يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا أَوْفُوا بِالْعُقُودِ ۚ أُحِلَّتْ لَكُم بَهِيمَةُ الْأَنْعَامِ إِلَّا مَا يُتْلَىٰ عَلَيْكُمْ غَيْرَ مُحِلِّي الصَّيْدِ وَأَنتُمْ حُرُمٌ ۗ إِنَّ اللَّهَ يَحْكُمُ مَا يُرِيدُ (1) Abange mmwe Abakkiriza mutuukirizenga endagaano, mukkirizibwa okulya ennyama y’ebisolo ebiriibwa byonna okugyako e binaabasomerwa, ate nga temukkirizibwa kuyigga nga muli mu mizizo gya (Hijja oba Umurah) mazima Katonda asalawo kyaaba ayagadde |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تُحِلُّوا شَعَائِرَ اللَّهِ وَلَا الشَّهْرَ الْحَرَامَ وَلَا الْهَدْيَ وَلَا الْقَلَائِدَ وَلَا آمِّينَ الْبَيْتَ الْحَرَامَ يَبْتَغُونَ فَضْلًا مِّن رَّبِّهِمْ وَرِضْوَانًا ۚ وَإِذَا حَلَلْتُمْ فَاصْطَادُوا ۚ وَلَا يَجْرِمَنَّكُمْ شَنَآنُ قَوْمٍ أَن صَدُّوكُمْ عَنِ الْمَسْجِدِ الْحَرَامِ أَن تَعْتَدُوا ۘ وَتَعَاوَنُوا عَلَى الْبِرِّ وَالتَّقْوَىٰ ۖ وَلَا تَعَاوَنُوا عَلَى الْإِثْمِ وَالْعُدْوَانِ ۚ وَاتَّقُوا اللَّهَ ۖ إِنَّ اللَّهَ شَدِيدُ الْعِقَابِ (2) Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Halaali ebyo Katonda byeyabalambira nti biri Haramu, era nga bwemutaasanye kukyusa myezi gya mizizo nemugifuula egyokulwaniramu, era temwekiikanga mu kkubo lyebirabo ebiba bireetebwa e Makkah wadde ensolo ennambe nga z’abirabo, wadde abantu abagenda okulambula e nyumba ey’emizizo, ababa bagenda okunoonya obulungi n’okusiima okuva ewa Katonda waabwe, naye bwe muba musumulukuse okuva mu mizizo gya (Hijja ne Umurah) olwonno muyiggenga. Olwokuba nti abantu baabaziyiza okutuuka ku muzikiti ogw’emizizo, tekibatuusanga okubayisa obubi, era muyambaganenga ku kukola obulungi n’okutya Katonda, so temuyambagananga ku kukola ebibi n’obulumbaganyi, era mutye Katonda, mazima Katonda muyitirivu w’abibonerezo |
حُرِّمَتْ عَلَيْكُمُ الْمَيْتَةُ وَالدَّمُ وَلَحْمُ الْخِنزِيرِ وَمَا أُهِلَّ لِغَيْرِ اللَّهِ بِهِ وَالْمُنْخَنِقَةُ وَالْمَوْقُوذَةُ وَالْمُتَرَدِّيَةُ وَالنَّطِيحَةُ وَمَا أَكَلَ السَّبُعُ إِلَّا مَا ذَكَّيْتُمْ وَمَا ذُبِحَ عَلَى النُّصُبِ وَأَن تَسْتَقْسِمُوا بِالْأَزْلَامِ ۚ ذَٰلِكُمْ فِسْقٌ ۗ الْيَوْمَ يَئِسَ الَّذِينَ كَفَرُوا مِن دِينِكُمْ فَلَا تَخْشَوْهُمْ وَاخْشَوْنِ ۚ الْيَوْمَ أَكْمَلْتُ لَكُمْ دِينَكُمْ وَأَتْمَمْتُ عَلَيْكُمْ نِعْمَتِي وَرَضِيتُ لَكُمُ الْإِسْلَامَ دِينًا ۚ فَمَنِ اضْطُرَّ فِي مَخْمَصَةٍ غَيْرَ مُتَجَانِفٍ لِّإِثْمٍ ۙ فَإِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (3) Muziyiziddwa okulya ennyamanfu n’omusayi (Kafece) nennyama y’embizzi n’ekyo ekiba kyogereddwako eritali linnya lya Katonda nga kisalibwa, n’ekifudde olw’okukubwa, n’ekifudde olwokugwa, n’ekitomeddwa kinnakyo, n’ekiriiriddwako ensolo enkambwe, okugyako byemuba mwanguyidde nemubisala, era muziyiziddwa okulya ennyama y’ebisolo ebiba bisaliddwa olwokubiwongera atali Katonda omu ateekwa okusinzibwa, era muziyiziddwa okweraguza nga mukozesa obusaale. Okukola ekimu kwebyo, buba bugyemu, olwaleero abo abakaafuwala tebakyalina ssuubi kubalemesa ddiini yammwe, kale temubatya, mutye nze. Olwaleero mbajjulizza eddiini yammwe, era nembajjuliza ebyengera byange, era nembasalirawo obusiramu okuba nga yeddiini (yammwe) kale nno omuntu eyeesanga mu buzibu obwenjala, so ssi lwakugenderera kumenya tteeka (naamala alya ku bigaaniddwa), mazima Katonda musonyiyi wa kisa |
يَسْأَلُونَكَ مَاذَا أُحِلَّ لَهُمْ ۖ قُلْ أُحِلَّ لَكُمُ الطَّيِّبَاتُ ۙ وَمَا عَلَّمْتُم مِّنَ الْجَوَارِحِ مُكَلِّبِينَ تُعَلِّمُونَهُنَّ مِمَّا عَلَّمَكُمُ اللَّهُ ۖ فَكُلُوا مِمَّا أَمْسَكْنَ عَلَيْكُمْ وَاذْكُرُوا اسْمَ اللَّهِ عَلَيْهِ ۖ وَاتَّقُوا اللَّهَ ۚ إِنَّ اللَّهَ سَرِيعُ الْحِسَابِ (4) Bakubuuza ggwe (Nabbi Muhammad) ebibakkirizibwa (okulya), gamba nti mukkirizibwa okulya ebirungi, era (mukkirizibwa okulya) n’okulya ebyo ebikwatiddwa ebiyigga byemutendese nemuyigiriza ddala okusinziira nga Katonda bweyabayigiriza, bweguba gutyo mulye ebyo bye bibakwatira, era mubyogerereko erinnya lya Katonda (nga mubisindika okugenda okukwata ensolo) era mutye Katonda, anti mazima Katonda mwangu wa kubala |
الْيَوْمَ أُحِلَّ لَكُمُ الطَّيِّبَاتُ ۖ وَطَعَامُ الَّذِينَ أُوتُوا الْكِتَابَ حِلٌّ لَّكُمْ وَطَعَامُكُمْ حِلٌّ لَّهُمْ ۖ وَالْمُحْصَنَاتُ مِنَ الْمُؤْمِنَاتِ وَالْمُحْصَنَاتُ مِنَ الَّذِينَ أُوتُوا الْكِتَابَ مِن قَبْلِكُمْ إِذَا آتَيْتُمُوهُنَّ أُجُورَهُنَّ مُحْصِنِينَ غَيْرَ مُسَافِحِينَ وَلَا مُتَّخِذِي أَخْدَانٍ ۗ وَمَن يَكْفُرْ بِالْإِيمَانِ فَقَدْ حَبِطَ عَمَلُهُ وَهُوَ فِي الْآخِرَةِ مِنَ الْخَاسِرِينَ (5) Olwaleero mukkirizibwa okulya e birungi, nga era n'ennyama esaliddwa abaaweebwa ekitabo bwekkiriziddwa gyemuli, n'ennyama yammwe ekkiriziddwa gye bali, era mukkirizibwa okuwasa ab'ensa mu bakyala abakkiriza nga bwemukiriziddwa abakyala abensa mwabo abaaweebwa ekitabo oluberyeberye lwa mmwe, kavuna mubawa Amahare gaabwe nga mubawasa mu bufumbo obutukuvu, so ssi mu bwenzi wadde okuba nti mubatwala nga bakyala ba mmwe abebbali, n'omuntu atakolera ku mateeka g’abukkiriza emirimu gye giba gimufudde, nga naye ku lunaku lw’enkomerero agenda kubeera mu bafaafaganiddwa |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِذَا قُمْتُمْ إِلَى الصَّلَاةِ فَاغْسِلُوا وُجُوهَكُمْ وَأَيْدِيَكُمْ إِلَى الْمَرَافِقِ وَامْسَحُوا بِرُءُوسِكُمْ وَأَرْجُلَكُمْ إِلَى الْكَعْبَيْنِ ۚ وَإِن كُنتُمْ جُنُبًا فَاطَّهَّرُوا ۚ وَإِن كُنتُم مَّرْضَىٰ أَوْ عَلَىٰ سَفَرٍ أَوْ جَاءَ أَحَدٌ مِّنكُم مِّنَ الْغَائِطِ أَوْ لَامَسْتُمُ النِّسَاءَ فَلَمْ تَجِدُوا مَاءً فَتَيَمَّمُوا صَعِيدًا طَيِّبًا فَامْسَحُوا بِوُجُوهِكُمْ وَأَيْدِيكُم مِّنْهُ ۚ مَا يُرِيدُ اللَّهُ لِيَجْعَلَ عَلَيْكُم مِّنْ حَرَجٍ وَلَٰكِن يُرِيدُ لِيُطَهِّرَكُمْ وَلِيُتِمَّ نِعْمَتَهُ عَلَيْكُمْ لَعَلَّكُمْ تَشْكُرُونَ (6) Abange mmwe abakkiriza bwe muba mugenda okusaala muteekeddwa okunaaza ebyenyi byammwe, n’emikono gyammwe okutuusa mu nkokola, era musiige ku mitwe gyammwe, munaaze n’ebigere byammwe okutuuka ku bukongovule, bwe muba nga mulina Janaba muteekeddwa okunaaba naye bwe mubanga abalwadde, oba nga muli ku safari, oba omu ku mmwe nga avudde mukumala ekyetaago ekyobutonde, oba nemukwata ku bakyala (mumbera ezo zonna) nemutafuna mazzi, kale nno, mutayammame, nga mukozesa ettaka eddungi, (ekyo mukikola) nga musiiga ku byenyi byammwe n’emikono gyammwe, Katonda tayagalangako kubateerawo bukalubo bwonna, naye ayagala kubatukuza era abajjulize ekyengerakye musobole okubeera nga mwebaza |
وَاذْكُرُوا نِعْمَةَ اللَّهِ عَلَيْكُمْ وَمِيثَاقَهُ الَّذِي وَاثَقَكُم بِهِ إِذْ قُلْتُمْ سَمِعْنَا وَأَطَعْنَا ۖ وَاتَّقُوا اللَّهَ ۚ إِنَّ اللَّهَ عَلِيمٌ بِذَاتِ الصُّدُورِ (7) Era mujjukire e kyengera kya Katonda kyeyabawa n'endagaanoye gyeyabakozesa bwemwagamba nti tuwulidde era tugonze. Era mutye Katonda, anti mazima Katonda amanyidde ddala ebyo ebiri mu bifuba |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا كُونُوا قَوَّامِينَ لِلَّهِ شُهَدَاءَ بِالْقِسْطِ ۖ وَلَا يَجْرِمَنَّكُمْ شَنَآنُ قَوْمٍ عَلَىٰ أَلَّا تَعْدِلُوا ۚ اعْدِلُوا هُوَ أَقْرَبُ لِلتَّقْوَىٰ ۖ وَاتَّقُوا اللَّهَ ۚ إِنَّ اللَّهَ خَبِيرٌ بِمَا تَعْمَلُونَ (8) Abange mmwe abakkiriza mubeere beesimbu ku lwa Katonda, nga muwa obujulizi mubwenkanya, abantu okuba abalabe ba mmwe, tekibawugulanga nemutakola mazima, bulijjo mukole obwenkanya, kyo kyekiri okumpi n'okutya Katonda, era mutye Katonda, mazima Katonda amanyidde ddala byemukola |
وَعَدَ اللَّهُ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ ۙ لَهُم مَّغْفِرَةٌ وَأَجْرٌ عَظِيمٌ (9) Katonda yalagaanyisa abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, nti balina ekisonyiwo nempeera ensukkulumu |
