×

سورة الكهف باللغة لوغندا

ترجمات القرآنباللغة لوغندا ⬅ سورة الكهف

ترجمة معاني سورة الكهف باللغة لوغندا - Ganda

القرآن باللغة لوغندا - سورة الكهف مترجمة إلى اللغة لوغندا، Surah Kahf in Ganda. نوفر ترجمة دقيقة سورة الكهف باللغة لوغندا - Ganda, الآيات 110 - رقم السورة 18 - الصفحة 293.

بسم الله الرحمن الرحيم

الْحَمْدُ لِلَّهِ الَّذِي أَنزَلَ عَلَىٰ عَبْدِهِ الْكِتَابَ وَلَمْ يَجْعَل لَّهُ عِوَجًا ۜ (1)
Ebitendo byonna bya Katonda oyo eyassa ku mudduwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) naatakiteekamu bukyamu bwonna
قَيِّمًا لِّيُنذِرَ بَأْسًا شَدِيدًا مِّن لَّدُنْهُ وَيُبَشِّرَ الْمُؤْمِنِينَ الَّذِينَ يَعْمَلُونَ الصَّالِحَاتِ أَنَّ لَهُمْ أَجْرًا حَسَنًا (2)
Wabula nga kyesimbu abe nga atiisa nakyo ebibonerezo ebikakali ebiva gyali era awe nakyo amawulire ag'essanyu abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu (nga abategeeza) nti mazima balina empeera ennungi
مَّاكِثِينَ فِيهِ أَبَدًا (3)
Baakugibeeramu olubeerera
وَيُنذِرَ الَّذِينَ قَالُوا اتَّخَذَ اللَّهُ وَلَدًا (4)
Era atiise abo abagamba nti Katonda yeeteerawo omwana
مَّا لَهُم بِهِ مِنْ عِلْمٍ وَلَا لِآبَائِهِمْ ۚ كَبُرَتْ كَلِمَةً تَخْرُجُ مِنْ أَفْوَاهِهِمْ ۚ إِن يَقُولُونَ إِلَّا كَذِبًا (5)
Kye batalinaako kumanya kwonna wadde bakadde baabwe, kibi nnyo ekigambo ekiva mu mimwa gya bwe. Bye boogera temuli okugyako bulimba bwereere
فَلَعَلَّكَ بَاخِعٌ نَّفْسَكَ عَلَىٰ آثَارِهِمْ إِن لَّمْ يُؤْمِنُوا بِهَٰذَا الْحَدِيثِ أَسَفًا (6)
Olw'okunnyolwa, olabika nga obula kwetta ku lwa bwe olw'okuba tebakkiriza bigambo bino
إِنَّا جَعَلْنَا مَا عَلَى الْأَرْضِ زِينَةً لَّهَا لِنَبْلُوَهُمْ أَيُّهُمْ أَحْسَنُ عَمَلًا (7)
Mazima ffe twassa ku nsi ebigiriko nga bya kuginyiriza olwo nno tubagezese ani asinga okukola ebirungi
وَإِنَّا لَجَاعِلُونَ مَا عَلَيْهَا صَعِيدًا جُرُزًا (8)
Mazima ffe tugenda kufuula ebigiriko ettaka ekkalu
أَمْ حَسِبْتَ أَنَّ أَصْحَابَ الْكَهْفِ وَالرَّقِيمِ كَانُوا مِنْ آيَاتِنَا عَجَبًا (9)
Oba olowooza nti ddala abantu bo mu mpuku, n'ekiwandiiko ekibakwatako baali baakyewunyo nnyo okusinga eby'amagero byaffe ebirala
إِذْ أَوَى الْفِتْيَةُ إِلَى الْكَهْفِ فَقَالُوا رَبَّنَا آتِنَا مِن لَّدُنكَ رَحْمَةً وَهَيِّئْ لَنَا مِنْ أَمْرِنَا رَشَدًا (10)
Mu kiseera abavubuka bwe beewogoma mu mpuku nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwe okusaasira okuva gyoli era otwanguyize ensonga yaffe gye tuliko otuwe obulungamu
فَضَرَبْنَا عَلَىٰ آذَانِهِمْ فِي الْكَهْفِ سِنِينَ عَدَدًا (11)
Netukuba ku matu gaabwe (ekibikka) nga bali mu mpuku (nebeebaka) emyaka mingi
ثُمَّ بَعَثْنَاهُمْ لِنَعْلَمَ أَيُّ الْحِزْبَيْنِ أَحْصَىٰ لِمَا لَبِثُوا أَمَدًا (12)
Oluvanyuma twabazuukusa kimanyike nti, kiriwa ku bibiina ebibiri ekisinga okwogera ekituufu ku bbanga lye baamalamu
نَّحْنُ نَقُصُّ عَلَيْكَ نَبَأَهُم بِالْحَقِّ ۚ إِنَّهُمْ فِتْيَةٌ آمَنُوا بِرَبِّهِمْ وَزِدْنَاهُمْ هُدًى (13)
Mazima ffe tukunyumiza ekyafaayo kya bwe mu butuufu, mazima bo baali bavubuka abakkiriza Mukama omulabirizi waabwe era netubongera obulungamu
وَرَبَطْنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمْ إِذْ قَامُوا فَقَالُوا رَبُّنَا رَبُّ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ لَن نَّدْعُوَ مِن دُونِهِ إِلَٰهًا ۖ لَّقَدْ قُلْنَا إِذًا شَطَطًا (14)
Era twasiba ekimyu ku mitima gyabwe bwe baayimirira (mu buvumu) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'olwekyo tetuyinza ku mulekawo ne tusaba Katonda mulala yenna era bwe tukikola mazima tuba twogedde ekigambo ekibi
هَٰؤُلَاءِ قَوْمُنَا اتَّخَذُوا مِن دُونِهِ آلِهَةً ۖ لَّوْلَا يَأْتُونَ عَلَيْهِم بِسُلْطَانٍ بَيِّنٍ ۖ فَمَنْ أَظْلَمُ مِمَّنِ افْتَرَىٰ عَلَى اللَّهِ كَذِبًا (15)
Abo abantu baffe baamulekawo (Katonda) nebeeteerawo ba katonda abalala, kale nno singa babaleetako obujulizi obweyolefu, naye ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba
وَإِذِ اعْتَزَلْتُمُوهُمْ وَمَا يَعْبُدُونَ إِلَّا اللَّهَ فَأْوُوا إِلَى الْكَهْفِ يَنشُرْ لَكُمْ رَبُّكُم مِّن رَّحْمَتِهِ وَيُهَيِّئْ لَكُم مِّنْ أَمْرِكُم مِّرْفَقًا (16)
Bwe mwabaawukanako nemwawukana ne ku bye basinza, nga oggyeko Katonda (Omu) olwo nno mugende mu mpuku Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kubanjuliriza okumu ku kusaasirakwe era ajja kubateerawo okulumirwa ekigambo kya mmwe
۞ وَتَرَى الشَّمْسَ إِذَا طَلَعَت تَّزَاوَرُ عَن كَهْفِهِمْ ذَاتَ الْيَمِينِ وَإِذَا غَرَبَت تَّقْرِضُهُمْ ذَاتَ الشِّمَالِ وَهُمْ فِي فَجْوَةٍ مِّنْهُ ۚ ذَٰلِكَ مِنْ آيَاتِ اللَّهِ ۗ مَن يَهْدِ اللَّهُ فَهُوَ الْمُهْتَدِ ۖ وَمَن يُضْلِلْ فَلَن تَجِدَ لَهُ وَلِيًّا مُّرْشِدًا (17)
