سَأَلَ سَائِلٌ بِعَذَابٍ وَاقِعٍ (1) Mu ngeri y'okunyomerera" omu ku bakafiiri" yasaba oba ebibonerezo bijja bijje, so nga ate ddala byakujja |
لِّلْكَافِرِينَ لَيْسَ لَهُ دَافِعٌ (2) Bituuke ku bakafiiri tewali agenda kubigaana kubatuukako |
مِّنَ اللَّهِ ذِي الْمَعَارِجِ (3) Nga biva eri Katonda nnyini madaala agalinya muggulu |
تَعْرُجُ الْمَلَائِكَةُ وَالرُّوحُ إِلَيْهِ فِي يَوْمٍ كَانَ مِقْدَارُهُ خَمْسِينَ أَلْفَ سَنَةٍ (4) Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana e myaka e mitwalo etaano (egy'okunsi) |
فَاصْبِرْ صَبْرًا جَمِيلًا (5) Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulungi |
إِنَّهُمْ يَرَوْنَهُ بَعِيدًا (6) Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala |
وَنَرَاهُ قَرِيبًا (7) Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi |
يَوْمَ تَكُونُ السَّمَاءُ كَالْمُهْلِ (8) Ku lunaku eggulu lwelirikulukuta nga omuzigo omusanuuse |
وَتَكُونُ الْجِبَالُ كَالْعِهْنِ (9) Ate ensozi neziba nga pamba asunsuddwa |
وَلَا يَسْأَلُ حَمِيمٌ حَمِيمًا (10) Era tewali wamukwano agenda kubuuza bikwata ku ffa nfe we |
يُبَصَّرُونَهُمْ ۚ يَوَدُّ الْمُجْرِمُ لَوْ يَفْتَدِي مِنْ عَذَابِ يَوْمِئِذٍ بِبَنِيهِ (11) Bagenda kuba nga beeraba (naye nga tebayinza kuyambagana). Omwonoonyi olwokwagala okuwona ebibonerezo byolunaku olwo, aliyagala okwenunula nga awaayo abaanabe |
وَصَاحِبَتِهِ وَأَخِيهِ (12) Mukyalawe ne mugandawe |
وَفَصِيلَتِهِ الَّتِي تُؤْوِيهِ (13) N'ekika kye ekimukuuma |
وَمَن فِي الْأَرْضِ جَمِيعًا ثُمَّ يُنجِيهِ (14) Nabantu bonna abali munsi, nga ekyo akikola awone ebibonerezo bya Katonda |
كَلَّا ۖ إِنَّهَا لَظَىٰ (15) Tekigenda kuba nga bwayagala, mazima ayolekedde muliro ogubumbujja |
نَزَّاعَةً لِّلشَّوَىٰ (16) Ogusiriiriza ddala eddiba |
تَدْعُو مَنْ أَدْبَرَ وَتَوَلَّىٰ (17) Gugenda kukowoola buli eyakubayo amabega nakyuka okuva ku mazima |
وَجَمَعَ فَأَوْعَىٰ (18) Era nga yakungaanyanga emmali nagitereka "natagyamu mugabo gugitukuza |
۞ إِنَّ الْإِنسَانَ خُلِقَ هَلُوعًا (19) Mazima omuntu yatondebwa nga wamulugube |
إِذَا مَسَّهُ الشَّرُّ جَزُوعًا (20) Nga bwatuukibwako akabi ayitirira okutya |
وَإِذَا مَسَّهُ الْخَيْرُ مَنُوعًا (21) Ate bwaba afunye akalungi ayitirira obukodo |
إِلَّا الْمُصَلِّينَ (22) Okugyako abo abayimirizaawo e sswala |
الَّذِينَ هُمْ عَلَىٰ صَلَاتِهِمْ دَائِمُونَ (23) Abo nga okusaala kwabwe kwalubeerera |
وَالَّذِينَ فِي أَمْوَالِهِمْ حَقٌّ مَّعْلُومٌ (24) Era abo mu by'obugagga byabwe mulimu omugabo ogumanyiddwa |
لِّلسَّائِلِ وَالْمَحْرُومِ (25) Guweebwa abasabi n'abafuna mpola |
