عَن سَبِيلِ اللَّهِ بِغَيْرِ عِلْمٍ وَيَتَّخِذَهَا هُزُوًا ۚ أُولَٰئِكَ لَهُمْ عَذَابٌ مُّهِينٌ (6) Mu bantu mulimu agula emboozi ezitaliimu makulu, olwo nno abeere nga abuza (abantu) n'abaggya ku kkubo lya Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna, era nga ebigambo (bya Katonda) abifuula bya lusaago, abo nno balina e bibonerezo ebinyoomesa |
وَإِذَا تُتْلَىٰ عَلَيْهِ آيَاتُنَا وَلَّىٰ مُسْتَكْبِرًا كَأَن لَّمْ يَسْمَعْهَا كَأَنَّ فِي أُذُنَيْهِ وَقْرًا ۖ فَبَشِّرْهُ بِعَذَابٍ أَلِيمٍ (7) Ebigambo byaffe bwe biba bimusomeddwa akyuka nga yeekuza, n'aba nga atabiwulidde amatuuge negaba nga agalimu envumbo, kale musanyuse n'ebibonerezo ebiruma ennyo |
إِنَّ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ لَهُمْ جَنَّاتُ النَّعِيمِ (8) Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina e jjana ezijjudde e byengera |
خَالِدِينَ فِيهَا ۖ وَعْدَ اللَّهِ حَقًّا ۚ وَهُوَ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (9) Baakutuula muzo obugenderevu, nga eyo ye ndagaano ya Katonda ey'amazima, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga |
خَلَقَ السَّمَاوَاتِ بِغَيْرِ عَمَدٍ تَرَوْنَهَا ۖ وَأَلْقَىٰ فِي الْأَرْضِ رَوَاسِيَ أَن تَمِيدَ بِكُمْ وَبَثَّ فِيهَا مِن كُلِّ دَابَّةٍ ۚ وَأَنزَلْنَا مِنَ السَّمَاءِ مَاءً فَأَنبَتْنَا فِيهَا مِن كُلِّ زَوْجٍ كَرِيمٍ (10) Yatonda eggulu omusanvu awatali mpagi zemulaba, ate nassa mu nsi ensozi ennywevu ereme kubayuuza, ate n'asaasaanya mu yo, buli kika kya kitambula, era netussa okuva waggulu amazzi ne tumeza mu yo mu buli mitindo ebiri ebiri (ebimera) eby'omugaso omusuffu |
هَٰذَا خَلْقُ اللَّهِ فَأَرُونِي مَاذَا خَلَقَ الَّذِينَ مِن دُونِهِ ۚ بَلِ الظَّالِمُونَ فِي ضَلَالٍ مُّبِينٍ (11) Okwo kwe kutonda kwa Katonda, kale mundage abo abatali yye bye batonda. Wabula (ekituufu kiri nti) abeeyisa obubi bali mu bubuze obweyolefu |
وَلَقَدْ آتَيْنَا لُقْمَانَ الْحِكْمَةَ أَنِ اشْكُرْ لِلَّهِ ۚ وَمَن يَشْكُرْ فَإِنَّمَا يَشْكُرُ لِنَفْسِهِ ۖ وَمَن كَفَرَ فَإِنَّ اللَّهَ غَنِيٌّ حَمِيدٌ (12) Era mazima twawa Lukman okumanya ensonga (ne tumugamba) nti weebaze Katonda, era omuntu eyeebaza yeebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Katonda talina kye yeetaaga (eri kitonde kyonna) era atenderezebwa nnyo |
وَإِذْ قَالَ لُقْمَانُ لِابْنِهِ وَهُوَ يَعِظُهُ يَا بُنَيَّ لَا تُشْرِكْ بِاللَّهِ ۖ إِنَّ الشِّرْكَ لَظُلْمٌ عَظِيمٌ (13) Era jjukira Lukman bwe yagamba Mutabaniwe bw eyali amubuulirira nti: owange mwana wange togattanga ku Katonda ekintu ekirala mazima okugatta ku Katonda ekintu ekirala kwe kweyisa obubi okubi ennyo |
