يَسْأَلُونَكَ عَنِ الْأَنفَالِ ۖ قُلِ الْأَنفَالُ لِلَّهِ وَالرَّسُولِ ۖ فَاتَّقُوا اللَّهَ وَأَصْلِحُوا ذَاتَ بَيْنِكُمْ ۖ وَأَطِيعُوا اللَّهَ وَرَسُولَهُ إِن كُنتُم مُّؤْمِنِينَ (1) Bakubuuza (ggwe Nabbi Muhammad) ebikwata ku minyago, gamba nti e minyago gy’a Katonda n’omubaka, kale nno mutye Katonda, era mulongoose e nkolagana wakati wa mmwe, era mugondere Katonda n’omubakawe bwe muba nga muli bakkiriza |
إِنَّمَا الْمُؤْمِنُونَ الَّذِينَ إِذَا ذُكِرَ اللَّهُ وَجِلَتْ قُلُوبُهُمْ وَإِذَا تُلِيَتْ عَلَيْهِمْ آيَاتُهُ زَادَتْهُمْ إِيمَانًا وَعَلَىٰ رَبِّهِمْ يَتَوَكَّلُونَ (2) Mazima ddala abakkiriza, be bo buli Katonda lwayogerwako, e mitima gy'abwe gitya, era bwe basomerwa e bigambobye, kibongera obukkiriza, era nga Mukama omulabirizi waabwe yekka gwe beekwasa |
الَّذِينَ يُقِيمُونَ الصَّلَاةَ وَمِمَّا رَزَقْنَاهُمْ يُنفِقُونَ (3) Abo abayimirizaawo e sswala, era nga ne ku bye tubawa bagabako |
أُولَٰئِكَ هُمُ الْمُؤْمِنُونَ حَقًّا ۚ لَّهُمْ دَرَجَاتٌ عِندَ رَبِّهِمْ وَمَغْفِرَةٌ وَرِزْقٌ كَرِيمٌ (4) Abo b’e bakkiriza abannamaddala, balina e bifo ebya waggulu ewa Mukama omulabirizi waabwe n’ekisonyiwo n’okugabirirwa okuyitirivu |
كَمَا أَخْرَجَكَ رَبُّكَ مِن بَيْتِكَ بِالْحَقِّ وَإِنَّ فَرِيقًا مِّنَ الْمُؤْمِنِينَ لَكَارِهُونَ (5) (Kino kifaanana) nga Mukama omulabiriziwo bwe yakulagira, era nga kye kituufu ofulume (ogende ku lutalo lwe badri), so nga ettengetenge mu bakkirizza baali tebakyagadde |
يُجَادِلُونَكَ فِي الْحَقِّ بَعْدَمَا تَبَيَّنَ كَأَنَّمَا يُسَاقُونَ إِلَى الْمَوْتِ وَهُمْ يَنظُرُونَ (6) Bakuwakanya ku kintu e kituufu (kyoliko), oluvanyuma lw'okuba nti kimaze okweyoleka, nebaba nga abawalulwa, nga batwalibwa eri okufa, nga batunula |
وَإِذْ يَعِدُكُمُ اللَّهُ إِحْدَى الطَّائِفَتَيْنِ أَنَّهَا لَكُمْ وَتَوَدُّونَ أَنَّ غَيْرَ ذَاتِ الشَّوْكَةِ تَكُونُ لَكُمْ وَيُرِيدُ اللَّهُ أَن يُحِقَّ الْحَقَّ بِكَلِمَاتِهِ وَيَقْطَعَ دَابِرَ الْكَافِرِينَ (7) Mujjukire Katonda bwe yabalagaanyisa okufuna e kimu ku bibiri, nti mazima kyo mujja ku kifuna, wabula mmwe mwali mwagala ekitaliimu buzibu kye muba mufuna, naye nga Katonda ayagala amazima gayimirirewo okusinziira ku biragirobye, era akutulire ddala e mirandira gya bakaafiiri |
لِيُحِقَّ الْحَقَّ وَيُبْطِلَ الْبَاطِلَ وَلَوْ كَرِهَ الْمُجْرِمُونَ (8) Olwo nno abe nga ayimirizaawo amazima, asaanyeewo obwonoonefu, newaakubadde nga aboonoonyi tebaakyagala |
إِذْ تَسْتَغِيثُونَ رَبَّكُمْ فَاسْتَجَابَ لَكُمْ أَنِّي مُمِدُّكُم بِأَلْفٍ مِّنَ الْمَلَائِكَةِ مُرْدِفِينَ (9) Mujjukire bwe mwasaba Mukama omulabirizi wa mmwe obuyambi, n’abaanukula nti mazima nze, nja ku badduukirira ne ba Malayika lukumi nga bagoberagana |
وَمَا جَعَلَهُ اللَّهُ إِلَّا بُشْرَىٰ وَلِتَطْمَئِنَّ بِهِ قُلُوبُكُمْ ۚ وَمَا النَّصْرُ إِلَّا مِنْ عِندِ اللَّهِ ۚ إِنَّ اللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٌ (10) Kino tewali Katonda kyeyakireetera okugyako nti kibe amawulire ag’essanyu, era e mitima gya mmwe gyeyongere okunywera ku lw'ekyo, naye nga kwo okutaasa tekulina we kuli okugyako ewa Katonda, bulijjo mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga |
إِذْ يُغَشِّيكُمُ النُّعَاسَ أَمَنَةً مِّنْهُ وَيُنَزِّلُ عَلَيْكُم مِّنَ السَّمَاءِ مَاءً لِّيُطَهِّرَكُم بِهِ وَيُذْهِبَ عَنكُمْ رِجْزَ الشَّيْطَانِ وَلِيَرْبِطَ عَلَىٰ قُلُوبِكُمْ وَيُثَبِّتَ بِهِ الْأَقْدَامَ (11) Mujjukire (Mukama Katonda) bwe yabatuusaako okusumagira, nga kukkakkanya okuva gyali, n’abassiza amazzi okuva waggulu (e nkuba) abe nga abatukuza nago, era abaggyirewo e mitego gya Sitane, era agumye e mitima gyammwe, era anyweze nayo e bigere bya mmwe |
