وَالذَّارِيَاتِ ذَرْوًا (1) Ndayidde empewo ezifumuula enfuufu olufumuula |
فَالْحَامِلَاتِ وِقْرًا (2) Olwo nno nendayira ebire ebyetikka enkuba olwetikka |
فَالْجَارِيَاتِ يُسْرًا (3) N'amaato agaseeyeeya mu mazzi mu bwangu |
فَالْمُقَسِّمَاتِ أَمْرًا (4) Era ndayidde Malayika ezigabanya Riziki okusinziira ku kiragiro ekiba kiziweereddwa |
إِنَّمَا تُوعَدُونَ لَصَادِقٌ (5) Mazima bye mulaganyisibwa bya kutuukirira |
وَإِنَّ الدِّينَ لَوَاقِعٌ (6) Era ddala olunaku lwo kusasula lwa kubaawo |
وَالسَّمَاءِ ذَاتِ الْحُبُكِ (7) Ndayidde eggulu eryakolebwa mu ngeri ennungi |
إِنَّكُمْ لَفِي قَوْلٍ مُّخْتَلِفٍ (8) Mazima mmwe muli mu kigambo ekyawukamu (temussa kimu ku bikwata ku Kur’ani) |
يُؤْفَكُ عَنْهُ مَنْ أُفِكَ (9) Awugulwa ku kyo oyo eyabuzibwa (natakkiriza) |
قُتِلَ الْخَرَّاصُونَ (10) Baakolimirwa abo abalimba (aboogera ebitali bituufu ku Nabbi) |
الَّذِينَ هُمْ فِي غَمْرَةٍ سَاهُونَ (11) Abo abali mu nnyanga ey’obukaafiiri nga babulubuuta |
يَسْأَلُونَ أَيَّانَ يَوْمُ الدِّينِ (12) Nga babuuza nti olunaku lwo kusasula luliba lwaddi |
يَوْمَ هُمْ عَلَى النَّارِ يُفْتَنُونَ (13) Lwe lunaku bo lwe balyokebwa omuliro |
ذُوقُوا فِتْنَتَكُمْ هَٰذَا الَّذِي كُنتُم بِهِ تَسْتَعْجِلُونَ (14) (Nga bwe bagambibwa nti) mukombe ebibonerezo bya mmwe, kino kyekyo kye mwagambanga nti kibatuusibweko mu bwangu |
إِنَّ الْمُتَّقِينَ فِي جَنَّاتٍ وَعُيُونٍ (15) Mazima abatya Katonda balibeera mu masamba nga mulimu n'ensulo za mazzi |
آخِذِينَ مَا آتَاهُمْ رَبُّهُمْ ۚ إِنَّهُمْ كَانُوا قَبْلَ ذَٰلِكَ مُحْسِنِينَ (16) Nga beeyanza ebyo Mukama omulabirizi waabwe byalibawa (anti) mazima bo oluberyeberye lwekyo bali balongoosa |
كَانُوا قَلِيلًا مِّنَ اللَّيْلِ مَا يَهْجَعُونَ (17) Bebakanga e kiseera kitono mu kiro |
وَبِالْأَسْحَارِ هُمْ يَسْتَغْفِرُونَ (18) Ate nga mu ttumbi babanga mu kwe gayirira |
وَفِي أَمْوَالِهِمْ حَقٌّ لِّلسَّائِلِ وَالْمَحْرُومِ (19) Era nga mu maali yaabwe mulimu omugabo gwo musabi nooyo atafuna kimumala (naye nga tasaba) |
وَفِي الْأَرْضِ آيَاتٌ لِّلْمُوقِنِينَ (20) Era mu nsi mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Katonda n’obuyinza bwe), eri abo abakkiriza obukkiriza obwa nnamaddala |
وَفِي أَنفُسِكُمْ ۚ أَفَلَا تُبْصِرُونَ (21) Ne mu mmwe mwennyini (mulimu obubonero) abaffe temulaba |
وَفِي السَّمَاءِ رِزْقُكُمْ وَمَا تُوعَدُونَ (22) Ne muggulu y'eri riziki za mmwe na byonna bye mulagaanyisibwa |
فَوَرَبِّ السَّمَاءِ وَالْأَرْضِ إِنَّهُ لَحَقٌّ مِّثْلَ مَا أَنَّكُمْ تَنطِقُونَ (23) Kale ndayidde Mukama omulabirizi we ggulu n'ensi, nti ekyo bwekityo bwekiri (era nga ekyo buli muntu yenna akimanyi) nga bwe mumanyi nti mwatula |
هَلْ أَتَاكَ حَدِيثُ ضَيْفِ إِبْرَاهِيمَ الْمُكْرَمِينَ (24) Abaffe ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim abekitiibwa bya kutuukako |