Awo nno walabanga enjuba bwe yavangayo nga ekyuka nga eva ku mukono ogwa ddyo ogw'e mpuku yaabwe, ate nga bwegwa nga ebaleka ku mukono ogwa kkono nebaba nga beetaayiza mu bugazi bw'empuku ekyo kamu ku bubonero bwa Katonda (ku buyinza bwe nobusobozibwe) oyo yenna Katonda gwalungamya yye yemulungamu ate oyo gwaba abuzizza toyinza kumufunira muyambi amulungamya
وَتَحْسَبُهُمْ أَيْقَاظًا وَهُمْ رُقُودٌ ۚ وَنُقَلِّبُهُمْ ذَاتَ الْيَمِينِ وَذَاتَ الشِّمَالِ ۖ وَكَلْبُهُم بَاسِطٌ ذِرَاعَيْهِ بِالْوَصِيدِ ۚ لَوِ اطَّلَعْتَ عَلَيْهِمْ لَوَلَّيْتَ مِنْهُمْ فِرَارًا وَلَمُلِئْتَ مِنْهُمْ رُعْبًا (18)
Era (bwe wabalaba nga) nga osuubira nti tebeebase so nga beebase nga tubakyusa ku ddyo ne ku kkono nga n'embwa yaabwe egolodde emikono gyayo nga eri ku mulyango (gw'empuku) nga singa obakubako eriiso waalikyuse noobadduka era wandijjudde okubatya
وَكَذَٰلِكَ بَعَثْنَاهُمْ لِيَتَسَاءَلُوا بَيْنَهُمْ ۚ قَالَ قَائِلٌ مِّنْهُمْ كَمْ لَبِثْتُمْ ۖ قَالُوا لَبِثْنَا يَوْمًا أَوْ بَعْضَ يَوْمٍ ۚ قَالُوا رَبُّكُمْ أَعْلَمُ بِمَا لَبِثْتُمْ فَابْعَثُوا أَحَدَكُم بِوَرِقِكُمْ هَٰذِهِ إِلَى الْمَدِينَةِ فَلْيَنظُرْ أَيُّهَا أَزْكَىٰ طَعَامًا فَلْيَأْتِكُم بِرِزْقٍ مِّنْهُ وَلْيَتَلَطَّفْ وَلَا يُشْعِرَنَّ بِكُمْ أَحَدًا (19)
Era bwe tutyo twabazuukusa babe nga beebuuzaganya wakati waabwe (ku kyabatuukako) omwogezi omu ku bo naagamba nti wano mumazeewo bbangaki? nebagamba nti tumazeewo lunaku oba kitundu kya lunaku nebagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe yaasinga okumanya ebbanga lye mumazeewo kale mutume omu ku mmwe, agende mu kibuga ne Sente zammwe zino alabe mmere ki esinga obulungi eriyo abaleetereyo ku yo eky'okulya, wabula atambule nga yeegendereza tewali muntu n'omu asaanidde kubamanya
إِنَّهُمْ إِن يَظْهَرُوا عَلَيْكُمْ يَرْجُمُوكُمْ أَوْ يُعِيدُوكُمْ فِي مِلَّتِهِمْ وَلَن تُفْلِحُوا إِذًا أَبَدًا (20)
Anti mazima bo bwe banaabazuula bajja kubakuba amayinja oba ssi ekyo babazzeeyo mu ddiini yaabwe olwo nno temugenda kwesiima olubeerera
وَكَذَٰلِكَ أَعْثَرْنَا عَلَيْهِمْ لِيَعْلَمُوا أَنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ وَأَنَّ السَّاعَةَ لَا رَيْبَ فِيهَا إِذْ يَتَنَازَعُونَ بَيْنَهُمْ أَمْرَهُمْ ۖ فَقَالُوا ابْنُوا عَلَيْهِم بُنْيَانًا ۖ رَّبُّهُمْ أَعْلَمُ بِهِمْ ۚ قَالَ الَّذِينَ غَلَبُوا عَلَىٰ أَمْرِهِمْ لَنَتَّخِذَنَّ عَلَيْهِم مَّسْجِدًا (21)
Nabwetutyo twasobozesa abantu okubazuula olwo nno bamanye nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era bamanye nti mazima essaawa (esembayo) teriimu kubuusabuusa. (Era) jjukira (abakaafiiri ) bwe baakaayana ku nsonga yaabwe (abamu), nebagamba nti mubazimbeko ekizimbe, Mukama omulabirizi waabwe y'asinga okumanya ebibakwatako, ate abalina ekigambo ekisinga obulungi nebagamba nti tujja kubazimbako omuzikiti
سَيَقُولُونَ ثَلَاثَةٌ رَّابِعُهُمْ كَلْبُهُمْ وَيَقُولُونَ خَمْسَةٌ سَادِسُهُمْ كَلْبُهُمْ رَجْمًا بِالْغَيْبِ ۖ وَيَقُولُونَ سَبْعَةٌ وَثَامِنُهُمْ كَلْبُهُمْ ۚ قُل رَّبِّي أَعْلَمُ بِعِدَّتِهِم مَّا يَعْلَمُهُمْ إِلَّا قَلِيلٌ ۗ فَلَا تُمَارِ فِيهِمْ إِلَّا مِرَاءً ظَاهِرًا وَلَا تَسْتَفْتِ فِيهِم مِّنْهُمْ أَحَدًا (22)
(Abantu abamu) bajja kugamba nti baali basatu, nga embwa yaabwe yaakuna, abamu bagambe nti baali bataano nga embwa yaabwe yamukaaga nga kujweteka ku byebatamanyi. Abalala bajja kugamba nti baali musanvu nga embwa yaabwe ya munaana gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya omuwendo gwabwe, tewali abamanyi okugyako bantu batono, n'olwekyo towakana ku bibakwatako okugyako okuwakana okwokungulu era tewebuuzanga ku muntu yenna ku nsonga ebakwatako
وَلَا تَقُولَنَّ لِشَيْءٍ إِنِّي فَاعِلٌ ذَٰلِكَ غَدًا (23)
Era togambanga ku kintu kyonna, nti mazima nze ngenda kukikola enkya
إِلَّا أَن يَشَاءَ اللَّهُ ۚ وَاذْكُر رَّبَّكَ إِذَا نَسِيتَ وَقُلْ عَسَىٰ أَن يَهْدِيَنِ رَبِّي لِأَقْرَبَ مِنْ هَٰذَا رَشَدًا (24)
Okugyako nga ogasseeko nti Katonda bwanaaba ayagadde, era yogera ku Mukama omulabiriziwo wooba nga weerabidde, era gamba nti nsuubira nti Mukama omulabirizi wange ajja ku nnungamya eri obujulizi obusinga ku buno, (eky'abavubuka bo mu mpuku okulaga obwa Nabbi bwange)
وَلَبِثُوا فِي كَهْفِهِمْ ثَلَاثَ مِائَةٍ سِنِينَ وَازْدَادُوا تِسْعًا (25)
Era baatuula mu mpuku yaabwe emyaka bikumi bisatu (ku mbala ey'enjuba) ate nebeeyongera mu mwenda (kumbala ey'omwezi)
