| حم (1) Ha Miim
 | 
| وَالْكِتَابِ الْمُبِينِ (2) Ndayidde ekitabo (Kur’ani) ekinnyonnyofu
 | 
| إِنَّا أَنزَلْنَاهُ فِي لَيْلَةٍ مُّبَارَكَةٍ ۚ إِنَّا كُنَّا مُنذِرِينَ (3) Mazima ffe twakissa mu kiro ekyomukisa (anti) mazima ffe twali tulina okutiisa (abantu)
 | 
| فِيهَا يُفْرَقُ كُلُّ أَمْرٍ حَكِيمٍ (4) Mu kyo (ekiro) mwekigerekerwa buli kigambo ekiba kisaliddwawo
 | 
| أَمْرًا مِّنْ عِندِنَا ۚ إِنَّا كُنَّا مُرْسِلِينَ (5) Nga kwo kusalawo okuva gye tuli (anti) mazima ffe twali tuteekwa okutuma ababaka
 | 
| رَحْمَةً مِّن رَّبِّكَ ۚ إِنَّهُ هُوَ السَّمِيعُ الْعَلِيمُ (6) (Ekyokutuma ababaka) kusaasira okuva ewa Mukama omulabirizi wo (anti) mazima yye yawulira ennyo amanyi ennyo
 | 
| رَبِّ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَمَا بَيْنَهُمَا ۖ إِن كُنتُم مُّوقِنِينَ (7) (Yye Katonda) ye Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi, bwe muba muli bakkiriza abannamaddala
 | 
| لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ يُحْيِي وَيُمِيتُ ۖ رَبُّكُمْ وَرَبُّ آبَائِكُمُ الْأَوَّلِينَ (8) Tewali kirina kusinzibwa okugyako yye, awa obulamu era yabujjawo. Mukama omulabirizi wa mmwe era omulabirizi wa bakadde ba mmwe abasooka
 | 
| بَلْ هُمْ فِي شَكٍّ يَلْعَبُونَ (9) Wabula bo (abatakkiriza) bali mu kubuusabuusa, bazannya
 | 
| فَارْتَقِبْ يَوْمَ تَأْتِي السَّمَاءُ بِدُخَانٍ مُّبِينٍ (10) Kale lindirira olunaku eggulu lweririreeta omukka omweyolefu (ogulabwa buli omu)
 | 
| يَغْشَى النَّاسَ ۖ هَٰذَا عَذَابٌ أَلِيمٌ (11) Gugenda kubikka abantu ekyo kiriba kibonerezo ekiruma ennyo
 | 
| رَّبَّنَا اكْشِفْ عَنَّا الْعَذَابَ إِنَّا مُؤْمِنُونَ (12) (Baligamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tugyeko ekibonerezo, mazima ffe tukkirizza
 | 
| أَنَّىٰ لَهُمُ الذِّكْرَىٰ وَقَدْ جَاءَهُمْ رَسُولٌ مُّبِينٌ (13) Naye wwa gye baliggya okujjukira (batuuke okwebuulirira) ate nga mazima omubaka annyonnyola obulungi yabajjira
 | 
| ثُمَّ تَوَلَّوْا عَنْهُ وَقَالُوا مُعَلَّمٌ مَّجْنُونٌ (14) Oluvannnyuma ate ne bamuvaako, era nebagamba nti (Muhmmad) ayigirizibwa buyigirizibwa era mulalu
 | 
| إِنَّا كَاشِفُو الْعَذَابِ قَلِيلًا ۚ إِنَّكُمْ عَائِدُونَ (15) Mazima ffe tujja kuggyawo ekibonerezo katono (wabula) mazima mmwe mujja kuddayo (mu butakkiriza bwa mmwe)
 | 
| يَوْمَ نَبْطِشُ الْبَطْشَةَ الْكُبْرَىٰ إِنَّا مُنتَقِمُونَ (16) (Wabula bajjukize) olunaku lwe tulikwata olukwata olwamaanyi (anti) mazima ffe tuli ba kubonereza
 | 
| ۞ وَلَقَدْ فَتَنَّا قَبْلَهُمْ قَوْمَ فِرْعَوْنَ وَجَاءَهُمْ رَسُولٌ كَرِيمٌ (17) Era mazima twageseza oluberyeberye lwabwe abantu ba Firawo, era nga yabajjira omubaka owekitiibwa
 | 
| أَنْ أَدُّوا إِلَيَّ عِبَادَ اللَّهِ ۖ إِنِّي لَكُمْ رَسُولٌ أَمِينٌ (18) (Naagamba nti) munzirize abaddu ba Katonda (anti) mazima nze ndi mubaka omwesigwa
 | 
| وَأَن لَّا تَعْلُوا عَلَى اللَّهِ ۖ إِنِّي آتِيكُم بِسُلْطَانٍ مُّبِينٍ (19) Era (ekyokubiri) mu be nga temwekuluntaza ku Katonda, mazima nze mbaleetedde obujulizi obwolwatu
