×

سورة يوسف باللغة لوغندا

ترجمات القرآنباللغة لوغندا ⬅ سورة يوسف

ترجمة معاني سورة يوسف باللغة لوغندا - Ganda

القرآن باللغة لوغندا - سورة يوسف مترجمة إلى اللغة لوغندا، Surah Yusuf in Ganda. نوفر ترجمة دقيقة سورة يوسف باللغة لوغندا - Ganda, الآيات 111 - رقم السورة 12 - الصفحة 235.

بسم الله الرحمن الرحيم

الر ۚ تِلْكَ آيَاتُ الْكِتَابِ الْمُبِينِ (1)
Alif Laam Raa, bino bigambo by'ekitabo ekyeyolefu
إِنَّا أَنزَلْنَاهُ قُرْآنًا عَرَبِيًّا لَّعَلَّكُمْ تَعْقِلُونَ (2)
Mazima ffe twakissa (ekitabo) nga kyakusoma nga kiri mu luwarabu mube nga mutegeera
نَحْنُ نَقُصُّ عَلَيْكَ أَحْسَنَ الْقَصَصِ بِمَا أَوْحَيْنَا إِلَيْكَ هَٰذَا الْقُرْآنَ وَإِن كُنتَ مِن قَبْلِهِ لَمِنَ الْغَافِلِينَ (3)
Ffe tukutegeeza ebyafaayo ebisinga obulungi nga tukozesa obubaka bwe twakussaako (nga nabwo) ye Kur’ani eno, newaakubadde nga mu kusooka wali mu batamanyi
إِذْ قَالَ يُوسُفُ لِأَبِيهِ يَا أَبَتِ إِنِّي رَأَيْتُ أَحَدَ عَشَرَ كَوْكَبًا وَالشَّمْسَ وَالْقَمَرَ رَأَيْتُهُمْ لِي سَاجِدِينَ (4)
Jjukira Yusuf bwe yagamba Kitaawe nti: owange Taata mazima nze nnaloose emmunyeenye kumi n'emu, n'omwezi, n'enjuba nabirabye nga binvunnamidde
قَالَ يَا بُنَيَّ لَا تَقْصُصْ رُؤْيَاكَ عَلَىٰ إِخْوَتِكَ فَيَكِيدُوا لَكَ كَيْدًا ۖ إِنَّ الشَّيْطَانَ لِلْإِنسَانِ عَدُوٌّ مُّبِينٌ (5)
(Kitaawe Yakubu) naagamba nti owange Katabani kange, ekirooto kyo tokinyumiza bagandabo nebakukolera enkwe mazima, bulijjo Sitane ku muntu mulabe ow'olwatu
وَكَذَٰلِكَ يَجْتَبِيكَ رَبُّكَ وَيُعَلِّمُكَ مِن تَأْوِيلِ الْأَحَادِيثِ وَيُتِمُّ نِعْمَتَهُ عَلَيْكَ وَعَلَىٰ آلِ يَعْقُوبَ كَمَا أَتَمَّهَا عَلَىٰ أَبَوَيْكَ مِن قَبْلُ إِبْرَاهِيمَ وَإِسْحَاقَ ۚ إِنَّ رَبَّكَ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (6)
Mu ngeri y'emu Mukama omulabiriziwo agenda ku kulonda era akuyigirize okuvvuunula endooto era ajjulize abantu ba Yakub ekyengera kye, nga mu kusooka bwe yakijjulizza bakadde bo bombi Ibrahim ne Ishaka. Mazima Mukama omulabiriziwo mumanyi nnyo era mugobansonga
۞ لَّقَدْ كَانَ فِي يُوسُفَ وَإِخْوَتِهِ آيَاتٌ لِّلسَّائِلِينَ (7)
Mazima (mu kyafaayo kya) Yusuf ne bagandabe mulimu obujulizi eri ababuuza
إِذْ قَالُوا لَيُوسُفُ وَأَخُوهُ أَحَبُّ إِلَىٰ أَبِينَا مِنَّا وَنَحْنُ عُصْبَةٌ إِنَّ أَبَانَا لَفِي ضَلَالٍ مُّبِينٍ (8)
Jukira (baganda ba Yusuf) bwe baagamba nti kirabika Yusuf ne Mugandawe (bwe bazaalibwa mu nnyabwe) be baganzi ewa Kitaffe okusinga ffe ate nga tuli bangi, mazima Kitaffe ali mu bubuze obuyitirivu
اقْتُلُوا يُوسُفَ أَوِ اطْرَحُوهُ أَرْضًا يَخْلُ لَكُمْ وَجْهُ أَبِيكُمْ وَتَكُونُوا مِن بَعْدِهِ قَوْمًا صَالِحِينَ (9)
(Omu n'aleeta ekiteeso nti) Yusuf mumutte oba mumukasuke mu nsi (etamanyiddwa) olwo mwekomye okwagalwa Kitammwe, era oluvanyuma lw'ekyo musobola okubeera abantu abalongoofu
قَالَ قَائِلٌ مِّنْهُمْ لَا تَقْتُلُوا يُوسُفَ وَأَلْقُوهُ فِي غَيَابَتِ الْجُبِّ يَلْتَقِطْهُ بَعْضُ السَّيَّارَةِ إِن كُنتُمْ فَاعِلِينَ (10)
Omwogezi omulala mu bo naagamba nti temutta Yusuf wabula mumusuule wansi mu luzzi abamu ku batambuze bajja kumulonda, bwe muba nga muteekwa buteekwa okubaako kye mukola
قَالُوا يَا أَبَانَا مَا لَكَ لَا تَأْمَنَّا عَلَىٰ يُوسُفَ وَإِنَّا لَهُ لَنَاصِحُونَ (11)
(Ebyo nga biwedde) baagamba nti owange Kitaffe lwaki totwesiga ku Yusuf ate nga naffe tumufaako
أَرْسِلْهُ مَعَنَا غَدًا يَرْتَعْ وَيَلْعَبْ وَإِنَّا لَهُ لَحَافِظُونَ (12)
Mutuwe tugende naye enkya, asanyuke, era azannye era mazima ffe tujja kumukuuma
قَالَ إِنِّي لَيَحْزُنُنِي أَن تَذْهَبُوا بِهِ وَأَخَافُ أَن يَأْكُلَهُ الذِّئْبُ وَأَنتُمْ عَنْهُ غَافِلُونَ (13)
(Yakub) naagamba nti mazima nze kimpisa bubi okuba nga mumutwala, era ntya omusege okumulya nga mmwe mumulagajjalidde
قَالُوا لَئِنْ أَكَلَهُ الذِّئْبُ وَنَحْنُ عُصْبَةٌ إِنَّا إِذًا لَّخَاسِرُونَ (14)
Ne bagamba nti singa omusege gumala ne gumulya nga ate tuli bangi mazima ffe olwo tubeera tufaafaaganiddwa
فَلَمَّا ذَهَبُوا بِهِ وَأَجْمَعُوا أَن يَجْعَلُوهُ فِي غَيَابَتِ الْجُبِّ ۚ وَأَوْحَيْنَا إِلَيْهِ لَتُنَبِّئَنَّهُم بِأَمْرِهِمْ هَٰذَا وَهُمْ لَا يَشْعُرُونَ (15)
Bwe baagenda naye era nebassa kimu okumuteeka mu kinnya wansi mu luzzi, netumutumira nti mazima ddala ogenda okubategeeza ekigambo kya bwe kino nga bo tebakyakifaako
وَجَاءُوا أَبَاهُمْ عِشَاءً يَبْكُونَ (16)
Olwo nebadda ewa Kitaabwe olw'eggulo nga bakaaba (naye nga kwali kwekaabya)
قَالُوا يَا أَبَانَا إِنَّا ذَهَبْنَا نَسْتَبِقُ وَتَرَكْنَا يُوسُفَ عِندَ مَتَاعِنَا فَأَكَلَهُ الذِّئْبُ ۖ وَمَا أَنتَ بِمُؤْمِنٍ لَّنَا وَلَوْ كُنَّا صَادِقِينَ (17)
Nebagamba nti owange Kitaffe mazima ffe twagenze netusindana mu kudduka netuleka Yusuf awabadde ebintu byaffe omusege negumulya, tojja kutukkiriza newaakubadde nga twogera mazima
وَجَاءُوا عَلَىٰ قَمِيصِهِ بِدَمٍ كَذِبٍ ۚ قَالَ بَلْ سَوَّلَتْ لَكُمْ أَنفُسُكُمْ أَمْرًا ۖ فَصَبْرٌ جَمِيلٌ ۖ وَاللَّهُ الْمُسْتَعَانُ عَلَىٰ مَا تَصِفُونَ (18)
