حم (1) Ha Miim |
عسق (2) Ayin Siin Kaaf |
كَذَٰلِكَ يُوحِي إِلَيْكَ وَإِلَى الَّذِينَ مِن قَبْلِكَ اللَّهُ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (3) Bwatyo Katonda nantalemwa, mugobansonga, akutumira obubaka era nga bweyatuma eri abo abaaliwo oluberyeberye lwo |
لَهُ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ ۖ وَهُوَ الْعَلِيُّ الْعَظِيمُ (4) Bibye yekka byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi ,era yye ye wa waggulu ennyo owekitiibwa |
تَكَادُ السَّمَاوَاتُ يَتَفَطَّرْنَ مِن فَوْقِهِنَّ ۚ وَالْمَلَائِكَةُ يُسَبِّحُونَ بِحَمْدِ رَبِّهِمْ وَيَسْتَغْفِرُونَ لِمَن فِي الْأَرْضِ ۗ أَلَا إِنَّ اللَّهَ هُوَ الْغَفُورُ الرَّحِيمُ (5) Eggulu omusanvu kumpi kweyuzaamu okutandikira waggulu waago (ku lwo kugulumiza Katonda) ne ba Malayika batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era basabira abali mu nsi ekisonyiwo, abange mazima Katonda yye ye musonyiyi ennyo omusaasizi |
وَالَّذِينَ اتَّخَذُوا مِن دُونِهِ أَوْلِيَاءَ اللَّهُ حَفِيظٌ عَلَيْهِمْ وَمَا أَنتَ عَلَيْهِم بِوَكِيلٍ (6) Naye abo abeteerawo ebisinzibwa ebirala nebamuvaako, Katonda mulondoozi ku bo, era ggwe toli mukuumi ku bo |
وَكَذَٰلِكَ أَوْحَيْنَا إِلَيْكَ قُرْآنًا عَرَبِيًّا لِّتُنذِرَ أُمَّ الْقُرَىٰ وَمَنْ حَوْلَهَا وَتُنذِرَ يَوْمَ الْجَمْعِ لَا رَيْبَ فِيهِ ۚ فَرِيقٌ فِي الْجَنَّةِ وَفَرِيقٌ فِي السَّعِيرِ (7) Bwekityo twakuweereza Kur’ani nga eri mu luwarabu obe nga otiisa (nayo) maama w'ebibuga byonna (Makkah) n'abali mu bitundu ebikyetoolodde era otiise (abantu) olunaku lw'okukungaana olutaliimu kubuusabuusa, nga ekibinja kya kuyingira jjana ate ekibinja ekirala kya kuyingira muliro ogububuuka |
وَلَوْ شَاءَ اللَّهُ لَجَعَلَهُمْ أُمَّةً وَاحِدَةً وَلَٰكِن يُدْخِلُ مَن يَشَاءُ فِي رَحْمَتِهِ ۚ وَالظَّالِمُونَ مَا لَهُم مِّن وَلِيٍّ وَلَا نَصِيرٍ (8) Singa Katonda yayagala (bonna) yandibafudde ekibiina kimu, naye ayingiza oyo gwaba ayagadde mu kusaasira kwe, ate abeeyisa obubi tebaliba na mukuumi wadde omutaasa |
أَمِ اتَّخَذُوا مِن دُونِهِ أَوْلِيَاءَ ۖ فَاللَّهُ هُوَ الْوَلِيُّ وَهُوَ يُحْيِي الْمَوْتَىٰ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (9) Oba baaleka Katonda nebeeterawo ba katonda (abalala) so nno Katonda ye ye mukuumi, era yye ye wokulamusa abafu, era ye (bulijjo) muyinza ku buli kintu kyonna |
وَمَا اخْتَلَفْتُمْ فِيهِ مِن شَيْءٍ فَحُكْمُهُ إِلَى اللَّهِ ۚ ذَٰلِكُمُ اللَّهُ رَبِّي عَلَيْهِ تَوَكَّلْتُ وَإِلَيْهِ أُنِيبُ (10) Ekintu kyonna kyemuba mwawukanyeemu, okulamula kwakyo kuli eri Katonda, oyo mwe Katonda ye Mukama omulabirizi wange. ye yekka gwe nneesiga era gyali gyenzira |
فَاطِرُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ جَعَلَ لَكُم مِّنْ أَنفُسِكُمْ أَزْوَاجًا وَمِنَ الْأَنْعَامِ أَزْوَاجًا ۖ يَذْرَؤُكُمْ فِيهِ ۚ لَيْسَ كَمِثْلِهِ شَيْءٌ ۖ وَهُوَ السَّمِيعُ الْبَصِيرُ (11) Omutandisi weggulu ne nsi, abateerawo nga agya mu mmwe bemufumbiriganwa nabo, era yabateerawo mu bisolo ebirundibwa bibiri bibiri (ekisajja n'ekikazi) nga abazalukusa mu nkola eyo, tewali kintu kiringa yye, era yye ye muwulizi ennyo omulabi ennyo |
لَهُ مَقَالِيدُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۖ يَبْسُطُ الرِّزْقَ لِمَن يَشَاءُ وَيَقْدِرُ ۚ إِنَّهُ بِكُلِّ شَيْءٍ عَلِيمٌ (12) Yekka yaalina ebitambulirwako eggulu omusanvu ne nsi, ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde, ate nafunza (kwoyo gwaba ayagadde) mazima yye ye mumanyi ennyo wa buli kintu |
۞ شَرَعَ لَكُم مِّنَ الدِّينِ مَا وَصَّىٰ بِهِ نُوحًا وَالَّذِي أَوْحَيْنَا إِلَيْكَ وَمَا وَصَّيْنَا بِهِ إِبْرَاهِيمَ وَمُوسَىٰ وَعِيسَىٰ ۖ أَنْ أَقِيمُوا الدِّينَ وَلَا تَتَفَرَّقُوا فِيهِ ۚ كَبُرَ عَلَى الْمُشْرِكِينَ مَا تَدْعُوهُمْ إِلَيْهِ ۚ اللَّهُ يَجْتَبِي إِلَيْهِ مَن يَشَاءُ وَيَهْدِي إِلَيْهِ مَن يُنِيبُ (13) Yabalaalikako mu ddiini ebyo bye yalaamira Nuuhu n'ebyo bye twassa ku ggwe n'ebyo byetwalamira Ibrahim ne Mussa ne Issa ebigamba nti muyimirizeewo eddiini temujawukanangamu kizitoye kubagatta ku Katonda ebintu ebirala ekyo kye mubakowoola okujja gye kiri, Katonda alondobamu oyo gwaba ayagadde nadda gyali, era alungamya okudda gyali oyo eyeemenya |
وَمَا تَفَرَّقُوا إِلَّا مِن بَعْدِ مَا جَاءَهُمُ الْعِلْمُ بَغْيًا بَيْنَهُمْ ۚ وَلَوْلَا كَلِمَةٌ سَبَقَتْ مِن رَّبِّكَ إِلَىٰ أَجَلٍ مُّسَمًّى لَّقُضِيَ بَيْنَهُمْ ۚ وَإِنَّ الَّذِينَ أُورِثُوا الْكِتَابَ مِن بَعْدِهِمْ لَفِي شَكٍّ مِّنْهُ مُرِيبٍ (14) Tebaayawukana okugyako luvannyuma lwa kumanya okubajjira (nga ekyabatuusa kwekyo) bwe bukyayi obwali wakati waabwe, era singa si kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabirizi wo (ekyo butazikirizaawo bonoonyi) okutuusa ebbanga eggere (erya baweebwa) waalisaliddwawo wakati waabwe (mu kiseera ekyo kye nnyini) era mazima abo abasikizibwa ekitabo oluvanyuma lwabwe, mu kyo bali mu kubuusabuusa okujjudde okutankana |
فَلِذَٰلِكَ فَادْعُ ۖ وَاسْتَقِمْ كَمَا أُمِرْتَ ۖ وَلَا تَتَّبِعْ أَهْوَاءَهُمْ ۖ وَقُلْ آمَنتُ بِمَا أَنزَلَ اللَّهُ مِن كِتَابٍ ۖ وَأُمِرْتُ لِأَعْدِلَ بَيْنَكُمُ ۖ اللَّهُ رَبُّنَا وَرَبُّكُمْ ۖ لَنَا أَعْمَالُنَا وَلَكُمْ أَعْمَالُكُمْ ۖ لَا حُجَّةَ بَيْنَنَا وَبَيْنَكُمُ ۖ اللَّهُ يَجْمَعُ بَيْنَنَا ۖ وَإِلَيْهِ الْمَصِيرُ (15) N’olwekyo kale kowoola (abantu okujja eri e ddiini) era obeere mwesimbu nga bwe walagirwa, era togoberera kwagala kwabwe era gamba nti nzikiriza e bitabo ebyo Katonda bye yassa, era nalagirwa okukola obwenkanya wakati wa mmwe. Katonda ye mulabirizi waffe era omulabirizi wa mmwe ffe tulina emirimu gyaffe na mmwe mulina emirimu gya mmwe. Tewali nkayana wakati waffe na mmwe (anti amazima meyolefu), Katonda agenda kutusisinkanya (ffe na mmwe) era gyali yokka yeeri obuddo |
