×

سورة القصص باللغة لوغندا

ترجمات القرآنباللغة لوغندا ⬅ سورة القصص

ترجمة معاني سورة القصص باللغة لوغندا - Ganda

القرآن باللغة لوغندا - سورة القصص مترجمة إلى اللغة لوغندا، Surah Qasas in Ganda. نوفر ترجمة دقيقة سورة القصص باللغة لوغندا - Ganda, الآيات 88 - رقم السورة 28 - الصفحة 385.

بسم الله الرحمن الرحيم

طسم (1)
Twaa Siin Miim
تِلْكَ آيَاتُ الْكِتَابِ الْمُبِينِ (2)
Bino bigambo bya kitabo ekinnyonnyola
نَتْلُو عَلَيْكَ مِن نَّبَإِ مُوسَىٰ وَفِرْعَوْنَ بِالْحَقِّ لِقَوْمٍ يُؤْمِنُونَ (3)
Tukusomera mu bwesimbu ebigambo bya Musa ne Firaawo (bibe bya mugaso) eri abantu abakkiriza
إِنَّ فِرْعَوْنَ عَلَا فِي الْأَرْضِ وَجَعَلَ أَهْلَهَا شِيَعًا يَسْتَضْعِفُ طَائِفَةً مِّنْهُمْ يُذَبِّحُ أَبْنَاءَهُمْ وَيَسْتَحْيِي نِسَاءَهُمْ ۚ إِنَّهُ كَانَ مِنَ الْمُفْسِدِينَ (4)
Mazima Firaawo yeekuluntariza mu nsi, abantu baamu naabateekamu obubinjabinja, nga abonyaabonya ekibinja mu bo nga asala (natta) abaana baabwe abalenzi naalekawo abawala mu bo (mu kukola ekyo) naabeera mu boonoonyi
وَنُرِيدُ أَن نَّمُنَّ عَلَى الَّذِينَ اسْتُضْعِفُوا فِي الْأَرْضِ وَنَجْعَلَهُمْ أَئِمَّةً وَنَجْعَلَهُمُ الْوَارِثِينَ (5)
Era twayagala okubunduggula ebyengera ku abo abaayisibwa obubi ku nsi era tubafuule abakulembeze era tubafuule abasikira (ebyengera bali bye baaleka)
وَنُمَكِّنَ لَهُمْ فِي الْأَرْضِ وَنُرِيَ فِرْعَوْنَ وَهَامَانَ وَجُنُودَهُمَا مِنْهُم مَّا كَانُوا يَحْذَرُونَ (6)
Era tubawe obuyinza mu nsi (era nga tukozesa bo) tulage Firaawo ne Hamana n'amagye gaabwe bombi ekyo kye baali beekeka
وَأَوْحَيْنَا إِلَىٰ أُمِّ مُوسَىٰ أَنْ أَرْضِعِيهِ ۖ فَإِذَا خِفْتِ عَلَيْهِ فَأَلْقِيهِ فِي الْيَمِّ وَلَا تَخَافِي وَلَا تَحْزَنِي ۖ إِنَّا رَادُّوهُ إِلَيْكِ وَجَاعِلُوهُ مِنَ الْمُرْسَلِينَ (7)
Era twatumira Maama wa Musa nti muyonse, naye bwoba nga omutiiriridde musuule mu mazzi era totya, era tonakuwala mazima ffe tujja ku mukuddiza era tujja kumuteeka mu ba baka
فَالْتَقَطَهُ آلُ فِرْعَوْنَ لِيَكُونَ لَهُمْ عَدُوًّا وَحَزَنًا ۗ إِنَّ فِرْعَوْنَ وَهَامَانَ وَجُنُودَهُمَا كَانُوا خَاطِئِينَ (8)
Abantu ba Firaawo ne bamulonda (naye nga) ajja kubafuukira omulabe era eky'okunakuwala. Mazima Firaawo ne Hamaana n'amagye gaabwe bombi baali basobya
وَقَالَتِ امْرَأَتُ فِرْعَوْنَ قُرَّتُ عَيْنٍ لِّي وَلَكَ ۖ لَا تَقْتُلُوهُ عَسَىٰ أَن يَنفَعَنَا أَوْ نَتَّخِذَهُ وَلَدًا وَهُمْ لَا يَشْعُرُونَ (9)
Muka Firaawo naagamba nti (omwana ono) wa kusanyusa amaaso gange naawe, temumutta ayinza okutugasa oba ne tumufuula omwana, (naye) nga nabo tebamanyi (Musa kyagenda kubeera)
وَأَصْبَحَ فُؤَادُ أُمِّ مُوسَىٰ فَارِغًا ۖ إِن كَادَتْ لَتُبْدِي بِهِ لَوْلَا أَن رَّبَطْنَا عَلَىٰ قَلْبِهَا لِتَكُونَ مِنَ الْمُؤْمِنِينَ (10)
Omutima gwa Maama wa Musa gwali gwagaana okutereera (nga yeeraliikirira) yabula kata okumulaga (nga bwe yali omwanawe) singa tetwassa bunywevu ku mutimagwe (olwo nno) alyoke abe mu bakkiriza
وَقَالَتْ لِأُخْتِهِ قُصِّيهِ ۖ فَبَصُرَتْ بِهِ عَن جُنُبٍ وَهُمْ لَا يَشْعُرُونَ (11)
(Maama wa Musa) yagamba mwannyina (wa Musa) nti mulondoole, awo nno naamulaba nga ali wala naye nga bo tebamanyi
۞ وَحَرَّمْنَا عَلَيْهِ الْمَرَاضِعَ مِن قَبْلُ فَقَالَتْ هَلْ أَدُلُّكُمْ عَلَىٰ أَهْلِ بَيْتٍ يَكْفُلُونَهُ لَكُمْ وَهُمْ لَهُ نَاصِحُونَ (12)
Twamulemesa okukkiriza amabeere (g'omuyonsa yenna) okuva ku ntandikwa, (Mwannyina) naabagamba nti: abaffe mbalagirire abantu b'enyumba emu abanaamubalerera era nga nabo bajja kumubuulirira
فَرَدَدْنَاهُ إِلَىٰ أُمِّهِ كَيْ تَقَرَّ عَيْنُهَا وَلَا تَحْزَنَ وَلِتَعْلَمَ أَنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (13)
Olwo nno twamuzza ewa Nnyina amaasoge gabe nga gatebenkera era aleme kunakuwala, era asobole okumanya nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi
وَلَمَّا بَلَغَ أَشُدَّهُ وَاسْتَوَىٰ آتَيْنَاهُ حُكْمًا وَعِلْمًا ۚ وَكَذَٰلِكَ نَجْزِي الْمُحْسِنِينَ (14)
(Musa) bwe yakula n'asajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya. Era bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa
