×

سورة الزمر باللغة لوغندا

ترجمات القرآنباللغة لوغندا ⬅ سورة الزمر

ترجمة معاني سورة الزمر باللغة لوغندا - Ganda

القرآن باللغة لوغندا - سورة الزمر مترجمة إلى اللغة لوغندا، Surah Zumar in Ganda. نوفر ترجمة دقيقة سورة الزمر باللغة لوغندا - Ganda, الآيات 75 - رقم السورة 39 - الصفحة 458.

بسم الله الرحمن الرحيم

تَنزِيلُ الْكِتَابِ مِنَ اللَّهِ الْعَزِيزِ الْحَكِيمِ (1)
Okussa ekitabo kino (Kur’ani) kuva ewa Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga
إِنَّا أَنزَلْنَا إِلَيْكَ الْكِتَابَ بِالْحَقِّ فَاعْبُدِ اللَّهَ مُخْلِصًا لَّهُ الدِّينَ (2)
Mazima ffe twassa gyoli ekitabo mu butuufu. Kale sinza Katonda nga eddiini yonna ogikola ku lulwe yekka
أَلَا لِلَّهِ الدِّينُ الْخَالِصُ ۚ وَالَّذِينَ اتَّخَذُوا مِن دُونِهِ أَوْلِيَاءَ مَا نَعْبُدُهُمْ إِلَّا لِيُقَرِّبُونَا إِلَى اللَّهِ زُلْفَىٰ إِنَّ اللَّهَ يَحْكُمُ بَيْنَهُمْ فِي مَا هُمْ فِيهِ يَخْتَلِفُونَ ۗ إِنَّ اللَّهَ لَا يَهْدِي مَنْ هُوَ كَاذِبٌ كَفَّارٌ (3)
Abange eddiini ensengejje ya Katonda yekka bo abamuvaako ne beeteerawo abakuumi abalala (nga bagamba nti:) tetubasinza okugyako lwa kutusembeza kumpi ne Katonda, mazima Katonda agenda kulamula wakati waabwe mwebyo bo bye baawukanamu, mazima Katonda talungamya muntu oyo omulimba awalaaza empaka
لَّوْ أَرَادَ اللَّهُ أَن يَتَّخِذَ وَلَدًا لَّاصْطَفَىٰ مِمَّا يَخْلُقُ مَا يَشَاءُ ۚ سُبْحَانَهُ ۖ هُوَ اللَّهُ الْوَاحِدُ الْقَهَّارُ (4)
Singa Katonda yayagala kweteerawo mwana yaalibadde alonda ekyo kyayagadde mwebyo byatonda, naye wabula musukkulumu nnyo (teyeetaaga mwana) yye ye Katonda ali omu nantalemwa
خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ بِالْحَقِّ ۖ يُكَوِّرُ اللَّيْلَ عَلَى النَّهَارِ وَيُكَوِّرُ النَّهَارَ عَلَى اللَّيْلِ ۖ وَسَخَّرَ الشَّمْسَ وَالْقَمَرَ ۖ كُلٌّ يَجْرِي لِأَجَلٍ مُّسَمًّى ۗ أَلَا هُوَ الْعَزِيزُ الْغَفَّارُ (5)
Yatonda eggulu omusanvu n'ensi mu butuufu, abikka ekiro ku misana nga bwabikka emisana ku kiro, era yagonza enjuba n'omwezi, buli kimu kyakutambula okumala ebbanga eggere, abange yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo
خَلَقَكُم مِّن نَّفْسٍ وَاحِدَةٍ ثُمَّ جَعَلَ مِنْهَا زَوْجَهَا وَأَنزَلَ لَكُم مِّنَ الْأَنْعَامِ ثَمَانِيَةَ أَزْوَاجٍ ۚ يَخْلُقُكُمْ فِي بُطُونِ أُمَّهَاتِكُمْ خَلْقًا مِّن بَعْدِ خَلْقٍ فِي ظُلُمَاتٍ ثَلَاثٍ ۚ ذَٰلِكُمُ اللَّهُ رَبُّكُمْ لَهُ الْمُلْكُ ۖ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۖ فَأَنَّىٰ تُصْرَفُونَ (6)
Katonda yabatonda nga abaggya mu muntu omu oluvanyuma naggya mu ye mukyala we, era naabawa mu bisolo eby'omumaka emitindo munaana, abatondera mu mbuto za ba nnyammwe, nga kuba kutonda luvannyuma lwa kutonda, nga muli mu bizikiza bisatu, oyo nno ye Katonda, Mukama omulabirizi wa mmwe, obufuzi bwonna bubwe tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye, kale ate mukyusibwa mutya
إِن تَكْفُرُوا فَإِنَّ اللَّهَ غَنِيٌّ عَنكُمْ ۖ وَلَا يَرْضَىٰ لِعِبَادِهِ الْكُفْرَ ۖ وَإِن تَشْكُرُوا يَرْضَهُ لَكُمْ ۗ وَلَا تَزِرُ وَازِرَةٌ وِزْرَ أُخْرَىٰ ۗ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّكُم مَّرْجِعُكُمْ فَيُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ ۚ إِنَّهُ عَلِيمٌ بِذَاتِ الصُّدُورِ (7)
Bwemukaafuwala, mazima Katonda talina kyeyeetaaga ku mmwe era tayagaliza baddu be bukaafiiri, naye bwe mwebaza (ekyo) akibasiimako, era omwoyo omwonoonyi tegugenda kwetikka bibi bya mulala, oluvanyuma obuddo bwa mmwe buli eri Mukama omulabirizi wa mmwe, olwo nno naabamanyisa ebyo bye mwakolanga (anti) mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba
۞ وَإِذَا مَسَّ الْإِنسَانَ ضُرٌّ دَعَا رَبَّهُ مُنِيبًا إِلَيْهِ ثُمَّ إِذَا خَوَّلَهُ نِعْمَةً مِّنْهُ نَسِيَ مَا كَانَ يَدْعُو إِلَيْهِ مِن قَبْلُ وَجَعَلَ لِلَّهِ أَندَادًا لِّيُضِلَّ عَن سَبِيلِهِ ۚ قُلْ تَمَتَّعْ بِكُفْرِكَ قَلِيلًا ۖ إِنَّكَ مِنْ أَصْحَابِ النَّارِ (8)
Akabi bwe katuuka ku muntu asaba Mukama omulabiriziwe ng'amwenenyeza, oluvanyuma bwamuwa ekyengera kyonna okuva gyali, nga yeerabira oyo gwe yali asaba mu kusooka olwo nno nassa ku Katonda abasinzibwa abalala, abe nga abuza (abantu) okubaggya ku kkubo lye (Katonda). Gamba nti weeyagale katono n'obukaafiiri bwo, (anti) mazima ggwe oli wa mu bantu bo mu muliro
أَمَّنْ هُوَ قَانِتٌ آنَاءَ اللَّيْلِ سَاجِدًا وَقَائِمًا يَحْذَرُ الْآخِرَةَ وَيَرْجُو رَحْمَةَ رَبِّهِ ۗ قُلْ هَلْ يَسْتَوِي الَّذِينَ يَعْلَمُونَ وَالَّذِينَ لَا يَعْلَمُونَ ۗ إِنَّمَا يَتَذَكَّرُ أُولُو الْأَلْبَابِ (9)
Abaffe oyo asinza mu biseera by'ekiro nga avunnama era ng'ayimirira (ng'asaala) nga atya olunaku lw'enkomerero ate nga asuubira okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe, (oyo yenkana n'atakola ekyo) gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abaffe abamanyi n'abatamanyi benkana? mazima (abamanyi enjawulo eyo) era nga beebuulirira be ba nannyini magezi amatuufu
قُلْ يَا عِبَادِ الَّذِينَ آمَنُوا اتَّقُوا رَبَّكُمْ ۚ لِلَّذِينَ أَحْسَنُوا فِي هَٰذِهِ الدُّنْيَا حَسَنَةٌ ۗ وَأَرْضُ اللَّهِ وَاسِعَةٌ ۗ إِنَّمَا يُوَفَّى الصَّابِرُونَ أَجْرَهُم بِغَيْرِ حِسَابٍ (10)
Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaddu bange abakkiriza, mutye Mukama omulabirizi wa mmwe, balina abo abakola obulungi mu bulamu buno obwo ku nsi obulungi (nga bakyali ku nsi, ne mu bulamu obw'oluvanyuma) era ensi ya Katonda ngazi (muyinza okusenguka ku lw'okusinza Katonda wa mmwe mu mirembe) so nga bo ababa bagumiikirizza (ne batasenguka) baliweebwa empeera yaabwe awatali kubalirira
قُلْ إِنِّي أُمِرْتُ أَنْ أَعْبُدَ اللَّهَ مُخْلِصًا لَّهُ الدِّينَ (11)
Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) mazima nze nnalagirwa okusinza Katonda, ng'eddiini ngikola ku lulwe yekka
وَأُمِرْتُ لِأَنْ أَكُونَ أَوَّلَ الْمُسْلِمِينَ (12)
Era nnalagirwa mbe nga nze nsoose okuba mwabo abasiramuse
قُلْ إِنِّي أَخَافُ إِنْ عَصَيْتُ رَبِّي عَذَابَ يَوْمٍ عَظِيمٍ (13)
Gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima nze ntya singa mba njeemedde Mukama omulabirizi wange (okutuukibwako) ebibonerezo by'olunaku oluzibu
قُلِ اللَّهَ أَعْبُدُ مُخْلِصًا لَّهُ دِينِي (14)
Gamba nti nsinza Katonda, ng'eddiini yange ngikola ku lulwe yekka
فَاعْبُدُوا مَا شِئْتُم مِّن دُونِهِ ۗ قُلْ إِنَّ الْخَاسِرِينَ الَّذِينَ خَسِرُوا أَنفُسَهُمْ وَأَهْلِيهِمْ يَوْمَ الْقِيَامَةِ ۗ أَلَا ذَٰلِكَ هُوَ الْخُسْرَانُ الْمُبِينُ (15)
Kale mmwe musinze ebyo bye muba mwagadde ebitali yye, era gamba nti mazima abantu ab'okufaafaaganirwa beebo abagenda okufaafaaganirwa emyoyo gyabwe n’abantu baabwe ku lunaku lw'enkomerero, abange okwo nno kwe kufaafaaganirwa okweyolefu
لَهُم مِّن فَوْقِهِمْ ظُلَلٌ مِّنَ النَّارِ وَمِن تَحْتِهِمْ ظُلَلٌ ۚ ذَٰلِكَ يُخَوِّفُ اللَّهُ بِهِ عِبَادَهُ ۚ يَا عِبَادِ فَاتَّقُونِ (16)
Balina waggulu waabwe emizingo gy’omuliro ate nga ne wansi waabwe eriyo emizingo emirala. Ekyo nno Katonda atiisa nakyo abaddube nga abagamba nti: abange baddu bange kale muntye