وَالَّذِينَ يُحَاجُّونَ فِي اللَّهِ مِن بَعْدِ مَا اسْتُجِيبَ لَهُ حُجَّتُهُمْ دَاحِضَةٌ عِندَ رَبِّهِمْ وَعَلَيْهِمْ غَضَبٌ وَلَهُمْ عَذَابٌ شَدِيدٌ (16) N'abo abawakana ku bikwata ku Katonda, oluvanyuma lwo kuba nti (omubaka Muhammad) yayanukulwa (nagobererwa), ensonga yaabwe ya butaliimu mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, era baliko obusungu n'ebibonerezo ebikambwe |
اللَّهُ الَّذِي أَنزَلَ الْكِتَابَ بِالْحَقِّ وَالْمِيزَانَ ۗ وَمَا يُدْرِيكَ لَعَلَّ السَّاعَةَ قَرِيبٌ (17) Katonda yooyo eyassa ebitabo nga bya mazima n’obwenkanya. yye omanyira kuki oba olyawo olunaku lw’enkomerero luli kumpi |
يَسْتَعْجِلُ بِهَا الَّذِينَ لَا يُؤْمِنُونَ بِهَا ۖ وَالَّذِينَ آمَنُوا مُشْفِقُونَ مِنْهَا وَيَعْلَمُونَ أَنَّهَا الْحَقُّ ۗ أَلَا إِنَّ الَّذِينَ يُمَارُونَ فِي السَّاعَةِ لَفِي ضَلَالٍ بَعِيدٍ (18) Abo abatakkiriza basaba luleetebwe mangu, ate abo abakkiriza balwelaliikirira era bamanyi nti mazima ddala lwo (okutuuka kwalwo) ge mazima, abange mazima abo abawakana ku kubaawo kwo lunaku lw’enkomerero ddala bali mu bubuze obwewala |
اللَّهُ لَطِيفٌ بِعِبَادِهِ يَرْزُقُ مَن يَشَاءُ ۖ وَهُوَ الْقَوِيُّ الْعَزِيزُ (19) Katonda alumirwa abaddu be, agabira oyo gwaba ayagadde era yye ye wamanyi nantakubwa ku mukono |
مَن كَانَ يُرِيدُ حَرْثَ الْآخِرَةِ نَزِدْ لَهُ فِي حَرْثِهِ ۖ وَمَن كَانَ يُرِيدُ حَرْثَ الدُّنْيَا نُؤْتِهِ مِنْهَا وَمَا لَهُ فِي الْآخِرَةِ مِن نَّصِيبٍ (20) Oyo ayagala ebikungulwa byo bulamu obwoluvanyuma tumwongeza mu bikungulwa bye, nooyo ayagala ebikungulwa byo bulamu bwensi tubimuwaako (ebyo bye twamugerera) naye nga talina ku nkomerero mugabo gwonna |
أَمْ لَهُمْ شُرَكَاءُ شَرَعُوا لَهُم مِّنَ الدِّينِ مَا لَمْ يَأْذَن بِهِ اللَّهُ ۚ وَلَوْلَا كَلِمَةُ الْفَصْلِ لَقُضِيَ بَيْنَهُمْ ۗ وَإِنَّ الظَّالِمِينَ لَهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (21) (Ekibabuza) oba balinayo be bagatta ku Katonda nga ba bateerawo amateeka g’eddiini ago Katonda ga takkiriza, era singa si kigambo ekyokusalawo (okulibaawo ku lunaku lw’enkomerero mangu ddala) wandiramuddwa wakati waabwe. Era mazima abeeyisa obubi balina ebibonerezo ebiruma ennyo |