 | 
| وَإِنِّي عُذْتُ بِرَبِّي وَرَبِّكُمْ أَن تَرْجُمُونِ (20) Era mazima nze nsaba obukuumi ewa Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe muleme kunkuba mayinja
 | 
| وَإِن لَّمْ تُؤْمِنُوا لِي فَاعْتَزِلُونِ (21) Bwe munaaba temukkiriza byengamba kale mundeke (temuntusaako kabi)
 | 
| فَدَعَا رَبَّهُ أَنَّ هَٰؤُلَاءِ قَوْمٌ مُّجْرِمُونَ (22) (Wabula bamukijjanya) olwo nno nakowoola Mukama omulabirizi we nti mazima abo bantu bonoonyi
 | 
| فَأَسْرِ بِعِبَادِي لَيْلًا إِنَّكُم مُّتَّبَعُونَ (23) (Katonda naamulagira nti) tambula ekiro na baddu bange anti mazima mmwe mujja kuwonderwa
 | 
| وَاتْرُكِ الْبَحْرَ رَهْوًا ۖ إِنَّهُمْ جُندٌ مُّغْرَقُونَ (24) (Bwomala okusomoka ggwe ne booli nabo) ennyanja gireke ng’erimu ekkubo (anti) mazima bbo, ggye lyakuzikirizibwa
 | 
| كَمْ تَرَكُوا مِن جَنَّاتٍ وَعُيُونٍ (25) Amalimiro ne nsulo z’amazzi bimeka bye baaleka
 | 
| وَزُرُوعٍ وَمَقَامٍ كَرِيمٍ (26) N’ebimera, n’ebifo ebye bitiibwa
 | 
| وَنَعْمَةٍ كَانُوا فِيهَا فَاكِهِينَ (27) Nebyengera ebirala bingi bye baali beyagaliramu
 | 
| كَذَٰلِكَ ۖ وَأَوْرَثْنَاهَا قَوْمًا آخَرِينَ (28) Bwekityo (bwekyali nebaggwawo) netubisikiza abantu abalala
 | 
| فَمَا بَكَتْ عَلَيْهِمُ السَّمَاءُ وَالْأَرْضُ وَمَا كَانُوا مُنظَرِينَ (29) Eggulu ne nsi tebyabakaabira era tebaali ba kulindirizibwa (nti baweebwe akaseera beenenye)
 | 
| وَلَقَدْ نَجَّيْنَا بَنِي إِسْرَائِيلَ مِنَ الْعَذَابِ الْمُهِينِ (30) Era ddala twawonya abaana ba Israil ebibonyoobonyo ebinyoomesa
 | 
| مِن فِرْعَوْنَ ۚ إِنَّهُ كَانَ عَالِيًا مِّنَ الْمُسْرِفِينَ (31) (Bwe twabawonya) Firawo anti mazima yye yali mwekuza era nga wa mu bonoonyi ennyo
 | 
| وَلَقَدِ اخْتَرْنَاهُمْ عَلَىٰ عِلْمٍ عَلَى الْعَالَمِينَ (32) Okusinziira ku kumanya (kwaffe) twabasukkulumya (abaana ba Israil) ku bitonde ebirala
 | 
| وَآتَيْنَاهُم مِّنَ الْآيَاتِ مَا فِيهِ بَلَاءٌ مُّبِينٌ (33) Era netubawa ebya magero ebyo ebyalimu okugesezebwa okwolwatu
 | 
| إِنَّ هَٰؤُلَاءِ لَيَقُولُونَ (34) Mazima abo (abakafiiri bo mu Makkah) ddala bagamba nti
 | 
| إِنْ هِيَ إِلَّا مَوْتَتُنَا الْأُولَىٰ وَمَا نَحْنُ بِمُنشَرِينَ (35) Tewali kiriwo okugyako okufa kwaffe okusooka, era tetuli ba kuzuukizibwa
 | 
| فَأْتُوا بِآبَائِنَا إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (36) (Okuzuukira bwekuba nga gye kuli) kale muleete bakadde baffe bwe muba nga mwogera mazima
 | 
| أَهُمْ خَيْرٌ أَمْ قَوْمُ تُبَّعٍ وَالَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ ۚ أَهْلَكْنَاهُمْ ۖ إِنَّهُمْ كَانُوا مُجْرِمِينَ (37) Abaffe bo be basinga obulungi oba abantu ba Tubbai (bantu be Saba-a abafuzi be Yamani) n'abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe (bonna) twabazikiriza (anti) mazima bo baali bonoonyi
 | 
| وَمَا خَلَقْنَا السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ وَمَا بَيْنَهُمَا لَاعِبِينَ (38) Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi nga tuzannya
