×

سورة التوبة باللغة لوغندا

ترجمات القرآنباللغة لوغندا ⬅ سورة التوبة

ترجمة معاني سورة التوبة باللغة لوغندا - Ganda

القرآن باللغة لوغندا - سورة التوبة مترجمة إلى اللغة لوغندا، Surah Tawbah in Ganda. نوفر ترجمة دقيقة سورة التوبة باللغة لوغندا - Ganda, الآيات 129 - رقم السورة 9 - الصفحة 187.

بسم الله الرحمن الرحيم

بَرَاءَةٌ مِّنَ اللَّهِ وَرَسُولِهِ إِلَى الَّذِينَ عَاهَدتُّم مِّنَ الْمُشْرِكِينَ (1)
Kino kirango ekiva ewa Katonda n’omubakawe, eri abo be mwakola nabo e ndagaano, mu bagatta e bintu e birala ku Katonda
فَسِيحُوا فِي الْأَرْضِ أَرْبَعَةَ أَشْهُرٍ وَاعْلَمُوا أَنَّكُمْ غَيْرُ مُعْجِزِي اللَّهِ ۙ وَأَنَّ اللَّهَ مُخْزِي الْكَافِرِينَ (2)
(Kati muweereddwa e ddembe ddembe) kale mutambule mu nsi e bbanga lya myezi ena, era mukimanye nti mazima ddala mmwe temuyinza kulemesa Katonda, era ddala, nga bulijjo Katonda aswaza abakaafiiri
وَأَذَانٌ مِّنَ اللَّهِ وَرَسُولِهِ إِلَى النَّاسِ يَوْمَ الْحَجِّ الْأَكْبَرِ أَنَّ اللَّهَ بَرِيءٌ مِّنَ الْمُشْرِكِينَ ۙ وَرَسُولُهُ ۚ فَإِن تُبْتُمْ فَهُوَ خَيْرٌ لَّكُمْ ۖ وَإِن تَوَلَّيْتُمْ فَاعْلَمُوا أَنَّكُمْ غَيْرُ مُعْجِزِي اللَّهِ ۗ وَبَشِّرِ الَّذِينَ كَفَرُوا بِعَذَابٍ أَلِيمٍ (3)
Era kuno kulangirira okuva eri Katonda n’omubakawe, okuteekwa okutuusibwa eri abantu, ku lunaku olukulu olwa Hijja, nti mazima Katonda amenyeewo e ndagaano zonna ezaakolebwa n'abo abagatta ku Katonda e bintu e birala, n’omubakawe bwatyo azimenyeewo, naye singa mwenenya ekyo kye kirungi gye muli, wabula singa mugaana mumanye nti mazima mmwe temusobola kulemesa Katonda, era (ggwe Muhammad) abo abaakaafuwala bawe amawulire ag’ebibonerezo e biruma
إِلَّا الَّذِينَ عَاهَدتُّم مِّنَ الْمُشْرِكِينَ ثُمَّ لَمْ يَنقُصُوكُمْ شَيْئًا وَلَمْ يُظَاهِرُوا عَلَيْكُمْ أَحَدًا فَأَتِمُّوا إِلَيْهِمْ عَهْدَهُمْ إِلَىٰ مُدَّتِهِمْ ۚ إِنَّ اللَّهَ يُحِبُّ الْمُتَّقِينَ (4)
Okugyako abo be mwakola nabo e ndagaano mu bagatta ku Katonda e bintu e birala, oluvanyuma ne batamenya katundu konna mu ndagaano eyo, era nebatayamba muntu yenna abalwanyisa. (abo) mubajjulize e ndagaano yaabwe okutuusa e kiseera kya bwe lwe kiggwako, anti mazima ddala Katonda ayagala nnyo abamutya
فَإِذَا انسَلَخَ الْأَشْهُرُ الْحُرُمُ فَاقْتُلُوا الْمُشْرِكِينَ حَيْثُ وَجَدتُّمُوهُمْ وَخُذُوهُمْ وَاحْصُرُوهُمْ وَاقْعُدُوا لَهُمْ كُلَّ مَرْصَدٍ ۚ فَإِن تَابُوا وَأَقَامُوا الصَّلَاةَ وَآتَوُا الزَّكَاةَ فَخَلُّوا سَبِيلَهُمْ ۚ إِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (5)
Emyezi egy'emizizo bwegiggwako, mutte abo abagatta e birala ku Katonda, wonna wemubagwikiriza, era mubawambe, era mubataayize, era mubateege mu buli kkubo, kyokka bwe beenenya, nebayimirizaawo e sswala, nebatoola zzaka, olwo nno mubaleke, anti mazima Katonda musonyiyi, musaasizi
وَإِنْ أَحَدٌ مِّنَ الْمُشْرِكِينَ اسْتَجَارَكَ فَأَجِرْهُ حَتَّىٰ يَسْمَعَ كَلَامَ اللَّهِ ثُمَّ أَبْلِغْهُ مَأْمَنَهُ ۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمْ قَوْمٌ لَّا يَعْلَمُونَ (6)
Singa omuntu yenna mu abo abagatta ku Katonda e bintu e birala akusaba okumuwa obubudamu, bumuwe, kimuyambe okuwulira e bigambo bya Katonda, oluvanyuma mutuuse mu kifo waabeerera mu mirembe, ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo bantu abatamanyi
كَيْفَ يَكُونُ لِلْمُشْرِكِينَ عَهْدٌ عِندَ اللَّهِ وَعِندَ رَسُولِهِ إِلَّا الَّذِينَ عَاهَدتُّمْ عِندَ الْمَسْجِدِ الْحَرَامِ ۖ فَمَا اسْتَقَامُوا لَكُمْ فَاسْتَقِيمُوا لَهُمْ ۚ إِنَّ اللَّهَ يُحِبُّ الْمُتَّقِينَ (7)
Kisoboka kitya okubaawo e ndagaano wakati w’a bagatta ku Katonda e bintu e biralala, ne wakati wa Katonda n’omubaka we! mpozzi abo be mwakola nabo e ndagaano mu kifo awali omuzikiti ogw’e mizizo, kale e bbanga lye bamala nga beesimbu gye muli nammwe muteekwa okubeera abeesimbu gye bali mazima Katonda ayagala abamutya
كَيْفَ وَإِن يَظْهَرُوا عَلَيْكُمْ لَا يَرْقُبُوا فِيكُمْ إِلًّا وَلَا ذِمَّةً ۚ يُرْضُونَكُم بِأَفْوَاهِهِمْ وَتَأْبَىٰ قُلُوبُهُمْ وَأَكْثَرُهُمْ فَاسِقُونَ (8)
Ngeriki (bwe wayinza okubaawo e ndagaano wakati wa mmwe nabo) so nga bwe baba babawangudde tebafa ku ndagaano wadde oluganda lwe mulina nabo, babasiimiikiriza n’ebigambo bya bwe, so nga e mitima gy’abwe tegiri nammwe ng’ate abasinga obungi mu bo, boonoonyi
اشْتَرَوْا بِآيَاتِ اللَّهِ ثَمَنًا قَلِيلًا فَصَدُّوا عَن سَبِيلِهِ ۚ إِنَّهُمْ سَاءَ مَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (9)
Batunda e bigambo bya Katonda omuwendo ogwa layisi (ku nsi) ekyabaviirako okuziyiza (abantu) ku kkubo lya Katonda, mazima bo bibi ebyo bye baali bakola
لَا يَرْقُبُونَ فِي مُؤْمِنٍ إِلًّا وَلَا ذِمَّةً ۚ وَأُولَٰئِكَ هُمُ الْمُعْتَدُونَ (10)
Tebafa ku mukkiriza yenna keebe ndagaano oba oluganda, era abo be baasukka e nsalo (za Katonda)
فَإِن تَابُوا وَأَقَامُوا الصَّلَاةَ وَآتَوُا الزَّكَاةَ فَإِخْوَانُكُمْ فِي الدِّينِ ۗ وَنُفَصِّلُ الْآيَاتِ لِقَوْمٍ يَعْلَمُونَ (11)
Naye (awamu n'ekyo) bwe baba beenenyezza (nebava ku bikolwa ebyo) ne bayimirizaawo e sswala nebawa zzaka, olwo nno baba bafuuse baganda ba mmwe mu ddiini, era bulijjo tunnyonnyola mu bulambulukufu e bigambo byaffe eri abantu abamanyi (abeegasa nabyo)
وَإِن نَّكَثُوا أَيْمَانَهُم مِّن بَعْدِ عَهْدِهِمْ وَطَعَنُوا فِي دِينِكُمْ فَقَاتِلُوا أَئِمَّةَ الْكُفْرِ ۙ إِنَّهُمْ لَا أَيْمَانَ لَهُمْ لَعَلَّهُمْ يَنتَهُونَ (12)
(Wabula ate) bwe bamenya e birayiro bya bwe, oluvanyuma lw'endagaano gye baakola, nebajerega e ddiini ya mmwe, olwo nno mulwanyise abakungu mu bukaafiiri, anti mazima bbo, tebakuuma birayiro, balyoke beekomeko
أَلَا تُقَاتِلُونَ قَوْمًا نَّكَثُوا أَيْمَانَهُمْ وَهَمُّوا بِإِخْرَاجِ الرَّسُولِ وَهُم بَدَءُوكُمْ أَوَّلَ مَرَّةٍ ۚ أَتَخْشَوْنَهُمْ ۚ فَاللَّهُ أَحَقُّ أَن تَخْشَوْهُ إِن كُنتُم مُّؤْمِنِينَ (13)
Kiki ekibagaana okulwanyisa abantu abamenya e ndagaano zaabwe, nebaagala n’okugoba omubaka (mu Makkah), ate nga bo bennyini b’e baabasosonkereza omulundi ogwasooka, abaffe mutya batye, Katonda yaasaanira okuba nga mumutya bwe muba nga ddala muli bakkiriza
قَاتِلُوهُمْ يُعَذِّبْهُمُ اللَّهُ بِأَيْدِيكُمْ وَيُخْزِهِمْ وَيَنصُرْكُمْ عَلَيْهِمْ وَيَشْفِ صُدُورَ قَوْمٍ مُّؤْمِنِينَ (14)
Mubalwanyise, Katonda ababonereze n’emikono gya mmwe, era abakkakkanye era mmwe abataase ku bo, aweweeze ekyo ekiri mu mitima gya bakkiriza
وَيُذْهِبْ غَيْظَ قُلُوبِهِمْ ۗ وَيَتُوبُ اللَّهُ عَلَىٰ مَن يَشَاءُ ۗ وَاللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (15)
Era amalewo obukyayi bw’emitima gya bwe, era Katonda akkirize okwenenya kw’oyo gwaba ayagadde, bulijjo Katonda muyitirivu w’a kumanya, mugoba nsonga
أَمْ حَسِبْتُمْ أَن تُتْرَكُوا وَلَمَّا يَعْلَمِ اللَّهُ الَّذِينَ جَاهَدُوا مِنكُمْ وَلَمْ يَتَّخِذُوا مِن دُونِ اللَّهِ وَلَا رَسُولِهِ وَلَا الْمُؤْمِنِينَ وَلِيجَةً ۚ وَاللَّهُ خَبِيرٌ بِمَا تَعْمَلُونَ (16)
Abaffe, musuubidde okuba nga mulekebwa (nemutagezesebwa), Katonda abe nga amanya abo abaalafuubana mu mmwe (olw'ediini), nebateeteerawo wa mukwano yenna atali Katonda, oba omubakawe, oba abakkiriza, bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola
مَا كَانَ لِلْمُشْرِكِينَ أَن يَعْمُرُوا مَسَاجِدَ اللَّهِ شَاهِدِينَ عَلَىٰ أَنفُسِهِم بِالْكُفْرِ ۚ أُولَٰئِكَ حَبِطَتْ أَعْمَالُهُمْ وَفِي النَّارِ هُمْ خَالِدُونَ (17)
Abagatta ku Katonda e bintu e birala tebakkirizibwa kuzimba mizikiti gya Katonda, nga nabo bennyini beewaako obujulizi nti bakaafiiri, abo e mirimu gya bwe gyonna mifu, era nga mu muliro mwe bagenda okutuula obugenderevu