وَالَّذِينَ اجْتَنَبُوا الطَّاغُوتَ أَن يَعْبُدُوهَا وَأَنَابُوا إِلَى اللَّهِ لَهُمُ الْبُشْرَىٰ ۚ فَبَشِّرْ عِبَادِ (17)
Ate abo abeesamba okusinza ebisinzibwa eby'obulimba nebadda eri Katonda balina amawulire ag'essanyu n'olwekyo sanyusa abaddu bange
الَّذِينَ يَسْتَمِعُونَ الْقَوْلَ فَيَتَّبِعُونَ أَحْسَنَهُ ۚ أُولَٰئِكَ الَّذِينَ هَدَاهُمُ اللَّهُ ۖ وَأُولَٰئِكَ هُمْ أُولُو الْأَلْبَابِ (18)
Abo abawulira ebigambo nebagoberera ebisinga obulungi mu byo, abo beebo Katonda be yawa obulungamu, era abo bo be ba nannyini magezi amatuufu
أَفَمَنْ حَقَّ عَلَيْهِ كَلِمَةُ الْعَذَابِ أَفَأَنتَ تُنقِذُ مَن فِي النَّارِ (19)
Abaffe oyo gwekikakaseeko ekigambo ky'ebibonerezo (olw'okwonoonekakwe oyinza okumulungamya!) abaffe ggwe oyinza okutaasa oyo ali mu muliro
لَٰكِنِ الَّذِينَ اتَّقَوْا رَبَّهُمْ لَهُمْ غُرَفٌ مِّن فَوْقِهَا غُرَفٌ مَّبْنِيَّةٌ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ ۖ وَعْدَ اللَّهِ ۖ لَا يُخْلِفُ اللَّهُ الْمِيعَادَ (20)
Naye abo abatya Mukama omulabirizi waabwe balina e nyumba ezaakalina nga waggulu waazo ate wazimbiddwayo e nyumba endala, ng'emigga gikulukutira mu zo, (eyo) nga ndagaano ya Katonda (ate) nga Katonda tayawukana ku ndagaano
أَلَمْ تَرَ أَنَّ اللَّهَ أَنزَلَ مِنَ السَّمَاءِ مَاءً فَسَلَكَهُ يَنَابِيعَ فِي الْأَرْضِ ثُمَّ يُخْرِجُ بِهِ زَرْعًا مُّخْتَلِفًا أَلْوَانُهُ ثُمَّ يَهِيجُ فَتَرَاهُ مُصْفَرًّا ثُمَّ يَجْعَلُهُ حُطَامًا ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَذِكْرَىٰ لِأُولِي الْأَلْبَابِ (21)
Abaffe tolaba nti mazima Katonda assa okuva waggulu amazzi naagakulukusiza mu mifuleggye egiri mu ttaka, oluvanyuma ameza nago ebibala eby'amabala ag'enjawulo, oluvanyuma bikala (ebibadde ebyakiragala) n'obiraba nga bifuuse bya kyenvu, oluvanyuma abifuula ebisubi ebikutusekutuse. Mazima mu ekyo mulimu okujjukiza eri abalina amagezi
أَفَمَن شَرَحَ اللَّهُ صَدْرَهُ لِلْإِسْلَامِ فَهُوَ عَلَىٰ نُورٍ مِّن رَّبِّهِ ۚ فَوَيْلٌ لِّلْقَاسِيَةِ قُلُوبُهُم مِّن ذِكْرِ اللَّهِ ۚ أُولَٰئِكَ فِي ضَلَالٍ مُّبِينٍ (22)
Abaffe oyo Katonda gwayanjululiza obusiraamu ekifuba kye, olwo nno yye naaba nga ali ku kitangaala ekiva eri Mukama omulabirizi we (afaanana n'oyo alina omutima omukakanyavu!) okubonaabona kuli kwabo abakakanyavu b’emitima gyabwe egiva ku kutendereza Katonda, abo bali mu bubuze obw'olwatu
اللَّهُ نَزَّلَ أَحْسَنَ الْحَدِيثِ كِتَابًا مُّتَشَابِهًا مَّثَانِيَ تَقْشَعِرُّ مِنْهُ جُلُودُ الَّذِينَ يَخْشَوْنَ رَبَّهُمْ ثُمَّ تَلِينُ جُلُودُهُمْ وَقُلُوبُهُمْ إِلَىٰ ذِكْرِ اللَّهِ ۚ ذَٰلِكَ هُدَى اللَّهِ يَهْدِي بِهِ مَن يَشَاءُ ۚ وَمَن يُضْلِلِ اللَّهُ فَمَا لَهُ مِنْ هَادٍ (23)
Katonda yassa ebigambo ebisinga obulungi (Kur’ani) nga kitabo ekirina ebigambo ebifaanagana (naye nga tebikontana) nga kiddingana ensonga (awatali kukooyesa awulira) gyesisiwala ku lwakyo emibiri gyabo abatya Mukama omulabirizi waabwe (bwekyogera ebigambo ebyogera ku bibonerezo) oluvanyuma emibiri gyabwe n'emitima gyabwe gikkakkana bwe giba giwulidde ebigambo ebyogera ku Katonda (n'okusaasira kwe) ekyo (ekitabo Kur’ani) kulungamya kwa Katonda alungamya nakyo oyo gwaba ayagadde, oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kufuna mulungamya
أَفَمَن يَتَّقِي بِوَجْهِهِ سُوءَ الْعَذَابِ يَوْمَ الْقِيَامَةِ ۚ وَقِيلَ لِلظَّالِمِينَ ذُوقُوا مَا كُنتُمْ تَكْسِبُونَ (24)
Abaffe oyo aligezaako okuwonya ekyenyikye ku bibonerezo by'olunaku lw'enkomerero (ayinza okufaanana n'oyo aliwona yenna olw'emirimu gye emirungi), era abeeyisa obubi baligambibwa nti: mukombe (ku bukaawu) bwebyo bye mwakolanga