 | 
| مَا خَلَقْنَاهُمَا إِلَّا بِالْحَقِّ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (39) Era tetwabitonda byombi wabula ku lwa nsonga, naye ddala abasinga obungi ku bo tebamanyi
 | 
| إِنَّ يَوْمَ الْفَصْلِ مِيقَاتُهُمْ أَجْمَعِينَ (40) Mazima olunaku lwokusalawo bonna kye kiseera kyabwe ekya balaganyisibwa
 | 
| يَوْمَ لَا يُغْنِي مَوْلًى عَن مَّوْلًى شَيْئًا وَلَا هُمْ يُنصَرُونَ (41) Olunaku owomukwano lwa taligasa wa mukwano kintu kyonna, era bo tebagenda kudduukirirwa
 | 
| إِلَّا مَن رَّحِمَ اللَّهُ ۚ إِنَّهُ هُوَ الْعَزِيزُ الرَّحِيمُ (42) Okugyako oyo Katonda gwalisaasira anti mazima yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo
 | 
| إِنَّ شَجَرَتَ الزَّقُّومِ (43) Mazima omuti (oguyitibwa) Zakkuumi
 | 
| طَعَامُ الْأَثِيمِ (44) Ye mmere ya bonoonyi
 | 
| كَالْمُهْلِ يَغْلِي فِي الْبُطُونِ (45) (Obubi bwagwo ng’omuntu agulidde) guli nga ekyuma ekisaanuuse, gulyeserera mu mbuto (z’abaligulya)
 | 
| كَغَلْيِ الْحَمِيمِ (46) Nga okwesera kwa mazzi agakyamuse
 | 
| خُذُوهُ فَاعْتِلُوهُ إِلَىٰ سَوَاءِ الْجَحِيمِ (47) (Olwo nno Katonda aliragira ba Malayika nti) mumukwate (omwonoonyi) olwo nno mu muwalule mu mukasuke mu makkati g’omuliro Jahiimu
 | 
| ثُمَّ صُبُّوا فَوْقَ رَأْسِهِ مِنْ عَذَابِ الْحَمِيمِ (48) Oluvanyuma mufukirire waggulu ku mutwegwe ekibonerezo eky’amazzi ageeseze (agogeddwako)
 | 
| ذُقْ إِنَّكَ أَنتَ الْعَزِيزُ الْكَرِيمُ (49) (Bali mugamba) loza (ku kibonerezo anti) mazima ddala gwe gwe wamanyi owekitiibwa (nga bamukudaalira)
 | 
| إِنَّ هَٰذَا مَا كُنتُم بِهِ تَمْتَرُونَ (50) Mazima kino kyekyo kye mwali mutankana
 | 
| إِنَّ الْمُتَّقِينَ فِي مَقَامٍ أَمِينٍ (51) Mazima abatya (Katonda) baliba mu kifo ekyeddembe
 | 
| فِي جَنَّاتٍ وَعُيُونٍ (52) Baliba mu malimiro n’amazzi ag'ensulo
 | 
| يَلْبَسُونَ مِن سُندُسٍ وَإِسْتَبْرَقٍ مُّتَقَابِلِينَ (53) Baliyambala engoye ezaliiri omuwewufu n’omuzito, nga batudde batunuuliganye
 | 
| كَذَٰلِكَ وَزَوَّجْنَاهُم بِحُورٍ عِينٍ (54) Bwekityo (bwe kiriba) era tuli bafumbiza ababeezi ab’amaaso amanene
 | 
| يَدْعُونَ فِيهَا بِكُلِّ فَاكِهَةٍ آمِنِينَ (55) Balisaba nga bali mu yo buli kibala nga bali mirembe
 | 
| لَا يَذُوقُونَ فِيهَا الْمَوْتَ إِلَّا الْمَوْتَةَ الْأُولَىٰ ۖ وَوَقَاهُمْ عَذَابَ الْجَحِيمِ (56) Nga bali mu yo tebalikomba ku kufa nga ogyeko okufa okwasooka, era ali bawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu
 | 
| فَضْلًا مِّن رَّبِّكَ ۚ ذَٰلِكَ هُوَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (57) (Byonna) nga bigabwa ebiva ewa Mukama omulabirizi wo, okwo kwe kwesiima okusuffu
 | 
| فَإِنَّمَا يَسَّرْنَاهُ بِلِسَانِكَ لَعَلَّهُمْ يَتَذَكَّرُونَ (58) Era ddala twagyanguya (Kur’ani) ku lulimi lwo babe nga bebuulira (nayo)
 | 
| فَارْتَقِبْ إِنَّهُم مُّرْتَقِبُونَ (59) Kale lindirira mazima ddala bo balindiridde
 |