وَدَخَلَ الْمَدِينَةَ عَلَىٰ حِينِ غَفْلَةٍ مِّنْ أَهْلِهَا فَوَجَدَ فِيهَا رَجُلَيْنِ يَقْتَتِلَانِ هَٰذَا مِن شِيعَتِهِ وَهَٰذَا مِنْ عَدُوِّهِ ۖ فَاسْتَغَاثَهُ الَّذِي مِن شِيعَتِهِ عَلَى الَّذِي مِنْ عَدُوِّهِ فَوَكَزَهُ مُوسَىٰ فَقَضَىٰ عَلَيْهِ ۖ قَالَ هَٰذَا مِنْ عَمَلِ الشَّيْطَانِ ۖ إِنَّهُ عَدُوٌّ مُّضِلٌّ مُّبِينٌ (15)
(Olunaku lumu Musa) yayingira e kibuga ng'abantu baamu tebategedde naasangamu abasajja babiri nga balwanagana, nga omu wa mu bantube ate omulala wa mu balabebe (wa mu bantu ba Firaawo) ow'omu bantube naamusaba amutaase ku mulabewe, awo nno Musa naamukuba ekikonde naamutta mbagirawo, (Musa) naagamba nti kino kikolwa kya Sitane, mazima yye mulabe era mubuza ow'olwatu
قَالَ رَبِّ إِنِّي ظَلَمْتُ نَفْسِي فَاغْفِرْ لِي فَغَفَرَ لَهُ ۚ إِنَّهُ هُوَ الْغَفُورُ الرَّحِيمُ (16)
(Musa) naagamba ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze neeyisizza bubi nsaba onsonyiwe, (Katonda) naamusonyiwa, anti mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo
قَالَ رَبِّ بِمَا أَنْعَمْتَ عَلَيَّ فَلَنْ أَكُونَ ظَهِيرًا لِّلْمُجْرِمِينَ (17)
Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange okusinziira ku byengera byongonnomoddeko sigenda kubeera muyambi wa boonoonyi
فَأَصْبَحَ فِي الْمَدِينَةِ خَائِفًا يَتَرَقَّبُ فَإِذَا الَّذِي اسْتَنصَرَهُ بِالْأَمْسِ يَسْتَصْرِخُهُ ۚ قَالَ لَهُ مُوسَىٰ إِنَّكَ لَغَوِيٌّ مُّبِينٌ (18)
Okuva olwo Musa yabeera mu kibuga ng'atya nga yeekengera. Yali akyali awo nga eyamusabye jjo okumutaasa ate amukubira enduulu amudduukirire, Musa naamugamba nti: mazima ggwe mulumbaganyi ow'olwatu
فَلَمَّا أَنْ أَرَادَ أَن يَبْطِشَ بِالَّذِي هُوَ عَدُوٌّ لَّهُمَا قَالَ يَا مُوسَىٰ أَتُرِيدُ أَن تَقْتُلَنِي كَمَا قَتَلْتَ نَفْسًا بِالْأَمْسِ ۖ إِن تُرِيدُ إِلَّا أَن تَكُونَ جَبَّارًا فِي الْأَرْضِ وَمَا تُرِيدُ أَن تَكُونَ مِنَ الْمُصْلِحِينَ (19)
Olwo nno (Musa) bwe yayagala okuvumbagira oyo omulabe waabwe bombi, naagamba nti owange Musa oyagala kunzita nga bwe wasse omuntu jjo, tolina kyoyagala okugyako okubeera nantagambwaako mu nsi era (olabika) toyagala kubeera wa mu bakozi ba bulungi
وَجَاءَ رَجُلٌ مِّنْ أَقْصَى الْمَدِينَةِ يَسْعَىٰ قَالَ يَا مُوسَىٰ إِنَّ الْمَلَأَ يَأْتَمِرُونَ بِكَ لِيَقْتُلُوكَ فَاخْرُجْ إِنِّي لَكَ مِنَ النَّاصِحِينَ (20)
Awo nno omusajja kwe kujja nga adduka ng'ava e kibuga gye kikoma, naagamba nti owange Musa mazima abakungu bakuteesaako okukutta, kale fuluma (mu nsi eno) mazima nze ndi mu bakubuulirira
فَخَرَجَ مِنْهَا خَائِفًا يَتَرَقَّبُ ۖ قَالَ رَبِّ نَجِّنِي مِنَ الْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (21)
Awo nno naakifuluma (ekibuga) nga atidde yeekengera, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mponya abantu abeeyisa obubi
وَلَمَّا تَوَجَّهَ تِلْقَاءَ مَدْيَنَ قَالَ عَسَىٰ رَبِّي أَن يَهْدِيَنِي سَوَاءَ السَّبِيلِ (22)
Bwe yamala okwolekera oludda lw'e Madiyana yagamba nti nsaba Mukama omulabirizi wange annungamye ku kkubo ettuufu
وَلَمَّا وَرَدَ مَاءَ مَدْيَنَ وَجَدَ عَلَيْهِ أُمَّةً مِّنَ النَّاسِ يَسْقُونَ وَوَجَدَ مِن دُونِهِمُ امْرَأَتَيْنِ تَذُودَانِ ۖ قَالَ مَا خَطْبُكُمَا ۖ قَالَتَا لَا نَسْقِي حَتَّىٰ يُصْدِرَ الرِّعَاءُ ۖ وَأَبُونَا شَيْخٌ كَبِيرٌ (23)
Bwe yatuuka ku mazzi g'eMadiyana yasangawo ekibinja ky'abantu nga banywesa (ensolo zaabwe) era nga waliwo ku (bbali) abakazi babiri, nga bagaana (ensolo zaabwe okunywa amazzi) naabagamba nti ate mmwe ogubadde gwe gwaki? Nebagamba nti tetunywesa okutuusa abalunzi abalala lwe baggyawo ensolo zaabwe, ate nga ne kitaffe mukadde nnyo
فَسَقَىٰ لَهُمَا ثُمَّ تَوَلَّىٰ إِلَى الظِّلِّ فَقَالَ رَبِّ إِنِّي لِمَا أَنزَلْتَ إِلَيَّ مِنْ خَيْرٍ فَقِيرٌ (24)
Naabanyweseza, bwe yamala ne yeewogoma mu kisiikirize olwo naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze ndi mwetaavu nnyo eri ekirungi kyonna kyoba ompadde