وَالَّذِينَ كَفَرُوا وَكَذَّبُوا بِآيَاتِنَا أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ الْجَحِيمِ (10) Ate abo ab'akaafuwala nebalimbisa ebigambo byaffe, abo nno be bantu b’omumuliro |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا اذْكُرُوا نِعْمَتَ اللَّهِ عَلَيْكُمْ إِذْ هَمَّ قَوْمٌ أَن يَبْسُطُوا إِلَيْكُمْ أَيْدِيَهُمْ فَكَفَّ أَيْدِيَهُمْ عَنكُمْ ۖ وَاتَّقُوا اللَّهَ ۚ وَعَلَى اللَّهِ فَلْيَتَوَكَّلِ الْمُؤْمِنُونَ (11) Abange mmwe abakkiriza mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, abantu abamu bwe baayagala okugolola e mikono gyaabwe (babalwanyise), n'aziyiza e mikono gyaabwe ku mmwe, era bulijjo mutye Katonda, Katonda yekka abakkiriza gwebateekeddwa okwesiga |
۞ وَلَقَدْ أَخَذَ اللَّهُ مِيثَاقَ بَنِي إِسْرَائِيلَ وَبَعَثْنَا مِنْهُمُ اثْنَيْ عَشَرَ نَقِيبًا ۖ وَقَالَ اللَّهُ إِنِّي مَعَكُمْ ۖ لَئِنْ أَقَمْتُمُ الصَّلَاةَ وَآتَيْتُمُ الزَّكَاةَ وَآمَنتُم بِرُسُلِي وَعَزَّرْتُمُوهُمْ وَأَقْرَضْتُمُ اللَّهَ قَرْضًا حَسَنًا لَّأُكَفِّرَنَّ عَنكُمْ سَيِّئَاتِكُمْ وَلَأُدْخِلَنَّكُمْ جَنَّاتٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ ۚ فَمَن كَفَرَ بَعْدَ ذَٰلِكَ مِنكُمْ فَقَدْ ضَلَّ سَوَاءَ السَّبِيلِ (12) Mazima Katonda yakozesa abaana ba Israil endagaano, era netuggya mu bo abakulembeze kkumi nababiri, Katonda naagamba nti mazima njakuba wamu nammwe, bwe munaayimirizaawo e sswala, nemutoola Zzaka, nemukkiriza ababaka bange, era nemubawagira, era nemuwola Katonda oluwola olulungi, njakubasonyiwa ebyonoono byammwe, mbayingirize ddala e jjana ezikulukutiramu emigga, naye oyo yenna alikaafuwala mu mmwe oluvanyuma lwekyo, aliba abuze okuva ku kkubo ettuufu |
فَبِمَا نَقْضِهِم مِّيثَاقَهُمْ لَعَنَّاهُمْ وَجَعَلْنَا قُلُوبَهُمْ قَاسِيَةً ۖ يُحَرِّفُونَ الْكَلِمَ عَن مَّوَاضِعِهِ ۙ وَنَسُوا حَظًّا مِّمَّا ذُكِّرُوا بِهِ ۚ وَلَا تَزَالُ تَطَّلِعُ عَلَىٰ خَائِنَةٍ مِّنْهُمْ إِلَّا قَلِيلًا مِّنْهُمْ ۖ فَاعْفُ عَنْهُمْ وَاصْفَحْ ۚ إِنَّ اللَّهَ يُحِبُّ الْمُحْسِنِينَ (13) Kulwokumenya kwabwe endagaano twabakolimira, emitima gyaabwe netugifuula emikakanyavu nebaba nga bakyusa ebigambo okubijja ku makulu gaabyo amatuufu, nebasuula ekitundu kinene kw'ebyo ebyabayigirizibwa, bulijjo ojja kugwanga ku nkwe zaabwe okugyako abatono mu bo, kale basonyiwe era olekere, anti bulijjo mazima Katonda ayagala abakozi b’obulungi |
وَمِنَ الَّذِينَ قَالُوا إِنَّا نَصَارَىٰ أَخَذْنَا مِيثَاقَهُمْ فَنَسُوا حَظًّا مِّمَّا ذُكِّرُوا بِهِ فَأَغْرَيْنَا بَيْنَهُمُ الْعَدَاوَةَ وَالْبَغْضَاءَ إِلَىٰ يَوْمِ الْقِيَامَةِ ۚ وَسَوْفَ يُنَبِّئُهُمُ اللَّهُ بِمَا كَانُوا يَصْنَعُونَ (14) Era twakozesa endagaano abamu kwaabo abeeyita Abanaswara, era nabo baasuula ekitundu kinene kweebyo ebyabayigirizibwa, netussa wakati waabwe obulabe n’obukyayi okutuusa olunaku lw’enkomerero, olwo nno Katonda alyoke abategeeze byonna byebaakolanga |
يَا أَهْلَ الْكِتَابِ قَدْ جَاءَكُمْ رَسُولُنَا يُبَيِّنُ لَكُمْ كَثِيرًا مِّمَّا كُنتُمْ تُخْفُونَ مِنَ الْكِتَابِ وَيَعْفُو عَن كَثِيرٍ ۚ قَدْ جَاءَكُم مِّنَ اللَّهِ نُورٌ وَكِتَابٌ مُّبِينٌ (15) Abange mmwe abaaweebwa ekitabo, mazima omubaka waffe yabajjira abategeeze bingi byemwaali mukweka mu kitabo, mu ngeri yeemu asonyiwe bingi, mazima kyabajjira ekitangaala n’ekitabo ekyeyolefu okuva eri Katonda |
يَهْدِي بِهِ اللَّهُ مَنِ اتَّبَعَ رِضْوَانَهُ سُبُلَ السَّلَامِ وَيُخْرِجُهُم مِّنَ الظُّلُمَاتِ إِلَى النُّورِ بِإِذْنِهِ وَيَهْدِيهِمْ إِلَىٰ صِرَاطٍ مُّسْتَقِيمٍ (16) Katonda alungamya nakyo mu kkubo e ry'emirembe oyo aba agoberedde okusiimakwe, era naabajja mu bizikiza nga abazza eri ekitangaala kulwokwagalakwe, era n'abalungamya ku kkubo eggolokofu |
لَّقَدْ كَفَرَ الَّذِينَ قَالُوا إِنَّ اللَّهَ هُوَ الْمَسِيحُ ابْنُ مَرْيَمَ ۚ قُلْ فَمَن يَمْلِكُ مِنَ اللَّهِ شَيْئًا إِنْ أَرَادَ أَن يُهْلِكَ الْمَسِيحَ ابْنَ مَرْيَمَ وَأُمَّهُ وَمَن فِي الْأَرْضِ جَمِيعًا ۗ وَلِلَّهِ مُلْكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَمَا بَيْنَهُمَا ۚ يَخْلُقُ مَا يَشَاءُ ۚ وَاللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (17) Mazima baakaafuwala abaagamba nti ddala Masiya mutabani wa Mariam ye Katonda, gamba (Ggwe Muhammad) ani ayinza okukolawo ekintu kyonna singa Katonda aba asazeewo okuzikiriza Masiya mutabani wa Mariam ne maamawe, n’abantu bonna abali ku nsi, obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi nabyonna ebiri wakati wa byombi, bwa Katonda, atonda kyaba ayagadde, era Katonda bulijjo muyinza wa buli kintu |
وَقَالَتِ الْيَهُودُ وَالنَّصَارَىٰ نَحْنُ أَبْنَاءُ اللَّهِ وَأَحِبَّاؤُهُ ۚ قُلْ فَلِمَ يُعَذِّبُكُم بِذُنُوبِكُم ۖ بَلْ أَنتُم بَشَرٌ مِّمَّنْ خَلَقَ ۚ يَغْفِرُ لِمَن يَشَاءُ وَيُعَذِّبُ مَن يَشَاءُ ۚ وَلِلَّهِ مُلْكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَمَا بَيْنَهُمَا ۖ وَإِلَيْهِ الْمَصِيرُ (18) Era Abayudaaya n'aba Krisitayo bagamba nti ffe tuli baana ba Katonda era mikwanogye, bagambe ate lwaki alibabonereza olwebyonoono byammwe, ekituufu kiri nti mmwe muli bantu nga abalala beyatonda, asonyiwa gwaba ayagadde, era naabonereza gwaba ayagadde, era obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi nabyonna ebiri wakati wa byombi bya Katonda, ate nga gyali yeeri obuddo |
يَا أَهْلَ الْكِتَابِ قَدْ جَاءَكُمْ رَسُولُنَا يُبَيِّنُ لَكُمْ عَلَىٰ فَتْرَةٍ مِّنَ الرُّسُلِ أَن تَقُولُوا مَا جَاءَنَا مِن بَشِيرٍ وَلَا نَذِيرٍ ۖ فَقَدْ جَاءَكُم بَشِيرٌ وَنَذِيرٌ ۗ وَاللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (19) Abange mmwe abaweebwa ekitabo, mazima abagyidde omubaka waffe nga abayigiriza oluvanyuma lwokuyitawo akaseera nga tewali mubaka, muleme kugamba nti tetwajjirwa atuwa mawulire ga ssanyu ag’ejjana oba okututiisa omuliro, ekituufu kiri nti abawa amawulire agessanyu, era nga abatiisa n’omuliro yabajjira. Bulijjo Katonda muyinza waabuli kintu |
وَإِذْ قَالَ مُوسَىٰ لِقَوْمِهِ يَا قَوْمِ اذْكُرُوا نِعْمَةَ اللَّهِ عَلَيْكُمْ إِذْ جَعَلَ فِيكُمْ أَنبِيَاءَ وَجَعَلَكُم مُّلُوكًا وَآتَاكُم مَّا لَمْ يُؤْتِ أَحَدًا مِّنَ الْعَالَمِينَ (20) Era mujjukire Musa bweyagamba abantu be nti abange, bantu bange, mujjukire ekyengera Katonda kye yabawa bwe yabassaamu ba Nabbi (abangi), era mmwe n'abawa obuyinza era n'abawa ebintu byataawa muntu mulala yenna mu bitondebye |
يَا قَوْمِ ادْخُلُوا الْأَرْضَ الْمُقَدَّسَةَ الَّتِي كَتَبَ اللَّهُ لَكُمْ وَلَا تَرْتَدُّوا عَلَىٰ أَدْبَارِكُمْ فَتَنقَلِبُوا خَاسِرِينَ (21) Abange bantu bange (mulwane) muyingire ensi entukuvu eyo Katonda gyeyabalagaanyisa, temukyukanga nemukubayo amabega (nemudduka) nemufuuka abafaafaganiddwa |
قَالُوا يَا مُوسَىٰ إِنَّ فِيهَا قَوْمًا جَبَّارِينَ وَإِنَّا لَن نَّدْخُلَهَا حَتَّىٰ يَخْرُجُوا مِنْهَا فَإِن يَخْرُجُوا مِنْهَا فَإِنَّا دَاخِلُونَ (22) Nebagamba nti owange Musa mazima ensi eyo, erimu abantu bakirimaanyi, era mazima tetuyinza kuyingira mpozzi nga bagifulumye, bwebagifuluma olwo ffe nga tuyingira |
قَالَ رَجُلَانِ مِنَ الَّذِينَ يَخَافُونَ أَنْعَمَ اللَّهُ عَلَيْهِمَا ادْخُلُوا عَلَيْهِمُ الْبَابَ فَإِذَا دَخَلْتُمُوهُ فَإِنَّكُمْ غَالِبُونَ ۚ وَعَلَى اللَّهِ فَتَوَكَّلُوا إِن كُنتُم مُّؤْمِنِينَ (23) Abasajja babiri mwabo abatya Katonda, nga era Katonda yabawa ekyengera kyobukkiriza nebagamba nti, mubalumbe nga muyita ku mulyango omunene, kemuyingira mazima ddala mujja kuwangula, naye Katonda yekka gwemuba mwekwatako, bwe muba nga muli bakkiriza |
قَالُوا يَا مُوسَىٰ إِنَّا لَن نَّدْخُلَهَا أَبَدًا مَّا دَامُوا فِيهَا ۖ فَاذْهَبْ أَنتَ وَرَبُّكَ فَقَاتِلَا إِنَّا هَاهُنَا قَاعِدُونَ (24) Nebagamba nti owange Musa, mazima ffe tetujja kukiyingira ebbanga lye banaamala nga bakyakirimu, ggwe ne Katonda wo mugende mulwane ffe tusigadde wano |
قَالَ رَبِّ إِنِّي لَا أَمْلِكُ إِلَّا نَفْسِي وَأَخِي ۖ فَافْرُقْ بَيْنَنَا وَبَيْنَ الْقَوْمِ الْفَاسِقِينَ (25) (Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze sifuga okugyako omwoyo gwange ne muganda wange, lamula wakati waffe ne wakati w’abantu abonoonyi |