إِذْ دَخَلُوا عَلَيْهِ فَقَالُوا سَلَامًا ۖ قَالَ سَلَامٌ قَوْمٌ مُّنكَرُونَ (25) Bwe baayingira weyali ne bagamba nti mirembe, (naye) naagamba nti mirembe (wabula muli) bantu abatamanyiddwa |
فَرَاغَ إِلَىٰ أَهْلِهِ فَجَاءَ بِعِجْلٍ سَمِينٍ (26) Olwo nno nadda eri abantu be naleeta ennyana y'ente ensava (enjokye) |
فَقَرَّبَهُ إِلَيْهِمْ قَالَ أَلَا تَأْكُلُونَ (27) Nagibasembereza naagamba nti abaffe nga temuulye |
فَأَوْجَسَ مِنْهُمْ خِيفَةً ۖ قَالُوا لَا تَخَفْ ۖ وَبَشَّرُوهُ بِغُلَامٍ عَلِيمٍ (28) (Bwe bataalya) yawulira nga abatiddemu, ne bagamba nti totya era nebamuwa amawulire agessanyu ag'omwana omulenzi omumanyi ennyo |
فَأَقْبَلَتِ امْرَأَتُهُ فِي صَرَّةٍ فَصَكَّتْ وَجْهَهَا وَقَالَتْ عَجُوزٌ عَقِيمٌ (29) (Awo wennyini) mukyala we naatuuka nga ayogerera waggulu nakuba ekyenyi kye, era naagamba nti (nze nga ndi) mukadde omugumba (nzaala ntya) |
قَالُوا كَذَٰلِكِ قَالَ رَبُّكِ ۖ إِنَّهُ هُوَ الْحَكِيمُ الْعَلِيمُ (30) (Ba Malayika) ne bagamba nti bwekityo Mukama omulabirizi wo bwagambye anti mazima yye bulijjo, ye mugoba nsonga omumanyi ennyo |
۞ قَالَ فَمَا خَطْبُكُمْ أَيُّهَا الْمُرْسَلُونَ (31) Ibrahim naagamba nti, ate mmwe ababaka nsonga ki ebaleese |
قَالُوا إِنَّا أُرْسِلْنَا إِلَىٰ قَوْمٍ مُّجْرِمِينَ (32) Nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa eri abantu abonoonyi |
لِنُرْسِلَ عَلَيْهِمْ حِجَارَةً مِّن طِينٍ (33) Tube nga tubayiwako amayinja agomu bbumba ejjokye |
مُّسَوَّمَةً عِندَ رَبِّكَ لِلْمُسْرِفِينَ (34) Nga malambe okuva ewa Mukama omulabirizi wo, nga ga (kuzikiriza) abonoonyi abasukkiridde |
فَأَخْرَجْنَا مَن كَانَ فِيهَا مِنَ الْمُؤْمِنِينَ (35) (Katonda agamba) awo nno twagyamu oyo yenna eyakirimu (ekitundu ekyo) mu bakkiriza |
فَمَا وَجَدْنَا فِيهَا غَيْرَ بَيْتٍ مِّنَ الْمُسْلِمِينَ (36) Naye tetwasangamu okugyako e nyumba emu eyabasiraamu |
وَتَرَكْنَا فِيهَا آيَةً لِّلَّذِينَ يَخَافُونَ الْعَذَابَ الْأَلِيمَ (37) Era twaleka mu kyo ekyo kuyiga eri abo abatya ebibonerezo ebiruma ennyo |
وَفِي مُوسَىٰ إِذْ أَرْسَلْنَاهُ إِلَىٰ فِرْعَوْنَ بِسُلْطَانٍ مُّبِينٍ (38) Era ne Musa (alimu ekyo kuyiga) bwe twamutuma ewa Firawo n’obujulizi obweyolefu |
فَتَوَلَّىٰ بِرُكْنِهِ وَقَالَ سَاحِرٌ أَوْ مَجْنُونٌ (39) Yagaana (okugoberera Musa) olwokwesigula abali emabega we era nagamba nti (Musa) mulogo oba mulalu |
فَأَخَذْنَاهُ وَجُنُودَهُ فَنَبَذْنَاهُمْ فِي الْيَمِّ وَهُوَ مُلِيمٌ (40) Olwo nno netumukwatako ne ggye rye netubakasuka mu nnyanja nga naye anenyezebwa |
وَفِي عَادٍ إِذْ أَرْسَلْنَا عَلَيْهِمُ الرِّيحَ الْعَقِيمَ (41) Ne mu Bantu ba Aadi (mulimu ekyokuyiga) bwe twabasindikira empewo engumba (etaliimu mukisa tereeta nkuba wadde okuwasisa ebibala) |
مَا تَذَرُ مِن شَيْءٍ أَتَتْ عَلَيْهِ إِلَّا جَعَلَتْهُ كَالرَّمِيمِ (42) Nga tereka kintu kyonna kyeyitako okugyako nga ekifuula nga ensaano |