تَرَى الظَّالِمِينَ مُشْفِقِينَ مِمَّا كَسَبُوا وَهُوَ وَاقِعٌ بِهِمْ ۗ وَالَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ فِي رَوْضَاتِ الْجَنَّاتِ ۖ لَهُم مَّا يَشَاءُونَ عِندَ رَبِّهِمْ ۚ ذَٰلِكَ هُوَ الْفَضْلُ الْكَبِيرُ (22) (Ku lunaku olwo) oliraba abeeyisa obubi nga beraliikirira olwebyo bye bakola, era nga ddala ekyo kigenda kubatuukako ate abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balibeera mu bifo byo mu jjana, balifuna ebyo bye baliyagala ewa Mukama omulabirizi waabwe, ekyo kyo, bwe bulungi obusuffu |
ذَٰلِكَ الَّذِي يُبَشِّرُ اللَّهُ عِبَادَهُ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ ۗ قُل لَّا أَسْأَلُكُمْ عَلَيْهِ أَجْرًا إِلَّا الْمَوَدَّةَ فِي الْقُرْبَىٰ ۗ وَمَن يَقْتَرِفْ حَسَنَةً نَّزِدْ لَهُ فِيهَا حُسْنًا ۚ إِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ شَكُورٌ (23) Ekyo kyekyo Katonda kyasanyusa nakyo abaddu be abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu. (Ggwe Nabbi Muhammad) bagambe nti (ekyo kubatuusaako obubaka) si kibasabirako mpeera wabula (kye mbagalamu) kwe kukolagana mu ngeri y’omukwano nga ab’oluganda. Oyo yenna akola obulungi tubumwongezaamu obulungi obulala, mazima Katonda musonyiyi nnyo musiimi nnyo |
أَمْ يَقُولُونَ افْتَرَىٰ عَلَى اللَّهِ كَذِبًا ۖ فَإِن يَشَإِ اللَّهُ يَخْتِمْ عَلَىٰ قَلْبِكَ ۗ وَيَمْحُ اللَّهُ الْبَاطِلَ وَيُحِقُّ الْحَقَّ بِكَلِمَاتِهِ ۚ إِنَّهُ عَلِيمٌ بِذَاتِ الصُّدُورِ (24) Oba (ekibabuza lwakuba) bagamba nti (Muhmmad) yajweteka ku Katonda ebigambo mu bulimba, Katonda bwaba ayagadde asobola okuzibikira omutima gwo (singa okola nga bwe bagamba), era Katonda naggyawo ebitali bituufu nakakasa amazima olwebigambo bye, mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba |
وَهُوَ الَّذِي يَقْبَلُ التَّوْبَةَ عَنْ عِبَادِهِ وَيَعْفُو عَنِ السَّيِّئَاتِ وَيَعْلَمُ مَا تَفْعَلُونَ (25) Era yye yooyo akkiriza okwenenya kwa baddu be era naasonyiwa ebibi, era amanyi ebyo bye mukola |
وَيَسْتَجِيبُ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ وَيَزِيدُهُم مِّن فَضْلِهِ ۚ وَالْكَافِرُونَ لَهُمْ عَذَابٌ شَدِيدٌ (26) Era ayanukula (okusaba kwabo) abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu era nabongera ebirungi bye, bo abakafiiri balina ebibonerezo ebikakali |
۞ وَلَوْ بَسَطَ اللَّهُ الرِّزْقَ لِعِبَادِهِ لَبَغَوْا فِي الْأَرْضِ وَلَٰكِن يُنَزِّلُ بِقَدَرٍ مَّا يَشَاءُ ۚ إِنَّهُ بِعِبَادِهِ خَبِيرٌ بَصِيرٌ (27) Singa Katonda yagaziya riziki ku baddu be balyonoonye mu nsi, wabula assa mu kipimo ekyo kyaba ayagadde mazima ye amanyidde ddala ebyomunda era alaba nnyo ebikwata ku baddu be |