قُلِ اللَّهُ أَعْلَمُ بِمَا لَبِثُوا ۖ لَهُ غَيْبُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۖ أَبْصِرْ بِهِ وَأَسْمِعْ ۚ مَا لَهُم مِّن دُونِهِ مِن وَلِيٍّ وَلَا يُشْرِكُ فِي حُكْمِهِ أَحَدًا (26)
Gamba nti Katonda y'asinga okumanya ebbanga lye baamalamu, yekka y'amanyi ebyekusifu by'omu ggulu omusanvu n'ensi, weewuunye okulaba kwe n'okuwulira kwe (okuba nti byetoolodde buli kintu, n'olwekyo) tebalina nga oggyeko yye (Katonda) mutaasa. Era mu kusalawo kwe teyeegatta na muntu mulala yenna ( wabula bulijjo asalawo yekka)
وَاتْلُ مَا أُوحِيَ إِلَيْكَ مِن كِتَابِ رَبِّكَ ۖ لَا مُبَدِّلَ لِكَلِمَاتِهِ وَلَن تَجِدَ مِن دُونِهِ مُلْتَحَدًا (27)
Era soma ebyo ebyassibwa gyoli nga bya mu kitabo kya Mukama omulabiriziwo tewali akyusa bigambobye era togenda kufuna buddukiro etali wuwe
وَاصْبِرْ نَفْسَكَ مَعَ الَّذِينَ يَدْعُونَ رَبَّهُم بِالْغَدَاةِ وَالْعَشِيِّ يُرِيدُونَ وَجْهَهُ ۖ وَلَا تَعْدُ عَيْنَاكَ عَنْهُمْ تُرِيدُ زِينَةَ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا ۖ وَلَا تُطِعْ مَنْ أَغْفَلْنَا قَلْبَهُ عَن ذِكْرِنَا وَاتَّبَعَ هَوَاهُ وَكَانَ أَمْرُهُ فُرُطًا (28)
Wenyweze nga obeera wamu n'abo abasaba Mukama Omulabirizi waabwe enkya n'olweggulo nga baluubirira kuba ku luddalwe, tobaggyako amaaso (nootunuulira babinojjo) nga ogenderera kufuna eby'okwewunda by'obulamu bwensi, era togondera oyo yenna gwe twagayaaza omutimagwe naatatwogerako naagoberera okwagalakwe embeera ye yonna neeba bwonoonyi
وَقُلِ الْحَقُّ مِن رَّبِّكُمْ ۖ فَمَن شَاءَ فَلْيُؤْمِن وَمَن شَاءَ فَلْيَكْفُرْ ۚ إِنَّا أَعْتَدْنَا لِلظَّالِمِينَ نَارًا أَحَاطَ بِهِمْ سُرَادِقُهَا ۚ وَإِن يَسْتَغِيثُوا يُغَاثُوا بِمَاءٍ كَالْمُهْلِ يَشْوِي الْوُجُوهَ ۚ بِئْسَ الشَّرَابُ وَسَاءَتْ مُرْتَفَقًا (29)
Gamba nti gano ge mazima agavudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe kale ayagala akkirize n'anayagala akaafuwale, mazima ffe abeeyisa obubi twabateekerateekera omuliro, lugenda kubeetoolola olugo lwa gwo, buli lwe banaasabanga okuweebwa amazzi balinywesebwa amazzi agalinga olutabu lw'ekyuma olulyoka ebyenyi. Kiriba kya kunywa kibi era nga n'obutuulo buliba bubi
إِنَّ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ إِنَّا لَا نُضِيعُ أَجْرَ مَنْ أَحْسَنَ عَمَلًا (30)
Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu mazima ffe tetugenda butasasula mpeera y'oyo eyalongoosa emirimu
أُولَٰئِكَ لَهُمْ جَنَّاتُ عَدْنٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهِمُ الْأَنْهَارُ يُحَلَّوْنَ فِيهَا مِنْ أَسَاوِرَ مِن ذَهَبٍ وَيَلْبَسُونَ ثِيَابًا خُضْرًا مِّن سُندُسٍ وَإِسْتَبْرَقٍ مُّتَّكِئِينَ فِيهَا عَلَى الْأَرَائِكِ ۚ نِعْمَ الثَّوَابُ وَحَسُنَتْ مُرْتَفَقًا (31)
Abo nno bagenda kufuna e jjana ey'olubeerera nga emigga gikulukutira wansi waabwe. nga bali mu yo baliba beesigamye, nga batudde ku ntebe ensitufu, eyo nno mpeera nnungi era nga n'obutuulo buliba bulungi
۞ وَاضْرِبْ لَهُم مَّثَلًا رَّجُلَيْنِ جَعَلْنَا لِأَحَدِهِمَا جَنَّتَيْنِ مِنْ أَعْنَابٍ وَحَفَفْنَاهُمَا بِنَخْلٍ وَجَعَلْنَا بَيْنَهُمَا زَرْعًا (32)
Era bakubire ekifaananyi ky'abasajja babiri nga omu ku bo twamuwa ennimiro bbiri eze Nzabibu zetwassaako olukomera olw'emitende, ate wakati waazo netussaamu ebirime ebirala
كِلْتَا الْجَنَّتَيْنِ آتَتْ أُكُلَهَا وَلَمْ تَظْلِم مِّنْهُ شَيْئًا ۚ وَفَجَّرْنَا خِلَالَهُمَا نَهَرًا (33)
Ennimiro zombi zaabala bulungi, tewali katundu kataabala, era nga twassa wakati waazo emigga
وَكَانَ لَهُ ثَمَرٌ فَقَالَ لِصَاحِبِهِ وَهُوَ يُحَاوِرُهُ أَنَا أَكْثَرُ مِنكَ مَالًا وَأَعَزُّ نَفَرًا (34)
(Omu ku basajja ababiri) naaba nga afunye amakungula (amalungi) naagamba munne nga anyumya naye nti nze nkusinza emmaali era nga bwe nkusinza abantu
وَدَخَلَ جَنَّتَهُ وَهُوَ ظَالِمٌ لِّنَفْسِهِ قَالَ مَا أَظُنُّ أَن تَبِيدَ هَٰذِهِ أَبَدًا (35)
Olwo nno naayingira ennimiro yye nga yeeyisizza bubi yennyini, naagamba nti sirowooza nti bino biyinza okuggwawo
وَمَا أَظُنُّ السَّاعَةَ قَائِمَةً وَلَئِن رُّدِدتُّ إِلَىٰ رَبِّي لَأَجِدَنَّ خَيْرًا مِّنْهَا مُنقَلَبًا (36)
Era nga bwe ssirowooza nti essaawa ey'enkomerero egenda kubaawo (katugambe nti kibaddewo) bwe ndizzibwa ewa Mukama omulabirizi wange ngenda kufuna ebisinga obulungi ku bino
قَالَ لَهُ صَاحِبُهُ وَهُوَ يُحَاوِرُهُ أَكَفَرْتَ بِالَّذِي خَلَقَكَ مِن تُرَابٍ ثُمَّ مِن نُّطْفَةٍ ثُمَّ سَوَّاكَ رَجُلًا (37)
Munne naamuddamu nga amugamba nti owakanyizza oyo eyakutonda nga akuggya mu ttaka oluvanyuma naakuggya mu mazzi agazaala oluvanyuma naakukola nga oli Muntu omujjuvu