فَجَاءَتْهُ إِحْدَاهُمَا تَمْشِي عَلَى اسْتِحْيَاءٍ قَالَتْ إِنَّ أَبِي يَدْعُوكَ لِيَجْزِيَكَ أَجْرَ مَا سَقَيْتَ لَنَا ۚ فَلَمَّا جَاءَهُ وَقَصَّ عَلَيْهِ الْقَصَصَ قَالَ لَا تَخَفْ ۖ نَجَوْتَ مِنَ الْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (25)
(Aba ali awo) omu ku bombi (abakazi) najja gyali mu ngeri ey'ensonyi, naagamba nti mazima Kitange akuyita abe nga akusasula empeera y'okutunyweseza, (Musa) bwe yatuuka waali (Kitaawe wa bawala) era naamunyumiza emboozi (y'ebimufaako) yamugamba nti totya omaze okuwona abantu abeeyisa obubi
قَالَتْ إِحْدَاهُمَا يَا أَبَتِ اسْتَأْجِرْهُ ۖ إِنَّ خَيْرَ مَنِ اسْتَأْجَرْتَ الْقَوِيُّ الْأَمِينُ (26)
(Omuwala) omu naagamba nti owange Taata muwe omulimu mazima omupakasi asinga obulungi ye wa maanyi omwesigwa
قَالَ إِنِّي أُرِيدُ أَنْ أُنكِحَكَ إِحْدَى ابْنَتَيَّ هَاتَيْنِ عَلَىٰ أَن تَأْجُرَنِي ثَمَانِيَ حِجَجٍ ۖ فَإِنْ أَتْمَمْتَ عَشْرًا فَمِنْ عِندِكَ ۖ وَمَا أُرِيدُ أَنْ أَشُقَّ عَلَيْكَ ۚ سَتَجِدُنِي إِن شَاءَ اللَّهُ مِنَ الصَّالِحِينَ (27)
(Kitaawe wa Bawala) naagamba nti mazima nze njagala kukufumbiza omu ku bawala bange abo ababiri nga ojja kunkolera emyaka munaana naye bw'ojjuza e kkumi ekyo kiri gyoli, wabula saagala ku kukaluubiriza ojja kunsanga nga ndi mu bantu abakozi b'obulungi
قَالَ ذَٰلِكَ بَيْنِي وَبَيْنَكَ ۖ أَيَّمَا الْأَجَلَيْنِ قَضَيْتُ فَلَا عُدْوَانَ عَلَيَّ ۖ وَاللَّهُ عَلَىٰ مَا نَقُولُ وَكِيلٌ (28)
(Musa) naagamba nti ekyo kiri wakati wange naawe ekimu ku biseera ebibiri kyennaaba nkoze njakuba sivunaanwa, era Katonda ye mweyimirize ku byonna bye twogera
۞ فَلَمَّا قَضَىٰ مُوسَى الْأَجَلَ وَسَارَ بِأَهْلِهِ آنَسَ مِن جَانِبِ الطُّورِ نَارًا قَالَ لِأَهْلِهِ امْكُثُوا إِنِّي آنَسْتُ نَارًا لَّعَلِّي آتِيكُم مِّنْهَا بِخَبَرٍ أَوْ جَذْوَةٍ مِّنَ النَّارِ لَعَلَّكُمْ تَصْطَلُونَ (29)
Musa bwe yamala okutuukiriza ekiseera (kye baalagaana), yatambula n'abantube (nga bagenda e misiri) naalaba omuliro ku ludda lw'olusozi, naagamba abantube nti: mulindeeko wano katono, mazima nze nina wendabye omuliro, si kulwa nga mbaleetera amawulire okuva we guli oba nembaleetera e kitawuliro mulyoke mwote
فَلَمَّا أَتَاهَا نُودِيَ مِن شَاطِئِ الْوَادِ الْأَيْمَنِ فِي الْبُقْعَةِ الْمُبَارَكَةِ مِنَ الشَّجَرَةِ أَن يَا مُوسَىٰ إِنِّي أَنَا اللَّهُ رَبُّ الْعَالَمِينَ (30)
Musa bwe yatuuka weguli, yakoowoolwa (nga eddoboozi) liva ku lubalama lwe'kisenyi olwa ddyo mu kifo eky'omukisa nga liva mu muti (nga limugamba) nti owange ggwe Musa, mazima nze Katonda Omulabirizi w'ebitonde
وَأَنْ أَلْقِ عَصَاكَ ۖ فَلَمَّا رَآهَا تَهْتَزُّ كَأَنَّهَا جَانٌّ وَلَّىٰ مُدْبِرًا وَلَمْ يُعَقِّبْ ۚ يَا مُوسَىٰ أَقْبِلْ وَلَا تَخَفْ ۖ إِنَّكَ مِنَ الْآمِنِينَ (31)
Era (Katonda naamugamba nti) kasuka omuggogwo (naye kwe kugukasuka) olwo nno bwe yagulaba nga gwenyeenya, nga gulinga omusota omwangu mu ntambula yaagwo, yakyuka nga adda emabega era n'atatunula gyava (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange ggwe Musa komawo era totya anti mazima oli mu balina e mirembe
اسْلُكْ يَدَكَ فِي جَيْبِكَ تَخْرُجْ بَيْضَاءَ مِنْ غَيْرِ سُوءٍ وَاضْمُمْ إِلَيْكَ جَنَاحَكَ مِنَ الرَّهْبِ ۖ فَذَانِكَ بُرْهَانَانِ مِن رَّبِّكَ إِلَىٰ فِرْعَوْنَ وَمَلَئِهِ ۚ إِنَّهُمْ كَانُوا قَوْمًا فَاسِقِينَ (32)
Yingiza omukono gwo mu kimeeme ky'ekyambalokyo gujja kufuluma nga mweru ng'ate tewali kabi kagutuuseeko, ssa omukonogwo ku kifubakyo. Obwo nno bwombiriri bwe bubonero okuva eri Katondawo bwotwalira Firaawo n'abakungube, anti mazima okuva emabega babadde bantu boonoonyi
قَالَ رَبِّ إِنِّي قَتَلْتُ مِنْهُمْ نَفْسًا فَأَخَافُ أَن يَقْتُلُونِ (33)
(Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nabattamu omuntu, n'olwekyo ntya si kulwa nga banzita
وَأَخِي هَارُونُ هُوَ أَفْصَحُ مِنِّي لِسَانًا فَأَرْسِلْهُ مَعِيَ رِدْءًا يُصَدِّقُنِي ۖ إِنِّي أَخَافُ أَن يُكَذِّبُونِ (34)