وَوَصَّيْنَا الْإِنسَانَ بِوَالِدَيْهِ حَمَلَتْهُ أُمُّهُ وَهْنًا عَلَىٰ وَهْنٍ وَفِصَالُهُ فِي عَامَيْنِ أَنِ اشْكُرْ لِي وَلِوَالِدَيْكَ إِلَيَّ الْمَصِيرُ (14) Era twakalaatira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, nnyina amusitula mu lubuto nga bunafu obweyongera ku bunafu, era nga okumuggya ku mabeere (kubaawo) mu banga lya myaka ebiri, (era ne tumugamba) nti neebaza era weebaze bakaddebo. Gyendi yokka yeeri obuddo |
وَإِن جَاهَدَاكَ عَلَىٰ أَن تُشْرِكَ بِي مَا لَيْسَ لَكَ بِهِ عِلْمٌ فَلَا تُطِعْهُمَا ۖ وَصَاحِبْهُمَا فِي الدُّنْيَا مَعْرُوفًا ۖ وَاتَّبِعْ سَبِيلَ مَنْ أَنَابَ إِلَيَّ ۚ ثُمَّ إِلَيَّ مَرْجِعُكُمْ فَأُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (15) Bwe baba bakuwalirizza obe nga ongattako ekyo ky'otolinaako kumanya kwonna tobagonderanga, naye kolagana nabo mu nsi mu ngeri nnungi, era ogoberere ekkubo ly'oyo eyeemenya nadda gyendi. Ate oluvanyuma gyendi yeeri obuddo bwa mmwe olwo nno nembategeeza ebyo bye mwakolanga |
يَا بُنَيَّ إِنَّهَا إِن تَكُ مِثْقَالَ حَبَّةٍ مِّنْ خَرْدَلٍ فَتَكُن فِي صَخْرَةٍ أَوْ فِي السَّمَاوَاتِ أَوْ فِي الْأَرْضِ يَأْتِ بِهَا اللَّهُ ۚ إِنَّ اللَّهَ لَطِيفٌ خَبِيرٌ (16) Owange Mutabani wange mazima kyo (e kikolwa) ne bwe kiba kyenkana obuzito bwempeke ya Khardali, keebe nga eri mu lwazi oba mu ggulu omusanvu oba e nsi, Katonda agenda kukireeta (asasule e yakikola) mazima Katonda amanyidde ddala ebitalabika, ate buli kintu akimanyidde ddala okuva ku ntobo yaakyo |
يَا بُنَيَّ أَقِمِ الصَّلَاةَ وَأْمُرْ بِالْمَعْرُوفِ وَانْهَ عَنِ الْمُنكَرِ وَاصْبِرْ عَلَىٰ مَا أَصَابَكَ ۖ إِنَّ ذَٰلِكَ مِنْ عَزْمِ الْأُمُورِ (17) Owange Mutabani wange yimirizaawo e sswala olagire (abantu) okuyisa obulungi, obakomeko ku kweyisa obubi era ogumiikirize ku ebyo ebiba bikutuuseeko. Mazima ebyo (ebikugambiddwa) bye bimu ku bigambo e bikakafu |
وَلَا تُصَعِّرْ خَدَّكَ لِلنَّاسِ وَلَا تَمْشِ فِي الْأَرْضِ مَرَحًا ۖ إِنَّ اللَّهَ لَا يُحِبُّ كُلَّ مُخْتَالٍ فَخُورٍ (18) Tokyusizanga ettamalyo abantu olw'okwekuza (ng'obalengezza) era totambulanga mu nsi nga weewulira, mazima Katonda tayagala buli yenna eyeekuluntaza omwewulize |
وَاقْصِدْ فِي مَشْيِكَ وَاغْضُضْ مِن صَوْتِكَ ۚ إِنَّ أَنكَرَ الْأَصْوَاتِ لَصَوْتُ الْحَمِيرِ (19) Pima entambulayo (tosaayirira ate totambula nga nawolovu) kakkanya e ddoboozilyo, mazima eddoboozi erisinga obubi mu maloboozi gonna ddoboozi lya ndogoyi |
أَلَمْ تَرَوْا أَنَّ اللَّهَ سَخَّرَ لَكُم مَّا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ وَأَسْبَغَ عَلَيْكُمْ نِعَمَهُ ظَاهِرَةً وَبَاطِنَةً ۗ وَمِنَ النَّاسِ مَن يُجَادِلُ فِي اللَّهِ بِغَيْرِ عِلْمٍ وَلَا هُدًى وَلَا كِتَابٍ مُّنِيرٍ (20) Abaffe temulaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era n'abawa mu bungi ebyengerabye eby'okungulu n'ebyomunda, naye mu bantu mulimu abawalaaza empaka ku bikwata ku Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna wadde obulungamu wadde e kitabo ekibamulisiza e kkubo |
وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ اتَّبِعُوا مَا أَنزَلَ اللَّهُ قَالُوا بَلْ نَتَّبِعُ مَا وَجَدْنَا عَلَيْهِ آبَاءَنَا ۚ أَوَلَوْ كَانَ الشَّيْطَانُ يَدْعُوهُمْ إِلَىٰ عَذَابِ السَّعِيرِ (21) Bwe baba bagambiddwa nti mugoberere ebyo Katonda bye yassa bagamba nti nedda tugoberera ebyo bye twasangako bakadde baffe, naye abaffe (balemera ku ekyo) newaakubadde Sitane ebakoowoola kudda eri omuliro Sairi (bamala gagoberera) |
۞ وَمَن يُسْلِمْ وَجْهَهُ إِلَى اللَّهِ وَهُوَ مُحْسِنٌ فَقَدِ اسْتَمْسَكَ بِالْعُرْوَةِ الْوُثْقَىٰ ۗ وَإِلَى اللَّهِ عَاقِبَةُ الْأُمُورِ (22) Yye, omuntu awaayo ekyenyikye ewa Katonda era nga mulongoosa, mazima aba yeekutte ku muguwa omunywevu era ewa Katonda yeeri enkomerero y'ebigambo |
وَمَن كَفَرَ فَلَا يَحْزُنكَ كُفْرُهُ ۚ إِلَيْنَا مَرْجِعُهُمْ فَنُنَبِّئُهُم بِمَا عَمِلُوا ۚ إِنَّ اللَّهَ عَلِيمٌ بِذَاتِ الصُّدُورِ (23) Oyo yenna akaafuwala, okukaafuwalakwe tekukunakuwaza gye tuli yeeri obuddo bwabwe, olwo nno tulibategeeza bye baakola. Mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba |
نُمَتِّعُهُمْ قَلِيلًا ثُمَّ نَضْطَرُّهُمْ إِلَىٰ عَذَابٍ غَلِيظٍ (24) Tubeeyagaza kitono, oluvanyuma tulibawalabanya okubatwala eri ebibonerezo ebizito |
وَلَئِن سَأَلْتَهُم مَّنْ خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ لَيَقُولُنَّ اللَّهُ ۚ قُلِ الْحَمْدُ لِلَّهِ ۚ بَلْ أَكْثَرُهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (25) Singa obadde obabuzizza nti: ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi? ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti (n'olwekyo) okutenderezebwa kwonna kwa Katonda. Wabula abasinga obungi ku bo tebamanyi |
لِلَّهِ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ إِنَّ اللَّهَ هُوَ الْغَنِيُّ الْحَمِيدُ (26) Bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima Katonda yye y'atalina kye yetaaga (era) atenderezebwa |
وَلَوْ أَنَّمَا فِي الْأَرْضِ مِن شَجَرَةٍ أَقْلَامٌ وَالْبَحْرُ يَمُدُّهُ مِن بَعْدِهِ سَبْعَةُ أَبْحُرٍ مَّا نَفِدَتْ كَلِمَاتُ اللَّهِ ۗ إِنَّ اللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٌ (27) Era mazima singa e miti gyonna egiri mu nsi zaali kalaamu, nga n'ennyanja (eziriwo) ziyambibwako ennyanja musanvu oluvanyuma lwa zino, ebigambo bya Katonda tebyaliweddeyo, mazima Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga |
مَّا خَلْقُكُمْ وَلَا بَعْثُكُمْ إِلَّا كَنَفْسٍ وَاحِدَةٍ ۗ إِنَّ اللَّهَ سَمِيعٌ بَصِيرٌ (28) Okutondebwa kwa mmwe n'okuzuukira kwa mmwe tekuli okugyako okuba nga kulinga okutonda n'okuzuukiza omuntu omu. Mazima Katonda awulira nnyo alabira ddala |
