هَلْ أَتَاكَ حَدِيثُ الْغَاشِيَةِ (1) Abaffe wali ofunye okunyumizibwa ku kibuutikira (eky’olunaku lw'enkomerero) |
وُجُوهٌ يَوْمَئِذٍ خَاشِعَةٌ (2) Olunaku olwo ebyenyi bigenda kuba nga biswavu |
عَامِلَةٌ نَّاصِبَةٌ (3) Nga bitawaana, nga bikoowu |
تَصْلَىٰ نَارًا حَامِيَةً (4) Nga byesonseka omuliro ogwengeredde |
تُسْقَىٰ مِنْ عَيْنٍ آنِيَةٍ (5) Bigenda kunywesebwa ku luzzi olweseze |
لَّيْسَ لَهُمْ طَعَامٌ إِلَّا مِن ضَرِيعٍ (6) (Abantu abo) tebagenda kubeera na kya kulya kyonna okugyako e miti egy’amaggwa |
لَّا يُسْمِنُ وَلَا يُغْنِي مِن جُوعٍ (7) Egitaliimu kiriisa wadde okuwonya e njala |
وُجُوهٌ يَوْمَئِذٍ نَّاعِمَةٌ (8) Ebyenyi e birala bigenda kubeera mu byengera |
لِّسَعْيِهَا رَاضِيَةٌ (9) Bigenda kusiima olw’okutakabana kwa byo |
فِي جَنَّةٍ عَالِيَةٍ (10) Nga biri mu jjana ey’awaggulu |
لَّا تَسْمَعُ فِيهَا لَاغِيَةً (11) Togenda kuwulira mu yo bigambo bya butaliimu |
فِيهَا عَيْنٌ جَارِيَةٌ (12) Mu jjana mulimu e nsulo e zikulukuta |
فِيهَا سُرُرٌ مَّرْفُوعَةٌ (13) Era nga mulimu ebitanda ebisitufu (Ebiwunde) |
وَأَكْوَابٌ مَّوْضُوعَةٌ (14) N’ebikopo ebinywerwamu ebitegekeddwa |
وَنَمَارِقُ مَصْفُوفَةٌ (15) N’emitto egisimbiddwa ennyiriri |
وَزَرَابِيُّ مَبْثُوثَةٌ (16) N’ebyaliiro nga byanjuluziddwa |
أَفَلَا يَنظُرُونَ إِلَى الْإِبِلِ كَيْفَ خُلِقَتْ (17) Abaffe tebatunuulira (olutunuulira olw’okuyiga) engamiya ngeri ki bwe yatondebwa |
وَإِلَى السَّمَاءِ كَيْفَ رُفِعَتْ (18) N’eggulu nga bwe lyasitulwa |
وَإِلَى الْجِبَالِ كَيْفَ نُصِبَتْ (19) N’ensozi engeri gye zaasimbwamu |
وَإِلَى الْأَرْضِ كَيْفَ سُطِحَتْ (20) N’ensi engeri gye yaseetezebwamu |
فَذَكِّرْ إِنَّمَا أَنتَ مُذَكِّرٌ (21) Kale nno buulirira gwe (Nabbi Muhammad) kubanga oli mubuulirizi |
لَّسْتَ عَلَيْهِم بِمُصَيْطِرٍ (22) Toliiwo kubakaka |
إِلَّا مَن تَوَلَّىٰ وَكَفَرَ (23) Naye abo abanaava ku bigambobyo ne bajeema |
فَيُعَذِّبُهُ اللَّهُ الْعَذَابَ الْأَكْبَرَ (24) Katonda agenda okubabonereza e bibonerezo e bisinga okuba e bikakali |
إِنَّ إِلَيْنَا إِيَابَهُمْ (25) Mazima ddala gyetuli y’eri obuddo bwabwe |
ثُمَّ إِنَّ عَلَيْنَا حِسَابَهُم (26) Oluvanyuma ddala okubalibwa kwabwe kuli ku ffe |