Nebajja nga batadde ku kyambalo kye omusaayi ogw'obulimba (Yakub naagamba nti) wabula emyoyo gya mmwe gyatetenkanyizza negilungiya ekintu kino gye muli. Obugumiikiriza bulungi era Katonda ye Muyambi ku ebyo bye mwogera
وَجَاءَتْ سَيَّارَةٌ فَأَرْسَلُوا وَارِدَهُمْ فَأَدْلَىٰ دَلْوَهُ ۖ قَالَ يَا بُشْرَىٰ هَٰذَا غُلَامٌ ۚ وَأَسَرُّوهُ بِضَاعَةً ۚ وَاللَّهُ عَلِيمٌ بِمَا يَعْمَلُونَ (19)
Abatambuze nebajja ne batuma abakimira amazzi nassa endobo ye olwajigyayo (wansi mu luzzi bwati naalaba omulenzi), naagamba nti “Neesiimye neefunidde omulenzi” ne bamukukusa nga bamufudde kya maguzi. Katonda mumanyi nnyo ku ebyo bye baali bakola
وَشَرَوْهُ بِثَمَنٍ بَخْسٍ دَرَاهِمَ مَعْدُودَةٍ وَكَانُوا فِيهِ مِنَ الزَّاهِدِينَ (20)
Nebamutunda omuwendo omutono, Dirihamu mbale bubazi, anti baali tebamwetaaga
وَقَالَ الَّذِي اشْتَرَاهُ مِن مِّصْرَ لِامْرَأَتِهِ أَكْرِمِي مَثْوَاهُ عَسَىٰ أَن يَنفَعَنَا أَوْ نَتَّخِذَهُ وَلَدًا ۚ وَكَذَٰلِكَ مَكَّنَّا لِيُوسُفَ فِي الْأَرْضِ وَلِنُعَلِّمَهُ مِن تَأْوِيلِ الْأَحَادِيثِ ۚ وَاللَّهُ غَالِبٌ عَلَىٰ أَمْرِهِ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَ النَّاسِ لَا يَعْلَمُونَ (21)
Oyo eyamugula ow'emisiri naagamba mukyalawe nti mulabirire, muyise bulungi sinakindi ayinza okutugasa (mu maaso eyo) oba tumufuule omwana (Katonda kwe kugamba nti) bwe tutyo bwe twasobozesa Yusuf (A.S) okubeera mu nsi era tube nga tumuyigiriza okuvvuunula endooto. Era bulijjo Katonda ekigambokye kiwangula, wabula mazima abantu abasinga obungi tebamanyi
وَلَمَّا بَلَغَ أَشُدَّهُ آتَيْنَاهُ حُكْمًا وَعِلْمًا ۚ وَكَذَٰلِكَ نَجْزِي الْمُحْسِنِينَ (22)
Bwe yasajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya, era bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi
وَرَاوَدَتْهُ الَّتِي هُوَ فِي بَيْتِهَا عَن نَّفْسِهِ وَغَلَّقَتِ الْأَبْوَابَ وَقَالَتْ هَيْتَ لَكَ ۚ قَالَ مَعَاذَ اللَّهِ ۖ إِنَّهُ رَبِّي أَحْسَنَ مَثْوَايَ ۖ إِنَّهُ لَا يُفْلِحُ الظَّالِمُونَ (23)
(Ekyo nga kiwedde) ate muka nnyinimu oyo mu nju mweyasulanga naamwegwanyiza naggala enzigi, naamugamba nti “nzuno nkwewadde”. (Yusuf) naagamba nti: “nsaba obukuumi bwa Katonda”, ekituufu kiri nti Mukama wange (balo) ampisizza bulungi (siyinza kukikola) mazima anti abeeyisa obubi tebagenda kwesiima
وَلَقَدْ هَمَّتْ بِهِ ۖ وَهَمَّ بِهَا لَوْلَا أَن رَّأَىٰ بُرْهَانَ رَبِّهِ ۚ كَذَٰلِكَ لِنَصْرِفَ عَنْهُ السُّوءَ وَالْفَحْشَاءَ ۚ إِنَّهُ مِنْ عِبَادِنَا الْمُخْلَصِينَ (24)
Mazima (omukyala) yamwegomba ne (Yusuf) namwegomba (omukyala), naye singa (Yusuf) teyalaba kabonero ka Mukama omulabiriziwe (yandigudde mu nsobi) twakola bwe tutyo tube nga tumuwugulako obwonoonefu n'obuwemu, anti mazima ye wa mu baddu baffe abasengejje
وَاسْتَبَقَا الْبَابَ وَقَدَّتْ قَمِيصَهُ مِن دُبُرٍ وَأَلْفَيَا سَيِّدَهَا لَدَى الْبَابِ ۚ قَالَتْ مَا جَزَاءُ مَنْ أَرَادَ بِأَهْلِكَ سُوءًا إِلَّا أَن يُسْجَنَ أَوْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (25)
Nebagobagana nga badda ku mulyango, (mu mbeera eyo) omukyala naayuza ekyambalo (kya Yusuf) emabega, nebasanga bba (w'omukyala) ku mulyango, omukyala naagamba nti kibonerezo ki ekisaanira okuweebwa omuntu ayagala okukola ku mukyalawo ekivve,okugyako okuba nga asibwa oba okumussaako e kibonerezo ekiruma
قَالَ هِيَ رَاوَدَتْنِي عَن نَّفْسِي ۚ وَشَهِدَ شَاهِدٌ مِّنْ أَهْلِهَا إِن كَانَ قَمِيصُهُ قُدَّ مِن قُبُلٍ فَصَدَقَتْ وَهُوَ مِنَ الْكَاذِبِينَ (26)
(Yusuf) naagamba nti ye yanneegwanyizza, omu ku bantu bo mu nyumba y'omukyala naawa obujulizi nti ekyambalokye (Yusuf) bwe kiba kiyuziddwa mu maaso gaakyo, omukyala yaanaaba ayogedde amazima ate yye (Yusuf (naaba ow'omu balimba)
وَإِن كَانَ قَمِيصُهُ قُدَّ مِن دُبُرٍ فَكَذَبَتْ وَهُوَ مِنَ الصَّادِقِينَ (27)
Naye ekyambalokye (Yusuf) bwe kinaaba nga kiyuziddwa mabega (omukyala) anaaba alimbye, olwo nno ye naabeera mu ba mazima
فَلَمَّا رَأَىٰ قَمِيصَهُ قُدَّ مِن دُبُرٍ قَالَ إِنَّهُ مِن كَيْدِكُنَّ ۖ إِنَّ كَيْدَكُنَّ عَظِيمٌ (28)
(Olwo bba w'omukyala) bwe yamala okulaba ekyambalokye nga kiyuziddwa mabega kwe kugamba nti “ezo nkwe zammwe (mwe abakyala) anti mazima bulijjo enkwe za mmwe za kabi nnyo
يُوسُفُ أَعْرِضْ عَنْ هَٰذَا ۚ وَاسْتَغْفِرِي لِذَنبِكِ ۖ إِنَّكِ كُنتِ مِنَ الْخَاطِئِينَ (29)
Gwe (Yusuf) bino biveeko (tobinyega) ate ggwe weetonde olw'ekibikyo, mazima ddala ggwe obadde mu basobya
۞ وَقَالَ نِسْوَةٌ فِي الْمَدِينَةِ امْرَأَتُ الْعَزِيزِ تُرَاوِدُ فَتَاهَا عَن نَّفْسِهِ ۖ قَدْ شَغَفَهَا حُبًّا ۖ إِنَّا لَنَرَاهَا فِي ضَلَالٍ مُّبِينٍ (30)
Abakyala bo mu kibuga nebagamba nti Muka omukulu yeegwanyizza omuweerezaawe! mazima okwagala kumumazeemu, mazima ffe ye tumulaba nga ali mu bubuze obweyolefu
