يُسَبِّحُ لِلَّهِ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ ۖ لَهُ الْمُلْكُ وَلَهُ الْحَمْدُ ۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (1) Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda, obufuzi bwonna n'amatendo gonna bibye, anti ye muyinza wa buli kintu |
هُوَ الَّذِي خَلَقَكُمْ فَمِنكُمْ كَافِرٌ وَمِنكُم مُّؤْمِنٌ ۚ وَاللَّهُ بِمَا تَعْمَلُونَ بَصِيرٌ (2) Yye yooyo eyabatonda nga mu mmwe mulimu abakafiiri na bandi bakkiriza. Lubeerera Katonda alaba bye mukola |
خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ بِالْحَقِّ وَصَوَّرَكُمْ فَأَحْسَنَ صُوَرَكُمْ ۖ وَإِلَيْهِ الْمَصِيرُ (3) Yatonda eggulu n'ensi lwa nsonga. Ekifaananyi kye yabatonderako kye kisingira ddala okuba ekirungi. Era gyali gye mugenda okudda |
يَعْلَمُ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَيَعْلَمُ مَا تُسِرُّونَ وَمَا تُعْلِنُونَ ۚ وَاللَّهُ عَلِيمٌ بِذَاتِ الصُّدُورِ (4) Amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi, era nga bwa manyi bye mukweka ne bye mwolesa. Anti Katonda amanyi ebiri mu bifuba |
أَلَمْ يَأْتِكُمْ نَبَأُ الَّذِينَ كَفَرُوا مِن قَبْلُ فَذَاقُوا وَبَالَ أَمْرِهِمْ وَلَهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (5) Abaffe amawulire gaabo abaakafuwala oluberyeberye lwa mmwe tegaabatuukako, ekyabaviirako okuba nga bakomba ku bukaawu bwo bukafiri bwabwe. Era bagenda kutuukwakwo e bibonerezo ebiruma |
ذَٰلِكَ بِأَنَّهُ كَانَت تَّأْتِيهِمْ رُسُلُهُم بِالْبَيِّنَاتِ فَقَالُوا أَبَشَرٌ يَهْدُونَنَا فَكَفَرُوا وَتَوَلَّوا ۚ وَّاسْتَغْنَى اللَّهُ ۚ وَاللَّهُ غَنِيٌّ حَمِيدٌ (6) Olwe'nsonga nti ababaka baabwe baabaleeteranga obubaka obujjudde obunnyonnyofu, bo ne bagamba nti omuntu obuntu yajja atulungamye! ekyo ne kibakaafuwaza, ne baba nga tebakyayagala kuwulira kikwata ku bubaka, ne Katonda naaba nga takyabeetaaga. Anti Katonda bulijjo talina kye yataaga, era nga bulijjo atenderezebwa |
زَعَمَ الَّذِينَ كَفَرُوا أَن لَّن يُبْعَثُوا ۚ قُلْ بَلَىٰ وَرَبِّي لَتُبْعَثُنَّ ثُمَّ لَتُنَبَّؤُنَّ بِمَا عَمِلْتُمْ ۚ وَذَٰلِكَ عَلَى اللَّهِ يَسِيرٌ (7) Abatakkiriza Katonda beerimba nga bagamba nti tebagenda kuzuukizibwa. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad (ﷺ)) nti ssi bwekiri. Ndayira Katonda omulezi wange ddala mujja kuzuukizibwa, oluvanyuma mujja kutegeezebwa ddala ebyo bye mwakola, nekyo nno kyangu nnyo ku Katonda |
فَآمِنُوا بِاللَّهِ وَرَسُولِهِ وَالنُّورِ الَّذِي أَنزَلْنَا ۚ وَاللَّهُ بِمَا تَعْمَلُونَ خَبِيرٌ (8) Kale nno mukkirize Katonda n'omubakawe n'ekitangaala (Kur'ani) kye twassa, ne Katonda bulijjo mumanyi nnyo weebyo bye mukola |