إِذْ يُوحِي رَبُّكَ إِلَى الْمَلَائِكَةِ أَنِّي مَعَكُمْ فَثَبِّتُوا الَّذِينَ آمَنُوا ۚ سَأُلْقِي فِي قُلُوبِ الَّذِينَ كَفَرُوا الرُّعْبَ فَاضْرِبُوا فَوْقَ الْأَعْنَاقِ وَاضْرِبُوا مِنْهُمْ كُلَّ بَنَانٍ (12) Jjukira Mukama omulabiriziwo, bwe yatumira ba Malayika nti, mazima nze ndi wamu na mmwe, mugumye abo abakkiriza, njakussa okutya mu mitima gyabo abaakaafuwala, kale muteme waggulu w’ensingo, era mubatemeko n’engalo |
ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمْ شَاقُّوا اللَّهَ وَرَسُولَهُ ۚ وَمَن يُشَاقِقِ اللَّهَ وَرَسُولَهُ فَإِنَّ اللَّهَ شَدِيدُ الْعِقَابِ (13) Ekyo nno lwa kuba nti mazima bo beesimba mu Katonda n’o mubakawe, anti omuntu eyeesimba mu Katonda n’omubakawe, mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza |
ذَٰلِكُمْ فَذُوقُوهُ وَأَنَّ لِلْكَافِرِينَ عَذَابَ النَّارِ (14) Ebyo nno ebibatuuseeko (bye bibasaanira), kale mukombe ku bukaawu bwabyo (nga muttibwa mu ntalo kuno ku nsi), era nga ddala abakaafiiri bagenda kussibwako e bibonerezo by’o mu muliro |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِذَا لَقِيتُمُ الَّذِينَ كَفَرُوا زَحْفًا فَلَا تُوَلُّوهُمُ الْأَدْبَارَ (15) Abange mmwe abakkiriza, bwe mugasimbagananga n'abo abaakaafuwala, ababa bazze okubalwanyisa, temubaddukanga |
وَمَن يُوَلِّهِمْ يَوْمَئِذٍ دُبُرَهُ إِلَّا مُتَحَرِّفًا لِّقِتَالٍ أَوْ مُتَحَيِّزًا إِلَىٰ فِئَةٍ فَقَدْ بَاءَ بِغَضَبٍ مِّنَ اللَّهِ وَمَأْوَاهُ جَهَنَّمُ ۖ وَبِئْسَ الْمَصِيرُ (16) Oyo yenna abalaga e mabegawe (nadduka), ku lunaku olwo, mpozzi ng’ali ku kakodyo ka lutalo, oba nga adda eri kibinja kya balwanyi banne, mazima aba akakaseeko obusungu bw’a Katonda, nga n’obuddobwe muliro Jahannama, ate nga buddo bubi |
فَلَمْ تَقْتُلُوهُمْ وَلَٰكِنَّ اللَّهَ قَتَلَهُمْ ۚ وَمَا رَمَيْتَ إِذْ رَمَيْتَ وَلَٰكِنَّ اللَّهَ رَمَىٰ ۚ وَلِيُبْلِيَ الْمُؤْمِنِينَ مِنْهُ بَلَاءً حَسَنًا ۚ إِنَّ اللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٌ (17) Simmwe mwabatta, naye mazima Katonda y’e yabatta, era bwe wakanyuga, si ggwe wakanyuga, naye mazima Katonda y’eyakanyuga, era abeere nga agezesa abakkiriza olugezesa olulungi n’ekikolwa ekyo, mazima Katonda awulira nnyo, mumanyi |
ذَٰلِكُمْ وَأَنَّ اللَّهَ مُوهِنُ كَيْدِ الْكَافِرِينَ (18) E byo byebyo (mubimanye), era mumanyire ddala nti, mazima Katonda anafuya enkwe z’a bakaafiiri |
إِن تَسْتَفْتِحُوا فَقَدْ جَاءَكُمُ الْفَتْحُ ۖ وَإِن تَنتَهُوا فَهُوَ خَيْرٌ لَّكُمْ ۖ وَإِن تَعُودُوا نَعُدْ وَلَن تُغْنِيَ عَنكُمْ فِئَتُكُمْ شَيْئًا وَلَوْ كَثُرَتْ وَأَنَّ اللَّهَ مَعَ الْمُؤْمِنِينَ (19) (Mwe abakaafiiri) bwe muba nga musaba Katonda kusalawo, okusalawo kuzze, era bwe muneekomako, ekyo kye kirungi gye muli, naye bwe munaddamu, nga naffe tuddamu, ate ekibinja kya mmwe tekigenda kubagasa kintu kyonna, ne bwe kiba kinene kitya, anti mazima Katonda ali wamu n’abakkiriza |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا أَطِيعُوا اللَّهَ وَرَسُولَهُ وَلَا تَوَلَّوْا عَنْهُ وَأَنتُمْ تَسْمَعُونَ (20) Abange mmwe abakkiriza, mugondere Katonda n’omubakawe, temumuvangako, ate nga muwulira (bya bagamba) |
وَلَا تَكُونُوا كَالَّذِينَ قَالُوا سَمِعْنَا وَهُمْ لَا يَسْمَعُونَ (21) Temubeera nga abo ab’agamba nti tuwulidde so nga tebawulira |