وَهُوَ الَّذِي يُنَزِّلُ الْغَيْثَ مِن بَعْدِ مَا قَنَطُوا وَيَنشُرُ رَحْمَتَهُ ۚ وَهُوَ الْوَلِيُّ الْحَمِيدُ (28) Era ye yooyo atonnyesa enkuba oluvanyuma (lwa bantu) okukutuka n’okusuubira ,era abunyisa okusaasira kwe, era yye, ye mukuumi atenderezebwa ennyo |
وَمِنْ آيَاتِهِ خَلْقُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَمَا بَثَّ فِيهِمَا مِن دَابَّةٍ ۚ وَهُوَ عَلَىٰ جَمْعِهِمْ إِذَا يَشَاءُ قَدِيرٌ (29) Naakamu mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kwe kutondebwa kwe ggulu omusanvu ne nsi. Nebyo ebirimu obulamu ebitambula bye yassa mu byombi. Era yye asobola okubakungaanya wayagalira |
وَمَا أَصَابَكُم مِّن مُّصِيبَةٍ فَبِمَا كَسَبَتْ أَيْدِيكُمْ وَيَعْفُو عَن كَثِيرٍ (30) Obuzibu bwonna obubatuukako kiba lwa nsonga yeebyo emikono gya mmwe byegiba gikoze ate nga alekera bingi |
وَمَا أَنتُم بِمُعْجِزِينَ فِي الْأَرْضِ ۖ وَمَا لَكُم مِّن دُونِ اللَّهِ مِن وَلِيٍّ وَلَا نَصِيرٍ (31) Era mmwe temuli bayinza kulemesa (Katonda) ku nsi ate era nga ogyeko Katonda temulina mukuumi wadde omutaasa |
وَمِنْ آيَاتِهِ الْجَوَارِ فِي الْبَحْرِ كَالْأَعْلَامِ (32) Era mu bubonero bwe g’emaato agaseyeeya ku nyanja nga galinga ensozi |
إِن يَشَأْ يُسْكِنِ الرِّيحَ فَيَظْلَلْنَ رَوَاكِدَ عَلَىٰ ظَهْرِهِ ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ لِّكُلِّ صَبَّارٍ شَكُورٍ (33) Bwaba ayagadde asobola okuyimiriza empewo (amaato) negabeera nga gayimiridde ku ngulu kwayo (ennyanja, nga tegabbira), mazima mwekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri buli mugumikiriza ennyo omwebaza |
أَوْ يُوبِقْهُنَّ بِمَا كَسَبُوا وَيَعْفُ عَن كَثِيرٍ (34) Oba ayinza okugabbiza (nebazikirira) olw'ebibi bye baba bakoze, anti bulujjo alekera bingi |
وَيَعْلَمَ الَّذِينَ يُجَادِلُونَ فِي آيَاتِنَا مَا لَهُم مِّن مَّحِيصٍ (35) Era abo abawakanya ebigambo byaffe, bateekwa bamanye nti tebagenda kufuna buddukiro |
فَمَا أُوتِيتُم مِّن شَيْءٍ فَمَتَاعُ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا ۖ وَمَا عِندَ اللَّهِ خَيْرٌ وَأَبْقَىٰ لِلَّذِينَ آمَنُوا وَعَلَىٰ رَبِّهِمْ يَتَوَكَّلُونَ (36) Buli kintu kyonna kyemuba muweereddwa bya kwe yagala bya bulamu bwa nsi, so nga ebiri ewa Katonda bye bisinga obulungi era bye byo kusigalawo nga byabo abakkiriza ,era nga Mukama omulabirizi waabwe yekka gwe beesiga |
وَالَّذِينَ يَجْتَنِبُونَ كَبَائِرَ الْإِثْمِ وَالْفَوَاحِشَ وَإِذَا مَا غَضِبُوا هُمْ يَغْفِرُونَ (37) Era beebo abewala ebibi ebinene ne byo buwemu era bo bweba banyiize basonyiwa |
وَالَّذِينَ اسْتَجَابُوا لِرَبِّهِمْ وَأَقَامُوا الصَّلَاةَ وَأَمْرُهُمْ شُورَىٰ بَيْنَهُمْ وَمِمَّا رَزَقْنَاهُمْ يُنفِقُونَ (38) Era beebo abayanukula Mukama omulabirizi waabwe ne bayimirizaawo e sswala era nga bulijjo ekigambo kyabwe (kisalwawo nga kiyita mu) kuteseganya wakati waabwe era nga bagaba kwebyo bye tubagabirira |