Ate Muganda wange Haruna y'ansinga olulimi olwatufu, kale nno mutume wamu nange nga muyambi abe nga akkaatiriza amazima gange, anti mazima nze ntya okuba nga bajja kunnimbisa
قَالَ سَنَشُدُّ عَضُدَكَ بِأَخِيكَ وَنَجْعَلُ لَكُمَا سُلْطَانًا فَلَا يَصِلُونَ إِلَيْكُمَا ۚ بِآيَاتِنَا أَنتُمَا وَمَنِ اتَّبَعَكُمَا الْغَالِبُونَ (35)
Katonda naamugamba nti tujja kunyweeza omukonogwo (kukuwagira) ne mugandawo, era tubawe mwembiriri obusobozi babe nga tebasobola kubatuusaako kabi. olw'obubonero bwaffe, mmwe mwembiriri nabuli yenna abagoberera mmwe mujja okuwangula
فَلَمَّا جَاءَهُم مُّوسَىٰ بِآيَاتِنَا بَيِّنَاتٍ قَالُوا مَا هَٰذَا إِلَّا سِحْرٌ مُّفْتَرًى وَمَا سَمِعْنَا بِهَٰذَا فِي آبَائِنَا الْأَوَّلِينَ (36)
Musa bwe yabajjira n'obubonero bwaffe nga bunnyonnyofu, baagamba nti kino tekiri okugyako okuba e ddogo e jjingirire, era tetuwuliranga ku kintu nga kino mu bakadde baffe abaasooka
وَقَالَ مُوسَىٰ رَبِّي أَعْلَمُ بِمَن جَاءَ بِالْهُدَىٰ مِنْ عِندِهِ وَمَن تَكُونُ لَهُ عَاقِبَةُ الدَّارِ ۖ إِنَّهُ لَا يُفْلِحُ الظَّالِمُونَ (37)
Musa naagamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo azze n'obulungamu ng'abuggya gyali era n'oyo aliba n'enkomerero e nnungi, anti bulijjo abeeyisa obubi tebayinza kutuuka ku buwanguzi
وَقَالَ فِرْعَوْنُ يَا أَيُّهَا الْمَلَأُ مَا عَلِمْتُ لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرِي فَأَوْقِدْ لِي يَا هَامَانُ عَلَى الطِّينِ فَاجْعَل لِّي صَرْحًا لَّعَلِّي أَطَّلِعُ إِلَىٰ إِلَٰهِ مُوسَىٰ وَإِنِّي لَأَظُنُّهُ مِنَ الْكَاذِبِينَ (38)
Ate Firaawo naagamba nti: abange mmwe abakungu ssibamanyiddeeyo Katonda mulala atali nze, ggwe Haamaan nkumira omuliro oyokye amataffaali onzimbire omulongooti nsobole okulaba Katonda wa Musa, era mazima nze mulowooleza ddala okuba nga ali mu balimba
وَاسْتَكْبَرَ هُوَ وَجُنُودُهُ فِي الْأَرْضِ بِغَيْرِ الْحَقِّ وَظَنُّوا أَنَّهُمْ إِلَيْنَا لَا يُرْجَعُونَ (39)
Olwo nno ne yeekuza mu nsi yye n'eggyerye, awatali nsonga yonna (kwe basinziira) ne balowooza nti mazima tebagenda kuzzibwa gye tuli
فَأَخَذْنَاهُ وَجُنُودَهُ فَنَبَذْنَاهُمْ فِي الْيَمِّ ۖ فَانظُرْ كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الظَّالِمِينَ (40)
Netumukwata n'eggyerye ne tubanyugunya mu nnyanja, kale tunuulira olabe enkomerero ya beeyisa obubi bwe yali
وَجَعَلْنَاهُمْ أَئِمَّةً يَدْعُونَ إِلَى النَّارِ ۖ وَيَوْمَ الْقِيَامَةِ لَا يُنصَرُونَ (41)
Ne tubafuula abakulembeze nga bakoowoola abantu okuyingira omuliro, era nga ne ku lunaku lw'enkomerero tebagenda kutaasibwa
وَأَتْبَعْنَاهُمْ فِي هَٰذِهِ الدُّنْيَا لَعْنَةً ۖ وَيَوْمَ الْقِيَامَةِ هُم مِّنَ الْمَقْبُوحِينَ (42)
Era twabagobereza e kikolimo mu nsi muno nga ne ku lunaku lw'enkomerero bbo be balifuulibwa abalabika obubi
وَلَقَدْ آتَيْنَا مُوسَى الْكِتَابَ مِن بَعْدِ مَا أَهْلَكْنَا الْقُرُونَ الْأُولَىٰ بَصَائِرَ لِلنَّاسِ وَهُدًى وَرَحْمَةً لَّعَلَّهُمْ يَتَذَكَّرُونَ (43)
Mazima twawa Musa e kitabo bwe twamala okuzikiriza emirembe egyasooka nga mumuli eri abantu, era nga bulungamu era kusaasira kibayambe okwebuulirira
وَمَا كُنتَ بِجَانِبِ الْغَرْبِيِّ إِذْ قَضَيْنَا إِلَىٰ مُوسَى الْأَمْرَ وَمَا كُنتَ مِنَ الشَّاهِدِينَ (44)
Era (ggwe Muhammad) tobangako ku ludda olw'ebugwanjuba bwe twawa Musa ekigambo (ekiragiro eky'okugenda ewa Firaawo) era tewali mu baaliwo (mu kiseera ekyo)
وَلَٰكِنَّا أَنشَأْنَا قُرُونًا فَتَطَاوَلَ عَلَيْهِمُ الْعُمُرُ ۚ وَمَا كُنتَ ثَاوِيًا فِي أَهْلِ مَدْيَنَ تَتْلُو عَلَيْهِمْ آيَاتِنَا وَلَٰكِنَّا كُنَّا مُرْسِلِينَ (45)
Naye mazima ffe twasibulawo e mirembe ebbanga neriyitawo ddene (era nga ggwe tonnatumwa) era tobangako mutuuze mu bantu b'eMadiyana n'oba nga obasomera ebigambo byaffe naye mazima ffe bulijjo tubadde tutuma ababaka
وَمَا كُنتَ بِجَانِبِ الطُّورِ إِذْ نَادَيْنَا وَلَٰكِن رَّحْمَةً مِّن رَّبِّكَ لِتُنذِرَ قَوْمًا مَّا أَتَاهُم مِّن نَّذِيرٍ مِّن قَبْلِكَ لَعَلَّهُمْ يَتَذَكَّرُونَ (46)