إِنَّمَا يَعْمُرُ مَسَاجِدَ اللَّهِ مَنْ آمَنَ بِاللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ وَأَقَامَ الصَّلَاةَ وَآتَى الزَّكَاةَ وَلَمْ يَخْشَ إِلَّا اللَّهَ ۖ فَعَسَىٰ أُولَٰئِكَ أَن يَكُونُوا مِنَ الْمُهْتَدِينَ (18)
Mazima ddala azimba e mizikiti gy’a Katonda, yooyo akkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, n’ayimirizaawo e sswala, n'atoola zzaka, era n’atatya okugyako Katonda, abo nno be bookubeera mu balungamu
۞ أَجَعَلْتُمْ سِقَايَةَ الْحَاجِّ وَعِمَارَةَ الْمَسْجِدِ الْحَرَامِ كَمَنْ آمَنَ بِاللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ وَجَاهَدَ فِي سَبِيلِ اللَّهِ ۚ لَا يَسْتَوُونَ عِندَ اللَّهِ ۗ وَاللَّهُ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الظَّالِمِينَ (19)
Muddira mutya okuwa ba Hajji amazzi n’okulabirira omuzikiti ogw’e mizizo ne mukyenkanya n'oyo akkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero! era naalafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, tebayinza kwenkana mu maaso g’a Katonda, era bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi
الَّذِينَ آمَنُوا وَهَاجَرُوا وَجَاهَدُوا فِي سَبِيلِ اللَّهِ بِأَمْوَالِهِمْ وَأَنفُسِهِمْ أَعْظَمُ دَرَجَةً عِندَ اللَّهِ ۚ وَأُولَٰئِكَ هُمُ الْفَائِزُونَ (20)
Abo abakkiriza, nebasenguka, era ne balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa e mmaali yaabwe n'emyoyo gyabwe, be basinga amadaala ag’a waggulu ewa Katonda, era abo, bo be b'okwesiima
يُبَشِّرُهُمْ رَبُّهُم بِرَحْمَةٍ مِّنْهُ وَرِضْوَانٍ وَجَنَّاتٍ لَّهُمْ فِيهَا نَعِيمٌ مُّقِيمٌ (21)
Mukama omulabirizi waabwe abasanyusa nga bwagenda okubawa okusaasira, n’okusiima ebiva gyali, era abawe e jjana, mwe balifunira e byengera e bitakoma
خَالِدِينَ فِيهَا أَبَدًا ۚ إِنَّ اللَّهَ عِندَهُ أَجْرٌ عَظِيمٌ (22)
Baakubeera mu zo olubeerera, mazima Katonda yekka yaalina e mpeera e nsukkulumu
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تَتَّخِذُوا آبَاءَكُمْ وَإِخْوَانَكُمْ أَوْلِيَاءَ إِنِ اسْتَحَبُّوا الْكُفْرَ عَلَى الْإِيمَانِ ۚ وَمَن يَتَوَلَّهُم مِّنكُمْ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الظَّالِمُونَ (23)
Abange mmwe abakkiriza, bakadde ba mmwe ne baganda ba mmwe, temubafuulanga mikwano gya mmwe egy'omunda, kavuna bakulembeza obukaafiiri ku bukkiriza, oyo yenna mu mmwe abafuula mikwanogye ab'omunda, abo nno be beeyisa obubi
قُلْ إِن كَانَ آبَاؤُكُمْ وَأَبْنَاؤُكُمْ وَإِخْوَانُكُمْ وَأَزْوَاجُكُمْ وَعَشِيرَتُكُمْ وَأَمْوَالٌ اقْتَرَفْتُمُوهَا وَتِجَارَةٌ تَخْشَوْنَ كَسَادَهَا وَمَسَاكِنُ تَرْضَوْنَهَا أَحَبَّ إِلَيْكُم مِّنَ اللَّهِ وَرَسُولِهِ وَجِهَادٍ فِي سَبِيلِهِ فَتَرَبَّصُوا حَتَّىٰ يَأْتِيَ اللَّهُ بِأَمْرِهِ ۗ وَاللَّهُ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الْفَاسِقِينَ (24)
Gamba nti bakadde ba mmwe n’abaana ba mmwe, ne baganda ba mmwe, ne bemwafumbiriganwa nabo, n’aboluganda lwa mmwe, n’ebyobugagga bye mukungaanya, n’ebyobusuubuzi bye mutya okudiba kwabyo, n’amayumba agabasanyusa, ebyo byonna bwe biba nga bye mwagala e nnyo okusinga Katonda n’omubakawe, n’okulafuubana okuweereza mu kkubolye, olwo nno mulindirire okutuusa Katonda lwanaaleeta e kiragirokye, era Katonda talungamya bantu boonoonyi
لَقَدْ نَصَرَكُمُ اللَّهُ فِي مَوَاطِنَ كَثِيرَةٍ ۙ وَيَوْمَ حُنَيْنٍ ۙ إِذْ أَعْجَبَتْكُمْ كَثْرَتُكُمْ فَلَمْ تُغْنِ عَنكُمْ شَيْئًا وَضَاقَتْ عَلَيْكُمُ الْأَرْضُ بِمَا رَحُبَتْ ثُمَّ وَلَّيْتُم مُّدْبِرِينَ (25)
Mazima Katonda yabataasa mu bifo bingi, ne ku lunaku lw'olutalo lwe Hunaini, obungi bwa mmwe bwe bwabasigula nebutabagasa kintu kyonna. Ensi yabafundirira awamu n’obugazi bwayo n’ekyaddako mwakyuka ne mussaako kakokola tondeka nnyuma
ثُمَّ أَنزَلَ اللَّهُ سَكِينَتَهُ عَلَىٰ رَسُولِهِ وَعَلَى الْمُؤْمِنِينَ وَأَنزَلَ جُنُودًا لَّمْ تَرَوْهَا وَعَذَّبَ الَّذِينَ كَفَرُوا ۚ وَذَٰلِكَ جَزَاءُ الْكَافِرِينَ (26)
Oluvanyuma Katonda yassa obuteefu ku mubakawe, ne ku bakkiriza era nassa amagye gemutaalaba, era naabonereza abo abaakaafuwala. Era nga bulijjo empeera y’abakafiiri bwetyo bweba
ثُمَّ يَتُوبُ اللَّهُ مِن بَعْدِ ذَٰلِكَ عَلَىٰ مَن يَشَاءُ ۗ وَاللَّهُ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (27)
Oluvanyuma lw'ekyo Katonda akkiriza okwenenya kw'oyo gwaba ayagadde, era bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِنَّمَا الْمُشْرِكُونَ نَجَسٌ فَلَا يَقْرَبُوا الْمَسْجِدَ الْحَرَامَ بَعْدَ عَامِهِمْ هَٰذَا ۚ وَإِنْ خِفْتُمْ عَيْلَةً فَسَوْفَ يُغْنِيكُمُ اللَّهُ مِن فَضْلِهِ إِن شَاءَ ۚ إِنَّ اللَّهَ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (28)
Abange mmwe abakkiriza (mukimanye nti), mazima abagatta ku Katonda e bintu e birala bajama, tebasembereranga omuzikiti ogw’emizizo oluvanyuma lw’omwaka gwabwe guno. Bwe muba mutidde bwavu, Katonda bwanaaba ayagadde ajja kubagaggawaza nga aggya mu bigabwabye, anti mazima Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga
قَاتِلُوا الَّذِينَ لَا يُؤْمِنُونَ بِاللَّهِ وَلَا بِالْيَوْمِ الْآخِرِ وَلَا يُحَرِّمُونَ مَا حَرَّمَ اللَّهُ وَرَسُولُهُ وَلَا يَدِينُونَ دِينَ الْحَقِّ مِنَ الَّذِينَ أُوتُوا الْكِتَابَ حَتَّىٰ يُعْطُوا الْجِزْيَةَ عَن يَدٍ وَهُمْ صَاغِرُونَ (29)
Mulwanyise abo abatakkiriza Katonda, wadde olunaku lw'enkomerero. Era nga tebaziza ebyo Katonda n’omubakawe bye baafuula Haramu. Era nebatagoberera ddiini entuufu, nga bava mu abo abaaweebwa e kitabo, okutuusa nga bawadde omusolo nga buli omu yaagweweera, balabike nga bakkakkanyiziddwa
وَقَالَتِ الْيَهُودُ عُزَيْرٌ ابْنُ اللَّهِ وَقَالَتِ النَّصَارَى الْمَسِيحُ ابْنُ اللَّهِ ۖ ذَٰلِكَ قَوْلُهُم بِأَفْوَاهِهِمْ ۖ يُضَاهِئُونَ قَوْلَ الَّذِينَ كَفَرُوا مِن قَبْلُ ۚ قَاتَلَهُمُ اللَّهُ ۚ أَنَّىٰ يُؤْفَكُونَ (30)
Abayudaaya baagamba nti Uzairu mwana wa Katonda, ate Abanaswara ne bagamba nti Masiya mwana w’a Katonda, ekyo kigambo kyabwe kye boogera n’emimwa gyabwe, nebifaanana e kigambo ky'abo abaakaafuwala oluberyeberye. Katonda yabakolimira, bawugulwa batya (okuva ku mazima)
اتَّخَذُوا أَحْبَارَهُمْ وَرُهْبَانَهُمْ أَرْبَابًا مِّن دُونِ اللَّهِ وَالْمَسِيحَ ابْنَ مَرْيَمَ وَمَا أُمِرُوا إِلَّا لِيَعْبُدُوا إِلَٰهًا وَاحِدًا ۖ لَّا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۚ سُبْحَانَهُ عَمَّا يُشْرِكُونَ (31)
Bafuula ba kabona baabwe n’a basosodooti okuba abasinzibwa, nebaleka Katonda. Mu ngeri y’emu ne Masiya mutabani wa Mariam baamufuula bwe batyo, so ng’ate tebaalagirwanga okugyako okusinza Katonda omu. Tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye, musukkulumu nnyo kw'ebyo bye bamugattako
يُرِيدُونَ أَن يُطْفِئُوا نُورَ اللَّهِ بِأَفْوَاهِهِمْ وَيَأْبَى اللَّهُ إِلَّا أَن يُتِمَّ نُورَهُ وَلَوْ كَرِهَ الْكَافِرُونَ (32)
Baagala okuzikiza e kitangaala ky’a Katonda, nga bakozesa e mimwa gyabwe, ne Katonda takkiriza okugyako okujjuza ekitangaalakye, newaakubadde nga abakafiiri tebayagala
هُوَ الَّذِي أَرْسَلَ رَسُولَهُ بِالْهُدَىٰ وَدِينِ الْحَقِّ لِيُظْهِرَهُ عَلَى الدِّينِ كُلِّهِ وَلَوْ كَرِهَ الْمُشْرِكُونَ (33)
Katonda, yye yooyo eyatuma omubakawe nga amuwadde obulungamu n’eddiini ey’amazima, abe ng’a agiraga nga bweri waggulu we ddiini e ndala zonna newaakubadde nga abagatta ku Katonda e bintu e birala tebakyagala
