يَا أَيُّهَا الْمُدَّثِّرُ (1) Owange ggwe eyeebikiridde (olwokutya Malayika Jiburilu lwe yakuleetera obubaka okuva eri Katonda) |
قُمْ فَأَنذِرْ (2) Golokoka otiise abantu ebibonerezo bya Katonda |
وَرَبَّكَ فَكَبِّرْ (3) Ne Mukama Katondawo yekka gwoba ogulumiza |
وَثِيَابَكَ فَطَهِّرْ (4) N'engoyezo zitukuze |
وَالرُّجْزَ فَاهْجُرْ (5) Amasanamu geewalire ddala |
وَلَا تَمْنُن تَسْتَكْثِرُ (6) Tokoleranga abantu obulungi ng'ogenderera kufunamu bulungi kuno ku nsi |
وَلِرَبِّكَ فَاصْبِرْ (7) Beeranga mugumikiriza osobole okufuna okusiima kwa Mukama Katondawo |
فَإِذَا نُقِرَ فِي النَّاقُورِ (8) Engombe bwerifuuyibwa (kulwokuzuukira) |
فَذَٰلِكَ يَوْمَئِذٍ يَوْمٌ عَسِيرٌ (9) Olunaku olwo lugenda kuba lunaku luzito |
عَلَى الْكَافِرِينَ غَيْرُ يَسِيرٍ (10) Terugenda kuba lwangu eri abakafiiri |
ذَرْنِي وَمَنْ خَلَقْتُ وَحِيدًا (11) (Owange ggwe Nabbi Muhammad) ndeka nooyo gwe nnetondera |
وَجَعَلْتُ لَهُ مَالًا مَّمْدُودًا (12) Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu |
وَبَنِينَ شُهُودًا (13) Nemuwa nabaana abatutumufu |
وَمَهَّدتُّ لَهُ تَمْهِيدًا (14) Ne mugaziyiriza olugaziya (e byenfuna obukulembeze n'ekitiibwa) |
ثُمَّ يَطْمَعُ أَنْ أَزِيدَ (15) Oluvanyuma alulunkanira okumwongera okusingako awo |
كَلَّا ۖ إِنَّهُ كَانَ لِآيَاتِنَا عَنِيدًا (16) Nedda sijja kumwongera kuba yawakanya ebigambo byaffe (Kur'ani) |
سَأُرْهِقُهُ صَعُودًا (17) Nja kumussaako e bibonerezo e bizito |
إِنَّهُ فَكَّرَ وَقَدَّرَ (18) Anti mazima yye (Al Walid bin Mugiira) yalowooza era naasalawo okuvvoola Kur'ani |
فَقُتِلَ كَيْفَ قَدَّرَ (19) Nakolimirwa okusinziira ku ngeri gyeyasalawo |
ثُمَّ قُتِلَ كَيْفَ قَدَّرَ (20) Era ddala yakolimirwa ku ngeri gyeyasalawo |
ثُمَّ نَظَرَ (21) Oluvanyuma yakirowozaako |
ثُمَّ عَبَسَ وَبَسَرَ (22) Olwo nno ne yeekaba najja emitaafu |
ثُمَّ أَدْبَرَ وَاسْتَكْبَرَ (23) Ne kyaddirira ebituufu yabivaako neyekuluntaza |
فَقَالَ إِنْ هَٰذَا إِلَّا سِحْرٌ يُؤْثَرُ (24) Olwo nno n'alangirira nti e bigambo bya Muhammad temuli wabula ddogo erijjibwa ku balogo abasooka |
إِنْ هَٰذَا إِلَّا قَوْلُ الْبَشَرِ (25) Era byayogera tebisukka ku kuba bigambo bya muntu |
سَأُصْلِيهِ سَقَرَ (26) (Katonda naagamba nti:) nja kumuyingiza omuliro Sakara |
وَمَا أَدْرَاكَ مَا سَقَرُ (27) Naye omanyi Sakara kyeki |
لَا تُبْقِي وَلَا تَذَرُ (28) Gwo muliro ogutagenda kulekawo kintu wadde okukitaliza |
لَوَّاحَةٌ لِّلْبَشَرِ (29) Gwokera ddala negusiriiza eddiba lyomuntu |
عَلَيْهَا تِسْعَةَ عَشَرَ (30) Gukuumibwa ba Malayika kkumi na mwenda |
وَمَا جَعَلْنَا أَصْحَابَ النَّارِ إِلَّا مَلَائِكَةً ۙ وَمَا جَعَلْنَا عِدَّتَهُمْ إِلَّا فِتْنَةً لِّلَّذِينَ كَفَرُوا لِيَسْتَيْقِنَ الَّذِينَ أُوتُوا الْكِتَابَ وَيَزْدَادَ الَّذِينَ آمَنُوا إِيمَانًا ۙ وَلَا يَرْتَابَ الَّذِينَ أُوتُوا الْكِتَابَ وَالْمُؤْمِنُونَ ۙ وَلِيَقُولَ الَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٌ وَالْكَافِرُونَ مَاذَا أَرَادَ اللَّهُ بِهَٰذَا مَثَلًا ۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ اللَّهُ مَن يَشَاءُ وَيَهْدِي مَن