ن ۚ وَالْقَلَمِ وَمَا يَسْطُرُونَ (1) Nuni, yemu kunyukuta ezikola walifu empalabu. Ndayidde e kalamu nebyebagiwandiisa |
مَا أَنتَ بِنِعْمَةِ رَبِّكَ بِمَجْنُونٍ (2) Mazima Gwe Muhammad ekyengera kyobwa Nabbi Katonda wo kyeyakuwa tekiyinza ku kufuula mulalu |
وَإِنَّ لَكَ لَأَجْرًا غَيْرَ مَمْنُونٍ (3) Era ddala oteekwa okufuna empeera etakutukawo |
وَإِنَّكَ لَعَلَىٰ خُلُقٍ عَظِيمٍ (4) Era mazima ddala Ggwe oli wampisa nungi nnyo |
فَسَتُبْصِرُ وَيُبْصِرُونَ (5) Ojja kulaba nga nabo bwebagenda okulaba |
بِأَييِّكُمُ الْمَفْتُونُ (6) Ani kumwenna eyatukwako ekizibu kyeddalu |
إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعْلَمُ بِمَن ضَلَّ عَن سَبِيلِهِ وَهُوَ أَعْلَمُ بِالْمُهْتَدِينَ (7) Mazima Katondawo amanyidde ddala ani eyabula okuva ku kkubolye era nga bwamanyidde ddala abalungamu |
فَلَا تُطِعِ الْمُكَذِّبِينَ (8) Kale nno togondera abo abalimbisa |
وَدُّوا لَوْ تُدْهِنُ فَيُدْهِنُونَ (9) Bandyagadde nti singa obagondera nabo nebakugondera |
وَلَا تُطِعْ كُلَّ حَلَّافٍ مَّهِينٍ (10) Era togeza n'ogondera buli alayiralayira ataliimu nsa |
هَمَّازٍ مَّشَّاءٍ بِنَمِيمٍ (11) Omugeyi atambuza olugambo |
مَّنَّاعٍ لِّلْخَيْرِ مُعْتَدٍ أَثِيمٍ (12) Omukodo, omulumbaganyi omwononefu |
عُتُلٍّ بَعْدَ ذَٰلِكَ زَنِيمٍ (13) Mubi nnyo ate awamu n'ekyo mwana w'abwenzi |
أَن كَانَ ذَا مَالٍ وَبَنِينَ (14) Tomugondera olwokuba alina emmali n'abaana |
إِذَا تُتْلَىٰ عَلَيْهِ آيَاتُنَا قَالَ أَسَاطِيرُ الْأَوَّلِينَ (15) Omuntu oyo bwasomerwa ebigambo byaffe agamba nti nfumo z'abantu abedda |
سَنَسِمُهُ عَلَى الْخُرْطُومِ (16) Kulunaku lw’enkomerero tugenda kussa kunyindo ye akabonero akamulamba nga tanayingizibwa muliro |
إِنَّا بَلَوْنَاهُمْ كَمَا بَلَوْنَا أَصْحَابَ الْجَنَّةِ إِذْ أَقْسَمُوا لَيَصْرِمُنَّهَا مُصْبِحِينَ (17) Mazima ffe twagezesa abantu be Makkah bwetwabaleetera enjala nga bwetwagezesa abantu abaalina enimiro yaabwe abalayira nti baali bagenda kukungula kumakya nnyo, olwo nno baleme kugabirako bantu balala |
وَلَا يَسْتَثْنُونَ (18) Wabula beerabira okugamba nti Insh'allah |
فَطَافَ عَلَيْهَا طَائِفٌ مِّن رَّبِّكَ وَهُمْ نَائِمُونَ (19) Katonda n'agisindikira nabbambula w'omuliro ogwa gizikiriza ekiro nga beebase |
فَأَصْبَحَتْ كَالصَّرِيمِ (20) Okugenda okukya ngankalu nga enkungule |
فَتَنَادَوْا مُصْبِحِينَ (21) Ku lunaku olulaganye baakeera nnyo era nga buli omu agenda atemya kumunne |