۞ يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِنَّ كَثِيرًا مِّنَ الْأَحْبَارِ وَالرُّهْبَانِ لَيَأْكُلُونَ أَمْوَالَ النَّاسِ بِالْبَاطِلِ وَيَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ اللَّهِ ۗ وَالَّذِينَ يَكْنِزُونَ الذَّهَبَ وَالْفِضَّةَ وَلَا يُنفِقُونَهَا فِي سَبِيلِ اللَّهِ فَبَشِّرْهُم بِعَذَابٍ أَلِيمٍ (34)
Abange mmwe abakkiriza, mazima bangi mu ba kabona, n’a basosodooti balya e mmaali y’abantu mu bukyamu, era nebaziyiza abantu okutuuka ku kkubo lya Katonda. N’abo bonna abakungaanya zaabu ne feeza ne batabiwaayo mu kkubo lya Katonda, basanyuse n’ebibonerezo ebiruma ennyo
يَوْمَ يُحْمَىٰ عَلَيْهَا فِي نَارِ جَهَنَّمَ فَتُكْوَىٰ بِهَا جِبَاهُهُمْ وَجُنُوبُهُمْ وَظُهُورُهُمْ ۖ هَٰذَا مَا كَنَزْتُمْ لِأَنفُسِكُمْ فَذُوقُوا مَا كُنتُمْ تَكْنِزُونَ (35)
Ku lunaku (e mmaali eyo) lwe liyengerezebwa mu muliro Jahannama, e byenyi byabwe nembiriizi zaabwe n’emigongo gyabwe nebyokebwa nayo, (nga bwe bakomekkerezebwa nti) bino bye mwetegekera, mukombe ku bukaawu bw'ebyo, bye mwaterekanga
إِنَّ عِدَّةَ الشُّهُورِ عِندَ اللَّهِ اثْنَا عَشَرَ شَهْرًا فِي كِتَابِ اللَّهِ يَوْمَ خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ مِنْهَا أَرْبَعَةٌ حُرُمٌ ۚ ذَٰلِكَ الدِّينُ الْقَيِّمُ ۚ فَلَا تَظْلِمُوا فِيهِنَّ أَنفُسَكُمْ ۚ وَقَاتِلُوا الْمُشْرِكِينَ كَافَّةً كَمَا يُقَاتِلُونَكُمْ كَافَّةً ۚ وَاعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ مَعَ الْمُتَّقِينَ (36)
Mazima omuwendo gw'emyezi ew’a Katonda giri emyezi kkumi n'ebiri, bwe kityo bwe kiri mu biwandiiko bya Katonda, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda e ggulu omusanvu ne nsi. Ena ku gyo gy’amizizo, eyo nno y’e ddiini e nnambulukufu, temweyisanga bubi mu gyo, era mulwanyise abagatta ku Katonda e bintu e birala bonna, nga nabo bwe babalwanyisa mwenna, mumanye nti mazima Katonda bulijjo abeera n’a bamutya
إِنَّمَا النَّسِيءُ زِيَادَةٌ فِي الْكُفْرِ ۖ يُضَلُّ بِهِ الَّذِينَ كَفَرُوا يُحِلُّونَهُ عَامًا وَيُحَرِّمُونَهُ عَامًا لِّيُوَاطِئُوا عِدَّةَ مَا حَرَّمَ اللَّهُ فَيُحِلُّوا مَا حَرَّمَ اللَّهُ ۚ زُيِّنَ لَهُمْ سُوءُ أَعْمَالِهِمْ ۗ وَاللَّهُ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الْكَافِرِينَ (37)
Mazima okuwaanyisa e myezi egy'emizizo kyongera bukaafiiri, babuzibwa nakyo abo abaakaafuwala nga bakkiriza okugirwaniramu mu mwaka, ate omwaka omulala nebagiziza, basobole okujjuza omuwendo gwe myezi Katonda gye yaziza, mu kukola ekyo nebaba nga bafuula Halali Katonda kye yafuula Haramu. Ebikolwa byabwe e bibi bya balabikira okuba nga bye birungi, nga bulijjo Katonda talungamya bantu bakaafiiri
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا مَا لَكُمْ إِذَا قِيلَ لَكُمُ انفِرُوا فِي سَبِيلِ اللَّهِ اثَّاقَلْتُمْ إِلَى الْأَرْضِ ۚ أَرَضِيتُم بِالْحَيَاةِ الدُّنْيَا مِنَ الْآخِرَةِ ۚ فَمَا مَتَاعُ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا فِي الْآخِرَةِ إِلَّا قَلِيلٌ (38)
Abange mmwe abakkiriza mwabaaki! bwe babagamba nti mufulume mulafuubane mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, muwulira nga muzitoye ne musalawo kutuula ku ttaka, musazeewo kugenda na bulamu bwansi okusinga e nkomerero! naye obulamu bwensi bwe bugeraageranyizibwa ku bw'enkomerero tebuba, okugyako kantu katono nnyo
إِلَّا تَنفِرُوا يُعَذِّبْكُمْ عَذَابًا أَلِيمًا وَيَسْتَبْدِلْ قَوْمًا غَيْرَكُمْ وَلَا تَضُرُّوهُ شَيْئًا ۗ وَاللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (39)
Bwemutagenda (ku lutalo) (Katonda) agenda kubabonereza e bibonerezo e biruma ennyo, ate asseewo abantu abalala mu kifo kya mmwe, era temuyinza ku mutuusaako kabi konna, nga bulijjo Katonda muyinza wa buli kintu
إِلَّا تَنصُرُوهُ فَقَدْ نَصَرَهُ اللَّهُ إِذْ أَخْرَجَهُ الَّذِينَ كَفَرُوا ثَانِيَ اثْنَيْنِ إِذْ هُمَا فِي الْغَارِ إِذْ يَقُولُ لِصَاحِبِهِ لَا تَحْزَنْ إِنَّ اللَّهَ مَعَنَا ۖ فَأَنزَلَ اللَّهُ سَكِينَتَهُ عَلَيْهِ وَأَيَّدَهُ بِجُنُودٍ لَّمْ تَرَوْهَا وَجَعَلَ كَلِمَةَ الَّذِينَ كَفَرُوا السُّفْلَىٰ ۗ وَكَلِمَةُ اللَّهِ هِيَ الْعُلْيَا ۗ وَاللَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٌ (40)
Bwe mutamutaasa (Nabbi Muhammad), mazima Katonda yamutaasa mu kiseera abakaafiiri bwe baamufulumya nga y’omu ku babiri, webaabeerera mu mpuku, mu kiseera weyagambira munne nti tonakuwala mazima Katonda ali wamu naffe, awo nno Katonda naamussaako obutebenkevubwe, era naamudduukirira neggye lye mutaalaba. E kigambo ky'abo abaakaafuwala n’akifuula ekya wansi, ssi nga ekigambo kya Katonda kyo kye kya waggulu, bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga
انفِرُوا خِفَافًا وَثِقَالًا وَجَاهِدُوا بِأَمْوَالِكُمْ وَأَنفُسِكُمْ فِي سَبِيلِ اللَّهِ ۚ ذَٰلِكُمْ خَيْرٌ لَّكُمْ إِن كُنتُمْ تَعْلَمُونَ (41)
Mufulume n’ebyokulwanyisa e bitonotono oba e bizito, mulafuubane nga muweereza mu kkubo lya Katonda, nga mukozesa e mmaali ya mmwe nemy’oyo gya mmwe, ekyo nno ky’ekirungi gye muli, bwe muba nga mumanyi
لَوْ كَانَ عَرَضًا قَرِيبًا وَسَفَرًا قَاصِدًا لَّاتَّبَعُوكَ وَلَٰكِن بَعُدَتْ عَلَيْهِمُ الشُّقَّةُ ۚ وَسَيَحْلِفُونَ بِاللَّهِ لَوِ اسْتَطَعْنَا لَخَرَجْنَا مَعَكُمْ يُهْلِكُونَ أَنفُسَهُمْ وَاللَّهُ يَعْلَمُ إِنَّهُمْ لَكَاذِبُونَ (42)
Singa byali byanfuna nga biri kumpi, nga n’olugendo lwangu, baalikugoberedde, naye olugendo lwabayitirirako era bajja kulayira Katonda nga bagamba nti, singa twabadde tusobola twandigenze na mmwe, mukwogera ekyo nebaba nga bazikiriza myoyo gyabwe, anti Katonda amanyi nti mazima bo balimba
عَفَا اللَّهُ عَنكَ لِمَ أَذِنتَ لَهُمْ حَتَّىٰ يَتَبَيَّنَ لَكَ الَّذِينَ صَدَقُوا وَتَعْلَمَ الْكَاذِبِينَ (43)
Katonda akusonyiwe (Ggwe Muhammad) lwaki wabakkiriza okusigala n’otalinda kumala kumanyira ddala ab'amazima, era n’omanya abalimba
لَا يَسْتَأْذِنُكَ الَّذِينَ يُؤْمِنُونَ بِاللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ أَن يُجَاهِدُوا بِأَمْوَالِهِمْ وَأَنفُسِهِمْ ۗ وَاللَّهُ عَلِيمٌ بِالْمُتَّقِينَ (44)
Abo abakkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, tebayinza kukusaba kubaggyako luwalo lwa kugenda kulafuubana mu kkubo lya Katonda, nga bakozesa e mmaali yabwe, n’emyoyo gyabwe, era Katonda amanyidde ddala abo abamutya
إِنَّمَا يَسْتَأْذِنُكَ الَّذِينَ لَا يُؤْمِنُونَ بِاللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ وَارْتَابَتْ قُلُوبُهُمْ فَهُمْ فِي رَيْبِهِمْ يَتَرَدَّدُونَ (45)
Mazima abo abatakkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, be bakusaba okubakkiriza obutagenda ku lutabaalo, n’emitima gyabwe gibuusabuusa, bonna mu kubuusabuusa kwabwe mwebabeera nga tebayinza kusalawo
۞ وَلَوْ أَرَادُوا الْخُرُوجَ لَأَعَدُّوا لَهُ عُدَّةً وَلَٰكِن كَرِهَ اللَّهُ انبِعَاثَهُمْ فَثَبَّطَهُمْ وَقِيلَ اقْعُدُوا مَعَ الْقَاعِدِينَ (46)
Singa baali baagadde kugenda ku lutalo, baalirwetegekedde okwetegeka okwetaagisa, naye Katonda teyayagala kugenda kwa bwe, n’olwekyo n’atabasobozesa, olwo nno nebalangirira nti, musigale n’abasigadde
لَوْ خَرَجُوا فِيكُم مَّا زَادُوكُمْ إِلَّا خَبَالًا وَلَأَوْضَعُوا خِلَالَكُمْ يَبْغُونَكُمُ الْفِتْنَةَ وَفِيكُمْ سَمَّاعُونَ لَهُمْ ۗ وَاللَّهُ عَلِيمٌ بِالظَّالِمِينَ (47)
Singa baagendera mu mmwe, tebandibongedde okugyako bizibu, era bandibungeesezza e ngambo mu mmwe, nga babaagaliza akabi, ate nga ne mu mmwe mwandibaddemu ababawuliriza, Katonda amanyi nnyo ebikwata ku bantu abeeyisa obubi
لَقَدِ ابْتَغَوُا الْفِتْنَةَ مِن قَبْلُ وَقَلَّبُوا لَكَ الْأُمُورَ حَتَّىٰ جَاءَ الْحَقُّ وَظَهَرَ أَمْرُ اللَّهِ وَهُمْ كَارِهُونَ (48)