Era tewaliiwo ku ludda lw'olusozi mu kiseera we twakoowolera (Musa tumuwe obubaka), wabula kwali kusaasira kwa Mukama omulabiriziwo (ggwe okumanya ebyaaliyo), obe nga weekesa abantu abatajjirwanga mutiisa yenna nga ggwe tonnajja olwo nno babe nga beebuulirira
وَلَوْلَا أَن تُصِيبَهُم مُّصِيبَةٌ بِمَا قَدَّمَتْ أَيْدِيهِمْ فَيَقُولُوا رَبَّنَا لَوْلَا أَرْسَلْتَ إِلَيْنَا رَسُولًا فَنَتَّبِعَ آيَاتِكَ وَنَكُونَ مِنَ الْمُؤْمِنِينَ (47)
(Era tetwandikutumye gye bali singa) si bantu kutuukibwako buzibu olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ate nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe singa watutumira omubaka ne tugoberera ebigambobyo era ne tubeera mu bakkiriza
فَلَمَّا جَاءَهُمُ الْحَقُّ مِنْ عِندِنَا قَالُوا لَوْلَا أُوتِيَ مِثْلَ مَا أُوتِيَ مُوسَىٰ ۚ أَوَلَمْ يَكْفُرُوا بِمَا أُوتِيَ مُوسَىٰ مِن قَبْلُ ۖ قَالُوا سِحْرَانِ تَظَاهَرَا وَقَالُوا إِنَّا بِكُلٍّ كَافِرُونَ (48)
Naye ate amazima bwe gaamala okubajjira okuva gye tuli baagamba nti singa aweereddwa nga ebyaweebwa Musa (naye) abaffe tebaawakanya ebyo ebyaweebwa Musa oluberyeberye ne bagamba nti (ebigambo bya Musa ne Muhammad) byombi ddogo, erimu liyamba linnaalyo era ne bagamba nti mazima ffe tuwakanya buli kyonna ekigwa mu kiti ky'ebyo
قُلْ فَأْتُوا بِكِتَابٍ مِّنْ عِندِ اللَّهِ هُوَ أَهْدَىٰ مِنْهُمَا أَتَّبِعْهُ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (49)
Bagambe (ggwe Muhammad) nti (bwe kiba bwe kityo) kale (mmwe) muleete ekitabo okuva ewa Katonda nga kyo kirungamu okusinga biri ebibiri nja kukigoberera bwe muba nga mwogera mazima
فَإِن لَّمْ يَسْتَجِيبُوا لَكَ فَاعْلَمْ أَنَّمَا يَتَّبِعُونَ أَهْوَاءَهُمْ ۚ وَمَنْ أَضَلُّ مِمَّنِ اتَّبَعَ هَوَاهُ بِغَيْرِ هُدًى مِّنَ اللَّهِ ۚ إِنَّ اللَّهَ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الظَّالِمِينَ (50)
Bwe batakwanukula manya nti mazima bagoberera kwagala kwa bwe, era ani mubuze okusinga oyo agoberera okwagalakwe okutaliiko kulungamya kuva wa Katonda, mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi
۞ وَلَقَدْ وَصَّلْنَا لَهُمُ الْقَوْلَ لَعَلَّهُمْ يَتَذَكَّرُونَ (51)
Mazima ekigambo tukibalambululidde kibayambe okwebuulirira
الَّذِينَ آتَيْنَاهُمُ الْكِتَابَ مِن قَبْلِهِ هُم بِهِ يُؤْمِنُونَ (52)
Abo betwawa ekitabo oluberyeberye lwa kino abamu (mu) bo bagikkiriza (Kur'ani)
وَإِذَا يُتْلَىٰ عَلَيْهِمْ قَالُوا آمَنَّا بِهِ إِنَّهُ الْحَقُّ مِن رَّبِّنَا إِنَّا كُنَّا مِن قَبْلِهِ مُسْلِمِينَ (53)
Bweba ebasomeddwa bagamba nti tugikkirizza, ddala yo g'emazima agava ewa Mukama omulabirizi waffe, mazima ddala ffe nga tenajja twali basiraamu
أُولَٰئِكَ يُؤْتَوْنَ أَجْرَهُم مَّرَّتَيْنِ بِمَا صَبَرُوا وَيَدْرَءُونَ بِالْحَسَنَةِ السَّيِّئَةَ وَمِمَّا رَزَقْنَاهُمْ يُنفِقُونَ (54)
Abo bagenda kuweebwa empeera yaabwe emirundi ebiri olw'ebyo bye baagumiikiriza era n'olwokuba nti ekibi bakiggyisaawo ekirungi era nga bawaayo ku ebyo bye tubagabirira
وَإِذَا سَمِعُوا اللَّغْوَ أَعْرَضُوا عَنْهُ وَقَالُوا لَنَا أَعْمَالُنَا وَلَكُمْ أَعْمَالُكُمْ سَلَامٌ عَلَيْكُمْ لَا نَبْتَغِي الْجَاهِلِينَ (55)
Era bwe bawulira eby'olubalaato babyesamba era ne bagamba nti tulina enkola yaffe nammwe mulina enkola yammwe, emirembe gibeere ku mmwe, tetwagala batategeera
إِنَّكَ لَا تَهْدِي مَنْ أَحْبَبْتَ وَلَٰكِنَّ اللَّهَ يَهْدِي مَن يَشَاءُ ۚ وَهُوَ أَعْلَمُ بِالْمُهْتَدِينَ (56)
Mazima ggwe (Muhammad) tolungamya oyo gwoba oyagadde naye mazima Katonda alungamya oyo gwaba asazeewo era y'asinga okumanya abalungamu
وَقَالُوا إِن نَّتَّبِعِ الْهُدَىٰ مَعَكَ نُتَخَطَّفْ مِنْ أَرْضِنَا ۚ أَوَلَمْ نُمَكِّن لَّهُمْ حَرَمًا آمِنًا يُجْبَىٰ إِلَيْهِ ثَمَرَاتُ كُلِّ شَيْءٍ رِّزْقًا مِّن لَّدُنَّا وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (57)
Era (abatakkiriza) ne bagamba nti singa tugoberera naawe obulungamu tujja kusikulwa mu nsi yaffe (naye) abaffe tetwabatebenkereza Haram (Makkah) nga ejjudde e mirembe nga ebibala ebya buli kika bireetebwa gyeri, nga okwo kugabirira okuva gye tuli naye wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi
وَكَمْ أَهْلَكْنَا مِن قَرْيَةٍ بَطِرَتْ مَعِيشَتَهَا ۖ فَتِلْكَ مَسَاكِنُهُمْ لَمْ تُسْكَن مِّن بَعْدِهِمْ إِلَّا قَلِيلًا ۖ وَكُنَّا نَحْنُ الْوَارِثِينَ (58)
Bitundu bimeka bye twazikiriza ebyayonoona obulamu bwa byo (olw'okufuula obulamu obw'okweyagaliramu obweyagazi) amayumba gaabwe gaago, tegaddangayo kusulwamu oluvanyuma lwa bwe okugyako matono era ffe twafuuka abaagasikira
وَمَا كَانَ رَبُّكَ مُهْلِكَ الْقُرَىٰ حَتَّىٰ يَبْعَثَ فِي أُمِّهَا رَسُولًا يَتْلُو عَلَيْهِمْ آيَاتِنَا ۚ وَمَا كُنَّا مُهْلِكِي الْقُرَىٰ إِلَّا وَأَهْلُهَا ظَالِمُونَ (59)
Mukama Omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza bitundu okugyako nga atumye omubaka mu makkati gaabyo ng'abasomera ebigambo byaffe era tetubangako baakuzikiriza bitundu okugyako abantu ba mu nga beeyisa bubi
وَمَا أُوتِيتُم مِّن شَيْءٍ فَمَتَاعُ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَزِينَتُهَا ۚ وَمَا عِندَ اللَّهِ خَيْرٌ وَأَبْقَىٰ ۚ أَفَلَا تَعْقِلُونَ (60)
Buli kintu kye muweebwa bya kweyagala bya bulamu bwa nsi na kwewunda kw'ayo. So ng'ate ebiri ewa Katonda bye bisinga obulungi era bye by'okusigalawo. Abaffe temutegeera
أَفَمَن وَعَدْنَاهُ وَعْدًا حَسَنًا فَهُوَ لَاقِيهِ كَمَن مَّتَّعْنَاهُ مَتَاعَ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا ثُمَّ هُوَ يَوْمَ الْقِيَامَةِ مِنَ الْمُحْضَرِينَ (61)
Abaffe oyo gwe twalagaanyisa endagaano ennungi era nga w'akugituukako ayinza okuba nga oyo gwe twawa eby'okweyagala by'obulamu bw'ensi, ate nga yye ku lunaku lw'enkomerero agenda kubeera mu balireetebwa okubonerezebwa
وَيَوْمَ يُنَادِيهِمْ فَيَقُولُ أَيْنَ شُرَكَائِيَ الَّذِينَ كُنتُمْ تَزْعُمُونَ (62)
Era bategeeze olunaku (Katonda) lwali bakoowoola naagamba nti baliwa be mwangattangako
قَالَ الَّذِينَ حَقَّ عَلَيْهِمُ الْقَوْلُ رَبَّنَا هَٰؤُلَاءِ الَّذِينَ أَغْوَيْنَا أَغْوَيْنَاهُمْ كَمَا غَوَيْنَا ۖ تَبَرَّأْنَا إِلَيْكَ ۖ مَا كَانُوا إِيَّانَا يَعْبُدُونَ (63)
Abo abaliba bakakatiddwako ekigambo (eky'okubonerezebwa nga gubasinze) baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, abo bbo betwabuza twababuza nga bwe twabula, tubeesamudde netwemalira ku ggwe. Baali tebasinza ffe
وَقِيلَ ادْعُوا شُرَكَاءَكُمْ فَدَعَوْهُمْ فَلَمْ يَسْتَجِيبُوا لَهُمْ وَرَأَوُا الْعَذَابَ ۚ لَوْ أَنَّهُمْ كَانُوا يَهْتَدُونَ (64)
Baligambibwa nti: muyite bannammwe (be mwangattangako), balibayita nebatabanukula era baliraba ebibonerezo (ne bagamba nti) singa mazima bbo baali baalungama
وَيَوْمَ يُنَادِيهِمْ فَيَقُولُ مَاذَا أَجَبْتُمُ الْمُرْسَلِينَ (65)
Era (bajjukize) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti: kiki kye mwayanukula ababaka
فَعَمِيَتْ عَلَيْهِمُ الْأَنبَاءُ يَوْمَئِذٍ فَهُمْ لَا يَتَسَاءَلُونَ (66)
Ku lunaku olwo ebigambo biribakalira ku matama, nga era bbo tebagenda kwewuunaganya
فَأَمَّا مَن تَابَ وَآمَنَ وَعَمِلَ صَالِحًا فَعَسَىٰ أَن يَكُونَ مِنَ الْمُفْلِحِينَ (67)
Naye oyo eyeenenya, nakkiriza naakola e mirimu e mirungi, ddala oyo y'alibeera mu bawanguzi
وَرَبُّكَ يَخْلُقُ مَا يَشَاءُ وَيَخْتَارُ ۗ مَا كَانَ لَهُمُ الْخِيَرَةُ ۚ سُبْحَانَ اللَّهِ وَتَعَالَىٰ عَمَّا يُشْرِكُونَ (68)
Mukama Omulabiriziwo atonda kyaba ayagadde era y'asalawo, (abantu) tebabangako na kwesalirawo, yasukkuluma Katonda era ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako
وَرَبُّكَ يَعْلَمُ مَا تُكِنُّ صُدُورُهُمْ وَمَا يُعْلِنُونَ (69)
Era Mukama Omulabiriziwo amanyi ebyo ebifuba bye bikwese n'ebyo bye bassa mu lwatu
وَهُوَ اللَّهُ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۖ لَهُ الْحَمْدُ فِي الْأُولَىٰ وَالْآخِرَةِ ۖ وَلَهُ الْحُكْمُ وَإِلَيْهِ تُرْجَعُونَ (70)
Era yye Katonda tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako yye okutenderezebwa ku kwe, ku ntandikwa ne ku nkomerero era obuyinza bwonna bubwe era gyali gye mulizzibwa