أَلَمْ تَرَ أَنَّ اللَّهَ يُولِجُ اللَّيْلَ فِي النَّهَارِ وَيُولِجُ النَّهَارَ فِي اللَّيْلِ وَسَخَّرَ الشَّمْسَ وَالْقَمَرَ كُلٌّ يَجْرِي إِلَىٰ أَجَلٍ مُّسَمًّى وَأَنَّ اللَّهَ بِمَا تَعْمَلُونَ خَبِيرٌ (29) Abaffe tolaba nti mazima Katonda ayingiza ekiro mu budde obw'emisana, ate naayingiza obudde obw'emisana mu kiro era naagonza enjuba n'omwezi, buli kimu kigenda kudduka okutuusa ku kiseera ekigere, era mazima Katonda amanyidde ddala bye mukola |
ذَٰلِكَ بِأَنَّ اللَّهَ هُوَ الْحَقُّ وَأَنَّ مَا يَدْعُونَ مِن دُونِهِ الْبَاطِلُ وَأَنَّ اللَّهَ هُوَ الْعَلِيُّ الْكَبِيرُ (30) Ekyo kiri bwe kityo, lwa kuba nti Katonda yye ye mazima, era ddala ebyo bye basaba ne baleka Katonda bye bikyamu, era mazima Katonda yye ye wa waggulu asinga okuweebwa e kitiibwa |
أَلَمْ تَرَ أَنَّ الْفُلْكَ تَجْرِي فِي الْبَحْرِ بِنِعْمَتِ اللَّهِ لِيُرِيَكُم مِّنْ آيَاتِهِ ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ لِّكُلِّ صَبَّارٍ شَكُورٍ (31) Abaffe tolaba nti mazima amaato gaseeyeeya ku nnyanja ku lw'okusaasira kwa Katonda, olwo nno abe nga abalaga mu bubonerobwe. Mazima ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza omwebaza |
وَإِذَا غَشِيَهُم مَّوْجٌ كَالظُّلَلِ دَعَوُا اللَّهَ مُخْلِصِينَ لَهُ الدِّينَ فَلَمَّا نَجَّاهُمْ إِلَى الْبَرِّ فَمِنْهُم مُّقْتَصِدٌ ۚ وَمَا يَجْحَدُ بِآيَاتِنَا إِلَّا كُلُّ خَتَّارٍ كَفُورٍ (32) (Abatakkiriza bwe babeera mu maato ago) amayengo bwe gababikka ne genkana ng'ensozi (olwo nno) basaba Katonda, nga eddiini yonna bagikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya, naabatuusa ku lubalama, mu bo mu baamu abeegendereza (ne baba wakati w'okukola e mirimu e mirungi n'emibi) era tawakanya bubonero bwaffe okugyako buli wa nkwe omukaafiiri |
يَا أَيُّهَا النَّاسُ اتَّقُوا رَبَّكُمْ وَاخْشَوْا يَوْمًا لَّا يَجْزِي وَالِدٌ عَن وَلَدِهِ وَلَا مَوْلُودٌ هُوَ جَازٍ عَن وَالِدِهِ شَيْئًا ۚ إِنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ ۖ فَلَا تَغُرَّنَّكُمُ الْحَيَاةُ الدُّنْيَا وَلَا يَغُرَّنَّكُم بِاللَّهِ الْغَرُورُ (33) Abange mmwe abantu mutye Mukama omulabirizi wa mmwe era mutye olunaku omuzadde lwataligasa mwanawe wadde omwana okuba nti yye y'aligasa mukaddewe ekintu kyonna, mazima endagaano ya Katonda ya mazima, kale nno obulamu bw'ensi tebubabulankanyanga era ebirabankanya tebibaggyanga ku Katonda |
إِنَّ اللَّهَ عِندَهُ عِلْمُ السَّاعَةِ وَيُنَزِّلُ الْغَيْثَ وَيَعْلَمُ مَا فِي الْأَرْحَامِ ۖ وَمَا تَدْرِي نَفْسٌ مَّاذَا تَكْسِبُ غَدًا ۖ وَمَا تَدْرِي نَفْسٌ بِأَيِّ أَرْضٍ تَمُوتُ ۚ إِنَّ اللَّهَ عَلِيمٌ خَبِيرٌ (34) Mazima Katonda ewuwe yokka y'eri okumanya ebifa ku lunaku lw'enkomerero, era y'atonnyesa e nkuba, era yamanyi ekyo ekiri mu nnabaana, omuntu tayinza kumanya kiki kyaanaafuna enkya, era omuntu tayinza kumanya alifiira mu nsi ki, mazima Katonda amanyi nnyo ategeerera ddala buli kintu okuva ku ntobo yaakyo |