قَالَ فَإِنَّهَا مُحَرَّمَةٌ عَلَيْهِمْ ۛ أَرْبَعِينَ سَنَةً ۛ يَتِيهُونَ فِي الْأَرْضِ ۚ فَلَا تَأْسَ عَلَى الْقَوْمِ الْفَاسِقِينَ (26) Katonda (n’alamula) wakati waabwe naagamba nti ekyokuyingira kibagaaniddwa okumala emyaka ana, gyebaamala nga babulubuutira mu nsi, n’olwekyo tewennyamira olwabantu abajeemu |
۞ وَاتْلُ عَلَيْهِمْ نَبَأَ ابْنَيْ آدَمَ بِالْحَقِّ إِذْ قَرَّبَا قُرْبَانًا فَتُقُبِّلَ مِنْ أَحَدِهِمَا وَلَمْ يُتَقَبَّلْ مِنَ الْآخَرِ قَالَ لَأَقْتُلَنَّكَ ۖ قَالَ إِنَّمَا يَتَقَبَّلُ اللَّهُ مِنَ الْمُتَّقِينَ (27) Era basomere mu bulambulukufu ebikwata ku baana ba Adam ababiri bwe baawa ewa Katonda Saddaka, ey’omu nekkirizibwa, ate ey’omulala n’etakkirizibwa, kwekugamba nti nja kukuttira ddala (ye oli) naagamba nti mazima ddala Katonda akkiriza mirimu gyabo abamutya |
لَئِن بَسَطتَ إِلَيَّ يَدَكَ لِتَقْتُلَنِي مَا أَنَا بِبَاسِطٍ يَدِيَ إِلَيْكَ لِأَقْتُلَكَ ۖ إِنِّي أَخَافُ اللَّهَ رَبَّ الْعَالَمِينَ (28) (Naye) bwonongalulira omukono gwo onzite, nze sigenda ku kugalulira mukono gwange ku kutta, mazima nze ntya Katonda omulabirizi w’ebitonde |
إِنِّي أُرِيدُ أَن تَبُوءَ بِإِثْمِي وَإِثْمِكَ فَتَكُونَ مِنْ أَصْحَابِ النَّارِ ۚ وَذَٰلِكَ جَزَاءُ الظَّالِمِينَ (29) Mazima nze njagala ogende n’ekibi kyange n’ekikyo (singa onzita), olwo nno obeere mu bantu bo mu muliro, era nga bulijjo eyo ye mpeera y’abantu abeeyisa obubi |
فَطَوَّعَتْ لَهُ نَفْسُهُ قَتْلَ أَخِيهِ فَقَتَلَهُ فَأَصْبَحَ مِنَ الْخَاسِرِينَ (30) Omwoyo gwe omubi negumusalirawo okutta muganda we, era n'amutta naabeera mu baafaafaganirwa |
فَبَعَثَ اللَّهُ غُرَابًا يَبْحَثُ فِي الْأَرْضِ لِيُرِيَهُ كَيْفَ يُوَارِي سَوْءَةَ أَخِيهِ ۚ قَالَ يَا وَيْلَتَا أَعَجَزْتُ أَنْ أَكُونَ مِثْلَ هَٰذَا الْغُرَابِ فَأُوَارِيَ سَوْءَةَ أَخِي ۖ فَأَصْبَحَ مِنَ النَّادِمِينَ (31) Olwonno Katonda n’asindika Namungoona eyajja nga asima ettaka olwonno amulage engeri gyanaaziikamu omulambo gwa mugandawe, naagamba nti mbadde ki nze? nemeddwa okukola nga Namungoona bwakoze, mbe nga nziika omulambo gw’a muganda wange, awo naatandika okubeera mu bejjusa |
مِنْ أَجْلِ ذَٰلِكَ كَتَبْنَا عَلَىٰ بَنِي إِسْرَائِيلَ أَنَّهُ مَن قَتَلَ نَفْسًا بِغَيْرِ نَفْسٍ أَوْ فَسَادٍ فِي الْأَرْضِ فَكَأَنَّمَا قَتَلَ النَّاسَ جَمِيعًا وَمَنْ أَحْيَاهَا فَكَأَنَّمَا أَحْيَا النَّاسَ جَمِيعًا ۚ وَلَقَدْ جَاءَتْهُمْ رُسُلُنَا بِالْبَيِّنَاتِ ثُمَّ إِنَّ كَثِيرًا مِّنْهُم بَعْدَ ذَٰلِكَ فِي الْأَرْضِ لَمُسْرِفُونَ (32) Okusinziira ku ekyo twassa etteeka ku baana ba Israil nti mazima oyo atta omuntu atatemudde muntu, oba atakoze bwonoonefu mu nsi, mazima ddala aba nga asse abantu bonna., ate ataasa obulamu bw'omuntu omu aba nga ataasizza obulamu bwa bantu bonna, (ebyo abayudaaya baalibadde babitegeera) anti mazima ababaka baffe babaleetera amateeka amannyonnyofu, naye ate oluvanyuma lwekyo mazima bangi ku bo baasigala beeyisa bubi mu nsi |
إِنَّمَا جَزَاءُ الَّذِينَ يُحَارِبُونَ اللَّهَ وَرَسُولَهُ وَيَسْعَوْنَ فِي الْأَرْضِ فَسَادًا أَن يُقَتَّلُوا أَوْ يُصَلَّبُوا أَوْ تُقَطَّعَ أَيْدِيهِمْ وَأَرْجُلُهُم مِّنْ خِلَافٍ أَوْ يُنفَوْا مِنَ الْأَرْضِ ۚ ذَٰلِكَ لَهُمْ خِزْيٌ فِي الدُّنْيَا ۖ وَلَهُمْ فِي الْآخِرَةِ عَذَابٌ عَظِيمٌ (33) Mazima ddala empeera y’abo abalwanyisa Katonda n’omubaka we nebasaasaanya obwonoonefu mu nsi, (ekibonerezo kyabwe) kuttibwa, kukomererwa ku musaalaba, oba emikono na magulu gaabwe kutemwaako mu ngeri y’okuwaanyisibwa (nga bwebamutemako omukono ogwa dddyo, okugulu bamutemako kwa kkono) oba bawangangusibwe okuva mu nsi yaabwe, ekyo nno nga kubakkakkanya kuno ku nsi era nga ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kutuusibwako ebibonerezo ebikakali |
إِلَّا الَّذِينَ تَابُوا مِن قَبْلِ أَن تَقْدِرُوا عَلَيْهِمْ ۖ فَاعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (34) Okugyako abo abeenenya nga temunabakwata, era mumanye nti mazima ddala Katonda musonyiyi nnyo omusaasizi |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا اتَّقُوا اللَّهَ وَابْتَغُوا إِلَيْهِ الْوَسِيلَةَ وَجَاهِدُوا فِي سَبِيلِهِ لَعَلَّكُمْ تُفْلِحُونَ (35) Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era munoonye ekkubo erituuka gy'ali, era munyiikire nnyo mu kuweereza mu kkubo lye, ekiribayamba okubeera mu balituuka ku buwangizi (ku lunaku lw’enkomerero) |
إِنَّ الَّذِينَ كَفَرُوا لَوْ أَنَّ لَهُم مَّا فِي الْأَرْضِ جَمِيعًا وَمِثْلَهُ مَعَهُ لِيَفْتَدُوا بِهِ مِنْ عَذَابِ يَوْمِ الْقِيَامَةِ مَا تُقُبِّلَ مِنْهُمْ ۖ وَلَهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (36) Mazima abo abaakaafuwala singa mazima byonna ebiri mu nsi n’ebiringa byo nga obitadde wamu nebaagala okwenunula nabyo okuwona ebibonerezo by’olunaku lw’enkomerero, tebyandikkiriziddwa okuva gyebali, era baakussibwako e bibonerezo e biruma e nnyo |
يُرِيدُونَ أَن يَخْرُجُوا مِنَ النَّارِ وَمَا هُم بِخَارِجِينَ مِنْهَا ۖ وَلَهُمْ عَذَابٌ مُّقِيمٌ (37) Baliyagala okufuluma mu muliro ng’ate sibaakugufuluma, bagenda kutuukwako ebibonerezo e byolubeerera |
وَالسَّارِقُ وَالسَّارِقَةُ فَاقْطَعُوا أَيْدِيَهُمَا جَزَاءً بِمَا كَسَبَا نَكَالًا مِّنَ اللَّهِ ۗ وَاللَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٌ (38) Omubbi omusajja n'omubbi omukazi mubatemeko emikono gyaabwe bombi, nga mpeera (kibonerezo) yeekyo kyebakoze, era nga kyakulabirako ekyassibwawo Katonda ekikanga abalala, bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga |
فَمَن تَابَ مِن بَعْدِ ظُلْمِهِ وَأَصْلَحَ فَإِنَّ اللَّهَ يَتُوبُ عَلَيْهِ ۗ إِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (39) Oyo yenna eyeenenya oluvanyuma lwokweyisa kwe obubi naalongoosa, mazima Katonda akkiriza okwenenya kwe, anti bulijjo mazima Katonda musonyiyi musaasizi |
أَلَمْ تَعْلَمْ أَنَّ اللَّهَ لَهُ مُلْكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ يُعَذِّبُ مَن يَشَاءُ وَيَغْفِرُ لِمَن يَشَاءُ ۗ وَاللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (40) Tomanyi nti mazima ddala obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi bwa Katonda, abonereza gwaba ayagadde ate naasonyiwa gwaba ayagadde, bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu kyonna |
۞ يَا أَيُّهَا الرَّسُولُ لَا يَحْزُنكَ الَّذِينَ يُسَارِعُونَ فِي الْكُفْرِ مِنَ الَّذِينَ قَالُوا آمَنَّا بِأَفْوَاهِهِمْ وَلَمْ تُؤْمِن قُلُوبُهُمْ ۛ وَمِنَ الَّذِينَ هَادُوا ۛ سَمَّاعُونَ لِلْكَذِبِ سَمَّاعُونَ لِقَوْمٍ آخَرِينَ لَمْ يَأْتُوكَ ۖ يُحَرِّفُونَ الْكَلِمَ مِن بَعْدِ مَوَاضِعِهِ ۖ يَقُولُونَ إِنْ أُوتِيتُمْ هَٰذَا فَخُذُوهُ وَإِن لَّمْ تُؤْتَوْهُ فَاحْذَرُوا ۚ وَمَن يُرِدِ اللَّهُ فِتْنَتَهُ فَلَن تَمْلِكَ لَهُ مِنَ اللَّهِ شَيْئًا ۚ أُولَٰئِكَ الَّذِينَ لَمْ يُرِدِ اللَّهُ أَن يُطَهِّرَ قُلُوبَهُمْ ۚ لَهُمْ فِي الدُّنْيَا خِزْيٌ ۖ وَلَهُمْ فِي الْآخِرَةِ عَذَابٌ عَظِيمٌ (41) Owange ggwe omubaka, tebakunakuwazanga abo abavuganya mu kuwakanya(obwannabbi bwo), mu abo abagamba n'emimwa gyaabwe nti tukkirizza so nga e mitima gyabwe tegikkiriza. Ne mu Bayudaaya abakkiriza e bigambo byobulimba, era abawuliriza kulwa bantu abalala ababa tebazze mu nkungaanazo nebakyusa e bigambo okubiggya mu bifo byabyo nga bagamba (bannaabwe nti), bwemuweebwa kino mukitwale, bwekitabaweebwa mwekeke, naye Katonda gwaba ayagadde okugezesa toyinza kumuyamba mu kintu kyonna ewa Katonda, abo beebo Katonda baatayagala kutukuza mitima gyaabwe, obuswaavu buli ku bo kuno ku nsi, era ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kussibwaako ebibonerezo ebikambwe |
