لَا أُقْسِمُ بِيَوْمِ الْقِيَامَةِ (1) Tewali kingaana kulayira lunaku lwakuzuukira |
وَلَا أُقْسِمُ بِالنَّفْسِ اللَّوَّامَةِ (2) Era nga bwewatali kingaana kulayira omwoyo ogwejjusa |
أَيَحْسَبُ الْإِنسَانُ أَلَّن نَّجْمَعَ عِظَامَهُ (3) Abaffe omuntu alowooza nti tetugenda kusobola kuzzaawo magumbage |
بَلَىٰ قَادِرِينَ عَلَىٰ أَن نُّسَوِّيَ بَنَانَهُ (4) Nedda tukisobolera ddala nga bwetulisobola okuzzaawo ennwe zaabwe |
بَلْ يُرِيدُ الْإِنسَانُ لِيَفْجُرَ أَمَامَهُ (5) Wabula omuntu emirundi egisinga ayagala nnyo okuwangaalira mu kwonoona |
يَسْأَلُ أَيَّانَ يَوْمُ الْقِيَامَةِ (6) Ngabuuza (mu ngeri ey'okujerega n'okuwakanya) nti olunaku lwokuzuukira lulibaawo ddi |
فَإِذَا بَرِقَ الْبَصَرُ (7) Ddala lugenga kubaawo nga n'amaaso g'abantu galiralambala olwokutya |
وَخَسَفَ الْقَمَرُ (8) Ekitangala kyomwezi kigenda kuggwawo |
وَجُمِعَ الشَّمْسُ وَالْقَمَرُ (9) Enjuba n'omwezi birigattibwa (nga tewakyasobola kubaawo kiro namisana) |
يَقُولُ الْإِنسَانُ يَوْمَئِذٍ أَيْنَ الْمَفَرُّ (10) Ku lunaku olwo omuntu agenda kwebuuza nti nzirukirewa |
كَلَّا لَا وَزَرَ (11) Kyekyo ddala, tewagenda kubaawo muntu weyekweka |
إِلَىٰ رَبِّكَ يَوْمَئِذٍ الْمُسْتَقَرُّ (12) Obuddo ku lunaku olwo bujja kuba eri Mukama Katondawo |
يُنَبَّأُ الْإِنسَانُ يَوْمَئِذٍ بِمَا قَدَّمَ وَأَخَّرَ (13) Ku lunaku olwo omuntu agenda kutegeezebwa ebyo byonna byeyakola nebyataakola |
بَلِ الْإِنسَانُ عَلَىٰ نَفْسِهِ بَصِيرَةٌ (14) Wabula ate ddala omuntu ye yennyini amanyi bye yakola ne byataakola (newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayeetonda) |
وَلَوْ أَلْقَىٰ مَعَاذِيرَهُ (15) Newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayetonda |
لَا تُحَرِّكْ بِهِ لِسَانَكَ لِتَعْجَلَ بِهِ (16) Bwoba osoma Kur'ani toyanguyiriza nga olowooza nti kyekinakuyamba okuginyweeza |
إِنَّ عَلَيْنَا جَمْعَهُ وَقُرْآنَهُ (17) Anti okugikungaanya kuli kuffe nga era bwekiri kuffe okunywereza ku lulimi lwo ensoma ennungi |
فَإِذَا قَرَأْنَاهُ فَاتَّبِعْ قُرْآنَهُ (18) Kale nno bwetumala okugikusomera (nga tugiyisa ku Jiburilu) goberera ensoma yaayo |
ثُمَّ إِنَّ عَلَيْنَا بَيَانَهُ (19) Era mazima okuginnyonnyola kuli kuffe |
كَلَّا بَلْ تُحِبُّونَ الْعَاجِلَةَ (20) (Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala omuntu okwebuulirira nabyo) wabula ebyembi mmwe mwagala ebyokufuna byensi ebyamangu |
وَتَذَرُونَ الْآخِرَةَ (21) Nemuleka ebyolunaku lw’enkomerero |
وُجُوهٌ يَوْمَئِذٍ نَّاضِرَةٌ (22) Ebyenyi bya bantu abamu ku lunaku olwo bigenda kuba nga bitemagana |
إِلَىٰ رَبِّهَا نَاظِرَةٌ (23) Bigenda kutunula ku Mukama Katonda waabyo |
وَوُجُوهٌ يَوْمَئِذٍ بَاسِرَةٌ (24) Ate nga ebyenyi bya bantu abalala bigenda kuba binyikaavu |
تَظُنُّ أَن يُفْعَلَ بِهَا فَاقِرَةٌ (25) Nga bimanyidde ddala nti bigenda kutuukibwako akabi akanene akamenya nenkizi |
كَلَّا إِذَا بَلَغَتِ التَّرَاقِيَ (26) Naye omwoyo bwegutuuka mu ddokooli |
وَقِيلَ مَنْ ۜ رَاقٍ (27) Abantu webagambira nti ani alina eddagala eriyinza okumuwonya |
وَظَنَّ أَنَّهُ الْفِرَاقُ (28) Wabula yye ngamaze okukakasa nti agenda kufa |
وَالْتَفَّتِ السَّاقُ بِالسَّاقِ (29) Entumbwe ne yeegatta ku ntumbwe |
إِلَىٰ رَبِّكَ يَوْمَئِذٍ الْمَسَاقُ (30) Olwo nno obuddo buba busigadde eri Katondawo |
فَلَا صَدَّقَ وَلَا صَلَّىٰ (31) Naye nga omufu teyasaddaaka wadde okusaala |
وَلَٰكِن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰ (32) Wabula yalimbisa ebigambo bya Katonda nabyesamba |
ثُمَّ ذَهَبَ إِلَىٰ أَهْلِهِ يَتَمَطَّىٰ (33) Olwo nno naatambula nadda eri abantu be nga yeeraga |
أَوْلَىٰ لَكَ فَأَوْلَىٰ (34) (Aligambibwa nti ekyo) ekikutuuseeko kikugwanidde era ddala kikugwanidde (owange ggwe omwonoonyi) |
ثُمَّ أَوْلَىٰ لَكَ فَأَوْلَىٰ (35) Ate era kikugwanidde ng'ate era ddala kikugwanidde |
أَيَحْسَبُ الْإِنسَانُ أَن يُتْرَكَ سُدًى (36) Omuntu alowooza nti ayinza okulekwa neyeeyisa nga bwayagala |
أَلَمْ يَكُ نُطْفَةً مِّن مَّنِيٍّ يُمْنَىٰ (37) Tajjukira nti yasooka kuba tondo lyamazzi agazaala agateekebwa mu nabaana |
ثُمَّ كَانَ عَلَقَةً فَخَلَقَ فَسَوَّىٰ (38) Oluvanyuma naafuuka ekisayisayi, olwo Katonda naamutonda namussaako byonna ebimufuula omuntu |
فَجَعَلَ مِنْهُ الزَّوْجَيْنِ الذَّكَرَ وَالْأُنثَىٰ (39) Nga bwatyo bwakola emitendera ebiri, omusajja n'omukazi |
أَلَيْسَ ذَٰلِكَ بِقَادِرٍ عَلَىٰ أَن يُحْيِيَ الْمَوْتَىٰ (40) Abaffe oyo eyakola omuntu mu ngeri eyo tasobola kulamusa bafu |