أَنِ اغْدُوا عَلَىٰ حَرْثِكُمْ إِن كُنتُمْ صَارِمِينَ (22) Ngabagamba nti muzuukuke mugende mu nimiro yammwe bwe muba ddala nga munakungula nga bwemwagambye |
فَانطَلَقُوا وَهُمْ يَتَخَافَتُونَ (23) Baatambula nga bogera bwama |
أَن لَّا يَدْخُلَنَّهَا الْيَوْمَ عَلَيْكُم مِّسْكِينٌ (24) Nga bwebagamba nti tebagenda kukkiriza Masikiini yenna kuyingira mu ssamba yaabwe |
وَغَدَوْا عَلَىٰ حَرْدٍ قَادِرِينَ (25) Baatambula kumakya okwo nga bakakasa nti bagenda kutuukiriza kyebaali basazeewo eggulo limu |
فَلَمَّا رَأَوْهَا قَالُوا إِنَّا لَضَالُّونَ (26) Bwebaalaba ennimiro yaabwe b'agamba nti tubuze |
بَلْ نَحْنُ مَحْرُومُونَ (27) Sinakindi Katonda yagizikirizza olwe kigendererwa kyaffe ekibi ekyobutakkiriza kugabirako ba Masikiini |
قَالَ أَوْسَطُهُمْ أَلَمْ أَقُل لَّكُمْ لَوْلَا تُسَبِّحُونَ (28) Eyali abasingako eddiini n'obuntu bulamu nabagamba nti ssabagambye nti obutawaako banaku buba bulyazamanyi bwennyini, era kati kyetuteekwa okukola kwekutendereza Katonda kuba tetunamanya yatusonyiye oba nedda |
قَالُوا سُبْحَانَ رَبِّنَا إِنَّا كُنَّا ظَالِمِينَ (29) Olwo nno nebagamba nti yayawukana Katonda waffe mazima twabadde tweyisizza bubi |
فَأَقْبَلَ بَعْضُهُمْ عَلَىٰ بَعْضٍ يَتَلَاوَمُونَ (30) Awamu nekyo baatandika okuwaanyisiganya ebigambo nga abamu banenya bannabwe |
قَالُوا يَا وَيْلَنَا إِنَّا كُنَّا طَاغِينَ (31) Nebagamba nti mazima ffe tubadde bajeemu |
عَسَىٰ رَبُّنَا أَن يُبْدِلَنَا خَيْرًا مِّنْهَا إِنَّا إِلَىٰ رَبِّنَا رَاغِبُونَ (32) Tusaba Katonda waffe emmali yaffe etokomose atuwanyisizeemu ebirungi, mazima ddala ew'a Katonda waffe yokka gyetusaba obuyambi |
كَذَٰلِكَ الْعَذَابُ ۖ وَلَعَذَابُ الْآخِرَةِ أَكْبَرُ ۚ لَوْ كَانُوا يَعْلَمُونَ (33) Bwebityo nno ebibonerezo bwebiba naye wabula ebibonerezo by'olunaku lw’enkomerero byebisinga obukakali singa baba ddala nga bamanyi |
إِنَّ لِلْمُتَّقِينَ عِندَ رَبِّهِمْ جَنَّاتِ النَّعِيمِ (34) Mazima abatya Katonda baategekerwa e jjana ez'ebyengera ewa Katonda waabwe |
أَفَنَجْعَلُ الْمُسْلِمِينَ كَالْمُجْرِمِينَ (35) Gwe ate abakkiriza twalibayisizza nga abonoonyi |
مَا لَكُمْ كَيْفَ تَحْكُمُونَ (36) Mwaba ki, e nsonga muzisalawo mutya |
أَمْ لَكُمْ كِتَابٌ فِيهِ تَدْرُسُونَ (37) Simanyi mulinayo ekitabo mwemubisoma |
إِنَّ لَكُمْ فِيهِ لَمَا تَخَيَّرُونَ (38) Era nga mukitaba ekyo mulimu nti mwe mulyesalirawo kyemwagala ku lunaku lw'enkomerero |
أَمْ لَكُمْ أَيْمَانٌ عَلَيْنَا بَالِغَةٌ إِلَىٰ يَوْمِ الْقِيَامَةِ ۙ إِنَّ لَكُمْ لَمَا تَحْكُمُونَ (39) Oba mulina e ndagano gye twabawa nga etuukira ddala ku lunaku lw'enkomerero ngebawa ebbeetu okwesalirawo nga bwemulaba |