كَذَّبَ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ فَأَتَاهُمُ الْعَذَابُ مِنْ حَيْثُ لَا يَشْعُرُونَ (25)
Abo abaabakulembera baalimbisa (nga nabo bwe balimbisa) olwo nno ebibonerezo nebibajjira okuva webaali tebasuubira
فَأَذَاقَهُمُ اللَّهُ الْخِزْيَ فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا ۖ وَلَعَذَابُ الْآخِرَةِ أَكْبَرُ ۚ لَوْ كَانُوا يَعْلَمُونَ (26)
Olwo nno Katonda naabakombesa ku buswavu mu bulamu obw'ensi ate nga ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga obukakali singa baali bamanyi
وَلَقَدْ ضَرَبْنَا لِلنَّاسِ فِي هَٰذَا الْقُرْآنِ مِن كُلِّ مَثَلٍ لَّعَلَّهُمْ يَتَذَكَّرُونَ (27)
Mazima tukubidde abantu mu Kur’ani eno buli kifaananyi babe nga beebuulirira
قُرْآنًا عَرَبِيًّا غَيْرَ ذِي عِوَجٍ لَّعَلَّهُمْ يَتَّقُونَ (28)
Kur’ani (twagissa) nga eri mu luwarabu nga teriimu bukyamu bwonna babe nga batya Katonda
ضَرَبَ اللَّهُ مَثَلًا رَّجُلًا فِيهِ شُرَكَاءُ مُتَشَاكِسُونَ وَرَجُلًا سَلَمًا لِّرَجُلٍ هَلْ يَسْتَوِيَانِ مَثَلًا ۚ الْحَمْدُ لِلَّهِ ۚ بَلْ أَكْثَرُهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (29)
Katonda yakuba ekifaananyi ky'omusajja (omuddu) ng'aliko bakamaabe bangi abakaayana (n'atamanya ani gwasooka okuweereza) n’omusajja omulala (omuddu) nga wa muntu omu, abaffe mu kulaba bafaanana. Ebitendo byonna bya Katonda wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi
إِنَّكَ مَيِّتٌ وَإِنَّهُم مَّيِّتُونَ (30)
Mazima ggwe (Nabbi Muhammad) ojja kufa era mazima ddala nabo baakufa
ثُمَّ إِنَّكُمْ يَوْمَ الْقِيَامَةِ عِندَ رَبِّكُمْ تَخْتَصِمُونَ (31)
Oluvanyuma mazima mmwe (mwenna wamu) mugenda kuwozanganya ewa Mukama omulabirizi wa mmwe ku lunaku lw'enkomerero
۞ فَمَنْ أَظْلَمُ مِمَّن كَذَبَ عَلَى اللَّهِ وَكَذَّبَ بِالصِّدْقِ إِذْ جَاءَهُ ۚ أَلَيْسَ فِي جَهَنَّمَ مَثْوًى لِّلْكَافِرِينَ (32)
Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera obulimba ku Katonda! era naalimbisa amazima bwe gaamujjira (yeeyinula ki?) abaffe mu muliro Jahannama temuli nfo za bakaafiiri
وَالَّذِي جَاءَ بِالصِّدْقِ وَصَدَّقَ بِهِ ۙ أُولَٰئِكَ هُمُ الْمُتَّقُونَ (33)
Ate oyo eyaleeta amazima era n’agakkiririzaamu, abo bo be batya Katonda
لَهُم مَّا يَشَاءُونَ عِندَ رَبِّهِمْ ۚ ذَٰلِكَ جَزَاءُ الْمُحْسِنِينَ (34)
Balifuna bye baagala ewa Mukama omulabirizi waabwe eyo y'empeera ya balongoosa
لِيُكَفِّرَ اللَّهُ عَنْهُمْ أَسْوَأَ الَّذِي عَمِلُوا وَيَجْزِيَهُمْ أَجْرَهُم بِأَحْسَنِ الَّذِي كَانُوا يَعْمَلُونَ (35)
Katonda abe nga abasonyiwa ebibi ebyo bye baakola, era abasasule empeera yaabwe olw'ebirungi ebyo bye baali bakola
أَلَيْسَ اللَّهُ بِكَافٍ عَبْدَهُ ۖ وَيُخَوِّفُونَكَ بِالَّذِينَ مِن دُونِهِ ۚ وَمَن يُضْلِلِ اللَّهُ فَمَا لَهُ مِنْ هَادٍ (36)
Abaffe Katonda tamala muddu we, balyoke batuuke okukutiisatiisa n'abo abatali yye, oyo yenna Katonda gwabuza tagenda kufuna mulungamya
وَمَن يَهْدِ اللَّهُ فَمَا لَهُ مِن مُّضِلٍّ ۗ أَلَيْسَ اللَّهُ بِعَزِيزٍ ذِي انتِقَامٍ (37)
Oyo yenna Katonda gwalungamya tabaako amubuza, abaffe Katonda ssi ye nantakubwa ku mukono asobola okubonereza abo (abeeyisa obubi mu baddube)
وَلَئِن سَأَلْتَهُم مَّنْ خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ لَيَقُولُنَّ اللَّهُ ۚ قُلْ أَفَرَأَيْتُم مَّا تَدْعُونَ مِن دُونِ اللَّهِ إِنْ أَرَادَنِيَ اللَّهُ بِضُرٍّ هَلْ هُنَّ كَاشِفَاتُ ضُرِّهِ أَوْ أَرَادَنِي بِرَحْمَةٍ هَلْ هُنَّ مُمْسِكَاتُ رَحْمَتِهِ ۚ قُلْ حَسْبِيَ اللَّهُ ۖ عَلَيْهِ يَتَوَكَّلُ الْمُتَوَكِّلُونَ (38)
Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi, ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe (mmwe) mulaba nti ebyo bye musaba nemuleka Katonda singa Katonda aba anjagalizza akabi byo bisobola okugyawo akabiike, oba singa aba anjagalizza kusaasira (kirungi) abaffe byo bisobola okuziyiza okusaasira kwe, gamba nti Katonda ammala (era bulijjo) abaagala ow'okwesiga ye yekka gwe beesiga
قُلْ يَا قَوْمِ اعْمَلُوا عَلَىٰ مَكَانَتِكُمْ إِنِّي عَامِلٌ ۖ فَسَوْفَ تَعْلَمُونَ (39)
Bagambe nti: abange bantu bange mukolere ku nkola yammwe, mazima nze nkola (ku nkola eyange) luliba olwo nemumanya
مَن يَأْتِيهِ عَذَابٌ يُخْزِيهِ وَيَحِلُّ عَلَيْهِ عَذَابٌ مُّقِيمٌ (40)
Ani ebibonerezo gwe birijjira nga bimuswaza era naatuukwako ebibonerezo eby'olubeerera
إِنَّا أَنزَلْنَا عَلَيْكَ الْكِتَابَ لِلنَّاسِ بِالْحَقِّ ۖ فَمَنِ اهْتَدَىٰ فَلِنَفْسِهِ ۖ وَمَن ضَلَّ فَإِنَّمَا يَضِلُّ عَلَيْهَا ۖ وَمَا أَنتَ عَلَيْهِم بِوَكِيلٍ (41)
Mazima ffe twassa ku ggwe ekitabo eky'amazima nga kya bantu bonna oyo alungama aba yeerungamidde, ate oyo abula, ekibi ky'okubulakwe kidda gyali, era ggwe toli mukuumi ku bo
اللَّهُ يَتَوَفَّى الْأَنفُسَ حِينَ مَوْتِهَا وَالَّتِي لَمْ تَمُتْ فِي مَنَامِهَا ۖ فَيُمْسِكُ الَّتِي قَضَىٰ عَلَيْهَا الْمَوْتَ وَيُرْسِلُ الْأُخْرَىٰ إِلَىٰ أَجَلٍ مُّسَمًّى ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ لِّقَوْمٍ يَتَفَكَّرُونَ (42)
Katonda yaatuusa entuuko z'emyoyo bwe gituuka okuva mu mibiri gyagyo, n'ogwo oguba tegufiiridde mu tulo twagwo (guba mu mikono gye) olwo nno gwaba asazeewo nti agwetaaga gufe naagutwala, ate omulala naaguleka okumala ebbanga eggere mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri abo abafumiitiriza
أَمِ اتَّخَذُوا مِن دُونِ اللَّهِ شُفَعَاءَ ۚ قُلْ أَوَلَوْ كَانُوا لَا يَمْلِكُونَ شَيْئًا وَلَا يَعْقِلُونَ (43)
Oba (ekibayinula) kuba nti baleka Katonda ne beeteerawo abawolereza! bagambe nti: (bwe gutyo bweguba) newaakubadde nga (abawolereza abo) tebafuga kintu kyonna era nga tebategeera
قُل لِّلَّهِ الشَّفَاعَةُ جَمِيعًا ۖ لَّهُ مُلْكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۖ ثُمَّ إِلَيْهِ تُرْجَعُونَ (44)
Bagambe nti: okuwolereza kwonna kuli mu mikono gya Katonda (anti) bubwe yekka obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi oluvanyuma gyali gye mulizzibwa
وَإِذَا ذُكِرَ اللَّهُ وَحْدَهُ اشْمَأَزَّتْ قُلُوبُ الَّذِينَ لَا يُؤْمِنُونَ بِالْآخِرَةِ ۖ وَإِذَا ذُكِرَ الَّذِينَ مِن دُونِهِ إِذَا هُمْ يَسْتَبْشِرُونَ (45)
Katonda bwaba nga ayogeddwako yekka (n'atagattibwako kintu kirala) emitima gyabo abatakkiriza nkomerero gyenyinyimbwa, naye singa abatali yye boogerwako ogenda okulaba nga bo (abagatta ebintu ebirala ku Katonda) basanyuukirira
قُلِ اللَّهُمَّ فَاطِرَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ عَالِمَ الْغَيْبِ وَالشَّهَادَةِ أَنتَ تَحْكُمُ بَيْنَ عِبَادِكَ فِي مَا كَانُوا فِيهِ يَخْتَلِفُونَ (46)
Gamba nti ayi Mukama omutonzi w'eggulu omusanvu n'ensi, omumanyi w'ebikusike n'ebirabwako, ggwe oliramula wakati wa baddu bo mu ebyo bye baali baawukanamu
وَلَوْ أَنَّ لِلَّذِينَ ظَلَمُوا مَا فِي الْأَرْضِ جَمِيعًا وَمِثْلَهُ مَعَهُ لَافْتَدَوْا بِهِ مِن سُوءِ الْعَذَابِ يَوْمَ الْقِيَامَةِ ۚ وَبَدَا لَهُم مِّنَ اللَّهِ مَا لَمْ يَكُونُوا يَحْتَسِبُونَ (47)