لَّٰكِنَّا هُوَ اللَّهُ رَبِّي وَلَا أُشْرِكُ بِرَبِّي أَحَدًا (38)
Naye nze ngamba nti mazima yye Katonda ye Mukama omulabirizi wange era siyinza kugatta ku Mukama Mulabirizi wange mulala yenna
وَلَوْلَا إِذْ دَخَلْتَ جَنَّتَكَ قُلْتَ مَا شَاءَ اللَّهُ لَا قُوَّةَ إِلَّا بِاللَّهِ ۚ إِن تَرَنِ أَنَا أَقَلَّ مِنكَ مَالًا وَوَلَدًا (39)
Kale singa ggwe bwe wabadde oyingira ennimiroyo wagambye nti: ekyo kyonna Katonda kyaba ayagadde kyekiba, tewali maanyi okugyako nga Katonda y'agagabye, newaakubadde nga ondaba nga nze nnina emmaali ntono n'abaana batono obutenkana ggwe
فَعَسَىٰ رَبِّي أَن يُؤْتِيَنِ خَيْرًا مِّن جَنَّتِكَ وَيُرْسِلَ عَلَيْهَا حُسْبَانًا مِّنَ السَّمَاءِ فَتُصْبِحَ صَعِيدًا زَلَقًا (40)
Nina essuubi nti Mukama omulabirizi wange lumu alimpa ebirungi okusinga ennimiroyo ate naasindikira eyiyo kibuyaga okuva waggulu neekeesa enkya ttaka jjereere
أَوْ يُصْبِحَ مَاؤُهَا غَوْرًا فَلَن تَسْتَطِيعَ لَهُ طَلَبًا (41)
Oba amazzi gaamu negafuuka gakkekwa n'oba nga tosobola kugazuula
وَأُحِيطَ بِثَمَرِهِ فَأَصْبَحَ يُقَلِّبُ كَفَّيْهِ عَلَىٰ مَا أَنفَقَ فِيهَا وَهِيَ خَاوِيَةٌ عَلَىٰ عُرُوشِهَا وَيَقُولُ يَا لَيْتَنِي لَمْ أُشْرِكْ بِرَبِّي أَحَدًا (42)
Era ebibalabye byatuukwako obuzibu, nebukya nga akuba mu bibatubye olw'okufiirwa ebyo bye yassaamu, nga alaba ennimiro ebutamidde ku birimba byayo naagamba nti: zinsanze nze, singa saagatta kintu ku Mukama omulabirizi wange
وَلَمْ تَكُن لَّهُ فِئَةٌ يَنصُرُونَهُ مِن دُونِ اللَّهِ وَمَا كَانَ مُنتَصِرًا (43)
Nga oggyeko Katonda yali tayinza kufuna kibinja kimutaasa nga naye bwe yali tasobola kwetaasa
هُنَالِكَ الْوَلَايَةُ لِلَّهِ الْحَقِّ ۚ هُوَ خَيْرٌ ثَوَابًا وَخَيْرٌ عُقْبًا (44)
Awo obwesige bwonna bwalina kubeera mu Katonda ow'amazima yekka, anti bulijjo yye yaasinga empeera ennungi, era y'alina enkomerero esinga obulungi
وَاضْرِبْ لَهُم مَّثَلَ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا كَمَاءٍ أَنزَلْنَاهُ مِنَ السَّمَاءِ فَاخْتَلَطَ بِهِ نَبَاتُ الْأَرْضِ فَأَصْبَحَ هَشِيمًا تَذْرُوهُ الرِّيَاحُ ۗ وَكَانَ اللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ مُّقْتَدِرًا (45)
Era bakubire ekifaananyi eky'obulamu obw'ensi bulinga amazzi getutonnyesa okuva waggulu, nebyetabula nago ebimera byo ku nsi (olwo nno) nebikula nebikungulwa nebifuuka ebisusunku nga empewo ebikunguzza. Bulijjo Katonda ku buli kintu muyinza
الْمَالُ وَالْبَنُونَ زِينَةُ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا ۖ وَالْبَاقِيَاتُ الصَّالِحَاتُ خَيْرٌ عِندَ رَبِّكَ ثَوَابًا وَخَيْرٌ أَمَلًا (46)
Emmaali n'abaana byakwewunda bya bulamu bwansi, emirimu emirungi egisigalawo gye gisinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, okuba nga ye mpeera era nga lye ssuubi erisinga obulungi
وَيَوْمَ نُسَيِّرُ الْجِبَالَ وَتَرَى الْأَرْضَ بَارِزَةً وَحَشَرْنَاهُمْ فَلَمْ نُغَادِرْ مِنْهُمْ أَحَدًا (47)
Era (fumiitiriza ku) lunaku lwe tulitambuza ensozi olwo nno oliraba ensi nga njereere era tulibakunganya bonna, tetugenda kusubwa n'omu yenna
وَعُرِضُوا عَلَىٰ رَبِّكَ صَفًّا لَّقَدْ جِئْتُمُونَا كَمَا خَلَقْنَاكُمْ أَوَّلَ مَرَّةٍ ۚ بَلْ زَعَمْتُمْ أَلَّن نَّجْعَلَ لَكُم مَّوْعِدًا (48)
Olwo nno balyanjulwa ewa Mukama Omulabiriziwo nga bali mu nnyiriri (Katonda aligamba nti) mazima muzze gye tuli nga bwe twabatonda ku mulundi ogwasooka naye mwalowooza nti tetwali baakubateerawo kiseera kigere
وَوُضِعَ الْكِتَابُ فَتَرَى الْمُجْرِمِينَ مُشْفِقِينَ مِمَّا فِيهِ وَيَقُولُونَ يَا وَيْلَتَنَا مَالِ هَٰذَا الْكِتَابِ لَا يُغَادِرُ صَغِيرَةً وَلَا كَبِيرَةً إِلَّا أَحْصَاهَا ۚ وَوَجَدُوا مَا عَمِلُوا حَاضِرًا ۗ وَلَا يَظْلِمُ رَبُّكَ أَحَدًا (49)
Ekitabo kya buli omu kigenda kuleetebwa olwo nno noolaba aboonoonyi nga batya olw'ebyo ebikirimu, baligamba nti: nga tulabye kitabo kya ngeriki kino! Tekirekaayo katono oba kinene okugyako nga kikikomekkereza, bagenda kusanga nga buli kye baakola weekiri. Mukama omulabiriziwo tagenda kulyazaamaanya muntu yenna
وَإِذْ قُلْنَا لِلْمَلَائِكَةِ اسْجُدُوا لِآدَمَ فَسَجَدُوا إِلَّا إِبْلِيسَ كَانَ مِنَ الْجِنِّ فَفَسَقَ عَنْ أَمْرِ رَبِّهِ ۗ أَفَتَتَّخِذُونَهُ وَذُرِّيَّتَهُ أَوْلِيَاءَ مِن دُونِي وَهُمْ لَكُمْ عَدُوٌّ ۚ بِئْسَ لِلظَّالِمِينَ بَدَلًا (50)
Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebamuvunnamira okugyako Ibuliisu (Sitane) eyali owo mu Majinni olwo nno naayawukana ku kiragiro kya Mukama omulabiriziwe, abaffe ate mmwe oyo gwe mufuula n'ezaddelye abataasa ba mmwe (nze) Katonda nemunvaako ate nga bo balabe ba mmwe, nga okwo kuwanyisiganya kubi abeeyisa obubi kwebakola