سَلْهُمْ أَيُّهُم بِذَٰلِكَ زَعِيمٌ (40) Babuuze ani eyesowolayo abe nga akulembera endowooza eyo |
أَمْ لَهُمْ شُرَكَاءُ فَلْيَأْتُوا بِشُرَكَائِهِمْ إِن كَانُوا صَادِقِينَ (41) Oba balinayo (ababeesiguza) nga babayita babeezi ba Katonda, kale nno bajjanga nabo bwebaba nga bogera mazima |
يَوْمَ يُكْشَفُ عَن سَاقٍ وَيُدْعَوْنَ إِلَى السُّجُودِ فَلَا يَسْتَطِيعُونَ (42) Ku lunaku olulibeera olw'okubikkula ku ntumbwe. Balikowoolwa okuvunnamira Katonda naye nga tebasobola |
خَاشِعَةً أَبْصَارُهُمْ تَرْهَقُهُمْ ذِلَّةٌ ۖ وَقَدْ كَانُوا يُدْعَوْنَ إِلَى السُّجُودِ وَهُمْ سَالِمُونَ (43) Nga amaaso gaabwe makakkamu olw'obuswavu, nga bajjudde okunyomebwa so nga ate baakowolwa okuvunnamira Katonda nga bakyali balamu ne batakikola |
فَذَرْنِي وَمَن يُكَذِّبُ بِهَٰذَا الْحَدِيثِ ۖ سَنَسْتَدْرِجُهُم مِّنْ حَيْثُ لَا يَعْلَمُونَ (44) Kale ndeka noyo alimbisa ebigambo bino tujja kubatwaliriza mpola mpola nga tebamanyi |
وَأُمْلِي لَهُمْ ۚ إِنَّ كَيْدِي مَتِينٌ (45) Era mbalindiriza, anti entegeka zange nnywevu |
أَمْ تَسْأَلُهُمْ أَجْرًا فَهُم مِّن مَّغْرَمٍ مُّثْقَلُونَ (46) Abaffe wali obasabye empeera nebakaluubirirwa kusasula |
أَمْ عِندَهُمُ الْغَيْبُ فَهُمْ يَكْتُبُونَ (47) Oba bamanyi ebyewala nga babiwandiika (nga bebyelamuza, era nga biraga nti bagenda kubeera bulungi) |
فَاصْبِرْ لِحُكْمِ رَبِّكَ وَلَا تَكُن كَصَاحِبِ الْحُوتِ إِذْ نَادَىٰ وَهُوَ مَكْظُومٌ (48) Kale nno beera mugumikiriza ku kusalawo kwa Katondawo, tobeera nga ow'ekyennyanja (Nabbi Yunus) eyatuuka okukowoola (Katondawe okumutaasa) nga ajjudde obunyiikaavu |
لَّوْلَا أَن تَدَارَكَهُ نِعْمَةٌ مِّن رَّبِّهِ لَنُبِذَ بِالْعَرَاءِ وَهُوَ مَذْمُومٌ (49) Singa teyafuna kyengera ekyava ewa Katondawe (ekyokukiriza okwenenyakwe) yandikasukiddwa mu nsi e nkalu (etariiko bulamu) nga naye anenyezebwa |
فَاجْتَبَاهُ رَبُّهُ فَجَعَلَهُ مِنَ الصَّالِحِينَ (50) Wabula Katonda yamulekera obwa Nabbi era namuteeka mu bantu abalongofu |
وَإِن يَكَادُ الَّذِينَ كَفَرُوا لَيُزْلِقُونَكَ بِأَبْصَارِهِمْ لَمَّا سَمِعُوا الذِّكْرَ وَيَقُولُونَ إِنَّهُ لَمَجْنُونٌ (51) Abakafiiri basemberera ddala okukuzikiriza n'amaaso gaabwe amabi (olw'ekkonda eriri ku myoyo gyabwe) bwe bawulira Kur'ani era ne bagamba nti mazima yye (Nabbi) mulalu |
وَمَا هُوَ إِلَّا ذِكْرٌ لِّلْعَالَمِينَ (52) So ng'ate (Kur'ani) teri okugyako kya kujjukiza eri e bitonde |