فَلَمَّا سَمِعَتْ بِمَكْرِهِنَّ أَرْسَلَتْ إِلَيْهِنَّ وَأَعْتَدَتْ لَهُنَّ مُتَّكَأً وَآتَتْ كُلَّ وَاحِدَةٍ مِّنْهُنَّ سِكِّينًا وَقَالَتِ اخْرُجْ عَلَيْهِنَّ ۖ فَلَمَّا رَأَيْنَهُ أَكْبَرْنَهُ وَقَطَّعْنَ أَيْدِيَهُنَّ وَقُلْنَ حَاشَ لِلَّهِ مَا هَٰذَا بَشَرًا إِنْ هَٰذَا إِلَّا مَلَكٌ كَرِيمٌ (31)
Omukyala bwe yawulira e bigambo abakyala bye basaasaanya, yabatumira naabategekera ekifo aw'okutuula buli omu naamuwa akambe naagamba nti: (Yusuf) fuluma ogende gye bali, bwe baamulaba ne bamutendereza ne beesala engalo, era nebagamba nti: ono ssi muntu ono tali okugyako Malayika ow'ekitiibwa
قَالَتْ فَذَٰلِكُنَّ الَّذِي لُمْتُنَّنِي فِيهِ ۖ وَلَقَدْ رَاوَدتُّهُ عَن نَّفْسِهِ فَاسْتَعْصَمَ ۖ وَلَئِن لَّمْ يَفْعَلْ مَا آمُرُهُ لَيُسْجَنَنَّ وَلَيَكُونًا مِّنَ الصَّاغِرِينَ (32)
Omukyala naagamba nti oyo nno yooyo gwe mubadde munnenyeza. Yye, kituufu namwegwanyizza naagaana, wabula bwataakole ekyo kye mmulagira aggya kusibirwa ddala era abeere mu banyomebwa
قَالَ رَبِّ السِّجْنُ أَحَبُّ إِلَيَّ مِمَّا يَدْعُونَنِي إِلَيْهِ ۖ وَإِلَّا تَصْرِفْ عَنِّي كَيْدَهُنَّ أَصْبُ إِلَيْهِنَّ وَأَكُن مِّنَ الْجَاهِلِينَ (33)
(Yusuf) naagamba nti: Ayi Mukama omulabirizi wange ekkomera lyenjagala okusinga ekyo kye bampitira, bwotamponye nkwe zaabwe nja kugwa mu mitego gya bwe, era mbe mu batategeera
فَاسْتَجَابَ لَهُ رَبُّهُ فَصَرَفَ عَنْهُ كَيْدَهُنَّ ۚ إِنَّهُ هُوَ السَّمِيعُ الْعَلِيمُ (34)
Awo nno Mukama omulabiriziwe naamwanukula naamuwugulako enkwe zaabwe anti mazima yye awulira nnyo mumanyi nnyo
ثُمَّ بَدَا لَهُم مِّن بَعْدِ مَا رَأَوُا الْآيَاتِ لَيَسْجُنُنَّهُ حَتَّىٰ حِينٍ (35)
(Bwe baamala okutunula mu bujulizi) kyabalabikira nga balina kumusiba okumala ekiseera
وَدَخَلَ مَعَهُ السِّجْنَ فَتَيَانِ ۖ قَالَ أَحَدُهُمَا إِنِّي أَرَانِي أَعْصِرُ خَمْرًا ۖ وَقَالَ الْآخَرُ إِنِّي أَرَانِي أَحْمِلُ فَوْقَ رَأْسِي خُبْزًا تَأْكُلُ الطَّيْرُ مِنْهُ ۖ نَبِّئْنَا بِتَأْوِيلِهِ ۖ إِنَّا نَرَاكَ مِنَ الْمُحْسِنِينَ (36)
Abavubuka babiri, baayingira naye ekkomera, (nga bali mu kkomera buli omu yalaba endooto) omu ku bo naagamba nti mazima nze naloose nga nsogola omubisi, omulala naagamba nti naloose nga neetisse ku mutwe gwange omugaati ng'ebinyonyi bigulyako, tubuulire bivvuunulwa bitya? Mazima ffe tukulaba nga oli mu balongoosa
قَالَ لَا يَأْتِيكُمَا طَعَامٌ تُرْزَقَانِهِ إِلَّا نَبَّأْتُكُمَا بِتَأْوِيلِهِ قَبْلَ أَن يَأْتِيَكُمَا ۚ ذَٰلِكُمَا مِمَّا عَلَّمَنِي رَبِّي ۚ إِنِّي تَرَكْتُ مِلَّةَ قَوْمٍ لَّا يُؤْمِنُونَ بِاللَّهِ وَهُم بِالْآخِرَةِ هُمْ كَافِرُونَ (37)
(Yusuf) naabagamba nti emmere gye muweebwa tejja kubatuukako okugyako nga mmaze okubavvuunulira (buli omu ekirootokye) nga tennaba kubatuukako, ekyo nno mmwe kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yanjigiriza, anti mazima nze nayawukana n'ekibiina ky'abantu abatakkiriza Katonda, nga era bo bawakanya olunaku lw'enkomerero
وَاتَّبَعْتُ مِلَّةَ آبَائِي إِبْرَاهِيمَ وَإِسْحَاقَ وَيَعْقُوبَ ۚ مَا كَانَ لَنَا أَن نُّشْرِكَ بِاللَّهِ مِن شَيْءٍ ۚ ذَٰلِكَ مِن فَضْلِ اللَّهِ عَلَيْنَا وَعَلَى النَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَ النَّاسِ لَا يَشْكُرُونَ (38)
Era nengoberera eddiini ya bakadde bange Ibrahim ne Ishaka ne Yakub, teki kusaanirangako kugatta ku Katonda kintu kyonna. Byonna ebyo bye bimu ku birungi bya Katonda bye yatugabira era bye yagabira abantu abalala. Naye abantu abasinga obungi tebeebaza
يَا صَاحِبَيِ السِّجْنِ أَأَرْبَابٌ مُّتَفَرِّقُونَ خَيْرٌ أَمِ اللَّهُ الْوَاحِدُ الْقَهَّارُ (39)
(Yusuf naabagamba nti) abange mmwe abasibe ababiri, ba katonda ab'enjawulo be balungi okusinga Katonda omu nantalemwa
مَا تَعْبُدُونَ مِن دُونِهِ إِلَّا أَسْمَاءً سَمَّيْتُمُوهَا أَنتُمْ وَآبَاؤُكُم مَّا أَنزَلَ اللَّهُ بِهَا مِن سُلْطَانٍ ۚ إِنِ الْحُكْمُ إِلَّا لِلَّهِ ۚ أَمَرَ أَلَّا تَعْبُدُوا إِلَّا إِيَّاهُ ۚ ذَٰلِكَ الدِّينُ الْقَيِّمُ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَ النَّاسِ لَا يَعْلَمُونَ (40)
Bye musinza ne muleka Katonda, tebirina kye biri okugyako okuba amannya obunnya ge mwatuuma mmwe ne bakadde ba mmwe. Katonda tabissangako bujulizi bwonna, ate nga okusalawo kwonna tekuli okugyako mu mikono gya Katonda (ate nga) yalagira mube nga temusinza okugyako ye yekka eyo nno y'eddiini ennambulukufu, wabula abantu abasinga obungi tebamanyi
يَا صَاحِبَيِ السِّجْنِ أَمَّا أَحَدُكُمَا فَيَسْقِي رَبَّهُ خَمْرًا ۖ وَأَمَّا الْآخَرُ فَيُصْلَبُ فَتَأْكُلُ الطَّيْرُ مِن رَّأْسِهِ ۚ قُضِيَ الْأَمْرُ الَّذِي فِيهِ تَسْتَفْتِيَانِ (41)
Abange mmwe abasibe ababiri, yye, omu ku mmwe ajja kubeera mu senero ewa Mukama we, ate yye, omulala ajja kukomererwa ku musaalaba, ebinyonyi bimulye ku mutwe, ekigambo kiwedde ekyo kye mubadde mubuuza
وَقَالَ لِلَّذِي ظَنَّ أَنَّهُ نَاجٍ مِّنْهُمَا اذْكُرْنِي عِندَ رَبِّكَ فَأَنسَاهُ الشَّيْطَانُ ذِكْرَ رَبِّهِ فَلَبِثَ فِي السِّجْنِ بِضْعَ سِنِينَ (42)