قُلْ أَرَأَيْتُمْ إِن جَعَلَ اللَّهُ عَلَيْكُمُ اللَّيْلَ سَرْمَدًا إِلَىٰ يَوْمِ الْقِيَامَةِ مَنْ إِلَٰهٌ غَيْرُ اللَّهِ يَأْتِيكُم بِضِيَاءٍ ۖ أَفَلَا تَسْمَعُونَ (71)
Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako ekiro ne kiba kyalubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekitangaala, abaffe temuwulira
قُلْ أَرَأَيْتُمْ إِن جَعَلَ اللَّهُ عَلَيْكُمُ النَّهَارَ سَرْمَدًا إِلَىٰ يَوْمِ الْقِيَامَةِ مَنْ إِلَٰهٌ غَيْرُ اللَّهِ يَأْتِيكُم بِلَيْلٍ تَسْكُنُونَ فِيهِ ۖ أَفَلَا تُبْصِرُونَ (72)
Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako obudde bw'emisana nga bwa lubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekiro kye muwummuliramu, abaffe temulaba
وَمِن رَّحْمَتِهِ جَعَلَ لَكُمُ اللَّيْلَ وَالنَّهَارَ لِتَسْكُنُوا فِيهِ وَلِتَبْتَغُوا مِن فَضْلِهِ وَلَعَلَّكُمْ تَشْكُرُونَ (73)
Ebimu ku bibalibwa mu kusaasirakwe, kwe kuba nti yabateerawo ekiro n'emisana muwummuliremu era mube nga munoonya ebigabwabye era kibayambe okwebaza
وَيَوْمَ يُنَادِيهِمْ فَيَقُولُ أَيْنَ شُرَكَائِيَ الَّذِينَ كُنتُمْ تَزْعُمُونَ (74)
Era (bategeeze) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti baliwa abo bemwangattangako bemwagambanga
وَنَزَعْنَا مِن كُلِّ أُمَّةٍ شَهِيدًا فَقُلْنَا هَاتُوا بُرْهَانَكُمْ فَعَلِمُوا أَنَّ الْحَقَّ لِلَّهِ وَضَلَّ عَنْهُم مَّا كَانُوا يَفْتَرُونَ (75)
Era tuliggya mu buli kibiina omujulizi ne tugamba nti muleete abajulizi ba mmwe, awo nno balimanya nti ddala obutuufu bwa Katonda, era bigenda kubabulako ebyo bye baagunjanga
۞ إِنَّ قَارُونَ كَانَ مِن قَوْمِ مُوسَىٰ فَبَغَىٰ عَلَيْهِمْ ۖ وَآتَيْنَاهُ مِنَ الْكُنُوزِ مَا إِنَّ مَفَاتِحَهُ لَتَنُوءُ بِالْعُصْبَةِ أُولِي الْقُوَّةِ إِذْ قَالَ لَهُ قَوْمُهُ لَا تَفْرَحْ ۖ إِنَّ اللَّهَ لَا يُحِبُّ الْفَرِحِينَ (76)
Mazima Karuna yali wa mu bantu ba Musa naabeewaggulako, ate nga twamuwa amawanika nga ddala e bisumuluzo byago bizitoowerera e kibinja eky'amaanyi. Jjukira abantube bwe baamugamba nti tosanyuukirira mazima Katonda tayagala basanyuukirira bitaliimu
وَابْتَغِ فِيمَا آتَاكَ اللَّهُ الدَّارَ الْآخِرَةَ ۖ وَلَا تَنسَ نَصِيبَكَ مِنَ الدُّنْيَا ۖ وَأَحْسِن كَمَا أَحْسَنَ اللَّهُ إِلَيْكَ ۖ وَلَا تَبْغِ الْفَسَادَ فِي الْأَرْضِ ۖ إِنَّ اللَّهَ لَا يُحِبُّ الْمُفْسِدِينَ (77)
Noonya e nyumba ey'enkomerero nga okozesa ebyo Katonda bye yakuwa, era teweerabiranga omugabogwo mu nsi, kolera (abalala) obulungi nga Katonda bwa kukolera obulungi, toluubiriranga okwonoona mu nsi. Mazima Katonda tayagala boonoonyi
قَالَ إِنَّمَا أُوتِيتُهُ عَلَىٰ عِلْمٍ عِندِي ۚ أَوَلَمْ يَعْلَمْ أَنَّ اللَّهَ قَدْ أَهْلَكَ مِن قَبْلِهِ مِنَ الْقُرُونِ مَنْ هُوَ أَشَدُّ مِنْهُ قُوَّةً وَأَكْثَرُ جَمْعًا ۚ وَلَا يُسْأَلُ عَن ذُنُوبِهِمُ الْمُجْرِمُونَ (78)
(Karuna) naagamba mazima (bye nnina) nnabiweebwa lwa kumanya kwe nnina. Abaffe teyamanya nti ddala Katonda yazikiriza oluberyeberyerwe e mirembe gy'abo abaali bamusinga amaanyi era nga baakungaanya bingi okumusinga. Era aboonoonyi tebasabibwa (kunnyonnyola bikwata ku) byonoono bya bwe (anti Katonda abimanyi)
فَخَرَجَ عَلَىٰ قَوْمِهِ فِي زِينَتِهِ ۖ قَالَ الَّذِينَ يُرِيدُونَ الْحَيَاةَ الدُّنْيَا يَا لَيْتَ لَنَا مِثْلَ مَا أُوتِيَ قَارُونُ إِنَّهُ لَذُو حَظٍّ عَظِيمٍ (79)
(Olwo nno Karuna) yafuluma (naagenda) awali abantube nga ali mu byambalobye ebirungi ennyo, abo abaagala obulamu bw'ensi ne bagamba nti singa naffe tulina ng'ebyo ebyaweebwa Karuna mazima yye wa mukisa munene
وَقَالَ الَّذِينَ أُوتُوا الْعِلْمَ وَيْلَكُمْ ثَوَابُ اللَّهِ خَيْرٌ لِّمَنْ آمَنَ وَعَمِلَ صَالِحًا وَلَا يُلَقَّاهَا إِلَّا الصَّابِرُونَ (80)
Abo abaaweebwa okumanya ne bagamba nti nga mulabye empeera za Katonda z'ezisinga obulungi eri oyo akkiriza n'akola emirimu emirungi (kyokka ekyo) tekiweebwa okugyako abagumiikiriza
فَخَسَفْنَا بِهِ وَبِدَارِهِ الْأَرْضَ فَمَا كَانَ لَهُ مِن فِئَةٍ يَنصُرُونَهُ مِن دُونِ اللَّهِ وَمَا كَانَ مِنَ الْمُنتَصِرِينَ (81)
Olwo nno netulagira ettaka nelimumira n'enyumba ye teyalina kabinja k'abantu baamutaasa awatali Katonda era teyali wa mu bayinza kwetaasa