وَفِي ثَمُودَ إِذْ قِيلَ لَهُمْ تَمَتَّعُوا حَتَّىٰ حِينٍ (43) Ne mu bantu ba Thamud (mulimu ekyokuyiga) bwe bagambibwa nti mweyagale okumala akaseera katono |
فَعَتَوْا عَنْ أَمْرِ رَبِّهِمْ فَأَخَذَتْهُمُ الصَّاعِقَةُ وَهُمْ يَنظُرُونَ (44) Wabula bo basukka ekiragiro kya Mukama omulabiririzi waabwe, olwo nno okubwatuka okwamaanyi ne kubatuukako nga nabo balaba |
فَمَا اسْتَطَاعُوا مِن قِيَامٍ وَمَا كَانُوا مُنتَصِرِينَ (45) Tebaasobola kusituka (badduke) era tebaali ba kuwona |
وَقَوْمَ نُوحٍ مِّن قَبْلُ ۖ إِنَّهُمْ كَانُوا قَوْمًا فَاسِقِينَ (46) N'abantu ba Nuhu nga bano tebannabaawo (nabo balimu ekyokuyiga anti nabo baazikirizibwa era nabo kya bagwanira) anti mazima bo baali bantu abonoonyi |
وَالسَّمَاءَ بَنَيْنَاهَا بِأَيْدٍ وَإِنَّا لَمُوسِعُونَ (47) (N'ebirala ebirimu ekyokuyiga) ne ggulu twalizimba n'obuyinza (bwaffe) era mazima tukyaligaziya |
وَالْأَرْضَ فَرَشْنَاهَا فَنِعْمَ الْمَاهِدُونَ (48) N'ensi twagiseteeza, ddala nga ffe abatesiteesi abasinga |
وَمِن كُلِّ شَيْءٍ خَلَقْنَا زَوْجَيْنِ لَعَلَّكُمْ تَذَكَّرُونَ (49) Era twatonda mu buli kintu emitindo ebiri ebiri (ekisajja ne kikazi) oba olyawo ne mujjukira |
فَفِرُّوا إِلَى اللَّهِ ۖ إِنِّي لَكُم مِّنْهُ نَذِيرٌ مُّبِينٌ (50) Kale mudduke mudde eri Katonda mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali |
وَلَا تَجْعَلُوا مَعَ اللَّهِ إِلَٰهًا آخَرَ ۖ إِنِّي لَكُم مِّنْهُ نَذِيرٌ مُّبِينٌ (51) N’olwekyo temussanga ku Katonda ebisinzibwa ebirala, mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali |
كَذَٰلِكَ مَا أَتَى الَّذِينَ مِن قَبْلِهِم مِّن رَّسُولٍ إِلَّا قَالُوا سَاحِرٌ أَوْ مَجْنُونٌ (52) Bwekityo abo ababakulembera tewali mubaka yabajjira okugyako nga bagamba nti mulogo oba mulalu |
أَتَوَاصَوْا بِهِ ۚ بَلْ هُمْ قَوْمٌ طَاغُونَ (53) Abaffe bakyeramira (nedda ssi bwekiri) wabula bo bantu be wagguzi |
فَتَوَلَّ عَنْهُمْ فَمَا أَنتَ بِمَلُومٍ (54) Kale baveeko toli ggwe anenyezebwa |
وَذَكِّرْ فَإِنَّ الذِّكْرَىٰ تَنفَعُ الْمُؤْمِنِينَ (55) Wabula bulirira anti mazima okubulirira kugasa abakkiriza |
وَمَا خَلَقْتُ الْجِنَّ وَالْإِنسَ إِلَّا لِيَعْبُدُونِ (56) Era ssaatonda amajinni n’abantu wabula lwakuba nti bansinze |
مَا أُرِيدُ مِنْهُم مِّن رِّزْقٍ وَمَا أُرِيدُ أَن يُطْعِمُونِ (57) Sibaagalamu Riziki era ssaagala bandiise |
إِنَّ اللَّهَ هُوَ الرَّزَّاقُ ذُو الْقُوَّةِ الْمَتِينُ (58) Mazima Katonda yye yaagaba Riziki nannyini maanyi omusobozi |
فَإِنَّ لِلَّذِينَ ظَلَمُوا ذَنُوبًا مِّثْلَ ذَنُوبِ أَصْحَابِهِمْ فَلَا يَسْتَعْجِلُونِ (59) Mazima abo abeeyisa obubi balina ebyonoono nga ebyonoono bya bannaabwe n’olwekyo tebampapya (kubatuusaako bibonerezo mu bwangu) |
فَوَيْلٌ لِّلَّذِينَ كَفَرُوا مِن يَوْمِهِمُ الَّذِي يُوعَدُونَ (60) Okubonabona kuli eri abo abawakanya olunaku lwabwe olwo lwe baalaganyisibwa (olunaku lw’enkomerero) |