Mazima baayagala dda okukuleetera akabi ne bakutabangulira e bintu, okutuusa amazima lwe gajja n’ekigambo kya Katonda nekyeyoleka, nga nabo tebaagala
وَمِنْهُم مَّن يَقُولُ ائْذَن لِّي وَلَا تَفْتِنِّي ۚ أَلَا فِي الْفِتْنَةِ سَقَطُوا ۗ وَإِنَّ جَهَنَّمَ لَمُحِيطَةٌ بِالْكَافِرِينَ (49)
Mu bo mulimu omuntu agamba nti, nsaba onzikirize nneme kugenda ku lutalo, era tonteeka mu kikemo, abange abo nno mu kikemo mwennyini mwe baagwa, mazima omuliro Jahannama gwetoolodde abakaafiiri
إِن تُصِبْكَ حَسَنَةٌ تَسُؤْهُمْ ۖ وَإِن تُصِبْكَ مُصِيبَةٌ يَقُولُوا قَدْ أَخَذْنَا أَمْرَنَا مِن قَبْلُ وَيَتَوَلَّوا وَّهُمْ فَرِحُونَ (50)
Bwotuukibwako e kirungi, kibanakuwaza, ate bw’otuukibwako e kibi, bagamba nti, ffe ekyo twakirabirawo ne tukyekeengera, olwo nno nebadda mu maka gaabwe nga basanyufu
قُل لَّن يُصِيبَنَا إِلَّا مَا كَتَبَ اللَّهُ لَنَا هُوَ مَوْلَانَا ۚ وَعَلَى اللَّهِ فَلْيَتَوَكَّلِ الْمُؤْمِنُونَ (51)
(Ggwe Muhammad) gamba nti tewali kitutuukako okugyako Katonda kye yatuwandiikako, yye, ye mutaasa waffe, abakkiriza Katonda yekka gwe bateekwa okwesiga
قُلْ هَلْ تَرَبَّصُونَ بِنَا إِلَّا إِحْدَى الْحُسْنَيَيْنِ ۖ وَنَحْنُ نَتَرَبَّصُ بِكُمْ أَن يُصِيبَكُمُ اللَّهُ بِعَذَابٍ مِّنْ عِندِهِ أَوْ بِأَيْدِينَا ۖ فَتَرَبَّصُوا إِنَّا مَعَكُم مُّتَرَبِّصُونَ (52)
Gamba (ggwe Muhammad), mulina kye musuubira okututuukako ekitali e kimu ku birungi e bibiri (okuwangula olutalo oba okuwangulwa netuyingira e jjana), ng’ate ffe tubalindiridde Katonda abatuusaako ebibonerezo okuva gyali, oba abibatuseeko ng’abiyisa ku mikono gyaffe, kale mulindirire naffe tulindirira wamu na mmwe
قُلْ أَنفِقُوا طَوْعًا أَوْ كَرْهًا لَّن يُتَقَبَّلَ مِنكُمْ ۖ إِنَّكُمْ كُنتُمْ قَوْمًا فَاسِقِينَ (53)
Gamba (ggwe Muhammad), kamuweeyo mu mmaali ya mmwe mu ngeri y’akyeyagalire oba ey’obuwaze, (okugaba kwa mmwe okwo) tekugenda kukkirizibwa kuva gye muli, anti mazima ddala mmwe muli abantu aboonoonyi
وَمَا مَنَعَهُمْ أَن تُقْبَلَ مِنْهُمْ نَفَقَاتُهُمْ إِلَّا أَنَّهُمْ كَفَرُوا بِاللَّهِ وَبِرَسُولِهِ وَلَا يَأْتُونَ الصَّلَاةَ إِلَّا وَهُمْ كُسَالَىٰ وَلَا يُنفِقُونَ إِلَّا وَهُمْ كَارِهُونَ (54)
Tewali kyagaanyisa kuwaayo kwabwe kukkirizibwa, okugyako okuba nti, mazima ddala bo baagyemera Katonda n’omubakawe, era tewali lwe bagenda kusaala okugyako nga bagayaavu, era tebawaayo okugyako lwa buwaze
فَلَا تُعْجِبْكَ أَمْوَالُهُمْ وَلَا أَوْلَادُهُمْ ۚ إِنَّمَا يُرِيدُ اللَّهُ لِيُعَذِّبَهُم بِهَا فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَتَزْهَقَ أَنفُسُهُمْ وَهُمْ كَافِرُونَ (55)
Emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebikuyigula ttama, anti mazima Katonda ayagala kubabonereza nabyo mu bulamu obw'ensi, era batuuke okussa omukka ogusembayo nga bakaafiiri
وَيَحْلِفُونَ بِاللَّهِ إِنَّهُمْ لَمِنكُمْ وَمَا هُم مِّنكُمْ وَلَٰكِنَّهُمْ قَوْمٌ يَفْرَقُونَ (56)
Era balayira Katonda nti, mazima bo ba mu mmwe, naye ssi ba mu mmwe, mazima bo, bantu batiitiizi
لَوْ يَجِدُونَ مَلْجَأً أَوْ مَغَارَاتٍ أَوْ مُدَّخَلًا لَّوَلَّوْا إِلَيْهِ وَهُمْ يَجْمَحُونَ (57)
Singa bafuna obuddukiro, oba e mpuku, oba e kifo aweekukumwa, bandidduse okugenda gye kiri nga baduma
وَمِنْهُم مَّن يَلْمِزُكَ فِي الصَّدَقَاتِ فَإِنْ أُعْطُوا مِنْهَا رَضُوا وَإِن لَّمْ يُعْطَوْا مِنْهَا إِذَا هُمْ يَسْخَطُونَ (58)
Ate mu bo mulimu abakusongamu e mimwa ku nsonga ya saddaaka, bwe baweebwako basiima, ate bwe bataweebwa, olwo nno nebasunguwala
وَلَوْ أَنَّهُمْ رَضُوا مَا آتَاهُمُ اللَّهُ وَرَسُولُهُ وَقَالُوا حَسْبُنَا اللَّهُ سَيُؤْتِينَا اللَّهُ مِن فَضْلِهِ وَرَسُولُهُ إِنَّا إِلَى اللَّهِ رَاغِبُونَ (59)
Singa bamatira n'ekyo Katonda n’omubakawe kye baabawa, era ne bagamba nti Katonda waffe atumala, Katonda ajja kutuwa mu bigabwabye e bingi n’omubakawe bwatyo, anti mazima ddala ffe ewa Katonda gye tuyaayaanira okudda
۞ إِنَّمَا الصَّدَقَاتُ لِلْفُقَرَاءِ وَالْمَسَاكِينِ وَالْعَامِلِينَ عَلَيْهَا وَالْمُؤَلَّفَةِ قُلُوبُهُمْ وَفِي الرِّقَابِ وَالْغَارِمِينَ وَفِي سَبِيلِ اللَّهِ وَابْنِ السَّبِيلِ ۖ فَرِيضَةً مِّنَ اللَّهِ ۗ وَاللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (60)
Mazima ddala saddaaka (zzaka) eweebwa abaavu, n’abanaku, n’abagikolako, naabo e mitima gyabwe egisikirizibwa, (abaakasiramuka), ne mu kununula abaddu, n’abo amabanja begatuuse mu bulago, ne mu kulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, n’omutambuze, ebyo byonna nga y'engereka y’a Katonda, era bulijjo Katonda amanyi nnyo, mugoba nsonga
وَمِنْهُمُ الَّذِينَ يُؤْذُونَ النَّبِيَّ وَيَقُولُونَ هُوَ أُذُنٌ ۚ قُلْ أُذُنُ خَيْرٍ لَّكُمْ يُؤْمِنُ بِاللَّهِ وَيُؤْمِنُ لِلْمُؤْمِنِينَ وَرَحْمَةٌ لِّلَّذِينَ آمَنُوا مِنكُمْ ۚ وَالَّذِينَ يُؤْذُونَ رَسُولَ اللَّهِ لَهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (61)
Era mu bo, mulimu abo abanyiiza Nabbi nga bagamba nti, yye awuliriza buli kimu, gamba nti awuliriza lwa bulungi bwa mmwe, akkiriza Katonda, era yeesiga abakkiriza, era yye kya kusaasira eri abo abakkiriza mu mmwe, bo abo abanyiiza omubaka wa Katonda, bagenda kutuukwako e bibonerezo e biruma
يَحْلِفُونَ بِاللَّهِ لَكُمْ لِيُرْضُوكُمْ وَاللَّهُ وَرَسُولُهُ أَحَقُّ أَن يُرْضُوهُ إِن كَانُوا مُؤْمِنِينَ (62)
Babalayirira Katonda babasanyuse, so nga Katonda n’omubaka beebasinga okusaanira okusanyusibwa singa (abantu abo) babadde bakkiriza
أَلَمْ يَعْلَمُوا أَنَّهُ مَن يُحَادِدِ اللَّهَ وَرَسُولَهُ فَأَنَّ لَهُ نَارَ جَهَنَّمَ خَالِدًا فِيهَا ۚ ذَٰلِكَ الْخِزْيُ الْعَظِيمُ (63)
Abaffe, tebamanyi nti mazima ddala omuntu eyeesimba mu Katonda n’omubakawe, mazima wa kuyingizibwa omuliro Jahannama, nga w’akubeera mu gwo bugenderevu, obwo bwe buswavu obuyitirivu
يَحْذَرُ الْمُنَافِقُونَ أَن تُنَزَّلَ عَلَيْهِمْ سُورَةٌ تُنَبِّئُهُم بِمَا فِي قُلُوبِهِمْ ۚ قُلِ اسْتَهْزِئُوا إِنَّ اللَّهَ مُخْرِجٌ مَّا تَحْذَرُونَ (64)
Abannanfunsi beekengera okussibwako e Ssura, nga ebategeeza ebiri mu mitima gyabwe, gamba (ggwe Nabbi Muhammad nti), mugira mubiyita eby'olusaago, mazima Katonda ajja kwanika ebyo bye mwekengera
وَلَئِن سَأَلْتَهُمْ لَيَقُولُنَّ إِنَّمَا كُنَّا نَخُوضُ وَنَلْعَبُ ۚ قُلْ أَبِاللَّهِ وَآيَاتِهِ وَرَسُولِهِ كُنتُمْ تَسْتَهْزِئُونَ (65)
Singa obabuuza (lwaki bajerega abakkiriza), bajja kugambira ddala nti, mazima twabadde mu lwali na kuzannya, gamba (ggwe Muhammad) Katonda, n’ebigambobye n’omubakawe, bye mwabadde mujerega
لَا تَعْتَذِرُوا قَدْ كَفَرْتُم بَعْدَ إِيمَانِكُمْ ۚ إِن نَّعْفُ عَن طَائِفَةٍ مِّنكُمْ نُعَذِّبْ طَائِفَةً بِأَنَّهُمْ كَانُوا مُجْرِمِينَ (66)
Temwetonda mazima mukaafuwadde oluvanyuma lw’obukkiriza bwa mmwe, bwe tusonyiwa e kitundu ku mmwe (olw'okwetonda), tuba tulina okubonereza e kitundu e kirala ekiteetonze, olw'okuba nti mazima bo baali boonoonyi
الْمُنَافِقُونَ وَالْمُنَافِقَاتُ بَعْضُهُم مِّن بَعْضٍ ۚ يَأْمُرُونَ بِالْمُنكَرِ وَيَنْهَوْنَ عَنِ الْمَعْرُوفِ وَيَقْبِضُونَ أَيْدِيَهُمْ ۚ نَسُوا اللَّهَ فَنَسِيَهُمْ ۗ إِنَّ الْمُنَافِقِينَ هُمُ الْفَاسِقُونَ (67)
Abannanfunsi abasajja n’abannanfusi abakazi beebamu, balagira okukola e mpisa e mbi, ne bagaana (abantu) okukola e mpisa e nnungi, era bafunya e mikono gyabwe (bakodo) beerabira Katonda naye naabalekerayo, mazima abannanfusi, bo be boonoonyi
وَعَدَ اللَّهُ الْمُنَافِقِينَ وَالْمُنَافِقَاتِ وَالْكُفَّارَ نَارَ جَهَنَّمَ خَالِدِينَ فِيهَا ۚ هِيَ حَسْبُهُمْ ۚ وَلَعَنَهُمُ اللَّهُ ۖ وَلَهُمْ عَذَابٌ مُّقِيمٌ (68)