سَمَّاعُونَ لِلْكَذِبِ أَكَّالُونَ لِلسُّحْتِ ۚ فَإِن جَاءُوكَ فَاحْكُم بَيْنَهُمْ أَوْ أَعْرِضْ عَنْهُمْ ۖ وَإِن تُعْرِضْ عَنْهُمْ فَلَن يَضُرُّوكَ شَيْئًا ۖ وَإِنْ حَكَمْتَ فَاحْكُم بَيْنَهُم بِالْقِسْطِ ۚ إِنَّ اللَّهَ يُحِبُّ الْمُقْسِطِينَ (42) Bawuliriza ebigambo ebyobulimba, balya emmaali gyebafuna mu makubo aga haramu, singa bajja gyoli (Ggwe Muhammad) lamula wakati waabwe oba baveeko, bwoba obavuddeko tebagenda kukutuusaako kabi, naye bwobanga osazeewo okubalamula, lamula wakati waabwe n'obwenkyanya, anti bulijjo Katonda ayagala abakola obwenkanya |
وَكَيْفَ يُحَكِّمُونَكَ وَعِندَهُمُ التَّوْرَاةُ فِيهَا حُكْمُ اللَّهِ ثُمَّ يَتَوَلَّوْنَ مِن بَعْدِ ذَٰلِكَ ۚ وَمَا أُولَٰئِكَ بِالْمُؤْمِنِينَ (43) Naye lwaki basalawo ggwe obalamule, nga ate balina Taurat erimu okulamula kwa Katonda, ate oluvanyuma nebagikuba amabega, abo sibakkiriza (naakatono) |
إِنَّا أَنزَلْنَا التَّوْرَاةَ فِيهَا هُدًى وَنُورٌ ۚ يَحْكُمُ بِهَا النَّبِيُّونَ الَّذِينَ أَسْلَمُوا لِلَّذِينَ هَادُوا وَالرَّبَّانِيُّونَ وَالْأَحْبَارُ بِمَا اسْتُحْفِظُوا مِن كِتَابِ اللَّهِ وَكَانُوا عَلَيْهِ شُهَدَاءَ ۚ فَلَا تَخْشَوُا النَّاسَ وَاخْشَوْنِ وَلَا تَشْتَرُوا بِآيَاتِي ثَمَنًا قَلِيلًا ۚ وَمَن لَّمْ يَحْكُم بِمَا أَنزَلَ اللَّهُ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الْكَافِرُونَ (44) Mazima ffe twassa Taurat nga erimu obulungamu nekitangaala, bannabbi ba bayudaaya era bulijjo abamanyiddwa nti beewaayo eri Katonda, nga gyebakozesa okulamula abayudaaya, nga ne banna ddiini n'abakugu mu ddiini nga gyebalamuza olwobwesigwa obwabakwasibwa nga buva mu Kitabo kya Katonda babe nga bakuuma Taurat, era ku ekyo baali bajulizi kale nno temutyanga abantu mutye nze, ebigambo byange temubiwanyisangamu omuwendo omutono, oyo yenna atalamuza ebyo Katonda byeyassa, abo nno be bakaafiiri abannamaddala |
وَكَتَبْنَا عَلَيْهِمْ فِيهَا أَنَّ النَّفْسَ بِالنَّفْسِ وَالْعَيْنَ بِالْعَيْنِ وَالْأَنفَ بِالْأَنفِ وَالْأُذُنَ بِالْأُذُنِ وَالسِّنَّ بِالسِّنِّ وَالْجُرُوحَ قِصَاصٌ ۚ فَمَن تَصَدَّقَ بِهِ فَهُوَ كَفَّارَةٌ لَّهُ ۚ وَمَن لَّمْ يَحْكُم بِمَا أَنزَلَ اللَّهُ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الظَّالِمُونَ (45) Era (mu Taurat eyo) twabalaalikako nti mazima omuntu attibwa olwokutta omuntu, n’eriiso liggyibwamu olw’okugyamu eriiso, nennyindo esalwako olwokmuhiuddin khanusala ennyindo y'omulala, n'okutu kusalwako olwokusala okutu kw'omuntu, n'erinnyo balikulamu olwokukuula erinnyo lyomuntu, n'ebiwundu bisasulwa. Wabula omuntu akisonyiwa kimubeerera e nsonga yo kumusonyiwa e bibibye. Era bulijjo omuntu yenna atalamuza Katonda bye yassa abo nno be bantu abeeyisa obubi |
وَقَفَّيْنَا عَلَىٰ آثَارِهِم بِعِيسَى ابْنِ مَرْيَمَ مُصَدِّقًا لِّمَا بَيْنَ يَدَيْهِ مِنَ التَّوْرَاةِ ۖ وَآتَيْنَاهُ الْإِنجِيلَ فِيهِ هُدًى وَنُورٌ وَمُصَدِّقًا لِّمَا بَيْنَ يَدَيْهِ مِنَ التَّوْرَاةِ وَهُدًى وَمَوْعِظَةً لِّلْمُتَّقِينَ (46) Mu buwufu bwabwe (Abayudaaya) twagoberezaako Isa Mutabani wa Mariam ng’akakasa ebyo ebyamukulembera ebiri mu Taurat, era yajja nga bulungamu, era ekyokubuulirira eri abo abatya Katonda |
وَلْيَحْكُمْ أَهْلُ الْإِنجِيلِ بِمَا أَنزَلَ اللَّهُ فِيهِ ۚ وَمَن لَّمْ يَحْكُم بِمَا أَنزَلَ اللَّهُ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الْفَاسِقُونَ (47) Kale nno abantu benjiri bateekeddwa okulamuza ebyo Katonda byeyassa mu yo, omuntu yenna atalamuza ebyo Katonda byeyassa abo nno bo be bonoonyi |
وَأَنزَلْنَا إِلَيْكَ الْكِتَابَ بِالْحَقِّ مُصَدِّقًا لِّمَا بَيْنَ يَدَيْهِ مِنَ الْكِتَابِ وَمُهَيْمِنًا عَلَيْهِ ۖ فَاحْكُم بَيْنَهُم بِمَا أَنزَلَ اللَّهُ ۖ وَلَا تَتَّبِعْ أَهْوَاءَهُمْ عَمَّا جَاءَكَ مِنَ الْحَقِّ ۚ لِكُلٍّ جَعَلْنَا مِنكُمْ شِرْعَةً وَمِنْهَاجًا ۚ وَلَوْ شَاءَ اللَّهُ لَجَعَلَكُمْ أُمَّةً وَاحِدَةً وَلَٰكِن لِّيَبْلُوَكُمْ فِي مَا آتَاكُمْ ۖ فَاسْتَبِقُوا الْخَيْرَاتِ ۚ إِلَى اللَّهِ مَرْجِعُكُمْ جَمِيعًا فَيُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمْ فِيهِ تَخْتَلِفُونَ (48) Era twassa gyoli (Ggwe Muhammad) ekitabo, mu bulambulukufu nga kikakasa e bitabo byonna e byakikulembera era nga kye kibisukkulumye. Kale lamula wakati waabwe nga okozesa e byo Katonda byeyassa togezaako okugoberera okwagala kwa bwe obe nga oleka amazima agakujjidde, buli bamu mu mmwe twabawa amateeka n'enkola singa Katonda yayagala yaalibafudde ekibiina kimu naye yayagala okubakema olwebyo byeyabawa, kale nno muvuganye mu kukola e birungi, anti eri Katonda yeeri obuddo bwa mmwe mwenna, gyalibategeereza ebyo byemwayawukanamu |
وَأَنِ احْكُم بَيْنَهُم بِمَا أَنزَلَ اللَّهُ وَلَا تَتَّبِعْ أَهْوَاءَهُمْ وَاحْذَرْهُمْ أَن يَفْتِنُوكَ عَن بَعْضِ مَا أَنزَلَ اللَّهُ إِلَيْكَ ۖ فَإِن تَوَلَّوْا فَاعْلَمْ أَنَّمَا يُرِيدُ اللَّهُ أَن يُصِيبَهُم بِبَعْضِ ذُنُوبِهِمْ ۗ وَإِنَّ كَثِيرًا مِّنَ النَّاسِ لَفَاسِقُونَ (49) Era lamula wakati waabwe ng’okozesa ebyo Katonda byeyassa, togobereranga okwagala kwa bwe era beegendereze baleme kukuggya ku bimu ku ebyo Katonda byeyassa gyoli, bwebaba nga bakoze e kyennyume kyekyo, manya nti mazima Katonda ayagala okubavunaana olw'ebimu ku byonoono byabwe, wabula nga bulijjo abantu abasinga obungi bonoonyi |
أَفَحُكْمَ الْجَاهِلِيَّةِ يَبْغُونَ ۚ وَمَنْ أَحْسَنُ مِنَ اللَّهِ حُكْمًا لِّقَوْمٍ يُوقِنُونَ (50) Ennamula y’ebiseera byobutamanya gyebaagala okukozesa! ani ayinza okuwa okulamula okulungi okusinga okuva ewa Katonda eri abo abakozesa amagezi gaabwe mu butuufu |
۞ يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تَتَّخِذُوا الْيَهُودَ وَالنَّصَارَىٰ أَوْلِيَاءَ ۘ بَعْضُهُمْ أَوْلِيَاءُ بَعْضٍ ۚ وَمَن يَتَوَلَّهُم مِّنكُمْ فَإِنَّهُ مِنْهُمْ ۗ إِنَّ اللَّهَ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الظَّالِمِينَ (51) Abange mmwe abakkiriza temuufulanga abayudaaya n'abakrisitayo mikwano gyammwe ab'omunda, anti abamu ffa nfe w’abalala, yenna abafuula mikwano gye mu mmwe, mazima yye aba afuuse wa mu bo, anti mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi |
فَتَرَى الَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٌ يُسَارِعُونَ فِيهِمْ يَقُولُونَ نَخْشَىٰ أَن تُصِيبَنَا دَائِرَةٌ ۚ فَعَسَى اللَّهُ أَن يَأْتِيَ بِالْفَتْحِ أَوْ أَمْرٍ مِّنْ عِندِهِ فَيُصْبِحُوا عَلَىٰ مَا أَسَرُّوا فِي أَنفُسِهِمْ نَادِمِينَ (52) Ojja kulaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga babeeyunira nga bagamba nti (ekitukozesa kino) tutya okuba nga tutuukibwako ekitutuusaako obuzibu, naye lumu Katonda agenda kuleeta obuwanguzi oba ekintu kyonna okuva gyali, balikeesa enkya nga bejjusa olwebyo bye baakweeka mu mitima gyabwe |
وَيَقُولُ الَّذِينَ آمَنُوا أَهَٰؤُلَاءِ الَّذِينَ أَقْسَمُوا بِاللَّهِ جَهْدَ أَيْمَانِهِمْ ۙ إِنَّهُمْ لَمَعَكُمْ ۚ حَبِطَتْ أَعْمَالُهُمْ فَأَصْبَحُوا خَاسِرِينَ (53) Ate bbo abakkiriza baligamba nti abo beebo abaalayira Katonda nga bakakasa ebirayiro byabwe!, bwebaagamba nti mazima ddala bo bali wamu nammwe, byebakola byonna byafa togge, olwo nno nebaba nga bafaafaganiddwa |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا مَن يَرْتَدَّ مِنكُمْ عَن دِينِهِ فَسَوْفَ يَأْتِي اللَّهُ بِقَوْمٍ يُحِبُّهُمْ وَيُحِبُّونَهُ أَذِلَّةٍ عَلَى الْمُؤْمِنِينَ أَعِزَّةٍ عَلَى الْكَافِرِينَ يُجَاهِدُونَ فِي سَبِيلِ اللَّهِ وَلَا يَخَافُونَ لَوْمَةَ لَائِمٍ ۚ ذَٰلِكَ فَضْلُ اللَّهِ يُؤْتِيهِ مَن يَشَاءُ ۚ وَاللَّهُ وَاسِعٌ عَلِيمٌ (54) Abange mmwe abakkiriza oyo yenna ava mu ddiini ye akimanye nti Katonda agenda kuleeta abantu (abalala) abamwagala nga naye abaagala, abakkakkamu mu maaso ga bakkiriza, nga beegulumiza mu maaso ga bakaafiiri, nga beewaayo mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, era nga tebatya kunenya kwa munenyi yenna, ebyo birungi bya Katonda abiwa gwaba ayagadde, bulijjo Katonda mugazi mu buli kintu, mumanyi nnyo |
إِنَّمَا وَلِيُّكُمُ اللَّهُ وَرَسُولُهُ وَالَّذِينَ آمَنُوا الَّذِينَ يُقِيمُونَ الصَّلَاةَ وَيُؤْتُونَ الزَّكَاةَ وَهُمْ رَاكِعُونَ (55) Mazima mukwano gwa mmwe ow’omunda Katonda, n’omubaka we naabo abakkiriza, abo abayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka, era nga bakutama ku maviivi (nga basaala) |