(Yusuf) naagamba oyo gwe yalinamu essuubi ly'okuwona ku bombi nti: onjogererayo nga otuuse ewa Mukama wo (kabaka), wabula Sitane neemwerabiza okumwogererayo ewa Mukamaawe, olwo nno naatuula mu kkomera emyaka egiwera
وَقَالَ الْمَلِكُ إِنِّي أَرَىٰ سَبْعَ بَقَرَاتٍ سِمَانٍ يَأْكُلُهُنَّ سَبْعٌ عِجَافٌ وَسَبْعَ سُنبُلَاتٍ خُضْرٍ وَأُخَرَ يَابِسَاتٍ ۖ يَا أَيُّهَا الْمَلَأُ أَفْتُونِي فِي رُؤْيَايَ إِن كُنتُمْ لِلرُّؤْيَا تَعْبُرُونَ (43)
(Lumu) Kabaka naagamba nti mazima nze naloose nga ndaba ente musanvu engevvu nga ziriibwa emigogge gye nte musanvu, era nendoota ebirimba musanvu ebyakiragala n'ebikoola musanvu ngabikaze, abange mmwe abakungu munnyinnyonnyole endooto yange bwe muba nga mumanyi okuvvuunula amakulu g'ebirooto
قَالُوا أَضْغَاثُ أَحْلَامٍ ۖ وَمَا نَحْنُ بِتَأْوِيلِ الْأَحْلَامِ بِعَالِمِينَ (44)
Nebagamba nti: okwo kulogojjana kwa birooto ate ekirala tetumanyi kuvvuunula birooto
وَقَالَ الَّذِي نَجَا مِنْهُمَا وَادَّكَرَ بَعْدَ أُمَّةٍ أَنَا أُنَبِّئُكُم بِتَأْوِيلِهِ فَأَرْسِلُونِ (45)
Omu ku basibe ababiri eyawona (e kkomera) naagamba era nga yajjukira wamaze kuyitawo kaseera nti nze njakubabuulira amakulu g'ekirooto ekyo, kale muntume
يُوسُفُ أَيُّهَا الصِّدِّيقُ أَفْتِنَا فِي سَبْعِ بَقَرَاتٍ سِمَانٍ يَأْكُلُهُنَّ سَبْعٌ عِجَافٌ وَسَبْعِ سُنبُلَاتٍ خُضْرٍ وَأُخَرَ يَابِسَاتٍ لَّعَلِّي أَرْجِعُ إِلَى النَّاسِ لَعَلَّهُمْ يَعْلَمُونَ (46)
(Bwe yatuuka mu kkomera) naagamba nti Yusuf owange ggwe omwogera mazima tubuulire amakulu g'ekirooto nga ente musanvu engevvu nga ziriibwa emigogge gy'ente musanvu, ebirimba musanvu ebyakiragala n'ebirala musanvu bikalu, olwo nno nzire eri abantu mbabuulire babe nga bamanya
قَالَ تَزْرَعُونَ سَبْعَ سِنِينَ دَأَبًا فَمَا حَصَدتُّمْ فَذَرُوهُ فِي سُنبُلِهِ إِلَّا قَلِيلًا مِّمَّا تَأْكُلُونَ (47)
Yusuf naagamba nti mujja kulimira emyaka musanvu egiddiringanye, bye munaakungula mubireke mu birimba byabyo okugyako bitono ebyo bye munaalya
ثُمَّ يَأْتِي مِن بَعْدِ ذَٰلِكَ سَبْعٌ شِدَادٌ يَأْكُلْنَ مَا قَدَّمْتُمْ لَهُنَّ إِلَّا قَلِيلًا مِّمَّا تُحْصِنُونَ (48)
Oluvanyuma lw'ekyo, wajja kujja emyaka musanvu egy'obuzibu egiggya okumalawo byonna bye mwagiterekera okugyako ebitono ennyo bye mulisalawo bisigalewo (nga nsigo)
ثُمَّ يَأْتِي مِن بَعْدِ ذَٰلِكَ عَامٌ فِيهِ يُغَاثُ النَّاسُ وَفِيهِ يَعْصِرُونَ (49)
Oluvanyuma lw'ebyo wagenda kujjawo omwaka abantu mwebalinywesebwa era mu mwaka ogwo balisobola okusogola ku mubisi
وَقَالَ الْمَلِكُ ائْتُونِي بِهِ ۖ فَلَمَّا جَاءَهُ الرَّسُولُ قَالَ ارْجِعْ إِلَىٰ رَبِّكَ فَاسْأَلْهُ مَا بَالُ النِّسْوَةِ اللَّاتِي قَطَّعْنَ أَيْدِيَهُنَّ ۚ إِنَّ رَبِّي بِكَيْدِهِنَّ عَلِيمٌ (50)
Kabaka naagamba nti: mumundeetere, gwebaatuma bwe yamala okumutuukako (Yusuf) naagamba nti ddayo ewa Mukamaawo omubuuze ebikwata ku bakyala abo abeesala engalo, mazima Mukama omulabirizi wange amanyidde ddala ebikwata ku nkwe zaabwe
قَالَ مَا خَطْبُكُنَّ إِذْ رَاوَدتُّنَّ يُوسُفَ عَن نَّفْسِهِ ۚ قُلْنَ حَاشَ لِلَّهِ مَا عَلِمْنَا عَلَيْهِ مِن سُوءٍ ۚ قَالَتِ امْرَأَتُ الْعَزِيزِ الْآنَ حَصْحَصَ الْحَقُّ أَنَا رَاوَدتُّهُ عَن نَّفْسِهِ وَإِنَّهُ لَمِنَ الصَّادِقِينَ (51)
(Kabaka) yagamba (abakyala abo nti) kiki ekyabatuusa kukwegwanyiza Yusuf, nebagamba nti amazima ga Katonda tetumumanyangako kibi kyonna, muka omukulu naagamba nti kaakati amazima geeyolese nze namwegwanyiza era mazima yye wa mu bantu aboogera amazima
ذَٰلِكَ لِيَعْلَمَ أَنِّي لَمْ أَخُنْهُ بِالْغَيْبِ وَأَنَّ اللَّهَ لَا يَهْدِي كَيْدَ الْخَائِنِينَ (52)
(Yusuf naagamba nti ekyo kyali bwekiti Kabaka) asobole okumanya nti nze sigezangako kumukumpanya nga taliiwo, bulijjo Katonda talungamya nkwe za bakumpanya
۞ وَمَا أُبَرِّئُ نَفْسِي ۚ إِنَّ النَّفْسَ لَأَمَّارَةٌ بِالسُّوءِ إِلَّا مَا رَحِمَ رَبِّي ۚ إِنَّ رَبِّي غَفُورٌ رَّحِيمٌ (53)
Era sseetukuza mazima omwoyo (gw'omuntu) gulagira nnyo okwonoona, okugyako oyo Mukama omulabirizi wange gwaba asaasidde anti mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi
وَقَالَ الْمَلِكُ ائْتُونِي بِهِ أَسْتَخْلِصْهُ لِنَفْسِي ۖ فَلَمَّا كَلَّمَهُ قَالَ إِنَّكَ الْيَوْمَ لَدَيْنَا مَكِينٌ أَمِينٌ (54)
Kabaka naagamba nti mumundeetere, mwekomye, bwe yamala okwogera naye (Kabaka) naagamba nti mazima ggwe okuva olwa leero oweereddwa obuvunaanyizibwa era oli mwesigwa
قَالَ اجْعَلْنِي عَلَىٰ خَزَائِنِ الْأَرْضِ ۖ إِنِّي حَفِيظٌ عَلِيمٌ (55)
(Yusuf) naagamba nti (bwe kiba bwe kityo) mpa obuyinza ku mawanika g’omunsi (eno Misiri) mazima nze nsobola obuwanika era omumanyi ennyo
وَكَذَٰلِكَ مَكَّنَّا لِيُوسُفَ فِي الْأَرْضِ يَتَبَوَّأُ مِنْهَا حَيْثُ يَشَاءُ ۚ نُصِيبُ بِرَحْمَتِنَا مَن نَّشَاءُ ۖ وَلَا نُضِيعُ أَجْرَ الْمُحْسِنِينَ (56)
Bwe tutyo nno twawa Yusuf obuvunaanyizibwa mu nsi (Misiri) nga adda eno n'eri mu yo nga bwayagala. Tussa okusaasira kwa ffe ku oyo gwe tuba twagadde era tetuyinza butasasula bakozi ba bulungi