۞ إِنَّ شَرَّ الدَّوَابِّ عِندَ اللَّهِ الصُّمُّ الْبُكْمُ الَّذِينَ لَا يَعْقِلُونَ (22) Mazima e kiramu e kisinga obubi ewa Katonda, be ba kiggala, ba kasiru abo abatategeera |
وَلَوْ عَلِمَ اللَّهُ فِيهِمْ خَيْرًا لَّأَسْمَعَهُمْ ۖ وَلَوْ أَسْمَعَهُمْ لَتَوَلَّوا وَّهُم مُّعْرِضُونَ (23) Singa Katonda yabamanyaamu akalungi konna, yaalibawulizza, ate ne bwe yaalibawulizza, baaliwuguse nebava ku mazima |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا اسْتَجِيبُوا لِلَّهِ وَلِلرَّسُولِ إِذَا دَعَاكُمْ لِمَا يُحْيِيكُمْ ۖ وَاعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ يَحُولُ بَيْنَ الْمَرْءِ وَقَلْبِهِ وَأَنَّهُ إِلَيْهِ تُحْشَرُونَ (24) Abange mmwe abakkiriza, mwanukule Katonda n’omubaka bwabayita okujja eri ekyo ekibawa obulamu, era mumanye nti, mazima Katonda, assa ekyawula wakati w’omuntu n’omutimagwe, so ng’ate bulijjo, mazima gyali gye mugenda okukunganyizibwa |
وَاتَّقُوا فِتْنَةً لَّا تُصِيبَنَّ الَّذِينَ ظَلَمُوا مِنكُمْ خَاصَّةً ۖ وَاعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ شَدِيدُ الْعِقَابِ (25) Mutye e kikemo e kitagenda kukwata ku abo abeeyisa obubi mu mmwe bokka, era mumanye nti mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza |
وَاذْكُرُوا إِذْ أَنتُمْ قَلِيلٌ مُّسْتَضْعَفُونَ فِي الْأَرْضِ تَخَافُونَ أَن يَتَخَطَّفَكُمُ النَّاسُ فَآوَاكُمْ وَأَيَّدَكُم بِنَصْرِهِ وَرَزَقَكُم مِّنَ الطَّيِّبَاتِ لَعَلَّكُمْ تَشْكُرُونَ (26) Mujjukire we mwali abatono, nga muyisibwa bubi mu nsi, nga mutya abantu okubagajambula, n'abawa obubudamu, n’abawagira n’okutaasakwe, n’abagabirira mu birungi, olwo nno mube nga mwebaza |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تَخُونُوا اللَّهَ وَالرَّسُولَ وَتَخُونُوا أَمَانَاتِكُمْ وَأَنتُمْ تَعْلَمُونَ (27) Abange mmwe abakkiriza, temukumpanyanga Katonda n’omubaka, nemukumpanya obuvunaanyizibwa bwa mmwe, ng’ate ddala mumanyi |
وَاعْلَمُوا أَنَّمَا أَمْوَالُكُمْ وَأَوْلَادُكُمْ فِتْنَةٌ وَأَنَّ اللَّهَ عِندَهُ أَجْرٌ عَظِيمٌ (28) Era mumanye nti mazima e mmaali ya mmwe, n’abaana ba mmwe kikemo, era nga bulijjo mazima ddala Katonda, alina empeera ensukkulumu |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِن تَتَّقُوا اللَّهَ يَجْعَل لَّكُمْ فُرْقَانًا وَيُكَفِّرْ عَنكُمْ سَيِّئَاتِكُمْ وَيَغْفِرْ لَكُمْ ۗ وَاللَّهُ ذُو الْفَضْلِ الْعَظِيمِ (29) Abange mmwe abakkiriza, singa mutya Katonda, ajja kubasobozesa okwawula (wakati w’ekirungi n’ekibi) era abasanguleko e byonoono bya mmwe, era abasonyiwe, era nga bulijjo Katonda ye nannyini bigabwa e bisuffu |
وَإِذْ يَمْكُرُ بِكَ الَّذِينَ كَفَرُوا لِيُثْبِتُوكَ أَوْ يَقْتُلُوكَ أَوْ يُخْرِجُوكَ ۚ وَيَمْكُرُونَ وَيَمْكُرُ اللَّهُ ۖ وَاللَّهُ خَيْرُ الْمَاكِرِينَ (30) Era jjukira abo abaakaafuwala bwe baakukolera olukwe, bakusibe oba bakutte, oba bakugobe, nebasala olukwe, ne Katonda naayanukula olukwe olwo (n'abataasa), Katonda ali waggulu nnyo w’abasala enkwe |
وَإِذَا تُتْلَىٰ عَلَيْهِمْ آيَاتُنَا قَالُوا قَدْ سَمِعْنَا لَوْ نَشَاءُ لَقُلْنَا مِثْلَ هَٰذَا ۙ إِنْ هَٰذَا إِلَّا أَسَاطِيرُ الْأَوَّلِينَ (31) Bwe basomerwa e bigambo byaffe bagamba, nti mazima ffe ebyo twabiwulira dda, era singa tuba twagadde naffe tusobola okwogera nga ebyo (byoyogera), ebyo tebirina kye biri okugyako okuba enfumo z’a bedda |
وَإِذْ قَالُوا اللَّهُمَّ إِن كَانَ هَٰذَا هُوَ الْحَقَّ مِنْ عِندِكَ فَأَمْطِرْ عَلَيْنَا حِجَارَةً مِّنَ السَّمَاءِ أَوِ ائْتِنَا بِعَذَابٍ أَلِيمٍ (32) Era jjukira (ggwe Nabbi Muhammad abatakkiriza) bwe baagamba nti, ayi Mukama Katonda, gano (ebigambo by’a Muhammad )bwe biba nga g’emazima agavudde gyoli, tubonereze nenkuba nga y’amayinja okuva waggulu, oba tuleetere ebibonerezo e biruma ennyo |