Abannanfusi abasajja n’abannanfusi abakyala, n’abakaafiiri, Katonda ya balagaanyisa omuliro Jahannama, baakugubeeramu obugenderevu, ggwo gwe gw'okubamala era Katonda yabakolimira era balissibwako e bibonerezo eby'olubeerera
كَالَّذِينَ مِن قَبْلِكُمْ كَانُوا أَشَدَّ مِنكُمْ قُوَّةً وَأَكْثَرَ أَمْوَالًا وَأَوْلَادًا فَاسْتَمْتَعُوا بِخَلَاقِهِمْ فَاسْتَمْتَعْتُم بِخَلَاقِكُمْ كَمَا اسْتَمْتَعَ الَّذِينَ مِن قَبْلِكُم بِخَلَاقِهِمْ وَخُضْتُمْ كَالَّذِي خَاضُوا ۚ أُولَٰئِكَ حَبِطَتْ أَعْمَالُهُمْ فِي الدُّنْيَا وَالْآخِرَةِ ۖ وَأُولَٰئِكَ هُمُ الْخَاسِرُونَ (69)
Bafaananako nga abo abaaliwo oluberyeberye lwa mmwe, baali ba maanyi nnyo okusinga mmwe, era nga beebasinza e mmaali n’abaana, olwo nno ne beeyagala olw'ebyo bye baafuna nga nammwe bwe mweyagadde olw'ebyo bye mufunye, nga abaabakulembera bwe beeyagala olw'ebyo bye baafuna, era ne mudda mu kukuba olwali nga bali lwe baalimu, abo nno e mirimu gya bwe gyayonooneka ku nsi ne ku nkomerero, era abo be b'okufaafaaganirwa
أَلَمْ يَأْتِهِمْ نَبَأُ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ قَوْمِ نُوحٍ وَعَادٍ وَثَمُودَ وَقَوْمِ إِبْرَاهِيمَ وَأَصْحَابِ مَدْيَنَ وَالْمُؤْتَفِكَاتِ ۚ أَتَتْهُمْ رُسُلُهُم بِالْبَيِّنَاتِ ۖ فَمَا كَانَ اللَّهُ لِيَظْلِمَهُمْ وَلَٰكِن كَانُوا أَنفُسَهُمْ يَظْلِمُونَ (70)
Abaffe e kigambo ky'abo abaabakulembera tekyabatuukako! abantu ba Nuuhu, n’aba A’adi, n’a ba Thamud, n’abantu ba Ibrahim, n’abantu b’o mu kitundu kye Madiyana, n’abantu b’o mu bitundu ebyavuunikibwa (aba Nabbi Luutu)ababaka baabwe baabajjira n’ebigambo bya Katonda e binnyonnyofu, oluvanyuma lw'ebyo Katonda si ye yabayisa obubi, naye bbo bennyini be beeyisa obubi
وَالْمُؤْمِنُونَ وَالْمُؤْمِنَاتُ بَعْضُهُمْ أَوْلِيَاءُ بَعْضٍ ۚ يَأْمُرُونَ بِالْمَعْرُوفِ وَيَنْهَوْنَ عَنِ الْمُنكَرِ وَيُقِيمُونَ الصَّلَاةَ وَيُؤْتُونَ الزَّكَاةَ وَيُطِيعُونَ اللَّهَ وَرَسُولَهُ ۚ أُولَٰئِكَ سَيَرْحَمُهُمُ اللَّهُ ۗ إِنَّ اللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٌ (71)
Abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi, abamu mikwano gya bannaabwe, balagira okuyisa obulungi, ne baziyiza okuyisa obubi, era ne bayimirizaawo e sswala ne batoola zzaka, era ne bagondera Katonda n’omubakawe, abo Katonda ajja kubasaasira. Anti mazima ddala Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga
وَعَدَ اللَّهُ الْمُؤْمِنِينَ وَالْمُؤْمِنَاتِ جَنَّاتٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ خَالِدِينَ فِيهَا وَمَسَاكِنَ طَيِّبَةً فِي جَنَّاتِ عَدْنٍ ۚ وَرِضْوَانٌ مِّنَ اللَّهِ أَكْبَرُ ۚ ذَٰلِكَ هُوَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (72)
Katonda yalagaanyisa abakkiriza abasajja, n’abakkiriza abakazi e jjana ezikulukutiramu e migga, b’akubeera mu zo bugenderevu, era baliweebwa e bisulo e birungi mu jjana ez’olubeerera, nga n'ekisingira ddala, bagenda kufuna okusiima okuva ewa Katonda, era ekyo kwe kwesiima okusukkulumu
يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ جَاهِدِ الْكُفَّارَ وَالْمُنَافِقِينَ وَاغْلُظْ عَلَيْهِمْ ۚ وَمَأْوَاهُمْ جَهَنَّمُ ۖ وَبِئْسَ الْمَصِيرُ (73)
Owange ggwe Nabbi, lwanyisa abakaafiiri, n’abannanfusi era obakaluubirize, era obuddo bwa bwe muliro Jahannama, era buddo bubi nnyo
يَحْلِفُونَ بِاللَّهِ مَا قَالُوا وَلَقَدْ قَالُوا كَلِمَةَ الْكُفْرِ وَكَفَرُوا بَعْدَ إِسْلَامِهِمْ وَهَمُّوا بِمَا لَمْ يَنَالُوا ۚ وَمَا نَقَمُوا إِلَّا أَنْ أَغْنَاهُمُ اللَّهُ وَرَسُولُهُ مِن فَضْلِهِ ۚ فَإِن يَتُوبُوا يَكُ خَيْرًا لَّهُمْ ۖ وَإِن يَتَوَلَّوْا يُعَذِّبْهُمُ اللَّهُ عَذَابًا أَلِيمًا فِي الدُّنْيَا وَالْآخِرَةِ ۚ وَمَا لَهُمْ فِي الْأَرْضِ مِن وَلِيٍّ وَلَا نَصِيرٍ (74)
Balayira Katonda nti tebabyogerangako, naye nga mazima baayatula e kigambo ky'obukaafiiri, olwo nno nebafuuka abakaafiiri oluvanyuma lw'okuba nti baali basiraamu, nebagezaako nnyo okukola kye baali tebasobola kutuukiriza (eky'okutta Nabbi), tewali kyabakozesa mpalana okugyako okuba nti Mukama Katonda n’omubakawe baabagonnomolako e bigabwa bya Katonda, kale nno singa beenenya kiba kirungi gye bali, naye bwe batakikola Katonda agenda ku babonereza olubonereza oluluma ennyo ku nsi, ne ku nkomerero, era nga tebalina ku nsi mukuumi yenna oba mutaasa
۞ وَمِنْهُم مَّنْ عَاهَدَ اللَّهَ لَئِنْ آتَانَا مِن فَضْلِهِ لَنَصَّدَّقَنَّ وَلَنَكُونَنَّ مِنَ الصَّالِحِينَ (75)
Era mu bo mulimu abo abaalagaanyisa Katonda nga bagamba nti, singa atuwa mu bigabwabye, mazima tujja kusaddaakako era tujja kubeerera ddala mu balongoofu
فَلَمَّا آتَاهُم مِّن فَضْلِهِ بَخِلُوا بِهِ وَتَوَلَّوا وَّهُم مُّعْرِضُونَ (76)
Bwe yabawa ku bigabwabye, baabikodowalira, nebava ku kiragaanye, mu kukola ekyo nebaba nga baava ku ndagaano
فَأَعْقَبَهُمْ نِفَاقًا فِي قُلُوبِهِمْ إِلَىٰ يَوْمِ يَلْقَوْنَهُ بِمَا أَخْلَفُوا اللَّهَ مَا وَعَدُوهُ وَبِمَا كَانُوا يَكْذِبُونَ (77)
N’olwekyo ekyaddirira Katonda nannyikiza obunnanfusi mu mitima gy’abwe, okutuusa ku lunaku lwe balimusisinkana, olw'okuba nti baayawukana ku kye baalagaanyisa Katonda, ne ku lw'ebyo bye baali balimbisa
أَلَمْ يَعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ يَعْلَمُ سِرَّهُمْ وَنَجْوَاهُمْ وَأَنَّ اللَّهَ عَلَّامُ الْغُيُوبِ (78)
Abaffe tebaamanya nti mazima Katonda amanyi e byama byabwe n’emboozi zaabwe ez’olwatu, era nga mazima amanyidde ddala e byekusifu
الَّذِينَ يَلْمِزُونَ الْمُطَّوِّعِينَ مِنَ الْمُؤْمِنِينَ فِي الصَّدَقَاتِ وَالَّذِينَ لَا يَجِدُونَ إِلَّا جُهْدَهُمْ فَيَسْخَرُونَ مِنْهُمْ ۙ سَخِرَ اللَّهُ مِنْهُمْ وَلَهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (79)
Abo abavumirira abakozi b’obulungi mu bakkiriza olw'okuwaayo saddaaka, era nebavumirira n'abo abatasobola kufuna okugyako akatono, nekibatuusa n’okubagyegya, Katonda abaziimuula era bagenda kussibwako e bibonerezo e biruma
اسْتَغْفِرْ لَهُمْ أَوْ لَا تَسْتَغْفِرْ لَهُمْ إِن تَسْتَغْفِرْ لَهُمْ سَبْعِينَ مَرَّةً فَلَن يَغْفِرَ اللَّهُ لَهُمْ ۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمْ كَفَرُوا بِاللَّهِ وَرَسُولِهِ ۗ وَاللَّهُ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الْفَاسِقِينَ (80)
Koobeegayiririre oba tobeegayiririra, nebwonaabeegayiririra e mirundi nsanvu Katonda tagenda kubasonyiwa, ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo, baawakanya Katonda n’omubakawe, era nga bulijjo Katonda talungamya bantu boonoonyi
فَرِحَ الْمُخَلَّفُونَ بِمَقْعَدِهِمْ خِلَافَ رَسُولِ اللَّهِ وَكَرِهُوا أَن يُجَاهِدُوا بِأَمْوَالِهِمْ وَأَنفُسِهِمْ فِي سَبِيلِ اللَّهِ وَقَالُوا لَا تَنفِرُوا فِي الْحَرِّ ۗ قُلْ نَارُ جَهَنَّمَ أَشَدُّ حَرًّا ۚ لَّوْ كَانُوا يَفْقَهُونَ (81)
Abaayawukana ku Nabbi baasanyuka olw'okusigala nga batudde, nga baawukanye ku mubaka w’a Katonda, nebatamwa okulwana ne mmaali yaabwe, n’emyooyo gyabwe mu kkubo lya Katonda, era nebagamba bannaabwe temugezaako nemugenda mu bbugumu, bagambe nti omuliro Jahannama gwe gusinga okwokya singa babadde bategeera
فَلْيَضْحَكُوا قَلِيلًا وَلْيَبْكُوا كَثِيرًا جَزَاءً بِمَا كَانُوا يَكْسِبُونَ (82)
Kale nno basaana baseke kitono (mu bulamu obw'ensi), ate bakaabe nnyo (ku nkomerero), nga y'empeera gye bagenda okusasulwa olw'ebyo bye baali bakola
فَإِن رَّجَعَكَ اللَّهُ إِلَىٰ طَائِفَةٍ مِّنْهُمْ فَاسْتَأْذَنُوكَ لِلْخُرُوجِ فَقُل لَّن تَخْرُجُوا مَعِيَ أَبَدًا وَلَن تُقَاتِلُوا مَعِيَ عَدُوًّا ۖ إِنَّكُمْ رَضِيتُم بِالْقُعُودِ أَوَّلَ مَرَّةٍ فَاقْعُدُوا مَعَ الْخَالِفِينَ (83)