وَمَن يَتَوَلَّ اللَّهَ وَرَسُولَهُ وَالَّذِينَ آمَنُوا فَإِنَّ حِزْبَ اللَّهِ هُمُ الْغَالِبُونَ (56) Oyo yenna asalawo mukwano gwe ow’omunda okuba Katonda n'omubaka we, n'abo abakkiriza, anti bulijjo e kibiina kya Katonda bo be b'okuwangula |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تَتَّخِذُوا الَّذِينَ اتَّخَذُوا دِينَكُمْ هُزُوًا وَلَعِبًا مِّنَ الَّذِينَ أُوتُوا الْكِتَابَ مِن قَبْلِكُمْ وَالْكُفَّارَ أَوْلِيَاءَ ۚ وَاتَّقُوا اللَّهَ إِن كُنتُم مُّؤْمِنِينَ (57) Abange abakkiriza temufuula abemikwano egyomunda gyemuli abo abafuula eddiini yammwe e kyokusaagirako era e kyokuzannyisa, mu abo abaaweebwa e kitabo oluberyeberye lwa mmwe, n’abakaafiiri. Bulijjo bulijjo mutye Katonda bwe muba nga muli bakkiriza |
وَإِذَا نَادَيْتُمْ إِلَى الصَّلَاةِ اتَّخَذُوهَا هُزُوًا وَلَعِبًا ۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمْ قَوْمٌ لَّا يَعْقِلُونَ (58) (Mmwe) bwemukowoola abantu okujja okusaala bakitwala nga kyakusaaga era nga kyamuzannyo, bakola batyo lwakuba nti ddala bbo bantu abatategeera |
قُلْ يَا أَهْلَ الْكِتَابِ هَلْ تَنقِمُونَ مِنَّا إِلَّا أَنْ آمَنَّا بِاللَّهِ وَمَا أُنزِلَ إِلَيْنَا وَمَا أُنزِلَ مِن قَبْلُ وَأَنَّ أَكْثَرَكُمْ فَاسِقُونَ (59) Gamba nti: abange mmwe abaaweebwa e kitabo, abaffe waliwo kyemutunyiigira okugyako okuba nti tukkiriza Katonda n'ebyo e byassibwa gyetuli, n'ebyo e byassibwa oluberyeberye era nga na lwakuba nti abasinga mu mmwe boonoonyi |
قُلْ هَلْ أُنَبِّئُكُم بِشَرٍّ مِّن ذَٰلِكَ مَثُوبَةً عِندَ اللَّهِ ۚ مَن لَّعَنَهُ اللَّهُ وَغَضِبَ عَلَيْهِ وَجَعَلَ مِنْهُمُ الْقِرَدَةَ وَالْخَنَازِيرَ وَعَبَدَ الطَّاغُوتَ ۚ أُولَٰئِكَ شَرٌّ مَّكَانًا وَأَضَلُّ عَن سَوَاءِ السَّبِيلِ (60) Gamba nti abaffe mbategeeze oyo alifuna empeera esinga okuba embi ewa Katonda? be bantu Katonda beyakolimira nabasunguwalira, abamu ku bo nabafuula enkobe ne mbizzi n’abamu nebasinza Sitane, abo nno beebalina ekifo ekisinga obubi era beebasinga okubula okuva ku kkubo ettuufu |
وَإِذَا جَاءُوكُمْ قَالُوا آمَنَّا وَقَد دَّخَلُوا بِالْكُفْرِ وَهُمْ قَدْ خَرَجُوا بِهِ ۚ وَاللَّهُ أَعْلَمُ بِمَا كَانُوا يَكْتُمُونَ (61) Bwe bajja gyemuli bagamba nti tukkiriza naye mazima bayingira n’obukaafiiri era nebafuluma nabwo, Katonda amanyi nnyo byonna bye bakweka |
وَتَرَىٰ كَثِيرًا مِّنْهُمْ يُسَارِعُونَ فِي الْإِثْمِ وَالْعُدْوَانِ وَأَكْلِهِمُ السُّحْتَ ۚ لَبِئْسَ مَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (62) Ogenda noolaba nga bangi mu bo banguyirira nnyo okukola ekibi nobulumbaganyi n’okulya kwabwe ebya Haramu, kibi nnyo kyebakola |
لَوْلَا يَنْهَاهُمُ الرَّبَّانِيُّونَ وَالْأَحْبَارُ عَن قَوْلِهِمُ الْإِثْمَ وَأَكْلِهِمُ السُّحْتَ ۚ لَبِئْسَ مَا كَانُوا يَصْنَعُونَ (63) Waakiri singa ba nnaddiini n'abakugu mu kumanya e ddiini babakomako ku bigambo e bibi n’okulya e mmaali eya Haramu, kibi nnyo kyebakola |
وَقَالَتِ الْيَهُودُ يَدُ اللَّهِ مَغْلُولَةٌ ۚ غُلَّتْ أَيْدِيهِمْ وَلُعِنُوا بِمَا قَالُوا ۘ بَلْ يَدَاهُ مَبْسُوطَتَانِ يُنفِقُ كَيْفَ يَشَاءُ ۚ وَلَيَزِيدَنَّ كَثِيرًا مِّنْهُم مَّا أُنزِلَ إِلَيْكَ مِن رَّبِّكَ طُغْيَانًا وَكُفْرًا ۚ وَأَلْقَيْنَا بَيْنَهُمُ الْعَدَاوَةَ وَالْبَغْضَاءَ إِلَىٰ يَوْمِ الْقِيَامَةِ ۚ كُلَّمَا أَوْقَدُوا نَارًا لِّلْحَرْبِ أَطْفَأَهَا اللَّهُ ۚ وَيَسْعَوْنَ فِي الْأَرْضِ فَسَادًا ۚ وَاللَّهُ لَا يُحِبُّ الْمُفْسِدِينَ (64) Abayudaaya baagamba nti omukono gwa Katonda mu kolige, emikono gyabwe gye gyakoligibwa, ne bakolimirwa olwebyo byebayogera, e kituufu kiri nti e mikono gye gyombiriri myanjulukufu agaba nga bwayagala, e byo ebyassibwa gyoli okuva ewa Katonda wo bijja kwongerera ddala bangi mu bo obubuze nobukafiiri, era twassa wakati waabwe obulabe n'obukyayi okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, buli lwonna lwe bakoleeza omuliro gw’olutalo nga Katonda aguzikiza, era basaasaanya mu nsi obwonoonefu, naye bulijjo Katonda tayagala boonoonyi |
وَلَوْ أَنَّ أَهْلَ الْكِتَابِ آمَنُوا وَاتَّقَوْا لَكَفَّرْنَا عَنْهُمْ سَيِّئَاتِهِمْ وَلَأَدْخَلْنَاهُمْ جَنَّاتِ النَّعِيمِ (65) So singa ddala abaaweebwa e kitabo bakkiriza nebatya Katonda twandibasonyiye e byonoono byabwe, era twandibayingizza e jjana ey’ebyengera |
وَلَوْ أَنَّهُمْ أَقَامُوا التَّوْرَاةَ وَالْإِنجِيلَ وَمَا أُنزِلَ إِلَيْهِم مِّن رَّبِّهِمْ لَأَكَلُوا مِن فَوْقِهِمْ وَمِن تَحْتِ أَرْجُلِهِم ۚ مِّنْهُمْ أُمَّةٌ مُّقْتَصِدَةٌ ۖ وَكَثِيرٌ مِّنْهُمْ سَاءَ مَا يَعْمَلُونَ (66) Era mazima singa bo bayimirizaawo Taurat ne Enjili na byonna e byassibwa gye bali okuva ewa Katonda waabwe, bandiridde okuva waggulu waabwe ne wansi w'ebigere byabwe, mu bo mulimu Abantu abeesimbu naye abangi mu bo byebakola bibi |
۞ يَا أَيُّهَا الرَّسُولُ بَلِّغْ مَا أُنزِلَ إِلَيْكَ مِن رَّبِّكَ ۖ وَإِن لَّمْ تَفْعَلْ فَمَا بَلَّغْتَ رِسَالَتَهُ ۚ وَاللَّهُ يَعْصِمُكَ مِنَ النَّاسِ ۗ إِنَّ اللَّهَ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الْكَافِرِينَ (67) Owange Ggwe omubaka tuusa gyebali ebyo e byassibwa gyoli okuva ewa Katondawo, bwotakikole ojja kuba totuukirizza bubakabwe (totya) Katonda ajja kukuuma ku Bantu, mazima Katonda talungamya kibiina kya bakaafiiri |
قُلْ يَا أَهْلَ الْكِتَابِ لَسْتُمْ عَلَىٰ شَيْءٍ حَتَّىٰ تُقِيمُوا التَّوْرَاةَ وَالْإِنجِيلَ وَمَا أُنزِلَ إِلَيْكُم مِّن رَّبِّكُمْ ۗ وَلَيَزِيدَنَّ كَثِيرًا مِّنْهُم مَّا أُنزِلَ إِلَيْكَ مِن رَّبِّكَ طُغْيَانًا وَكُفْرًا ۖ فَلَا تَأْسَ عَلَى الْقَوْمِ الْكَافِرِينَ (68) Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti temulina kyemuliko okugyako nga muyimirizzaawo Taurat ne Enjili na byonna e byassibwa gyemuli okuva ewa mukama omulabirizi wa mmwe. ebyo e byassibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabirizi wo bijja kwongera bangi mu bo obubuze n'obukaafiiri, tonakuwala olwa bantu abakaafiiri |
إِنَّ الَّذِينَ آمَنُوا وَالَّذِينَ هَادُوا وَالصَّابِئُونَ وَالنَّصَارَىٰ مَنْ آمَنَ بِاللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ وَعَمِلَ صَالِحًا فَلَا خَوْفٌ عَلَيْهِمْ وَلَا هُمْ يَحْزَنُونَ (69) Mazima abo abakkiriza, na Bayudaaya ne ba Swabi-uuna (be bantu abataasinza bintu bitali Katonda omu so nga ate tebaalina ddini ya mu ggulu yonna gyebaaliko) n'abakrisitayo, oyo yenna eyakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero naakola e mirimu e mirungi (abo) tebalina kutya era tebagenda kunakuwala |
لَقَدْ أَخَذْنَا مِيثَاقَ بَنِي إِسْرَائِيلَ وَأَرْسَلْنَا إِلَيْهِمْ رُسُلًا ۖ كُلَّمَا جَاءَهُمْ رَسُولٌ بِمَا لَا تَهْوَىٰ أَنفُسُهُمْ فَرِيقًا كَذَّبُوا وَفَرِيقًا يَقْتُلُونَ (70) Twakozesa abaana ba Israil endagaano era netubatumira ababaka wabula buli lweyabajjiranga omubaka n’ebyo emyoyo gyaabwe byegitayagala nga ekitundu bakirimbisa nga ate abalala babatta |
وَحَسِبُوا أَلَّا تَكُونَ فِتْنَةٌ فَعَمُوا وَصَمُّوا ثُمَّ تَابَ اللَّهُ عَلَيْهِمْ ثُمَّ عَمُوا وَصَمُّوا كَثِيرٌ مِّنْهُمْ ۚ وَاللَّهُ بَصِيرٌ بِمَا يَعْمَلُونَ (71) Baalowooza nti ekyo tekijja kuvaako mutawaana, naye nebafuuka ba muzibe era bakiggala, oluvanyuma Katonda yakkiriza okwenenya kwaabwe, ate bangi mu bo baddamu nebafuuka ba muzibe era bakiggala, Katonda bulijjo alaba byebakola |
لَقَدْ كَفَرَ الَّذِينَ قَالُوا إِنَّ اللَّهَ هُوَ الْمَسِيحُ ابْنُ مَرْيَمَ ۖ وَقَالَ الْمَسِيحُ يَا بَنِي إِسْرَائِيلَ اعْبُدُوا اللَّهَ رَبِّي وَرَبَّكُمْ ۖ إِنَّهُ مَن يُشْرِكْ بِاللَّهِ فَقَدْ حَرَّمَ اللَّهُ عَلَيْهِ الْجَنَّةَ وَمَأْوَاهُ النَّارُ ۖ وَمَا لِلظَّالِمِينَ مِنْ أَنصَارٍ (72) Mazima baakaafuwala abo abagamba nti ddala Katonda ye Masiya mutabani wa mariam, nga ate Masiya yagamba nti abange abaana ba Israil musinze Katonda Mukama wange era nga ye Mukama wa mmwe, mazima ddala oyo agatta ku Katonda ekintu ekirala Katonda yamuziyizaako okuyingira e jjana, nga n’obuddobwe muliro. Era abeeyisa obubi tebagenda kuba namutaasa yenna |
