سَبِّحِ اسْمَ رَبِّكَ الْأَعْلَى (1) Tendereza erinnya ly’omulabiriziwo owa waggulu |
الَّذِي خَلَقَ فَسَوَّىٰ (2) Oyo eyatonda n'atereeza |
وَالَّذِي قَدَّرَ فَهَدَىٰ (3) Era eyateekateeka buli kintu n'akyenkanyankanya |
وَالَّذِي أَخْرَجَ الْمَرْعَىٰ (4) Era oyo ameza omuddo oguliibwa e bisolo |
فَجَعَلَهُ غُثَاءً أَحْوَىٰ (5) Oluvanyuma agufuula omukalu |
سَنُقْرِئُكَ فَلَا تَنسَىٰ (6) Tujja kukusomesa (Kur'ani) obeere nga teweerabira |
إِلَّا مَا شَاءَ اللَّهُ ۚ إِنَّهُ يَعْلَمُ الْجَهْرَ وَمَا يَخْفَىٰ (7) Okugyako ebyo Katonda by’anaaba ayagadde okukwerabiza. Katonda y’amanyi ebyogerwa mu lwatu ne mu kyama |
وَنُيَسِّرُكَ لِلْيُسْرَىٰ (8) Tujja kukwanguyiza amateeka gabeere mangu |
فَذَكِّرْ إِن نَّفَعَتِ الذِّكْرَىٰ (9) Kale buulirira, okubuulirira bwe kuba nga kunaagasa |
سَيَذَّكَّرُ مَن يَخْشَىٰ (10) Anaaganyulwa oyo atya Katonda |
وَيَتَجَنَّبُهَا الْأَشْقَى (11) Omwonoonyi ajja ku kwesamba (okubuulirira okwo) |
الَّذِي يَصْلَى النَّارَ الْكُبْرَىٰ (12) Oyo alyesogga omuliro ogwamaanyi |
ثُمَّ لَا يَمُوتُ فِيهَا وَلَا يَحْيَىٰ (13) Ng’amaze (okusonsekebwa mu muliro ogwo), tagenda kufa wadde okufuna obulamu (obwesiimisa) |
قَدْ أَفْلَحَ مَن تَزَكَّىٰ (14) Mazima yeesiimye omuntu e yeetukuza |
وَذَكَرَ اسْمَ رَبِّهِ فَصَلَّىٰ (15) N’ayogera ku linnya ly’omuleziwe olwo nno n’asaala |
بَلْ تُؤْثِرُونَ الْحَيَاةَ الدُّنْيَا (16) Wabula mmwe musukkulumya obulamu obw’ensi |
وَالْآخِرَةُ خَيْرٌ وَأَبْقَىٰ (17) So nga obulamu obw'enkomerero bwe businga obulungi era bwe bwo kusigalawo |
إِنَّ هَٰذَا لَفِي الصُّحُفِ الْأُولَىٰ (18) Mazima bino biri mu biwandiiko ebyasooka |
صُحُفِ إِبْرَاهِيمَ وَمُوسَىٰ (19) Ebiwandiiko bya Ibrahim ne Musa |