وَالنَّازِعَاتِ غَرْقًا (1) Ndayira Malayika ezisikambula emyoyo gy’abajeemu mu bukambwe |
وَالنَّاشِطَاتِ نَشْطًا (2) Era ndayira Malayika ezisowola emyoyo gy’abakkiriza obusowozi |
وَالسَّابِحَاتِ سَبْحًا (3) Era ndayira Malayika eziwugira mu bbanga oluwuga |
فَالسَّابِقَاتِ سَبْقًا (4) Era ndayira Malayika ezivuganya oluvuganya nga zitwala emyoyo gy’abakkiriza mu jjana |
فَالْمُدَبِّرَاتِ أَمْرًا (5) Ne ndayira ne Malayika ezissa mu nkola ebiragiro (Byange) |
يَوْمَ تَرْجُفُ الرَّاجِفَةُ (6) (Mukimanye nti ebitonde byonna bigenda kuzikirira) ku lunaku buli kintu kyonna lwe kirikankana nga engombe efuuyiddwa |
تَتْبَعُهَا الرَّادِفَةُ (7) Luligobererwa olufuuwa olw'okubiri (olw'okuzuukira) |
قُلُوبٌ يَوْمَئِذٍ وَاجِفَةٌ (8) E mitima gy’abatakkiriza ku lunaku olwo giribeera mu kutya |
أَبْصَارُهَا خَاشِعَةٌ (9) Amaaso gaabwe nga makkakkamu |
يَقُولُونَ أَإِنَّا لَمَرْدُودُونَ فِي الْحَافِرَةِ (10) Bagamba (nga bajerega), nti "Mazima ddala tulizzibwawo mu bulamu nga bwetulimu kati |
أَإِذَا كُنَّا عِظَامًا نَّخِرَةً (11) Bwe tuliba tumaze okufuuka amagumba amamerengufu |
قَالُوا تِلْكَ إِذًا كَرَّةٌ خَاسِرَةٌ (12) Bongerako ne bagamba nti (okwonno bwekiriba bwekityo) kuliba kudda kwa kufaafaaganirwa |
فَإِنَّمَا هِيَ زَجْرَةٌ وَاحِدَةٌ (13) Mazima okuzuukira lugenda kubeera olukanga lumu lwokka |
فَإِذَا هُم بِالسَّاهِرَةِ (14) Baligenda okulaba nga bali ku ngulu ku nsi |
هَلْ أَتَاكَ حَدِيثُ مُوسَىٰ (15) Abaffe wamanya ku kyafaayo kya Nabbi Musa |
إِذْ نَادَاهُ رَبُّهُ بِالْوَادِ الْمُقَدَّسِ طُوًى (16) Awo Katonda we yakoowoolera Musa nga (Musa) ali mu lusenyi olutukuvu 'Tuwa |
اذْهَبْ إِلَىٰ فِرْعَوْنَ إِنَّهُ طَغَىٰ (17) N'amugamba nti genda eri Firaawo kubanga ye asusse mu bujeemu ne mu buwakanyi |
فَقُلْ هَل لَّكَ إِلَىٰ أَن تَزَكَّىٰ (18) Omugambe nti, Abaffe waalyetaaze okwetukuza (n'okkiriza mukama Katonda wo) |
وَأَهْدِيَكَ إِلَىٰ رَبِّكَ فَتَخْشَىٰ (19) Ndyoke mbe nga nkulungamya eri Katonda wo obeere nga omutya |
فَأَرَاهُ الْآيَةَ الْكُبْرَىٰ (20) (Nabbi Musa) n’alaga Firaawo obujulizi obwenkukunala |
فَكَذَّبَ وَعَصَىٰ (21) (Firaawo) naalimbisa era n’ajeema |
ثُمَّ أَدْبَرَ يَسْعَىٰ (22) Bwe yamala n'abikuba amabega era n’akola kaweefube w'okubirwanyisa |
فَحَشَرَ فَنَادَىٰ (23) N’akungaanya (amagye ge, abakungu be, n’abalogo) n’alangirira |
فَقَالَ أَنَا رَبُّكُمُ الْأَعْلَىٰ (24) Ng’agamba nti nze Katonda wa mmwe owa waggulu |