وَلَأَجْرُ الْآخِرَةِ خَيْرٌ لِّلَّذِينَ آمَنُوا وَكَانُوا يَتَّقُونَ (57)
Empeera y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abakkiriza ne baba nga batya Katonda
وَجَاءَ إِخْوَةُ يُوسُفَ فَدَخَلُوا عَلَيْهِ فَعَرَفَهُمْ وَهُمْ لَهُ مُنكِرُونَ (58)
Awo nno baganda ba Yusuf bajja ne bayingira we yali era n'abamanya nga ate bo tebamutegeera
وَلَمَّا جَهَّزَهُم بِجَهَازِهِمْ قَالَ ائْتُونِي بِأَخٍ لَّكُم مِّنْ أَبِيكُمْ ۚ أَلَا تَرَوْنَ أَنِّي أُوفِي الْكَيْلَ وَأَنَا خَيْرُ الْمُنزِلِينَ (59)
Bwe yamala okubategekera bye banaatwala, naagamba nti lwe mulidda mundeeteranga muganda wa mmwe mu Kitammwe temulaba nti mazima nze ntuukiriza ebipimo era nze nsinga okuyisa obulungi abagenyi
فَإِن لَّمْ تَأْتُونِي بِهِ فَلَا كَيْلَ لَكُمْ عِندِي وَلَا تَقْرَبُونِ (60)
Bwe mutalimundeetera temugenda kupimirwa mmere okuva gyendi era temunsembereranga
قَالُوا سَنُرَاوِدُ عَنْهُ أَبَاهُ وَإِنَّا لَفَاعِلُونَ (61)
Nebagamba nti tujja kusaba Kitaawe amutuwe era mazima ddala ffe tugenda kukikola
وَقَالَ لِفِتْيَانِهِ اجْعَلُوا بِضَاعَتَهُمْ فِي رِحَالِهِمْ لَعَلَّهُمْ يَعْرِفُونَهَا إِذَا انقَلَبُوا إِلَىٰ أَهْلِهِمْ لَعَلَّهُمْ يَرْجِعُونَ (62)
(Yusuf) naagamba abavubuka be nti musse sente zaabwe mu migugu gya bwe banaakimanyira eyo nga batuuse kibenga kibasikiriza okudda
فَلَمَّا رَجَعُوا إِلَىٰ أَبِيهِمْ قَالُوا يَا أَبَانَا مُنِعَ مِنَّا الْكَيْلُ فَأَرْسِلْ مَعَنَا أَخَانَا نَكْتَلْ وَإِنَّا لَهُ لَحَافِظُونَ (63)
Bwe baddayo ewa Kitaabwe, baagamba nti owange Kitaffe tugaaniddwa okupimirwa (emmere omulundi omulala bwe tutagenda ne Beniyamini) kale tukkirize tugende ne Muganda waffe tube nga tupimirwa era mazima ddala ffe tugenda kumukuuma
قَالَ هَلْ آمَنُكُمْ عَلَيْهِ إِلَّا كَمَا أَمِنتُكُمْ عَلَىٰ أَخِيهِ مِن قَبْلُ ۖ فَاللَّهُ خَيْرٌ حَافِظًا ۖ وَهُوَ أَرْحَمُ الرَّاحِمِينَ (64)
Yakub naagamba nti abaffe munsuubira okubeesiga ku ye, okugyako nga bwennabeesiga ku mugandawe oluberyeberye (nemutatuukiriza), Katonda ye mukuumi asinga era yye, ye musaasizi asinga abasaasizi bonna
وَلَمَّا فَتَحُوا مَتَاعَهُمْ وَجَدُوا بِضَاعَتَهُمْ رُدَّتْ إِلَيْهِمْ ۖ قَالُوا يَا أَبَانَا مَا نَبْغِي ۖ هَٰذِهِ بِضَاعَتُنَا رُدَّتْ إِلَيْنَا ۖ وَنَمِيرُ أَهْلَنَا وَنَحْفَظُ أَخَانَا وَنَزْدَادُ كَيْلَ بَعِيرٍ ۖ ذَٰلِكَ كَيْلٌ يَسِيرٌ (65)
Bwe baasumulula emigugu gya bwe (nga batuuse ewaabwe) ne bagwa ku sente zaabwe nga zibaddiziddwa ne bagamba nti owange Taata ate kiki ekirala kye twagala, sente zaffe ziizino zituddiziddwa, kye tulina okukola kuleetera bantu baffe mmere, era Muganda waffe tujja kumukuuma, olwo nno tuddeyo tweyongere ekipimo eky'etikkibwa engamiya, era ekyo ekipimo kyangu nnyo okufuna
قَالَ لَنْ أُرْسِلَهُ مَعَكُمْ حَتَّىٰ تُؤْتُونِ مَوْثِقًا مِّنَ اللَّهِ لَتَأْتُنَّنِي بِهِ إِلَّا أَن يُحَاطَ بِكُمْ ۖ فَلَمَّا آتَوْهُ مَوْثِقَهُمْ قَالَ اللَّهُ عَلَىٰ مَا نَقُولُ وَكِيلٌ (66)
Yakub naagamba nti sijja kumubawa kugenda naye okutuusa nga mumpadde obweyamo eri Katonda nti mazima ddala mujja kumunkomezaawo, okugyako nga mwetooloddwa (ne mutasobola kumutaasa). Bwe baamala okumuwa obweyamo bwa bwe naagamba nti Katonda ye mweyimirize ku byonna bye twogera
وَقَالَ يَا بَنِيَّ لَا تَدْخُلُوا مِن بَابٍ وَاحِدٍ وَادْخُلُوا مِنْ أَبْوَابٍ مُّتَفَرِّقَةٍ ۖ وَمَا أُغْنِي عَنكُم مِّنَ اللَّهِ مِن شَيْءٍ ۖ إِنِ الْحُكْمُ إِلَّا لِلَّهِ ۖ عَلَيْهِ تَوَكَّلْتُ ۖ وَعَلَيْهِ فَلْيَتَوَكَّلِ الْمُتَوَكِّلُونَ (67)
Era naagamba nti abange baana bange (bwe mutuukayo) temuyingirira mu mulyango gumu, wabula muyingirire mu milyango gya njawulo, (ngambye ntyo) wabula sisobola kubamalira kintu kyonna ewa Katonda anti okulamula kwonna tekulina gye kuli okugyako ewa Katonda, ye yekka gwe nneesize, anti abeesiga bonna ye yekka gwe bateekwa okwesiga
وَلَمَّا دَخَلُوا مِنْ حَيْثُ أَمَرَهُمْ أَبُوهُم مَّا كَانَ يُغْنِي عَنْهُم مِّنَ اللَّهِ مِن شَيْءٍ إِلَّا حَاجَةً فِي نَفْسِ يَعْقُوبَ قَضَاهَا ۚ وَإِنَّهُ لَذُو عِلْمٍ لِّمَا عَلَّمْنَاهُ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَ النَّاسِ لَا يَعْلَمُونَ (68)
Bwe baayingira nga Kitaabwe bwe yabalagira ekitaali kya kubagasa kintu kyonna ewa Katonda okugyako okutuukiriza ekyetaago ekyali mu mutima gwa Yakub, era mazima yye yamanyira ddala bye twamuyigiriza naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi
وَلَمَّا دَخَلُوا عَلَىٰ يُوسُفَ آوَىٰ إِلَيْهِ أَخَاهُ ۖ قَالَ إِنِّي أَنَا أَخُوكَ فَلَا تَبْتَئِسْ بِمَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (69)
Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza gyali Mugandawe naagamba nti: mazima ddala nze Mugandawo (eyabula) kale nno tonakuwala olw'ebyo bye baakolanga
فَلَمَّا جَهَّزَهُم بِجَهَازِهِمْ جَعَلَ السِّقَايَةَ فِي رَحْلِ أَخِيهِ ثُمَّ أَذَّنَ مُؤَذِّنٌ أَيَّتُهَا الْعِيرُ إِنَّكُمْ لَسَارِقُونَ (70)