۞ مَّا أَشْهَدتُّهُمْ خَلْقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَلَا خَلْقَ أَنفُسِهِمْ وَمَا كُنتُ مُتَّخِذَ الْمُضِلِّينَ عَضُدًا (51)
Sibayitanga kubaawo nga eggulu omusanvu ne nsi bitondebwa wadde okutondebwa kwabwe era sibangako waakweteerawo ababuza nga be bayambi (bange)
وَيَوْمَ يَقُولُ نَادُوا شُرَكَائِيَ الَّذِينَ زَعَمْتُمْ فَدَعَوْهُمْ فَلَمْ يَسْتَجِيبُوا لَهُمْ وَجَعَلْنَا بَيْنَهُم مَّوْبِقًا (52)
Era (mufumiitirize) olunaku (Katonda) lwalibagamba nti muyite be mwangattako abo be mwagambanga (nti nabo ba katonda) olwo nno bali bayita nebatabaanukula era netussa wakati waabwe ekibaawula
وَرَأَى الْمُجْرِمُونَ النَّارَ فَظَنُّوا أَنَّهُم مُّوَاقِعُوهَا وَلَمْ يَجِدُوا عَنْهَا مَصْرِفًا (53)
Aboonoonyi baliraba omuliro, olwo nno bagenda kumanyira ddala nti mazima bo baakugugwamu era tebagenda kufuna buwonero bwonna ku gwo
وَلَقَدْ صَرَّفْنَا فِي هَٰذَا الْقُرْآنِ لِلنَّاسِ مِن كُلِّ مَثَلٍ ۚ وَكَانَ الْإِنسَانُ أَكْثَرَ شَيْءٍ جَدَلًا (54)
Mazima tunnyonnyodde abantu mu Kur’ani eno (nga tukozesa) buli kifaananyi mazima omuntu y'asinga ebintu byonna okuwalaaza empaka
وَمَا مَنَعَ النَّاسَ أَن يُؤْمِنُوا إِذْ جَاءَهُمُ الْهُدَىٰ وَيَسْتَغْفِرُوا رَبَّهُمْ إِلَّا أَن تَأْتِيَهُمْ سُنَّةُ الْأَوَّلِينَ أَوْ يَأْتِيَهُمُ الْعَذَابُ قُبُلًا (55)
Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira, era teri kyabagaana kwegayirira Mukama omulabirizi waabwe, mpozzi nga baali balindirira kujjirwa ekyo ekyatuuka ku baasooka oba ebibonerezo bibajjire babirabe lwatu
وَمَا نُرْسِلُ الْمُرْسَلِينَ إِلَّا مُبَشِّرِينَ وَمُنذِرِينَ ۚ وَيُجَادِلُ الَّذِينَ كَفَرُوا بِالْبَاطِلِ لِيُدْحِضُوا بِهِ الْحَقَّ ۖ وَاتَّخَذُوا آيَاتِي وَمَا أُنذِرُوا هُزُوًا (56)
Era tetwatuma babaka okugyako lwa kuwa mawulire agasanyusa (eri abakozi b'obulungi), era nga bawa amawulire agatiisa (eri abakozi b’obubi), abo abaakaafuwala bawakana mu bukyamu nga bagenderera okugyawo nabwo amazima, ebigambo byange (n'ebintu ebirala) bye batiisibwa nabyo nebabifuula eby'olusaago
وَمَنْ أَظْلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِآيَاتِ رَبِّهِ فَأَعْرَضَ عَنْهَا وَنَسِيَ مَا قَدَّمَتْ يَدَاهُ ۚ إِنَّا جَعَلْنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمْ أَكِنَّةً أَن يَفْقَهُوهُ وَفِي آذَانِهِمْ وَقْرًا ۖ وَإِن تَدْعُهُمْ إِلَى الْهُدَىٰ فَلَن يَهْتَدُوا إِذًا أَبَدًا (57)
Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajjukizibwa ebigambo bya Mukama omulabiriziwe naabivaako, neyeerabira ebyo emikono gye bye gyakulembeza (okukola), mazima ffe twassa ku mitima gya bwe ekibikka, babe nga tebabitegeera ne mu matu gaabwe mulimu envumbo era nebwobayita okujja eri obulungamu tebagenda kulungama olubeerera bwe baba bwe batyo
وَرَبُّكَ الْغَفُورُ ذُو الرَّحْمَةِ ۖ لَوْ يُؤَاخِذُهُم بِمَا كَسَبُوا لَعَجَّلَ لَهُمُ الْعَذَابَ ۚ بَل لَّهُم مَّوْعِدٌ لَّن يَجِدُوا مِن دُونِهِ مَوْئِلًا (58)
Ne Mukama omulabiriziwo omusonyiyi ennyo nannyini kusaasira, singa abadde waakuvunaanirawo olw'ebyo bye bakola yandibatuusizzaako ekibonerezo mu bwangu, wabula balina ekiseera ekigere (bwe kirituuka) tebagenda kufuna buddukiro babe nga bakiwona
وَتِلْكَ الْقُرَىٰ أَهْلَكْنَاهُمْ لَمَّا ظَلَمُوا وَجَعَلْنَا لِمَهْلِكِهِم مَّوْعِدًا (59)
Ebitundu ebyo (bye muliraanye, abantu bamu) twabazikiriza bwe beeyisa obubi era okuzikirira kwa bwe twakuwa ekiseera kwe mwe kwalina okutuukira
وَإِذْ قَالَ مُوسَىٰ لِفَتَاهُ لَا أَبْرَحُ حَتَّىٰ أَبْلُغَ مَجْمَعَ الْبَحْرَيْنِ أَوْ أَمْضِيَ حُقُبًا (60)
Era jjukira Musa bwe yagamba omuweerezawe nti sijja kulekeraawo kutambula okutuusa lwe tunaatuuka enyanja ebbiri wezisisinkanira oba mmala byeya (kale mbimale)
فَلَمَّا بَلَغَا مَجْمَعَ بَيْنِهِمَا نَسِيَا حُوتَهُمَا فَاتَّخَذَ سَبِيلَهُ فِي الْبَحْرِ سَرَبًا (61)
Olwo nno bwe baatuuka bombi ekifo wezisisinkanira beerabira ekyenyanja kyabwe nekikola ekkubo lyakyo munyanja nga kireseewo omuwulukwa
فَلَمَّا جَاوَزَا قَالَ لِفَتَاهُ آتِنَا غَدَاءَنَا لَقَدْ لَقِينَا مِن سَفَرِنَا هَٰذَا نَصَبًا (62)
Bwe baayita ku kifo ekyo (Musa) yagamba omuweerezawe nti leeta eno eky'okulya kyaffe mazima olugendo lwaffe luno tulusanzeemu obukalubo
قَالَ أَرَأَيْتَ إِذْ أَوَيْنَا إِلَى الصَّخْرَةِ فَإِنِّي نَسِيتُ الْحُوتَ وَمَا أَنسَانِيهُ إِلَّا الشَّيْطَانُ أَنْ أَذْكُرَهُ ۚ وَاتَّخَذَ سَبِيلَهُ فِي الْبَحْرِ عَجَبًا (63)