لَّقَدْ كَفَرَ الَّذِينَ قَالُوا إِنَّ اللَّهَ ثَالِثُ ثَلَاثَةٍ ۘ وَمَا مِنْ إِلَٰهٍ إِلَّا إِلَٰهٌ وَاحِدٌ ۚ وَإِن لَّمْ يَنتَهُوا عَمَّا يَقُولُونَ لَيَمَسَّنَّ الَّذِينَ كَفَرُوا مِنْهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (73) Mazima baakaafuwala abo abagamba nti mazima ddala Katonda yoomu ku basatu (abakola Katonda omu) ekituufu kiri nti tewali Katonda yenna okugyako Katonda omu era bwe bateekomeko ku bye boogera, abo abaakafuwala mu bo bajja kutuukwako e bibonerezo e biruma |
أَفَلَا يَتُوبُونَ إِلَى اللَّهِ وَيَسْتَغْفِرُونَهُ ۚ وَاللَّهُ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (74) Abaffe, tebayinza kwenenyeza Katonda nebamusaba ekisonyiwo. Ate nga bulijjo Katonda musonyiyi waakisa |
مَّا الْمَسِيحُ ابْنُ مَرْيَمَ إِلَّا رَسُولٌ قَدْ خَلَتْ مِن قَبْلِهِ الرُّسُلُ وَأُمُّهُ صِدِّيقَةٌ ۖ كَانَا يَأْكُلَانِ الطَّعَامَ ۗ انظُرْ كَيْفَ نُبَيِّنُ لَهُمُ الْآيَاتِ ثُمَّ انظُرْ أَنَّىٰ يُؤْفَكُونَ (75) Masiya mutabani wa Mariam tali kintu kirala kyonna okugyako okuba nti Mubaka wa Katonda era nga ddala ababaka bangi abaamukulembera, ne Maama we yali Mukazi omukkiriza ow'amazima bombi baalyanga emmere, tunula olabe engeri gyetubannyonnyolamu ebigambo ate tunula olabe engeri gyebawugulwa |
قُلْ أَتَعْبُدُونَ مِن دُونِ اللَّهِ مَا لَا يَمْلِكُ لَكُمْ ضَرًّا وَلَا نَفْعًا ۚ وَاللَّهُ هُوَ السَّمِيعُ الْعَلِيمُ (76) Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti abaffe musinza ebintu ebitali Katonda, ebitayinza kubatuusaako kabi konna wadde ekirungi, era Katonda yye bulijjo awulira era amanyi nnyo |
قُلْ يَا أَهْلَ الْكِتَابِ لَا تَغْلُوا فِي دِينِكُمْ غَيْرَ الْحَقِّ وَلَا تَتَّبِعُوا أَهْوَاءَ قَوْمٍ قَدْ ضَلُّوا مِن قَبْلُ وَأَضَلُّوا كَثِيرًا وَضَلُّوا عَن سَوَاءِ السَّبِيلِ (77) Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo temusukkanga ekigero ekyetaagisa nga mukola eddiini yammwe ebyobutaliimu, era temugobereranga okwagala kw’abantu, mazima bo basooka nebabula era nebabuza n’abantu bangi, era nebabulira ddala okuva ku kkubo eggolokofu |
لُعِنَ الَّذِينَ كَفَرُوا مِن بَنِي إِسْرَائِيلَ عَلَىٰ لِسَانِ دَاوُودَ وَعِيسَى ابْنِ مَرْيَمَ ۚ ذَٰلِكَ بِمَا عَصَوا وَّكَانُوا يَعْتَدُونَ (78) Baakolimirwa abo Abaakaafuwala mu baana ba Israil ku lulimi lwa Dauda ne Issa Mutabani wa Mariam, ekyo nno kulwakujeema kwaabw,e era nga bulijjo baasukkanga (Amateeka g’a Katonda) |
كَانُوا لَا يَتَنَاهَوْنَ عَن مُّنكَرٍ فَعَلُوهُ ۚ لَبِئْسَ مَا كَانُوا يَفْعَلُونَ (79) Tebeekomangako ku mize gyebaakolanga, kibi ddala ekyo kyebaakolanga |
تَرَىٰ كَثِيرًا مِّنْهُمْ يَتَوَلَّوْنَ الَّذِينَ كَفَرُوا ۚ لَبِئْسَ مَا قَدَّمَتْ لَهُمْ أَنفُسُهُمْ أَن سَخِطَ اللَّهُ عَلَيْهِمْ وَفِي الْعَذَابِ هُمْ خَالِدُونَ (80) Olaba bangi mu bo nga bafuula abakaafiiri mikwano gyaabwe egyomunda, kibi nnyo emyoyo gyaabwe gyekyabasalirawo ekyatuusa Katonda okubasunguwalira era nga baakutuula bugenderevu mu bibonerezo |
وَلَوْ كَانُوا يُؤْمِنُونَ بِاللَّهِ وَالنَّبِيِّ وَمَا أُنزِلَ إِلَيْهِ مَا اتَّخَذُوهُمْ أَوْلِيَاءَ وَلَٰكِنَّ كَثِيرًا مِّنْهُمْ فَاسِقُونَ (81) Singa baali bakkiriza Katonda ne Nabbi n’ebyassibwa gyali tebandibafudde mikwano gyaabwe egyomunda, naye bangi mu bo boonoonyi |
۞ لَتَجِدَنَّ أَشَدَّ النَّاسِ عَدَاوَةً لِّلَّذِينَ آمَنُوا الْيَهُودَ وَالَّذِينَ أَشْرَكُوا ۖ وَلَتَجِدَنَّ أَقْرَبَهُم مَّوَدَّةً لِّلَّذِينَ آمَنُوا الَّذِينَ قَالُوا إِنَّا نَصَارَىٰ ۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّ مِنْهُمْ قِسِّيسِينَ وَرُهْبَانًا وَأَنَّهُمْ لَا يَسْتَكْبِرُونَ (82) Ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'obulabe eri abo abakkiriza be bayudaaya naabo abagatta ku Katonda ebintu ebirala era ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'omukwano ogw'okumpi eri abo abakkiriza beebo abagamba nti mazima ffe tuli ba Kristayo, ekyo nno lwakuba nti mazima ddala mu bo mulimu abayivu mu bye ddiini, na Basosorodoti era nalwakuba nti bo tebeekuluntaza |
وَإِذَا سَمِعُوا مَا أُنزِلَ إِلَى الرَّسُولِ تَرَىٰ أَعْيُنَهُمْ تَفِيضُ مِنَ الدَّمْعِ مِمَّا عَرَفُوا مِنَ الْحَقِّ ۖ يَقُولُونَ رَبَّنَا آمَنَّا فَاكْتُبْنَا مَعَ الشَّاهِدِينَ (83) Bwebaba bawulidde e byassibwa ku Mubaka, olaba amaaso gaabwe nga gakulukusa amaziga olwamazima gebaba bategedde nebagamba nti ayi Mukama Katonda waffe tukkirizza tuwandiike mu bajulizi |
وَمَا لَنَا لَا نُؤْمِنُ بِاللَّهِ وَمَا جَاءَنَا مِنَ الْحَقِّ وَنَطْمَعُ أَن يُدْخِلَنَا رَبُّنَا مَعَ الْقَوْمِ الصَّالِحِينَ (84) Tuyinza tutya obutakkiriza Katonda ku mazima gano agamaze okutujjira! ate nga era tuyaayaanira okuba nga Mukama omukuumi waffe atuyingiza e jjana awamu n'abantu abalongoofu |
فَأَثَابَهُمُ اللَّهُ بِمَا قَالُوا جَنَّاتٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ خَالِدِينَ فِيهَا ۚ وَذَٰلِكَ جَزَاءُ الْمُحْسِنِينَ (85) Olwo nno Katonda naabasasula ku lw'ebyo bye bayogera (n'abayingiza) e jjana e zikulukutiramu e migga, mwebalibeera olubeerera era eyo y'empeera y’abakozi b’obulungi |
وَالَّذِينَ كَفَرُوا وَكَذَّبُوا بِآيَاتِنَا أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ الْجَحِيمِ (86) N'abo abaakaafuwala nebalimbisa e bigambo byaffe, abo be bantu bo muliro |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تُحَرِّمُوا طَيِّبَاتِ مَا أَحَلَّ اللَّهُ لَكُمْ وَلَا تَعْتَدُوا ۚ إِنَّ اللَّهَ لَا يُحِبُّ الْمُعْتَدِينَ (87) Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Haramu e birungi ebyo Katonda bye yabakkiriza, mu ngeri y'emu temusukkanga e nsalo z'ebyo Katonda bye yabagaana, bulijjo mazima Katonda tayagala basukka nsalo (z’amateekage) |
وَكُلُوا مِمَّا رَزَقَكُمُ اللَّهُ حَلَالًا طَيِّبًا ۚ وَاتَّقُوا اللَّهَ الَّذِي أَنتُم بِهِ مُؤْمِنُونَ (88) Era mulye Katonda bye yabagabirira, kavuna biba nga byakkirizibwa ate nga birungi, era mutye Katonda oyo mwe gwemukkiriza |
لَا يُؤَاخِذُكُمُ اللَّهُ بِاللَّغْوِ فِي أَيْمَانِكُمْ وَلَٰكِن يُؤَاخِذُكُم بِمَا عَقَّدتُّمُ الْأَيْمَانَ ۖ فَكَفَّارَتُهُ إِطْعَامُ عَشَرَةِ مَسَاكِينَ مِنْ أَوْسَطِ مَا تُطْعِمُونَ أَهْلِيكُمْ أَوْ كِسْوَتُهُمْ أَوْ تَحْرِيرُ رَقَبَةٍ ۖ فَمَن لَّمْ يَجِدْ فَصِيَامُ ثَلَاثَةِ أَيَّامٍ ۚ ذَٰلِكَ كَفَّارَةُ أَيْمَانِكُمْ إِذَا حَلَفْتُمْ ۚ وَاحْفَظُوا أَيْمَانَكُمْ ۚ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ اللَّهُ لَكُمْ آيَاتِهِ لَعَلَّكُمْ تَشْكُرُونَ (89) Katonda tabavunaana olwebirayiro byammwe byemulayira mu kusaaga, naye abavunaana lwebyo byemuba mukakasizza. (E kilayiro omuntu kyalayira ng’akakasa bwakimenya), omutango gw'akyo kuliisa abanaku kkumi nga baliisibwa e mmere gyemuliisa abantu abo mu daala eryo mu makati, (mu kitundu kyammwe) oba okubambaza, oba okuta omuddu. Omuntu aba tafunye e kimu ku ebyo ateekwa okusiiba ennaku ssatu. Ogwo nno gw’emutango gw’ebirayiro byammwe byemunalayiranga, mwegendereze nnyo okulayira kwa mmwe. Bwatyo Katonda bw'abannyonnyola e bigambobye, musobole okubeera abeebaza |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِنَّمَا الْخَمْرُ وَالْمَيْسِرُ وَالْأَنصَابُ وَالْأَزْلَامُ رِجْسٌ مِّنْ عَمَلِ الشَّيْطَانِ فَاجْتَنِبُوهُ لَعَلَّكُمْ تُفْلِحُونَ (90) Abange mmwe abakkiriza mazima ddala omwenge ne zzaala, namasanamu n’okweraguza, n’obusaale bibi bya mu bikolwa bya Sitane, muteekwa okubyewala kibayambe okuba mu balituuka ku buwanguzi (ku lunaku lw’enkomerero) |
إِنَّمَا يُرِيدُ الشَّيْطَانُ أَن يُوقِعَ بَيْنَكُمُ الْعَدَاوَةَ وَالْبَغْضَاءَ فِي الْخَمْرِ وَالْمَيْسِرِ وَيَصُدَّكُمْ عَن ذِكْرِ اللَّهِ وَعَنِ الصَّلَاةِ ۖ فَهَلْ أَنتُم مُّنتَهُونَ (91) Mazima ddala Sitane ayagala okussa wakati wa mmwe obulabe n’obukyayi olw’omwenge ne zzaala, era ebawugule ku kutendereza Katonda n’okusaala, abaffe e bikolwa e byo munaabireka |