Bwe yamala okubategekera bye batwala yassa ekisena mu mugugu gwa Muganda we, olwo nno omulangirizi naalangirira nti, abange mmwe abatambuze abagenda mazima ddala mmwe muli babbi
قَالُوا وَأَقْبَلُوا عَلَيْهِم مَّاذَا تَفْقِدُونَ (71)
Nebagamba nga boolekedde bali (ababagamba eby'obubbi) kiki ekibabuzeeko
قَالُوا نَفْقِدُ صُوَاعَ الْمَلِكِ وَلِمَن جَاءَ بِهِ حِمْلُ بَعِيرٍ وَأَنَا بِهِ زَعِيمٌ (72)
Nebagamba nti ekisena kya Kabaka tetukiraba era oyo yenna anaakireeta ajja kuweebwa empeera ey'etikkibwa e ngamiya, era ekyo nze nkyeyimiridde
قَالُوا تَاللَّهِ لَقَدْ عَلِمْتُم مَّا جِئْنَا لِنُفْسِدَ فِي الْأَرْضِ وَمَا كُنَّا سَارِقِينَ (73)
Nebagamba nti tulayira Katonda mazima mukimanyi tetwajja kwonoona mu nsi, (eno) era tetubangako babbi
قَالُوا فَمَا جَزَاؤُهُ إِن كُنتُمْ كَاذِبِينَ (74)
Nebabagamba nti kibonerezo ki (ekimugwanira) bwe munaaba abalimba
قَالُوا جَزَاؤُهُ مَن وُجِدَ فِي رَحْلِهِ فَهُوَ جَزَاؤُهُ ۚ كَذَٰلِكَ نَجْزِي الظَّالِمِينَ (75)
Nebagamba nti ekibonerezokye, oyo yenna ekisena kya Kabaka gwe kinaasangibwa mu mugugugwe ye y'anaafuuka omutango gwa kyo, (ewaffe) bwe tutyo bwe tubonereza abeeyisa obubi
فَبَدَأَ بِأَوْعِيَتِهِمْ قَبْلَ وِعَاءِ أَخِيهِ ثُمَّ اسْتَخْرَجَهَا مِن وِعَاءِ أَخِيهِ ۚ كَذَٰلِكَ كِدْنَا لِيُوسُفَ ۖ مَا كَانَ لِيَأْخُذَ أَخَاهُ فِي دِينِ الْمَلِكِ إِلَّا أَن يَشَاءَ اللَّهُ ۚ نَرْفَعُ دَرَجَاتٍ مَّن نَّشَاءُ ۗ وَفَوْقَ كُلِّ ذِي عِلْمٍ عَلِيمٌ (76)
(Yusuf naayaza) nga atandikira ku migugu gya bwe nga tannatuuka ku mugugu gwa Mugandawe olwo naakijja mu mugugu gwa mugandawe, bwe tutyo bwe twayamba Yusuf naasalira bagandabe amagezi (anti) yali tayinza kusigaza mugandawe okusinziira ku nkola ya Kabaka (we Misiri) singa Katonda teyayagala, tusitula amadaala g'abo betuba twagadde era waggulu wa buli mumanyi waliyo omumanyi (asingako)
۞ قَالُوا إِن يَسْرِقْ فَقَدْ سَرَقَ أَخٌ لَّهُ مِن قَبْلُ ۚ فَأَسَرَّهَا يُوسُفُ فِي نَفْسِهِ وَلَمْ يُبْدِهَا لَهُمْ ۚ قَالَ أَنتُمْ شَرٌّ مَّكَانًا ۖ وَاللَّهُ أَعْلَمُ بِمَا تَصِفُونَ (77)
Nebagamba nti (Biniyamini) bwaba abbye Mugandawe yabba dda, Yusuf naakyesigaliza mu mutimagwe naatabaatulira, naagamba mmwe babi okusinga, era Katonda y'asinga okumanya ebyo bye mwogera
قَالُوا يَا أَيُّهَا الْعَزِيزُ إِنَّ لَهُ أَبًا شَيْخًا كَبِيرًا فَخُذْ أَحَدَنَا مَكَانَهُ ۖ إِنَّا نَرَاكَ مِنَ الْمُحْسِنِينَ (78)
(Nebagamba nti owange ggwe Kamalabyonna mazima Biniyamini) aliko Kitaawe Musajja mukulu mukadde, kale mu kifo kye sigaza omu ku ffe, mazima tukutwala okuba nga oli mu bakozi b'obulungi
قَالَ مَعَاذَ اللَّهِ أَن نَّأْخُذَ إِلَّا مَن وَجَدْنَا مَتَاعَنَا عِندَهُ إِنَّا إِذًا لَّظَالِمُونَ (79)
(Yusuf) naagamba nti Katonda akisse wala okuba nga tukwata atali oyo gwe tukutte n'ebintu byaffe bwe kiba kityo olwo nno tuba balyazaamaanyi
فَلَمَّا اسْتَيْأَسُوا مِنْهُ خَلَصُوا نَجِيًّا ۖ قَالَ كَبِيرُهُمْ أَلَمْ تَعْلَمُوا أَنَّ أَبَاكُمْ قَدْ أَخَذَ عَلَيْكُم مَّوْثِقًا مِّنَ اللَّهِ وَمِن قَبْلُ مَا فَرَّطتُمْ فِي يُوسُفَ ۖ فَلَنْ أَبْرَحَ الْأَرْضَ حَتَّىٰ يَأْذَنَ لِي أَبِي أَوْ يَحْكُمَ اللَّهُ لِي ۖ وَهُوَ خَيْرُ الْحَاكِمِينَ (80)
Bwe baamala okuba nga tebakyamulinamu ssuubi nebadda ebbali (begeyeemu), Mukulu waabwe naagamba nti temukimanyi nti Kitammwe yabaggyeko obweyamo eri Katonda ate nga oluberyeberye mulina engeri gye mutaayisaamu Yusuf bulungi, n'olwekyo sigenda kuva mu nsi eno okugyako nga Kitange anzikirizza oba Katonda nansalirawo. Era yye yaasinga abasalawo bonna
ارْجِعُوا إِلَىٰ أَبِيكُمْ فَقُولُوا يَا أَبَانَا إِنَّ ابْنَكَ سَرَقَ وَمَا شَهِدْنَا إِلَّا بِمَا عَلِمْنَا وَمَا كُنَّا لِلْغَيْبِ حَافِظِينَ (81)
Muddeeyo eri Kitammwe mumugambe nti: owange Kitaffe mazima Mutabaniwo yabba tetuwa bujulizi okugyako ku ekyo kye tumanyi, era tetubangako ba kalondoozi ku ebyo ebyekusifu
وَاسْأَلِ الْقَرْيَةَ الَّتِي كُنَّا فِيهَا وَالْعِيرَ الَّتِي أَقْبَلْنَا فِيهَا ۖ وَإِنَّا لَصَادِقُونَ (82)
Buuza abantu bo mu kitundu gye twali, obuuze n'ekibinja ky'abantu kye twaddiramu era mazima ddala ffe tuli b'amazima
قَالَ بَلْ سَوَّلَتْ لَكُمْ أَنفُسُكُمْ أَمْرًا ۖ فَصَبْرٌ جَمِيلٌ ۖ عَسَى اللَّهُ أَن يَأْتِيَنِي بِهِمْ جَمِيعًا ۚ إِنَّهُ هُوَ الْعَلِيمُ الْحَكِيمُ (83)
(Yakub) naagamba nti wabula emyoyo gya mmwe gyabayiiyirizza ekintu. okugumiikiriza kulungi, nina essuubi nti bonna Katonda agenda kubandeetera bonna. Mazima ddala y'amanyi ennyo era mugoba nsonga
وَتَوَلَّىٰ عَنْهُمْ وَقَالَ يَا أَسَفَىٰ عَلَىٰ يُوسُفَ وَابْيَضَّتْ عَيْنَاهُ مِنَ الْحُزْنِ فَهُوَ كَظِيمٌ (84)
Awo nno naabaviira era naagamba nti: ndabye n'omwana wange Yusuf, amaasoge negatukula olw'obunakuwavu, era nga yye munyiikaavu
قَالُوا تَاللَّهِ تَفْتَأُ تَذْكُرُ يُوسُفَ حَتَّىٰ تَكُونَ حَرَضًا أَوْ تَكُونَ مِنَ الْهَالِكِينَ (85)