يَوْمَ يَجْمَعُكُمْ لِيَوْمِ الْجَمْعِ ۖ ذَٰلِكَ يَوْمُ التَّغَابُنِ ۗ وَمَن يُؤْمِن بِاللَّهِ وَيَعْمَلْ صَالِحًا يُكَفِّرْ عَنْهُ سَيِّئَاتِهِ وَيُدْخِلْهُ جَنَّاتٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ خَالِدِينَ فِيهَا أَبَدًا ۚ ذَٰلِكَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (9) Mujjukire olunaku Katonda lwa libakunganya ku lunaku lwe kiyaama, olwo lwe lunaku oluliraga okufaafaganirwa (eri abakafiiri), oyo yenna akkiriza Katonda naakola e mirimu emirungi, Katonda amusangulako ebibibye, era agenda kumuyingiza e jjana ezikulukutiramu e migga, nga baakuzibeeramu lubeerera. Okwo nno kwe kwe siima okuyitirivu |
وَالَّذِينَ كَفَرُوا وَكَذَّبُوا بِآيَاتِنَا أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ النَّارِ خَالِدِينَ فِيهَا ۖ وَبِئْسَ الْمَصِيرُ (10) Naye ate abo abaakafuwala ne balimbisa n'ebigambo byaffe, abo nno b'ebantu bo mu muliro, ba kubeera mu gwo olubeerera, eyo nkomerero mbi |
مَا أَصَابَ مِن مُّصِيبَةٍ إِلَّا بِإِذْنِ اللَّهِ ۗ وَمَن يُؤْمِن بِاللَّهِ يَهْدِ قَلْبَهُ ۚ وَاللَّهُ بِكُلِّ شَيْءٍ عَلِيمٌ (11) Tewali buzibu bwonna butuuka ku muntu okugyako nga Katonda akkirizza, oyo yenna akkiriza Katonda, Katonda alungamya omutimagwe. Mazima bulijjo Katonda mumanyi nnyo wa buli kintu |
وَأَطِيعُوا اللَّهَ وَأَطِيعُوا الرَّسُولَ ۚ فَإِن تَوَلَّيْتُمْ فَإِنَّمَا عَلَىٰ رَسُولِنَا الْبَلَاغُ الْمُبِينُ (12) Mugondere Katonda era mugondere omubakawe. Naye bwe munaayawukana kwe kyo, ye omubaka waffe (tanenyezebwa) obuvunaanyizibwabwe, kwe kutuusa obubaka mu bujjuvu |
اللَّهُ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۚ وَعَلَى اللَّهِ فَلْيَتَوَكَّلِ الْمُؤْمِنُونَ (13) Katonda ye yekka asinzibwa, abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِنَّ مِنْ أَزْوَاجِكُمْ وَأَوْلَادِكُمْ عَدُوًّا لَّكُمْ فَاحْذَرُوهُمْ ۚ وَإِن تَعْفُوا وَتَصْفَحُوا وَتَغْفِرُوا فَإِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (14) Abange mmwe abakkiriza mazima mu bakyala ba mmwe n'abaana ba mmwe mulimu abalabe, n'olwekyo mubeegendereze. Naye bwe mubaddiramu ne mubalekera, ne mubasonyiwa, mazima Katonda muyitirivu waakusonyiwa asaasira ennyo |
إِنَّمَا أَمْوَالُكُمْ وَأَوْلَادُكُمْ فِتْنَةٌ ۚ وَاللَّهُ عِندَهُ أَجْرٌ عَظِيمٌ (15) Mazima e byobugagga bya mmwe n'abaana ba mmwe kikemo, ng'ate ewa Katonda we wali empeera ensukkulumu |
فَاتَّقُوا اللَّهَ مَا اسْتَطَعْتُمْ وَاسْمَعُوا وَأَطِيعُوا وَأَنفِقُوا خَيْرًا لِّأَنفُسِكُمْ ۗ وَمَن يُوقَ شُحَّ نَفْسِهِ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الْمُفْلِحُونَ (16) Kale nno mutye Katonda nga bwe muba musobodde, muwulire era mugonde, mu ngeri yeemu mugabe ku lwa Katonda, ekyo nno kye kirungi gye muli. Oyo yenna awonyezebwa omulugube gwo mwoyogwe, abo nno be b'okuganyulwa |
إِن تُقْرِضُوا اللَّهَ قَرْضًا حَسَنًا يُضَاعِفْهُ لَكُمْ وَيَغْفِرْ لَكُمْ ۚ وَاللَّهُ شَكُورٌ حَلِيمٌ (17) Singa muwola Katonda oluwola olulungi, alubabalizaamu era n'abasonyiwa ebyonoono bya mmwe, bulijjo Katonda asiima era wa kisa |
عَالِمُ الْغَيْبِ وَالشَّهَادَةِ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (18) (Katonda oyo) amanyi ebitalabwako n'ebirabwa, nantalemwa, akola buli kintu nga asinziira ku nsonga |