وَأَطِيعُوا اللَّهَ وَأَطِيعُوا الرَّسُولَ وَاحْذَرُوا ۚ فَإِن تَوَلَّيْتُمْ فَاعْلَمُوا أَنَّمَا عَلَىٰ رَسُولِنَا الْبَلَاغُ الْمُبِينُ (92) Era mugondere Katonda, mugondere n’omubaka mwewalire ddala e bikolwa e bibi, bwemutakola mutyo olwo nno mumanye nti mazima ddala omubaka waffe kyateekwa okukola, kyekyokutuusa obubaka mulwatu |
لَيْسَ عَلَى الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ جُنَاحٌ فِيمَا طَعِمُوا إِذَا مَا اتَّقَوا وَّآمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ ثُمَّ اتَّقَوا وَّآمَنُوا ثُمَّ اتَّقَوا وَّأَحْسَنُوا ۗ وَاللَّهُ يُحِبُّ الْمُحْسِنِينَ (93) Abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi tebavunaanwa ku lwebyo bye baalya oba bye baanywa e dda, kavuna batya Katonda ne bakkiriza, ne bakola e mirimu e mirungi ate ne batya Katonda ne bakkiriza ate ne batya Katonda era ne beeyisa bulungi, bulijjo Katonda ayagala abeeyisa obulungi |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَيَبْلُوَنَّكُمُ اللَّهُ بِشَيْءٍ مِّنَ الصَّيْدِ تَنَالُهُ أَيْدِيكُمْ وَرِمَاحُكُمْ لِيَعْلَمَ اللَّهُ مَن يَخَافُهُ بِالْغَيْبِ ۚ فَمَنِ اعْتَدَىٰ بَعْدَ ذَٰلِكَ فَلَهُ عَذَابٌ أَلِيمٌ (94) Abange mmwe abakkiriza (bwe munaabeeranga mu mikolo gya Hijja ne Umrah) Katonda ajja kubagezesa n’ensonga y’okuyigga ebisolo nga mubikwata n’emikono gyammwe, era nga mubifumita n'amafumu gammwe olwo nno Katonda alyoke amanye oyo amutya mu mmwe, awamu n’okuba nti tamulabako, oyo yenna an’amenya e tteeka lino oluvanyuma lw’okumanya bino agenda kutuusibwako e bibonerezo e biruma e nnyo |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تَقْتُلُوا الصَّيْدَ وَأَنتُمْ حُرُمٌ ۚ وَمَن قَتَلَهُ مِنكُم مُّتَعَمِّدًا فَجَزَاءٌ مِّثْلُ مَا قَتَلَ مِنَ النَّعَمِ يَحْكُمُ بِهِ ذَوَا عَدْلٍ مِّنكُمْ هَدْيًا بَالِغَ الْكَعْبَةِ أَوْ كَفَّارَةٌ طَعَامُ مَسَاكِينَ أَوْ عَدْلُ ذَٰلِكَ صِيَامًا لِّيَذُوقَ وَبَالَ أَمْرِهِ ۗ عَفَا اللَّهُ عَمَّا سَلَفَ ۚ وَمَنْ عَادَ فَيَنتَقِمُ اللَّهُ مِنْهُ ۗ وَاللَّهُ عَزِيزٌ ذُو انتِقَامٍ (95) Abange mmwe abakkiriza temuyigganga, nga muli mu mizizo gya Hijja oba Umrah, oyo yenna mu mmwe atta e kisolo kyo muttale nga agenderedde, ateekwa okuwa omutango, nga awaayo mu nsolo e zirundibwa e yenkana neeri gyeyasse, (nga ekyo okukituukako), kisalibwawo abantu babiri abeesimbu mu mmwe, ekyo nga kirabo e kiteekwa okutuusibwa ku Kaaba. Bwekitaba ekyo, ateekwa okuwa omutango gwokuliisa abanaku, oba okusiiba e nnaku ezenkana omutango ogwo, ebyo byonna biri bwebityo alyoke abe nga akomba ku bukaawu bwekikolwa kye yetantala. Byo e byakulembera Katonda yabisonyiwa, naye oyo addamu Katonda agenda kumubonereza, bulijjo Katonda nantakubwa ku mukono asobola okubonereza oyo gwaba asazeewo okubonereza |
أُحِلَّ لَكُمْ صَيْدُ الْبَحْرِ وَطَعَامُهُ مَتَاعًا لَّكُمْ وَلِلسَّيَّارَةِ ۖ وَحُرِّمَ عَلَيْكُمْ صَيْدُ الْبَرِّ مَا دُمْتُمْ حُرُمًا ۗ وَاتَّقُوا اللَّهَ الَّذِي إِلَيْهِ تُحْشَرُونَ (96) Mukkirizibwa okuvuba n'okulya e biva mu nnyanja ku lw'okuyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'obwabatambuze naye mugaaniddwa okuyigga ku lukalu ebbanga lyemumala nga muli mu mizizo gya Hijja ne Umrah, bulijjo mutye Katonda oyo gyali gye mulikunganyizibwa |
۞ جَعَلَ اللَّهُ الْكَعْبَةَ الْبَيْتَ الْحَرَامَ قِيَامًا لِّلنَّاسِ وَالشَّهْرَ الْحَرَامَ وَالْهَدْيَ وَالْقَلَائِدَ ۚ ذَٰلِكَ لِتَعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ يَعْلَمُ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ وَأَنَّ اللَّهَ بِكُلِّ شَيْءٍ عَلِيمٌ (97) Katonda yassaawo Kaaba e nyumba e y'emizizo nga y’eyimiriddeko e ntambuza y’ebintu byonna e bikwata ku bantu era nateekawo e myezi e gyemizizo n’ebisolo e bitonebwa, nebisolo e birekebwa nga birambiddwa e byo byonna bibayambe okumanya nti mazima ddala Katonda amanyi ebyo byonna e biri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi, era nti mazima ddala Katonda bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu |
اعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ شَدِيدُ الْعِقَابِ وَأَنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (98) Muteekeddwa okumanya nti mazima Katonda muyitirivu wabibonerezo era nga ddala bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa |
مَّا عَلَى الرَّسُولِ إِلَّا الْبَلَاغُ ۗ وَاللَّهُ يَعْلَمُ مَا تُبْدُونَ وَمَا تَكْتُمُونَ (99) Omubaka talina kyavunaanwa, okugyako okubatuusaako obubaka, era bulijjo Katonda amanyi byemukola mulwatu ne bye mukweka |
قُل لَّا يَسْتَوِي الْخَبِيثُ وَالطَّيِّبُ وَلَوْ أَعْجَبَكَ كَثْرَةُ الْخَبِيثِ ۚ فَاتَّقُوا اللَّهَ يَا أُولِي الْأَلْبَابِ لَعَلَّكُمْ تُفْلِحُونَ (100) Gamba (ggwe Nabbi Muhammad nti) e kibi n'ekirungi tebifaanana newaakubadde nga oluusi osikirizibwa obungi bw'ekibi, kale mutye Katonda abange mmwe abalina amagezi agakola obulungi mulyoke mube mu balituuka ku buwanguzi (ku lunaku lw'enkomerero) |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تَسْأَلُوا عَنْ أَشْيَاءَ إِن تُبْدَ لَكُمْ تَسُؤْكُمْ وَإِن تَسْأَلُوا عَنْهَا حِينَ يُنَزَّلُ الْقُرْآنُ تُبْدَ لَكُمْ عَفَا اللَّهُ عَنْهَا ۗ وَاللَّهُ غَفُورٌ حَلِيمٌ (101) Abange mmwe abakkiriza temubuuzanga e bikwata ku bintu, nga singa bibategeezeddwa byandibasudde mu ntata, anti singa mubibuuza nga Kur’ani e kyakka bijja kubategeezebwa (ate bibakaluubirire), so nga Katonda teyabisiinyaako, anti bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa |
قَدْ سَأَلَهَا قَوْمٌ مِّن قَبْلِكُمْ ثُمَّ أَصْبَحُوا بِهَا كَافِرِينَ (102) Mazima abantu b'ebibiina e byabakulembera baabibuuzanga ate oluvanyuma byabakaafuwaza |
مَا جَعَلَ اللَّهُ مِن بَحِيرَةٍ وَلَا سَائِبَةٍ وَلَا وَصِيلَةٍ وَلَا حَامٍ ۙ وَلَٰكِنَّ الَّذِينَ كَفَرُوا يَفْتَرُونَ عَلَى اللَّهِ الْكَذِبَ ۖ وَأَكْثَرُهُمْ لَا يَعْقِلُونَ (103) Katonda ssi ye yateekawo (e byokulondobamu ebisolo e bimu e birundibwa n’ebiweebwa amasanamu) nga okusalako okutu kw’ensolo bweba e zadde e nzaalo e ziwera, wadde eyo gyebaawulako nga y’alubaale, wadde e kyokwevuma ensolo e zaala e nkazi zokka, wadde e kyokwekwasa seddume w'e ngamiya e zaazisizza e ngamiya e nnyingi. Naye mazima ddala abo abaakaafuwala (mu kuwanuuza kwa bwe okwo), batemerera Katonda, wabula bulijjo bangi mu bo tebategeera |
وَإِذَا قِيلَ لَهُمْ تَعَالَوْا إِلَىٰ مَا أَنزَلَ اللَّهُ وَإِلَى الرَّسُولِ قَالُوا حَسْبُنَا مَا وَجَدْنَا عَلَيْهِ آبَاءَنَا ۚ أَوَلَوْ كَانَ آبَاؤُهُمْ لَا يَعْلَمُونَ شَيْئًا وَلَا يَهْتَدُونَ (104) Bwe baba bagambiddwa nti mujje eri e byo Katonda byeyassa, era mujje eri omubaka, bagamba nti bye twasangako bakadde baffe bitumala (abaffe bagamba batyo) wadde nga bakadde baabwe baali tebamanyi kintu kyonna era nga tebayinza kulungama |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا عَلَيْكُمْ أَنفُسَكُمْ ۖ لَا يَضُرُّكُم مَّن ضَلَّ إِذَا اهْتَدَيْتُمْ ۚ إِلَى اللَّهِ مَرْجِعُكُمْ جَمِيعًا فَيُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (105) Abange mmwe abakkiriza mwefeeko. Oyo e yabula tayinza kubatuusaako kabi kavuna mmwe mulungama, ewa Katonda mwenna yeeri obuddo bwa mmwe, olwo nno alyoke abategeeze byonna byemwali mukola |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا شَهَادَةُ بَيْنِكُمْ إِذَا حَضَرَ أَحَدَكُمُ الْمَوْتُ حِينَ الْوَصِيَّةِ اثْنَانِ ذَوَا عَدْلٍ مِّنكُمْ أَوْ آخَرَانِ مِنْ غَيْرِكُمْ إِنْ أَنتُمْ ضَرَبْتُمْ فِي الْأَرْضِ فَأَصَابَتْكُم مُّصِيبَةُ الْمَوْتِ ۚ تَحْبِسُونَهُمَا مِن بَعْدِ الصَّلَاةِ فَيُقْسِمَانِ بِاللَّهِ إِنِ ارْتَبْتُمْ لَا نَشْتَرِي بِهِ ثَمَنًا وَلَوْ كَانَ ذَا قُرْبَىٰ ۙ وَلَا نَكْتُمُ شَهَادَةَ اللَّهِ إِنَّا إِذًا لَّمِنَ الْآثِمِينَ (106) Abange mmwe abakkiriza omu ku mmwe bwawulira, nga ayinza okuba nga asemberedde okufa, mussengawo abajulizi babiri abeesimbu mu mmwe nga akola ekiraamo, oba abalala babiri abatali ba mu mmwe. Bwe mubanga ku safari nemutuukibwako ekizibu kyokufa (abajulizi ababiri) mubatuuza oluvanyuma lw’esswala nebalayira ku linnya lya Katonda, ekyo mukituukako bwe muba nga mufunye okubuusabuusa (era bateekeddwa okugamba nti) tetugenda kukkiriza kukyusa kiraamo kino olwekintu kyonna, newaakubadde nga gwetuwaako obujulizi wa luganda lwaffe olw,okumpi, era tetugenda kukweka bujulizi bwa Katonda anti bwetukikola tubeera mu boonoonyi |