Nebagamba nti amazima ga Katonda era okyajjukira Yusuf okutuusa lwokonzibye n'otuuka okubeera mu bagenda okufa
قَالَ إِنَّمَا أَشْكُو بَثِّي وَحُزْنِي إِلَى اللَّهِ وَأَعْلَمُ مِنَ اللَّهِ مَا لَا تَعْلَمُونَ (86)
Naagamba nti mazima ebizibu byange ne nnaku yange mbiroopera Katonda era mmanyi okuva eri Katonda bye mutamanyi
يَا بَنِيَّ اذْهَبُوا فَتَحَسَّسُوا مِن يُوسُفَ وَأَخِيهِ وَلَا تَيْأَسُوا مِن رَّوْحِ اللَّهِ ۖ إِنَّهُ لَا يَيْأَسُ مِن رَّوْحِ اللَّهِ إِلَّا الْقَوْمُ الْكَافِرُونَ (87)
Abange baana bange mugende mugezeeko okunoonya ebifa ku Yusuf ne Mugandawe, temugwangamu ssuubi ku kusaasira kwa Katonda mazima tewali akutuka ssuubi na kususaasira kwa Katonda okugyako abantu abakaafiiri
فَلَمَّا دَخَلُوا عَلَيْهِ قَالُوا يَا أَيُّهَا الْعَزِيزُ مَسَّنَا وَأَهْلَنَا الضُّرُّ وَجِئْنَا بِبِضَاعَةٍ مُّزْجَاةٍ فَأَوْفِ لَنَا الْكَيْلَ وَتَصَدَّقْ عَلَيْنَا ۖ إِنَّ اللَّهَ يَجْزِي الْمُتَصَدِّقِينَ (88)
Bwe baayingira awaali Yusuf ne bagamba nti owange kamala byonna ekyeya kituli bubi ffe n'abantu baffe, ate bye twagala okuwaanyisaamu emmere bye tuleese ssi birungi, wabula ggwe tujjulize byotupimira era otusaddaakire (okkirize tugendere awo) mazima Katonda asasula abasaddaaka
قَالَ هَلْ عَلِمْتُم مَّا فَعَلْتُم بِيُوسُفَ وَأَخِيهِ إِذْ أَنتُمْ جَاهِلُونَ (89)
(Yusuf) naagamba nti: mumanyi ekyo kye mwakola Yusuf ne Mugandawe nga temumanyi (bigenda kuddirira)
قَالُوا أَإِنَّكَ لَأَنتَ يُوسُفُ ۖ قَالَ أَنَا يُوسُفُ وَهَٰذَا أَخِي ۖ قَدْ مَنَّ اللَّهُ عَلَيْنَا ۖ إِنَّهُ مَن يَتَّقِ وَيَصْبِرْ فَإِنَّ اللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجْرَ الْمُحْسِنِينَ (90)
Nebagamba nti mazima ddala ggwe Yusuf, naagamba nti nze Yusuf era ono Muganda wange, Katonda yatugonnomolako ebyengera era anti mazima omuntu atya Katonda era naagumiikiriza mazima Katonda tayinza butasasula bakozi ba bulungi
قَالُوا تَاللَّهِ لَقَدْ آثَرَكَ اللَّهُ عَلَيْنَا وَإِن كُنَّا لَخَاطِئِينَ (91)
Nebagamba nti tulayira Katonda nti mazima Katonda yakuwa enkizo ku ffe, era mazima mu byonna bye twakola twali basobya
قَالَ لَا تَثْرِيبَ عَلَيْكُمُ الْيَوْمَ ۖ يَغْفِرُ اللَّهُ لَكُمْ ۖ وَهُوَ أَرْحَمُ الرَّاحِمِينَ (92)
Naagamba nti olwa leero si lunaku lwa kubanenya, nsaba Katonda abasonyiwe era yye ye musaasizi asinga abasaazizi bonna
اذْهَبُوا بِقَمِيصِي هَٰذَا فَأَلْقُوهُ عَلَىٰ وَجْهِ أَبِي يَأْتِ بَصِيرًا وَأْتُونِي بِأَهْلِكُمْ أَجْمَعِينَ (93)
Mutwale ekyambalo kyange kino mukisuule ku maaso ga Kitange ajja kuddamu alabe era mundeetere abantu ba mmwe bonna
وَلَمَّا فَصَلَتِ الْعِيرُ قَالَ أَبُوهُمْ إِنِّي لَأَجِدُ رِيحَ يُوسُفَ ۖ لَوْلَا أَن تُفَنِّدُونِ (94)
Ekibinja (kyabwe) bwe kyamala okuva (Emisiri) Kitaabwe naagamba nti mpulira akawoowo ka Yusuf singa si kutya nti munamputtawaza
قَالُوا تَاللَّهِ إِنَّكَ لَفِي ضَلَالِكَ الْقَدِيمِ (95)
Nebagamba nti tulayira Katonda mazima ggwe oli mu bubuzeebwo obw'edda
فَلَمَّا أَن جَاءَ الْبَشِيرُ أَلْقَاهُ عَلَىٰ وَجْهِهِ فَارْتَدَّ بَصِيرًا ۖ قَالَ أَلَمْ أَقُل لَّكُمْ إِنِّي أَعْلَمُ مِنَ اللَّهِ مَا لَا تَعْلَمُونَ (96)
Eyaleeta amawulire ag'esssanyu bwe yatuuka, (ekyambalo) yakissa ku kyenyikye (ekya Yakub) awo wennyini naddamu okulaba. (Yakub) naagamba nti saabagamba nti mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi
قَالُوا يَا أَبَانَا اسْتَغْفِرْ لَنَا ذُنُوبَنَا إِنَّا كُنَّا خَاطِئِينَ (97)
Nebagamba nti owange Kitaffe tusabire Katonda atusonyiwe ebyonoono byaffe mazima twali basobya
قَالَ سَوْفَ أَسْتَغْفِرُ لَكُمْ رَبِّي ۖ إِنَّهُ هُوَ الْغَفُورُ الرَّحِيمُ (98)
Naagamba nti nja kubasabira Mukama omulabirizi wange abasonyiwe, mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo
فَلَمَّا دَخَلُوا عَلَىٰ يُوسُفَ آوَىٰ إِلَيْهِ أَبَوَيْهِ وَقَالَ ادْخُلُوا مِصْرَ إِن شَاءَ اللَّهُ آمِنِينَ (99)
Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza bakaddebe gyali era naagamba nti muyingire Misiri mubeere mirembe Katonda bwanaaba ayagadde
وَرَفَعَ أَبَوَيْهِ عَلَى الْعَرْشِ وَخَرُّوا لَهُ سُجَّدًا ۖ وَقَالَ يَا أَبَتِ هَٰذَا تَأْوِيلُ رُؤْيَايَ مِن قَبْلُ قَدْ جَعَلَهَا رَبِّي حَقًّا ۖ وَقَدْ أَحْسَنَ بِي إِذْ أَخْرَجَنِي مِنَ السِّجْنِ وَجَاءَ بِكُم مِّنَ الْبَدْوِ مِن بَعْدِ أَن نَّزَغَ الشَّيْطَانُ بَيْنِي وَبَيْنَ إِخْوَتِي ۚ إِنَّ رَبِّي لَطِيفٌ لِّمَا يَشَاءُ ۚ إِنَّهُ هُوَ الْعَلِيمُ الْحَكِيمُ (100)
Era yasitula bakaddebe naabatuuza ku Ntebeye (Ey'obukulubwe) bonna ne bakutama ne bamuvunnamira era naagamba nti owange Kitange, gano ge makulu g’ekirooto kyange kye nnaloota edda, mazima Katonda wange akituukirizza, era mazima yankolera obulungi bwe yanzija mu kkomera ate na mmwe naabaleeta okubajja mu kyalo oluvanyuma lwa Sitane okuba nti yatabula wakati wange ne baganda bange. Mazima Mukama omulabirizi wange alumirwa oyo gwaba ayagadde anti mazima yye mumanyi nnyo mugoba nsonga