وَالَّذِينَ يُصَدِّقُونَ بِيَوْمِ الدِّينِ (26) Era bebo abakakasa o kubeerawo kw'olunaku lw'enkomerero |
وَالَّذِينَ هُم مِّنْ عَذَابِ رَبِّهِم مُّشْفِقُونَ (27) Era abo abatya ebibonerezo bya Mukama Katonda waabwe |
إِنَّ عَذَابَ رَبِّهِمْ غَيْرُ مَأْمُونٍ (28) Kubanga mazima ebibonerezo byamukama Katonda sibyakuwonwa |
وَالَّذِينَ هُمْ لِفُرُوجِهِمْ حَافِظُونَ (29) Era abo abakuuma obwerere bwabwe |
إِلَّا عَلَىٰ أَزْوَاجِهِمْ أَوْ مَا مَلَكَتْ أَيْمَانُهُمْ فَإِنَّهُمْ غَيْرُ مَلُومِينَ (30) Okugyako ku bakyala babwe oba abazaana abali mu mikono gyabwe, anti bo tebanenyezebwa kwabo |
فَمَنِ ابْتَغَىٰ وَرَاءَ ذَٰلِكَ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الْعَادُونَ (31) Omuntu asukka ku abo, abo nno be babuusi bensalo |
وَالَّذِينَ هُمْ لِأَمَانَاتِهِمْ وَعَهْدِهِمْ رَاعُونَ (32) Era abantu abalungi abogeddwako waggulu, bebatuukiriza obwesigwa bwabwe nendagaano zaabwe |
وَالَّذِينَ هُم بِشَهَادَاتِهِمْ قَائِمُونَ (33) Era abo abeesimbu mu bujulizi bwabwe |
وَالَّذِينَ هُمْ عَلَىٰ صَلَاتِهِمْ يُحَافِظُونَ (34) Era abo abasaala e sswala zaabwe mu bujjuvu |
أُولَٰئِكَ فِي جَنَّاتٍ مُّكْرَمُونَ (35) Abo nno balibeera mu jjana nga baweebwa ebitiibwa |
فَمَالِ الَّذِينَ كَفَرُوا قِبَلَكَ مُهْطِعِينَ (36) Lwaki abakafiiri bajja gyoli nga banguwa "so nga ate bakulimbisa |
عَنِ الْيَمِينِ وَعَنِ الشِّمَالِ عِزِينَ (37) Nga bali ku mukono gwo ogwa ddyo ne ku mukono ogwa kkono mu bibinja |
أَيَطْمَعُ كُلُّ امْرِئٍ مِّنْهُمْ أَن يُدْخَلَ جَنَّةَ نَعِيمٍ (38) Buli omu kubo asuubira okuyingira e jjana eyebyengera |
كَلَّا ۖ إِنَّا خَلَقْنَاهُم مِّمَّا يَعْلَمُونَ (39) Nedda sibwekiri, mazima ffe twabakola nga tubajja mwebyo byebamanyi |
فَلَا أُقْسِمُ بِرَبِّ الْمَشَارِقِ وَالْمَغَارِبِ إِنَّا لَقَادِرُونَ (40) Ndayira Katonda nannyini buvanjuba nobugwanjuba, mazima ffe tusobolera ddala |
عَلَىٰ أَن نُّبَدِّلَ خَيْرًا مِّنْهُمْ وَمَا نَحْنُ بِمَسْبُوقِينَ (41) Okubawanyisaamu abalungi ababasinga era tetuli ffe baakulemesebwa |
فَذَرْهُمْ يَخُوضُوا وَيَلْعَبُوا حَتَّىٰ يُلَاقُوا يَوْمَهُمُ الَّذِي يُوعَدُونَ (42) Ggwe baveeko babeere mu bukafiiri bwabwe nga bwebazannya okutuusa lwebalisisinkana olunaku lwabwe, olwo lwebalaganyisibwa |
يَوْمَ يَخْرُجُونَ مِنَ الْأَجْدَاثِ سِرَاعًا كَأَنَّهُمْ إِلَىٰ نُصُبٍ يُوفِضُونَ (43) Olunaku lwebalifuluma mu ntaana zaabwe nga baduma nga balinga abagenda eri ebendera ebatereddwawo |
خَاشِعَةً أَبْصَارُهُمْ تَرْهَقُهُمْ ذِلَّةٌ ۚ ذَٰلِكَ الْيَوْمُ الَّذِي كَانُوا يُوعَدُونَ (44) Amaaso gabwe makakkamu, obuswavu nga bubabuutikidde, olwo lwe lunaku lwe balaganyisibwa |