وَمَا كَانَ اللَّهُ لِيُعَذِّبَهُمْ وَأَنتَ فِيهِمْ ۚ وَمَا كَانَ اللَّهُ مُعَذِّبَهُمْ وَهُمْ يَسْتَغْفِرُونَ (33) Naye Katonda teyali w’akubabonereza, nga naawe okyali nabo, era Katonda teyali w’akubabonereza nga beegayirira |
وَمَا لَهُمْ أَلَّا يُعَذِّبَهُمُ اللَّهُ وَهُمْ يَصُدُّونَ عَنِ الْمَسْجِدِ الْحَرَامِ وَمَا كَانُوا أَوْلِيَاءَهُ ۚ إِنْ أَوْلِيَاؤُهُ إِلَّا الْمُتَّقُونَ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (34) Kale nga lwaki Katonda teyaalibabonerezza! ng’ate baziyiza (abantu) abakkiriza okutuuka eri omuzikiti ogw’emizizo, so nga tebabangako bakuumi baagwo, abakuumi baagwo, si balala okugyako abatya Katonda, wabula ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi |
وَمَا كَانَ صَلَاتُهُمْ عِندَ الْبَيْتِ إِلَّا مُكَاءً وَتَصْدِيَةً ۚ فَذُوقُوا الْعَذَابَ بِمَا كُنتُمْ تَكْفُرُونَ (35) Okusaba kwe basabira ku Kaaba temuli, anti kubeera kufuuwa mpa na kukuba mu ngalo, kale nno mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo, olw'ebyo bye mwawakanyanga |
إِنَّ الَّذِينَ كَفَرُوا يُنفِقُونَ أَمْوَالَهُمْ لِيَصُدُّوا عَن سَبِيلِ اللَّهِ ۚ فَسَيُنفِقُونَهَا ثُمَّ تَكُونُ عَلَيْهِمْ حَسْرَةً ثُمَّ يُغْلَبُونَ ۗ وَالَّذِينَ كَفَرُوا إِلَىٰ جَهَنَّمَ يُحْشَرُونَ (36) Mazima abo abaakaafuwala, bawaayo e mmaali yaabwe, baggye abantu ku kkubo lya Katonda, kale bajja kugiwaayo, oluvanyuma ebafuukire e ky'okwejjusa, era bawangulwe, ng’ate abo abaakaafuwala, bagenda kukunganyizibwa batwalibwe mu muliro Jahannama |
لِيَمِيزَ اللَّهُ الْخَبِيثَ مِنَ الطَّيِّبِ وَيَجْعَلَ الْخَبِيثَ بَعْضَهُ عَلَىٰ بَعْضٍ فَيَرْكُمَهُ جَمِيعًا فَيَجْعَلَهُ فِي جَهَنَّمَ ۚ أُولَٰئِكَ هُمُ الْخَاسِرُونَ (37) Olwo nno Katonda abe nga ayawula omubi ku mulungi, ababi abakasuke ku bannaabwe bonna babeere entuumu. Entuumu eyo agisse mu muliro Jahannama. Abo nno be baafaafaganirwa |
قُل لِّلَّذِينَ كَفَرُوا إِن يَنتَهُوا يُغْفَرْ لَهُم مَّا قَدْ سَلَفَ وَإِن يَعُودُوا فَقَدْ مَضَتْ سُنَّتُ الْأَوَّلِينَ (38) Gamba abo abaakaafuwala, nti bwe baneekomako, baggya kusonyiyibwa e byakulembera, naye bwe banaddamu, ekyatuuka ku baasooka kimanyiddwa |
وَقَاتِلُوهُمْ حَتَّىٰ لَا تَكُونَ فِتْنَةٌ وَيَكُونَ الدِّينُ كُلُّهُ لِلَّهِ ۚ فَإِنِ انتَهَوْا فَإِنَّ اللَّهَ بِمَا يَعْمَلُونَ بَصِيرٌ (39) Era mubalwanyise waleme kubeerawo bukaafiiri, e ddiini yonna ebeere y’a Katonda. Bwe baba beekomyeko, mazima ddala Katonda alaba bye bakola |
وَإِن تَوَلَّوْا فَاعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ مَوْلَاكُمْ ۚ نِعْمَ الْمَوْلَىٰ وَنِعْمَ النَّصِيرُ (40) Naye bwe batakola ekyo, mumanye nti mazima Katonda ye mukuumi wa mmwe, (era nga yye) ye mukuumi asinga era omutaasa asinga |
۞ وَاعْلَمُوا أَنَّمَا غَنِمْتُم مِّن شَيْءٍ فَأَنَّ لِلَّهِ خُمُسَهُ وَلِلرَّسُولِ وَلِذِي الْقُرْبَىٰ وَالْيَتَامَىٰ وَالْمَسَاكِينِ وَابْنِ السَّبِيلِ إِن كُنتُمْ آمَنتُم بِاللَّهِ وَمَا أَنزَلْنَا عَلَىٰ عَبْدِنَا يَوْمَ الْفُرْقَانِ يَوْمَ الْتَقَى الْجَمْعَانِ ۗ وَاللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (41) Era mumanye nti omunyago gwonna gwemuba muggye ku mulabe, mazima kimu kyakutaano kyagwo kya Katonda, n’omubaka, nab’oluganda olw'okumpi olwa Nabbi, ne ba mulekwa, n’a banaku, n’omutambuze, bwe muba nga mwakkiriza Katonda n'ebyo bye twassa ku muddu waffe (Muhammad) ku lunaku Katonda lwe yayawula amazima ku bulimba, olunaku e bibinja e bibiri lwe byasisinkana (ku lutalo e Badri), bulijjo Katonda w’a buyinza ku buli kintu |