۞ رَبِّ قَدْ آتَيْتَنِي مِنَ الْمُلْكِ وَعَلَّمْتَنِي مِن تَأْوِيلِ الْأَحَادِيثِ ۚ فَاطِرَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ أَنتَ وَلِيِّي فِي الدُّنْيَا وَالْآخِرَةِ ۖ تَوَفَّنِي مُسْلِمًا وَأَلْحِقْنِي بِالصَّالِحِينَ (101)
Ayi Mukama omulabirizi wange mazima ompadde kyompadde mu bufuzi era nommanyisa okuvvuunula endooto, (ggwe) omutonzi w'eggulu omusanvu ne nsi, ggwe mukuumi wange ku nsi ne ku nkomerero. Nzita nga ndi musiraamu onteeke mu bakozi b'obulungi
ذَٰلِكَ مِنْ أَنبَاءِ الْغَيْبِ نُوحِيهِ إِلَيْكَ ۖ وَمَا كُنتَ لَدَيْهِمْ إِذْ أَجْمَعُوا أَمْرَهُمْ وَهُمْ يَمْكُرُونَ (102)
Ebyo nno bye bimu ku bigambo ebyekusifu bye tukutumira (ggwe Muhammad) era tewali nabo bwe bassa ekimu nga bakola olukwe
وَمَا أَكْثَرُ النَّاسِ وَلَوْ حَرَصْتَ بِمُؤْمِنِينَ (103)
Abantu abasinga obungi ne bwolulunkana otya tebayinza kubeera bakkiriza
وَمَا تَسْأَلُهُمْ عَلَيْهِ مِنْ أَجْرٍ ۚ إِنْ هُوَ إِلَّا ذِكْرٌ لِّلْعَالَمِينَ (104)
Sso ate tobasaba mpeera (ku kyobalungamya) tekiri (kyokola) okugyako okujjukiza eri ebitonde
وَكَأَيِّن مِّنْ آيَةٍ فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ يَمُرُّونَ عَلَيْهَا وَهُمْ عَنْهَا مُعْرِضُونَ (105)
Obubonero bumeka mu ggulu omusanvu n'ensi bwe bayitako nga bbo tebabufaako
وَمَا يُؤْمِنُ أَكْثَرُهُم بِاللَّهِ إِلَّا وَهُم مُّشْرِكُونَ (106)
Abasinga obungi mu bo tebakkiriza Katonda okugyako nga era bamugattako ebintu ebirala
أَفَأَمِنُوا أَن تَأْتِيَهُمْ غَاشِيَةٌ مِّنْ عَذَابِ اللَّهِ أَوْ تَأْتِيَهُمُ السَّاعَةُ بَغْتَةً وَهُمْ لَا يَشْعُرُونَ (107)
Abaffe baafuna obukakafu okuba nti tebayinza kujjirwa kibonerezo ky'amaanyi okuva ewa Katonda oba olunaku lw'enkomerero nerubatuukako kibwatukira nga nabo tebategedde
قُلْ هَٰذِهِ سَبِيلِي أَدْعُو إِلَى اللَّهِ ۚ عَلَىٰ بَصِيرَةٍ أَنَا وَمَنِ اتَّبَعَنِي ۖ وَسُبْحَانَ اللَّهِ وَمَا أَنَا مِنَ الْمُشْرِكِينَ (108)
Gamba nti: lino ly'ekkubo lyange nkowoola abantu okujja eri Katonda, nze n'abangoberera tukola ekyo nga tusinziira ku kulungamizibwa, era Mukama Katonda yasukkuluma, era nze siyinza kubeera mu bamugattako kintu kirala
وَمَا أَرْسَلْنَا مِن قَبْلِكَ إِلَّا رِجَالًا نُّوحِي إِلَيْهِم مِّنْ أَهْلِ الْقُرَىٰ ۗ أَفَلَمْ يَسِيرُوا فِي الْأَرْضِ فَيَنظُرُوا كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ ۗ وَلَدَارُ الْآخِرَةِ خَيْرٌ لِّلَّذِينَ اتَّقَوْا ۗ أَفَلَا تَعْقِلُونَ (109)
Tetwatumako oluberyeberye lwo okugyako basajja nga tubawa obubaka nga bantu ba mu bitundu ebyo (bye baatumwamu) abafffe tebatambula mu nsi ne balaba, yali etya enkomerero y'abo abaabasooka, e nyumba y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera
حَتَّىٰ إِذَا اسْتَيْأَسَ الرُّسُلُ وَظَنُّوا أَنَّهُمْ قَدْ كُذِبُوا جَاءَهُمْ نَصْرُنَا فَنُجِّيَ مَن نَّشَاءُ ۖ وَلَا يُرَدُّ بَأْسُنَا عَنِ الْقَوْمِ الْمُجْرِمِينَ (110)
(Okutaasibwa kwa bantu tekwajjanga) okutuusa ababaka lwe baasemberanga okukutuka n'okusuubira era ne balowooza nti mazima bo baalimbisibwa (awo nno) okutaasa kwa ffe ne kubajjira, naawonyezebwa oyo gwe twayagala awonyezebwe, obukambwe bwaffe ku bantu aboonoonyi tebuwonyezebwa
لَقَدْ كَانَ فِي قَصَصِهِمْ عِبْرَةٌ لِّأُولِي الْأَلْبَابِ ۗ مَا كَانَ حَدِيثًا يُفْتَرَىٰ وَلَٰكِن تَصْدِيقَ الَّذِي بَيْنَ يَدَيْهِ وَتَفْصِيلَ كُلِّ شَيْءٍ وَهُدًى وَرَحْمَةً لِّقَوْمٍ يُؤْمِنُونَ (111)
Mu nkuru zabo rwose habaye isomo kubumva. Ntabwo Qor'ani yigeze ivumburwa, ahubwo ni ibyemeza ibyayibanjirije ndetse no gusobanura mu buryo burambuye ibintu byose, ubuyobozi n'imbabazi kubantu bizera
❮ السورة السابقة السورة التـالية ❯

قراءة المزيد من سور القرآن الكريم :

1- الفاتحة2- البقرة3- آل عمران
4- النساء5- المائدة6- الأنعام
7- الأعراف8- الأنفال9- التوبة
10- يونس11- هود12- يوسف
13- الرعد14- إبراهيم15- الحجر
16- النحل17- الإسراء18- الكهف
19- مريم20- طه21- الأنبياء
22- الحج23- المؤمنون24- النور
25- الفرقان26- الشعراء27- النمل
28- القصص29- العنكبوت30- الروم
31- لقمان32- السجدة33- الأحزاب
34- سبأ35- فاطر36- يس
37- الصافات38- ص39- الزمر
40- غافر41- فصلت42- الشورى
43- الزخرف44- الدخان45- الجاثية
46- الأحقاف47- محمد48- الفتح
49- الحجرات50- ق51- الذاريات
52- الطور53- النجم54- القمر
55- الرحمن56- الواقعة57- الحديد
58- المجادلة59- الحشر60- الممتحنة
61- الصف62- الجمعة63- المنافقون
64- التغابن65- الطلاق66- التحريم
67- الملك68- القلم69- الحاقة
70- المعارج71- نوح72- الجن
73- المزمل74- المدثر75- القيامة
76- الإنسان77- المرسلات78- النبأ
79- النازعات80- عبس81- التكوير
82- الإنفطار83- المطففين84- الانشقاق
85- البروج86- الطارق87- الأعلى
88- الغاشية89- الفجر90- البلد
91- الشمس92- الليل93- الضحى
94- الشرح95- التين96- العلق
97- القدر98- البينة99- الزلزلة
100- العاديات101- القارعة102- التكاثر
103- العصر104- الهمزة105- الفيل
106- قريش107- الماعون108- الكوثر
109- الكافرون110- النصر111- المسد
112- الإخلاص113- الفلق114- الناس