إِذَا جَاءَكَ الْمُنَافِقُونَ قَالُوا نَشْهَدُ إِنَّكَ لَرَسُولُ اللَّهِ ۗ وَاللَّهُ يَعْلَمُ إِنَّكَ لَرَسُولُهُ وَاللَّهُ يَشْهَدُ إِنَّ الْمُنَافِقِينَ لَكَاذِبُونَ (1) Abannanfusi bwe bajja gyoli (Ggwe Nabbi Muhammad (ﷺ)) bagamba nti tukkiriza nti mazima ddala ggwe oli Mubaka wa Katonda. Ne Katonda akimanyidde ddala nti mazima gwe oli Mubakawe, ate era Katonda akakasa nti mazima abannanfusi balimba nnyo |
اتَّخَذُوا أَيْمَانَهُمْ جُنَّةً فَصَدُّوا عَن سَبِيلِ اللَّهِ ۚ إِنَّهُمْ سَاءَ مَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (2) Ekyo kulayira kwabwe (nti basiramu) bakifuula ekyokulwanyisa ekibawonya, olwonno ne balyoka baziyiza abantu okuyingira mu ddiini y'a Katonda. Mazima bibi nnyo ebyo bye baali bakola |
ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمْ آمَنُوا ثُمَّ كَفَرُوا فَطُبِعَ عَلَىٰ قُلُوبِهِمْ فَهُمْ لَا يَفْقَهُونَ (3) Ekyo kiri bwe bityo lwa kuba baalangirira obukkiriza n'ennimi za bwe, so nga munda bakafiiri. Olwo nno e mitima gyabwe negiteekebwako envumbo ne babeera nga tebategeera |
۞ وَإِذَا رَأَيْتَهُمْ تُعْجِبُكَ أَجْسَامُهُمْ ۖ وَإِن يَقُولُوا تَسْمَعْ لِقَوْلِهِمْ ۖ كَأَنَّهُمْ خُشُبٌ مُّسَنَّدَةٌ ۖ يَحْسَبُونَ كُلَّ صَيْحَةٍ عَلَيْهِمْ ۚ هُمُ الْعَدُوُّ فَاحْذَرْهُمْ ۚ قَاتَلَهُمُ اللَّهُ ۖ أَنَّىٰ يُؤْفَكُونَ (4) Bwo batunulako, e mibiri gyabwe gikusanyusa, bwe boogera toyinza butatwala kigambo kyabwe, balinga ebiti ebyesigamiziddwa ku kisenge nga tebiyinza kwetengerera, buli lwonna lwe bawulira akakuba bagamba nti bubakeeredde, abo be balabe, n'olwekyo beegendereze, Katonda yabakolimira, ggwe ate bandivudde batya ku mazima |
وَإِذَا قِيلَ لَهُمْ تَعَالَوْا يَسْتَغْفِرْ لَكُمْ رَسُولُ اللَّهِ لَوَّوْا رُءُوسَهُمْ وَرَأَيْتَهُمْ يَصُدُّونَ وَهُم مُّسْتَكْبِرُونَ (5) Singa baba bagambiddwa nti mujje eri omubaka wa Katonda abasabire e kisonyiwo, banyeenya e mitwe n'obalabira ddala nga bajeemye era nga beekuluntazza |
سَوَاءٌ عَلَيْهِمْ أَسْتَغْفَرْتَ لَهُمْ أَمْ لَمْ تَسْتَغْفِرْ لَهُمْ لَن يَغْفِرَ اللَّهُ لَهُمْ ۚ إِنَّ اللَّهَ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الْفَاسِقِينَ (6) Okubasabira e kisonyiwo n'obutabasabira byonna bifaanana, Katonda tagenda kubasonyiwa, anti Katonda talungamya bantu boononyi |
هُمُ الَّذِينَ يَقُولُونَ لَا تُنفِقُوا عَلَىٰ مَنْ عِندَ رَسُولِ اللَّهِ حَتَّىٰ يَنفَضُّوا ۗ وَلِلَّهِ خَزَائِنُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَلَٰكِنَّ الْمُنَافِقِينَ لَا يَفْقَهُونَ (7) Be bamu be bo abagamba nti temuwaayo kintu kyonna eri abo abali awamu n'omubaka wa Katonda okutuusa lwe banamwabulira. So nga amawanika g'omuggulu n'ensi gonna ga Katonda. Naye mazima abananfusi tebategeera |
يَقُولُونَ لَئِن رَّجَعْنَا إِلَى الْمَدِينَةِ لَيُخْرِجَنَّ الْأَعَزُّ مِنْهَا الْأَذَلَّ ۚ وَلِلَّهِ الْعِزَّةُ وَلِرَسُولِهِ وَلِلْمُؤْمِنِينَ وَلَٰكِنَّ الْمُنَافِقِينَ لَا يَعْلَمُونَ (8) Baatuuka n'okugamba nti bwe tunadda e Madinah (okuva mu lutalo lwa ba Bani Al Mus-twalik) abasinga okuba ab'ekitiibwa bajja kugoba mu (Madinah) abanyoomebwa. So nga e kitiibwa n'obuwanguzi bya Katonda n'omubakawe n'abakkiriza naye mazima abananfusi tebamanyi |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تُلْهِكُمْ أَمْوَالُكُمْ وَلَا أَوْلَادُكُمْ عَن ذِكْرِ اللَّهِ ۚ وَمَن يَفْعَلْ ذَٰلِكَ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الْخَاسِرُونَ (9) Abange mmwe abakkiriza, ebyo bugagga byamwe n'abaana bamwe tebibawugulanga ne bibajja ku kwogera ku Katonda, oyo yenna akikola, abo nno be bokufaafaaganirwa |
وَأَنفِقُوا مِن مَّا رَزَقْنَاكُم مِّن قَبْلِ أَن يَأْتِيَ أَحَدَكُمُ الْمَوْتُ فَيَقُولَ رَبِّ لَوْلَا أَخَّرْتَنِي إِلَىٰ أَجَلٍ قَرِيبٍ فَأَصَّدَّقَ وَأَكُن مِّنَ الصَّالِحِينَ (10) Era mugabe kwe byo bye twabawa walumbe nga tannatuuka ku omu ku mmwe, naatuuka okulaajana nga agamba nti, ayi mukama omulezi wange singa ondeseewo akabanga ne nsadaakako era ne mbeera mu balongoofu |
وَلَن يُؤَخِّرَ اللَّهُ نَفْسًا إِذَا جَاءَ أَجَلُهَا ۚ وَاللَّهُ خَبِيرٌ بِمَا تَعْمَلُونَ (11) Sso nga Katonda tagenda kulindiriza mwoyo gwonna entuuko yaagwo bweriba nga etuuse, Katonda bulijjo muyitirivu w'akumanya ebyo byonna bye mukola |