وَأَصْبَحَ الَّذِينَ تَمَنَّوْا مَكَانَهُ بِالْأَمْسِ يَقُولُونَ وَيْكَأَنَّ اللَّهَ يَبْسُطُ الرِّزْقَ لِمَن يَشَاءُ مِنْ عِبَادِهِ وَيَقْدِرُ ۖ لَوْلَا أَن مَّنَّ اللَّهُ عَلَيْنَا لَخَسَفَ بِنَا ۖ وَيْكَأَنَّهُ لَا يُفْلِحُ الْكَافِرُونَ (82)
Abo abeegomba e mbeeraye olunaku lwa jjo, baatuuka okugamba nti weewaawo ddala Katonda ayanjuluza riziki kwoyo gwaba ayagadde mu baddube era nga bwasobola okugifunza. Singa Katonda teyatwagaliza kirungi, naffe yaaliragidde ettaka neritumira yye abaffe tokiraba nti abakaafiiri tebayinza kutuuka ku buwanguzi
تِلْكَ الدَّارُ الْآخِرَةُ نَجْعَلُهَا لِلَّذِينَ لَا يُرِيدُونَ عُلُوًّا فِي الْأَرْضِ وَلَا فَسَادًا ۚ وَالْعَاقِبَةُ لِلْمُتَّقِينَ (83)
Eyo e nyumba ey'enkomerero (e jjana) tugiteerawo abo abatayagala kwesukkulumya mu nsi wadde okwonoona, era enkomerero ennungi y'abatya Katonda
مَن جَاءَ بِالْحَسَنَةِ فَلَهُ خَيْرٌ مِّنْهَا ۖ وَمَن جَاءَ بِالسَّيِّئَةِ فَلَا يُجْزَى الَّذِينَ عَمِلُوا السَّيِّئَاتِ إِلَّا مَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (84)
Oyo yenna akola ekirungi alisasulwa e kirungi e kikisinga, wabula oyo akola ekibi, abo abakola ebibi tebagenda kusasulwa okugyako ebyo bye baakola
إِنَّ الَّذِي فَرَضَ عَلَيْكَ الْقُرْآنَ لَرَادُّكَ إِلَىٰ مَعَادٍ ۚ قُل رَّبِّي أَعْلَمُ مَن جَاءَ بِالْهُدَىٰ وَمَنْ هُوَ فِي ضَلَالٍ مُّبِينٍ (85)
Mazima oyo eyakukasaako Kur’ani agenda kukuddiza ddala eri obuddo obulagaanye, gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo aleese obulungamu, era n'oyo ali mu bubuze obw'olwatu
وَمَا كُنتَ تَرْجُو أَن يُلْقَىٰ إِلَيْكَ الْكِتَابُ إِلَّا رَحْمَةً مِّن رَّبِّكَ ۖ فَلَا تَكُونَنَّ ظَهِيرًا لِّلْكَافِرِينَ (86)
Era wali tosuubira ekitabo okuba nga kikuweebwa, (ekyo tekyali) okugyako okusaasira okuva ewa Mukama omulabiriziwo n'olwekyo tobeeranga omuyambi wa bakaafiiri
وَلَا يَصُدُّنَّكَ عَنْ آيَاتِ اللَّهِ بَعْدَ إِذْ أُنزِلَتْ إِلَيْكَ ۖ وَادْعُ إِلَىٰ رَبِّكَ ۖ وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ الْمُشْرِكِينَ (87)
Era tewabangawo akuggya ku bigambo bya Katonda oluvanyuma lw'okuba nti byassibwa gyoli, era koowoola (abantu) okujja ewa Mukama omulabiriziwo era tobeeranga mu bagatta ebintu ebirala ku Katonda
وَلَا تَدْعُ مَعَ اللَّهِ إِلَٰهًا آخَرَ ۘ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۚ كُلُّ شَيْءٍ هَالِكٌ إِلَّا وَجْهَهُ ۚ لَهُ الْحُكْمُ وَإِلَيْهِ تُرْجَعُونَ (88)
Era tosabanga awamu ne Katonda ekisinzibwa ekirala kyonna, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, buli kintu kyakuggwawo okugyako yye, okusalawo kwonna kukwe era gyali gye mulizzibwa
❮ السورة السابقة السورة التـالية ❯

قراءة المزيد من سور القرآن الكريم :

1- الفاتحة2- البقرة3- آل عمران
4- النساء5- المائدة6- الأنعام
7- الأعراف8- الأنفال9- التوبة
10- يونس11- هود12- يوسف
13- الرعد14- إبراهيم15- الحجر
16- النحل17- الإسراء18- الكهف
19- مريم20- طه21- الأنبياء
22- الحج23- المؤمنون24- النور
25- الفرقان26- الشعراء27- النمل
28- القصص29- العنكبوت30- الروم
31- لقمان32- السجدة33- الأحزاب
34- سبأ35- فاطر36- يس
37- الصافات38- ص39- الزمر
40- غافر41- فصلت42- الشورى
43- الزخرف44- الدخان45- الجاثية
46- الأحقاف47- محمد48- الفتح
49- الحجرات50- ق51- الذاريات
52- الطور53- النجم54- القمر
55- الرحمن56- الواقعة57- الحديد
58- المجادلة59- الحشر60- الممتحنة
61- الصف62- الجمعة63- المنافقون
64- التغابن65- الطلاق66- التحريم
67- الملك68- القلم69- الحاقة
70- المعارج71- نوح72- الجن
73- المزمل74- المدثر75- القيامة
76- الإنسان77- المرسلات78- النبأ
79- النازعات80- عبس81- التكوير
82- الإنفطار83- المطففين84- الانشقاق
85- البروج86- الطارق87- الأعلى
88- الغاشية89- الفجر90- البلد
91- الشمس92- الليل93- الضحى
94- الشرح95- التين96- العلق
97- القدر98- البينة99- الزلزلة
100- العاديات101- القارعة102- التكاثر
103- العصر104- الهمزة105- الفيل
106- قريش107- الماعون108- الكوثر
109- الكافرون110- النصر111- المسد
112- الإخلاص113- الفلق114- الناس