إِذْ أَنتُم بِالْعُدْوَةِ الدُّنْيَا وَهُم بِالْعُدْوَةِ الْقُصْوَىٰ وَالرَّكْبُ أَسْفَلَ مِنكُمْ ۚ وَلَوْ تَوَاعَدتُّمْ لَاخْتَلَفْتُمْ فِي الْمِيعَادِ ۙ وَلَٰكِن لِّيَقْضِيَ اللَّهُ أَمْرًا كَانَ مَفْعُولًا لِّيَهْلِكَ مَنْ هَلَكَ عَن بَيِّنَةٍ وَيَحْيَىٰ مَنْ حَيَّ عَن بَيِّنَةٍ ۗ وَإِنَّ اللَّهَ لَسَمِيعٌ عَلِيمٌ (42) Mujjukire e kiwonvu bwe mwakiri ku ludda oluli okumpi (n'ekibuga Madinah, nga ate abalabe ba mmwe bali mitala, ate nga n’a baali mu kibinja kya basuubuzi nga bali mu kifo ekiri wansi wa mmwe, singa mwali mulagaanye okusisinkana mwandiyawukanye ku ndagaano eyo, naye (mwasisinkana), Katonda alyoke atuukirize ekyo kye yasalawo okukolebwa, olwo nno oyo anaazikirira, azikirire nga azikirira lwa nsonga, n’asigadde nga mulamu asigale lwa nsonga, bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, era mumanyi nnyo |
إِذْ يُرِيكَهُمُ اللَّهُ فِي مَنَامِكَ قَلِيلًا ۖ وَلَوْ أَرَاكَهُمْ كَثِيرًا لَّفَشِلْتُمْ وَلَتَنَازَعْتُمْ فِي الْأَمْرِ وَلَٰكِنَّ اللَّهَ سَلَّمَ ۗ إِنَّهُ عَلِيمٌ بِذَاتِ الصُّدُورِ (43) Jjukira Katonda bwe yabakulaga (abalabebo) mu kirootokyo, nga batono, so nga singa yabakulaga nga bangi mwalinafuye ne mukubagana empawa mu kusalawo, naye mazima Katonda yabataasa, anti Katonda muyitirivu w'a kumanya ebiri mu bifuba bya mmwe |
وَإِذْ يُرِيكُمُوهُمْ إِذِ الْتَقَيْتُمْ فِي أَعْيُنِكُمْ قَلِيلًا وَيُقَلِّلُكُمْ فِي أَعْيُنِهِمْ لِيَقْضِيَ اللَّهُ أَمْرًا كَانَ مَفْعُولًا ۗ وَإِلَى اللَّهِ تُرْجَعُ الْأُمُورُ (44) Era jjukira Katonda bwe yababalaga nga batono mu maaso ga mmwe, bwe mwasisinkana, mmwe naabafuula batono mu maaso gaabwe, Katonda alyoke atuukirize ekyo kye yasalawo okukolebwa, era bulijjo e nsonga zonna ewa Katonda gye zizzibwa |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِذَا لَقِيتُمْ فِئَةً فَاثْبُتُوا وَاذْكُرُوا اللَّهَ كَثِيرًا لَّعَلَّكُمْ تُفْلِحُونَ (45) Abange mmwe abakkiriza bwe musisinkananga e kibinja kya balabe munywere, mwogere nnyo ku Katonda, mulyoke muwangule |
وَأَطِيعُوا اللَّهَ وَرَسُولَهُ وَلَا تَنَازَعُوا فَتَفْشَلُوا وَتَذْهَبَ رِيحُكُمْ ۖ وَاصْبِرُوا ۚ إِنَّ اللَّهَ مَعَ الصَّابِرِينَ (46) Era mugondere Katonda n’omubakawe, temukubagananga e mpawa ne kibanafuya, nemuggwamu amaanyi, era mugumiikirize, anti Katonda ali wamu n'abagumiikiriza |
وَلَا تَكُونُوا كَالَّذِينَ خَرَجُوا مِن دِيَارِهِم بَطَرًا وَرِئَاءَ النَّاسِ وَيَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ اللَّهِ ۚ وَاللَّهُ بِمَا يَعْمَلُونَ مُحِيطٌ (47) Temubeera nga (abakaafiiri) abaafuluma mu mayumba gaabwe nga beekuluntaza n’okweraga eri abantu, era nga baziyiza abantu okuyingira mu ddiini y’a Katonda, nga bulijjo Katonda yeetoolodde ebyo byonna bye bakola |
وَإِذْ زَيَّنَ لَهُمُ الشَّيْطَانُ أَعْمَالَهُمْ وَقَالَ لَا غَالِبَ لَكُمُ الْيَوْمَ مِنَ النَّاسِ وَإِنِّي جَارٌ لَّكُمْ ۖ فَلَمَّا تَرَاءَتِ الْفِئَتَانِ نَكَصَ عَلَىٰ عَقِبَيْهِ وَقَالَ إِنِّي بَرِيءٌ مِّنكُمْ إِنِّي أَرَىٰ مَا لَا تَرَوْنَ إِنِّي أَخَافُ اللَّهَ ۚ وَاللَّهُ شَدِيدُ الْعِقَابِ (48) Jjukira Sitane bwe yabalaga bye baali bakola nti birungi, (Sitane) n'abagamba nti tewali muntu yenna waakubawangula olwa leero, era nti mazima nze nja kubataasa, naye ate e bibinja by’ombiriri bwe byasisinkana, Sitane neyeefuula, era naagamba nti, mazima nze siri nammwe, anti mazima nze ndaba bye mutalaba, era mazima nze ntya Katonda, nga bulijjo Katonda muyitirivu wa kubonereza |