يَشَاءُ ۚ وَمَا يَعْلَمُ جُنُودَ رَبِّكَ إِلَّا هُوَ ۚ وَمَا هِيَ إِلَّا ذِكْرَىٰ لِلْبَشَرِ (31) Ate omulimu gwokukuuma omuliro tetwaguwa okugyako ba Malayika, era omuwendo gwabwe tetwaguteekawo okugyako nga kikemo eri abatakkiriza Katonda, so nga abo abaweebwa ekitabo ekyo kibongera kukakasa (ebyo bye baalina), ate bo abakkiriza (abagoberezi ba Nabbi Muhammad) kyongera kunyweza bukkiriza bwabwe, era abaweebwa ekitabo n'abakkiriza babe nga tebasigalamu kakunkuna, wabula nga (abanafunsi) abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abatakkiriza bagamba nti Katonda kiki kyagenderera mu kifananyi kino, bwatyo nno Katonda abuza nalungamya oyo gwaba ayagadde, ate tewali amanyi ggye lya Mukama Katondawo okugyako yye, ebyo byonna ebyogeddwa tewali kibigendererwamu okugyako okubuulirira omuntu |
كَلَّا وَالْقَمَرِ (32) Nedda (tekiri ng'abantu abamu bwe balowooza), mazima ndayidde omwezi |
وَاللَّيْلِ إِذْ أَدْبَرَ (33) Ne ndayira n'ekiro mu kiseera we kiggwerako |
وَالصُّبْحِ إِذَا أَسْفَرَ (34) Ne ndayira n'amakya ngabusasaana |
إِنَّهَا لَإِحْدَى الْكُبَرِ (35) Mazima ggwo (omuliro Sakara) kye kimu ku binene |
نَذِيرًا لِّلْبَشَرِ (36) Ebyandibadde bibuulirira omuntu |
لِمَن شَاءَ مِنكُمْ أَن يَتَقَدَّمَ أَوْ يَتَأَخَّرَ (37) Eri oyo aba ayagadde mu mmwe okudda eri Katondawe oba okumwesamba |
كُلُّ نَفْسٍ بِمَا كَسَبَتْ رَهِينَةٌ (38) Buli muntu agenda kubeera musingo gwa mirimugye |
إِلَّا أَصْحَابَ الْيَمِينِ (39) Okugyako abo abalibeera ku mukono ogwaddyo |
فِي جَنَّاتٍ يَتَسَاءَلُونَ (40) Bagenda kubeera mu jjana nga babuuza ebifa |
عَنِ الْمُجْرِمِينَ (41) Ku bonoonyi |
مَا سَلَكَكُمْ فِي سَقَرَ (42) Nga babagamba nti ki ekibayingizza omuliro |
قَالُوا لَمْ نَكُ مِنَ الْمُصَلِّينَ (43) Baligamba nti tetubangako mu basaaze |
وَلَمْ نَكُ نُطْعِمُ الْمِسْكِينَ (44) Era tetwaliisanga banaku |
وَكُنَّا نَخُوضُ مَعَ الْخَائِضِينَ (45) Twabeeranga nabakubi bambekuulo |
وَكُنَّا نُكَذِّبُ بِيَوْمِ الدِّينِ (46) Era twali tulimbisa olunaku lw'enkomerero |
حَتَّىٰ أَتَانَا الْيَقِينُ (47) Okutuusa okufa lw'ekwatutuukako |
فَمَا تَنفَعُهُمْ شَفَاعَةُ الشَّافِعِينَ (48) Kale tebagenda kuganyulwa mu kuwolereza kwa bawolereza |
فَمَا لَهُمْ عَنِ التَّذْكِرَةِ مُعْرِضِينَ (49) Kakano kiki ekibaddusa okuva ku kubuulirira kwa (Kur'ani kuno) |
كَأَنَّهُمْ حُمُرٌ مُّسْتَنفِرَةٌ (50) Nga balinga entulege ezigobeddwa |
فَرَّتْ مِن قَسْوَرَةٍ (51) Ezidduka e mpologoma |
بَلْ يُرِيدُ كُلُّ امْرِئٍ مِّنْهُمْ أَن يُؤْتَىٰ صُحُفًا مُّنَشَّرَةً (52) Wabula buli omu mubo ayagala aweebwe ebiwandiiko ebibikuddwa |
كَلَّا ۖ بَل لَّا يَخَافُونَ الْآخِرَةَ (53) Nedda ekituufu kiri nti bbo tebakkiriza nkomerero |
كَلَّا إِنَّهُ تَذْكِرَةٌ (54) Mazima ddala yo (Kur'ani) kyakubuulirira |
فَمَن شَاءَ ذَكَرَهُ (55) Oyo aba ayagadde yeebulirira nayo |
وَمَا يَذْكُرُونَ إِلَّا أَن يَشَاءَ اللَّهُ ۚ هُوَ أَهْلُ التَّقْوَىٰ وَأَهْلُ الْمَغْفِرَةِ (56) Wabula tebayinza kwebuulirira okugyako nga Katonda ayagadde, yye ye nanyini kutiibwa era ye nanyini kusonyiwa |