(Omuweerezawe) naagamba nti ojjukira wetwawummulidde ku lwazi, mazima nze neerabidde ekyenyanja tewali kyanneerabizza kukijjukira okugyako Sitane era awo wekyakoledde ekkubo mu nnyanja mu ngeri eyeewuunyisa
قَالَ ذَٰلِكَ مَا كُنَّا نَبْغِ ۚ فَارْتَدَّا عَلَىٰ آثَارِهِمَا قَصَصًا (64)
(Musa) naagamba nti ekyo kyennyini kye tubadde tunoonya, olwo nno nebadda emabega nga bwe bazze nga banoonya ekifo (ekyo)
فَوَجَدَا عَبْدًا مِّنْ عِبَادِنَا آتَيْنَاهُ رَحْمَةً مِّنْ عِندِنَا وَعَلَّمْنَاهُ مِن لَّدُنَّا عِلْمًا (65)
Nebasanga omuddu mu baddu baffe gwe twawa okusaasira okuva gye tuli, era netumuyigiriza okuva gye tuli okumanya (okw'enjawulo)
قَالَ لَهُ مُوسَىٰ هَلْ أَتَّبِعُكَ عَلَىٰ أَن تُعَلِّمَنِ مِمَّا عُلِّمْتَ رُشْدًا (66)
Musa naamugamba nti abaffe (onzikiriza) nkugoberere olwo nno obe nga onjigiriza ku bulungamu bwe wayigirizibwa
قَالَ إِنَّكَ لَن تَسْتَطِيعَ مَعِيَ صَبْرًا (67)
(Hidhiri) naamuddamu nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange
وَكَيْفَ تَصْبِرُ عَلَىٰ مَا لَمْ تُحِطْ بِهِ خُبْرًا (68)
Onoogumiikiriza otya ku bintu byotalinaako kumanya
قَالَ سَتَجِدُنِي إِن شَاءَ اللَّهُ صَابِرًا وَلَا أَعْصِي لَكَ أَمْرًا (69)
(Musa) naagamab nti Katonda bwanaaba akkirizza ojja ku nsanga nga ndi mugumiikiriza era sigenda kukujeemera mu kintu kyonna
قَالَ فَإِنِ اتَّبَعْتَنِي فَلَا تَسْأَلْنِي عَن شَيْءٍ حَتَّىٰ أُحْدِثَ لَكَ مِنْهُ ذِكْرًا (70)
(Hidhiri) naagamba nti bwoba osazeewo okungoberera, tombuuza ku kintu kyonna okutuusa lwe nnaakufunira kye nkikubuulirako
فَانطَلَقَا حَتَّىٰ إِذَا رَكِبَا فِي السَّفِينَةِ خَرَقَهَا ۖ قَالَ أَخَرَقْتَهَا لِتُغْرِقَ أَهْلَهَا لَقَدْ جِئْتَ شَيْئًا إِمْرًا (71)
Olwo nno nebagenda, okutuusa nga bamaze okulinnya eryato (Hidhiri) naalissaako ekituli, (Musa) naagamba nti olitaddeko ekituli ozikirize abantu abalirimu mazima okoze ekintu kibi
قَالَ أَلَمْ أَقُلْ إِنَّكَ لَن تَسْتَطِيعَ مَعِيَ صَبْرًا (72)
(Hidhiri) naagamba nti: saakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange
قَالَ لَا تُؤَاخِذْنِي بِمَا نَسِيتُ وَلَا تُرْهِقْنِي مِنْ أَمْرِي عُسْرًا (73)
(Musa) naagamba nti tonvunaana olw'ekyo kye nneerabidde era tontuusaako olw'ekigambo kyange (eky'okubeera naawe) buzito bwonna
فَانطَلَقَا حَتَّىٰ إِذَا لَقِيَا غُلَامًا فَقَتَلَهُ قَالَ أَقَتَلْتَ نَفْسًا زَكِيَّةً بِغَيْرِ نَفْسٍ لَّقَدْ جِئْتَ شَيْئًا نُّكْرًا (74)
Olwo nno nebagenda okutuusa lwe baasanga omulenzi, (Hidhiri) naamutta (Musa) naagamba nti osse omuntu atalina musango, atalina gwasse, mazima ekintu kyokoze kivve
۞ قَالَ أَلَمْ أَقُل لَّكَ إِنَّكَ لَن تَسْتَطِيعَ مَعِيَ صَبْرًا (75)
(Hidhiri) naagamba nti ssaakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange
قَالَ إِن سَأَلْتُكَ عَن شَيْءٍ بَعْدَهَا فَلَا تُصَاحِبْنِي ۖ قَدْ بَلَغْتَ مِن لَّدُنِّي عُذْرًا (76)
(Musa) naagamba nti kenkubuuza ku kintu ekirala kyonna oluvanyuma lwa kino tonzikiriza kubeera naawe, mazima ofunye ensonga ekusonyiyisa ku nze
فَانطَلَقَا حَتَّىٰ إِذَا أَتَيَا أَهْلَ قَرْيَةٍ اسْتَطْعَمَا أَهْلَهَا فَأَبَوْا أَن يُضَيِّفُوهُمَا فَوَجَدَا فِيهَا جِدَارًا يُرِيدُ أَن يَنقَضَّ فَأَقَامَهُ ۖ قَالَ لَوْ شِئْتَ لَتَّخَذْتَ عَلَيْهِ أَجْرًا (77)
Nebagenda bombi okutuusa lwe batuuka ku bantu b'omukitundu, nebasaba abantu baamu okubawa emmere naye baagaana okubafuula abagenyi baabwe, wabula baasanga mu kyo (ekitundu) ekisenge nga kyagala kugwa (Hidhiri) naakiddaabiriza (Musa) naagamba nti singa oyagadde waalikisabiddeko empeera (noosasulwa)
قَالَ هَٰذَا فِرَاقُ بَيْنِي وَبَيْنِكَ ۚ سَأُنَبِّئُكَ بِتَأْوِيلِ مَا لَمْ تَسْتَطِع عَّلَيْهِ صَبْرًا (78)
(Hidhiri) naagamba nti: wano nze naawe wetwawukanidde, (wabula) ngenda kukubuulira amakulu g'ebyo byotaasobodde kugumiikiriza
أَمَّا السَّفِينَةُ فَكَانَتْ لِمَسَاكِينَ يَعْمَلُونَ فِي الْبَحْرِ فَأَرَدتُّ أَنْ أَعِيبَهَا وَكَانَ وَرَاءَهُم مَّلِكٌ يَأْخُذُ كُلَّ سَفِينَةٍ غَصْبًا (79)
Lyo eryato lyabadde, lya ba Masikiini nga bapakasiza ku nnyanja, nagenderedde okulissaako akamogo, anti, mu maaso eyo waabaddeyo Kabaka nga atwala buli lyato eddungi mu ngeri ya bunyazi
وَأَمَّا الْغُلَامُ فَكَانَ أَبَوَاهُ مُؤْمِنَيْنِ فَخَشِينَا أَن يُرْهِقَهُمَا طُغْيَانًا وَكُفْرًا (80)
Ate yye omulenzi bakaddebe bombi baali bakkiriza, netutya yye (omulenzi) okubatuusaako obuzibu bwokubula n'okukaafuwala
فَأَرَدْنَا أَن يُبْدِلَهُمَا رَبُّهُمَا خَيْرًا مِّنْهُ زَكَاةً وَأَقْرَبَ رُحْمًا (81)
Olwo nno twayagadde Mukama Omulabirizi wa bombi abawaanyisizeemu bombi ekirungi okusinga yye mubutukuvu, era asinga okuba omusaasizi