وَالَّذِينَ إِذَا أَصَابَهُمُ الْبَغْيُ هُمْ يَنتَصِرُونَ (39) Era beebo bwe baba batuukiddwako obulumbaganyi, bo belwanako |
وَجَزَاءُ سَيِّئَةٍ سَيِّئَةٌ مِّثْلُهَا ۖ فَمَنْ عَفَا وَأَصْلَحَ فَأَجْرُهُ عَلَى اللَّهِ ۚ إِنَّهُ لَا يُحِبُّ الظَّالِمِينَ (40) Era empeera y'ekibi eba kibi ekifaanana nga kyo, kale nno oyo alekera natabagana (ne mu nne) okusasulwa kwe kuli ku Katonda, anti mazima yye (Katonda) tayagala bayisa ba nnaabwe bubi |
وَلَمَنِ انتَصَرَ بَعْدَ ظُلْمِهِ فَأُولَٰئِكَ مَا عَلَيْهِم مِّن سَبِيلٍ (41) Omuntu eyetaasa nga abadde ayisiddwa bubi abo tebabalinaako kkubo (lya kubavunaana) |
إِنَّمَا السَّبِيلُ عَلَى الَّذِينَ يَظْلِمُونَ النَّاسَ وَيَبْغُونَ فِي الْأَرْضِ بِغَيْرِ الْحَقِّ ۚ أُولَٰئِكَ لَهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (42) Mazima ekkubo (ly’okuvunaana) liri kwabo abayisa obubi abantu ne bonoona mu nsi awatali nsonga, abo balina ebibonerezo ebiruma ennyo |
وَلَمَن صَبَرَ وَغَفَرَ إِنَّ ذَٰلِكَ لَمِنْ عَزْمِ الْأُمُورِ (43) Naye omuntu agumikiriza nasonyiwa, mazima ddala ekyo kya mu bintu ebikkaatirizibwa (omukkiriza byateekwa okukola) |
وَمَن يُضْلِلِ اللَّهُ فَمَا لَهُ مِن وَلِيٍّ مِّن بَعْدِهِ ۗ وَتَرَى الظَّالِمِينَ لَمَّا رَأَوُا الْعَذَابَ يَقُولُونَ هَلْ إِلَىٰ مَرَدٍّ مِّن سَبِيلٍ (44) (Awatali Katonda) oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kuba na mukuumi, oliraba abeeyisa obubi kebaliraba ebibonerezo baligamba nti, abaffe waliwo ekkubo eriddayo (ku nsi) |
وَتَرَاهُمْ يُعْرَضُونَ عَلَيْهَا خَاشِعِينَ مِنَ الذُّلِّ يَنظُرُونَ مِن طَرْفٍ خَفِيٍّ ۗ وَقَالَ الَّذِينَ آمَنُوا إِنَّ الْخَاسِرِينَ الَّذِينَ خَسِرُوا أَنفُسَهُمْ وَأَهْلِيهِمْ يَوْمَ الْقِيَامَةِ ۗ أَلَا إِنَّ الظَّالِمِينَ فِي عَذَابٍ مُّقِيمٍ (45) Olibalaba nga baleetebwa gye biri (ebibonerezo) nga banyomebwa olwokukkakkanyizibwa (okubatusiddwaako) baliba batunuulira ku mabbali g’aliiso (eriiso nga babba libbe), abo abakkiriza baligamba nti mazima abo abafafaganirwa beebo abafafagana bo bennyini nebafafaganya abantu baabwe ku lunaku lw'enkomerero. Mazima abeeyisa obubi ba kubeera mu bibonerezo ebyolubeerera |
وَمَا كَانَ لَهُم مِّنْ أَوْلِيَاءَ يَنصُرُونَهُم مِّن دُونِ اللَّهِ ۗ وَمَن يُضْلِلِ اللَّهُ فَمَا لَهُ مِن سَبِيلٍ (46) Era tebaalina bakuumi babataasa ku Katonda, oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kuba na kkubo (lya kulungama) |
اسْتَجِيبُوا لِرَبِّكُم مِّن قَبْلِ أَن يَأْتِيَ يَوْمٌ لَّا مَرَدَّ لَهُ مِنَ اللَّهِ ۚ مَا لَكُم مِّن مَّلْجَإٍ يَوْمَئِذٍ وَمَا لَكُم مِّن نَّكِيرٍ (47) Mwanukule Mukama omulabirizi wa mmwe nga olunaku terunnatuuka lwe wataliba buddukiro kuwona Katonda. Ku lunaku olwo temuliba na buddo, era temuliba na buwakaniro |