Singa ddala ebyo ebiri mu nsi byonna n'ebirala ebiringa byo nga byabo abeeyisa obubi bandiyagadde okwenunula nabyo okuwona obuzibu bwe bibonerezo byo lunaku lw'enkomerero n'olwokuba nti baliba bamaze okulaba okuva ewa Katonda ebyo bye baali batasuubira
وَبَدَا لَهُمْ سَيِّئَاتُ مَا كَسَبُوا وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُوا بِهِ يَسْتَهْزِئُونَ (48)
Era ne bibeeyoleka ebibi by'ebyo bye baakola era ne bibeetooloola ebyo bye baalinga bajeeja
فَإِذَا مَسَّ الْإِنسَانَ ضُرٌّ دَعَانَا ثُمَّ إِذَا خَوَّلْنَاهُ نِعْمَةً مِّنَّا قَالَ إِنَّمَا أُوتِيتُهُ عَلَىٰ عِلْمٍ ۚ بَلْ هِيَ فِتْنَةٌ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (49)
Omuntu bwatuukibwako akabi olwo nno nga atusaba oluvanyuma bwe tumugabira ekyengera kyonna okuva gye tuli, agamba nti mazima kyampebwa lwa kumanya (kwange) wabula (si bwe kiri) kyo kikemo naye ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi
قَدْ قَالَهَا الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ فَمَا أَغْنَىٰ عَنْهُم مَّا كَانُوا يَكْسِبُونَ (50)
Mazima (ekigambo kye kimu ekyo) baakyogera abo abaabakulembera (naye) tebyabagasa ebyo bye baakolanga
فَأَصَابَهُمْ سَيِّئَاتُ مَا كَسَبُوا ۚ وَالَّذِينَ ظَلَمُوا مِنْ هَٰؤُلَاءِ سَيُصِيبُهُمْ سَيِّئَاتُ مَا كَسَبُوا وَمَا هُم بِمُعْجِزِينَ (51)
Olwo nno obubi bw'ebyo bye baakola ne bubatuukako n'abo bonna abeeyisa obubi mu bano, bajja kutuukibwako obubi bw'ebyo bye baakola ate era tebagenda kulemesa (Katonda ku bakola kyaliba ayagadde)
أَوَلَمْ يَعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ يَبْسُطُ الرِّزْقَ لِمَن يَشَاءُ وَيَقْدِرُ ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ لِّقَوْمٍ يُؤْمِنُونَ (52)
Abaffe tebamanyi nti mazima Katonda ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde ate oluusi naafunza, mazima mu ekyo mulimu ebyokuyiga eri abantu abakkiriza
۞ قُلْ يَا عِبَادِيَ الَّذِينَ أَسْرَفُوا عَلَىٰ أَنفُسِهِمْ لَا تَقْنَطُوا مِن رَّحْمَةِ اللَّهِ ۚ إِنَّ اللَّهَ يَغْفِرُ الذُّنُوبَ جَمِيعًا ۚ إِنَّهُ هُوَ الْغَفُورُ الرَّحِيمُ (53)
Bagambe nti: abange baddu bange abo abayitiriza okwonoona ku myoyo gyabwe temuggwangamu ssuubi ku kusaasira kwa Katonda, mazima Katonda asonyiwa ebyonoono byonna, mazima yye ye musonyiyi ennyo omusaasizi ennyo
وَأَنِيبُوا إِلَىٰ رَبِّكُمْ وَأَسْلِمُوا لَهُ مِن قَبْلِ أَن يَأْتِيَكُمُ الْعَذَابُ ثُمَّ لَا تُنصَرُونَ (54)
Era mwemenye mudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe era mweweeyo gyali, nga ebibonerezo tebinnabajjira ate ne muba nga temuli ba kutaasibwa
وَاتَّبِعُوا أَحْسَنَ مَا أُنزِلَ إِلَيْكُم مِّن رَّبِّكُم مِّن قَبْلِ أَن يَأْتِيَكُمُ الْعَذَابُ بَغْتَةً وَأَنتُمْ لَا تَشْعُرُونَ (55)
Era mugoberere ebirungi ebyo ebyassibwa gye muli nga biva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe oluberyeberye nga ebibonerezo tebinnaba kubajjira ekibwatukira nga na mmwe temumanyi
أَن تَقُولَ نَفْسٌ يَا حَسْرَتَا عَلَىٰ مَا فَرَّطتُ فِي جَنبِ اللَّهِ وَإِن كُنتُ لَمِنَ السَّاخِرِينَ (56)
Omuntu aleme kutuuka kugamba nti zinsanze ku lw'ebyo bye nnayonoona ku bikwata ku Katonda era nga ddala nnali ku nsi mu banyooma
أَوْ تَقُولَ لَوْ أَنَّ اللَّهَ هَدَانِي لَكُنتُ مِنَ الْمُتَّقِينَ (57)
Oba ogambe nti singa mazima Katonda yannungamya naalibadde mu batya (Katonda)
أَوْ تَقُولَ حِينَ تَرَى الْعَذَابَ لَوْ أَنَّ لِي كَرَّةً فَأَكُونَ مِنَ الْمُحْسِنِينَ (58)
Oba bwoliraba ebibonerezo oligamba nti ddala singa nnina okuzzibwayo nembeera mu balongoosa
بَلَىٰ قَدْ جَاءَتْكَ آيَاتِي فَكَذَّبْتَ بِهَا وَاسْتَكْبَرْتَ وَكُنتَ مِنَ الْكَافِرِينَ (59)