وَأَمَّا الْجِدَارُ فَكَانَ لِغُلَامَيْنِ يَتِيمَيْنِ فِي الْمَدِينَةِ وَكَانَ تَحْتَهُ كَنزٌ لَّهُمَا وَكَانَ أَبُوهُمَا صَالِحًا فَأَرَادَ رَبُّكَ أَن يَبْلُغَا أَشُدَّهُمَا وَيَسْتَخْرِجَا كَنزَهُمَا رَحْمَةً مِّن رَّبِّكَ ۚ وَمَا فَعَلْتُهُ عَنْ أَمْرِي ۚ ذَٰلِكَ تَأْوِيلُ مَا لَمْ تَسْطِع عَّلَيْهِ صَبْرًا (82)
Ate kyo ekisenge kyabadde kya balenzi babiri bamulekwa mu kibuga (ekyo), wansi waakyo waabaddeyo eby'ogugagga bya bombi era nga Kitaabwe wa bombi yali mulongoofu, olwo nno Mukama omulabiriziwo yayagala bombi okumala okusajjakula, olwo nno baggyeyo eby'obugagga byabwe bombi, ekyo nga kusaasira okuva eri Mukama Omulabiriziwo, era ssaakikoze lwa kusalawo kwange (wabula) bubaka obwavudde eri (Katonda), okwo nno kwe kunnyonnyola byotasobodde kugumiikiriza
وَيَسْأَلُونَكَ عَن ذِي الْقَرْنَيْنِ ۖ قُلْ سَأَتْلُو عَلَيْكُم مِّنْهُ ذِكْرًا (83)
Bakubuuza ebikwata ku Dhul Karinaini, bagambe nti nja kubayitiramu ku bimukwatako
إِنَّا مَكَّنَّا لَهُ فِي الْأَرْضِ وَآتَيْنَاهُ مِن كُلِّ شَيْءٍ سَبَبًا (84)
Mazima ffe twamuwa obusobozi mu nsi, era twamuwa ku buli kintu okumanya engeri gye kikolebwamu
فَأَتْبَعَ سَبَبًا (85)
Olwo nno naagoberera enkola (eyo)
حَتَّىٰ إِذَا بَلَغَ مَغْرِبَ الشَّمْسِ وَجَدَهَا تَغْرُبُ فِي عَيْنٍ حَمِئَةٍ وَوَجَدَ عِندَهَا قَوْمًا ۗ قُلْنَا يَا ذَا الْقَرْنَيْنِ إِمَّا أَن تُعَذِّبَ وَإِمَّا أَن تَتَّخِذَ فِيهِمْ حُسْنًا (86)
Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyegwa, naagisanga nga erabika nga egwa mu luzzi olw'ettosi, era mu kitundu ekyo naasangayo abantu, netumugamba nti owange Dhul Karinaini, bwoba oyagadde osobola okubabonereza oba oyinza okubakolamu ekirungi
قَالَ أَمَّا مَن ظَلَمَ فَسَوْفَ نُعَذِّبُهُ ثُمَّ يُرَدُّ إِلَىٰ رَبِّهِ فَيُعَذِّبُهُ عَذَابًا نُّكْرًا (87)
(Dhul Karinaini) naagamba nti oyo aneeyisa obubi tujja kumubonereza, ate oluvanyuma alizzibwa ewa Mukama Omulabirizewe, naamubonereza ebibonerezo ebisuffu
وَأَمَّا مَنْ آمَنَ وَعَمِلَ صَالِحًا فَلَهُ جَزَاءً الْحُسْنَىٰ ۖ وَسَنَقُولُ لَهُ مِنْ أَمْرِنَا يُسْرًا (88)
Naye oyo akkiriza naakola emirimu emirungi, agenda kusasulwa empeera ennungi era tugenda kumugamba ebigambo ebyangu okuva gye tuli
ثُمَّ أَتْبَعَ سَبَبًا (89)
Ate oluvanyuma naagoberera enkola eyo
حَتَّىٰ إِذَا بَلَغَ مَطْلِعَ الشَّمْسِ وَجَدَهَا تَطْلُعُ عَلَىٰ قَوْمٍ لَّمْ نَجْعَل لَّهُم مِّن دُونِهَا سِتْرًا (90)
Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyeva naagisanga nga eviirayo ku bantu abo betutaawa kya kwebikka kuwona kwokya kwayo
كَذَٰلِكَ وَقَدْ أَحَطْنَا بِمَا لَدَيْهِ خُبْرًا (91)
Bwe tutyo bwe twakikola ate mazima byonna bye yalina, okumanya kwaffe kwali kubyetoolodde
ثُمَّ أَتْبَعَ سَبَبًا (92)
Ate oluvanyuma bwe yamala naagoberera enkola y'emu
حَتَّىٰ إِذَا بَلَغَ بَيْنَ السَّدَّيْنِ وَجَدَ مِن دُونِهِمَا قَوْمًا لَّا يَكَادُونَ يَفْقَهُونَ قَوْلًا (93)
Okutuusa lwe yatuuka wakati w'ensozi ebbiri, naasanga wakati wa zombiriri abantu, kumpi nga tebategeera kigambo kyonna
قَالُوا يَا ذَا الْقَرْنَيْنِ إِنَّ يَأْجُوجَ وَمَأْجُوجَ مُفْسِدُونَ فِي الْأَرْضِ فَهَلْ نَجْعَلُ لَكَ خَرْجًا عَلَىٰ أَن تَجْعَلَ بَيْنَنَا وَبَيْنَهُمْ سَدًّا (94)
Nebagamba nti owange Dhul Karinaini mazima Yajuuja ne Majuuja boonoonyi mu nsi abaffe tukuteerewo empeera (tukupakase) obe nga otuteera wakati waffe nabo ekikomera
قَالَ مَا مَكَّنِّي فِيهِ رَبِّي خَيْرٌ فَأَعِينُونِي بِقُوَّةٍ أَجْعَلْ بَيْنَكُمْ وَبَيْنَهُمْ رَدْمًا (95)
Naagamba nti ekyo kyonna Mukama Omulabirizi wange kyanansobozesa kinaaba kirungi, kale munyambe n'amaanyi nja kuteeka wakati wa mmwe nabo ekikomera (ekigumu)
آتُونِي زُبَرَ الْحَدِيدِ ۖ حَتَّىٰ إِذَا سَاوَىٰ بَيْنَ الصَّدَفَيْنِ قَالَ انفُخُوا ۖ حَتَّىٰ إِذَا جَعَلَهُ نَارًا قَالَ آتُونِي أُفْرِغْ عَلَيْهِ قِطْرًا (96)
Mundeetere ebitundu tundu bye byuma (bye baaleeta) okutuusa lwe yajjuza ebyuma mu bbanga eriri wakati w'ensozi ebbiri, naagamba nti mufuuwe (emivubo) okutuusa ekyuma lwe yakifuula omuliro naagamba nti mundeetere ekikomo ekisaanuuse naakifukirirako
فَمَا اسْطَاعُوا أَن يَظْهَرُوهُ وَمَا اسْتَطَاعُوا لَهُ نَقْبًا (97)
(Yajuuja ne Majuuja) tebasobolangako kukirinya era nga bwe batasobolangako kukiwummulamu kituli
قَالَ هَٰذَا رَحْمَةٌ مِّن رَّبِّي ۖ فَإِذَا جَاءَ وَعْدُ رَبِّي جَعَلَهُ دَكَّاءَ ۖ وَكَانَ وَعْدُ رَبِّي حَقًّا (98)
(Dhul Karinaini) naagamba nti kuno kusaasira okuva eri Mukama Omulabirizi wange, n'olwekyo endagaano ya Mukama Omulabirizi wange bwelituuka, agenda kukifuula ekimerengufu, anti bulijjo endagaano ya Mukama omulabirizi wange ya mazima