إِذْ يَقُولُ الْمُنَافِقُونَ وَالَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٌ غَرَّ هَٰؤُلَاءِ دِينُهُمْ ۗ وَمَن يَتَوَكَّلْ عَلَى اللَّهِ فَإِنَّ اللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٌ (49) Jjukira abannanfusi n’abalina obulwadde mu mitima gyabwe bwe baagamba nti, e ddiini yaabo abakkiriza ebabuzizza, sso nga buli eyeekwasa Katonda (y’aba akoze e kituufu), anti mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga |
وَلَوْ تَرَىٰ إِذْ يَتَوَفَّى الَّذِينَ كَفَرُوا ۙ الْمَلَائِكَةُ يَضْرِبُونَ وُجُوهَهُمْ وَأَدْبَارَهُمْ وَذُوقُوا عَذَابَ الْحَرِيقِ (50) Singa olaba (ggwe Nabbi Muhammad) engeri malayika gye ziggyamu e myooyo gy’abakaafiiri, nga babakuba mu maaso gaabwe, ne ku migongo gyabwe, nga bwe babagamba nti, mukombe ku bukaawu bwe binorezo ebyokya |
ذَٰلِكَ بِمَا قَدَّمَتْ أَيْدِيكُمْ وَأَنَّ اللَّهَ لَيْسَ بِظَلَّامٍ لِّلْعَبِيدِ (51) Ekyo ekibatuuseeko, kiva ku ebyo bye mwakola (mu bulamu bwensi) era nti mazima Katonda tayisa bubi baddube |
كَدَأْبِ آلِ فِرْعَوْنَ ۙ وَالَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ ۚ كَفَرُوا بِآيَاتِ اللَّهِ فَأَخَذَهُمُ اللَّهُ بِذُنُوبِهِمْ ۗ إِنَّ اللَّهَ قَوِيٌّ شَدِيدُ الْعِقَابِ (52) (Ebyo ebituuse ku bakaafiiri) bifaanana n’ebyatuuka ku bantu ba Firawo, n'abo abaabakulembera, baawakanya ebigambo bya Katonda, Katonda naababonereza olw'e byonoono bya bwe, mazima ddala Katonda wa maanyi era muyitirivu wa kubonereza |
ذَٰلِكَ بِأَنَّ اللَّهَ لَمْ يَكُ مُغَيِّرًا نِّعْمَةً أَنْعَمَهَا عَلَىٰ قَوْمٍ حَتَّىٰ يُغَيِّرُوا مَا بِأَنفُسِهِمْ ۙ وَأَنَّ اللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٌ (53) Ebyo ebituuse ku bakaafiiri (bibasaanira), anti mazima Katonda takyusa kyengera kyaba awadde bantu, okutuusa nga bo bennyini bakyusizza embeera zaabwe, era nga bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, mumanyi nnyo |
كَدَأْبِ آلِ فِرْعَوْنَ ۙ وَالَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ ۚ كَذَّبُوا بِآيَاتِ رَبِّهِمْ فَأَهْلَكْنَاهُم بِذُنُوبِهِمْ وَأَغْرَقْنَا آلَ فِرْعَوْنَ ۚ وَكُلٌّ كَانُوا ظَالِمِينَ (54) Bafaanana nga abantu ba Firawo, n'abo abaaliwo oluberyeberye lwa bwe, baalimbisa e bigambo bya Mukama omulabirizi waabwe, netubazikiriza olw'ebibi bya bwe, netusaanyaawo abantu ba Firawo, era bonna baali beeyisizza bubi |
إِنَّ شَرَّ الدَّوَابِّ عِندَ اللَّهِ الَّذِينَ كَفَرُوا فَهُمْ لَا يُؤْمِنُونَ (55) Mazima ekiramu ekisinga obubi mu maaso g’a Katonda, beebo abaakaafuwala nekiba nti tebagenda kukkiriza |
الَّذِينَ عَاهَدتَّ مِنْهُمْ ثُمَّ يَنقُضُونَ عَهْدَهُمْ فِي كُلِّ مَرَّةٍ وَهُمْ لَا يَتَّقُونَ (56) Abo bewakozesa endagaano, ate nebamenya endagaano yaabwe buli mulundi, era tebayinza kutya Katonda |
فَإِمَّا تَثْقَفَنَّهُمْ فِي الْحَرْبِ فَشَرِّدْ بِهِم مَّنْ خَلْفَهُمْ لَعَلَّهُمْ يَذَّكَّرُونَ (57) Buli lwo bagwikirizanga mu lutalo, babonereze mu bukambwe, kibe ekyokutiisa, eri abo abalibaddirira, babe nga beebuulirira |
وَإِمَّا تَخَافَنَّ مِن قَوْمٍ خِيَانَةً فَانبِذْ إِلَيْهِمْ عَلَىٰ سَوَاءٍ ۚ إِنَّ اللَّهَ لَا يُحِبُّ الْخَائِنِينَ (58) Bwe weekengeranga obukumpanya mu bantu, baddize e ndagaano yaabwe mu lwatu, anti mazima ddala Katonda tayagala bakumpanya |
وَلَا يَحْسَبَنَّ الَّذِينَ كَفَرُوا سَبَقُوا ۚ إِنَّهُمْ لَا يُعْجِزُونَ (59) Abo abaakaafuwala tebeeyibaalanga ne balowooza nti basimattuse ku Katonda, anti mazima bbo tebayinza kulemesa (Katonda) |