فَإِنْ أَعْرَضُوا فَمَا أَرْسَلْنَاكَ عَلَيْهِمْ حَفِيظًا ۖ إِنْ عَلَيْكَ إِلَّا الْبَلَاغُ ۗ وَإِنَّا إِذَا أَذَقْنَا الْإِنسَانَ مِنَّا رَحْمَةً فَرِحَ بِهَا ۖ وَإِن تُصِبْهُمْ سَيِّئَةٌ بِمَا قَدَّمَتْ أَيْدِيهِمْ فَإِنَّ الْإِنسَانَ كَفُورٌ (48) Bwebaba bagaanye tetukutumanga kuba kalondoozi ku bo, tovunanyizibwa okugyako okutuusa (obubaka). Era mazima ffe bwetukombesa omuntu ku kusaasira okuva gyetuli ku musanyusa, naye bwe batuukwako obuzibu olwebyo emikono gyabwe byegiba gikoze (ng’olwo bakyusa enjogera) anti bulijjo mazima omuntu tasiima |
لِّلَّهِ مُلْكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ يَخْلُقُ مَا يَشَاءُ ۚ يَهَبُ لِمَن يَشَاءُ إِنَاثًا وَيَهَبُ لِمَن يَشَاءُ الذُّكُورَ (49) Bwa Katonda obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi, atonda ekyo kyaba ayagadde, agabira oyo gwaba ayagadde abaana ab’obuwala, era nagabira oyo gwaba ayagadde (omulala) abalenzi |
أَوْ يُزَوِّجُهُمْ ذُكْرَانًا وَإِنَاثًا ۖ وَيَجْعَلُ مَن يَشَاءُ عَقِيمًا ۚ إِنَّهُ عَلِيمٌ قَدِيرٌ (50) Oba abagattira ab’obuwala n’abobulenzi ate oluusi gwaba ayagadde amufuula mugumba (anti) mazima yye ye mumanyi ennyo omuyinza |
۞ وَمَا كَانَ لِبَشَرٍ أَن يُكَلِّمَهُ اللَّهُ إِلَّا وَحْيًا أَوْ مِن وَرَاءِ حِجَابٍ أَوْ يُرْسِلَ رَسُولًا فَيُوحِيَ بِإِذْنِهِ مَا يَشَاءُ ۚ إِنَّهُ عَلِيٌّ حَكِيمٌ (51) Tekisaanirangako muntu Katonda kwogera naye, okugyako nga amusaako bubaka, oba nayogera naye nga asinziira mabega wa kintu ekyawulawo, oba okutuma omubaka (Malayika), olwo nno kulwokusalawokwe namutumira kyaba ayagadde (anti) mazima yye wa waggulu nnyo mugoba nsonga |
وَكَذَٰلِكَ أَوْحَيْنَا إِلَيْكَ رُوحًا مِّنْ أَمْرِنَا ۚ مَا كُنتَ تَدْرِي مَا الْكِتَابُ وَلَا الْإِيمَانُ وَلَٰكِن جَعَلْنَاهُ نُورًا نَّهْدِي بِهِ مَن نَّشَاءُ مِنْ عِبَادِنَا ۚ وَإِنَّكَ لَتَهْدِي إِلَىٰ صِرَاطٍ مُّسْتَقِيمٍ (52) Nabwekityo twakutumira (ggwe Nabbi Muhammad) omwoyo (Kur’ani eyitibwa mwoyo wano olwokuba yeewa emyooyo gy’abantu obulamu) nga ekyo kisinziira ku kiragiro kyaffe. Wali tomanyi nti ekitabo (Kur’ani) kye ki, wadde obukkiriza naye twagifuula ekitangaala nga tulungamya nayo oyo gwetuba twagadde mu baddu baffe, era mazima ggwe ddala olungamya eri ekkubo eggolokofu |
صِرَاطِ اللَّهِ الَّذِي لَهُ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ ۗ أَلَا إِلَى اللَّهِ تَصِيرُ الْأُمُورُ (53) Ekkubo lya Katonda oyo bibye yekka ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi. Abange eri Katonda ebintu byonna gye bidda |