Singa Katonda anaakuzza eri e kibinja mu bo (e Madinah), nebakusaba okufuluma (ku lutabaalo), bagambe nti temugenda kuddayo kufuluma nange, era temugenda kulwanyisa mulabe yenna nga muli nange, mazima mmwe mwasalawo obutagenda omulundi ogwasooka, kale mubeere naabo abaanjawukanako
وَلَا تُصَلِّ عَلَىٰ أَحَدٍ مِّنْهُم مَّاتَ أَبَدًا وَلَا تَقُمْ عَلَىٰ قَبْرِهِ ۖ إِنَّهُمْ كَفَرُوا بِاللَّهِ وَرَسُولِهِ وَمَاتُوا وَهُمْ فَاسِقُونَ (84)
Era tosaaliranga oyo yenna aba afudde mu bo, era toyimiriranga ku kabbuliye, anti mazima bbo baagyemera Katonda n’omubakawe, era ne bafa nga boonoonyi
وَلَا تُعْجِبْكَ أَمْوَالُهُمْ وَأَوْلَادُهُمْ ۚ إِنَّمَا يُرِيدُ اللَّهُ أَن يُعَذِّبَهُم بِهَا فِي الدُّنْيَا وَتَزْهَقَ أَنفُسُهُمْ وَهُمْ كَافِرُونَ (85)
Obungi bwe mmaali yaabwe n’abaana baabwe tebukwewuunyisa. Katonda kyagenderera mu byo kubabonereza kuno ku nsi, era batuuke okufa nga bali ku bukaafiiri
وَإِذَا أُنزِلَتْ سُورَةٌ أَنْ آمِنُوا بِاللَّهِ وَجَاهِدُوا مَعَ رَسُولِهِ اسْتَأْذَنَكَ أُولُو الطَّوْلِ مِنْهُمْ وَقَالُوا ذَرْنَا نَكُن مَّعَ الْقَاعِدِينَ (86)
Essura bwe ssibwa nga ebalagira nti mukkirize Katonda, era mulafuubane mu kuweereza mu kkubolye nga muli n’omubakawe, abagagga mu bo bakusaba obasonyiwe, nebagamba nti, tuleke tubeere n’abatagenze
رَضُوا بِأَن يَكُونُوا مَعَ الْخَوَالِفِ وَطُبِعَ عَلَىٰ قُلُوبِهِمْ فَهُمْ لَا يَفْقَهُونَ (87)
Baasiima okubeera awamu n’abaasigala. Emitima gyabwe negizibikirwa, ne baba nga tebasobola kutegeera
لَٰكِنِ الرَّسُولُ وَالَّذِينَ آمَنُوا مَعَهُ جَاهَدُوا بِأَمْوَالِهِمْ وَأَنفُسِهِمْ ۚ وَأُولَٰئِكَ لَهُمُ الْخَيْرَاتُ ۖ وَأُولَٰئِكَ هُمُ الْمُفْلِحُونَ (88)
Naye mazima omubaka n’abo abakkiriza abali awamu naye balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa e mmaali yaabwe, n’emyoyo gyabwe, era abo balina obulungi, era abo bbo be balituuka ku buwanguzi
أَعَدَّ اللَّهُ لَهُمْ جَنَّاتٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ خَالِدِينَ فِيهَا ۚ ذَٰلِكَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (89)
Katonda yabategekera e jjana ezikulukutiramu e migga, baakubeeramu bugenderevu, ekyo nno kwe kwesiima okusuffu
وَجَاءَ الْمُعَذِّرُونَ مِنَ الْأَعْرَابِ لِيُؤْذَنَ لَهُمْ وَقَعَدَ الَّذِينَ كَذَبُوا اللَّهَ وَرَسُولَهُ ۚ سَيُصِيبُ الَّذِينَ كَفَرُوا مِنْهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (90)
Abawarabu ba nnamalungu ne bajja eri Nabbi nga beetonda, babe nga bakkirizibwa obutagenda ku lutalo, ate abo abaalimbisa Katonda n’omubakawe, bo baatuula butuuzi (awatali kuwa nsonga yonna), abo abaakaafuwala mu bo, bagenda kutuukwako e bibonerezo ebiruma ennyo
لَّيْسَ عَلَى الضُّعَفَاءِ وَلَا عَلَى الْمَرْضَىٰ وَلَا عَلَى الَّذِينَ لَا يَجِدُونَ مَا يُنفِقُونَ حَرَجٌ إِذَا نَصَحُوا لِلَّهِ وَرَسُولِهِ ۚ مَا عَلَى الْمُحْسِنِينَ مِن سَبِيلٍ ۚ وَاللَّهُ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (91)
Abanafu n’abalwadde, n’abo abatasobola kufuna kye bawaayo, tewali kibavunaanwa kasita baba nga bakola ku lwa Katonda n’omubakawe, abakozi b’obulungi (ng’abo) tewali wooyita kubassaako musango, nga bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi
وَلَا عَلَى الَّذِينَ إِذَا مَا أَتَوْكَ لِتَحْمِلَهُمْ قُلْتَ لَا أَجِدُ مَا أَحْمِلُكُمْ عَلَيْهِ تَوَلَّوا وَّأَعْيُنُهُمْ تَفِيضُ مِنَ الدَّمْعِ حَزَنًا أَلَّا يَجِدُوا مَا يُنفِقُونَ (92)
Era tewali musango ne kw'abo abakujjira obafunire engeri gy’obatwalamu ku lutalo, noogamba nti sirina ngeri gye mbatwalamu, nebava wooli ng’amaaso gaabwe gakulukuta amaziga olw'ennaku y’okuba nti tebayinza kufuna kye bawaayo
۞ إِنَّمَا السَّبِيلُ عَلَى الَّذِينَ يَسْتَأْذِنُونَكَ وَهُمْ أَغْنِيَاءُ ۚ رَضُوا بِأَن يَكُونُوا مَعَ الْخَوَالِفِ وَطَبَعَ اللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِهِمْ فَهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (93)
Mazima okuvunaana, kubeera kw'abo abaakusaba obutagenda ate nga bagagga, baasalawo babe naabo abasigadde, Katonda nassa e nvumbo ku mitima gyabwe, tebayinza kumanya (nsonga ntuufu)
يَعْتَذِرُونَ إِلَيْكُمْ إِذَا رَجَعْتُمْ إِلَيْهِمْ ۚ قُل لَّا تَعْتَذِرُوا لَن نُّؤْمِنَ لَكُمْ قَدْ نَبَّأَنَا اللَّهُ مِنْ أَخْبَارِكُمْ ۚ وَسَيَرَى اللَّهُ عَمَلَكُمْ وَرَسُولُهُ ثُمَّ تُرَدُّونَ إِلَىٰ عَالِمِ الْغَيْبِ وَالشَّهَادَةِ فَيُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (94)
(Abo abaabaawukanako ku lutalo lwe Tabuk) bajja kubeetondera (nga balimba), bwe munaaba muzzeeyo gye bali bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti temwetonda tetujja kukkiriza kwetonda kwa mmwe, anti mazima Katonda yatutegeeza ebibakwatako, Katonda ajja kulaba ebikolwa bya mmwe n'omubakawe ajja kubiraba, oluvanyuma muli baakuzzibwa eri omumanyi w'ebyekwese n'ebyolwatu, olwo nno Katonda alyoke abategeeze ebyo bye mwali mukola (ku nsi)
سَيَحْلِفُونَ بِاللَّهِ لَكُمْ إِذَا انقَلَبْتُمْ إِلَيْهِمْ لِتُعْرِضُوا عَنْهُمْ ۖ فَأَعْرِضُوا عَنْهُمْ ۖ إِنَّهُمْ رِجْسٌ ۖ وَمَأْوَاهُمْ جَهَنَّمُ جَزَاءً بِمَا كَانُوا يَكْسِبُونَ (95)
(Abo abaakwawukanako ku lutalo lwe Tabuk) bajja kubalayirira Katonda bwe munaaba muzzeeyo gye bali muleme kubaako bye mubanenya, kale mubaleke anti mazima bo banyoomebwa nga n'obuddo bwa bwe muliro Jahannama nga y'empeera y'ebyo bye baali bakola
يَحْلِفُونَ لَكُمْ لِتَرْضَوْا عَنْهُمْ ۖ فَإِن تَرْضَوْا عَنْهُمْ فَإِنَّ اللَّهَ لَا يَرْضَىٰ عَنِ الْقَوْمِ الْفَاسِقِينَ (96)
Babalayirira balyoke babasiimiikirize naye bwe munaaba mukkiriza okusiimiikiriza kwabwe, mazima ye Katonda takkiriza kusiimiikiriza kwa bantu aboonoonyi
الْأَعْرَابُ أَشَدُّ كُفْرًا وَنِفَاقًا وَأَجْدَرُ أَلَّا يَعْلَمُوا حُدُودَ مَا أَنزَلَ اللَّهُ عَلَىٰ رَسُولِهِ ۗ وَاللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (97)
Ba nnamalungu be basinga obukaafiiri n'obunnanfusi era be basinga obutamanya bikomo bya Katonda bye yassa ku Mubakawe, Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga
وَمِنَ الْأَعْرَابِ مَن يَتَّخِذُ مَا يُنفِقُ مَغْرَمًا وَيَتَرَبَّصُ بِكُمُ الدَّوَائِرَ ۚ عَلَيْهِمْ دَائِرَةُ السَّوْءِ ۗ وَاللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ (98)
Mu ba nnamalungu mulimu abo abalaba kye baba bawaddeyo kyonna mu kkubo lya Katonda nga kufiirwa era nga babaagaliza bizibu naye nga e bizibu bya kutuuka ku bo, (sso si ku mmwe), Katonda awulira nnyo era muyitirivu wa kumanya
وَمِنَ الْأَعْرَابِ مَن يُؤْمِنُ بِاللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ وَيَتَّخِذُ مَا يُنفِقُ قُرُبَاتٍ عِندَ اللَّهِ وَصَلَوَاتِ الرَّسُولِ ۚ أَلَا إِنَّهَا قُرْبَةٌ لَّهُمْ ۚ سَيُدْخِلُهُمُ اللَّهُ فِي رَحْمَتِهِ ۗ إِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (99)
Era mu ba nnamalungu mulimu abakkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero era nga ne bye baba bawaddeyo mu kkubo lya Katonda babibala nga bya kubatuusa ku kusiima kwa Katonda n'omubaka okubasabira (obulungi). Kituufu ebyo bye baba bawaddeyo bibatuusa ku kusiima kwa Katonda, Katonda ajja kubayingiza (e jjana) ekifo ky'okusaasirakwe.Anti mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi
وَالسَّابِقُونَ الْأَوَّلُونَ مِنَ الْمُهَاجِرِينَ وَالْأَنصَارِ وَالَّذِينَ اتَّبَعُوهُم بِإِحْسَانٍ رَّضِيَ اللَّهُ عَنْهُمْ وَرَضُوا عَنْهُ وَأَعَدَّ لَهُمْ جَنَّاتٍ تَجْرِي تَحْتَهَا الْأَنْهَارُ خَالِدِينَ فِيهَا أَبَدًا ۚ ذَٰلِكَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (100)