فَأَخَذَهُ اللَّهُ نَكَالَ الْآخِرَةِ وَالْأُولَىٰ (25) Katonda n’amubonereza n’okumuzikiriza olw’ekisobyo ekyasembayo n’ekyasooka |
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَعِبْرَةً لِّمَن يَخْشَىٰ (26) Mazima mu ekyo (eky’okuzikiriza Firaawo) mulimu eky’okulabirako eri oyo atya Katonda |
أَأَنتُمْ أَشَدُّ خَلْقًا أَمِ السَّمَاءُ ۚ بَنَاهَا (27) Abaffe, mmwe be mweraba mwe musinga obuzibu okutonda okusinga e ggulu? Yalitonda nno |
رَفَعَ سَمْكَهَا فَسَوَّاهَا (28) (Awamu n'obugevvu bwalyo) yaliwanika n'alitereeza |
وَأَغْطَشَ لَيْلَهَا وَأَخْرَجَ ضُحَاهَا (29) Aleeta enzikiza yaalyo n’aggyayo ekitangaala kyalyo |
وَالْأَرْضَ بَعْدَ ذَٰلِكَ دَحَاهَا (30) N’ensi oluvanyuma lwebyo yagyaliira |
أَخْرَجَ مِنْهَا مَاءَهَا وَمَرْعَاهَا (31) Muyo mwennyini mweyajja amazzi gaayo namalundiro gaayo |
وَالْجِبَالَ أَرْسَاهَا (32) N’ensozi yazisimba n'azinyweeza |
مَتَاعًا لَّكُمْ وَلِأَنْعَامِكُمْ (33) (Ebyo yabikola) lwa kugasa mmwe n'ensolo za mmwe |
فَإِذَا جَاءَتِ الطَّامَّةُ الْكُبْرَىٰ (34) Akabenje akanene bwe kalijja (olwo lwe luliba olunaku lw'enkomerero) |
يَوْمَ يَتَذَكَّرُ الْإِنسَانُ مَا سَعَىٰ (35) Olunaku lw’alijjukira omuntu ebyo byonna bye yakola |
وَبُرِّزَتِ الْجَحِيمُ لِمَن يَرَىٰ (36) Omuliro Jahiimu negulagibwa eri yenna alaba |
فَأَمَّا مَن طَغَىٰ (37) Oyo yenna eyasukka mu kujeema |
وَآثَرَ الْحَيَاةَ الدُّنْيَا (38) N’asukkulumya obulamu bw’ensi (ku bw'enkomerero) |
فَإِنَّ الْجَحِيمَ هِيَ الْمَأْوَىٰ (39) Mazima omuliro Jahiimu bwe buddo bwe |
وَأَمَّا مَنْ خَافَ مَقَامَ رَبِّهِ وَنَهَى النَّفْسَ عَنِ الْهَوَىٰ (40) Oyo aliba nga yatya okuyimirira mu maaso ga Mukama we (Katonda). N’aziyiza omwoyo gwe ku by’obwagazi |
فَإِنَّ الْجَنَّةَ هِيَ الْمَأْوَىٰ (41) Mazima e jjana, bwe buddo bwe |
يَسْأَلُونَكَ عَنِ السَّاعَةِ أَيَّانَ مُرْسَاهَا (42) Bakubuuza gwe (Nabbi Muhammad) ebikwata ku lunaku lw’enkomerero, nti lulibaawo ddi |
فِيمَ أَنتَ مِن ذِكْرَاهَا (43) Wa gy'onoggya okulwogerako |
إِلَىٰ رَبِّكَ مُنتَهَاهَا (44) Omulezi wo Katonda yekka ya manyi ebirukwatako |
إِنَّمَا أَنتَ مُنذِرُ مَن يَخْشَاهَا (45) Mazima ggwe oli mutiisa eri oyo alutya |
كَأَنَّهُمْ يَوْمَ يَرَوْنَهَا لَمْ يَلْبَثُوا إِلَّا عَشِيَّةً أَوْ ضُحَاهَا (46) Mazima bwe baliraba olunaku olwo balibanga abataatuula ku nsi okugyako ekiseera ky'olweggulo oba e kye nkya |