۞ وَتَرَكْنَا بَعْضَهُمْ يَوْمَئِذٍ يَمُوجُ فِي بَعْضٍ ۖ وَنُفِخَ فِي الصُّورِ فَجَمَعْنَاهُمْ جَمْعًا (99)
Tulireka abamu ku bo nebaba nga beekuluumulira mu bannaabwe nga balinga amayengo. Era engombe egenda kufuuyibwa olwo nno bonna tubakunganye
وَعَرَضْنَا جَهَنَّمَ يَوْمَئِذٍ لِّلْكَافِرِينَ عَرْضًا (100)
Ku lunaku olwo tugenda kusoosootola omuliro Jahannama eri abakaafiiri olusoosootola
الَّذِينَ كَانَتْ أَعْيُنُهُمْ فِي غِطَاءٍ عَن ذِكْرِي وَكَانُوا لَا يَسْتَطِيعُونَ سَمْعًا (101)
Abo amaaso gaabwe agaali mu kubikkibwa nebatosobola kunjogerako era baali tebasobola kuwulira
أَفَحَسِبَ الَّذِينَ كَفَرُوا أَن يَتَّخِذُوا عِبَادِي مِن دُونِي أَوْلِيَاءَ ۚ إِنَّا أَعْتَدْنَا جَهَنَّمَ لِلْكَافِرِينَ نُزُلًا (102)
Abaffe abo abakaafuwala basuubira okufuula abaddu bange abakuumi baabwe nze nebandekawo, nze nebansuulirira, mazima ffe twateekateeka Jahannama nga bwe butuulo bwa bakaafiiri
قُلْ هَلْ نُنَبِّئُكُم بِالْأَخْسَرِينَ أَعْمَالًا (103)
Abaffe tubabuulire abasinga okufaafaganirwa emirimu gya bwe
الَّذِينَ ضَلَّ سَعْيُهُمْ فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَهُمْ يَحْسَبُونَ أَنَّهُمْ يُحْسِنُونَ صُنْعًا (104)
Beebo okukola kwa bwe okubeera okwonoonefu mu bulamu obw'ensi, so nga ate bo balowooza nti bakola bulungi
أُولَٰئِكَ الَّذِينَ كَفَرُوا بِآيَاتِ رَبِّهِمْ وَلِقَائِهِ فَحَبِطَتْ أَعْمَالُهُمْ فَلَا نُقِيمُ لَهُمْ يَوْمَ الْقِيَامَةِ وَزْنًا (105)
Abo beebo abawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe, era nebawakanya okumusisinkana, olwo nno emirimu gya bwe negifaafaagana, n'olwekyo ku lunaku lw'enkomerero, tetugenda kubalabamu buzito bwonna
ذَٰلِكَ جَزَاؤُهُمْ جَهَنَّمُ بِمَا كَفَرُوا وَاتَّخَذُوا آيَاتِي وَرُسُلِي هُزُوًا (106)
Bwe kityo nno empeera yaabwe muliro Jahannama olw'ebyo bye baawakanya era nebafuula obubonero bwange n'ababaka bange ekisekererwa
إِنَّ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ كَانَتْ لَهُمْ جَنَّاتُ الْفِرْدَوْسِ نُزُلًا (107)
Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirongoofu, e jjana eza Firidausi, bwe buliba obutuulo bwa bwe
خَالِدِينَ فِيهَا لَا يَبْغُونَ عَنْهَا حِوَلًا (108)
Bakuzibeeramu olubeerera tebagenda kwetaaga kukyusibwa kuva mu zo
قُل لَّوْ كَانَ الْبَحْرُ مِدَادًا لِّكَلِمَاتِ رَبِّي لَنَفِدَ الْبَحْرُ قَبْلَ أَن تَنفَدَ كَلِمَاتُ رَبِّي وَلَوْ جِئْنَا بِمِثْلِهِ مَدَدًا (109)
Gamba nti singa ennyanja zaali nga ye bwino (akozesebwa mu kuwandiika) ebigambo bya Mukama omulabirizi wange, ennyanja zandikalidde, nga ebigambo bya Mukama omulabirizi wange tebinnagwayo, nebwetandireese ennyanja ezenkana eziriwo zibe nga ziziyamba
قُلْ إِنَّمَا أَنَا بَشَرٌ مِّثْلُكُمْ يُوحَىٰ إِلَيَّ أَنَّمَا إِلَٰهُكُمْ إِلَٰهٌ وَاحِدٌ ۖ فَمَن كَانَ يَرْجُو لِقَاءَ رَبِّهِ فَلْيَعْمَلْ عَمَلًا صَالِحًا وَلَا يُشْرِكْ بِعِبَادَةِ رَبِّهِ أَحَدًا (110)
Bagambe nti mazima nze ndi muntu nga mmwe, (wabula) nfuna obubaka nga bugamba nti mazima Katonda wa mmwe ali omu, kale nno, buli yenna asuubira okusisinkana Mukama omulabiriziwe ateekwa okukola emirimu emirungi era mu kusinza n’atagatta kintu kyonna ku Mukama Omulabiriziwe
❮ السورة السابقة السورة التـالية ❯

قراءة المزيد من سور القرآن الكريم :

1- الفاتحة2- البقرة3- آل عمران
4- النساء5- المائدة6- الأنعام
7- الأعراف8- الأنفال9- التوبة
10- يونس11- هود12- يوسف
13- الرعد14- إبراهيم15- الحجر
16- النحل17- الإسراء18- الكهف
19- مريم20- طه21- الأنبياء
22- الحج23- المؤمنون24- النور
25- الفرقان26- الشعراء27- النمل
28- القصص29- العنكبوت30- الروم
31- لقمان32- السجدة33- الأحزاب
34- سبأ35- فاطر36- يس
37- الصافات38- ص39- الزمر
40- غافر41- فصلت42- الشورى
43- الزخرف44- الدخان45- الجاثية
46- الأحقاف47- محمد48- الفتح
49- الحجرات50- ق51- الذاريات
52- الطور53- النجم54- القمر
55- الرحمن56- الواقعة57- الحديد
58- المجادلة59- الحشر60- الممتحنة
61- الصف62- الجمعة63- المنافقون
64- التغابن65- الطلاق66- التحريم
67- الملك68- القلم69- الحاقة
70- المعارج71- نوح72- الجن
73- المزمل74- المدثر75- القيامة
76- الإنسان77- المرسلات78- النبأ
79- النازعات80- عبس81- التكوير
82- الإنفطار83- المطففين84- الانشقاق
85- البروج86- الطارق87- الأعلى
88- الغاشية89- الفجر90- البلد
91- الشمس92- الليل93- الضحى
94- الشرح95- التين96- العلق
97- القدر98- البينة99- الزلزلة
100- العاديات101- القارعة102- التكاثر
103- العصر104- الهمزة105- الفيل
106- قريش107- الماعون108- الكوثر
109- الكافرون110- النصر111- المسد
112- الإخلاص113- الفلق114- الناس