N'abo abaasookera ddala okukkiriza mu baasenguka okuva e Makkah ne ba Answari (abaataasa Nabbi) n'abo abaabagoberera mu kukola obulungi, Katonda yabasiima nabo ne bamusiima, era Katonda yabateekerateekera e jjana ezikulukutiramu e migga nga baakubeera mu zo olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu
وَمِمَّنْ حَوْلَكُم مِّنَ الْأَعْرَابِ مُنَافِقُونَ ۖ وَمِنْ أَهْلِ الْمَدِينَةِ ۖ مَرَدُوا عَلَى النِّفَاقِ لَا تَعْلَمُهُمْ ۖ نَحْنُ نَعْلَمُهُمْ ۚ سَنُعَذِّبُهُم مَّرَّتَيْنِ ثُمَّ يُرَدُّونَ إِلَىٰ عَذَابٍ عَظِيمٍ (101)
Ne mw'abo ababeetoolodde mu ba nnamalungu mulimu abannanfusi ne mu batuuze be Madinah mulimu abaagugubira ku bunnanfusi, nga ggwe tobamanyi, ffe nno tubamanyi. Tujja kubabonereza e mirundi e biri (kuno ku nsi n'okubaswaza n'ebibonerezo byo mu Kabuli oluvanyuma lw'okufa), oluvanyuma baakuzzibwa eri e bibonerezo e bisuffu
وَآخَرُونَ اعْتَرَفُوا بِذُنُوبِهِمْ خَلَطُوا عَمَلًا صَالِحًا وَآخَرَ سَيِّئًا عَسَى اللَّهُ أَن يَتُوبَ عَلَيْهِمْ ۚ إِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (102)
(Waliwo) N'abalala abakkiriza e bibi byabwe, baatabula e mirimu e mirungi n'emirala e mibi. Ob'olyawo Katonda ajja kubasonyiwa (olw'okwetonda kwa bwe) anti mazima Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira
خُذْ مِنْ أَمْوَالِهِمْ صَدَقَةً تُطَهِّرُهُمْ وَتُزَكِّيهِم بِهَا وَصَلِّ عَلَيْهِمْ ۖ إِنَّ صَلَاتَكَ سَكَنٌ لَّهُمْ ۗ وَاللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ (103)
(Abo abeetonda mu bo) gya mu mmaali yaabwe Saddaaka obatukuze era obalongoose nayo. Era basabire (Katonda abasonyiwe) anti mazima okusaba kwobasabira mirembe gye bali, Katonda awulira nnyo mumanyi nnyo
أَلَمْ يَعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ هُوَ يَقْبَلُ التَّوْبَةَ عَنْ عِبَادِهِ وَيَأْخُذُ الصَّدَقَاتِ وَأَنَّ اللَّهَ هُوَ التَّوَّابُ الرَّحِيمُ (104)
Tebamanyi nti mazima Katonda yye, yakkiriza okwenenya kwa baddube era nti yakkiriza Saddaaka era nti mazima Katonda yye yakkiriza okwenenya era omusaasizi ennyo
وَقُلِ اعْمَلُوا فَسَيَرَى اللَّهُ عَمَلَكُمْ وَرَسُولُهُ وَالْمُؤْمِنُونَ ۖ وَسَتُرَدُّونَ إِلَىٰ عَالِمِ الْغَيْبِ وَالشَّهَادَةِ فَيُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (105)
Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mukole, Katonda ajja kulaba e mirimu gya mmwe n’omubakawe n’abakkiriza era nga muli ba kuzzibwa eri omumanyi w'ebitalabikako n'ebirabikako olwo alyoke abategeeze, ebyo bye mwali mukola
وَآخَرُونَ مُرْجَوْنَ لِأَمْرِ اللَّهِ إِمَّا يُعَذِّبُهُمْ وَإِمَّا يَتُوبُ عَلَيْهِمْ ۗ وَاللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (106)
(N'abalala mw'abo abaakwawukanako ku lutalo lwe Tabuk) baalekerwa kusalawo kwa Katonda, oba agenda kubabonereza oba alikkiriza okwenenya kwa bwe. Mazima Katonda mumanyi nnyo mugobansonga
وَالَّذِينَ اتَّخَذُوا مَسْجِدًا ضِرَارًا وَكُفْرًا وَتَفْرِيقًا بَيْنَ الْمُؤْمِنِينَ وَإِرْصَادًا لِّمَنْ حَارَبَ اللَّهَ وَرَسُولَهُ مِن قَبْلُ ۚ وَلَيَحْلِفُنَّ إِنْ أَرَدْنَا إِلَّا الْحُسْنَىٰ ۖ وَاللَّهُ يَشْهَدُ إِنَّهُمْ لَكَاذِبُونَ (107)
N'abo (Abannanfusi) abaateekawo omuzikiti ogw'obulabe n’olwobukaafiiri, era n’olwokwawulayawula mu bakkiriza n’olwokutegekera oyo eyalwanyisa Katonda n'omubakawe oluberyeberye, era bajja kulayirira ddala nti tetulina kigendererwa okugyako obulungi, so nga Katonda amanyi nti mazima bo balimbira ddala
لَا تَقُمْ فِيهِ أَبَدًا ۚ لَّمَسْجِدٌ أُسِّسَ عَلَى التَّقْوَىٰ مِنْ أَوَّلِ يَوْمٍ أَحَقُّ أَن تَقُومَ فِيهِ ۚ فِيهِ رِجَالٌ يُحِبُّونَ أَن يَتَطَهَّرُوا ۚ وَاللَّهُ يُحِبُّ الْمُطَّهِّرِينَ (108)
Bulijjo toyimiriranga (Ggwe Nabbi) okusaalira mu gwo, mazima omuzikiti ogwazimbibwa ku musingi ogw'okutya Katonda kuntandikwa gw'oteekwa okusaalirangamu, mu muzikiti ogwo mulimu abasajja abaagala okwetukuza, anti bulijjo Katonda ayagala abeetukuza
أَفَمَنْ أَسَّسَ بُنْيَانَهُ عَلَىٰ تَقْوَىٰ مِنَ اللَّهِ وَرِضْوَانٍ خَيْرٌ أَم مَّنْ أَسَّسَ بُنْيَانَهُ عَلَىٰ شَفَا جُرُفٍ هَارٍ فَانْهَارَ بِهِ فِي نَارِ جَهَنَّمَ ۗ وَاللَّهُ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الظَّالِمِينَ (109)
Abaffe oyo eyatandika omusingi gw'ekizimbekye ku lw'ekigendererwa ky'okutya Katonda n'okusiimakwe yaasinga obulungi oba oyo eyatandikawo omusingi gw'ekizimbekye ku nsonda y'ekifunvu nekimusuula mu muliro Jahannama, Katonda talungamya bantu beeyisa bubi
لَا يَزَالُ بُنْيَانُهُمُ الَّذِي بَنَوْا رِيبَةً فِي قُلُوبِهِمْ إِلَّا أَن تَقَطَّعَ قُلُوبُهُمْ ۗ وَاللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (110)
Ekizimbe Abannanfusi kye baazimba kijja kusigala nga kya kubuusabuusa mu mitima gya bwe okutuusa okufa kwa bwe, Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga
۞ إِنَّ اللَّهَ اشْتَرَىٰ مِنَ الْمُؤْمِنِينَ أَنفُسَهُمْ وَأَمْوَالَهُم بِأَنَّ لَهُمُ الْجَنَّةَ ۚ يُقَاتِلُونَ فِي سَبِيلِ اللَّهِ فَيَقْتُلُونَ وَيُقْتَلُونَ ۖ وَعْدًا عَلَيْهِ حَقًّا فِي التَّوْرَاةِ وَالْإِنجِيلِ وَالْقُرْآنِ ۚ وَمَنْ أَوْفَىٰ بِعَهْدِهِ مِنَ اللَّهِ ۚ فَاسْتَبْشِرُوا بِبَيْعِكُمُ الَّذِي بَايَعْتُم بِهِ ۚ وَذَٰلِكَ هُوَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (111)
Mazima Katonda yagula ku bakkiriza obulamu bwa bwe ne mmaali ya bwe nga ddala agenda kubasasulamu jjana olw'okuba nti balwana mu kkubo lya Katonda ne batta era nga nabo battibwa eyo nga ndagaano gye yeekakasaako mu Taurat mu Injil ne mu Kur’ani ate ani ayinza okutuukiriza e ndagaano ye okusinga Katonda, kale nno musanyuke n'obuguzi bwe mugulaana era okwo kwe kwesiima okusukkulumu
التَّائِبُونَ الْعَابِدُونَ الْحَامِدُونَ السَّائِحُونَ الرَّاكِعُونَ السَّاجِدُونَ الْآمِرُونَ بِالْمَعْرُوفِ وَالنَّاهُونَ عَنِ الْمُنكَرِ وَالْحَافِظُونَ لِحُدُودِ اللَّهِ ۗ وَبَشِّرِ الْمُؤْمِنِينَ (112)
(Abagwa mu kiti ekyo) beebo abeenenyeza Katonda abasinza Katonda abatendereza Katonda, abatambula mu nsi ku lw'okuweereza Katonda abakutama ku maviivi ne bavunnama ku ttaka (nga basaala) abalagira e mpisa e nnungi era abaziyiza amayisa amabi, era abeekuumira ku mateeka ga Katonda, era sanyusa abakkiriza
مَا كَانَ لِلنَّبِيِّ وَالَّذِينَ آمَنُوا أَن يَسْتَغْفِرُوا لِلْمُشْرِكِينَ وَلَوْ كَانُوا أُولِي قُرْبَىٰ مِن بَعْدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُمْ أَنَّهُمْ أَصْحَابُ الْجَحِيمِ (113)
Nabbi tekimugwanira wadde abakkiriza okwegayiririra abagatta ku Katonda e kintu e kirala, ne bwe baba b'aluganda olw'o kumpi kasita kimala okubeeyolekerera ddala nti mazima bo ba mu muliro
وَمَا كَانَ اسْتِغْفَارُ إِبْرَاهِيمَ لِأَبِيهِ إِلَّا عَن مَّوْعِدَةٍ وَعَدَهَا إِيَّاهُ فَلَمَّا تَبَيَّنَ لَهُ أَنَّهُ عَدُوٌّ لِّلَّهِ تَبَرَّأَ مِنْهُ ۚ إِنَّ إِبْرَاهِيمَ لَأَوَّاهٌ حَلِيمٌ (114)
Okwegayirira kwa Ibrahim kulwa kitaawe tekyaliwo okugyako olw'endagaano gye yamuwa, naye bwe yamala okukitegeera ddala nti mazima yye (kitaawe) mulabe wa Katonda yamwegaana, (Ibrahim yalina okugezaako nga bwasobola okwegayirira Katonda asaasire kitaawe), anti Ibrahim bulijjo yali muyitirivu wa kusaba na kuloopa nsongaze zonna ewa Katonda era nga wa kisa nnyo
وَمَا كَانَ اللَّهُ لِيُضِلَّ قَوْمًا بَعْدَ إِذْ هَدَاهُمْ حَتَّىٰ يُبَيِّنَ لَهُم مَّا يَتَّقُونَ ۚ إِنَّ اللَّهَ بِكُلِّ شَيْءٍ عَلِيمٌ (115)