وَأَعِدُّوا لَهُم مَّا اسْتَطَعْتُم مِّن قُوَّةٍ وَمِن رِّبَاطِ الْخَيْلِ تُرْهِبُونَ بِهِ عَدُوَّ اللَّهِ وَعَدُوَّكُمْ وَآخَرِينَ مِن دُونِهِمْ لَا تَعْلَمُونَهُمُ اللَّهُ يَعْلَمُهُمْ ۚ وَمَا تُنفِقُوا مِن شَيْءٍ فِي سَبِيلِ اللَّهِ يُوَفَّ إِلَيْكُمْ وَأَنتُمْ لَا تُظْلَمُونَ (60) Era mubeetegekere, nga mukozesa ekyo kyonna kye musobola mu by’okulwanyisa, nga e nfalaasi e ntendeke, era mutiise nakyo omulabe w’a Katonda era omulabe wa mmwe, n’abalala abatali abo be mutamanyi naye nga Katonda abamanyi, (mukutuukiriza ekyo), e kintu kyonna kye muwaayo mu kkubo lya Katonda, kigenda kubasasulwa mu bujjuvu, era temugenda kuyisibwa bubi |
۞ وَإِن جَنَحُوا لِلسَّلْمِ فَاجْنَحْ لَهَا وَتَوَكَّلْ عَلَى اللَّهِ ۚ إِنَّهُ هُوَ السَّمِيعُ الْعَلِيمُ (61) Singa bayaayaanira e mirembe naawe giyaayaanire, era weekwase Katonda, anti mazima yye awulira nnyo, mumanyi |
وَإِن يُرِيدُوا أَن يَخْدَعُوكَ فَإِنَّ حَسْبَكَ اللَّهُ ۚ هُوَ الَّذِي أَيَّدَكَ بِنَصْرِهِ وَبِالْمُؤْمِنِينَ (62) Naye singa baba baagadde okukukwenyakwenya, akumalira byonna ye Katonda, anti yye yooyo eyakudduukirira n’akutaasa (era n’akuwagira) ng’akozesa abakkiriza |
وَأَلَّفَ بَيْنَ قُلُوبِهِمْ ۚ لَوْ أَنفَقْتَ مَا فِي الْأَرْضِ جَمِيعًا مَّا أَلَّفْتَ بَيْنَ قُلُوبِهِمْ وَلَٰكِنَّ اللَّهَ أَلَّفَ بَيْنَهُمْ ۚ إِنَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٌ (63) Era naagatta wakati w’emitima gyabwe, nga singa wawaayo ebiri mu nsi byonna, tewandigasse wakati w’a mitima gyabwe, naye mazima ddala Katonda yagatta wakati waabwe, anti mazima ddala yye ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga |
يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ حَسْبُكَ اللَّهُ وَمَنِ اتَّبَعَكَ مِنَ الْمُؤْمِنِينَ (64) Owange ggwe Nabbi, Katonda akumalira era naamalira n’abali naawe nga bakkiriza |
يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ حَرِّضِ الْمُؤْمِنِينَ عَلَى الْقِتَالِ ۚ إِن يَكُن مِّنكُمْ عِشْرُونَ صَابِرُونَ يَغْلِبُوا مِائَتَيْنِ ۚ وَإِن يَكُن مِّنكُم مِّائَةٌ يَغْلِبُوا أَلْفًا مِّنَ الَّذِينَ كَفَرُوا بِأَنَّهُمْ قَوْمٌ لَّا يَفْقَهُونَ (65) Owange gwe Nabbi, kubiriza abakkiriza okugenda okulwana, kale nno mu mmwe bwe mubaamu amakumi abiri abagumiikiriza bawangula e bikumi bibiri, ate e kikumi mu mmwe bawangula lukumi, mu abo abaakaafuwala olw'okuba nti bo bantu abatategeera |
الْآنَ خَفَّفَ اللَّهُ عَنكُمْ وَعَلِمَ أَنَّ فِيكُمْ ضَعْفًا ۚ فَإِن يَكُن مِّنكُم مِّائَةٌ صَابِرَةٌ يَغْلِبُوا مِائَتَيْنِ ۚ وَإِن يَكُن مِّنكُمْ أَلْفٌ يَغْلِبُوا أَلْفَيْنِ بِإِذْنِ اللَّهِ ۗ وَاللَّهُ مَعَ الصَّابِرِينَ (66) Kaakati Katonda abawewulidde, era amanyi nti mazima mu mmwe mulimu obunafu, kale mu mmwe bwe mubangamu e kikumi ekigumiikiriza, bawangula e bibiri, ate olukumi mu mmwe bawangula e nkumi bbiri ku lwo kukkiriza kwa Katonda, nga bulijjo Katonda aliwamu n'abagumiikiriza |
مَا كَانَ لِنَبِيٍّ أَن يَكُونَ لَهُ أَسْرَىٰ حَتَّىٰ يُثْخِنَ فِي الْأَرْضِ ۚ تُرِيدُونَ عَرَضَ الدُّنْيَا وَاللَّهُ يُرِيدُ الْآخِرَةَ ۗ وَاللَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٌ (67) Tekisaanira Nabbi yenna kuba na bawambe okutuusa nga amaze okusimba amakanda mu nsi. (Bwe musalawo okutwala abawambe nga temunnanywera) muba mwagala bya kufuna byansi, ng’ate Katonda ayagala nkomerero, ate nga bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga |
لَّوْلَا كِتَابٌ مِّنَ اللَّهِ سَبَقَ لَمَسَّكُمْ فِيمَا أَخَذْتُمْ عَذَابٌ عَظِيمٌ (68) Singa ssi kusalawo kwa Katonda oluberyeberye, mwandituusiddwako e kibonerezo e kikakali olw'ebyo bye mwatwala |
فَكُلُوا مِمَّا غَنِمْتُمْ حَلَالًا طَيِّبًا ۚ وَاتَّقُوا اللَّهَ ۚ إِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (69) Kale nno mulye mu ebyo bye mufunye, nga minyago ebiri Halal ate nga birungi, era mutye Katonda, mazima Katonda musonyiyi, musaazizi |
يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ قُل لِّمَن فِي أَيْدِيكُم مِّنَ الْأَسْرَىٰ إِن يَعْلَمِ اللَّهُ فِي قُلُوبِكُمْ خَيْرًا يُؤْتِكُمْ خَيْرًا مِّمَّا أُخِذَ مِنكُمْ وَيَغْفِرْ لَكُمْ ۗ وَاللَّهُ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (70) Owange ggwe Nabbi gamba abawambe abali mu mikono gya mmwe nti, Katonda bwa naamanya nti mu mitima gya mmwe mulimu akalungi agenda kubawa e birungi e bisinga kw'ebyo ebyabaggyibwako era abasonyiwe, anti bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi |
وَإِن يُرِيدُوا خِيَانَتَكَ فَقَدْ خَانُوا اللَّهَ مِن قَبْلُ فَأَمْكَنَ مِنْهُمْ ۗ وَاللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (71) Naye bwe baba baagadde ku kukumpanya, mazima ba kumpanyadda Katonda, wabula yakuyamba n’obawangula, nga bulijjo Katonda amanyi nnyo, agoba nsonga |
إِنَّ الَّذِينَ آمَنُوا وَهَاجَرُوا وَجَاهَدُوا بِأَمْوَالِهِمْ وَأَنفُسِهِمْ فِي سَبِيلِ اللَّهِ وَالَّذِينَ آوَوا وَّنَصَرُوا أُولَٰئِكَ بَعْضُهُمْ أَوْلِيَاءُ بَعْضٍ ۚ وَالَّذِينَ آمَنُوا وَلَمْ يُهَاجِرُوا مَا لَكُم مِّن وَلَايَتِهِم مِّن شَيْءٍ حَتَّىٰ يُهَاجِرُوا ۚ وَإِنِ اسْتَنصَرُوكُمْ فِي الدِّينِ فَعَلَيْكُمُ النَّصْرُ إِلَّا عَلَىٰ قَوْمٍ بَيْنَكُمْ وَبَيْنَهُم مِّيثَاقٌ ۗ وَاللَّهُ بِمَا تَعْمَلُونَ بَصِيرٌ (72) Mazima abo abakkiriza nebasenguka, ne balafuubana mu kkubo lya Katonda, nga bakozesa e mmaali yaabwe n’emyooyo gyabwe, era n’abo abaabudamya era ne bataasa (abaava e Mekkah) abo nno, abamu bateekwa okudduukirira bannaabwe. Ate abo abakkiriza nebatasenguka temuvunaanyizibwa ku kintu kyonna mu kubataasa, okutuusa nga basenguse. Naye bwe babakubira e nduulu ku nsonga eye ddiini, olwo nno muteekwa okubadduukirira okugyako nga bakaayagana n’abantu bemulina nabo e ndagaano. Nga bulijjo Katonda alaba bye mukola |
وَالَّذِينَ كَفَرُوا بَعْضُهُمْ أَوْلِيَاءُ بَعْضٍ ۚ إِلَّا تَفْعَلُوهُ تَكُن فِتْنَةٌ فِي الْأَرْضِ وَفَسَادٌ كَبِيرٌ (73) Ate abo abaakaafuwala abamu mikwano gya bannaabwe, bwe mutaakikole (eky'okutaasa bannammwe bemuteekwa okukikolera), olwo wajja kubaawo obuzibu mu nsi n’okwonoona kungi |
وَالَّذِينَ آمَنُوا وَهَاجَرُوا وَجَاهَدُوا فِي سَبِيلِ اللَّهِ وَالَّذِينَ آوَوا وَّنَصَرُوا أُولَٰئِكَ هُمُ الْمُؤْمِنُونَ حَقًّا ۚ لَّهُم مَّغْفِرَةٌ وَرِزْقٌ كَرِيمٌ (74) Era abo abakkiriza nebasenguka, nebalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda, n'abo abaabudamya nebataasa (abaava e Mekkah), abo nno be bakkiriza abannamaddala. Balina e kisonyiwo n’okugabirirwa okw'ettendo |
وَالَّذِينَ آمَنُوا مِن بَعْدُ وَهَاجَرُوا وَجَاهَدُوا مَعَكُمْ فَأُولَٰئِكَ مِنكُمْ ۚ وَأُولُو الْأَرْحَامِ بَعْضُهُمْ أَوْلَىٰ بِبَعْضٍ فِي كِتَابِ اللَّهِ ۗ إِنَّ اللَّهَ بِكُلِّ شَيْءٍ عَلِيمٌ (75) Ate abo abakkiriza, oluvanyuma ne balafuubana wamu nammwe mu kkubo lya Katonda, abo nno ba mu mmwe, naye nga ab'oluganda abamu ku bo be basinga okukwatibwako ensonga z’a bannaabwe. Ebyo nga biri mu kitabo kya Katonda. Nga bulijjo mazima Katonda mumanyi wa buli kintu |