فَإِنْ عُثِرَ عَلَىٰ أَنَّهُمَا اسْتَحَقَّا إِثْمًا فَآخَرَانِ يَقُومَانِ مَقَامَهُمَا مِنَ الَّذِينَ اسْتَحَقَّ عَلَيْهِمُ الْأَوْلَيَانِ فَيُقْسِمَانِ بِاللَّهِ لَشَهَادَتُنَا أَحَقُّ مِن شَهَادَتِهِمَا وَمَا اعْتَدَيْنَا إِنَّا إِذًا لَّمِنَ الظَّالِمِينَ (107) Bwekizuulwa nti abajulizi beekobanye nebakola ekibi ku nsonga y’obujulizi, olwo mangu ddala musseewo abalala babiri badde mu kifo kyabwe bombi, nga baggyibwa mu bantu bali ababiri mwe baggyibwa, nebalayira Katonda (era nebagamba nti) obujulizi bwaffe bwa maanyi okusinga obwa bali ababiri era tetugenderedde kubaweebuula anti bwetukola ekyo, tuba tugudde mu luse lwa beeyisa obubi |
ذَٰلِكَ أَدْنَىٰ أَن يَأْتُوا بِالشَّهَادَةِ عَلَىٰ وَجْهِهَا أَوْ يَخَافُوا أَن تُرَدَّ أَيْمَانٌ بَعْدَ أَيْمَانِهِمْ ۗ وَاتَّقُوا اللَّهَ وَاسْمَعُوا ۗ وَاللَّهُ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الْفَاسِقِينَ (108) Okukola ekyo, kye kisinga obulungi ku kuyamba okuba nga bawa obujulizi mu butuufu bwa bwo, oba batye e birayiro (byabwe) okugobwa oluvanyuma lw'okulayira kwabwe, mutye Katonda era muwulire, bulijjo Katonda talungamya bantu bajeemu |
۞ يَوْمَ يَجْمَعُ اللَّهُ الرُّسُلَ فَيَقُولُ مَاذَا أُجِبْتُمْ ۖ قَالُوا لَا عِلْمَ لَنَا ۖ إِنَّكَ أَنتَ عَلَّامُ الْغُيُوبِ (109) Mujjukire olunaku Katonda lwalikunganya ababaka nagamba nti abantu baabaanukula batya, ne bagamba nti: tetumanyi bye baagamba anti mazima bulijjo ggwe omanyidde ddala e bikusike |
إِذْ قَالَ اللَّهُ يَا عِيسَى ابْنَ مَرْيَمَ اذْكُرْ نِعْمَتِي عَلَيْكَ وَعَلَىٰ وَالِدَتِكَ إِذْ أَيَّدتُّكَ بِرُوحِ الْقُدُسِ تُكَلِّمُ النَّاسَ فِي الْمَهْدِ وَكَهْلًا ۖ وَإِذْ عَلَّمْتُكَ الْكِتَابَ وَالْحِكْمَةَ وَالتَّوْرَاةَ وَالْإِنجِيلَ ۖ وَإِذْ تَخْلُقُ مِنَ الطِّينِ كَهَيْئَةِ الطَّيْرِ بِإِذْنِي فَتَنفُخُ فِيهَا فَتَكُونُ طَيْرًا بِإِذْنِي ۖ وَتُبْرِئُ الْأَكْمَهَ وَالْأَبْرَصَ بِإِذْنِي ۖ وَإِذْ تُخْرِجُ الْمَوْتَىٰ بِإِذْنِي ۖ وَإِذْ كَفَفْتُ بَنِي إِسْرَائِيلَ عَنكَ إِذْ جِئْتَهُم بِالْبَيِّنَاتِ فَقَالَ الَّذِينَ كَفَرُوا مِنْهُمْ إِنْ هَٰذَا إِلَّا سِحْرٌ مُّبِينٌ (110) Era mufumiitirize Katonda bwaligamba nti owange Isa mutabani wa Mariam, jjukira e byengera byange bye nnakuwa ne bye nnawa Maamawo, bwe nnakuwagira ne mwoyo mutukuvu n'oyogera n’abantu ng’okyali mu kibaya, ne bwe wasajjakula, era jjukira bwennakuyigiriza okuwandiika n’okukozesa amagezi ne Taurat ne Injili, era jjukira bwe wasobola okubumba mu ttaka e kibumbe kye kinyonyi ku lw’okukkiriza kwange, n’okifuuwamu ne kiba e kinyonyi ku lw'okukkiriza kwange, era n’osobola okuwonya ba Muzibe n’abolukeke, byonna lwa kukkiriza kwa nge, era jjukira bwe wasabiranga abafu ne bazuukira olw'okukkiriza kwange, era jjukira bwe nnakuwonya abaana ba Israil bwe wabajjira n’obunnyonnyofu, abaakaafuwala mu bo ne bagamba nti bino byaleese si kirala okugyako ddogo e ryeyolefu |
وَإِذْ أَوْحَيْتُ إِلَى الْحَوَارِيِّينَ أَنْ آمِنُوا بِي وَبِرَسُولِي قَالُوا آمَنَّا وَاشْهَدْ بِأَنَّنَا مُسْلِمُونَ (111) Era jjukira bwe nnatumira abayigirizwabo nti munzikirize n’omubaka wange ne bagamba nti tukkirizza, era naawe julira okakase nti mazima ddala tuli basiramu |
إِذْ قَالَ الْحَوَارِيُّونَ يَا عِيسَى ابْنَ مَرْيَمَ هَلْ يَسْتَطِيعُ رَبُّكَ أَن يُنَزِّلَ عَلَيْنَا مَائِدَةً مِّنَ السَّمَاءِ ۖ قَالَ اتَّقُوا اللَّهَ إِن كُنتُم مُّؤْمِنِينَ (112) Era jjukira abayigirizwa bwe baagamba Isa mutabani wa Mariam nti abaffe Katondawo asobola okutussiza ekijjulo okuva mu ggulu, naagamba nti mutye Katonda bwe muba nga ddala muli bakkiriza |
قَالُوا نُرِيدُ أَن نَّأْكُلَ مِنْهَا وَتَطْمَئِنَّ قُلُوبُنَا وَنَعْلَمَ أَن قَدْ صَدَقْتَنَا وَنَكُونَ عَلَيْهَا مِنَ الشَّاهِدِينَ (113) Nebagamba nti twagala tukiryeko, era e mitima gyaffe gitebenkere, era tumanye nti wewaawo byo tugamba byonna bya mazima, era naffe tufuuke abajulizi ku ekyo |
قَالَ عِيسَى ابْنُ مَرْيَمَ اللَّهُمَّ رَبَّنَا أَنزِلْ عَلَيْنَا مَائِدَةً مِّنَ السَّمَاءِ تَكُونُ لَنَا عِيدًا لِّأَوَّلِنَا وَآخِرِنَا وَآيَةً مِّنكَ ۖ وَارْزُقْنَا وَأَنتَ خَيْرُ الرَّازِقِينَ (114) Isa mutabani wa Mariam naagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tussize e kijjulo okuva mu ggulu, kibe e mbaga gyetuli eri abaliwo muffe n’abalijja oluvanyuma, era nga bujulizi okuva gyoli, era tukusaba otugabirire. Ggwe mugabi asinga |
قَالَ اللَّهُ إِنِّي مُنَزِّلُهَا عَلَيْكُمْ ۖ فَمَن يَكْفُرْ بَعْدُ مِنكُمْ فَإِنِّي أُعَذِّبُهُ عَذَابًا لَّا أُعَذِّبُهُ أَحَدًا مِّنَ الْعَالَمِينَ (115) Katonda naagamba nti mazima nze nja kukibassiza naye oyo yenna anaakaafuwala oluvanyuma lw’okujja kwakyo, mazima ddala ngenda kumubonereza olubonereza lwe ssigenda kubonereza muntu mulala yenna |
وَإِذْ قَالَ اللَّهُ يَا عِيسَى ابْنَ مَرْيَمَ أَأَنتَ قُلْتَ لِلنَّاسِ اتَّخِذُونِي وَأُمِّيَ إِلَٰهَيْنِ مِن دُونِ اللَّهِ ۖ قَالَ سُبْحَانَكَ مَا يَكُونُ لِي أَنْ أَقُولَ مَا لَيْسَ لِي بِحَقٍّ ۚ إِن كُنتُ قُلْتُهُ فَقَدْ عَلِمْتَهُ ۚ تَعْلَمُ مَا فِي نَفْسِي وَلَا أَعْلَمُ مَا فِي نَفْسِكَ ۚ إِنَّكَ أَنتَ عَلَّامُ الْغُيُوبِ (116) Era jjukira Katonda bwe yagamba nti owange Isa Mutabani wa Mariam ggwe wagamba abantu nti nze ne Mmange ffembi mutufuule ba Katonda, muve ku Katonda. Naagamba nti Mukama omulabirizi wange oli musukkulumu, siyinza kwetantala kwogera kitali kyange, mu butuufu, bwe mba nakyogera mazima wakimanya, anti omanyi byonna ebiri mu nze atenga nze simanyi biri mu ggwe, (ekireeta e njawulo eyo) anti mazima ddala ggwe omanyi e byekusifu |
مَا قُلْتُ لَهُمْ إِلَّا مَا أَمَرْتَنِي بِهِ أَنِ اعْبُدُوا اللَّهَ رَبِّي وَرَبَّكُمْ ۚ وَكُنتُ عَلَيْهِمْ شَهِيدًا مَّا دُمْتُ فِيهِمْ ۖ فَلَمَّا تَوَفَّيْتَنِي كُنتَ أَنتَ الرَّقِيبَ عَلَيْهِمْ ۚ وَأَنتَ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ شَهِيدٌ (117) Ssaabagamba okugyako kye wandagira, e ky’okubagamba nti: musinze Katonda mukama omulabirizi wange era nga ye mukama omulabirizi wa mmwe, era nali mujulizi ku byonna bye baakolanga e bbanga lye nnamala nga ndi nabo, naye bwe wantwala, ggwe wasigala omanyi byonna bye bakola. Anti bulijjo ggwe osobola okumanya e bikwata ku buli kintu |
إِن تُعَذِّبْهُمْ فَإِنَّهُمْ عِبَادُكَ ۖ وَإِن تَغْفِرْ لَهُمْ فَإِنَّكَ أَنتَ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (118) Bwoba wa kubabonereza, mazima bo baddu bo, naye bw'obasonyiwa, mazima ddala ggwe nantakubwa ku mukono mugoba nsonga |
قَالَ اللَّهُ هَٰذَا يَوْمُ يَنفَعُ الصَّادِقِينَ صِدْقُهُمْ ۚ لَهُمْ جَنَّاتٌ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ خَالِدِينَ فِيهَا أَبَدًا ۚ رَّضِيَ اللَّهُ عَنْهُمْ وَرَضُوا عَنْهُ ۚ ذَٰلِكَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (119) (Ku lunaku olwo) Katonda agenda kugamba nti, luno lunaku abaayogera amazima, amazima gaabwe gagenda kubagasa, balina e jjana e zikulukutiramu e migga, bagenda kuzibeeramu olubeerera, Katonda yabasiima nabo nebeeyanza, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu |
لِلَّهِ مُلْكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَمَا فِيهِنَّ ۚ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (120) Obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi n'ebirimu bwa Katonda, era bulijjo Katonda musobozi wa buli kintu |