Katonda teyali waakubuza bantu oluvanyuma lw'okubalungamya okugyako nga amaze okubannyonnyola ebyo bye bateekwa okwewala. Anti mazima Katonda mumanyi wa buli kintu
إِنَّ اللَّهَ لَهُ مُلْكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۖ يُحْيِي وَيُمِيتُ ۚ وَمَا لَكُم مِّن دُونِ اللَّهِ مِن وَلِيٍّ وَلَا نَصِيرٍ (116)
Mazima Katonda bubwe obufuzi bwe ggulu (omusanvu) ne nsi, awa obulamu era natt, ng'oggyeko Katonda temulina mukuumi wadde omutaasa
لَّقَد تَّابَ اللَّهُ عَلَى النَّبِيِّ وَالْمُهَاجِرِينَ وَالْأَنصَارِ الَّذِينَ اتَّبَعُوهُ فِي سَاعَةِ الْعُسْرَةِ مِن بَعْدِ مَا كَادَ يَزِيغُ قُلُوبُ فَرِيقٍ مِّنْهُمْ ثُمَّ تَابَ عَلَيْهِمْ ۚ إِنَّهُ بِهِمْ رَءُوفٌ رَّحِيمٌ (117)
Mazima Katonda yakkiriza okwenenya kwa Nabbi n'okwa ba Muhajiriina (abaasenguka) n'okwa ba Answar (abaabudamya) abo abaamugoberera mu kiseera ekizibu oluvanyuma lw'okusemberera emitima gya'bamu ku bo okukyuka, olwo nno n'abasonyiwa anti mazima yye bulijjo wa kisa musaasizi era yakkiriza okwenenya
وَعَلَى الثَّلَاثَةِ الَّذِينَ خُلِّفُوا حَتَّىٰ إِذَا ضَاقَتْ عَلَيْهِمُ الْأَرْضُ بِمَا رَحُبَتْ وَضَاقَتْ عَلَيْهِمْ أَنفُسُهُمْ وَظَنُّوا أَن لَّا مَلْجَأَ مِنَ اللَّهِ إِلَّا إِلَيْهِ ثُمَّ تَابَ عَلَيْهِمْ لِيَتُوبُوا ۚ إِنَّ اللَّهَ هُوَ التَّوَّابُ الرَّحِيمُ (118)
Era yakkiriza okwenenya kw'abasatu abo abataagenda ku lutabaalo okutuusa ensi lwe yabafundirira awamu n'obugazi bwayo, nabo bennyini nebafunda olw'okweraliikirira, nebatuuka okulowooza nti tewali kuwona Katonda okugyako nga omuntu azze gyali, oluvanyuma Katonda yabaddiramu basobole okwenenya. Anti mazima Katonda yye akkiriza okwenenya musaasizi
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا اتَّقُوا اللَّهَ وَكُونُوا مَعَ الصَّادِقِينَ (119)
Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mubeere wamu n'a b'amazima
مَا كَانَ لِأَهْلِ الْمَدِينَةِ وَمَنْ حَوْلَهُم مِّنَ الْأَعْرَابِ أَن يَتَخَلَّفُوا عَن رَّسُولِ اللَّهِ وَلَا يَرْغَبُوا بِأَنفُسِهِمْ عَن نَّفْسِهِ ۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمْ لَا يُصِيبُهُمْ ظَمَأٌ وَلَا نَصَبٌ وَلَا مَخْمَصَةٌ فِي سَبِيلِ اللَّهِ وَلَا يَطَئُونَ مَوْطِئًا يَغِيظُ الْكُفَّارَ وَلَا يَنَالُونَ مِنْ عَدُوٍّ نَّيْلًا إِلَّا كُتِبَ لَهُم بِهِ عَمَلٌ صَالِحٌ ۚ إِنَّ اللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجْرَ الْمُحْسِنِينَ (120)
Kyali tekisaanira bantu be Madinah neba nnamalungu ababeetoolodde okwawukana ku mubaka wa Katonda (ku lutabaalo) n'okuba nti beeyagala okusinga bwe bamwagala, ekyo nno lwa kuba nti mazima bo tewali nyonta wonna lwe baluma, wadde okukoowa, wadde e njala, nga bali mu kulafuubana okuweereza mu kkubo lya Katonda era tewali kigere kyonna, kye batambula ekinyiiza abakaafiiri, era tewali buzibu bwonna bwe batuusa ku mulabe, okugyako nga kibawandiikibwako nga omulimu omulungi. Mazima ddala bulijjo Katonda tayonoona mpeera ya bantu balongoosa
وَلَا يُنفِقُونَ نَفَقَةً صَغِيرَةً وَلَا كَبِيرَةً وَلَا يَقْطَعُونَ وَادِيًا إِلَّا كُتِبَ لَهُمْ لِيَجْزِيَهُمُ اللَّهُ أَحْسَنَ مَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (121)
Era tebawaayo kiweebwayo kyonna kitono oba kinene era tebamalaako lusenyi lwonna okugyako nga kibawandikibwakonga kirungi. Olwo nno Katonda alyoke abasasule e birungi e bisukkuluma kw'ebyo bye baakola
۞ وَمَا كَانَ الْمُؤْمِنُونَ لِيَنفِرُوا كَافَّةً ۚ فَلَوْلَا نَفَرَ مِن كُلِّ فِرْقَةٍ مِّنْهُمْ طَائِفَةٌ لِّيَتَفَقَّهُوا فِي الدِّينِ وَلِيُنذِرُوا قَوْمَهُمْ إِذَا رَجَعُوا إِلَيْهِمْ لَعَلَّهُمْ يَحْذَرُونَ (122)
Abakkiriza tebateekwa bonna kufuluma kugenda (kulafuubana mu kkubo lya Katonda) naye singa mu buli bantu muvaamu e kibinja ne bagenda bakuguka mu kumanya e ddiini olwo nno bagende babuulirire abantu baabwe nga bakomyewo gye bali ekyo nno kibasobozese okwekeka (ebitakkirizibwa)
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا قَاتِلُوا الَّذِينَ يَلُونَكُم مِّنَ الْكُفَّارِ وَلْيَجِدُوا فِيكُمْ غِلْظَةً ۚ وَاعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ مَعَ الْمُتَّقِينَ (123)
Abange mmwe abakkiriza mulwanyise abakaafiiri abo ababaliraanye bateekwa bawulire obuzito obuva mu mmwe, era mukimanye nti mazima ddala Katonda bulijjo abeera wamu n'abamutya
وَإِذَا مَا أُنزِلَتْ سُورَةٌ فَمِنْهُم مَّن يَقُولُ أَيُّكُمْ زَادَتْهُ هَٰذِهِ إِيمَانًا ۚ فَأَمَّا الَّذِينَ آمَنُوا فَزَادَتْهُمْ إِيمَانًا وَهُمْ يَسْتَبْشِرُونَ (124)
Bulijjo essuula bweba nga essiddwa, mu bo mulimu abagamba nti ani mu mmwe (e ssuula) eno gweyongedde obukkiriza, wabula bo abakkiriza eba ebongedde obukkiriza era baba bali mu ssanyu
وَأَمَّا الَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٌ فَزَادَتْهُمْ رِجْسًا إِلَىٰ رِجْسِهِمْ وَمَاتُوا وَهُمْ كَافِرُونَ (125)
Naye abo abalina obulwadde mu mitima gya bwe ebongera bubi ku bubi bwa bwe nebatuuka okufa nga nabo bakaafiiri
أَوَلَا يَرَوْنَ أَنَّهُمْ يُفْتَنُونَ فِي كُلِّ عَامٍ مَّرَّةً أَوْ مَرَّتَيْنِ ثُمَّ لَا يَتُوبُونَ وَلَا هُمْ يَذَّكَّرُونَ (126)
Abaffe tebakiraba nti mu buli mwaka bagezesebwa omulundi gumu oba ebiri, oluvanyuma ne bateenenya wadde okuba abeebuulirira
وَإِذَا مَا أُنزِلَتْ سُورَةٌ نَّظَرَ بَعْضُهُمْ إِلَىٰ بَعْضٍ هَلْ يَرَاكُم مِّنْ أَحَدٍ ثُمَّ انصَرَفُوا ۚ صَرَفَ اللَّهُ قُلُوبَهُم بِأَنَّهُمْ قَوْمٌ لَّا يَفْقَهُونَ (127)
Era e ssuula bweba essiddwa abamu batunula ku bannaabwe (nga bagamba nti) abaffe waliwo omuntu yenna abalaba olwo nno ne beemulula, Katonda yakyusa e myoyo gya bwe kubanga bo bantu abatategeera
لَقَدْ جَاءَكُمْ رَسُولٌ مِّنْ أَنفُسِكُمْ عَزِيزٌ عَلَيْهِ مَا عَنِتُّمْ حَرِيصٌ عَلَيْكُم بِالْمُؤْمِنِينَ رَءُوفٌ رَّحِيمٌ (128)
Omubaka yabajjira nga ava mu mmwe mwennyini nga kimuzitoowerera nnyo ekyo ekibakaluubiriza abalumirwa nnyo, era eri abakkiriza bonna wa kisa musaasizi
فَإِن تَوَلَّوْا فَقُلْ حَسْبِيَ اللَّهُ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۖ عَلَيْهِ تَوَكَّلْتُ ۖ وَهُوَ رَبُّ الْعَرْشِ الْعَظِيمِ (129)
Wabula kebava ku ebyo, gwe (Nabbi Muhammad) gamba nti Katonda ammala, tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, yye gwenneesiga era yye ye mufuzi wa Arish ey'ekitiibwa
❮ السورة السابقة السورة التـالية ❯

قراءة المزيد من سور القرآن الكريم :

1- الفاتحة2- البقرة3- آل عمران
4- النساء5- المائدة6- الأنعام
7- الأعراف8- الأنفال9- التوبة
10- يونس11- هود12- يوسف
13- الرعد14- إبراهيم15- الحجر
16- النحل17- الإسراء18- الكهف
19- مريم20- طه21- الأنبياء
22- الحج23- المؤمنون24- النور
25- الفرقان26- الشعراء27- النمل
28- القصص29- العنكبوت30- الروم
31- لقمان32- السجدة33- الأحزاب
34- سبأ35- فاطر36- يس
37- الصافات38- ص39- الزمر
40- غافر41- فصلت42- الشورى
43- الزخرف44- الدخان45- الجاثية
46- الأحقاف47- محمد48- الفتح
49- الحجرات50- ق51- الذاريات
52- الطور53- النجم54- القمر
55- الرحمن56- الواقعة57- الحديد
58- المجادلة59- الحشر60- الممتحنة
61- الصف62- الجمعة63- المنافقون
64- التغابن65- الطلاق66- التحريم
67- الملك68- القلم69- الحاقة
70- المعارج71- نوح72- الجن
73- المزمل74- المدثر75- القيامة
76- الإنسان77- المرسلات78- النبأ
79- النازعات80- عبس81- التكوير
82- الإنفطار83- المطففين84- الانشقاق
85- البروج86- الطارق87- الأعلى
88- الغاشية89- الفجر90- البلد
91- الشمس92- الليل93- الضحى
94- الشرح95- التين96- العلق
97- القدر98- البينة99- الزلزلة
100- العاديات101- القارعة102- التكاثر
103- العصر104- الهمزة105- الفيل
106- قريش107- الماعون108- الكوثر
109- الكافرون110- النصر111- المسد
112- الإخلاص113- الفلق114- الناس