(olyanukulwa nti) nedda ebigambo byange byakujjira n'obirimbisa era neweekuza nooba owo mu bakaafiiri
وَيَوْمَ الْقِيَامَةِ تَرَى الَّذِينَ كَذَبُوا عَلَى اللَّهِ وُجُوهُهُم مُّسْوَدَّةٌ ۚ أَلَيْسَ فِي جَهَنَّمَ مَثْوًى لِّلْمُتَكَبِّرِينَ (60)
Era ku lunaku lw'enkomerero abo abaayogera obulimba ku Katonda oliraba ebyenyi byabwe nga biddugadde (ate lwaki tebaliba batyo!), abaffe mu muliro Jahannama temuli nfo zaabo abeekuza
وَيُنَجِّي اللَّهُ الَّذِينَ اتَّقَوْا بِمَفَازَتِهِمْ لَا يَمَسُّهُمُ السُّوءُ وَلَا هُمْ يَحْزَنُونَ (61)
Era Katonda agenda kuwonya abo abaamutya nga abawa okwesiima kwabwe (olw'ejjana gyalibayingiza). Akabi (k’ebibonerezo) tekagenda kubatuukako era bo ssi baakunakuwala
اللَّهُ خَالِقُ كُلِّ شَيْءٍ ۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ وَكِيلٌ (62)
Katonda, ye mutonzi wa buli kintu era yye, ye mutambuza wa buli kintu
لَّهُ مَقَالِيدُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۗ وَالَّذِينَ كَفَرُوا بِآيَاتِ اللَّهِ أُولَٰئِكَ هُمُ الْخَاسِرُونَ (63)
Era yaalina ebiyimiriddeko entambula y'eggulu omusanvu n'ensi, ate abo abaawakanya ebigambo bya Katonda, abo bo be b'okufaafaaganirwa
قُلْ أَفَغَيْرَ اللَّهِ تَأْمُرُونِّي أَعْبُدُ أَيُّهَا الْجَاهِلُونَ (64)
Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti: abange mmwe abatamanyi, ebitali Katonda bye mundagira mbe nga nsinza
وَلَقَدْ أُوحِيَ إِلَيْكَ وَإِلَى الَّذِينَ مِن قَبْلِكَ لَئِنْ أَشْرَكْتَ لَيَحْبَطَنَّ عَمَلُكَ وَلَتَكُونَنَّ مِنَ الْخَاسِرِينَ (65)
Ate nga mazima watumirwa obubaka n'eri abo abaakukulembera (nti) singa ogatta ku Katonda ebintu ebirala emirimu gyo gya kwonoonekera ddala, era ojja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa
بَلِ اللَّهَ فَاعْبُدْ وَكُن مِّنَ الشَّاكِرِينَ (66)
Wabula Katonda gwoba osinza era obe mu beebaza
وَمَا قَدَرُوا اللَّهَ حَقَّ قَدْرِهِ وَالْأَرْضُ جَمِيعًا قَبْضَتُهُ يَوْمَ الْقِيَامَةِ وَالسَّمَاوَاتُ مَطْوِيَّاتٌ بِيَمِينِهِ ۚ سُبْحَانَهُ وَتَعَالَىٰ عَمَّا يُشْرِكُونَ (67)
(Abagatta ku Katonda ebintu ebirala) Katonda tebamussa mu kifo kimusaanira, so nga ensi yonna eriba mu kibatu kye ku lunaku lw'enkomerero, nga eggulu omusanvu gazingiddwa mu mukono gwe ogwa ddyo, musukkulumu era wa waggulu ku ebyo bye bamugattako
وَنُفِخَ فِي الصُّورِ فَصَعِقَ مَن فِي السَّمَاوَاتِ وَمَن فِي الْأَرْضِ إِلَّا مَن شَاءَ اللَّهُ ۖ ثُمَّ نُفِخَ فِيهِ أُخْرَىٰ فَإِذَا هُمْ قِيَامٌ يَنظُرُونَ (68)
Engombe erifuuyibwa, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi nebizikirira, okugyako ekyo Katonda kyaliba ayagadde, oluvanyuma erifuuyibwa omulundi omulala oligenda okulaba nga beesiimbye (bwa ntoogo) batunula
وَأَشْرَقَتِ الْأَرْضُ بِنُورِ رَبِّهَا وَوُضِعَ الْكِتَابُ وَجِيءَ بِالنَّبِيِّينَ وَالشُّهَدَاءِ وَقُضِيَ بَيْنَهُم بِالْحَقِّ وَهُمْ لَا يُظْلَمُونَ (69)
Ensi egenda kwakaayakana olw'ekitangaala kya Mukama omulabirizi waayo, ebitabo (by’emirimu gya baddu) bissibwewo, ba Nabbi n’abajulizi (ba Malayika abawandiika emirimu gya baddu) baleetebwe era balamulwe mu mazima era bo tebagenda kulyazaamaanyizibwa
وَوُفِّيَتْ كُلُّ نَفْسٍ مَّا عَمِلَتْ وَهُوَ أَعْلَمُ بِمَا يَفْعَلُونَ (70)
Buli mwoyo gulisasulwa mu bujjuvu ebyo bye gwakola, anti bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola
وَسِيقَ الَّذِينَ كَفَرُوا إِلَىٰ جَهَنَّمَ زُمَرًا ۖ حَتَّىٰ إِذَا جَاءُوهَا فُتِحَتْ أَبْوَابُهَا وَقَالَ لَهُمْ خَزَنَتُهَا أَلَمْ يَأْتِكُمْ رُسُلٌ مِّنكُمْ يَتْلُونَ عَلَيْكُمْ آيَاتِ رَبِّكُمْ وَيُنذِرُونَكُمْ لِقَاءَ يَوْمِكُمْ هَٰذَا ۚ قَالُوا بَلَىٰ وَلَٰكِنْ حَقَّتْ كَلِمَةُ الْعَذَابِ عَلَى الْكَافِرِينَ (71)
Abo abaakaafuwala balikunguzzibwa okutwalibwa mu muliro Jahannama nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligutuukako emiryango gyagwo nga giggulwawo, era abakuumi baagwo babagambe nti, abaffe tebaabajjira ababaka nga bava mu mmwe!, nga babasomera ebigambo bya Mukama omulabirizi wa mmwe era nebabatiisa okusisinkana olunaku lwa mmwe luno? baligamba nti weewaawo (batujjira naye twabalimbisa) naye ekigambo ky’ebibonerezo kimaze okukakata ku bakaafiiri
قِيلَ ادْخُلُوا أَبْوَابَ جَهَنَّمَ خَالِدِينَ فِيهَا ۖ فَبِئْسَ مَثْوَى الْمُتَكَبِّرِينَ (72)
Baligambibwa nti muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli bakutuula mu gwo bugenderevu, nagwo kifo kibi eri abeekuza
وَسِيقَ الَّذِينَ اتَّقَوْا رَبَّهُمْ إِلَى الْجَنَّةِ زُمَرًا ۖ حَتَّىٰ إِذَا جَاءُوهَا وَفُتِحَتْ أَبْوَابُهَا وَقَالَ لَهُمْ خَزَنَتُهَا سَلَامٌ عَلَيْكُمْ طِبْتُمْ فَادْخُلُوهَا خَالِدِينَ (73)
Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe balitwalibwa eri e jjana nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligituukako n’emiryango gyayo negiggulwa, n’abakuumi baayo nebabagamba nti emirembe gibe ku mmwe mwakola bulungi (nga muli ku nsi) kale muyingire, mugenda kutuulamu, bugenderevu
وَقَالُوا الْحَمْدُ لِلَّهِ الَّذِي صَدَقَنَا وَعْدَهُ وَأَوْرَثَنَا الْأَرْضَ نَتَبَوَّأُ مِنَ الْجَنَّةِ حَيْثُ نَشَاءُ ۖ فَنِعْمَ أَجْرُ الْعَامِلِينَ (74)
Baligamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo atutuukiririzza endagaano ye, naatusikiza ettaka (lyo mu jjana) nga tweyagalira mu jjana wonna wetwagala nga kyo kyengera kya mpeera ya bakozi
وَتَرَى الْمَلَائِكَةَ حَافِّينَ مِنْ حَوْلِ الْعَرْشِ يُسَبِّحُونَ بِحَمْدِ رَبِّهِمْ ۖ وَقُضِيَ بَيْنَهُم بِالْحَقِّ وَقِيلَ الْحَمْدُ لِلَّهِ رَبِّ الْعَالَمِينَ (75)
Oliraba ba Malayika nga babugirizza amabbali ga Arish nga batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, (ebyo byonna) abaddu baliba balamuddwa mu bwenkanya era walirangirirwa nti ebitendo byonna bya Katonda omulabirizi w'ebitonde byonna
❮ السورة السابقة السورة التـالية ❯

قراءة المزيد من سور القرآن الكريم :

1- الفاتحة2- البقرة3- آل عمران
4- النساء5- المائدة6- الأنعام
7- الأعراف8- الأنفال9- التوبة
10- يونس11- هود12- يوسف
13- الرعد14- إبراهيم15- الحجر
16- النحل17- الإسراء18- الكهف
19- مريم20- طه21- الأنبياء
22- الحج23- المؤمنون24- النور
25- الفرقان26- الشعراء27- النمل
28- القصص29- العنكبوت30- الروم
31- لقمان32- السجدة33- الأحزاب
34- سبأ35- فاطر36- يس
37- الصافات38- ص39- الزمر
40- غافر41- فصلت42- الشورى
43- الزخرف44- الدخان45- الجاثية
46- الأحقاف47- محمد48- الفتح
49- الحجرات50- ق51- الذاريات
52- الطور53- النجم54- القمر
55- الرحمن56- الواقعة57- الحديد
58- المجادلة59- الحشر60- الممتحنة
61- الصف62- الجمعة63- المنافقون
64- التغابن65- الطلاق66- التحريم
67- الملك68- القلم69- الحاقة
70- المعارج71- نوح72- الجن
73- المزمل74- المدثر75- القيامة
76- الإنسان77- المرسلات78- النبأ
79- النازعات80- عبس81- التكوير
82- الإنفطار83- المطففين84- الانشقاق
85- البروج86- الطارق87- الأعلى
88- الغاشية89- الفجر90- البلد
91- الشمس92- الليل93- الضحى
94- الشرح95- التين96- العلق
97- القدر98- البينة99- الزلزلة
100- العاديات101- القارعة102- التكاثر
103- العصر104- الهمزة105- الفيل
106- قريش107- الماعون108- الكوثر
109- الكافرون110- النصر111- المسد
112- الإخلاص113- الفلق114- الناس